Essuubi Eritaggwaawo
10 — Omuliro Gubuna Bugirimaani
Okubulawo kwa Luther mu ngeri eyewuunyisa kweralikiriza nnyo abantu bonna mu Bugirimaani. Abantu wonna ne bawulirwa nga bebuuza amayitire ge. Era eņņambo ne zibuna wonna nti ayinza n’okuba nti yatemulwa. Abantu bangi ne banyolwa nnyo, kyokka si mu abo bokka abaamukiriza olw’ebigambo bye, naye era n’abo abaali tebannasalawo kukkiriza kuyingira mugendo. Era bangi ne beerayirira nti baakuwoolera eggwanga olw’okufa kwe. EE 116.4
Abakulembeze b’Abaluumi bajjula okutya olw’ebyo ebyava mu kumala gasindikiririza eri Luther. Newakubadde nga mukusooka baajaganya olw’okulowooza nti yafa, naye beegomba okwekweka olw’ekiruyi ky’abantu. Abalabe be nga tebatawanyizibwangako bwe batyo olw’ebyo bye yabakolanga nga bwe baatawanyizibwa abantu nga talabikako. Ng’abo abaali baagala okumuzikiriza, kaakano nga beeraliikirivu so nga kati ali mu buwambe takyayinza na kweyamba. Omu ku bo yawulirwa ng’agamba nti: “Engeri yokka mwe tuyinza okuwonera, kwe kukoleeza emimuli tumulise wonna mu nsi, tuyigge Luther wonna w’akyayinza okulabika akomezebwewo mu nsi emukaabirira.” - D’Aubigne, b. 9, ch. 1. Ekiragiro kya kabaka nga nga tekikyalina buyinza. Ababaka ba papa ne bawulira obusungu kubanga ekiragiro kye tekyagobererwa, okusinga bwe bafliddeyo ennyo olw’okubula kwe. EE 116.5
Kyokka abantu baakkakkana bwe baawulira amawulire nti gyali mulamu naye nga musibe, kyokka era ne basigala nga bamuyayaanira. Ebiwanddiiko bye ne bisomebwa nnyo abantu okusingako ne bwe kyali. Abantu nkumu ne bamwegattangako okulwanirira ekigambo kya Katonda wakati mu kutya. Omugendo ne gweyongerangamu amaanyi. Ensigo Luther gye yasiga n’emeruka okubuna wonna. Okubula kwe ne kutuukiriza bingi okusinga ne by’atandituukiriza nga waali. Bakozi banne baawulira obuvunaanyizibwa nga buli ku mitwe gy’abwe era ne bakola EE 116.6
nnyo kubanga mukama waabwe yabagibwako. Ne bakola nnyo okutwala omulimu guno ogw’ekitiibwa mu maaso so guleme okuziyizibwa. EE 117.1
Kyokka Setaani yali teyeebase. Yakomawo n’olukujukuju lw’azze akozesa ne mu ngeri endala ezizze zikozesebwa mu kuzuukusa ekkanisa kwe kulimba n’okuzikiriza abantu ng’asiiga akazigo ku bulimba mu kifo ky’amazima. Nga bwe waaliwo ba Kristo aboobulimba mu kyasa ky’emyaka ekyasooka mu kkanisa y’Abakristayo, ne bannabbi aboobulimba baasitukawo mu kyasa eky’ekkumi n’omukaaga. EE 117.2
Waaliwo abantu abaacamuukirira olw’eddiini empya eyali ezze mu nsi, ne beegamba nti baafunye okubikkulirwa okuva mu ggulu, era ne bagamba nti baweereddwa ekiragiro okuva ewa Katonda okutwala omulimu mu maaso ogwatandikibwa Luther mu ngeri ey’obunafu bagumaririze. Ekyamazima, baali bazimbulula omulimu ye gwe yazimba. Ne bagaana okugondera etteeka ekkulu eryafuganga era erifuga enteekateeka y’okuzza ekkanisa obuggya - ekigambo kya Katonda kyokka kye kifuga enneyisa awamu n’okukkiriza; ne bakiwanyisaamu n’endowooza zaabwe ezitesigika, ezisobola okuwaba era ezikyukakyuka. Olw’okuteeka eri omuluņņamya ayinza okuzuula ensobi n’obulimba, baali batemera Setaani kkubo mu anaayita ajje afuge endowooza zaabwe nga ye bw’ayagala. EE 117.3
