Essuubi Eritaggwaawo
9 — Omuliro Gw&pos;okuzza Ekkanisa Obuggya
Enteekateeka ya Katonda mu kuteekawo ebikozesebwa olw’okuzza ekkanisa obuggya, yeemu n’eyo ey’okutandikawo ekkanisa. Omuyigiriza Omukulu ow’eggulu yalekawo abantu abamaanyi ab’ensi, abeebitiibwa n’abagagga abaali bamanyidde okussibwamu ekitiibwa n’okutenderezebwa ng’abakulembeze mu bantu. Baali EE 107.4
bajjudde amalala n’okwematira olw’okwesukulumya nga tebayinza kubumbibwa okufaanana ne bantu bannaabwe bakolere wamu ne Kristo Omunazaleesi. Eddoboozi lya Katonda lyayita abavubi okuva e Galiraaya, abantu abataali bayigirize nga likowoola nti: “Mujje, muyite nange, nange ndibafuula abavubi b’abantu.” Matayo 4:19. Abavubi bano baali bangu era abasomeseka. Kyali kyangu Kristo okubayigiriza n’okubatendeka olw’okuweereza kubanga baali tebanayonoonebwa nnyo na njigiriza ez’obulimba ezaaliwo mu kiseera ekyo. Era bwekityo bwe kyali ne mu kiseera eky’okuzza obuggya ekkanisa. Abaakulembera omulimu baali bantu ba mutindo gwa wansi - bantu abataalina malala agasibuka mu bitiibwa wadde okubaamu obunnanfuusi mu kiseera kyabwe. Eyo y’engeri ya Katonda okulonda ebinyoomebwa eby’ensi okutuukiriza omulimu gwe. Awo nno abantu balyoke bamuddize ekitiibwa okusinga okukiwa abantu, kubanga yaakolera mu bo okutuukiriza ky’ayagala. EE 108.1
Nga wakayita ebbanga si ddene Luther ng’amaze okuzaalibwa mu maka g’omulombe mu ssaza ly’e Saxony, ne wazaalibwa omwana omulala mu maka g’omulunzi mu nsozi ze Alps ayitibwa Ulric Zwingil. Enkula gye yakuzibwamu awamu n’eŋŋunjula nga byonna bimutekateeka olw’omulimu gwe yalina okutuukiriza mu bukulu. Yayinza okutegeera amaanyi n’ekitiibwa kya Kantonda olw’okubanga yakulira mukyalo ekigudde akaleka, n’obutonde obweserese era obunyuma okutunuulira. Naye yegomba okuba omuzira mu buvubuka bwe olw’ebikolwa eby’obuzira bye yawuliranga boogera mu kitundu ky’ewaabwe. Ate nga kuludda olulala, ng’awulira engero za Bayibuli ezamunyumizibwanga jjajjaawe omukazi okuva mu ebyo bye yawuliranga boogera mu kkanisa. Yanyumirwanga nnyo okuwulira ku bikolwa bya bajyajja ne bannabbi; ku basumba abaali ku ttale nga balunda endiga eyo ekiro mu ttumbi ku nsozi za Palestayini, bwe baawulira bamalayika nga boogera ku mwana azzalibbwa e Beserekemu era ku Masiya Omulokozi. EE 108.2
Okufaanana ne kitaawe wa Luther, taata wa Zwingil yayagaliza nnyo omwana we okusoma era bwatyo n’amuweereza okusoma nga akyali muto. Yanoonya essomero eriyinza okugunjula obulungi omwanawe. Era ng’awezezza emyaka kumi n’esatu, n’atwalibwa mu kibuga Bem e Switizilandi awaali essomero erisingako mu kiseera ekyo. Eno nno waaliyo obuzibu obwali bugenda okwonoona essuubi ly’obulamu bwe. Anti nga ekibiina ekimu mu kkanisa y’e Luumi kimaliridde okumutwala ayingire obusasedooti. Waaliwo embiraanye wakati w’ebibiina ebibiri mu kkanisa y’e Luumi: Abadominikani ne ba Fransisikani nga banoonya okuganja. Kino baakikolanga mu kutimba amakanisa amatiribona, okuba n’emikolo egy’ekitiibwa ennyo, n’okusikiriza abantu abalungi okuyingira obusasedooti awamu n’ebifaananyi ebikola amagero. EE 108.3
Ekibiina ky’Abadominikani mu Bem basuubira nti bwe bawangula omutima gw’omuvubuka ono omuyivu ate ng’alina ebirabo eby’enjawulo, baakwefunira ekitiibwa n’okuganja. Zwingil yalina ekirabo ky’okwogera n’okuwandiika, nga kw’otadde n’ekirabo ky’okuyimba; bino byonna nga biyinza okusikiriza abantu okugenda mu misa n’esente ezitonebwa ne zeeyongera mu kibiina kyabwe. Ne bamususuuta nga bwe bamulimalimba ayingire mu kigo asome obusasedooti. Singa tegwali mukono gwa Katonda, ne Luther yandibulidde mu nsi olw’okwesibira mu kigo nga yefuula nti asoma. Naye Katonda teyakkiriza Zwingil kutuuka awo. EE 108.4
