Essuubi Eritaggwaawo

9/43

8 — Luthermumaaso G&pos;olukiiko

Kabaka omulala ayitibwa Charles V, n’asikira obwakabaka bwa Bugirimaani, bwebatyo abalibirizi ba Luumi ne banguwa okumuyozayoza n’okumusendasenda akozese obuyinza bwe asanyewo omugendo gw’okudda obuggya. Ate ku ludda olulala, owessaza Saxony eyali owomukwano ennyo ne Charles ate nga yamuwagira n’okusikira obwakabaka, naamusaba aleme kubaako ky’akola Luther okutuusa nga EE 91.4

naye afunye omukisa ne yewozaako. Kabaka naatuukira mu katubagiro n’obuswavu. Ng’obwapapa bwagala ekiragiro okuva mu bwakabaka ekiragira Luther attibwe awo nno bubeere bumativu. So ng’ate owessaza akikaatiriza nti, “Tewabangawo muntu yenna wadde obwakabaka eyali alumirizza nti ebiwandiiko bya Luther birimu ensobi;” n’olwekyo kyava asaba nti: “Luther aweebwe ebbaluwa emuwa obukuumi lw’anayinza okweyoleka eri olukiiko olujjuddemu abalamuzi abatali benkanya, so ng’ate bayivu.” - D’Aubigne, b. 6, ch. 11. EE 92.1

Awo, okusaba okwenjuyi zombi ne kuwerezebwa mu lukiiko olukulu olw’amasaza agakola eggwanga lya Bugirimaani, olwayitibwa ne lutuula e Worms amangu ddala nga Charles yakalinnya ku ntebe y’obwakabaka. Olukiiko Iwalina ebibuuzo ebikulu bye Iwali lulina okwanukula; era nga guno gwe gwali omulundi ogusooka abalangira okusisinkana nga bakulemberwa kabaka ono akyali omuto. Olukiiko lwakuņņanya abakulu mu bitiibwa eby’enjawulo mu kkanisa n&pos;okwetoloola eggwanga lyonna. Abafuzi ab’ensi, abalangira, abamaanyi, ab’ebyobuwangwa, abalangira b’ekkanisa, bonna ne bajjira mu bitiibwa ne mu maanyi gaabwe, abakungu n’abakuumi baabwe, awamu n’ababaka mu nsi ezewala n’okumpi ne bakuņņanira e Worms. Ekisanyusa, bonna nga bakuŋŋanye okuwulira omusajja Luther okuva e Saxon ayagala okuteekawo enkyukakyuka mu kkanisa. EE 92.2

Kabaka Charles yali alagidde owessaza lye Saxon okujja ne Luther mu lukiiko, era ng’amusuubiza okumuwa n’obukuumi, era aweebwe n’eddembe okukubaganya ebirowoozo n’abantu abamuliko ensonga. Luther yasanyuka nnyo bwe yamanya nti anaalabika mu maaso ga kabaka. Newakubadde nga obulamu bwe tebwali bulungi nnyo mu kiseera kino, era yasobola okuwandiikira owessaza nti: “Bwesiyinze kugenda mu lukiiko nga ndi mulamu bulungi, naasitulibwa ku katanda ne ņņenda nga ndi mulwadde. Kubanga kabaka bw’ampita siyinza kubusabuusa nti eryo ddoboozi lya Katonda yennyini. Bwe banasalawo okukozesa eryanyi, ate nga mmanyi nti kisoboka (kubanga si be bampise), byonna mbiwadde Katonda. Oyo akyali mulamu era aky’afuga eyayinza okukuuma abavubuka abasatu mu kikoomi ky’omuliro ne gutabookya. Bw’anaasiima ne sirokoka mu mukono gwabwe, anti n’obulamu bwange tebukyalina makulu. Tulina okukuuma enjiri ereme kufuuka kisekererwa eri ababi, naye katuyiwe omusaayi ku Iwayo, kubanga bwe tunaatya baakuwangula. Ate nze sirowooza nti nze okuba omulamu oba nga nfudde abangi Iwe banaalokoka... Nsuubiramu bingi... okujjako tonsuubira kudduka wadde okwegaana.” - Ibid., b. 7, ch. 1. EE 92.3

Waaliwo akabugumiiriro e Worms abantu bwe baawulira nti Luther naye agenda kulabikako mu lukiiko. Kyokka omubaka wa papa eyakwasibwa obuyinza okuwulira omusango ayitibwa Aleander, naafuna entiisa era n’atya nnyo. Yamanya nga bwe bateekawo olukiiko lunoonyereze ku musango gw’omuntu papa gwe yasalidde edda omusango, kuba kunyooma buyinza bwa papa. N’ekirala, yatya bwe yamanya nti Luther nga bwali musajja mwogezi lusiriiza ntamu, ayinza okukyusa n’okuwamba ebirowoozo by’abalangira baleme okutuukiriza ekigendererwa kya papa. Kyava ateesa mu bwangu, n’awandiikira kabaka Charles ng’awakanya Luther okujja mu lukiiko e Worms. Era bwebatyo ne basasaanya n’ekiragiro kya papa ekigoba Luther mu kkanisa y’e Luumi; ekyo bwe kyegatako okubeerawo kw’omulabirizi wa papa, kabaka n’ajjeemulukuka. Kwe kuwandiikira owessaza nti Luther bw’atenenya bigambo bye, asigaleyo e Wittenberg. EE 92.4

Nga gy’oba tamatidde n’obuwanguzi bw’atuuseeko, Aleander n’akola kyonna ekisoboka ng’akozesa obuyinza n’obukujukuju olukiiko lusalire Luther omusango. Bwe yalemera ku nsonga ng’alinga anafunamu ennyo, kwe kwegayirira abalangira, abalabirizi n’abakiise abalala abatuula ku lukiiko bavunaane Luther n’emisango omuli, “ogw’okukuma omuliro mu bantu, okwewaggula, ogw’obukafiiri n’okuwoola.” Naye nga bwe wetegereza amaanyi n’obwagazi bw’akoleramu nga bulaga mulwatu omwoyo ogumukozesa. “Ng’ajjudde obukyayi n’ekiruyi okusinga okutya Katonda.” Bwebatyo bwe baayogera - Ibid., b. 7, ch. I. Era ekitundulundu kinene ku lukiiko nga kyetefuteefu okwejeereza Luther. EE 93.1

Ne yeegayirira kabaka mu maanyi ag’ekitalo amukkirize y’aba akubiriza n’olukiiko asobole okutuukiriza ekiragiro kya papa. Naye nga tekikkirizibwa okusinziira mu mateeka agafuga Bugirimaani okujyako ng’abalangira bakkirizza; bwatyo okufuba kwe ne kugwa butaka, naye Charles n’amukkiriza abeerewo mu lukiiko. Lwali lunaku lukulu nnyo eri omubaka wa papa. “Anti olukiiko Iwali lunene nnyo: ate nga n’ekigendererwa kyalwo nga kikulu ddala. Aleander ng’ayimiriddewo ku lwa Luumi, .. ..nnyina era maama w’amakanisa gonna.” Ng’ayimiriddewo okuwolereza entebe ya Peetero mu lukiiko olukiikiridde ensi zonna ez’Obukristaayo. “Yalina ekirabo ky’okwogera, era n’ayagala akikozese mu lukiiko luno olukulu. Luumi yakozesa omukisa guno, n’ereeta aboogezi b’ayo abamaanyi okugiwolereza mu lukiiko luno olwekitiibwa nga tebannagisingisa musango.” - Wylie, b. 6, ch. 4. Abaali ku ludda lwa Luther ne batya bwe baafumiitiriza ku kwogera kwa Aleander. N’ekirala, owessaza ly’e Saxony teyaliwo, naye ng’alagidde abakungu be bamukiikirire era bamuwandiikire okwogera kwonna okw’omubaka. EE 93.2

Aleander n’akozesa obukugu bwonna awamu n’ekirabo kye eky’okwogera asangulewo amazima. N’agenda mu maaso nga bw’agenda avunaana Luther emisango egy’enjawulo nga bwali omulabe w’ekkanisa era n’eggwanga, omulabe w’abalamu era n’abafu, bannaddiini n’abantu ababulijjo. “Ezo ze nsobi za Luther,” ezikakasa nti agwanira “okwokebwa omuliro ogwokya banne abamufaana emitwalo kkumi.” EE 93.3

Ng’amaliriza, kwe kufuba ennyo n’okwonoona abagoberezi ab’enjigiriza eno empya. Yagamba: “Ye bano be baani abeeyita nti baagoberezi ba Luther? Abantu abaayigirizibwa omuntu ataliimu mpisa naakatono, n’abasasedooti abonoonefu era abaagala okweyononesa n’empisa envundu, ba puliida abatalina na kyebamanyi, awamu n’abakungu abaayonooneka, kwoteeka n’abantu abanaku ababuzaabuziddwa era ne bakyamizibwa. Ekleziya ng’ebasinga nnyo mu bantu abangi, amaanyi n’obusobozi! Ekiragiro ekinaava mu lukiiko luno olwekitiibwa ennyo kyakuteekawo essomo eri akabiina kano, era kirabule n’abatamala kulowooza, kyawulemu bannakigwanyizi, era kizeemu amaanyi abanafuye.” - D’Aubigne, b. 7, ch. 3. EE 93.4

