Essuubi Eritaggwaawo
11 — Abalanigira B&pos;e Bugirimaani Nabo Beetaba Mu Kuwakanya
Obujulizi obwekitiibwa obwali butuukiddwa mu mulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya, bwe bw’abalangira Abakristaayo ab’e Bugirimaani okwekandagga mu lukiiko lwe Spires mu 1529. Obuvumu, okukkiriza n’obunywevu bye baayolesa, kw’aleetera abantu okufuna eddembe ly’okwelowooleza n’okwesalirawo. Era ekkanisa eyali ezzibbwa obuggya n’efuna n’erinnya ly’Obupulotestanti ng’erijja ku kuwakanya kwe baawakanya ebyali bikolebwa; era bye baagoberera mu kwekandagga “gwe mulamwa gw’Obupulotestanti.” - D’Aubigne, b. 13, ch. 6. EE 124.1
Omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya gwayolekera olunaku olw’entiisa n’ekizzikiza. Nga tewerabidde ekiragiro ky’olukiiko lwe Worms, ekyali kirangirira Luther nti mumenyi w’amateeka era nga kiziyiza abantu okuyigiriza oba okukkiriza enjigiriza ze, eddiini yali ekyakkirizibwa mu bantu wonna mu bwakabaka. Katonda ng&pos;akyaziyizza amaanyi g’omubi okulwanyisa amazima. Kabaka Charles V ng’amaliridde okusaanyawo omulimu, naye buli Iwe yagezangako okugugalulira omukono, n’awaliriziwa okugussa. Kyokka nga okuzikiriza okwamangu eri buli yenna agezaako okujeemera Luumi kugenda kusembera mpola mpola; era ekiseera kyatuuka amaggye ga Butuluuki ne gaalumba Bugirimaani nga gayita ku luuyi olw’ebuvanjuba, okuva ewa kabaka wa Bufalansa n’okuva ewa papa yennyini eyakwatibwa obuggya olw’ettuttumu lya kabaka wa Bugirimaani, n’amulumba okumulwanyisa; bwegutyo, omulimu kw’okuzza ekkanisa obuggya ne gukula era ne gugaziwa eno ng’amawanga bwe gali mu ntalo n’okuyomba. EE 124.2
Kyokka era lwali olwo, obwapapa ne buwangula entalo zaabwo, era bwebatyo ne beegatta okulwanyisa Abazza b’ekkanisa Obuggya. Mu lukiiko Iwe Spires olwatuula mu 1526, olukiiko Iw’awa amasaza obuyinza okwesalirawo ku nsonga z’eddiini okutuusa olukiiko Iwa bonna lwe lulituula; naye nga n’akabi tekanaba na kuyita akayisa olukiiko olwo, kabaka n&pos;ayita nate olukiiko olulala olwatuula e Spires mu 1529 ng’ekigendererwa kwe kwagala okusaanyawo bwayita obukyamu. Abalangira nga baakusabibwa, oba nga kiyinzika, beeyawule ku mulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya mu mirembe; naye nga kino bwe kirema, Charles aggyeyo ekitala abawalirize. EE 124.3
Abagoberezi ba papa ne bujaganya. Anti bajja e Spires mu bungi okwoleka obukyayi bwe balina eri abazza b’ekkanisa obuggya era n’abo ababawagira. Melankisoni yagamba nti: “Ensi etulaba ng’abakolimire era ebisasiro mu nsi; naye Kristo alijjukira abantu be era n’abawonya.” - Ibid., b. 13, ch. 5. Abalangira abikkiririza mu njiri abaali mu lukiiko ne bagaanibwa n’okukkiriza enjiri okubuulirwa mu maka gaabwe. Naye ng’abantu b’e Spires bawulira ennyonta ey’ekigambo kya Katonda; kyokka nga tebafuddeyo na ku kiragiro ekibaziyiza, bangi ne beeyiwa mu kusinza okwabeeranga mu kkanisa y’owessaza lye Saxony. EE 124.4
Kino ne kyongera okutabula ebintu. Kabaka n’aweereza olukiiko obubaka nti ekiteeso ekiwa abantu eddembe ly’okusinza kireese okutabuka kungi mu bantu, era ng’asaba kisazibwemu. Ekikolwa ekyo ekyasibuka mu kulowooza kwe ne kinyiiza nnyo Abakristaayo. Omu yawulirwa ng’agamba nti: “Kristo nate azeemu okugwa mu mikono gya Kayaafa ne Piraato.” Abaluumi bakambuwala nnyo nnyini. Nfa nfe wa papa ye yagamba nti: “Abatuluuki balungi nnyo okusinga abagoberezi ba Luther; kubanga bo Abatuluuki bakkiriza ekisiibo, kyokka Abaluther bakinyooma. Era bwe tuba baakulondako ku Byawandiikibwa Ebitukuvu ebya Katonda n’ensobi ezakolebwanga ekkanisa mu biseera eby&pos;edda, ekisooka kye twandigaanye.” Ate Melankisoni yagamba nti: “Faber buli lunaku abeera atukasuukirira amayinja mu lukiiko ffe ababuulira enjiri.” - Ibid., b. 13, ch. 5. EE 125.1