Era omu ku bannabbi bano yagamba nti yatumibwa malayika Gabudieri. N’omuyizi eyegatta ku bulimba buno, n’ayabulira emisomo gye, nga bw’agamba nti Katonda amuwadde ekirabo eky’amagezi era ayinza n’okunnyonnyola ekigambo kya Katonda. N’abalala abaali abangu okucaamuukirira ne babeegattako. Era n’ebyavaamu tebyali bitono. Olw’okubuulira kwa Luther okwasitula omwoyo gw’okulongoosa ekkanisa mu bantu, abamu ku bantu abamazima bawubisibwa bannabbi bano abaggya. EE 117.4
Abakulembeze bano ne bagenda okusisinka Melankisoni ne banne e Wittenberg okumutegeeza okulabikirwa kwabwe. Baamugamba nti: “Tutumiddwa Katonda tujje tutegeeze abantu. Mukama azze ayogera naffe; era atutegezezza ebijja okubaawo; kwe kugamba, tuli batume era bannabbi, twagala okutegeeza ne Dokita Luther.” - Ibid., b. 9, ch. 7. EE 117.5
Abaddu ba Katonda ne batya nnyo nga bwe beewuunya. Nga guno gwe mulundi gwabwe ogusooka okutuuka mu mbeera ng’eno, era nga tebamanyi kyakukola. Melankisoni yagamba nti: “Mazima abantu bano balimu emyoyo egitali gya bulijjo: naye myoyo ki egyo?.... Kyokka twegendereze tuleme okusirisa Omyoyo wa Katonda, oba okuwubisibwa omwoyo wa Setaani.” - Ibid., b. 9, ch. 7. EE 117.6
Amangu ago ne wasitukawo enjigiriza endala. Abantu ne baggirwa endowooza y’okulagajjalira Bayibuli oba okujeesaambira ddala. Amasomero ne gayingirwamu okutabukatabuka. Abayizi ne baggwaamu okwefuga, ne badduka okuva mu masomero ne mu matendekero. Ng’abantu abaali berowooza nti basobola okuleetawo okudda obuggya mu bantu ne mu mulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya, boongedde kugutuusa mu kusaanawo. Abaluumi ne bajaguza nnyo nnyini nga bwe bagamba nti: “Tubuzaayo omulundi gumu gwokka ogusembayo, bonna banaaba mu ngalo zaffe.” - Ibid., b. 9, ch. 7. EE 117.7
Luther e Wartburg gye yali, bwe yawulira nga bwe bibadde n’anyolwa nnyo, era n’agamba nti: “Nnakisuubira nga Setaani waakutuleetera kawumpuli ono.” - Ibid., b. 9, ch. 7. Yasobola okumanyira ddala ebigendererwa by’abantu bano abeeyita bannabbi, era n’ategeera ne bwe bayiinza okukosa amazima. Kyokka bwe EE 117.8
yawakanya papa ne kabaka, teyaggirwa kweraliikirira nga kweyatuukamu mu mbeera eno. Abalabe abasinga obubi ne basituka nga bava mu nda mu abo abeegamba nti bayayaanira enteekateeka y’okuzza obuggya ekkanisa. Amazima agamuleetera essanyu n’emirembe, ne gakozesebwa okuleeta okutabukatabuka n’okuyomba mu kkanisa. EE 118.1
Katonda yakubiriza Luther ng’ali ku mulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa agende mu maaso ye nga teyerowozezzaako. Era teyakigenderera nti ebigambo bye biriyinza n’okuteekawo enkyukakyuka ennene bwezityo. Ye ng’alinga ekikozesebwa mu mukono gwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Kyokka nga naye afuna okutya olw’okulaba ebiva mu kuweereza kwe. Olumu yagamba nti: “Singa nakimanyako nti enjigiriza yange yakosa omuntu yenna, wadde ka abe omu, newakubadde asembayo obuto wadde atamanyiddwa, - naye ate ekitasoboka, kubanga eno njiri yennyini, - ky’andiņņwanidde okufa emirundi kkumi n’okukirawo okusinga okugyegaana.” - Ibid., b. 9, ch. 7. EE 118.2
