Essuubi Eritaggwaawo

8/43

7 — Okwawukana Kwa Lutoerne Luumi

Mu abo abangi abayitibwa okukulembera ekkanisa okugiggya mu kizikiza ky’obwapaapa okugituusa mu kitangaala eky’omusana ogw’okukkiriza okusingako, mwe mwali ne Martin Luther. Luther yali musajya wamaanyi, mumalirivu, nga talina ky&pos;atya okujjako okutya Katonda, era nga talina musingi mulala gwakkiririzaamu ogufuga okukkiriza kw’Obukristaayo wabula Ebyawandiikibwa Ebitukuvu; mazima, Luther yatuukira mu kiseera kye. Katonda yatuukiriza omulimu munene nnyo ogw’okuzza ekkanisa obuggya okuyita mu Luther era n’okuleetera ensi omusana. EE 76.1

Okufaanana n&pos;ababaka b’enjiri abaamusooka, ne Luther yali ava mu maka maavu. Yamala emyaka gye egy’asooka mu maka ga kitaawe mukyalo e Bugirimaani. Kitaawe yali mukozi wa mubirombe, gye yakolanga buli lunaku okufunira mutabani ensimbi z’okusoma. Yamwagaliza kubeera pulida; naye Katonda n&pos;amwagaliza abeere muzimbi ku yeekaalu ya Katonda ennene eyali ezimbibwa ng’egenda egejja okuyita mu mirembe egy’enjawulo. Yayigirizibwa okubeera n’obulamu obw’okwerumya era obuzibu, nga ne Katonda bw’amuteekateeka olw’omulimu omukulu mu bulamu bwe. EE 76.2

Kitaawe wa Lutheryali musajya mutegeevu era ow’empisa atasangika; mwesimbu, mumalirivu era omwanjulukufu. Nga tawubisibwa okuva ku kigendererwa kye, si nsonga ne bwe kiba ki. Olw’okuba omusajua alengerera ewala, teyasanyukira bulamu bwa mu bigo abantu bwe baabeerangamu. Era tekyamusanyusa okuwulira nti Luther naye ayingiridde obulamu bwe bumu nga tamwebuzizaako; era ne kyamutwalira emyaka ebiri miramba nga tebanatabagana ye ne mutabani we, naye era yasigala nga si musanyufii. Obuyigirize n&pos;obugunjufu kye kyobusika abazadde ba Luther kye baayagala ennyo okulekera abaana baabwe. Era ne bafuba nnyo okuyigriza abaana baabwe okumanya Katonda n’okuba n’empisa ennungi ez’Obukristaayo. Abaana ne bawuliranga kitaabwe ng’abasabira bayinzenga okujyukira erinnya lya Mukama, n&pos;okutwala omulimu gwe mu maaso. Abazadde ne bafubanga nnyo okukozesa buli mukisa Katonda gwataddewo wakati mu mbeera etali nyangu okukuzaamu abaana baabwe. Ng’ebirowoozo byabwe biri mu kubateekateeka babeere bannaddiini era bamugaso ne mu nsi. Newakubadde nga emirundi mingi abazadde be baabanga bakakanyavu mu kunyweza ensonga, era nga ne Luther yasobolanga okulaba okulemwa kwabwe, yanoonyangamu ebyo ebiruungi n’abikola okusinga okubanenyanga. EE 76.3

Luther naawerezebwa ku ssomero ng’akyali mwana muto ddala, era eyo gye yayisibwa mu ngeri ey’obukambwe ennyo n’okulinyirirwa eddembe lye. Ate abazadde be okuba nga baali baavu nnyo, nga buli Iwe bamutwalanga mussomero eryewala ko okuva awaka, yagendanga ayimbira nnyumba ku nnyumba asobole okufuna ekyokulya, oluusi naasulanga n&pos;enjala. So ng’ate, olw’obusamize obungi obwali mu kkanisa mu kiseera ekyo, yajjula okutya n’okweralikiirira. Emirundi egimu yeebakanga wansi ku ttaka eyo mu ttumbi nga mwennyammivu, nga EE 76.4

talaba ssuubi mu biseera bye ebyomumaaso, n’okutya ennyo Katonda okumulaba ng’owomutima omukakanyavu, omulamuzi atalina kusaasira, omukambwe; okusinga okumulaba nga Kitaawe ow’omu ggulu ajjudde ekisa. EE 77.1

Newakubadde nga Luther yafunanga ebintu ebyamumalangamu amaanyi, yasalawo okukola ekisinga obulungi n’okweyisa obulungi era naayagalibwa nnyo. Era yayagala nnyo okuba omumanyi, n&pos;okuteeka mu nkola byayize okusinga okwelaga obwerazi. EE 77.2

Ng’awezezza emyaka kumi namunaana egyobukulu, naayingira ssettendekero e Erfut, wano ng’alabikako ng’omuntu alimu essuubi okusingako mu myaka gye egy’emabega. Abazadde be nga bakoze kyonna ekisoboka okusobola okumuyimirizaawo. Nga ne mikwano gye abaali abalungi bamukendezezaako embeera ey&pos;okwennyamira gye yabangamu mu myaka egyo. Naayigirizibwa abantu abamanyi, nga bwe yeetwalira ebyo ebimuyamba okufuuka omunlu ow’amagezi n’okumanya. Newakubadde ne mu ku gunjulibwa okwali okw’obukambwe ng’akyali mwana muto, yeyoleka nga mwana wa suubi, era naakula mangu mu kutegeera. Yali mujyukizi mulungi, nga musanyufu, asobola okunnyonnyola ensonga, era atakoowa mangu. Olw’okuba omusajua omuyivu, yayanguwanga mangu okulaba eky’okukola. EE 77.3

Yali musajja atya Katonda, ekyamuleeteranga okunywerera ku nsonga era omuntu omuteefu mu maaso ga Katonda. Nga yeesigama ku Kalonda mu buli kyakola era nga yeewonga mu mikono gye buli nkya okuyita mu kusaba awamu n’okusaba okwabanga mu mutima gwe okutuna okuluņņamizibwa n&pos;okuyambibwa. Yagambanga nti: “Essaala ennungi yeekola ekitundu ekisinga mu kuyiga.” - D’Aubigne, b. 2, ch. 2. EE 77.4