Okusinza kwali kukkiriziiddwa mu mateeka g’eggwanga, era nga n’amasaza agakkiririza mu Bukristaayo gaasalawo okuwakanya oyo yenna alinnyirira eddembe lya go ery’okusinza. Olw’okubanga Luther yali akugiddwa okwogera n’etteeka eryafulumizibwa mu lukiiko e Worms, teyakkirizibwa kugenda Spires; naye yakiikirirwa banne wamu n’abalangira Katonda be yeeterawo okulwanirira omulimu gwe mu kiseera kino eky’obuzibu. Omulangira Frederick okuva e Saxony eyamuwanga obukuumi yali afudde mu kiseera kino; naye yasikirwa muganda we omulangira John, eyasanyukira ennyo omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya, era olw’okubanga naye yali ayagala ensi ye okubaamu emirembe, yawagira nnyo n’amaanyi ensonga z’okukkiriza. EE 125.2
Abasasedooti ne bawaliriza amasaza agakkiriza okudda obuggya mu ddiini gakkirize okuddamu okufugibwa Luumi awatali kwekwasa nsonga ndala yonna. Kyokka ng’Abazza b’ekkanisa Obuggya, bo baagala ddembe lyabwe ery’okusinza eryabaweebwa. Nga tebayinza kukkiriza Luumi kuddamu kufuga masaza kaakano agali mu ssanyu olw’okwefunira ekigambo kya Katonda. EE 125.3
N’ekyasembayo kwe kukkaanya nti ekiragiro ky’olukiiko lwe Worms kikolere mu masaza agabadde tegannakkiririza mu kudda buggya; era nga “ne mu ago omuli abantu nga bamaze okwabulira obukatoliki, kyokka nga tebayinza kweyisa nga bo wadde okujeemera obufuzi, baleme kwongera kuteekawo nkukakyuka ndala, baleme kwongera kwogera ku nsonga ezitabula, wadde okuwakanya misa, era baleme kuddamu kukkiriza mukatoliki yenna kuyingira njigiriza ya Luther.” - Ibid., b. 13, ch. 5. Ekiragiro kino kyakkirizibwa mu lukiiko era ne kisanyusa nnyo abasasedooti ba papa n’abalabirizi be. EE 125.4
Singa ekiragiro kino kyali kyakuteekebwa mu nkola, “omulumu gw’okuzza obuggya ekkanisa tegwandyeyongeddeyo... mu bifo gye gutamanyiddwa, wadde okunywezebwa ku musingi omugumu... eyo gye guli.” - Ibid., b. 13, ch. 5. Eddembe ly’okwogera lyandigiddwawo. Abantu tebandikiriziddwa kunyumya. Era nga n’olw’ekiragiro kino, bonna abasanyukira omulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa, baandiwalirizziddwa okwewaayo mu mikono gyabwe. Essuubi ly’ensi nga lirabika ng’erizikira. “Ng’okuzzaawo obufuzi bwa Luumi... kuba kukomyawo bikolobero bye yakolanga edda;” era kuba kufunira kiseera mulimu bwe guyinza kusanyizibwawo, so nga gwanyenyezebwa dda” n’embeera y’okwekutulakutulamu ko n’abantu abacamukiirira. - Ibid., 13, ch. 5. EE 125.5
Ekibiina ky’abakkiririza mu njiri bwe baasisinkana okwebuuza eky’okukola, buli omu naatunula ku munne nga beewunya. Nga buli omu yebuuza nti: “Tukole ki?” EE 125.6
Anti ng’ensonga enkulu mu nsi ziri mu katyabaga. “Kituufu abakulu abakulembera omulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa beweeyo bakkirize ekiragiro? Abazza b’ekkanisa obuggya nga bandiyinzizza okusalawo ne bakwata ekkubo ekyamu mu kiseera kino ekyali ekizibu ddala! Nga bandirimbiddwa n’okulowooleza okumpi singa bakkiriza okwewaayo! Abalangira abakiririza mu Luther bo nga baweereddwa eddembe okusinza nga bwe baagala. Era bakkiriza n’abo bonna abaayaniriza omusana ng’etteeka terinnayisibwa. Era kino tekibamale? Bwe baalowooza. Bwe tugonda obulabe bwenkana ki bwetuba twewonyezza! Ye ate, singa twongera okuwakanya, tetuyinza kwongera ntalo na bizibu bye tutategeera! Oba, ani amanyi emikisa egiri mu maaso eyo! Ka twanirize ku kalembereza kano; ka twetwalire ettabi ly’omuzabbibu erituweereddwa Luumi, tubikke ku biwundu ebifumitiddwa Bugirimaani. Singa Abazza b’ekkanisa Obuggya baagezaako okwegumya n’ebirowoozo ng’ebyo, bandiyanguyizaako okusaanyawo omulimu gwe baatandika. EE 126.1