Kitaawe yafuna okumanyisibwa ku ntekateeka y’Abadominikani, so nga ye talina kye yegomba mwana we kuyingirira bulamu bwa kigayaavu era omutali makulu abasasedooti bwe balimu. Yalaba nga omwana we tajja kuba na mugaso mu biseera eby’omumaaso, kwe kumuyitayo akomewo eka awatali kulwa. EE 109.1
Omulenzi yawuliriza eddoboozi lya kitaawe, kyokka teyalwawo ng’ali ku kyalo, wabula yazzibwayo mangu ku ssomero e Baseli oluvannyuma lw’ekiseera. Eno Zwingil gye yawulirira ku njiri ey’ekisa kya Katonda ekirokola ekyobwerere. Abayizi abayigirizibwanga omusomesa Wittembach eyasomesanga essomo ery’ennimi ezedda, bayigirizibwanga ku Byawandiikibwa Ebitukuvu omusomesa bwe yabasomesanga ku Luyonaani n’Olwebbulaniya, bwebatyo abayizi ne bafuna ku musana okuva mu ggulu. Yabategeezanga nti waliwo amazima agomuwendo era agaludde ebbanga nga gamanyiddwa, so nga gasinga enfumo n’amagezi agayigirizibwa abayivu ne bakagezimunnyu. Era nga amazima gano kwe kufa kwa Kristo, omutango gwokka ku Iw’omwonoonyi. Ebigambo bino byali ng’ekimyanso mu bulamu bwa Zwingil. EE 109.2
Bwatyo Zwingil yayitibwa okuva e Basel agende okuweereza, era nga obuweereza bwe yabutandikira mu paalisi ye Alupayini okuliraana n’ewaabwe. Mukwano gwe agamba nti, bwe yamala okukakasibwa ng’omusasedooti, “ne yemalira mu kunoonya amazima ag&pos;obwaKatonda; kubanga yali amanyidde ddala nti Kristo ye yamukwasa ekisibo ekyo.” - Wylie, b. 8, ch. 5. Gyeyakoma okunoonya amazima gyeyakomanga okuzuula enjawulo wakati w’ebyo Luumi by’eyigiriza n’amazima agayigirizibwa. Bwatyo nakkiriza Ekigambo kya Katonda Bayibuli nga kye kyokka ekifuga obulamu bwe era ekitawaba. Era n’akimanya nga Bayibuli yennyonnyola yokka. Era ne yewala okwogeza Ebyawandiikibwa olw’okwagala okunyweza endowooza ye, naye nakkiriza okugiyiga mu ebyo by’eyigiriza mu ngeri ennyangu era etegerekeka. Nanoonya okuluņņamizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu mu ngeri yonna esoboka asobole okugiyiga n’okutegeera by’eyigiriza, anti, Omwoyo yayinza okugibikkulira bonna abanoonya amazima mu bwesimbu awamu n’okusaba. EE 109.3
Zwingil agamba nti: “Ebyawandiikibwa by’ava wa Katonda naye si bya muntu, era nga Katonda akuluņņamya n’akuwa n’okutegeera nti n’okwogera obulungi kuva gyali. Ekigambo kya Katonda... tekiremererwa; kyennyonnyola kyokka, kimulisiza emmeeme okutegeera obulokozi n’ekisa kya Katonda, kikomyawo emirembe gya Katonda mu mutima, kireetera omuntu okukakkana, ne yeggyako amaaso n’okwerowoozaako n’ayayaanira Katonda.” Amazima gano Zwingil yali agategeera bulungi. Era ayogera ku mbeera gye yayitamu oluvannyuma lw’ekiseera bwe yawandiika nti: “Buli lwe nnewangayo nzenna okuyiga Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, ng’ebirowoozo eby’amagezi gange amasome biwakana nange. Era ne mmanya kino kyokka kye nnalowooza, nga ‘Nnina okwerabira byonna, naye njige ebyo byokka Katonda by’ayagala okuva mu kigambo kye.’ Bwentyo ne nsaba Katonda okummulisiza, era n’Ebyawandiikibwa ne byeyongera okwebikkula n’okutegerekeka obulungi gye ndi.” - Ibid., b. 8, ch. 6. EE 109.4
Enjigiriza ya Zwingil gye yabuulira teyamuyigirizibwa Luther. Yali njigiriza ya Kristo. Agamba nti: “Luther bw’aba abuulira Kristo, ky’akola kye nkola. Era n’abo baaleese eri Kristo bangi okusinga abange. Naye eyo si ye nsonga. Sirina linnya ddala lye nnaasitula, okujjako erya Kristo, oyo gwe nzikiriza nti ndi mulwanyi we, EE 109.5