Olunaku lumu ng’ali mu tterekero ly’ebitabo erya ssettendekero gye yali, naazuula Bayibuli eyawandiikibwa mu lulimi Olulatini. Yali talabanga ku kitabo ekifaananako na kino. Era nga tamanyangako nti n’okubaayo kibeerayo. Yali amanyi ku butundutundu bwa Bayibuli obw&pos;enjiri n&pos;ebbaluwa ezawandiikibwa abatume ebyasomerwanga abantu nga bakuņņaanye mu kusinza, era naalowooza nti oba oli awo eno ye Bayibuli mu bulamba bwayo. Kaakano, amaaso ge nga galabye ku Kigambo kya Katonda ekiramba omulundi gwe ogusooka. Ng’ajjudde okutya n’okwewunya n’omulima nga bwe gumukuba, n’abikkula ku mpapula entukuvu; ne yeesomera ku bigambo eby’obulamu, eno nga bweyewunya nga bw’agamba nti: “Katonda wange, singa nange ompadde ku kitabo kino!” - Ibid., b.2, ch. 2. Bamalayika ab&pos;omu ggulu nga bamuyimiridde ku mabbali, n’omusana okuva mu ggulu ku ntebe ya Katonda ne gumubikkulira obugagga obw’amazima. Yali atya nnyo okunyiiza Katonda, era wano naayongera okweraba ng&pos;omwonoonyi asembayo. EE 77.5

Era olw’okwagala okuva mu kibi afune emirembe ne Katonda, kwe kwewandiisa ayingire mu bulamu obw&pos;okweyawula, yewonge eri Katonda ng’ali mu kigo. Yalagirwa okukola emirimu egikooya ennyo n&pos;okugenda ng’asabiriza nnyumba ku nnyumba, so nga yali mu kiseera abantu we baanoonyezanga ennyo okuweebwa ekitiibwa. Naye emirimu gino egiswaza gye yakolanga tegyamujja ku kigendererwa, wabula yagumiikiriza waakati mu buswavu nga bw&pos;akkiriza nti gyali gyetaagisa okukolebwa olw’ebibi bye. EE 77.6

Buli Iwe yamalanga okukola emirimu gye egya buli lunaku, n’atandikirawo okusoma ebitabo bye, oluusi n&pos;alemwa n’okwebaka oba okulya ne ku mmere gye EE 77.7

yafunanga ebbalirirwe. Kyokka yayagala nnyo okuyiga ekigambo kya Katonda okusinga ebirala byonna. Ekyennaku Bayibuli yabanga nsibire ku kisenge ky’ekkanisa n’olujegere era bwatyo naayagalanga okugidaabiriza. N’anoonyanga okusonyiyibwa n’okufuna emirembe okuyita mu kufuba kwe buli Iwe yawuliranga okumulumiriza ekibi. N&pos;abeeranga mu bulamu obuzibu ddala, omuli okusiibanga n’okusula ng’asaba okuyita mu kiro kyonna asobole okuwangula omubi ali mu mubiri gwe, ataayinza kugibwawo bulamu bwa kweyawula. Naakogga okuggwaawo nga talaba kyayinza kuwaayo afune omutima omulongoofu ogumuyinzisa okuyimirira mu maaso ga Katonda ng’akkiriziddwa. “Mazima, nnali munnaddiini ddala era nga ngoberera amateeka n’obulombolombo nga bwekisoboka,” bwatyo bwe yayogera oluwannyuma. “Era singa omusasedooti eggulu alifuna lw’abikolwa EE 78.1

ebikolebwa abasasedooti, nze nnali nkakatibwako okulifuna Singa nneyongera EE 78.2

mu maaso nga nkola bwentyo, nnandigenze n’emagombe nga nswadde.” - Ibid., b. 2, ch. 3. N&pos;ekyava mu mpisa eno eyali erumya ennyo omubiri, yaggwaamu amaanyi, n’akubwanga kamunguluze era teyasobola kuwonera ddala bulwadde obwo obulamu bwe bwonna. N&pos;ekisinga obubi, omwoyo gwe tegwafuna mirembe wabula okweyongerayo obweyongezi ku njegoyego y’okufa. EE 78.3

Luther ng’aweddemu amaanyi era nga takyeyinza, Katonda kwe kumuteerawo owomukwano era omuyambi. Staupitz omusajya owomwoyo, ye yagulirawo Luther Ekigambo kya Katonda, n’amwegayirira aleme okwetunuulira n’okwerowoozaako, aleme okufumiitiriza ku kibonerezo eky’emirembe n’emirembe olw’okubanga amenye amateeka ga Katonda, wabula atunuulire ku Yesu, oyo Omulokozi asonyiwa ekibi. “Weteeke mu mikono egy’Omununuzi, okusinga okudda mu kwebonereza olw’ebibi byo. Mwesige, olw’obutuukirivu obw’obulamu bwe, ne ku Iw’okutabaganyizibwa okuli mu kufa kwe... Wuliriza eddoboozi ly’Omwana wa Katonda. Yafuuka omuntu, ggwe ofune okusaasirwa mu maaso ga Katonda.” “Mwagale oyo eyasooka okukwagala.” - Ibid., b. 2, ch. 4. Bwatyo bwe yayogera omubaka ono owokusaasira. Ebigambo bye byakwata nnyo ku bulamu bwa Luther. Era oluwannyuma olw’olutalo olunene olw’ali mu ye mu kulwanyisa ensobi ze ezimaze ekiseera ekiwanvu, yayinza okulaba amazima, n’emirembe ne gikomawo mu mutima gwe ogwali gujjudde okutabukatabuka. EE 78.4