“Bwe baatunuulira omulamwa omukulu kwe baasinziira okuteekawo etteeka eryo ne basooka okusanyuka, era ne balikkiriza nga bweriri. Etteeka eryo nga litegeeza ki? Anti nga liwa Luumi obuyinza okuwaliriza n’okujjako omuntu yenna eddembe lye ery’okulowooza. Olwo ng’abawakanyi si baakweyagalira mu ddembe lyabwe ery’okusinza? Ye, anti nga basaasirwa busaasirwa, naye nga si ddembe lyabwe. Ate olwo abalala abatali mu ntekateeka eyo, bo ng’etteeka liwa Luumi obuyinza okubafuga; nga si bakwerowooleza; Luumi nga ye mulamuzi atawaba, era ateekwa okugonderwa. Ng’ebbago lino likkirizibbwa, nga kyeraga Iwatu nti eddembe ly’okusinza lyakusigala mu ssaza ly’e Saxony mwokka; kyokka nga mu masaza ne mu nsi endala ez’Obukristaayo, omuntu okusinza nga bw’ayagala n’okukkiriza enjigiriza eno empya nga musango, era nga ekibonerezo kkomera awamu n’okwokebwa omuliro ng’osibiddwa ku muti. Naye nga bandiyinzizza okukkiriza eddembe ly’okusinza libe lya kitundu kimu kyokka? ddala kirangirirwe nti omulimu gw’Okuzza ekkanisa Obuggya gukomye awo? Nga tebakyayinza kutuuka mu kitundu kirala? era nga buli yonna Luumi gy’efugira mu kiseera ekyo obufiizi bwayo gye bulibeera ekiseera kyonna? Ddala Abazza b’ekkanisa Obuggya bandyewolerezza nga bwe batalina musango olw’omusaayi gw’abantu enkumi n’enkumi abawaayo obulamu bwabwe ne bawakanya entekateeka eno mu bitundu papa gy’afugira? Kuno kw’andibadde kulyamu lukwe mulimu gwa njiri awamu n’eddembe ly’ensi ez’Obukristaayo mu ssaawa enkulu ng’eno.” - Wylie, b. 9, ch. 15. Naye baasalawo “okufiirwa byonna ne bwekitegeeza nsi zaabwe, oba ngule, awamu n’obulamu bwabwe.” D’Aubigne, b. 13, ch. 5. EE 126.2
“Leka tuwakanye etteeka lino,” abalangira bwe baagamba. “Obungi bw’abasazeewo si kye kikulu kavuna ebeera nsonga ya kusinza.” Abakiise baagamba: “Eddembe obwakabaka lye bulimu era lye tuvunaanyizibwako lye lyo ery’ekiragiro ekyafulumizibwa mu 1526: singa kiwerebwa obubi n’okwekutulakutulamu bya kubuna Bugirimaani yenna. Olukiiko terulina maanyi kukola kisingako awo okusinga okulabirira eddembe ly’okusinza mu kiseera kino okutuusa olukiiko lwa bonna.” Ibid., b. 13, ch. 5. Obuvunaanyizibwa bw’eggwanga kwe kukuuma eddembe ly’okusinza, era teririna buyinza kusukka wano mu nsonga z’okusinza. Era na buli ggwanga erigezaako okuteekawo amateeka okufugirwa ensinza oba nga abafuzi be bagawaliriza ku bantu, liba lyonoona omusingi ogwalwanirirwa era okwazimbirwa Obukristaayo. EE 126.3
Obwapapa ne busalawo okumenyawo bwo kye bwayita “ejjoogo.” Ne bafuba nnyo okulaba nga baleetawo enjawukana wakati w’Abazza b’ekkanisa Obuggya n’abawagizi baabwe, era n’okutiisa buli yenna abadde tannayatula mu Iwatu ndowooza ye. Abakiise okuva mu masaza agalina eddembe ly’okusinza ne bayitibwa bunnambiro mu lukiiko bategeeze endoooza yaabwe oba nga bakkaanya n’ekiragiro kino ekiggya. Kyokka bo ne basaba baweebweyo ekiseera naye ne bagaanibwa. Naye bwe baakemebwa, kumpi kimu ky’akubiri ne badda ku luuyi lw’Abazza b’ekkanisa Obuggya. Era bonna abagaana okweggyako endowooza zaabwe awamu n’eddembe ly’okusalawo baakimanya nga baakukolokotebwa, bavumibwe awamu n’okuyigganyizibwa. Omu ku bakiise yagamba nti: “Ku bibiri tukolako kimu, twegaane ekigambo kya Katonda oba tukkirize twokebwe omuliro.” Ibid., b. 13, ch. 5. EE 127.1
Omulangira Ferdinand eyakiikirira kabaka mu lukiiko bwe yalaba nga ekiragiro kiyinza okuleeta enjawukana mu bakiise okujjako ng’abalangira basendebwasendebwa ne bakikkirizza. Kyeyava asalawo okubasendasenda, ng’akimanyi nti bw’akozesa amaanyi aba aboongera kunyweera bunywezi. Kwe “kusaba abalangira bakkirize ekiragiro, nga bw’abakakasa nti ne kabaka waakubasanyukira ” Naye abasajja bano abeesigwa nga bakkiriza era nga bawulira obuyinza bwa mulundi gumu obukira abafuzi b’ensi, era ne bamuddamu mu ddoboozi eryangu nti: “Tuli bakugondera kabaka mu buli nsonga yonna naye nga yaakuleeta mirembe n’okuweesa Katonda ekitiibwa.”- Ibid., b. 13, ch. 5. EE 127.2