era nga ye, ye Mukama wange yekka. Siwandiikiranga ku Luther wadde n’ekigambo n’ekimu, wadde ye okumpandiikira. Naye lwaki tukwatagana? .... Kitegeerekeke lwatu nti Omwoyo wa Katonda yaluŋŋamya wonna, Iwansonga, ffembi tetwamala kutabagana okuyigiriza enjigiriza ya Kristo mu ngeri efaanana.” - D’Aubigne, b. 8, ch. 9. EE 110.1
Mu mwaka 1516, Zwingil yayitibwa okuweereza mu kigo ky’e Eyinisiyedeni ng’omubuulizi. Era eno gye yeyongerera okulabira ddala obwonoonefu bwa Luumi, era naye naategerekeka bulungi okusingako ne bwe yali mu kitundu kw’ewaabwe mu Alps. Mu bintu ebyali bisikiriza amaaso okulaba e Eyinisiyedini, kye kibumbe kya Maliyamu embeerera ekigambibwa nti kikola amagero. Nga ne kumulyango omunene oguyingira mu kigo kuwandiikiddwako nti: “Abantu bonna wano we banaalizibwako ebibi byabwe.” - Ibid., b. 8, ch. 5. Abalamazi ne bajjanga eri ekjfaananyi kino buli kiseera okwefunira emikisa; so nga ate waabangawo ekijaguzo mu mwaka mwe baawongeranga ekifaananyi kino, era awo abantu bangi ne bavanga mu bitundu byonna ebya Switizilandi, okuva mu Bufalansa ne mu Bugirimaani. Zwingil naawuliranga bubi okulaba abantu nga basibiddwa mu buddu n’obusamize, era naasala amagezi okulaba nga basumululwa n’amaanyi g’enjiri. EE 110.2
Agamba, “Temulowoozanga nti Katonda ali mu kifo kino okusinga ne bw’ali ne mu bitonde ebirala byonna. Katonda ali buli wantu wadde n’eyo mu nsi zammwe, era ayinza okubawulira.... Mulowooza nti muyinza okufuna ekisa kya Katonda olw’okulamaga eŋŋendo empaanvu, okutonera ebifaananyi, n’okusabira abafu.... Makulu ki agali mu bigambo ebingi ebiri mu ssaala ze tusoma? Ye ate wadde mu ngoye empaanvu ne mubyambalo ebya zaabu ebinekaneka n’engule eziteekebwa ku mitwe? Katonda atunuulira mutima, naye ate n’emitima gyaffe gimuli wala nnyo.” Naayongera okugamba nti, “Kristo eyakomererwa ku musaalaba, ye gwe mutango ne ssaddaaka okujjawo ebibi byonna eby’abo abakkiriza okuyita mu mirembe gyonna. - Ibid., b. 8, ch. 5. EE 110.3
Abantu bangi tebaasanyukira kuwulira njigiriza eno. Baawulira okulumwa bwe baamanya nti okutabula kwabwe tekubaddemu makulu. Nga n’okusonyiyibwa okw’obuwa okuyita mu Kristo tebakutegeera. Naye nga bamativu n’engeri Luumi gye yabateerawo ebatuusa mu ggulu. Ne bawulira nga basaanawo olw’okunoonya kye batategeera. Nga kyangu bo okuteeka obwesige bwabwe mu musasedooti ne mu papa okusinga okutukuza emitima gyabwe. EE 110.4
Naye kuludda olulala nga waliyo ekibiina ekirala ekyasanyukira okuwulira amawulire amalungi ag’obulokozi okuyita mu Kristo. Ng’ebiragiro Luumi byeyalagiranga abantu okugoberera biremeddwa okubaleetera emirembe mu mitima, bwebatyo ne beetwalira omusaayi gw’Omulokozi oguggyawo ekibi. Ne beddirayo eka okutegeeza ku balala omusana omuggya gwe batunye. Amazima ne gabunyisibwa okuva nnyumba ku nnyumba, n’okutuuka mu bibuga, n’omuwendo gw’abantu bangi ne guddirira nnyo abajjanga okulamaga ku kiggwa kino ekya Maliyamu. Ebirabo nabyo ne bikendeera awamu n’omusaala gwa Zwingil nagwo ne gukosebwa olw’okubanga gwatoolebwanga okwo. Naye kino ky’amusanyusa nnyo okulaba nga amaanyi g’obusamize obwali bwolebwa bumenyebwamenyebwa. EE 110.5
Kyokka aboobuyinza mu kkanisa nga tebeebase obutalaba Zwingil by’akola; naye ne batasooka kukiteekako nnyo mwoyo. Ne bamususuutasusuuta nga balowooza nti EE 110.6