Luther yayawulibwa nga omusasedooti era naayitibwa ave mu bulamu obw’okweyawula agende aweereze mu ssettendekero ya Wittenberg nga ssabakenkufu. Era wano we yafunira omukisa ogw’okuyiga Ebyawandiikibwa mu lulimi Iwe. Yatandika okuyigiriza ku Bayibuli; Zabbuli, Enjiri n’Ebbaluwa z’abatume, nabyo ne bisomerwanga abantu abaali abasanyufu ennyo nga bwe bawuliriza. Staupitz eyali owomukwano ate nga mukulu ku ye, kwe kumusaba alinnye ku kituuti abuulire abantu ku Kigambo kya Katonda. Luther teyakyaniriza nnyo, ng’alaba tasaanira ye okwogera eri abantu mu kifo kya Kristo. Naye, oluwannyuma lw’okuwalirizibwa ennyo nakkiriza okusaba kwa mikwano gye. Katonda yali yamufuula dda mumanyi mu Byawandiikibwa era nga n’ekisa kya Katonda kiri ku ye. Abantu ne bakwatibwako olw’obubaka obwali obwamaanyi n’olwokubeera omwogezi omulungi, ate mu ddoboozi eriwulikika obulungi. EE 78.5

Mu kiseera kino Luther yali akyali mwana muwulize eri ekkanisa ya papa, era nga tasuubirangako nti luliba olwo n’afuuka ekirala. Olw’okuluņņamya kwa Katonda, EE 78.6

n’agenda akyalako e Luumi. Yatambulira ku bigere era ng’agenda asula buli we yasanganga ekigo. Ng’atuuse e Yitale, yeewuunya okulaba obugagga, ekitiibwa, n’okwejalabya bye yasanga mu kigo. Abasasedooti nga basula mu nju ez’ekitiibwa ennyo n’okwambala ebyambalo eby’ebbeeyi era nga balya nga bakabaka, naye ku sente ezikuņņanyizibwa obukugņaanyizibwa. Luther n’agerageranya kyayalaba n’obulamu bwe obw’okwerumya nga kw’otadde n’okwebonereza, nga tayinza na kukikkiriza. N’asoberwa. EE 79.1

Oluwannyuma n’alengera ekibuga ekitudde ku busozi omusanvu. N’avuunama n’asinza nga yenna ajjudde entiisa, eno nga bw’agamba nti: “Nkusaamu ekitiibwa ggwe Luumi ekibuga Ekituuvu!” - Ibid., b. 2, ch. 6. N’ayingira ekibuga, n’akyalira ku kkanisa ez’enjawulo, n’awuliriza abasasedooti n’abaseminaaliyo nga bwe bagenda baddiņņana essaala ez’enjawulo n’okukola emikolo egitali gimu. Na buli we yatunulanga, ng’alaba bimwewunyisa n’okumuwuniikiriza. Yalaba nga obubi bwali bu[judde mu buli kika kya baweereza. N’awulira ebigambo ebitajja abalabirizi b’e Luumi bye baanyumyanga, okutya ne kumweyongera, ng’awulira bwe bawoola, newakubadde ne mu missa. Bwe yagendako mu baseminaaliyo awamu ne mu batuuze b’ekibuga, n’asiņņaana ng’empisa zaggwa dda mu bantu. Bwe yakyusa amaaso atunuleko mu kifo ekitukuvu, nga buwoozi bwereere. Agamba nti, “Tewali n’omu ayinza kuteebereza kika kya bibi n’ebikolwa eby’obuwoozi ebikolebwa mu Luumi; okutuusa ng’obirabyeko Iw’oyinza okukikkiriza. Ne bafuna n’enjogera egamba nti: kBwe wabaayo geyeena, ekibuga Luumi kwe kyazimbibwa: obunnya obutakoma omusibuka obubi obwa buli ngeri.’” Ibid., b. 2, ch. 6. EE 79.2

Papa yali yakamala okuyisa ekiragiro eky’okusonyiwa ebibi eri buli muntu yenna anayambuka ng’ayavula era nga bw’akka “Amadaala ga Piraato,” agagambibwa okuba nti n’Omulokozi waffe ge yalinnya ng’ayavula era n’akka bwe yali ava mu kifo ky’Abaluumi we baasaliranga emisango, ne gagibwa e Yerusaalemi mu ngeri ey’ekyamagero okutuuka e Luumi. Ne Luther naye olumu yali ng’agalinnya era nga bw’akka, okutuusa lwe yawulira eddoboozi nga libwatuka ng’eggulu nga limugamba nti: “Naye omutuukirivu anaabanga mulamu Iwa kukkiriza.” - Abaluumi 1:17. Kyava asituka naayimirira, naye mu buswavu n’okutya. Teyaddamu kwerabira maanyi ga lunnyiriri olwo mu mwoyo gwe. N’okuva mu kaseera ako n’ayongera okwetegerereza ddala ensobi eri mu kwesigama ku bikolwa ebikolebwa omuntu asobole okuweebwa obulokozi, awamu n’obwetaavu bw’okuteekanga okukkiriza kwatTe mu ekyo Kristo kye yatukolera. Amaaso ge ne gazibula, obutaddamu kuzibibwa bulimba bwa papa nate. Bwe yasiibula okuva e Luumi, yali ng’akyukidde ddala ne mu mutima, era okuva awo, enjawukana ne yeyongera okukula okutuusa Iwe yakutukira ddala okuva ku kkanisa ya papa. EE 79.3

Ng’akomyewo okuva e Luumi, Luther naatikkirwa ekitiibwa kya “doctor of divinity” mu ssettendekero ya Wittenberg. Bwatyo, n’afuna eddembe okuyiga Ebyawandiikibwa bye yayagalanga ennyo nga bwayagala. Era ng’amaze n’okulayizibwa okuyiga n’obwegendereza Ekigambo kya Katonda awamu n’okukibuulira mu bwesigwa obulamu bwe bwonna, so si okubuulira enfumo n’enjigiriza za papa. Nga takyali museminaaliyo oba ssabakenkufu owabulijyo, naye alina obuyinza okubuulira n’okuyigiriza Bayibuli. Yayitibwa okuba omusumba aliisenga endiga za Katonda, ezaali zifa ennyonta n’enjala ey’ekigambo eky’amazima. EE 79.4