Kaakano nga ekibuga Wittenberg awaali entebe enkulu ey’omulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa, ne kiwambibwa amaanyi g’obwannalukala n’obumenyi bw’amateeka. Naye ng’obulabe buno tebusibuse ku njigiriza ya Luther; kyokka ng’abalabe be okwetoloola wonna mu Bugirimaani bamuvunaana okuba nga ye yavunaanyizibwa. Emirundi mingi yeebuuza ng’awulira okulumwa mu mutima gwe nti: “Eno eyinza okuba nga yenkomerero y’omulimu guno omukulu ogw’okuzza obuggya ekkanisa?” - Ibid., b. 9, ch. 7. Kyokka era, bwe yali alwana ne Katonda okuyita mu kusaba, n&pos;awulira emirembe nga gikulukutira mu nda mu mutima gwe. Yagamba Katonda nti: “Omulimu si gwange, gugwo ggwe ai Katonda. Toyinza kukkiriza mulimu gwo kwonoonebwa na busamize bwa ngeri eyo.” Naye ekirowoozo ky’okusigala ng’ali mu buwambe ate ng’omulimu gwonooneka, nga takikkiriza. Kyava amalalirira okudda e Wittenberg. EE 118.3
Naasitukirawo mu bwangu agire atambule olugendo luno olutaali Iwangu. Yali yaziyizibwa obwakabaka obutamala geetaba mu bantu. Era nga n’abalabe be balina eddembe okuzikiriza obulamu bwe; ng’aziyizibbwa okubudamizibwa abeemikwano wadde okumuwa obuyambi. Nga n’abafuzi bakola kyonna ekisoboka okusaanyawo abagoberezi be. Naye ng’alaba omulimu gw’enjiri guli mu katyabaga, bwatyo naamalirira okugenda alwanirire amazima mu linnya lya Mukama Katonda awatali kutya. EE 118.4
Bwe yawandiikira omulangira w’e Saxony, era ng’amaze okumulaga ensonga emujja e Wartburg, Luther yagamba nti: “Kakitegeerwe leero ssebo oweekitiibwa ennyo nti ņņenda e Wittenberg nga mpeereddwa obukuumi obwawaggulu ennyo era obukira ku bukuumi obuweebwa abalangira. Sirowooza kusaba buyambi kuva gy’oli, naye ate, ng’ogyeko nze okwagala okuweebwa obukuumi, nze nkakatibwako okukuuma ggwe. Era singa nakimanya nga ggwe oyinza okunkuuma obulamu bwange, sandigenze Wittenberg n’akamu kokka. Teriiyo kitala kiyinza kukuuma mulumu guno. Katonda yekka yavunaanyizibwa nga tayambiddwako muntu yenna. Oyo nnannyini kukkiriza yayiinza okukuuma okukkiriza mu ngeri esingako.” - Ibid., b. 9, ch. 8. EE 118.5
Mu bbaluwa endala gye yamuwandiikira mu kkubo ng’agenda e Wittenberg, Luther yakikaatiriza nti: “Maliridde obutakusanyusa wadde okusanyusa abantu EE 118.6
bonna mu nsi. Abantu abali e Wittenberg si be bamu ku ndiga zenvunaanyizibwako? Saabakwasibwa Katonda? N’olwekyo si buvunaanyizibwa bwange oba nga kiyinzika nze okwewaayo ku Iwabwe ne bwekitegeeza kufa? Ng’ogyeko ekyo, ntya nnyo okulaba omutawana nga gugwa mu Bugirimaani, si kulwa nga Katonda aboneereza ensi yaffe.” - Ibid., b. 9, ch. 7. EE 119.1
N’addamu okukola omulimu gwe wakati mu bumalirivu naye nga yegendereza nnyo. Agamba nti: “Tuli baakuwangula nga tukozesa kigambo ena tuzikirize byonna omulabe bye yazimba olw’empaka. Sijja kuwaliriza bantu bonna abalemedde mu busamize wadde abo abattakkiriza.... Tewali n’omu anaawalirizibwa. Buli muntu wa ddembe era ogwo gwe mulamwa omukulu mu kukkiriza.” - Ibid., b. 9, ch. 8. EE 119.2