banamuwangula akole bye baagala; naye eno ng’amazima bwe ganywezebwa ku mitima gy’abantu. EE 111.1
Obuweereza bwa Zwingil bwe yali e Eyinisiyedelini, bwamwongera okumuteekateeka olw’okuweereza okugazi kweyali anaatera okuyingirira. Yayitibwa oluwannyuma lw’emyaka esatu okuba omubuulizi omukulu mu kkanisa lutikko e Zurich. Ekibuga Zurich kyali kikulu nnyo mu Buswedi mu kiseera ekyo, era nga byonna ebikolebwa wano bitegeerwa bangi. Kyeyava akuutirwa abakulu abaamuyita okugenda e Zurich, nga bamukugira aleme okukola ebibye wabula okukola bo bye beetaaga. EE 111.2
Baamugamba nti: “Fuba nnyo okulaba ng’okuņgaanya ensimbi zonna ezigerekeddwa okwetoloola wonna mu matwale gano, obutalekaayo n’emu. Kubiriza abakkiriza bonna okuyita ku kituuti ne mukwenenya okwa ssekinoomu, bawe ekitundu ky’ekkumi era n’endobolo, okulaga okusiima kwabwe eri ekkanisa. Yogereza abalwadde, abantu abazze mu mmisa, era ne mu mikolo gyonna egy’ekleziya ennyingiza yeyongere.” Ne bagattako ne kino nti: “Era ne gino gye gimu ku mirimu gyo: okukola emikolo emitukuvu egy’ekleziya, okubuulira ekigambo, n’okulabirira ekisibo. Naye gino oyinza okugisigira naddala ogw’okubuulira. Si buli muntu nti akolebwako emikolo emitukuvu egy’ekleziya, wabula abo abamanyiddwa ate era nga bakkiriziddwa; era tokkirizibwa kukikola wabula mu abo abalondemu.” - Ibid., 8, ch. 6. EE 111.3
Zwingil yawuliriza mu kasirise era n’abanukula nga yeebaza olw’okuyitibwa kw’aweereddwa ku kifo kino ekikulu, era naye naabalaga ye nga bw’asuubira okutuukirizamu obuweereza bwe. Yabagamba nti: “Obulamu bwa Kristo bumaze ebbanga ddene nga bukwekeddwa abantu. Nja kubuulira mu njiri nga bwe yawandiikibwa Matayo, ...nga nsena ku nsulo ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, ng’angerageranya ekyawandiikibwa ku kyawandiikibwa, era nga nnoonya okumanya okuyita mu kusaba okwa buli kiseera. Obuweereza bwange bugenda kwesigamizibwa ku kugulumiza Katonda, okusitulira waggulu Omwana we omu yekka, okuleetera abantu obulokozi obw’amazima n’okunyweza ekisibo mu kukkiriza okw’amazima.” - Ibid., b. 8, ch. 6. Newakubadde ng’abamu ku bakulu tebakiriziganya na ntekateekaye, era ne bagezaako nnyo okumusendasenda akyuseemu, Zwingil yasigala nga munywevu. Yabategeeza nli yali si wakuleeta nkola ndala yonna, naye eyo yokka ey’edda ekkanisa mu ezze etambulira era entuufu. EE 111.4
Abantu nga bamaze okuzuukusibwa olw’ekigambo eky’amazima ky’azze ayigiriza, era nga bangi bamwebulungulula okumuwuliriza nga bw’ayigiriza. Mu abo abangi abamuwulirizanga mwe mwali n’abaali tebakyalinnya mu kkanisa. Yatandika obuweereza bwe ng’asomera abantu enjiri nga bwe zawandiikibwa era nga bw’abannyonnyola ku bulamu bwa Kristo, bye yayigirizanga awamu n’okufa kwe. N’abategeeza era nga bwe yakola ne Eyinisiyedelini nti Ekigambo kya Katonda kyokka kye kitawaba, nga n’okufa kwa Kristo ye saddaaka yokka etuukiridde. Yabagamba nti: “Negomba okubakulembera mbatuuse eri Kristo, ensibuko yaff&pos;e ey’obulokozi.” - Ibid., b. 8, ch. 6. Abantu abeebiti eby’enjawulo ne bamukuŋŋanirangako omuli abakulembeze mu nsi, abayivu awamu n’abantu ababulijjo. Ne bawulirizanga ebigambo bye n’amaddu mangi. N’atakoma mu kubategeezanga ku bulokozi obw’obuwa kyokka, naye era n’anenyanga n’empisa EE 111.5
envundu ezakolebwanga mu kiseera ekyo. Era bangi ne bakomangawo eka nga batendereza Katonda byakitalo. Ne bagambagana nti: “Omuntu ono mazima, muyigiriza wa kigambo eky’amazima. Ye anaatubeerera Musa okutukulembera okuva mu kizikiza kino eky’e Misiri.” - Ibid., b. 8, ch. 6. EE 112.1