Ebyo by’ebyokulwanyisa ebibadde bikozesebwa ku bantu abazze nga bawanirira amazima okuyita mu buli mulembe. Era engeri yeemu y’ekyakozesebwa eri abo bonna abakyasitudde amazima, okuwakanya obukyamu obugattiddwa ku Kigambo kya Katonda ekitegerekeka obulungi. Anti abagoberezi b’eddiini ezaagalwa ennyo bagamba: “Ye ate bano bebaani ab’enjigiriza eno empya? Okusooka tebaasoma, si bebangi ate bantu aboomutindo ogwawansi. Naye beegamba nti balina amazima, EE 93.5

eggwanga lya Katonda eddonde. Bambi tebaliiko kye bamanyi era balimbiddwa. Ng’ekkanisa yaffe ebasinga mu bantu obungi! Tulina abaasoma bangi, tulina n’abamaanyi bangi.” Ebyo bye bigambo ebiraga ensi bw’erowooza; era tebijja kukoma nga bwekyali ne mu biro bya Luther. EE 94.1

Okuzzibwa kw’ekkanisa obuggya tekwakomekerezebwa na Luther abangi nga bwe balowooza. Kwakugenda mu maaso okutuusa ku nkomerero y’ebyafaayo by’ensi eno. Luther yakola omulimu munene nnyo mu kwolesa omusana eri abalala nga Katonda bwe yagumubikkulira; naye teyafua musana gwonna okumulisiza ensi yonna. Era okuva mu kiseera ekyo, omusana omuggya guzze gweyongera okumulisibwa okuva mu Byawandiikibwa, so nga n’amazima bwe gazze geebikkula. EE 94.2

Okwogera kw’omubaka wa papa kwakola nnyo ku birowoozo by’olukiiko. Luther nga taliiwo kwewozaako ategeeze mu lulimi olutegerekeka ekigambo kya Katonda, era asobole n’okumuwangula. Tewaaliwo yagezaako kumuwolereza, okujjako okwagala asalirwe busalizi musango n’okusaanyizaawo ddala enjigiriza ze. Mazima Luumi yafuna ekiseera ekirungi okuyimirizaawo ebigendererwa byayo. Byonna byeyasobola okwogera byali byayogerwa dda. Kyokka obuwanguzi bweyalabika ng’afunye, ye kennyini kwekuwangulibwa. Era okuva mu kiseera ekyo, enjawulo wakati w’amazima n’obulimba n’egenda nga yeyongera okweyoleka obulungi. Luumi teyaddamu kuba na mirembe gye yabanga nagyo okuva ku lunaku olwo. EE 94.3

Newakubadde ng’olukiiko terwandikaluubiriddwa kuwaayo Luther eri ekiruyi kya Luumi, bangi baali balumwa okulaba obuvundu bw’empisa ezaali mu kkanisa, era ne baagala n’okunyigirizibwa okutuusiddwa ku bantu be Bugirimaani olw’obuluvu n’obuli bwenguzi mu bwapapa kukomezebwe. Omubaka yali ayogeredde obutuzi bw’obwapapa mu ngeri etegerekeka obulungi, awo Mukama n’akozesa olukiiko okunnyonnyola mu kifaananyi ekituufu ebivudde mu bwannakyemalira bw’obwapapa. Omulangira George owe Saxony yayimirira mu kitiibwa kye wakati mu lukiiko okunnyonnyola obulimba n’ebyomuzizo ebyali bikolebwa obwapapa era n’ebibi ebibuvuddemu. Ng’amaririza kyava agamba nti: EE 94.4

“Bino by’ebibi ebikaabirira Luumi. Yaggwamu dda obuswavu, era nga n’ebigendererwa byabwe ze sente, sente, sente... era n’ababuulizi mu kifo ky’okubuulira amazima, boogera bulimba bwokka, era nga tebaakomye na kuttirwa ku liiso kyokka, naye era baweebwa n’empeera, kubanga gye bakomya okulimba gye bakoma n’okufunamu. Era amazzi gano agalabika ng’amacaafu gasibuka ku nsulo eyo. Obwonoonefu bw’empisa bukwataganye mu mukono n’obuluvu bw’ensimbi.... Ekyennaku, be bannaddiini abasindikiriza emyoyo gy’abantu mu kuzikirizibwa okw’emirembe gyonna. Wagwana okubaawo ekikolebwa.” Ibid., b. 7, ch. 4. EE 94.5

Singa amaaso g’abakiise gaali gazibuddwa, bandiyinzizza okulaba bamalayika ba Katonda wakati mu bo, nga bakutte emimuli okumulisa ku kizikiza ekikutte eky’obulimba era nga baggula ebirowoozo n’emitima gyabwe okutegeera amazima. Kubanga gaali maanyi ga Katonda ajjudde okumanya n’amazima agaasobola okumaamira ne mu kutegeera kw’abalabe b’okuzza obuggya ekkanisa, bwebatyo ne bateekateeka ekkubo olw’okutuukiriza omulimu omunene bwegutyo. Mu kiseera kino Martin Luther teyaliiwo; naye ng’eddoboozi l’Oyo asinga Luther obunene liwuliddwa mu lukiiko. EE 94.6

Olukiiko ne lulonda akakiiko kakole alipoota ku bikolobero ebituusiddwa ku bantu b’e Bugirimaani. Olukalala ne luweebwa kabaka nga kuliko ensonga ezissukka mu kikumi era ne lumusaba wabeewo ekikolebwa amangu ddala mu kutereeza eddembe lyabwe eryali lirinnyiriddwa. Abaalopera kabaka ensonga ne bagamba nti: “Nga wabaddewo okufiirwa emyoyo gy’Abakristaayo, mu bunyazi, okuwamba, mu buvuyo obubadde bujja buzingiramu n’omukulembeze w’eddiini mu nsi z’Obukristaayo! Buvunaanyizibwa bwaffe ffe okuziyiza okuzikirira kuno n’okukuuma ekitiibwa ky’abantu baffe. Olw’ensonga eyo, kye tuvudde tukusaba ai kabaka, mu buwombeefii naye era mu bwangu olagire wabeerewo okudda obuggya wonna, era okakase nga kikoleddwa.” - Ibid., b. 7, ch. 4. EE 95.1

Olukiiko ne lusaba Luther alabikeko mu maaso g’olukiiko. Newakubadde nga Aleander yali asabye era ne yegayirira awamu n’okutiisatiisa Luther aleme kujja mu lukiiko, kabaka yamala edda n’akkiriza, bwatyo Luther n’ayitibwa okujja mu lukiiko. Mu bbaluwa emuyita yakakasibwa n’okuweebwa obukuumi okutuusa lw’anaddayo mu kifo gy’akuumirwa. Ebbaluwa yatwalibwa omubaka eyalagirwa okumuleeta okutuuka e Worms. EE 95.2

Mikwano gya Luther ne batya nnyo n’okweralikirira ne beeralikirira. Era olw’okubanga baali bamanyi obukyayi n’obubi bwe bamulinako, ne batya nti n’ebbaluwa emuwa obukuumi eyinza n’obutassibwamu kitiibwa, kwe kumusaba aleme kuteeka bulamu bwe mu katyabaga. Yabaddamu nti: “Obwapapa tebwagala nze kugenda e Worms, wabula okunsalira omusango n’okuttibwa. Ekyo si kikulu. Temusabira nze wabula Ekigambo kya Katonda... Kristo ajja kumpa Omwoyo we Omutukuvu anampanguza ababaka bano ab’obulimba. Nzize mbanyooma; era mmanyi nga nja kubawangula newakubadde nga nfudde. Mmanyi nti bali eyo e Worms okusala amagezi banzikirizise, naye nze nsuubira kubaddamu bwenti: “Nnakyogera olubereberye nti papa yeyali omukiise wa Kristo ku nsi; era nkiddamu nti oyo ye mulabe wa Mukama waffe, era omutume wa Setaani.”- Ibid., b. 7, ch. 6. EE 95.3

Luther teyatambula bw’omu lugendo luno olujjudde obulabe. Yatambula ne mikwano gye ddala basatu abaali abamalirivu okumuwerekera. Ate ye Melancthoni eyali nfanfe we, naamwegayirira nnyo naye abegatteko oba nga kiyinzika, ne bwe kinaategeeza kusibwa oba kufa afiire wamu naye. Naye Luther teyakkiriza kusaba kwe. Yakimanya nga bw’afa, omulimu gw’okuzza ekkanisa gusigala mu mikono gya muvubuka ono eyali ow’embavu. Yamugamba bwe yali amusiibula nti: uBwe siriyinza kukomawo era nga n’abalabe bange banzise nkusaba ogende mu maaso n’okuyigiriza, era nnywera osobole okuyimirirawo ku lw’amazima. Sigala ng’okola omulimu nze gwe nnandikoze... Ggwe bwowona, okufa kwange tekuba na makulu.” - Ibid., b. 7, ch. 7. Abayizi awamu n’abantu abaaliwo nga Luther asiibula ne bawulira ennaku n’ennyiike. Enkuyanja y’abantu abakwatibwako n’obubaka bw’enjiri ye ne bamusiibula wakati mu maziga okuva mu kibuga Wittenberg ng’ali wamu ne mikwano gye. EE 95.4