Omulangira Ferdinand kwe kulangirira wakati mu lukiiko ng’ategeeza owesazza awamu ne mikwano gye nti ekiragiro “kigenda kufuulibwamu etteeka ly’obwakabaka,” era nga “essuubi lyabwe ery’okuwona liri limu lyokka bo kwe kujeemulukuka bakkirize abangi kye bagamba.” Bwe yamala okwogera, naafuluma olukiiko, nga tabawadde mukisa kwewozaako wadde okwanukula. “Bo kwe kumuweereza omubaka amusabe akomewo.” Naye naabekandagirako nga bw’agamba nti” Ensonga ziwedde; mulina kugonda kyokka.” - Ibid., b. 13, ch. 5. EE 127.3
Abooluuyi Iw’obwakabaka nga bamativu nti abalangira Abakristaayo baakulemera ku Byawandiikibwa Ebitukuvu olw’okubanga bye bikira ki njigiriza z’abantu; era nga bakimanyi nti buli eyo yonna etteeka gye likkirizibwa, obwapapa bumala ne babuwangula. Naye okufaananako n’abalala nkumi bukyanga babaawo, “abalaba ebintu nga bwe bifaanana,” ne beesanyusa nga bagamba nti ekigendererwa kya kabaka awamu ne papa kinywevu so ng’eky’Abazza b’ekkanisa Obuggya kya bunafu. Singa Abazza b’ekkanisa Obuggya beesigulira ku maanyi gaabwe ag’obuntu gokka, mazima bandibadde banafu nga abagoberezi ba papa bwe baakisuubira. Naye newakubaadde nga tebaali bangi era nga tebakkaanya na Luumi, baali ba maanyi. Baajuliza ensonga zaabwe eri obuyinza obusukka ku alipoota y’olukiiko okudda eri ekjgambo kya Katonda, era ne bajulira eri Yesu Kristo Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abaami okusinga kabaka Charles.” - Ibid., b. 13, ch. 6. EE 127.4
Olw’okubanga omulangira Ferdinand yali agaanye okubawuliriza kye bagamba, abalangira ne bamalirira obutaffaayo ku butabeerawo bwe, kyokka ensonga bazijulize eri olukiiko lw’eggwanga amangu ddala. Ne bakuba ekirayiro era ne bawandiikira olukiiko okwemulugunya kwabwe: EE 127.5
“Tuwakanya olw’ensonga zino mu maaso ga Katonda, Omutonzi waffe yekka, Omukuumi, Omununuzi era Omulokozi waffe, oyo alitulamula ku lunaku luli, era ne mu maaso g’abantu bonna abali wano na buli kitonde, nti, ffe kulwaffe era ne kulw’abantu baffe, tetukkaanya wadde okugondera ebbago ery’ekiragiro mu nsonga yonna ewakanya Katonda, Ekigambo kye Ekitukuvu, endowooza yaffe entuufu, era wadde okukkaanya n’ekiragiro ekiwakanya okununulibwa kw’emyoyo gyaffe.” EE 128.1
“Tukole ki? Ffe okukkiriza etteeka eryo! Tukinyweza nga tugamba nti Katonda Omuyinza w’ebintu byonna, bw’awa omuntu okumumanya, omuntu olw’ekyo tafuuka magezi ga Katonda!” “Teriiyo njigiriza ndala nywevu okujjako ng’ekkaanya n’ekigambo kya Katonda.... Mukama agaana okuyigiriza enjigiriza endala yonna.... Ebyawandiikibbwa Ebitukuvu binnyonnyolwa na Byawandiikibwa era ebitegerekeka obulungi; ...era mu kitabo kino mwe muli byonna Omukristaayo bye yetaaga, ebyangu okutegeera, ebijjawo ekizikiza. Tusazeewo olw’ekisa kya Katonda, okunywerera ku kigambo kye kyokka ekitukuvu nga bwe kiri mu Bayibuli mu Ndagaano Enkadde n’Empya, awatali kugattako kiyinza kugiwakanya. Kino kye kigambo ekyamazima\ kyokka; gwe musingi omunywevu ogw’enjigiriza endala yonna era n’obulamu, tekiremererwa wadde okutulimba. Na buli yenna azimbira ku musingi guno aliwangula amaanyi g’emagombe, so ng’ate obutaliimi bw’omuntu obukyekiikamu bulisaanawo mu maaso ga Katonda.” EE 128.2
“N’olwensonga eyo tetukkiriza kuteekebwako kikoligo kino” “Ate era tusuubira nga kabaka naye aneeyisa ng’omulangira Omukristaayo, ayagala Katonda okusinga ebintu byonna; era twagala okukitegeeza nga tuli betefuteefu okumussaamu ekitiibwa, okumwagala n’okumuwulira awamu nammwe bakama baffe abeekisa ekingi olw’okubanga obwo bwe buvunaanyizibwa bwaffe obutuufu.” - Ibid., b. 13, ch. 6. EE 128.3
Olukiiko ne lukwatibwako nnyo. Era bangi ne beewuunya okulaba obuvumu obwayolesebwa abawakanyi. Ebiseera byabwe eby’omu maaso nga bikutte kazigizigi era nga tebitegerekeka. Okwekutulamu, entalo n’okuyiwa omusaayi nga tebiyinza kwewalibwa. Naye nga Abazza b’ekkanisa Obuggya, olw’okubeera abakakafu olw’ensonga yaabwe ey’amazima, era nga beesigamye omukono gwa Katonda Omuyinza w’ebintu byonna nga “bavumu era nga banywevu.” EE 128.4