Naye newakubadde nga yasooka okwanirizibwa n’ebbugumu, yatandika okuwakanyizibwa oluvannyuma lw’ekiseera. Abasasedooti baasalawo okuyimirira mu buweereza bwe era ne bavumirira nnyo enjigiriza ye. Bangi ne bamwogereranga ebigambo n’okumuņņoola; abalala ne bamutyoboola n’okumutiisatiisa. Naye bonna n’abagumiikiriza nga bw’agamba nti: “Bwe tuba tanawangula omubi ku Iwa Yesu Kristo, kitugwanira okubuusa amaaso ebintu bingi.” - Ibid., b. 8, ch. 6. EE 112.2
Mu kiseera ekyo ne walabika omuntu eyasindikibwa agende e Zurich okuva ku kizinga Lusiya ng’alina ebiwandiiko bya Luther eby’amuweebwa mukwano gwe e Baseli; n’amutegeeza nti bw&pos;atunda ebitabo bino omusana ogw’amazima gwa kweyongera okubuna wonna. Kyokka yawandiikira Zwingil nti “Tunuulira omuntu oyo olabe oba ng’asobola; agende ng’asaasaanya ebiwandiiko bya Luther, naddala Essaala ya Mukama waffe: kibuga ku kibuga, kyalo ku kyalo era nnyumba ku nnyumba okubuna wonna mu Buswedi. Gye bikoma abantu okubimanya, abantu gye banaakomya okubigula.” - Ibid., b. 8, ch. 6. Bwegutyo, omusana bwe gwayingira mu maka g’abantu. EE 112.3
Mu kiseera Katonda waatekerateekera okumenya enjegere z’obutamanya awamu n’obusamize, ne Setaani mwafubira ennyo okubikkira abantu mu kizikiza n’okubanywereza mu njegere z’obutamanya. Abantu bwe baagenda basitukawo mu bitundu by’ensi eby’enjawulo okubuulira ku kisonyiwo awamu n’abantu obutabalirwa kibi okuyita mu musaayi gwa Yesu Kristo, Luumi nayo n’esitukira mu maanyi gaayo gonna okuguza abantu ekisonyiwo mu nsi zonna omuli Obukristaayo. EE 112.4
Nga buli kibi kirina omuwendo gwakyo, era n’abantu ne baweebwa eddembe ly’okwonoona kavuna bajjuza eggwanika ly’ekkanisa y’e Luumi n’ensimbi. Bwegutyo omugendo ogwookubiri ne gusitukawo: okuyita mu mugendo ogusooka ng’osonyiyibwa oluwannyuma Iw’okusasula ensimbi, ate ng’omulala osonyiyibwa okuyita mu Kristo, - Luumi ne yefunira ensimbi okuyita mu kuguza abantu eddembe ly’okwonoona; ate kuludda olulala ng’abawakanyi bwe bavumirira ekibi n’okusongera abantu ku Kristo ng’omutango era omununuzi w’abantu. EE 112.5
Omulimu gw’okutunda ekisonyiwo mu Bugirimaani gw’akwasibwa ekibiina ky’Abadominikani era nga Tetizele ye mukama waagwo. Ate mu Buswedi ne gukwasibwa aba Fransisikani nga Samusooni omusasedooti Omuyitale ye mukulu. Samusooni yali yakolera dda ekkanisa y’e Luumi omulimu omulungi ogw’okugikuņņaanyiza ensimbi bwe yajyuza amawanika ga papa ne sente okuva mu Bugirimaani ne mu Buswedi wonna. Bwatyo naatambula okubuna wonna mu Buswedi, nga bw’agenda asikiriza ebibiina by’abantu, n’anyagako abanaku obusente bw’abwe obwekinaku, era abagagga n’abasaba bawe kinene ku bye balina. Naye omwoyo gw’okuzza ekkanisa obuggya nga gumaze okuyingira mu mitima gy’abantu, era ne gukendeeza kinene newakubadde nga tegwamalirawo ddala kikolwa. Mu kiseera Zwingil bwe yali akyali Eyinisiyedelini ne Samusooni we yayingirira Buswedi okutunda ebyamaguzi bye awo okulirana ne Eyinisiyedelini. Kyokka yali amaze okutemezebwako ku kigendererwa kya Samusooni, era bwatyo n’amulindirira EE 112.6
amuwakanye. Ekyomukisa omubi, bombi tebasisinka maaso ku maaso, naye Zwingili yayinza okumuwangula bwe yateeka mu lujjudde ebigendererwa bye era ne Samusooni n’amusegulira okugenda mu bitundu ebirala. EE 113.1