N’anyweza ensonga y’Abakristaayo obutakkiriza njigiriza ndala yonna, wabula nga yesigamiziddwa ku buyinza bw’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Ebigambo bino byayabululiza ddala omusingi okwazimbirwa okwewaņņamya kw’obwapapa. Era lye lyali etteeka ekkulu okwatambulizibwa enkyukakyuka eyajja mu kkanisa. EE 80.1

Luther yalaba obulabe obwali mu kusukkulumya enjigiriza z’abantu okusukka ku Kigambo kya Katonda. N’avumirira nnyo obutali bwesigwa obwali mu bayizi era n&pos;awakanya n’endowooza era n’enjigiriza ezaali ziffuņņamye ku bantu okumala ekiseera ekiwanvu. N’ategeeza nti enjigiriza ezo tezikoma mu butaba na mugaso kyokka, naye era zizikiriza, era n’ayaala nnyo okukyusa endowooza z’abantu abaali bamuwuliriza bajje ebirowoozo byabwe ku njigiriza era n’endoowoza z’abantu babizze ku mazima ag&pos;emirembe gyonna agaweebwa abatume ne bannabbi. EE 80.2

Mazima ebigambo bye byali byamuwendo munene nnyo eri abantu abaali abasanyut&pos;u okubiwuliriza. Ga tebawulirangako ku njigiriza ya ngeri ng’eno. Amawulire amalungi ag’okwagala kw’Omulokozi, obukakafu bw’okusonyiyibwa n’okufuna emirembe okuyita mu ssaddaaka ye, ne bijjuza emitima gyabwe essanyu, bwebatyo ne bafuna essuubi eddamu. Omumuli nga gukolezeeddwa e Wittenberg ogujja okwakira ebitundu ebirala bingi eby’ensi, era gweyongere mu kitangaala okutuusa ku nkomerero y’ekiseera. EE 80.3

Naye omusana teguyinza kutabagana na kizikiza. Era waliwo olutalo lunene olutayinza kuziyizibwa wakati w’amazima n’obukyamu. Okukkirizako ekimu era n&pos;okirwanirira kitegeeza kukyawa kirala. N’Omulokozi waffe yagamba nti: “Sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.” - Matayo 10: 34. Ne Luther yagamba nga wayiseewo ekiseera oluwannyuma Iw’okuggulawo oluggi Iw’okudda obuggya nti: “Katonda tannuņņamya buluņņamya kyokka, naye y’ankutte omukono okuntwala mu maaso. Y’ansika. Sinze mukama w’obulamu bwange. Nange nandyagadde nsigaze emirembe gyange; naye nkasukiddwa wakati mu kutabukatabuka nsobole okuteekawo enkyukaakyuka.” - D&pos;Aubigne, b. 5, ch. 2. Wano yali asemberedde okuyingira mu lutalo. EE 80.4

Ekkanisa y&pos;e Luumi yali edidde ekisa kya Katonda okukifuula ekyetuunzi. Emmeeza z’abawanyisa ensimbi (Matayo 21:12) nga zisimbiddwa awali woolutaali, nga n&pos;amaloboozi agawulirwa ge g’abaguzi n&pos;abatunda. Ng’obwapapa butunda yindulugensiya (ekisonyiwo) z’okwonoona mu lwatu, mbu olw’okunoonya sente z’okuzimba ekkanisa ya St. Peter e Luumi. Yeekaalu n’ezimbibwa n’ensimbi ezivudde mu bumenyi bw’amateeka okusinzizaamu Katonda - ejjinja ly’okunsonda ne liteekebwawo n’omuwendo gw’okwonoona! Naye engeri eyo yennyini eyateekebwawo olw’okuzimba Luumi, ye yagiviirako okugwa n’okufiirwa ekitiibwa kye. Wano we waasibuka abalabe b’obwapapa ne bamalirira okubulwanyisa n’okunyeenya entebe yaabwo awamu n’okuttikulako engule ey’emige esatu eri ku mutwe gwa papa. EE 80.5

N’omubaka eyateekebwawo okutunda yindulugensiya mu Bugirimaani - ng’ayitibwa Tetzel - yali yasingisibwa dda obuzzi bw’emisango n’okumenya amateeka ga Katonda; naye n’agibwako okubonerezebwa, kwe kuweebwa omulimu guno ogutaliimu nsa. Nga takwatiddwa na nsonyi, n’agenda nga addiņņana obulimba n’okubuzaabuza abantu abatalina kye bamanyi ate nga basamize. Singa baali balina Ekigambo kya Katonda tebandibuzaabuziddwa. Era nga Bayibuli yabagibwako EE 80.6

Iwakwagala kubakuumira wansi w’obufuge bwa papa, n’okwagala okunyweza obuyinza bwe awamu n’okukkusa abakulembeze be abaluvu. (John C. L. Gieseler, A Compendium of Ecclesiastical History, per. 4, sec. 1, par. 5.) EE 81.1

Tetzel ng’ayingira mu buli kabuga, yakulemberwanga omubaka eyagendanga alangirira nti: “Ekisa kya Katonda ne kitaffe omutukuvu kiikino kituuse mu nnyumba yo.”- D’Aubigne, b. 3, ch. 1. N’abantu ne baaniiriza obuwoozi ng&pos;alinga ye Katonda yennyini asse okuva mu ggulu. Eby’omuzizo ne biyingizibwa mu kkanisa, era Tetzel bwe yalinyanga ku kituuti okwogera, n’atendereza yindulugensiya ng’ekirabo ekyomuwendo ekivudde ewa Katonda. N’alangirira nti omuntu yenna bwe yeegulira ekisonyiwo kino aba asonyiyiddwa ebibi bye by’anaakola mu kiseera eky’omumaaso era nga “tekimugwanira na kwenenya.” Ibid., b. 3, ch. 1. N’ekisinga obubi, yamatiza abantu abaalinga bamuwuliriza nti yindulugensiya zino zisobola n’okulokola abantu abalamu era n’abafu; nti sente olutonnya mu ggwanika, omwoyo gw’omuntu oyo gwe ziweereddwayo, gugibwa mu puligatooli mangu nnyo ne gutwalibwa mu ggulu. (K. R. Hagenbach, History of the Refonnation,vol. 1, p. 96.) EE 81.2