Ekibuga kyonna ne kitegeera nti Luther akomyewo era nga agenda kubuulira mu kkanisa. Abantu ne bava wonna, era n’ekkanisa n’ebooga. Bwe yalinnya ekituuti, n’abuulirira abantu nga bw’abawa amagezi n’okubagumya awamu n’okubaneya. Kyokka yanenya nnyo abo abaasalawo okuwakanya misa okuyita mu kwegugunga. Yabagamba nti: “Misa si nnuungi; ne Katonda agiwakanya; egwanira kugibwawo; era naandisabye oba nga kiyinzika ewanyisibwemu n’ekyokulya eky’enjiri okwetoloola ensi yonna. Naye katuleme kugiwakanya kuyita mu maanyi. Ebyo tubirekere Katonda. Ekigambo kye, kye kiba kikola so si ffe. Naye muyinza okwebuuza, lwaki? Kubanga cmitima gy’abantu bonna tegiri mu mikono gyange, nga ebbumba bwe libeera mu mukono gw’omubumbi. Twaweebwa obuyinza okwogera kyonna kye twagala, naye tetuweebwanga buyinza kuwoolera ggwanga. Katubuulire; ebisigadde tubirekere Katonda. Singa nnakozesa obuyinza bwange, magoba ki ge nnandifunyemu? Okugyako emitaafu, okwekoza n’okwefuula kye ssiri, awamu n’okubeera omunnanfuusi.... Saandibadde wa mazima mu mutima gwange, wadde okubaamu okukkiriza, wadde alumirwa abalala. Ebisatu ebyo webitali, wasigalawo obwetaavu.... Katonda akola nnyo okuyita mu kigambo kye okusinga nze naawe nga twegattidde wamu n’abantu bonna mu nsi. Katonda y’anyweza omutima; ate omutima bwe gutwalibwa, byonna oba obiwangudde.... EE 119.3
“Nja kubuulira, tuwanyisiganye ebirowoozo era nja kuwandiika; naye sigenda kuwaliriza n’omu, kubanga okukkiriza, omuntu asalawo na mutima gwe. Mulabire ku nze. Nnawakanya papa, n’ebisonyiwo bye by&pos;atunda, awamu n’abalabirizi be, naye si mu kulwana wadde okwegugunga. Nnayogeranga kigambo kya Katonda kyokka; nnabuuliranga ne mpandiikanga - ebyo bye byokka bye nnakola. Era singa nayagala kukozesa maanyi, omusaayi gwandiwunye mu Bugirimaani yenna. Naye twanditunyemu ki? Okugyako amatongo n’okuzikiriza omubiri n’omwoyo. Naye nnasirika, ne ndeka ekigambo kyokka kye kiba kitambula mu bantu ” - Ibid., b. 9, ch. 8. EE 119.4
Luther naabuulira ebibiina by’abantu buli lunaku okumala wiiki namba. Ekigambo kya Katonda ne kijjawo ekifu ky’okucamuukirira. Abantu ne bakomezebwawo amaanyi g’enjiri mu kkubo ery’amazima. EE 119.5
Nga Luther tayagala kulwanagana na bantu baalaba nga ekkubo lye bakutte lya bulabe bwereere. Yabamanya ng’abantu abatayinza kwesigika, abamala gacamuukirira kyokka, era ng’enjigiriza yaabwe teyinza kuwangaala nga tebakubaganye mpawa oba ne bwe banenyezebwako. Baayagala buli muntu akkirize bye bagamba awatali kumala kwebuuza mbu kubanga be balina EE 119.6
obuyinza obwenkomeredde. Baasaba basisinkane ne Luther era naye nnakkiriza okubasisinkana; kyokka yabaanika ebigendererwa byabwe, bwebatyo ne Wittenberg ne bakiddukamu. EE 120.1
Okucamuukirira kwakomwako okumala akaseera; naye nga wayise emyaka egiwerako, ne kusituka mu maanyi mangi era ne kukosa abantu bangi. Luther yagamba bwe yali ayogera ku bakulembeze b’omugendo guno nti: “Ebyawandiikibwa nga babiraba ng’ebbaluwa enfu, kyokka nga bwe beekaabya nti, ‘Omwoyo! Omwoyo!’ Naye njagala okubakakasa nti nze siri waakutambulira mu buufu omwoyo waabwe gy’abakulembera okubatwala. Katonda ow’okusaasira antaase nneme okuba ekitundu ku kkanisa erimu abantu naye nga batukuvu bokka. Nnegomba okuba mu bantu abawombeefu, abamanyi obunafu bwabwe, abalwadde, era abategeera ekibi kyabwe, abakaabirira Katonda buli kiseera okuva ku ntobo y’emitima gyabwe abayambe era abasaasire.” - Ibid., b. 10, ch. 10. EE 120.2