Zwingil yayogerera nnyo abantu bano ababungeesa ebisonyiwo mu kkanisa e Zurich; era eno Samusooni bwe yatuukayo, omu ku babaka okuva mu lukiiko olufuga ekigo, n’amusisinka era n’amusaba yeyongereyo. Naye oluwannyuma yayingira bwe yakozesa olukujyuku[ju, naye teyatundayo kisonyiwo wadde n’ekimu, era bwatyo n’ayabulira Buswedi. EE 113.2
Omulimu gweyongeramu amaanyi abantu nkumi na nkumi bwe battibwa obulwadde bwa kawumpuli kumpi obwayera Buswedi yenna mu mwaka 1519. Okufa nga kumpi kutunuulidde buli muntu, abantu bangi ne balaba nga n’ebisonyiwo bye baagula nga tebiriimu nsa; nga beetaaga omusingi omunywevu ogunyweza okukkiriza kwabwe. Ne Zwingil naye yakubwa kawumpuli eyamuyisa obubi ennyo ne bagwamu n’essuubi, era n’eŋŋambo ne zibuna wonna nti afudde, bwe yali e Zurich. Naye teyagwamu ssuubi mu kiseera kino kye yayitamu eky’okugezesebwa. Yatunuulira ku musaalaba e Ggologoosa, nga yeesiga omutango gwokka ogwaweebwayo olw’okujjawo ekibi. Ng’awonye emiryango gy’emagombe, yabuulira enjiri mu maanyi agatabangawo, era n’ebigambo bye ne biba n’omuzinzi ekyewunyisa. Abantu ne basanyukira nnyo omusumba waabwe omwagalwa kumpi eyakoma ku mugo gw’entaana. Era nga bangi kubo bafiiriddwa n’abantu baabwe era nga n’abamu abalwadde baabwe baakawona, bwebatyo ne balaba obukulu n’omugaso ogulu mu njiri. EE 113.3
Mu kiseera kino, Zwingil nga yeyongedde okutegeera amazima mu ngeri esingako, era ng’awulira naye azzibbwa buggya. Yasinga nnyo okuyigiriza ku kugwa kw’omuntu n’entekateeka y’obulokozi. Agamba: “Twafiira mu Adamu, ne twevuluga mu bubi era omusango ne gutusinga.” Wylie, b. 8 ch. 9. “Kristo... yatusasulira obulokozi obutaggwaawo... era kye yatukolera kye kino... yatuweerayo ssaddaaka eyinza okuwonyeza ddala emirembe gyonna; bwe butuukiruvu bwa Katonda obutaggwaawo eri oyo yenna agy’enywerezaako era alina okukkiriza mu yo okutayugayuga.” Naye ate era n’ayigiriza nga abantu si bakweyongera kwonoona olw’okubanga Kristo yabakwatirwa ekisa. “Bw’oba n’okukkiriza mu Katonda, ne Katonda abeerawo mu ggwe; era Katonda bw’abeera mu ggwe, owulira amaanyi agakuwaliriza okukola ebikolwa ebirungi.” D’Aubigne, b. 8, ch. 9. EE 113.4
Bwatyo Zwingil bwe yayigirizanga era ekkanisa lutikko n’ekubako bugule olw’abantu abangi abajanga okuwuliriza ebigambo bye. N’agendanga ng’ababikkuliranga amazima mpola mpola. Era nga yegendereza nnyo obutasooka kubategeeza binabatabula wadde okubanyiiza. Nga ye ky’agenderera kwe kuwangula emitima gyabwe bakkirize ebigambo bya Kristo, bawangulibwe okwagala kwe, era bamutwale ng’ekyokulabirako; nga bwe bannakkiriza amazima g’enjiri, obusamize bunaagenda bubesamba. EE 113.5
Ekkanisa n’egenda ng’edda buggya mu Zurich. Kyokka abalabe ne basitukira mu mulimu guno okuguwakanya. Omwaka nga gumu ogwali guyise, omusasedooti okuva e Wittenberg, Martin Luther yali ajeemedde papa ne kabaka mu lukiiko e Worms, ate nga ne kaakano, n’omuntu omulala alabika ayagala kujeemera bwapapa e Zurich. Zwingil n’asomoozebwanga buli kiseera. Abayigirizwa b’enjiri EE 113.6
ne batwalibwanga mu ttambiro okuttibwa mu masaza g’obwapapa yonna, naye kino ne kitabamatiza; nga baagala basirise n’omusomesa w’enjigiriza y’obulimba. Omulabirizi w’e Konsitansi kwe kusindika abamyuka be basatu bagende basisinkane olukiiko olukulu e Zurich, Iuvunaane Zwingil okuyigiriza abantu okumenya amateeka g&pos;ekkanisa y’e Luumi, era ng’afuuse wabulabe eri emirembe n’enteekateeka y’abantu. Ng’agamba nti, obuyinza bw’ekkanisa bwe bunatyoboolebwa, abantu bajja kufuuka bakyetwala. Kyokka Zwingil n’abaddamu ng’agamba nti abadde ayigiriza enjiri mu Zurich okumala ebbanga lya myaka makumi ana, “naye nga ekibuga Zurich kye kisingamu emirembe mu matwale gonna aga Buswedi. Olwo Obukristaayo si bwe businga okukuuma emirembe?” - Wylie, b. 8, ch. 11. EE 114.1