Baasisinkananga abantu mu kkubo naye nga balabika bajjudde ennaku, obuyinike n’okweralikirira. Nga ne mu bibuga ebimu olaba abantu abataliiko ssanyu. Nga batuuse mu kifo ekimu we baali ab’okusula, mukwano gwe omusasedooti n’amutuukirira ng’akutte ekifaananyi ekisiige nga kiriko omusajja Omuyitale eyattibwa ng’omujulizi. Era enkeera w’alwo, ne bategeezebwa nti n’ebiwandiiko bye biwereddwa e Worms. Nga n’ababaka mu bwakabaka bwa Bugirimaani bwe bagenda EE 95.5

basaasaanya amawulire nga bagamba abantu nti, bakuņņaanye ebiwandiiko byonna ebiwereddwa biweebwe eri ab’obuyinza. Omubaka eyatumibwa okutwala Luther mu lukiiko, yenna ng’atidde olw’obulamu bwa Luther, kwe kubuuza Luther oba nga akyayinza okweyongerayo. Luther yamuddamu nti: “Ne bwe naalemesebwa mu buli kibuga nja kugenda.” - Ibid., b. 7, ch. 7. EE 96.1

Luther yayanirizibwa mu kitiibwa nga batuuse mu kibuga e Erfurt. Naayita wakati mu nnamungi w’omuntu okwetoloola enguudo z’ekibuga kye yatambulangamu emirundi emingi nga bw’agenda asabiriza sente bwe yali ng’akyasoma. Yatuuka ne mu kisenge mwe yasulanga ng’ali mu kigo ekyo, n’ajjukira entalo ze yayitamu okufuna omusana kaakano ogwakira Bugirimaani yenna. N’ajjukira bwe yawalirizibwa okubuulira. Newakubadde nga yali takkirizibwa, omubaka wa kabaka yamukkiriza alinnyeko ne ku alutaali y’omu kigo gye yakolanga ng’omupakasi, bwe yali ng’akyasoma obusasedooti, ayogereko ku kigambo. EE 96.2

Yategeeza ekibiina ky’abantu ekyali kikuņņaanye ebigambo Yesu bye yayogera nti: “Emirembe gibe ku mmwe.” N’ayongera okugamba nti: “Bakagezimunnyu, badokita n&pos;abawandiisi bafubye okuyigiriza abantu ekkubo ery’obulamu obutaggwaawo, naye balemereddwa. Naye nze njagala okubategeeza nti.... Katonda yazuukiza Omuntu omu okuva mu bafu, Mukama waffe Yesu Kristo, asobole okuwangula okufa, asaanyewo n’ekibi era aggale enzigi z’emagombe. Buno bwe bubaka obw’obulokozi.... Kristo yawangula! Gano ge mawulire amalungi, era twalokolebwa Iwabikolwa bye, naye si mu maanyi gaffe... Mukama waffe Yesu Kristo yagamba nti, ‘Emirembe gibe ku mmwe; mulabe ebibatu by’engalo zange;’ kwe kugamba, Mulabe Omuntu! Ye nze, Nze nnayinza okuggyawo ekibi kyo, n’empayo omusingo ku lulwo, naawe obe n’emirembe, bw’ayogera Mukama.” EE 96.3

N’ayongera okutegeeza nti okukkiriza okw’amazima kulabikira mu bulamu obutukuvu. “Olw’okubanga Kristo yatulokola, naffe katwolese ebikolwa ebirungi ebikkirizibwa mu maaso ge. Oli mugagga? Obugagga bwo ka buyambe ku bwetaavu bw’abanaku. Oli munaku? Okuweerezaakwo ka kubeere okw’omugaso eri omugagga. Bw’olowooza nti oweereza Katonda naye nga by’okola bigasa ggwe wekka, obeera weerimba.” - Ibid., b. 7, ch. 7. EE 96.4

Abantu ne bawuliriza mu kasirikiriro anti ng’omugaati gw’obulamu gumenyebwamenyebwa eri emyoyo egifa enjala ey’ekigambo kya Katonda. Kristo ng’asituliddwa waggulu okusinga bapapa, abalabirizi, bakabaka n’abalangira. Luther teyeyogerako n’omulundi n’ogumu nga bwali mu kiseera ekizibu. Teyagezaako kukyusa birowoozo by’abantu nti oba oli awo bamusaasire. Yali nga yeggyeko ebirowoozo byonna olw’okufumiitiriza ku Kristo. Yali mu Kristo eyakomererwa ku lusozi e Kalivaaliyo, era nga ayagala okutegeeza Yesu eyanunula omwonoonyi. EE 96.5

Luther n’agenda ng’asanyukirwa abantu buli we yayitanga okuyita mu lugendo Iwonna. Ebibiina by’abantu ne bimukuŋŋanirangako, n’amaloboozi g’abantu ne gawulirwa nga gamulabula ku bigendererwa by’Abaluumi. Abamu nga bwe bamugamba nti, “Bajja kukwokya omuliro ofuuke ewu nga bwe baakola John Huss.” Luther yabaddangamu nti, “Ne bwe bakuma omuliro ne gubuna ekkubo lyonna okuva e Worms okutuuka Wittenberg era nga gutuuka waggulu mu ggulu, nja kuguyitamu mulinnya lya Mukama waffe, era ntuuke gye bali; nja kuyingira mu mannyo g’ekisolo kino ngamenyemenye mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.” - Ibid., b. 7, ch. 7. EE 96.6

Waaliwo akajagalalo mu kibuga Worms abantu bwe baawulira nti asemberedde ekibuga. Mikwano gye ne bakankana olw’obulamu bwe, ate abalabe be ne batya si kulwa balemererwa okutuukiriza ebigenderwrwa byabwe. Bangi ne bafuba nnyo okumuziyiza aleme okuyingira ekibuga. Kyokka abagoberezi ba papa ne bamusokasoka agende awummulireko mu lubiri Iwa mukwano gwe oba oli awo gye bayiinza n’okugonjoolera ensonga. Mikwano gye nga bwe bamulaga obuzibu obumwolekedde. Naye okufuba kwabwe kwonna ne kugwa butaka. Luther nga tatidde namu kwe kugamba nti, “Ne bwe wabaawo baSetaani nga beesengese ng’amategula ku kasolya k’ennyumba wonna mu Worms, nja kukiyingira.” - Ibid., b. 7, ch. 7. EE 97.1

Ng’atuuse e Worms, enkuyanja y’abantu ne bagenda okumwaniriza ku muguukiriro gw’ekibuga. Nnamungi w’omuntu atabangawo newakubadde ku kabaka waabwe ye yamwaniriza. Ne wabaawo akabugumiriro wakati mu nnamungi w’omuntu bwe baawulira eddoboozi erisonsomola naye nga likungubaga olw’ennaku eyali emwolekedde ng’agamba nti: “Katonda y’anaaba omukuumi wange.” Bwatyo bwe yayogera ng’ava ku kigaali mwe yali atambulira. EE 97.2

Abalabirizi ba papa ne beeralikirira nga tebayinza na kukikkiriza nti Luther yandiyinzizza okwaŋŋanga n’alabikako e Worms. Kabaka n’ayita abakungu be banoonye engeri gye banaakwatamu ensonga. Era omu ku Balabirizi ba Luumi kwe kugamba nti: “Tumaze ekiseera kiwanvu nga twebuuza ku nsonga eno. N’olwekyo ai kabaka tukusaba olagire omusaja ono ajjibwewo. John Huss teyayokebwa muliro ku kiragiro kya Sigsimund? Era tekitukakatako kuwa bukuumi muntu yawaba.” Kabaka n’agamba nti: tcNedda, kitugwanira okutuukiriza ekisuubizo kyaffe.”- Ibid., b. 7, ch. 8. Ne balyoka basalawo nti Luther aweebwe omukisa yewozeeko. EE 97.3

Ekibuga kyonna nga kYesunga okulaba ku musajja ono owebyafaayo, era bangi ne beeyiwa mu kisulo gye yasula okumulabako. Mu kiseera kino, Luther yali tannawonera ddala bulwadde obwali bumuluma, era nga n’olugendo olukulungudde ennaku ekkumi n’ennya lumukooyesezza; ng’alina okuwummulako yeteekereteekere ensisinkano enkeera w’alwo. Naye yawummulako akaseera katono nnyo newakubadde nga yali akyayagala okuwummula, bwe yatawanyizibwanga abantu omwali abakungu, abaserikale ba kabaka, abasasedooti n’abatuuze abaayagala okumuwulirako bw’ayogera. Mu abo mwe mwali n’abakungu abatuukirira kabaka ne bamusaba wabeewo okuzza ekkanisa obuggya, era ne bagamba ne Luther nti: “enjiri yange yabasumulula.” - Martyn, page 393. Mikwano gye era n’abalabe be ne bajja okulaba ku musasedooti ono atatya; kyokka yabaniiriza nga mukakamu ddala naye nga bonna abawa ekitiibwa ekibasaanira. Yalabika nga mugumu. Newakubadde nga yali mulwadde era ng’alabika yali akola nnyo, naye yali musanyufu mu maaso ge. Abalabe be ne baba nga tebayinza na kugumiikiriza njogera ye era n&pos;ebigambo bye ebyalabika nga byamazima. Bonna ne beewuunya. Abamu ne bakkiriza nti yaliko omukono gwa Katonda; abalala ne bagamba ng’abafalisaayo bwe baayogera ku Yesu nti: “Aliko dayimooni.” EE 97.4