Simooni ayitibwa Magus bwe yasaba yeegulire amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu okuva ku batume naye asobole okwekola ebyamagero, Peetero yamuddamu nti: “Effeeza yo ezikirire naawe, kubanga olowoozezza okutuna ekirabo kya Katonda n’ebintu.” Ebikolwa by’Abatume 8:20. Naye ekirabo kya Tetzel kyayanirizibwa n’abantu nkumi na nkumi. Zaabu ne ffeeza ne bijjula amawanika ge. Ng’obulokozi obugulibwa n’ensimbi nga bwangu okwefunira okusinga obwo obwetaaga okwenenya, okukkiriza, n’okufuba okuziyiza awamu n’okuwangula ekibi. EE 81.3

Abantu abeesigwa era abategeera baali bawakanya dda enjigiriza ya yindulugensiya eyali mu kkanisa y’e Luumi, era nga bangi abatakkiririza mu kwerowozesa okuba abatuukirivu n’enjigiriza eteyinza kukkirizika wadde mu kutegeera okw&pos;obuntu oba mu Byawandiikibwa. Ekyennaku, nga tewali mulabirizi n’omu eyayinza okuwakanya obuwoozi buno kuyingizibwa mu kkanisa; n’ebirowooo by’abantu bangi nga bitabuddwa n’okusoberwa, ne batandika n’okwebuuza obanga Katonda ayinza okubaako ne ky&pos;akola okwerongooseza ekkanisa ye. EE 81.4

Mu kiseera kino, Luther yali akyali muwulize nnyo eri obwapaapa, era nga ajjirwa okutya buli Iwe yalabanga obuwoozi nga bugenda butambuzibwa butundibwa. Bangi ku bakkiriza abaali mu kkanisa ye nga nabo beegulidde ku bbaluwa zino ez’ekisonyiwo, bwebatyo ne bajjanga eri omusumba waabwe, nga bamwatulira ebibi byabwe ebyenjawulo, nga bwe basuubirwa okusonyiyibwa, naye si Iwakubanga baboneredde era nga baagala okudda obuggya, naye olw’ekisonyiwo ekiri mu bbaluwa. Luther naatakkiriza kubasonyiwa bibi byabwe era n’abalabula nti okujjako nga beenenyezza ne bakyusibwa obulamu bwabwe, baakuzikirira mu bibi byabwe. Bangi ne baddayo eri Tetzel nga basobeddwa era nga bwe ba mwemulugunyiza omutambizi waabwe agaanye okukkiriza ekisonyiwo ekiri mu bbaluwa ze, era ne bamusaba abaddize n’ensimbi zaabwe. Omubaka w’ekeleziya n’ajjula obusungu. N’akolima ebikolimo, era n’alagira bakume n’omuliro mu kifo awakuņgaanira abantu, okutegeeza abantu nti “mpeereddwa obuyinza okuva ewa papa okwokya buli muwakanyi yenna awakanya ekisonyiwo ekitukuvu ekya papa.” - D&pos;Aubigne, b. 3, ch. 4. EE 81.5

Wano Luther yali atandise omulimu gwe ogw’okulwanirira amazima. Eddoboozi lye nga liwulirwa kumpi ku buli kituuti nga yeegayirira abantu n’okubalabula. N’ategeezanga abantu ku bubi bw’ekibi, era n’abayigiriza nti kye kizibu omuntu okwejjako omusango gw’ekibi okuyita mu bikolwa bye, wadde okuwona okubonerezebwa. Era tewali kirala kyonna okujjako okwenenya eri Katonda n’okukkiriza Yesu ayinza okulokola omwonoonyi. Ekisa kya Katonda tekigulwa; kirabo kya buwa. N’abuulirira abantu obutagula yindulugensiya, naye batunuulire ku Mununuzi eyakomererwa okuyita mu kukkiriza. N’ababuulira ku mbeera eyamutuukako bwe yateganira obwereere ng’anoonya okulokolebwa okuyita mu kwerumya n’okwebonereza okutuusa Iwe yeggyako amaaso n&pos;akkiriza Yesu, awo Iwe yafuna emirembe n’essanyu. EE 82.1

Eno Tetzel nga bw&pos;agenda atunda ebisonyiwo, ne Luher naamalirira okwongera okuwakanya n’okuvumirira obwonoonefu buno obw’enkukunala. Lwali olwo omukisa ne gujja. Ekkanisa y&pos;e Wittenberg yalina ebisigalira by’abatukuvu bangi bye baleetanga ku nnaku enkulu okubiraga abantu, mbu abantu ne banaazibwangako ebibi byabwe bonna abajjanga ku kkanisa ne baatula ebibi ebyo. Abantu ne beeyiwanga eyo mu bungi. Era olumu ku nnaku zino kye kyali ekijaguzo ky’Abatukuvu Bonna, ekyali kibulako akatono okutuuka. Luther naye yeetaba mu mugendo ogwali gutambula nga gwolekera ekkanisa, era ng’ebula olunaku lumu, naatimba ku luggi olupapula okwali kuwandiikiddwako ensonga kyenda - mu - taano ezaali ziwakanya enjigiriza ya yindulugensiya. Era yasuubiza okuzinnyonnyola ng’ali ku ssettendekero eri oyo yenna anaazeŋŋanga enkeera w’alwo. EE 82.2

Ekiwandiiko kye kyasitula ebirowoozo by’abantu bangi mu nsi yonna. Kyasomebwa era n’ekiddibwamu okusomebwa kumpi mu buli kitundu kya nsi. Abantu ne bacamuukirira wonna mu kibuga era ne ku ssettendekero. Ekiwandiiko nga kigamba nti: papa newakubadde omuntu omulala yenna, tebaweebwangako buyinza busonyiwa muntu bibi bye wadde okumujjako omusango. Entekateeka yonna ya katemba mwereere - lukujukuju lwa kunyaga sente okuva ku bantu - era nga ye ngeri ya Setaani ey’okwagala okuzikirizamu omyoyo gy’abo bonna abanakiririza mu mulimba bwe. Era kyalaga nga eky’obugagga ky&pos;ekkanisa ekisinga y’enjiri ya Kristo, era nga yeebikkula n’ekisa kya Katonda ekiweebwa obuwa eri oyo yenna akkiriza okukyetwalira okuyita mu kukkiriza. EE 82.3