Abamyuka b’omulabirizi ne babuulirira abakiise mu lukiiko okusigala nga bawulize eri ekkanisa nti kubanga obulokozi tebuli wabweru w’ayo. Zwingil yabaanukula nti: “Muleme okuwubisibwa. Omusingi gw’ekkanisa gwe gumu, era Kristo ali omu, eyatuuma Peetero erinnya kubanga yamwatula nga ye Kristo. Katonda ayaniriza buli muntu yenna akkiriza Yesu n’omutima gwe gwonna nga ye Mukama, mu mawanga gonna. Mazima eno ekkanisa teyinza kutuusa muntu yenna ku bulokozi.” - D’Aubigne, b. 8, ch. 11. Naye ate ekisanyusa, omu ku bamyuka b’omulabirizi n’akkiriza omusana omuggya. EE 114.2
Olukiiko terwayisa nsonga yonna ku Zwingil, era Luumi n&pos;enoonya engeri endala ey’okumulwanyisaamu. Bwe yategeezebwako ku nkwe Luumi z’esala okumuzikiriza, n&pos;agamba nti: “Bajje, sibatidde, ng’olwazi ku lubalama lw’ennyanja bwe lutatya mayengo agalukuba.” - Wylie, b. 8, ch. 11. Amaanyi gaabwe mu kwagala okuwangula Zwingil ne gabongerayo bo bennyini okulwangulwa. Amazima ne geyongera okubuna wonna. Mu Bugirimaani, abagoberezi ne baddamu amaanyi agaali gabaweddemu olw’okubulawo kwa Luther bwe baalaba engeri enjiri gy’esaasaanamu mu Buswedi. EE 114.3
Ebibala ebyava mu kuzzibwa kw’ekkanisa obuggya mu Zurich, by’alabikira mu bikolwa ebivundu okukomezebwa awamu n’abantu okuyayaanira emirembe. “Kaakano ekibuga kyaffe kiri mu mirembe, temuli nnyobo, temuli nge, wadde okulwana. Obumu obufaanana butyo bwandiwudde wa wabula mu Mukama waffe ne mu njiri yaffe etuleetera emirembe n’omwoyo omulungi?” Bwatyo Zwingi bwe yawandiika, - Ibid., b. 8, ch. 15. EE 114.4
Abaluumi ne beeyongera okutabuka olw’obuwanguzi omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya gwe bwatuukako, era ne bamalirira okugusaanyawo. Baasalawo okuyita mu nda mu bo bennyini okwerwanyisa oluwannyuma Iw’okulemererwa okuwangula Luther okuyita mu kukozesa eryanyi. Nga baagala bateekewo empaka wakati waabwe ne Zwingil, beerondere ekifo awamu n’abalamuzi abanaalamula ensonga, bwebatyo basuubire okuweebwa obuwanguzi. Era ne balowooza nti bwe batuusa Zwingil mu mikono gyabwe, bafube okulaba nga tabatolokako. Omukulembeze bw’amala n’asirisibwa, ng’omugendo gusanyizibbwawo. Entekateeka eyo ne bagikuuma nga yakyama. EE 114.5
Empaka nga zaakusalirwa mu kibuga Baden: kyokka Zwingil teyagendayo. Anti olukiiko Iw’ekibuga Zurich lwekengera enkwe z’obwapapa era nga bwe bookezza abantu enkumu abaatula enjiri ey’amazima mu bifo papa gy’afugira, kwe kukugira omusumba ono obutamala gewaayo. Nga Zwingil mwetefuteefu okusisinkana EE 114.6
abakiise bonna Luumi b’enesindika; naye si kugenda Baden, ekibuga ekijjudde omusaayi gw’abajulizi bangi abattiddwa, nga naye okugenda kitegeeza kufa. Omwami ayitibwa Owesilampadiyasi ne munne Halla be baalondebwa okukiikirira Zwingil, ate nga kuludda luli, waliyo Dokita Eke omwatiikirivu okukiikirira Luumi nga yebulunguluddwa abayivu n’abalabirizi bangi. EE 115.1