Ku lunaku olw’okubiri Luther naayitibwa okugenda mu lukiiko. Yatwalibwa omuserikale eyamuyisa wakati mu nnamungi w’omuntu eyakuŋŋaana kumpi ku buli luguudo lw’ekibuga okulaba ku musasedooti ayimiriddewo okuwakanya obuyinza bwa papa. EE 97.5

Bwe yali anaatera okuyingira mu kisenge abalamuzi mwe baali, ne basisinkana n&pos;omu ku bazira abaazirwanako eyamugamba ebigambo ebyamugumya naye nga byakisa nti: “Munange nkusaasira, naye ogenda okuyimirirawo ku Iw’ensonga eyamazima, newakubadde nze wadde omuserikale omulala yenna kyatakolanga mu ntalo zaft&pos;e ezikyasinze okuyiwa omusaayi. Naye ensonga yo bw’eba y&pos;amazima era nga naawe okikakasa, nkusaba ogende mu maaso mu linnya lya Katonda, tobaako ky’otya, Katonda si wakukwabulira ” - D’Aubigne, b. 7, ch. 8. EE 98.1

Lw’ali olwo Luther n’atuuka mu lukiiko. Kabaka n’atuula mu ntebe ye. Nga yeetooloddwa abantu abeebitiibwa mu bwakabaka bwe. Nga tewabangawo muntu yenna yali alabiseko mu lukiiko luno olw’ekitiibwa nga bwe lwali ku mulundi guno Luther mwe yali ow&pos;okwanukulira ensonga ezikwata ku kukkiriza kwe. “Kano kaali kabonero ka kuwangulwa eri obwapapa. Papa yali amaze okusingisa Luther omusango, naye ate kaakano ng’ayimiridde wakati mu lukiiko okwewozaako, ekokolwa ekiraga nti olukiiko luli waggulu w’obuyinza bwa papa. Papa ng’amutaddeko ebiragiro, era nga takkirizibwa na kwetaba mu bantu, naye ate kaakano ng’ayitiddwa olukiiko olusinga okuba n’ekitiibwa mu nsi yonna. Papa ng&pos;amulagidde obutaddamu kwogera kigambo kyonna ebbanga lyonna, kyokka kaakano ng&pos;anatera okwogera eri abantu enkumi n’enkumi abateze amatu okumuwuliriza nga bava mu nsi zonna omuli Obukristaayo. Luther yali ataddcwo enkyukakyuka eyannamaddala. Bwatyo Luumi ng’anaatera okuseseetulua mu ntebe ye mu buswavu n’eddoboozi ly’omusasedooti.” - Ibid., b. 7, ch. 8. EE 98.2

Luther eyazaalibwa mu maka ag’abantu ababulijjo, yawulira okutya n’ensonyi ng’ayimiridde wakati mu lukiiko olw’ekitiibwa ennyo. Era bangi ku balangira abaamulaba, bwe baamwetegereza, omu naamutuukirira n’ayogera naye mu kyama nti: “So temubatyanga abatta omubiri naye nga tebayinza kutta bulamu.” Omulala n&pos;amugamba nti: “Mulitwalibwa eri abaamasaza n&pos;eri bakabaka okubalanga nze, kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera Omwoyo gwa Kitammwe.” Bwebityo ebigambo bya Kristo ne byogerwa abantu abeebitiibwa mu nsi okuzzaamu amaanyi omuddu wa Katonda mu kiseera eky’okugezesebwa. EE 98.3

Luther yatwalirwa ddala mu maaso g’entebc ya kabaka. Ne wabaawo akasirikiriro. Omukungu mu bwakabaka naayimirira nga bw’asonga ku biwandiiko bya Luther, naasaba ayanukule ensonga bbiri - esooka oba nga akkiriza nti bibye, n&pos;ekirala oba nga ayinza okubyenenya. Olw’okubanga ebitabo byali bimaze okusomebwa emitwe gyabyo, Luther kwe kwanukula ku nsonga esooka nga bw’akkirizza nti bibye. Ku nsonga ey’okubiri yagamba: “Olw’okubanga cnsonga ey&pos;okubiri ekwata ku kukkiriza n’okulokolebwa okw’emyoyo, era nga mu yo mulimu Ekigambo kya Katonda ekyomuwendo mu ggulu era ne ku nsi, nnyiinza obutayanukuza magezi bwe sisooka kuloowooza ku kyenziramu. Bye nnaayogera biyinza obutamatiza olw’okubanga sibyogedde byonna, oba nnyiinza okwogera ebingi, ne nnyonoona eri ebigambo bya Kristo: ‘Naye buli alineegaanira mu maaso g’abantu nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.’ (Matayo 10: 33). Olw’ensonga eyo kyenva nsaba ai kabaka onzikirize mu buwombeefu obwekitalo mpeebwe ekiseera nsobole okwanukula nneme okwonoona eri ekigambo kya Katonda.” D’Aubigne, b. 7, ch. 8. EE 98.4

Luther okusaba kwe yakuleeta mu bwegendereza. Era olukiiko ne lumanya nga tayogeredde mu kubuguumirira wadde okunyigirizibwa. Yayinza okwanukula ku buli nsonga yonna mu kusalawo okutuufu, mu magezi, okwegendereza, n’okusaamu ekitiibwa buli yenna, kyokka n’anenya obunyoomi n’amalala gaabwe olw’okuba omukakkamu, n’okwefuga, abalabe be ne beewuunya. EE 99.1

Enkeera w’alwo n’addayo mu lukiiko okwanukula byonna. Emirundi egimu omutima gwe gw’amwenyikanga buli lwe yalowozanga ku maanyi ageekobanye okulwanyisa amazima. Okukkiriza kwe ne kuwebuuka; naawulira okutya n&pos;okukankana. Ng’awulira obubi bumweyongedde; abalabe be ne baba ng’abatuuse ku buwanguzi, n’amaanyi ag’ekizikiza nga gafuze wonna. Ng’alaba ng’ebire ebimubisse okumwawula ku Katonda. N’anoonya okubeerawo kwa Mukama Katonda ow’amaggye mu nda mu ye. Omwoyo gwe ne guboyaana nga bw’avuunama ku ttaka okukaabirira Katonda nga bw’ayuza omutima gwe, naye nga Katonda yekka y’amutegeera. EE 99.2

“Ai Mukama Katonda ataggwaawo, ensi eno nga mbi nnyo! Laba eyasamizza akamwa kayo okummira, era nga sikyagirinamu bwesige... Era oba nga obwesige bwange bwonna buli mu nsi muno, obwange bukomye... Essaawa yange esembayo etuuse, mmaze okusalirwa omusango... Kitange nsaba ondokole eri okutegeera kw’ensi. Nkolera kino kyokka... kubanga buno obuyinza si bwange, buli mu mikono gyo. Sirina kye nyinza kukola, era sirina kye neegomba kuva mu bantu bano.... Guno omulimu gugwo,... era okuyita mu gwo abantu bafuna obulamu obutaggwaawo. Ai Mukama onsaasire! Sirina mu muntu mulala yenna mwe nteeka bwesige wabula ggwe Katonda omwesigwa era atakyukakyuka.... Omuntu teyesigika; okufuba kw’omuntu kulemererwa.... Ggwe wannonda ku Iw’omulimu guno.... Nsaba ompanirire, olw&pos;ekisa ky’Omwana wo omwagalwa Yesu Kristo, oyo omukuumi wange, engabo yange era ekigo kyange ekyamaanyi.” - Ibid., b. 7, ch. 8. EE 99.3

Tekwali kutya by’agenda kubonaabona wadde okutya okufa okwamuli okumpi ennyo nti bye byamutiisa, naye Oyo ensibuko y’okutegeera yakkiriza Luther amanye era ategeere ekiseera ekizibu ky’alimu, aleme kweyinulira ku maangi ge si kulwa ng’agwa mu kabi nga tamanyiridde. Yategeera obuteyinza bwe, bwe yamanya nti atuuse mu katuubagiro. Era naamanya nti amazima gayinza okusaanawo olw’obunafu bwe. Kwe kumeggana ne Katonda enjiri etuuke ku buwanguzi, naye si Iwakwagala kwewonya. Omwoyo gwe nga guboyaana okuweebwa amaanyi nga Isiraeri bwe yameggana mu kiro kiri ne malayika. Era yawangulira awamu ne Katonda okufaanana ne Isiraeri. Okukkiriza kwe kwanywezebwa ku Kristo Omulokozi ow’amaanyi. Yafuna amaanyi bwe yamanya nti tagenda kuyimirira bw’omu mu kaguli wakati mu lukiiko. Yafuna essanyu era n’emirembe ne gidda mu mutima gwe kubanga yakkirizibwa okusitulira waggulu ekigambo kya Katonda eri abafuzi bano ab’ensi. EE 99.4