“Emiramwa emikulu egyabaleetera okuwakanya... gye giyimirizaawo enjigiriza y’Obupulotestanti. Abawakanyi nga bawakanya ensonga bbiri ezikwatagana n’okukkiriza: esooka kwe kugombaganya abafuzi mu nsonga z’ekkanisa, n’eyokubiri, bwe biyinza bw’abakulembeze b’ekkanisa obutaliiko kkomo. Nga mu kifo ky’ebyo, Obupulotestanti bukulembeza eddembe ly’okwesalirawo mu kusinza okusinga obuyinza bw’abafuzi, n’obuyinza bw’ekigambo kya Katonda okusinga obuyinza bw’ekkanisa. Okusooka bugaana obuyinza bw’ebyobufuzi mu bya Katonda era nga bugambira wamu ne bannabbi awamu n’abatume nti, ‘kitugwanira okuwulira Katonda okusinga okuwulira abantu.’ Nga mu maaso g’engule ya kabaka Charles V, busitula ngule ya Yesu Kristo. Naye nga busingawo: anti buteekawo etteeka nti enjigiriza za bantu ze ziddirira ebitukuvu bya Katonda” - Ibid., b. 13, ch. 6. Abawakanyi baali bakkirizza okutegeeza amazima ge bakkiriza mu mirembe. Nga si baakukkiriza na kuba bawulize kyokka naye era baali bakuyigiriza ekigambo kya Katonda ne kye kigamba, kyokka nga kye batayagala be basasedooti awamu n’abafuzi okubayingirira. Abalangira okuwakanya mu lukiiko Iw’e Spires, baali balaga EE 128.5
kunyolwa kwabwe eri abatakkiriza balala kusinza nga bwe baagala, era n’okukaatiriza nti ddembe lya buli muntu okusinza Katonda okusinziira nga ye bw’awulira. EE 129.1
Ekiwandiiko kyakolebwa. Ne kyewandiikibwa ku bwongo bw’abantu nkumi na nkumi era ne kiwandiikibwa ne mu bitabo bye ggulu, omuntu yenna gy’atayinza kukisangulira. Ebitundu bya Bugirimaani byonna abakiririza mu njiri ne basanyukira eky’abalangira okuwakanya nga balaga okukkiriza kwabwe. Abantu bonna ne balaba mu kiwandiiko kino essuubi eriggya n’omulembe omuggya ogusingako. Omulangira omu yagamba Abawakanyi be Spires nti: “Omuyinza w’ebintu byonna, abakuume nga muli banywevu oyo abawadde ekisa kye ne mumwatulira wakati mu bantu mu ddembe ate nga temutya okutuusa ku lunaku olw’enkomerero.” Ibid., b. 13, ch. 6. EE 129.2
Kyandibadde kya mukisa mubi eri Katonda era n’eri bo bennyini, singa Abazza b’ekkanisa Obuggya baagayalirira ne batakozesa kakisa ako oluvannyuma Iw’okutuuka ku buwanguzi obumu, era kyandibaviriddemu okwezikiriza. Wabula ebyokuyiga bingi ebiva mu ebyo Abazza b’ekkanisa Obuggya bye baayitamu ebyokuyigiriza abantu okuyita mu mirembe egy’enjawulo. Enkola ya Setaani gy’azze akozesa mu kuwakanya Katonda awamu n’ekigambo kye tekyukangako; era akyawakanya Ebyawandiikibwa ebiruŋŋaamya olugendo Iw’obulamu nga ne mu kyasa ky&pos;ekkumi n’omukaaga. Naffe mu mulembe gwaffe guno, tuvudde nnyo ku njigiriza y’Ebyawandiikibwa ebituluŋŋamya era kitugwanira okuddayo ku tteeka ekkulu erifuga Obupulotestanti erigamba nti - Bayibuli, era Bayibuli yokka, eruņņamya okukkiriza n&pos;okuweereza. Setaani akola kyonna ekisoboka okusaanyawo eddembe ly’okusinza. Amaanyi agaawakanyanga Obukristaayo abalangira b’e Spires ge bawakanya, kaakano gaze mu maanyi ga kitalo nga galuubirira okuzzaawo ekitiibwa kyago ekyabula. Essuubi ly’ekkanisa leero okuzzibwa obuggya liri mu buwulize obutayugayuga eri ekigambo kya Katonda ng’obwayolesebwa mu kiseera ekkanisa ng’ezzibwa obuggya. EE 129.3
Abapulotestanti baafuna okutiisibwatiisibwa; kyokka omukono gwa Katonda ne gulabika nga gwetoloode okukuuma abeesigwa be. Era mu kiseera ekyo, Melankisoni yaddusa mangu mukwano gwe ayitibwa Gulayinausi ng’amuyisa mu nguudo z&pos;ekibuga Spires okwolekera omugga Rayini amusomose emitala w’eri. Naye munne yewuunya ekyamwanguya kityo. Kwe kumuddamu nti, ‘Nnasisinkanye omusajja ali mu myaka gye egisembayo mu bulamu, kyokka nga ssimumanyi, aņņambye nti mu ddakiika ntono nnyo okuva kati abaserikale ba Ferdinand bajja okukukwata.’” EE 129.4
Emisana Iw’olwo, Gulayinausi yali akangiddwakangiddwa mu lukuņņaana olwayitibwa Faber, omukungu wa papa; ku nkomerero, n’amukayanya nnyo nga bw’amugamba nti “lwaki owolereza ensobi ezenkana awo.” “Faber yamulaga nga awatali kabi, kyokka oluvannyuma kwe kuddayo ewa kabaka eyamuwa ekiragiro okukwata ssabakenkufu w’e Heyideliberg eyabatengezzanga olutata. Bwatyo Melankisoni kwe kukakasa nga mazima Katonda yeyasindise malayika we okumulabula nga bukyali. EE 129.5