Tomasi Muzzer eyali omutwe mu mugendo guno, yali musajja wa mbavu, eyalina n’obusobozi okuvaamu ekirungi; ekyennaku nga teyayigirizibwa tteeka eryolubereberye ery’eddiini ey’amazima. “Yayagala nnyo okukyusa ensi yonna edde obuggya, naye neyerabira, okufaanana nga n’abantu abacamuukirira bwe baba nti, okukyusibwa kutandikira ku ye yennyini.” - Ibid., b. 9, ch. 8. Yayagala nnyo y’aba abeera omutwe era ategerekeke nnyo, nga tayagala kuba na mu kifo kiddirira, newakubadde okuddirira Luther. Yakikkaatiriza nti abakyusa b’ekkanisa okugizza obuggya, mu kwagala okuggyawo obuyinza bwa papa bazzeewo Ebyawandiikibwa, baali bakomyawo bwa papa mu kifaananyi ekirala. Era ne yetegeeza nti yalondebwa Katonda okuleeta okukyuka okwamazima. Muzzer yagamba nti: “Omuntu alina okukkiriza okwamazima, y’oyo aliko omwoyo ono, newakubadde nga tamanyi Byawandiikibwa mu bulamu bwe.”-Ibid., b. 10, ch. 10. EE 120.3
Abayigiriza bano aboobulimba, bakkiriza okufugibwa okufumiitiriza kw’ebirowoozo, ne bakulembezanga ebirowoozo byabwe awamu n’okufumiitiriza ng’eddoboozi lya Katonda; bwebatyo ne bawaba. Abamu ne bakuma omuliro ne bookya ne Bayibuli zaabwe, nga bwe bagamba nti: “Ekigambo kireetera okufa, naye Omwoyo aleeta bulamu.” Bwetyo enjigiriza ya Muzzer n’esikiriza nnyo abantu, kyokka nga bwenyweza amalala mu bo, bwe baagulumiza ebirowoozo by’obuntu okusinga ekigambo kya Katonda. Nkumi na nkumi ne bakkiriza enjigiriza ye. Era amangu ago, n’alangirira abantu obutaddayo kusinziza mu kkanisa, era n’ategeeza nti okugondera abalangira oba ogezaako kuweereza Katonda awamu ne Baali. EE 120.4
Abantu nga bamaliridde okweyambula ekikoligo ky’obwapapa, ate era nga tebakyayinza na kuwuliriza biragiro by’abakulembeze. Anti ng’enjigiriza ya Muzzer gy’agamba nti yamuweebwa Katonda, ebaleetedde obutakyefuga, ne bafuna obukyayi. N’ekyaddako, be bantu okwekumamu omuliro ne bajeemera obufuzi awamu n’okulwana, abantu ne battibwa, omusaayi ne gubuna Bugirimaani yenna. EE 120.5
Okubonabona Luther kwe yayitamu okumala ekiseera kye yali e Erfurt, ne kwebazaamu emirundi ebiri mu maanyi, anti ng’alaba ebivudde mu kucamuukirira, kyokka nga omusango gubalirwa ku ye. Abalangira bangi abakiririza mu papa ne basalawo bamujwetekeko omusango, nti obujeemu buno bye bimu ku bibala ebiva mu njigiriza ze. Newakubadde nga tebaayinza kumulumiriza, naye baakosa omutima gwe era neyennyamira nnyo. Yawulira nga tayinza kukigumiikiriza, okulumiriza EE 120.6
nti amazima gaabuulira ge gavuddeko obuswavu buno. Ate kuludda olulala Luther yakyayibwa nnyo abaakulembera abantu okujeemera abafuzi kubanga teyakoma ku kubawakanya n’okubagaana nti baafuna okulugņamizibwa okuva ewa Katonda kyokka, naye era yabalangirira ng’abayeekera abafuzi. Era nabo ne bamuvunaana okuba kyefuula. Bwatyo naalabika nga yeekoledde obulabe mu bakungu n’abantu ababulijjo. EE 121.1