Luther yeteekerateekera olutalo ng’amanyi nti ali wamu ne Katonda. Yafumiitiriza ku ngeri bwanayanukulamu, era n’afuna n’ekiseera okwetegereza ebiwandiiko bye, nga bw’anokolayo n’ebyawandiikibwa by’anajuliza okunyweza ensonga ye. Bweyamala ebyo, kwe kuteeka omukono gwe ogwakkono ku muzingo gw’Ebyawandiikbwa Ebitukuvu ogwali omubikkule, n’awanika omukono gwe ogwaddyo eri eggulu n’alayira, “okusigala nga mwesigwa eri enjiri era ayatule okukkiriza kwe wakati mu ddembe, nga siwakutiisibwa ne bwekinaategeeza kuwaayo musaayi gwe.” - Ibid., b. 7, ch. 8. EE 99.5

Mu maaso ge temwalabikamu kutya naakatono wadde okuwulira ensonyi oluvannyuma ng’azziddwayo mu maaso g’olukiiko. Yali mukakkamu era omuteefu so nga wakitiibwa mundabika wakati mu bantu abeebitiibwa ab’ensi mwe yayimirira okujulira Katonda. Bwatyo kwe kusabibwa ayanukule oba nga yandyagadde okwegaana enjigiriza ze. Yaddamu n’eddoboozi ery’egonjebwa nga takakiddwa era awatali kukyamuukirira. Yalabika ng’akyuseeko mu ndabikaye era assibwamu ekitiibwa kyokka ng&pos;anywerera ku nsonga ate nga musanyufu ekyewunyisa olukiiko. EE 100.1

“Ai kabaka, abalangira abeekitiibwa ennyo, awamu n’abakungu ba kabaka, nnyimiridde mu maaso gammwe olwaleero olw&pos;ekiragiro kye nnaweereddwa olunaku olwayise n’olwekisa kya Katonda, nga nkwegayirira ai kabaka awamu n’olukiiko luno olw’ekitiibwa ennyo okumpuliriza mu kisakyo nga nnyanukula ensonga gyenkakasa nti y’amazima ddala. Nsaba okusonyiyibwa bw&pos;emba nga mpubiddwa mu kwogera ne mu mateeka agafuga ekifo kino; kubanga ssaakulira mu lubiri Iwa bakabaka wabula mu kigo.” - Ibid., b. 7, ch. 8. EE 100.2

Bweyadda ku nsonga eyamuyisa, yagamba nti ebiwandiiko bye birimu enjawulo. Ebimu byali byogera ku kukkiriza awamu n’ebikolwa ebirungi nga n’abalabe be tebaakoma na kubisiima kyokka naye baabiraba nga byamugaso. Kaakati okubimenyawo kitegeeza kuwakanya mazima agakkirizibwa ku buli luuyi. Ebirala byo nga byogera ku bwonoonefu n’ebikolobero ebikolebwa obwapapa. Bw’abimenyawo aba awadde Luumi bbeetu egende mu maaso okulinnyirira eddembe ly’abantu awamu n’okukola ebibi ebisingawo. Mu kiti ekyokusatu, yavumirira bantu abawolereza obubi obwali mu kkanisa. Olw’ensonga ezo kwe kutegeeza nga awulira yeetamiddwa n’okusingawo era nga tayinza kusazaamu bitabo bye, kubanga mu kukola ekyo, aba awagira balabe abalwanyisa amazima, bwebatyo batune omukisa okusaanyawo abantu ba Katonda mu bukamwe obusingako. EE 100.3

Kyokka yagamba nti, “Naye ndi muntu buntu so si Katonda; era nja kwogera nga Kristo bwe yayogera nti: ‘Bwemba njogedde bubi bannumirize ekibi .... Era olw’ekisa kya Katonda, nkwegayirira ai kabaka nammwe abalangira ebeekitiibwa ennyo era nammwe abantu mwenna abali wano mu biti ebyenjawulo, ndagibwe okuva mu biwandiiko by’abannabbi n&pos;abatume we nsobezza. Nsuubiza okumenyawo buli kigambo kyonna era nkwate ebitabo byange byonna mbisuule mu muliro amangu ddala nga ndagiddwa ensobi ezibirimu. EE 100.4

Byonna bye njogedde nkakasa nga mmaze kubyekeneenya era nga mmanyi n’akabi ke neeteekamu; naye ndi musanyufu okulaba ng’enjiri y’evaamu entalo n’okwawukana era nga bwekibadde ne mu biseera ebyayita, kyokka era siriiko ky’entidde. Eyo y’engeri y’ekigambo kya Katonda. Kristo yagamba nti: ‘Sajja kuleeta mirembe mu nsi, wabula ekitala.’ Ebigambo bya Katonda byakitalo; n’olwekyo twegendereze, si kulwa tuwaliriza Ekigambo kya Katonda Ekitukuvu ne tweretako akabi, kawumpuli oba okuzikirira emirembe gyonna olw’okwagala okumalawo enkayana.... Nnyinza okujuliza ebyokulabirako bingi okuva mu kigambo kya Katonda; nnyinza okwogera ku Bafalaawo, bakabaka b’e Babulooni era n’aba Isiraeri; nga mu kifo ky’okufuna amagezi ge beetaaga olw’okugaziya obwakabaka bwabwe, beeyitira kuzikirira. ‘Katonda yasiguukulula ensozi ezaabali mu maaso gaabwe, naye tebakimanya.’ Ibid., b. 7, ch. 8. EE 100.5

Mu kiseera kino Luther yali ayogerera mu lulimi Lugirimaani; kyokka era yasabibwa ayogere ebigambo byebimu ne mu Lulatini. Newakubadde nga yali akooye nnyo olw’okusengeka ebigambo bye olubereberye, yakkiriza okuddamu okwogera kwe mu ddoboozi eritegerekeka era ne mu maanyi agasingako. Mazima Katonda yamuluŋŋamya. Bwe yaddamu okwogera omulundi ogwookubiri, okutegeera kw’abalangira okwali kuzibiddwa obulimba n’obusamize bwa Luumi ne beeyongera okulaba nsonga n’okunnyonnyoka obulungi. EE 101.1

Kyokka waaliwo abeejuumuula olw’okukakanyaza emitima gyabwe ne baziba amaaso gaabwe obutalaba musana era ne bagaana okukkiriza amazima olw’amaanyi agaali mu bigambo bya Luther. Ng’afundikidde ebigambo bye, omwogezi w’olukiiko kwe kumuddamu mu ddoboozi ekambwe nti: “Toyanukudde kibuuzo kikubuziddwa.... Osabibwa okwanukula ensonga emu yokka.... Ebigambo byo obimenyawo oba nedda?” EE 101.2

Luther yaddamu nti: “Olwokubanga ai kabaka onsaba nnyanukule mu bigambo ebyangu era ebitegerekeka obulungi, njakuddamu n’ekigambo kimu era nga ky’ekino: “Siyinza kuteeka kukkiriza kwange mu papa wadde mu lukiiko Iwe, kubanga kibadde kitegerekeka bulungi nga bombi babadde bakola ensobi buli kiseera era nga bakubagana empawa. N’olwekyo, okujjako nga nkakasiddwa okuva mu Byawandiikibwa oba nga bannyinnyonnyodde mu ngeri etegerekeka obulungi, era okujjako nga ndagiddwa okuva mu nnyiriri ze nnokoddeyo, era okujjako nga nkyusiddwa okutegeera kwange okuyita mu kigambo kya Katonda, siyinza era sijja kubimenyawo, kubanga kyabulabe Omukristaayo okwewakanya. Nnyimiridde wano ku magulu gange, sirina kirala, Katonda wange nnyamba. Amiina.” Ibid., b. 7, ch. 8. EE 101.3

Bwatyo omutukuvu wa Katonda bwe yayimirira ku musingi omunywevu ogw’ekigambo kya Katonda. Amaaso ge ne gaakayakana olw’okumulisibwa kw’omusana okuva mu ggulu. Yasobola okutegerekeka ng’omusajja owamaanyi era omuzira, alina essanyu n’emirembe mu mutima, bwe yayimirira okuwakanya amaanyi g’obulimba mu maanyi ag’okukkiriza okuwangula ensi. EE 101.4