Ekiwandiiko kya Luther kyasomooza abantu bangi, kyokka ne watabaawo akiwakanya. Mu nnaku ntono nnyo ne kibuna Bugirimaani yenna, era ne mu wiiki ezaddako nga kisaasaanide ensi zonna omwali Obukristaayo. Abantu bangi abaali bakkiririza mu njigiriza ya Luumi, naye nga bennyamivu olw’ebyali bikolebwa mu kkanisa kyokka nga tebannamanya ngeri yakubiziyizaamu, ne basoma ekiwandiiko nu ssanyu eppitirivu, nga balaba eddoboozi lya Katonda mu byo. Ne balaba omukono gwa Katonda ogw’ekisa nga gukomye ku muyaga ogwali guzze okuva e Luumi okusaanyawo ekkanisa. Abalangira n’abakungu ne basanyukira mukyama okulaba nga kaakano kyetaagisa okuteekawo okunoonyereza ku malala n’obuyinza bwa Luumi eyali takkiriza kuwuliriza batakkirizza mu kuteesa kwe. EE 82.4

Kyokka ate abalala bangi abaali banyumirwa ekibi n’okusigala mu busamize ne batya nnyo okulaba nga obukujukuju bwabwe obubadde bukakkanya ku kutya kwabwe bugenda kusaanawo. Bwebatyo, abakulembeze abagezigezi mu kkanisa y’e Luumi, olw’okulaba nga omulimu gwabwe ogw’obumenyi bw’amateeka EE 82.5

gulabika nga gukoseddwa, ne basunguwala nnyo, ne beegattira wamu okunyweza obukuusa bwabwe. Bwatyo Luther naafuna okusoomozebwa kungi. Abalala nga bamuvunaana olw’okupakuukirira n’okwanguyiriza. So abalala ne bamuvunaana Iwa butamala kwekakasa, era ne bamwatulira nti taweerezebbwa Katonda naye nti akolera mu malala na kweraga. “Ani atakimanyi nti, emimndi mitono nnyo omuntu Iw’ateekawo enjigiriza empya naatafuna kusoomozebwa ng’alowozebwa okukolera mu malala era naatavunaanibwa gwa kuleetawo bujagalalo?” Bwatyo bwe yabuuza. “Lwaki Kristo awamu n’abajulizi abalala bangi battibwa? Kubanga baalabika nga tabasaamu kitiibwa ndowooza z’abantu abaalingawo mu kiseea ekyo olw’okubanga tebaawuliriza kuyigiriza kw’abo ababasooka.” EE 83.1

Era n’agamba nti: “Nabuli ky’enkola si kikolera mu magezi ga buntu, naye awamu n’okuluŋŋamya kwa Katonda. Omulimu guno bwe guba nga gwa Katonda, ani anaayinza okuguziyiza? Era bwe gutaba nga gugwe, ani anaagwongerayo? Si Iwakwagala kwange oba okwabali, si lwakwagala kwaffe; naye lwakwagala kwe oyo Kitaffe Omutukuvu, atuula mu ggulu.” Ibid., b. 3, ch. 6. EE 83.2

Newakubadde nga Omwoyo wa Katonda ye yakwata ku Luther okutandika okukola omulimu gwe, yali talina bw’ayinza kugutwala mu maaso wabula ng’ayise mu kulwana. Abalabe be okumunenyanga n’okumuvuma, omuli n’okunyoola ebigendererwa bye, okumuttattana mu bantu, byonna ne bimuleetera okunyolwa, era ne bimukosa nnyo. Yali asuubira nti abakulembeze b’abantu mu kkanisa ne mu masomero banaayinza okuba ku ludda lwe beegatte okuteekawo enkyukakyuka. Era ebigambo by’abakulu bye baayongeranga ne bimugumya n’okumuzaamu essuubi. Mazima ng’alaba entandikwa y’olunaku olulungi ku lwe kkanisa. Naye yafuna okusoberwa okuva mu bantu be yali agumiddeko. So nga bangi ku bakulu mu kkanisa ne mubakulembeze b’ensi abategeerera ddala obulungi ekiwandiiko kye; naye ne batya bwe bazuula nga wajja kubaawo enkyukakyuka nnene bwe banakkiriza amazima gano. Nga bwe bakkiriza abantu okwongera okuyigirizibwa, baba ng’abatyoboola obuyinza bwa Luumi, n’okukomya obugagga obwali buyiika ng’amazi mu ggwanika lye, n’okukendeeza ku ngeri y’okweyononesa abakulembeze ba papa gye baali beeyisaamu. N’ekirala, ne balaba nga mu kuyigiriza abantu bayinze okwerowooleza n’okweyisa mu ngeri ey’obuvunaanyizibwa, batunuulire Kristo yekka olw’okulokolebwa, baba bavuunise entebe y’obwapaapa nabo bennyini okugibwako obuyinza bwabwe. Bwebatyo ne bagaana amagezi agabaweereddwa Katonda, ne beekobaana okulwanyisa Kristo n’ekigambo kye eky’amazima, bwe baawakanya omusajja wa Katonda gwe yali abasindikidde okubalaga omusana. EE 83.3