Abaluumi ne bajaaganya nnyo nga basuubira okulaba nga omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya guseebengerera okusaanawo; era ne banenya nnyo Luther n&pos;olw’ensobi z’abadde afuba ennyo okulaba nga atereeza. Ekibiina ky’abajeemi ne kiwagirwa nnyo abantu bangi era nga bwe gutera okuba eri abo abali mu nsobi, olw’okubanga baabuzabuza abantu nti bavunaanibwa bwereere, era nga bafiira bwemage. Bwebatyo ne basaasirwa nnyo olw’okutuusibwako ebikolwa ebikambwe n&pos;okunyigirizibwa, so nga be bawakyanya omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya. Guno gwali mulimu gwa Setaani, bwe yayingiza endowooza y’obujeemu mu bantu nga bwe yasooka okukola mu ggulu. EE 121.2
Setaani mumalirivu okulimba abantu ekibi bakirabe ng’obutuukirivu, n’obutuukirivu babulabe ng’ekibi. Ng’awangudde nnyo mu ngeri eyo! Abaddu ba Katonda abeesigwa abavunaaniddwa era ne bakyayibwa olw’okuyimirirawo ku Iw&pos;amazima, nga bangi! Abantu naye nga baweereza ba Setaani basusuutibwa nnyo n’okutenderezebwa, era ne batwalibwa nga abafiirira eddiini, kyokka, abandisiddwamu ekitiibwa ne bebazibwa olw’okubeera abeesigwa eri Katonda balekererwa, era ne balabibwa ng’abalabe. EE 121.3
Abantu bakyalimbibwa nnyo olw’obutuukirivu obw’obulimba, n’olw’ebikolwa eby’obutukuvu ebitali by’amazima. Birabikira nnyo mu ngeri ez’enjawulo nga ne bwegwali mu biro bya Luther, abantu bawubisibwe, ebirowoozo babijje ku Byawandiikibwa, bagoberere endowooza zaabwe bo okusinga okugondera etteeka lya Katonda. Eno y’emu ku ngeri Setaani gy’akozesa okuvumizisa amazima n’obutuukirivu. EE 121.4
Luther yalwanirira enjiri awatali kutya okuziyiza obusaale bw’omulabe obwavanga mu buli nsonda. Ekigambo kya Katonda ne kyerwanirira mu buli ntalo. Yalwanyisa obuyinza bwa papa bwe yeewa ng’akozesa kigambo, awamu n’obufirosoofo bw’abayivu era nga mugumu okukira olwazi eri abantu abacamuukirira abaali begombeza ku mulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya. EE 121.5
Abantu bano abaali tebakwatagana nga bonna baggyawo Ebyawandiikibwa Ebitukuvu era nga bagulumiza amagezi g’abantu ng’ensibuko y’amazima n’okutegeera kw’ekkanisa buli omu mu ngeri ye. Endowooza y’okunnyonnyola eteekawo amagezi g’obuntu nga ekigera kw’opimira eddiini. Eddiini y’Abaluumi, yo ng’ekayanira ntebe y’ayo ey’obwapapa gye baasikira okuva mu lubu lw’abatume era etekyukangako okuyita mu mirembe egy’enjawulo, mwe bayima okweyonoonesa n’okukola ebibi ebyabuli ngeri, nga beekwese mu kifaananyi ky’obutume bw’abatume. Okuluņņamizibwa kwa Munzer awamu n’abamugoberera kw’agamba nti yakufuna okuva mu ggulu, okwo nga tekulina nsibuko ndala yonna okujjako mu kufumiitiriza kw’ebirowoozo byabwe ebikyuka ng’obudde, nga n’ekigendererwa kwe kusangurirawo ddala obufuzi obulala bwonna, mu bantu ne Katonda. Obukristaayo obwamazima bwo bwaniriza ekigambo kya Katonda ng’ennyumba EE 121.6
ejjudde eky’obugagga obwaluņņamizibwa amazima era ekikema okuluņņamizibwa kwonna okw’engeri ezenjawulo. EE 122.1