Olukiiko Iwonna ne lusirikirira nga lwewunya okumala akaseera. Bwe yali ng’ayanukula omulundi gwe ogwasooka, Luther yayogera n’eddoboozi nga lya wansi, mpozi olw’okussaamu ekitiibwa olukiiko n’okuba omuwulize. Abaluumi ne balowooza nti oba oli awo amaanyi gamuwedde. Era baalowooza nti agenda kwemenya olw’okulwawo okuddamu ebimusabiddwa okwanukula. Nga ne kabaka Charles alabika nga eyenyiyiddwa olwa Luther okulabika ng’aweddemu amaanyi, n&pos;olw’ennyambala ye awamu n’okwogera mu ngeri ennyangu, ekyamuleetera n’okwogera nti: “Omusasedooti ono aleme kunneyisizaako.” Naye ku mulundi ogwookubiri, yeewunyisa enjuyi zombi bwe yayogera mu maanyi ate nga munywevu mu kunnyonnyola ensonga. Kabaka ne yewuunya era n’agamba nti: “Kaakano no ayogedde nga talinaamu na kutya.” Era n’abalangira ba Bugirimaani ne bawulira essanyu n’okwenyumiriza mu muntu ono ayimiriddewo ku lw’ensi yaabwe. EE 101.5

Abawagizi ba Luumi ne bazingibwako; ebigendererwa byabwe nga byanikiddwa. Baayagala okunyweza obufuzi bwabwe kuyita mu kutiisatiisa so si kuyita mu Byawandiikibwa, ng’enkola ya Luumi bw’eri. Omwogezi w’olukiiko kyava ayogera nti, “Bw’otomenyawo bigambo byo, kabaka awamu n’amasaza ag’obwakabaka baakwebuuza okulaba eky’okukolera obujeemu bwo.” EE 101.6

Naye mukwano gwa Luther eyawulira essanyu Luther bwe yali yeewozaako, naakankana bwe yawulira ebigambo ebyo; kyokka Luther n’addamu n’eddoboozi ery’egonjebwa nti: “Mukama anyambe, kubanga sirina kye nyinza kumenyawo.” - Ibid., b. 7, ch. 8. EE 102.1

Luther n’alagirwa okufulumizibwa wabweru w’olukiiko, abalangira nga bwe bebuuza ekyokukola. Mazima kyalabika ng’esi yonna etuuse mu katyabaga. Luther okusalawo alemere ku nsonga, ky’andikyusa ebyafaayo by’ekkanisa emirembe gyonna. Ne basalawo aweebweyo omukisa gumu gwokka okumenyawo ebigambo bye. N’aleetebwa omulundi ogusembayo mu lukiiko. Ne bamubuuza oba nga aneegaana enjigiriza ze. N’abaddamu nti: “Sirina kye nyinza kwanukula kirala kisinga awo.” Ne kirabikirawo nga tewali kiyinza kumusendasenda kakibe kumutiisatiisa wadde okumusuubiza ebisuubizo asobole okugondera obuyinza bwa Luumi. EE 102.2

Abalabirizi ba Luumi ne bawulira okuswala nga balaba obuyinza bwabwe obwakankanyanga bakabaka b’ensi n’abalangira, bunyoomebwa omusasedooti; so nga baayagala alege ku kiruyi okuyita mu kumubonyabonya. Kyokka Luther yali amanyidde ddala akabi akamwolekedde, kyeyava ayogera ebigambo ebyo byonna ng’omukristaayo naye mu bukakkamu. Mu bigambo bye temwalabikamu malala, okucamukirira wadde okwefuula ky’atali. Yeggyako okwerowoozaako era n’abuusa amaaso abantu abamaanyi abaali bamwetolodde, ne yeeraba ng’ali mu maaso g’Oyo asinga ba papa, abalabirizi ne bakabaka bonna. Kristo yayogera mu maanyi n&pos;ekitiibwa okuyita mu bigambo bya Luther, abalabe be era ne mikwano gye ne bajjula okwewunya n&pos;entiisa. Omwoyo wa Katonda ng’ajjuziddwa ekisenge olukiiko mwe lwatuula okulumiriza emitima gy’abafuzi b’obwakabaka. Era bangi ku balangira ne baatula nga ensonga ya Luther y’amazima. Bangi ne bakkiriza amazima; kyokka abamu tebaganywereramu. Naye waaliwo n’ekibiina ekirala abatakwatibwako na bigambo bye mu kiseera ekyo, abenoonyeza amazima okuyita mu Byawandiikibwa, era ne babeera bawagizi abessimba oluwanyuma. EE 102.3

Owessaza lye Saxon, Frederic, yayagala nnyo Luther alabikeko mu lukiiko, era nga yegomba okuwulira okwogera kwe. Yamuwuliriza mu ssanyu n’okwenyumiriza, ng’alaba obuvumu n’obumalirivu Luther bwe yakozesa mu kwewozaako. N’agerageranya enjuyi zombi, era n’alaba nga endowooza y’obwapapa, bakabaka, n’abalabirizi ba Luumi eteekeddwa ku minzaani. Mazima Luumi yafuna ekiwundu ekyali eky’okutegeerwa amawanga gonna okumala emirembe gyonna. EE 102.4

Omukiise wa Luumi bwe yalaba nga ebigambo bya Luther bikosezza obuyinza bwa Luumi, n’atya nnyo ekitabangawo, era naasala amagezi gonna okusaanyawo Luther. Yakozesa obukugu bwonna awamu n’ekirabo kye eky’okwogera nga bwe yali amanyiddwa, n’ategeeza kabaka ono eyali akyali omuvubuka akabi akayinza okuva mu kuwonya omusasedooti ono atalina bwali, n’okufiirwa omukwano era n’enkolagana wakati we n’ekitebe ky’obwapapa e Luumi. EE 102.5

Ebigambo bye tebyagendera awo. Enkeera w’olunaku Luther lwe yasabibwa amenyewo ebigambo bye, kabaka Charles n’alangirira nga bw’amaliridde okuteeka mu nkola, okukuuma n’okunyweza enkolaganaye awamu n’ekkanisa y’e Luumi. Olw’okubanga Luther agaanye okwenenya ensobi ze, agwanira okuyisibwa mu ngeri ey’obukambwe nga kw’otadde n’enjigiriza ze zaayigiriza. “Omusasedooti omu, eyawubisibwa olw’obutamala kulowooza, kaakano asitukidde mu ddiini eri munsi EE 102.6

zonna omuli Obukristaayo. Bwensalawo okuwonya obukafiiri obwo, n’aba ntadde obwakabaka bwange, obugagga bwange, abeemikwano, omubiri gwange, omwoyo gwange, n’obulamu bwange mu matigga. Dņenda kugoba Luther mu maaso gange, obutaddamu kuwuliriza musango gwe nate, era aleme kuddamu kuleeta butabanguko mu bantu; n’ekiddako, ŋŋenda kumulwanyisa awamu n’abagoberezi be abafuuse eņņumya mutwe, bagobwe ne mukanisa, era baziyizibwe okukolebwako emikolo gy’ekkanisa awamu n’okukola kyonna ekisoboka okubazikiriza. Era nkowoola abantu bonna mu ggwanga lino okweyisa ng’Abakristaayo abeesigwa.” - Ibid., b. 7, ch. 9. Naye newakubadde nga kyali bwekityo, kabaka yakkiriza Luther asigale ng’akyalina obukuumi obwamuweebwa, era akkirizibwe okutuuka ewuwe mu maka ge mirembe awo no alyoke avunaanibwe. EE 103.1

Ne wasituka empaka wakati wabakiise mu lukiiko. Ababaka ba papa awamu n’abalabirizi ba Luumi, nga baagala ebbaluwa ya Luther emuwa obukuumi esazibwemu. Baagamba nti: “Omugga Rayini gulinze okwaniriza ewu lye gulikulukuse nga bwe gwakulukusa evvu lya Huss emyaka kikumi egiyise.” - Ibid., b. 7, ch. 9. Naye newakubadde nga abalangira ba Bugirimaani baali bagoberezi ba papa, era nga beerangirira nga ne bwe bali abalabe ba Luther, baawakanya era ne batakkiriza kusuula bwesige abantu bwe babalinamu olw’okumenya ekisuubizo n&pos;okwonoona ekitiibwa ky’eggwanga. Ne babanokolerayo ku bibonobono ebyaddirira okuttibwa kwa Huss, nga tebayinza kwaņņanga kukkiriza bibi byenkanidde awo kuddamu kutuuka ku Bugirimaani era ne kabaka waabwe akyali omuvubuka. EE 103.2

Charles ng’abanukula ku busiiwuufu bw’empisa bwe baayogerako, yagamba nti: “Newakubadde nga okukkiriza n’obuntu bulamu biyinza okusaanawo mu nsi yonna, naye kibigwanira okusigala mu mitima gy’abalangira.” - Ibid., b. 7, ch. 9. Kyokka era ne wabaawo omulala ku bagoberezi ba papa eyali omubi ennyo n’amusokasoka akkirize okuwaayo Luther mu buyinza bwa Luumi nga Sigismund bwe yakola Huss, kabaka Charles yagamba nti: “Ate siyinza kukkiriza kuswala kutuuka ku ekyo nga Sigismund.” Lenfant, vol. 1, p. 422. EE 103.3

Ekyennaku, Charles yagaana okukkiriza amazima agamutegeezebwa Luther. Era n’awandiika nti: “Mmaliridde okugoberera eky’okulabirako kya bajyajjange.” EE 103.4