Yamukuumako awo ku mabbali g’omugga nga teyenyenya okutuusa amazzi g’omugga Iwe ganunula Gulayinausi okuva ku bamuyigganya. OIuvannyuma yassa ekikkoowe bwe yamulaba nga asomose emitala w’eri, n’agamba nti: ‘kyaddaaki awonye okugaayibwa abakambwe abalumwa ennyonta ey’omusaayi ogutalina musango.’ Ng’akomyewo eka, Melankisoni yategeezebwa nti abaserikale ababadde banoonya Gulayinausi batankudde buli wantu nga bamunoonya,” - Ibid., b. 13, ch. 6. EE 129.6
Okudda obuggya kwalina okutuuka ne ku bantu abanene ab’omu nsi. Omulangira Ferdinand ng’agaanye okuwa omukisa abalangira abakkiririza mu njiri okuwulirizibwa; naye nga baakuweebwa omukisa bategeeze ensonga yaabwe mu maaso ga kabaka atwala amasaza gonna ng’ali wamu n’abakungu okuva mu kkanisa ne mu masaza gonna. Mu mwaka ogwaddirira abalangira Iwe baajeemera olukiiko Iw’e Spires, kabaka Charles yayita olukiiko lutuule e Augsburg okukakkanya enjawukana ezaali zikutuddekutuddemu obwakabaka, era naasuubiza okulukubiriza ye mwene. Abakulembeze b’Obupulotestanti nabo ne bayitibwa okulwetabamu. EE 130.1
Akabi kaayolekera omulimu; naye nga abaddu ba Katonda batadde obwesige bwabwe mu ye, era ne beeyama okusigala nga banywevu mu njiri. Owessaza ly’e Saxony yasabibwa abawi b&pos;amagezi aleme kwetaba mu lukiiko. Anti nga bagamba nti, kabaka ayagala abalangira bwe bajja mu lukiiko abasuule mu mutego. Bamugamba nti: “Si kyabulabe ggwe okugenda ne weesibira mu bisenge by’ekibuga n’omulabe eyenkanidde awo?” Kyokka abalala ne bamugumya nga bagamba nti: “Abalangira beeyise ng’abantu abavumu, bwebatyo Iwe banaayinza okulokola omulumu gwa Katonda.” “Katonda mwesigwa; tayinza kutwabuulira,” Luther bwe yabagamba. - Ibid., b. 14, ch. 2. Bwatyo owessaza naayolekera Augsburg ng’ali wamu n’abayambi be. Naye nga bonna bamanyi obulabe obumwolekedde, era abamu ne bamukulembera naye nga bajjudde entiisa n’okutya mu mitima gyabwe. Kyokka Luther yabawerekerako okutuuka e Koburg naye nga bw’agumya emitima gyabwe egyennyisse n’oluyimba Iwe yayiiyiza mu kkubo, olugamba nti, ‘Mukama Lwe Lwazi Lwaffe.’ Bangi ne baggwaako ekyobeero, emitima ne giwewuka, nga bawulira oluyimba olunyunyutuvu. EE 130.2
Abalangira bano abakyufu nga basazeewo basengeke ebirowoozo byabwe era nga bwe bajuliza ne mu Byawandiikibwa okunyweza ensonga zaabwe eri olukiiko; era omulimu guno ne gukwasibwa Luther, Melankisoni ne bannaabwe. Abapulotestanti ne bakkiriziganya banyweze okwatula kwabwe, nga bakookera amannya gaabwe ku kiwandiiko kino ekikulu ng’akabonero akalaga okukkiriza kwabwe. Mazima kyali kiseera kyakugezesebwa. Bakkiriziganya beegendereze obutawubisibwa n’ensonga z’ebyobufuzi; nga balaba nti omulimu tegwandiyingiziddwamu nsonga ndala yonna wabula kigambo kya Katonda kyokka. Abalangira nga bajja okuteeka emikono gyabwe ku kiwandiiko, Melankisoni kwe kubayimiriza nga bw’abagamba nti: “Guno mulimu gwa basumba na bayivu mu ddiini okuba nga be bateesezza ensonga zino; abantu abakulu aboobuyinza mu nsi bo balekerwe ensonga endala.” “Kiddire eri,” owessaza John bwe yamuddamu nti, “mwagala nze okunziggyamu. Mmaliridde okukola ekituufu, nga sifuddeeyo ku bukulu bwange. Nange njagala okwatula Katonda nga ye Mukama wange. Ekiliibwa n’engule eno byennina, tebinsingira muwendo musalaba gwa Yesu Kristo.” Era olwamala okwogera n’akutama okuwandiika erinnya lye. Omulangira omulala bwe yali akwata ekkalamu okuwandiika yagamba nti: “Bwekuba nga okussaamu Mukama wange Yesu ekitiibwa kyetaagisa kukola kino, ndi mwetegefu... okuleka byonna ebyange n’obulamu bwange.” “Kisingako nze okufiirwa amatwale gange awamu n’abantu bange, waakiri okuleka ensi ey’obusika bwange,” bw’agamba, “nze okuweebwa enjigiriza efaanana obulala wabula eyo eri mu kiwandiiko kino.” - Ibid., b. 14, ch. 6. Okwo kwe kwali okukkiriza n’okusomoza kw’abantu ba Katonda bano. EE 130.3