Luther n’atya nnyo bwe yeetunuulira - okulaba ng’asigadde bw’omu okuwakanya amaanyi ago ag’ekitalo. Emirundi egimu naabusabuusanga oba nga ddala Katonda ye yali amukulembera okulwanyisa obuyinza bw’ekkanisa y’e Luumi. Agamba nti: “Neebuuza nti nze ani okuwakanya ekitiibwa kya papa, oyo bakabaka b’ensi n’abantu bonna gwe bafukaamirira?... Tewali n’omu ayinza kumanya mutima gwange n’obulamu bwange bwe byabonaabona mu bbanga eryo ery’emyaka ebiri egyasooka, ndowooza kaŋŋambe, mu mbeera y’okuggwamu essuubi mwe nnali ntuuse.” - Ibid., b. 3, ch. 6. Naye teyaggwamu mutima. Bwe yabulwa obuyambi okuva mu bantu, naakyukira Katonda oyo yekka alina omukono ogw’amaanyi era ogusinga, gw’anayinza okwesigama omuli obuddukiro n’obukuumi. EE 83.4

Bwe yawandiikira mukwano gwe bwe baali mu kaweefube w’okuzza ekkanisa obuggya yamugamba nti: “Tetuyinza kutegeera Byawandiikibwa kuyita mu kubisoma nnyo wadde okuyita mu magezi ag’okufumiitiriza. Obuvunaanyizibwa obusooka kwe kutandika n’okusaba. Saba Mukama akuwe ekisa kye, n’okutegeerera ddala Ekigambo kye. Tewali ayinza kunnyonnyola Kigambo kya Katonda okujjako oyo eyakiwandiisa, era nga ye bw’agamba nti: ‘Baliyigirizibwa Katonda.’ Tewesiga maanyi go, wadde okutegeera kwo: teeka obwesige bwo mu Katonda yekka, ne mu maanyi ag’Omwoyo we Omutukuvu. Mukkiririzeemu oyo alina okumanya okusingako.” Ibid., b. 3, ch. 7. Wano waliwo ekyokuyiga ekikulu ennyo eri oyo yenna alowooza nti Katonda amuyise okutegeeza abalala ku mazima ge amatukuvu ag’ekiseera kino. Amazima gano gasiikuula obukyayi bw’omulabe era awamu n’abantu abaagala okuwuliriza enfumo ze yayiiya. Twetaaga okuweebwa amaanyi agasukka ku kufumiitiriza n’agamezi g’omuntu nga tuli mu lutalo olw’okulwana n’omubi. EE 84.1

Omulabe bwe yayagala okukozesa obuwangwa n’obulombolombo oba enjigiriza ya Luumi, Luther ye n’abaddamu ng’akozesa Bayibuli era Bayibuli yokka. Ne batabaako na kyebayinza kunyega; bwe batyo ne bakkira okuleekanira waggulu okwagala okuyiwa omusaayi gwe nga Abayudaaya bwe baakola ku Mukama waffe. “Oyo yagwa, era kuba kulyamu nsi lukwe okuleka omuntu oyo eyagwa okusigala nga mulamu newakubadde essaawa emu yokka. Awanikibwe attibwe.” Bwatyo omu bwe yayogera. Ibid., b. 3, ch. 9. Naye Luther teyagwa mu mutego gwabwe ogw’obusungu. Yalina omulimu Katonda gw’amwagaliza okutuukiriza, era bwatyo n’akuumibwa bamalayika okuva mu ggulu. Kyokka omulabe naamalira ekiruyi kye ku bantu abalala bangi abaali bakkirizza omusana okuva gy’ali, bwebatyo, ne babonyabonyezebwa byakitalo awamu n’okuttibwa. EE 84.2

Abayivu bangi ne baagala nnyo enjigiriza ya Luther okwetoloola wonna mu Bugirimaani. Omusana ne gumulisibwa eri abantu bangi, era nkumi na nkumi ne bazuukusibwa olw’obubaka n’ebiwandiiko bya Luther. Okukkiriza omuli obulamu ne kugenda nga kuwanyisa enjigiriza eyali efudde ekkanisa mwe yali ekuumiddwa okumala ekiseera. Abantu ne bagenda nga baggya obwesige mu bukafiiri bwa Luumi buli lunaku olwayitanga. Emiziziko ne gigenda nga givaawo. Ekigambo kya Katonda Luther kye yali amaze ebbanga ng&pos;akemekkereza ku buli njigiriza nga kiringa ekitala eky’obwogi obubiri okusala n&pos;okulongoosa emitima gy’abantu. Okudda obuggya mu by’omwoyo ne kubuna wonna. Ennyonta n’enjala olw’obutuukirivu ne biruma abantu ng’ekitabangawo kasookedde ensi ebaawo. Amaaso g’abantu ge baali boolekezza emikolo egikolebwa abantu era n’abatabaganya aboomunsi, kaakano ne gadda ku Kristo eyakomerebwa okuyita mu kwenenya n’okukkiriza. EE 84.3

Obwapaapa ne bweyongera okutya bwe baalaba okuzuukuka okw’amaanyi okwali kubunye wonna. Kwe kuyita Luther agende e Luumi annyonnyole ensibuko y’okugwa kwe. Mikwano gye ne batya nnyo bwe baawulira ekiragiro ekimuyita. Nga bategeerera ddala bulungi akabi akayinza okuva mu kibuga ekyo ekyajjula okuyiwa omusaayi gw’abatukuvu ba Kristo. Ne bawakanya okuyitibwa kwe, nga bwe bagamba nti asigale mu Bugirimaani ne gy’aba ayanukulira ebimubuuzibwa. EE 84.4

Okusaba kwabwe ne kukkirizibwa, ne baweereza omubaka wa papa y’aba awulira omusango gwe. Omubaka yaweerezebwa obubaka okuva ewa papa obumutegeeza EE 84.5

nti Luther yali yamala dda okulangirirwa ng’eyagwa. Bwatyo kyeyava alagirwa “amuvunaane ng’omumenyi w’amateeka era amuwalirize okusalawo awatali kulwa.” Era nga bwe yeerema, n’omubaka okulemererwa okumusingisa omusango, yali aweereddwa obuyinza “okumuwera wonna mu Bugirimaani; agobweyo, akolimirwe era n’abamugoberera bagobwe mu kkanisa.” - Ibid., b. 4, ch. 2. So ate era, papa yali alagidde omubaka we nti mu kusimbulira ddala obulabe buno, agobe bonna mu kkanisa abalimu endowooza ye si nsonga ne bwe baba bakitiibwa mu kkanisa oba abakulembeze, baweebweyo eri obusungu bwa Luumi, okujjako kabaka ayinza okulemera Luther n’abamugoberera. EE 85.1