D’Aubigne, b. ch. 9. Yasalawo nga tayinza kutaggulula kigere kye okuva ku buwangwa bwe, wadde okutambulira mu kkubo ery’amazima n’obutuukirivu. Yakkiriza okuwanirira obwapapa newakubaadde nga mu bwo mwali mujjudde ettemu n’obuli bwenguzi, kubanga bakitaawe nabo bwe baakola. Bwatyo naye naasalawo okujeemera omusana ogwasooka okwakira bakitaawe, wadde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bo bwe batatuukiriza. EE 103.5

Bangi leero abagugubidde ku bulombolombo n’obuwangwa bwa bakitaabwe. Katonda bw’abaweereza omusana omuggya, tebagukkiriza, kubanga, ne bazadde baabwe nabo tebaagukkiriza. Tuli mu kiseera kyanjawulo okuva ku ekyo bakitaffe mwe baali; n’olwekyo, obuvunaanyizibwa bwaffe ne byetugwanidde okukola byawukana nnyo okuva ku byabwe. Katonda tatusiima lwa kutunuulira ku byakulabirako bya bakitaffe olw’ebyo bye tulina okukola, okujjako ffe okwenoonyeza ekigambo eky’amazima. Obuvunaanyizibwa bwaffe bugazi nnyo okusinga ku bwa bajjajjaffe. Tuvunaanyizibwa okukuuma omusana bo gwe baafuna, era naffe ogwatukwasibwa ng’ekyobusika, kyokka era tuvunaanyizibwa ku musana oguzze gweyongera okutwakira okuva mu kigambo kya Katonda. EE 103.6

Kristo yagamba ku Bayudaaya abatakkiriza nti: “Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw’ekibi kyabwe.” Yokaana 15: 22. Amaanyi ag’obwaKatonda ge gamu gaayogera eri kabaka n’abalangira ba Bugirimaani okuyita mu Luther. Omusana buli lwe gwamulisibwanga okuva mu kigambo kya Katonda, Omwoyo nga yegayirira bonna abaali mu lukiiko omulundi ogusembayo. Nga Piraato bwe yakkiriza amalala n’okwagala okuganja ne bikakanyaza omutima gwe eri Omununuzi w’ensi; nga Felikisi bwe yatya n’agamba omubaka ow’ekigambo eky’amazima nti, “Genda; bwe ndiba n’ebbanga, ndikuyita;” nga kabaka Agulipa bwe yagamba Pawulo nti: “Oyagala okunsendasenda onfuule omukristaayo” (Ebikolwa by’Abatume 24: 25; 26: 28), naye n’agaana okwetwalira obubaka okuva mu ggulu - bwatyo ne kabaka Charles bwe yali: yawuliriza amalala n’enkola y’ensi, bwatyo n&pos;agaana okwetwalira omusana ogw’amazima. EE 104.1

Eņņambo ne ziyitiŋŋana wonna, ekibuga kyonna ne kigwamu akajagalalo. Nga Luther alina emikwano mingi, era olw’emikwano egyo, ne bamanya ku nkwe za Luumi nga bw’eteyinza kukkiriza muntu yenna ayanika ebikolobero bye okusigala nga mulamu. Abakungu bangi ne beeyama okumuwa obukuumi. Era bangi ne bavumirira ekiragiro kya kabaka olw’okwolesa obunafu bwabwo eri obuyinza bwa Luumi. Ebipande ne bitimbibwa wonna ku miguukiriro ne ku nzigi z’amayumba nga bivumirira n’okuyozayoza Luther. Ne ku bimu nga kuwandiikiddwako ebigambo by’omugezigezi omu nti: “Zikusanze, ggwe ensi, kabaka wo bw’aba nga ye mwana muto.” Omubuulizi 10: 16. Okwagalibwa Luther kwe yayagalibwamu okwetoloola wonna mu Bugirimaani ne kuwangula kabaka awamu n’olukiiko nga singa avunaanibwa mu butali bwenkanya kijja kutabangula emirembe wonna mu bwakabaka sinakindi, ne nnamulondo. EE 104.2

Owessaza ly’e Saxony, Frederic ne yeekuuma obutalaga nnyo ndowooza ye eri Luther, naye ate nga bw’akola kyonna ekisoboka okumukuuma n’okumulabula ku biyinza okumutuusibwako abalabe be. Kyokka era waaliwo n’abalala bangi abataayinza kukigumiikiriza okulaga okulumwa kwabwe eri Luther. Era bangi ku banene omwali abalangira, abagagga, babinojjo era n’abalala abeebitiibwa mu kkanisa era ne mu nsi, ne bamukyaliranga. “Akayumba ka Luther nga tekayinza kutuuza bagenyi abamukyaliranga entakera.” Omuwandiisi ayitibwa Spalatin, bweyawandiika. (Martyn, vol. 1, p. 404.) Abantu ne basamalirira okumutunulako ng’oyinza okulowooza nti oba oli awo ye si muntu. Era n’abo abatakkiririza mu njigiriza ze nga tebayinza kukigumiikiriza okujjako okujja okulaba obwesigwa obwagulumira obutuusa omuntu okuwaayo obulamu bwe okusinga okuzzannyira ku ndowooza ye. EE 104.3

Ne bakola kyonna ekisoboka okumukirizisa atabagane ne Luumi. Abamu ku bakungu era n’abalangira ne bamutegeeza nti bw’anawakanya ennyo ekkanisa y’e Luumi awamu n’olukiiko, ajja kwesanga nga agobeddwa mu bwakabaka era abulwe n’obukuumi. Luther yaddamu okusaba kwabwe nti: “Enjiri ya Kristo teyinza kubuulirwa n’etenyiiza muntu yenna.... Kaakano Iwaki okutya oba okweralikirira ebinajja binjawule okuva ku Mukama wange, era n’okuva ku kigambo kya Katonda kyokka omuli amazima? Nedda. Kisingako nze okuwaayo omubiri gwange, omusaayi gwange era n’obulamu bwange.” - D’Aubigne, b. 7, ch. 10. EE 104.4

Kyokka era yasabibwa akkirize okusalawo kwa kabaka, awo nno aweebwe n’obukuumi. Yabaddamu nti: “Nzikiriza kyonna ekinansabibwa n’omutima gwange gwonna nga kavuna kabaka, abalangira oba Omukristaayo yenna anyoomebwa bakkiriza okunnamula, naye nga beesigama ku kigambo kya Katonda. Abantu ekyo kye bavunaanyizibwa okugondera, so si kirala. Temugezaako kutiisatiisa kutegeera kwange okwanywezebwa n’olujegere olw’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu.”- Ibid., b. 7, ch. 10. EE 105.1

Ate abalala bwe baamusaba abe muwulize yagamba nti: “Nzikiriza okufiirwa obukuumi bwe mpeebwa; era ne nteeka omubiri gwange awamu n’obulamu bwange mu mikono gya kabaka, naye ku kigambo kya Katonda, siyinza!” - Ibid., b. 7, ch. 10. Yakkiriza okuba omuwulize eri okusalawo kw’olukiiko, naye nga olukiiko lulamula ensonga okusinziira ku Byawandiikibwa. Yayongerako ne kino: “Buli Mukristaayo yenna asobola okuba omulamuzi omulungi okwenkana ne papa mu kulamula ensonga ezikwatagana n’ekigambo kya Katonda awamu n’okukkiriza.” - Martyn, vol. 1, p. 410. Mikwano gya Luther awamu n’abalabe be ne bakikakasa nga okufuba kwabwe mu kwongera okubatabaganya kwa kugwa butaka. EE 105.2

Singa Luther yakkiriza n’ajemulukuka newakubadde mu nsonga entono ennyo, Setaani yandibadde awangudde. Naye okukkiriza kwe okutayugayuga kwe kwanunula ekkanisa era ne kuteekawo essuula empya n’entandikwa ey’omulembe omulungi. Ekkanisa yajjamu enkyukakyuka eyatuuka ne mu nsi, so si mu kiseera kye kyokka, naye era ey’okutuuka ne ku mirembe egirijja olw’omuntu ono omu eyakkiriza okuwaayo obulamu bwe olw’okukkiriza. Bangi ab’okuyita mu kugezesebwa kwe kumu bayinze okuddamu amaanyi okutuuka ku nkomerero y’ekiseera olw’obwesigwa era n’obugumu bwe. Amaanyi ga Katonda omuyinza w’ebintu byonna nga gali waggulu okukira enkiiko z’abantu era okukira amaanyi ga Setaani. EE 105.3

Kabaka n’alagira Luther addizibweyo ewuwe, era ng’ekiragiro kino kyakugobererwa amangu ddala nga yakasalirwa omusango. Olugendo lwe lwonna Iwajjula entiisa; naye ate bwe yasimbula ekigere okuva e Worms, omwoyo gwe ne gujjula essannyu n’okutendereza. Yagamba: “Setaani yakuuma ekigo papa mwatuula; naye Kristo yakikubamu omuwaatwa; era Setaani yawalirizibwa okwatula nga Mukama wamaanyi okumusinga.” D’Aubigne, b. 7, ch. 11. EE 105.4