Essaawa endagaane okusisinkana kabaka teyalwa neetuuka. Kabaka Charles V, ng’atudde ku nnamulonda, nga yetooloddwa abakungu n’abalangira, bwatyo yawa Abazza b’ekkanisa Obuggya omukisa awulire kye bagamba. Ekiwandiiko ekiraga okwatula kwabwe ne kisomebwa. Amazima g’enjiri ne gawulirwa mu bigambo ebitegerekeka eri olukiiko luno olwekitiibwa ennyo, kyokka era n’obuiimba bwa papa bwasongebwako. Olunaku olwo ne lulangirirwa nga “olunaku olukulu ennyo era olw’ekitiibwa mu byafaayo by’Obukristaayo n’eri olulyo Iw’omuntu.” - Ibid., b. 14, ch. 7. EE 131.1
Naye ng’emyaka si mingi egiyiseewo nga omusasedooti omu okuva e Wittenberg ayitiddwa okwewozaako mu lukiiko e Worms. Kaakano nga mu kifo kye, wayimiriddewo abalangira ebeekitiibwa era abamaanyi mu bwakabaka. Luther ng’agaaniddwa okulabikako e Aurgsburg, naye yaliwo okuyita mu bigambo bye n’okusaba. “Nnina essanyu lya nsusso,” bwe yawandiika, okuba nga nkyali mulamu okutuusa kaakano, ne ndaba nga Kristo asitulibwa waggulu n’abantu abeekitiibwa, ne bamwatulira mu lukiiko olwekitiibwa ennyo.” - Ibid., b. 14, ch. 7. Ekyawandiikibwa ne kituukirizibwa ekigamba nti: “Era naayogeranga bye wategeeza mu maaso ga bakabaka.” Zabbuli 119:46. EE 131.2
Mu biro biri Pawulo lwe yakwatibwa naasibibwa olw’enjiri, enjiri yatuusibwa mu mbiri z’abalangira n’abakungu mu bibuga byabafuzi. Era bwe kyali ne ku luno, nga kabaka eyali tagenda mu kkanisa kubuulirwa, yabuulirwa ng’ali mu lubiri; era abalala kye baali banyooma nti tekigwanidde kuwulirwa wadde abakopi, kyawulirwa abakungu n’abaami b’obwakabaka. Bakabaka n’abantu abamaanyi nga be bawuliriza, abalangira nga be babuulizi, n’obubaka nga bukwata ku mazima ageekitiibwa aga Katonda. “Kasookanga omulembe gw’abatume guyita,” omuwandiisi omu agamba, “tewabangawo bantu bangi kwatula mu buvumu obwenkanidde awo.” - D’Aubigne, b. 14, ch. 7. EE 131.3
“Abagoberezi ba Luther byonna bye boogedde bya mazima; tetuyinza kubiwakanya,” omulabirizi wa papa bwe yagamba. “Waliwo ensonga zonna ezamazima mu oyima okuwakanyiza okwatula kw’owessaza ne banne?” omulala bwe yabuuza ayitibwa Dokita Eck. Yaddibwamu nti: “Okuyita mu byawandiikibwa abatume ne bannabbi - toyinza! Naye mu byawandiikibwa bakitaffe era n’enkiiko - oyinza!” Eyabuuza kwe kuddamu nti: “Nkimanyi nga abagoberezi ba Luther okusinziira nga bw’ozeemu, bali mu Byawandiikibwa, naye ffe tuli wabweru waabyo.”- Ibid., 14, ch. 8. EE 131.4
Era abamu ku balangira ba Bugirimaani ne baakyuka ne bakkiriza enjigiriza eno kaakano empya. Kabaka naye naalangirira nti ekiwandiiko ky’abapulotestanti mazima meerere. Ekiwandiiko ne kiwuunulwa mu nnimi ezenjawulo era ne kisasaanyizibwa okwetoloola Bulaaya yenna, era abantu bukadde na bukadde ne bakyetwalira okuyita mu mirembe egy’anjawulo nga enzikiriza yaabwe. EE 131.5
Abaddu ba Katonda nga tebalwana bokka. Newakubadde abamasaza n’ab’obuyinza n’emyoyo egy’obubi egifugira mu bifo ebya waggulu nga beegattira wamu okubalwanyisa, Mukama teyerabira bantu be. Singa amaaso gaabwe gaazibulwa, bandiyinzizza okulaba obujulizi obwenkukunala obw’okubeerawo kwa Katonda ne bw’azze abayamba okufaanana ne nnabbi owedda. Omuddu wa Erisa bwe yasongera EE 131.6
ku mukama we okumulaga eggye eryali libazingizza nga tebalina na webaddukira, nnabbi yasaba nti: “Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe.” 2Bassek 6:17. Omulenzi n’alaba olusozi nga lujjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro ageetoolodde Erisa okumukuuma. Bwebatyo bamalayika bwe bakuuma abakozi b’omulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa. EE 132.1