Luther yali yakamaliriza okuwunula Endagaano Empya eya Bayibuli, ng’akomyewo okuva e Wartburg, enjiri bwetyo n’ekwasibwa abantu b’e Bugirimaani mu lulimi lwabwe. Ekikyuse kino ne kyanirizibwa mu ssanyu lingi eri buli muntu ayagala amazima; kyokka ne kiņņoolebwa abantu abasanyukira obulombolombo n’amateeka g’abantu. EE 122.2
Abasasedooti ne batya nnyo bwe baalowooza nti n’abantu babulijjo kaakano nabo banayinza okukubaganya ebirowoozo awamu nabo ku kigambo kya Katonda, ekiyinza okwoleka obutamanya bwabwe. Ebyokulwanyisa eby’endowooza y’obuntu bye bakozesa okulwanyisa, kaakano nga tebikyalina maanyi ku kitala eky’Omwoyo. Luumi kwe kuyita abafuzi be baziyize okusasaanyizibwa kw’ebyawandiikibwa; anti ng’ebiragiro, ebikolimo n’okubonyabonya abantu tebikyasobola. Era gye yakomya okuwera n&pos;okuvumirira Bayibuli, n’abantu gye baakomya okwagala okumanya by’esomesa. Ng’abo bonna abasobola okusoma, bawulira amaddu okweyigira ku kigambo kya Katonda. Ne batambulanga nabyo buli gye baagendanga ne basoma era ne babisoma okutuusa nga bamatidde nti bakusudde ebitundu ebiwerako mu yo. Luther bwe yalaba abantu bwe baagaddemu Endagaano Empya, kwe kutandika okuwunula n’Endagaano Enkadde, era n’efulumizibwa mu bitundutundu nga bwe yayinza okumaliriza. EE 122.3
N’ebiwandiiko bya Luther ne bisanyukirwa abantu mu kibuga ne mubyalo. “Buli byonna Luther bye yafulumyanga awamu ne mikwano gye, ng’abalala bwe babisasaanya. Abasasedooti abaategeera nti bye bakolera mu bigo tebiri mu mateeka, oba abo abaawulira nga bakoye okubeera mu bulamu obwekigayaavu, naye nga tebamanyi kyakukola mu kubuulira ekigambo kya Katonda, ne batambula okubuna amasaza gonna aga Bugirimaani, nga bakyalira abantu eyo mubyalo ne mu bubuga obutono nga bwe batunda ebitabo bya Luther ne mikwano gye. Bugirimaani n’esasaaniramu ababuulizi bano ab’enjiri ey’ebitabo abatawunyikamu.” - Ibid., b. 9, ch. 11. EE 122.4
Ebiwandiiko bino ne biyigibwa abagagga n’abaavu, abayivu n’abatali. Abasomesa ne babisomeranga mu Iwatu obubiina bw’abantu abakuņņadde ku mabbali g’omuliro okuwuliriza obudde obw’ekiro. Abamu ne bawulira ng’amazima gabalumiriza mu mwoyo, bwebatyo ne baaniriza amazima n’essanyu, era ne bategeeza ne ku balala. EE 122.5
Ebigambo ebyaluņņamiziibwa ne bikakasibwa ebigamba nti: “Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana; Biwa okutegeera abatalina magezi.” Zabbuli 119: 130. Okuyiga kw’Ebyawandiikibwa nga kukola omulimu ogw’entendo mu mitima ne mu birowoozo by’abantu. Kyokka nga obwapapa bwakuumira abagoberezi be mu butamanya. Ne badda mu kukuuma obutiribiri engeri z’obusamize ze yateekawo; naye nga emitima gyabwe giri wala n’okuweereza kwabwe. Ebigambo bya Luther bye yabuulira ebinnyonnyola ekigambo kya Katonda mu ngeri ennyangu okutegeera, awamu n’ekigambo kyo ku bwakyo, ne bizuukusa ebirowoozo by’abantu ebyali byebase, si mu kubalongoosa n’okubakomyawo mu kitiibwa eky’omwoyo kyokka, naye n’okubawa amaanyi amaggya mu kutegeera. EE 122.6
Abantu ab’ebiti ebyenjawulo ne balabibwa nga bakute Bayibuli mu mikono gyabwe, balwanirire omulimu gw’okudda obuggya. N’obwapapa obwali bwalekera EE 122.7