Newakubadde nga Zwingil teyaliiyo mu lukiiko, olukiiko Iwategeera amaanyi ge. Ng’abawandiisi bonna abawandiika ebyogerwa balondeddwa Luumi era n&pos;abamu ne bakugirwa obutawandiika byonna, si kulwa nga battibwa. Naye ekyo tekyalobera Zwingil kutegeera byonna ebyayogerwanga buli lunaku. Waaliwo omuyizi eyabeerangawo okuwuliriza empaka, n’awandiika buli ekyayogerwanga, ate abayizi abalala babiri ne beeyama okutwaliranga Zwingil e Zurich ebiwandiiko ebyo nga kw’otadde n’ebbaluwa eyawandiikibwanga Owesilampadiyasi. Bwatyo ne Zwingil n’abaddamu mu buwandiike nga bw’abawa amagezi n’okubagumya. Ebbaluwa ze yaziwandiikanga kiro, n’abayizi ne bazizzangayo e Baden kumakya enkeera w’alwo. Abayizi ne bakweka ebbaluwa mu bisero ebirimu enkoko, mpozi basobole okuziyisa ku bakuumi b’ekibuga abaali ku miryango ky’ekibuga nga tebaziyiziddwa. EE 115.2
Bwatyo Zwingil bwe yalwanyisa abalabe be bano abaakuguka mu kubuzabuza. Omuwandiisi ayitibwa Mayikoniyasi yagamba nti: “Zwingil yakola nnyo olw’okufuna obudde obumala ng’afumiitiriza okuyita mu kiro nga teyebase mu kubawa amagezi abali e Baden, okusinga ne bwe yandibaddewo mu buntu mu kukubaganya ebirowoozo.” - D’Aubigne, b. 11, ch. 13. EE 115.3
Abaluumi ne bajja e Baden nga banekanekanye mu byambalo ebyebbeeyi era ebitemagana nga bajjudde essanyu era nga basuubira buwanguzi. N’emmere gye baakozesa nga yabbeeyi, emmeeza nga zijjuziddwa n’emmere empoomu egula obuwanana, nga kw’otadde n’emyenge gye beeroboza. Obuvunaanyizibwa bwe baaweebwa okutuukiriza nga babulaba bwangu nnyo nga kuyisa mukka mu kisero. Ate ku ludda olulala ne walabika abantu abayisibwamu amaaso, b’oyinza n’okulowooza nti bamasiikiini, era nga n’emmere yaabwe gye balya ebayamba kubaawo bubeezi. Eyasuzanga Owesilampadiyasi agamba nti oluusi yamulengeranga mu kisenge kye ng’ali mu kusaba oba ng’asoma kigambo kya Katonda. Mazima ng’alabika “munnaddiini ddala.” EE 115.4
“Dokita Eke yalinnya ekituuti yenna ng’ajjudde amalala olw’amajjolobera ge yali yetimbye, ne Owesilampadiyasi naye n’ayambuka okutuula mu kifo kye okumwolekeza amaaso awali entebe ye eyamala gakolebwa.” - Ibid., b. 11, ch.13. Yalina eddoboozi ery’omwanguka era nga tasuubirwa kulemererwa. Yayogeza maanyi olw’okusuubizibwa okuweebwa empeera ey’a zaabu n’ebitiibwa, bw’anaalwanirira okukkiriza kwe. Nga bw’alemererwa okumusendasenda, waakiri amuduulire, era amulayirire oba nga kiyinzika. EE 115.5
Owesilampadiyasi yenna ng’ajjudde okutya era nga mukakkamu naye yakirinnya kyokka ng’ebyambalo bye awulira bimuswaza naye nga mumalirivu. Yagamba nti: “Tewali okujjako ekigambo kya Katonda kyokka kye nzikiriza okunnamula.” - Ibid., b. 11, ch. 13. Newakubadde nga yali mukakkamu era nga waggonjebwa, naye yanywerera ku nsonga. Abaluumi era ng’empisa yaabwe bweri, ne bajulizanga obulombolombo bw’ekkanisa, kyokka ng’omusajja wa Katonda anyweredde ku Byawandiikibwa Ebitukuvu. Yabagamba nti: “Obulombolombo tebulina kifo wano EE 115.6
mu Buswedi, wabula ssemateeka yekka atufiiga mu ggwanga; ne ssemateeka atufuga mu kukkiriza ye Bayibuli.” Ibid., b. 11, ch. 13. EE 116.1
Abantu bangi ne bakwatibwako bwe baagerageranya enjogera ya Owesilampadiyasi ey’ekitiibwa ate nga mukakkamu, n’okuboggola kwa Eke okujjuddemu amalala. EE 116.2
Empaka zaakulungula ennaku kkumi na munaana. Era ku nkomerero, abagoberezi ba papa ne basuubira obuwanguzi. Nga n’abakubiriza b’olukiiko bali ku Iwa Luumi, era n’olukiiko ne lusalawo nti, Zwingil ne banne bawanguddwa, era bagobeddwa okuva ku kkanisa y’e Luumi. Kyokka, ebyava mu lukiiko byali byoleka oludda oluwangudde. Omuyaga gw’okuzza ekkanisa obuggya gweyongeramu amaanyi, era tewayitawo bbanga ddene n’ebibuga ebyamaanyi omuli Bem ne Basel ne birangirira nti byetaaga omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya gutandikibwe n’ewaabwe. EE 116.3