Erimu ku mateeka Luther lye yasinga okunyweza, lye ly’obutanoonya buddukiro kuva mu bafuzi nti bawagira omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya, wadde okufuna ebyokulwanyisa okugulwanirira. Ekyamazima yasanyuka olw’okubanga abalangira mu bwakabaka baayatula amazima g’enjiri; naye bwe baateesa beegatte nabo balwane, naabategeeza nti, “Katonda yekka yalwanirira enjiri.. ..Omuntu gy’akomya obuteyingiza mu mulimu gwa Katonda, ne Katonda Iw’asinga okulabika ng’agulwanirira. Obukujukujju obwasalibwanga, ye ng’abulaba ng’okutya ebitaliimu nsa, n’okujja obwesige mu Katonda.” - D’Aubigne, London ed., b. 10, ch. 14. EE 132.2
Abalabe b’omulimu buli Iwe beegattanga okugulwanyisa, era nga basowodde ebitala byabwe okuva mu biraato byabyo, Luther ng’awandiikira banne nti: “Setaani asitudde ekiruyi kye; abalabirizi abatatya Katonda basala enkwe; era batutiisatiisa n’okutulwanyisa. Mugumye emyoyo gy’abantu banywerere mu maaso g’entebe ya Katonda, okuyita mu kukkiriza n’okusaba, Omwoyo wa Katonda wakuwangula abalabe baffe, tunaddizibwa emirembe. Kye tusinga okwetaaga, era omulimu gwaffe omukulu, kwe kusaba; mutegeeze abantu nti, bagaluliddwa ekitala n&pos;obusungu bwa Setaani, era kye mbasaba basabe.”- D&pos;Aubigne, b. 10, ch. 14. EE 132.3
Ate oluvannyumako, bwe yali ayogera ku balangira abakyufu nga bwe baazuula olukwe olulala, Luther yabagamba nti ekyokulwanyisa ekisinga obukulu nga tuli mu lutalo luno kye “kitala eky’Omwoyo.” Yawandiikira owessaza lye Saxony nti: “Tetuyinza kukkiriza kwekolamu bibiina kulwana. Kisingako ffe okufa emirundi kkumi n’okusingawo okusinga enjiri yaffe lw’evaako okuyiwa omusaayi. Ffe tulinga endiga egenda okusalibwa. Tulina okwetikka omusalaba gwa Kristo. Ssebo oweekitiibwa nsaba oleme kutya. Tujja kuwangula okuyita mu kusaba okusinga n’abalabe baffe bwe beewaana. Naye kye nsaba engalo zo zireme kubuna musaayi gwa baganda bo. Kabaka bw’aba ayagala kututwala mu nkiiko ze tuwozesebwe, tuli beetefuteefu okugendayo. Toyinza kulwanirira kukkiriza kwaffe: buli omu kimugwanira okukkiriza ku bubwe yekka.” - Ibid., b. 14, ch. 1. EE 132.4
Ensi yanyeenyezebwa amaanyi agasibuka mu kifo ekyekyama omwali okusaba olw’Okudda Obuggya Okunene. Abaddu ba Mukama ne baateeka ebigere byabywe ku Iwazi olugumu olw’ebisuubizo bya Katonda mu bukakkamu obwekitalo. Mu kanyoolagano akaaliwo e Aurgsburg Luther nga “tayisaawo lunaku okutuusa nga awaddeyo okusaba okumala essaawa entono ennyo satu, era mu kiseera ekyo mwe yayigiranga ebyawandiikibwa.” Yawulirwanga eyo mu kisulo kye ng’afuka omwoyo gwe eri Katonda n’ebigambo “ebiraga okusinza, okuwa ekitiibwa era ebigambo ebye ssuubi, ng’alinga ayogera ne mukwano gwe.” “Nzikiriza nga ggwe Kitaffe era Katonda waffe,” bwe yagambanga, era nga mmanyi nti ggwe oyinza okusasaanya abayigganya abaana bo; kubanga baagala okutumalawo mu maaso go. Byonna biri mu mikono gyo, era naffe ne tuwalirizibwa okubikukwasa. Tulwanirire ayi Kitaffe!” Ibid., b. 14, ch. 6. EE 132.5
Yawandiikira Melankisoni eyali amaliddwawo olw’ebirowoozo ebingi awamu n’okutya nti: “Ekisa n’emirembe ebiri mu Kristo bibeere gy’oli - ŋŋambye ebiri mu Kristo, sitegeeza nsi. Amiina. Nkyawa nnyo okulowooza okusukkirira kaakano okukumalawo. Ensonga bw’eba nga si yamazima, giveeko; naye bw’eba yamazima, lwaki tubuusabuusa ebisuubizo by’oyo atugamba nti twebake mirembe awatali kutya?.... Kristo yekka amala ku lw’amazima n’obwenkanya. Waali mulamu, afuga; olwo, kiki ekiyinza okututiisa?” - Ibid., b. 14, ch. 6. EE 133.1
Katonda yawuliriza okukaaba kw’abaddu be. Abalangira awamu n’abaweereza be yabawa ekisa kye n’obuvumu, ne banyweza amazima wakati mu kuwakanyizibwa abafuzi ab’omukizikiza ky’ensi eno. Mukama agamba nti: “Laba, nteeka mu Sayuni ejjinja ekkulu ery’oku nsonda, eddonde ery’omuwendo omungi: amukkiriza talikwatibwa nsonyi.” 2Peetero 2: 6. Abapulotestanti Abakyufu baali bazimye ku Kristo, n’emiryango gy’emagombe nga tegibayinza. EE 133.2