abasasedooti be baba bayiga Ebyawandiikibwa, ne bubakowoola bajje bawakanye enjigiriza empya. Naye olw’okubanga abasasedooti baali tebalina kye bamanyi ku Byawandiikibwa wadde okuba n’amaanyi ga Katonda, ne bawangulwanga nnyo abantu be baavumiriranga nti si bayivu era baagwa. Omuwandiisi omu Omukatuliki olumu yagamba nti: “Ekyomukisa omubi, Luther yategeeza abantu baleme kuteeka mu mulala yenna bwesige wabula mu Byawandiikibwa Ebitukuvu.” - D’Aubigne, b. 9, ch. 11. Ebibiina by’abantu ne bikuņņaananga okuwuliriza amazima nga gayigirizibwa abantu abatali bayivu kimala, ate oluusi nga bakubaganya ebirowoozo n’abayivu mu ddiini. Abayivu bano ne baswazibwanga olw’okubanga, empaka zaabwe nga zimalibwawo n’enjigiriza ennyangu ey’ekigambo kya Katonda. Abakozi ababulijjo, abaserikale, abakyala wadde abaana nga bategeera enjigiriza ya Bayibuli okusinga abasasedooti ne ba dokita abakungu. EE 123.1
Enjawulo wakati w’abakwatiridde obusamize bw’obwapapa n’abayigirizwa b’enjiri ne yeyolekera nnyo mu bayivu okusinga mu bantu ababulijjo. “Mu baawakanya abazira abeewaņņamya kyokka ne balagajjalira okuyiga ebyawandiikibwa n&pos;empisa ez’omu bantu... mwe mwali n’abavubuka, abaali abamalirivu okuyiga ekigambo, okunoonya mu Byawandiikibwa, n’okweteeka mu mikono gy’oyo eyakamala ennaku ennyingi. Abavubuka bano abaali abategeevu, era abalina omwoyo omumalirivu n’omutima ogutatya, ne bafuna okumanya okutaayinza kuwakanyizibwa okumala ekiseera.... Era bwekityo, tebatakalubirirwanga buli abavubuka bano lwe basisinkananga n’abayivu ba Luumi mu nkiiko okulwanira amazima. Baabanukulanga mu buvumu, abayivu ne baswaliranga mu maaso g’abantu.” - Ibid., b. 9, ch. 11. EE 123.2
Abanaddiini ba Luumi bwe baalaba nga ebisibo byabwe bikendeera, ne baddukira mu batuzi okubayamba, era ne bakola kyonna ekisoboka okukomyawo abagoberezi baabwe. Naye ng’abantu beezuulidde ekyokulya okuliisa emyoyo gyabwe mu njigiriza eno empya, bwebatyo ne baabulira ababadde babaliisa ebisusunku by’obusamize n’obulombolombo bw’abantu. EE 123.3
Okuyigganyizibwa bwe kwaddamu nga bayigganya abayigiriza b’amazima, ne bajjukira ebigambo bya Kristo nti: “Bwe babagobanga mu kiibuga ekyo, muddukira mu kyokubiri.” Matayo 10: 23. Omusana ne gusensera okutuuka wonna. Abadduse ne babudamizibwa eyo gye baggulirwawo oluggi, ne babuulira Kristo, oluusi mu kkanisa, ate bwe bagaanibwa ne badda mu mayumba g’abantu oba mu bibangirizi. Era wonna gye baasobola okuwulirizibwa, ne bafuulawo yeekaalu entukuvu. Amazima ne galangirirwa era ne gasasaana wonna mu maanyi agatayinza kuziyizibwa nga bwe bazaamu abantu essuubi. EE 123.4
Abakulembeze b’ekkanisa y’e Luumi awamu n’abafuzi ne bafuba nnyo okusaanyawo amazima naye nga buterere. Ne basalawo okusiba abakkiriza, okubalumya n’okubookya omuliro awamu n’okubattisa ekitala naye ne balemwa. Enkumi n’enkumi z’akkiriza ne banyweza okukkiriza kwabwe n’omusaayi gwabwe, kyokka omulimu ne gugenda mu maaso. Okuyigganya ne kwongera bwongezi mazima kusasaana, era n’abantu Setaani be yayagala beegatte ku mazima okuyita mu kucamukiirira ne boongera okwoleka enjawulo wakati w’emirimu gya Setaani n’emirimu gya Katonda. EE 123.5