Luther yawandiikira kabaka ng’amaze okusimbula, kabaka aleme kumulowoleza nti oba oli awo yagugubye bugugubi, n’amugamba nti: “Katonda yamanyi eby’omunda eby’amazima, era ye mujulizi wange, nga ndi mwetefuteefu okuba omuwulize eri obwakabaka, mu kubuwa ekitiibwa kyonna ekibusaanira, mu bulamu ne mu kufa, nga serekeddeeyo kintu kyonna okujjako okuba omuwulize eri ekigambo kya Katonda ekibeezaawo omuntu. Obwesigwa bwange si bwakuyuzibwa olw’ebyo byensisinkana mu bulamu buno, kubanga nze okubufiirwa oba okuba omulamu, tekirina makulu ku bulokozi. Naye mba muwulize nnyo ku ebyo Katonda by’ayagala okusinga okuwulira omuntu ku nsonga y’obulamu obutaggwaawo. Kubanga obuwulize eri Katonda kwe kusinza okw’amazima, era nga buteekwa kuweebwa Mutonzi yekka.” - Ibid., b. 7, ch. 11. EE 105.5

Bweyali mu lugendo lwe ng’ava e Worms, yasisinkananga abantu bangi abamususuutasuusuta olw’obuwanguzi bwe yatuukako. Abalangira b’ekeleziya ne EE 105.6

baaniriza omusasedooti eyagobwa mu kkanisa y’e Luumi, n’abafuzi ne bamwaniriza mu kitiibwa so nga kabaka yajjawo enkolagana ye awamu naye. Yasabibwa addemu okubuulira mu kkanisa, era n’alinnya ku kituuti okubuulira so nga tafiiddeyo na ku kiragiro ky’abwakabaka ekimuziyiza. Yagamba nti, “Sisuubizangako nti ndiggalira ebweru ekigambo kya Katonda, era sirikola.” - Martyn, vol. 1, ch. 420. EE 106.1

Abagoberezi ba papa bawangula omutima gwa kabaka oluvannyuma nga yaakava e Worms, kabaka n’amuweereza ekiragiro. Mu kiragiro kino, Luther yavumirirwa nga “Setaani yennyini ali mu kifaananyi ky’omuntu era ayambadde ekyambalo ky’omusasedooti.” - D’Aubigne, b. 7, ch. 11. Era, ne kitegezebwa wonna nti ebbaluwa emuwa obukuumi bw’eriyitako e-kiseera, alagirwe obutaddamu kuweereza mu ngeri yonna. Abantu bonna ne bakugirwa obutamubudamya, okumuwa emmere, ekyokunywa, okwogera naye oba okwetaba naye wakati mu bantu oba mu nkiso, wadde okumuwa obuyambi obw’engeri yonna. Ng’alina okukwatibwa wonna waali, era aweebweyo mu mikono gy’abobuyinza. Abagoberezi be nabo bakwatibwe era baggalirwe mu makomera nga kwotadde okuwamba ebintu byabwe. Ebiwandiiko bye bizikirizibwe, nga n’ekisembayo, buli yenna anaajeemera ekiragiro kino, avunaanirwe wamu naye. Ekiragiro ne kisembebwa olukiiko nga n’owessaza ly’e Saxony awamu n’abalangira abaali mikwano gya Luther, nabo bamaze okuva e Worms. Abaluumi ne bajaganya olw’obuwanguzi. Mpozzi nga balowooza nti omulimu baguggalidde. EE 106.2

Katonda yakkiriza okuteerawo omudduwe obuddukiro mu kiseera kino ekyobulabe. Eriiso lye eritabongoota ne limukulemberanga wonna gy’atambulira, era oyo alina omutima ogw’amazima, yamulokola mu balabe be. Anti nga Luumi yandimatidde Luther amaze kufa; naye Katonda n&pos;amujja mu mannyo g’empologoma. Owessaza ly’e Saxony, Frederic yaluŋŋamizibwa mu ngeri y’okukuumamu Luther. Yamukweka okuva ku balabe be bwe yakolaganira awamu ne mikwano gye ddala. Yawambibwa mu kkubo bwe yali ng’akyatambula okudda eka, n’agibwa ku bakuumi be, n’addusibwa okuyita mu kibira bwatyo n’atwalibwa ku lusozi olwesudde e Wartgurg awaali olubiri. Yabulako amayitire okumala ebbanga era ne Frederic kyamutwalira ekiseera okumanya we yatwalibwa. Olw’okubanga n’owessaza naye yali tamanyi waali, kubanga baakigendera okumukweka, yali talina kyayinza kwogera. Kimu kyokka kye yali amanyi nti, Luther ali mu mikono mirungi. Omwaka ne guyita Luther nga musibe. Aleander ne banne ne bajaguza olw’omusana ogw’enjiri ey’amazima okulabika nga oguzikira. Naye Luther yali mu kujjuza tabaaza ye n’amafuta ag’amazima, omusana gwayo gulyoke gumulisibwe mu kitiibwa ekisingako. EE 106.3

Luther yafuna okutowolokokako okuva ku ntunuunsi z’entalo bwe yali ng’asibiddwa mikwano gye okumala akaseera. Naye teyali mumativu okuba nga asibiddwa emimwa n’ettuula wamu. Yalwalanga buli lwe yatuulanga awo nga talina ky’akola, olw’okubanga yamanyiiza okukozesa omubiri gwe n’okugukakalukanya. Yafumiitiriza ku ngeri ekkanisa gy’erimu mu kiseera ekyo, naakaaba nga munakuwavu. “Woowe! Laba tesigaddeyo n’omu okuyimirirawo nga bbugwe ku lwa Mukama okulokola Yisiraeri mu nnaku zino ezisembayo ez’obusungu bwe.” Ibid., b. 9, ch. 2. Ate era ebirowozo bye ne bimujjukiza nti si kulwa nga avunaanibwa ogw’okuba omutitiizi okudduka mu lutalo. Ne yeenenya okukola ekibi ng’ekyo EE 106.4

eky’okuba omunafu n’okwerowozaako. Naye ng’ate akola omulimu munene ogwandikoleddwa omuntu asukka ku omu. Ng’omukono gwe tegutudde mu kuwandiika. Abalabe be ne beewunya bwe baakizuula nti abadde teyebase, ng’ate bo babadde mu kwesanyusa n’okulowooza nti baamusirisa. Enkuyanja y’ebiwandiiko bye nga bisasaanye okubuna Bugirimaani yenna. Era n’akola n’omulimu ogusinga obunene ku lw’ensi ye ogw’okukyusa Endagaano empya eya Bayibuli okugizza mu lulimi Olugirimaani. N’asinziiranga ku lusozi luno Patumo olujjudde enjazi okulangirira amawulire amalungi awamu n’okunenya ensobi za Luumi ezaaliwo mu kiseera ekyo. EE 107.1

Naye ensonga Iwaki Katonda yajja Luther mu bantu teyali Iwa kumuwonya balabe be, wadde okufuna obudde obumala atuukirize emirimu gyeyakolera mu kiseera ekyakasirise. Naye waaliwo bingi bye yatuukako okusingako ku ebyo. Luther yajjibwa okuva mu bantu n&pos;atwalibwa waggulu ku lusozi aleme kwesigama ku bantu so nabo baleme okumutendereza. Bwatyo n’ataasibwa okufuna amalala n’okwematira ebitera okuva mu buwanguzi. Era olw’okubonabona n’okukakanyizibwa, yayinza okutekebwatekebwa asobole okutambula nga taliimu ntengereze olw’obuwanguzi bwe yali atuuseeko. EE 107.2

Abantu basanyuka bwe batuuka mu ddembe eriva mu kutegeera amazima, era nabwekityo, besanga nga batandise okutendereza n’okuwanawana omuntu Katonda gw’akozesezza okubasumulula mu njegere z’obulimba n’obusamize. Ekyo Setaani ky’ayagala okuwubisa ebirowoozo by’abantu babijje ku Katonda era babiteeke ku bantu; abakyusa ne badda mu kusinza ekikozesebwa bwebatyo ne berabira omukono oguluŋŋamya. Emirundi mingi, abakulembeze b’ekkanisa abatera okutenderezebwa beerabira nti besiganye ku Katonda, bwebatyo obwesige ne babuzza mu busobozi bwabwe. N’ekivaamu kwe kwagala okufuga ebirowoozo n’entegeera y’abantu bambi ababa banoonya okuluņņamizibwa okuva mu kigambo kya Katonda. Omwoyo ogwo ne gukonzibya omulimu gw’okuzza ekkanisa obuggya. Ako ke kaali akabi omulimu kw’okuzza ekkanisa obuggya mwe gwatasibwa. Katonda yayagala abantu omulimu bagwanirize ng’ogugwe so si ng’etekateeka y’omuntu. Abantu ng’amaaso bagatadde ku Luther eyajja okutangaaza amazima; bwatyo n’ajjibwawo abantu amaaso bagazze eri Ensibuko ey’amazima ag’emirembe gyonna. EE 107.3