Wano ng’osobolera ddala okulaba endowooza y’obwapaapa. Nga toyinza kulaba mwoyo gwa Bukristaayo, newakubadde obwenkanya mu bo. Ekyenaku baavunaana Luther omusango ogw’okuba nti yagwa okuva mu kukkiriza, newakubadde nga yali wala nnyo okutuuka e Luumi okusobola okwewozaako; nga tebannaba na kunoonyereza ku musango gwe ne bagumusingisa, era mu lunaku lumu ne bagumusalira; nga bino byonna bikolebwa eyeeyita kitaffe omutukuvu, alina obuyinza yekka, atawubwa mu kkanisa era ne mu nsi! EE 85.2

Mu kiseera kino nga Luther yeetaaga owomukwano ayinza okumubudaabuda n’okulumirwa awamu naye, bwatyo Katonda naamuweereza Melankisoni ow’omu kibuga Wittenberg. Newakubadde nga yali akyali muto mu myaka, yali wanjawulo nnyo mu mpisa ne mu kutegeera. Nga mwogezi mulungi era omuvubuka omwesimbu era owamazima. Naye yasinga kutegeerwa nnyo mu kuba omukkakkamu okusinga mu birabo ebirala byonna. Ekyomukisa naakyusibwa Katonda okubeera omuyigirizwa w’enjiri, n’aba mukwano gwa Luther gw’asinga okwesiga, era omuyambi we owomuwendo. Omulimu gw’okukyusibwa kw’ekkanisa gweyongeramu amaanyi bwe beegattira awamu, teekako n’okugumya ennyo Luther. EE 85.3

Luther yalina kuwoleza mu kibuga Augsburg gye baalagaana okusisinkana, era bwatyo naatandika okutambula ng’ayolekera eyo naye ku bigere. Yafuna okutiisibwa kungi omuli n’okuteebereza nti ayinza okuwambibwa mu kkubo naatemulwa, kwe kumwegayirira aleme kwetantala kugendayo. Era ne bamusaba agire ng’ava ne mu kibuga Wittenberg agende yekwekeko mu mikwano gye abayinza okugira nga bamubudamya. Naye naatakkiriza kwcgaana kifo Katonda mw’amutadde. Ng’alina okulwanirira amazima mu bwesigwa, si nsonga omuyaga ne bwegunenkana wa. Yayogeranga kimu: Nze ninga Yeremiya omusajja ow’entalo n’okulwana; naye gye banaakomya okuntiisatiisa, gye naakoma okufuna essanyu.... Battattanye erinnya lyange era n’ekitiibwa. Nsigazza ekintu kimu kyokka, gwe mubiri gwange ogujjudde ensonyi n’okuswazibwa, nagwo ka bagutwale naaba nyambiddwa okuwummulako naye akaseera akatono. Naye tebayinza kutwala mwoyo gwange. Kyokka omuntu ayagala okuweereza Kristo kimugwanira okusuubira okufa ekiseera kyonna.” - Ibid., b, 4, ch. 4. EE 85.4

Omubaka wa papa naamatira bwe yakimanya nti Luther atuuse mu kibuga Augsburg era nti omusajja abadde atabulatabula ensi yonna kaakano ali mu buyinza bwa Luumi, era n’alagira aleme kutoloka. Bambi Luther yali alemereddwa okwefunira ebbaluwa emuwa obukuumi era mikwano gye ne bamuwaliriza obuteyoleka eri omubaka wa papa nga tagirina, nga bo bwe bamusalira amagezi okugimufunira okuva ewa kabaka. Wano ng’omubaka amariridde okumuwaliriza EE 85.5

oba nga kiyinzika yegaane ebigambo bye byonna, bwagaana atwalibwe e Luumi naye agabane ku kyatuuka ku Huss ne Jerome. Kwe kuyita mu mikwano gya Luther bamusikirize agende amusisinkane newakubadde nga talina bbaluwa ya bukuumi, nga bamusauubiza okuba nti omubaka talina mutawana. Naye Luther naakigaanirawo. Era teyagenda mu maaso ge okutuusa ng’aweereddwa ebbaluwa omuwa obuukumi okuva ewa kabaka. Abaluumi baali basaze amagezi bamuwangule mu ngeri ya buntu, era n’omubaka ono naagezaako okweyisa mu ngeri ey’obuntu, kyokka ng’alina okumuwaliriza yeegaane byonna awatali kakwakkulizo konna era addemu okubeera omuwulize eri Luumi. Ndowooza yali tategeera musajja bwe bagenda kusisinkana. Luther yamuddamu naamulaga nga bw’assaamu ekitiibwa ekkanisa, nga bwayagala ennyo okumanya amazima era nga bw’ali omwetegefu okwanukula buli kinaamubuuzibwa okuva mu ebyo by’abadde ayigiriza, era nga bw’agenda n’okuwaayo byonna by’abadde ayigiriza mu ssettendekero zonna enkulu mu nsi. Naye ate era, naamulaga nga bw’atagenda kukkiriza mulabirizi wa papa kumuwaliriza yegaane by’abadde ayigiriza awatali kumala kukakasibwa nga bw’ali omukyamu. EE 86.1

Omulabirizi yamudamu kimu nti: “Wegaane, wegaane!” Luther naamukakasa nti, byayogera abisimbula mu byawandiikibwa era nga tayinza kwegaana mazima. Bwe yalaba tamusobodde kumuddamu na kuteesa, omulabirizi ky’ava amuyiira ebigambo ebimuvuma, ebimurjņoola n’okumuduulira nga bw’atabulamu n’okujuliza ebigambo ebyayogerwa abasasedooti abavaawo, era n’atamukkiriza na kubaako kyayogera. Luther bwe yalaba nga talaba ssuubi mu lukuņņaana lwabwe, kwe kumusaba ateeke mu buwandiike okwewozaako kwe. EE 86.2

Agamba bwe yali awandiikira mukwano gwe nti, “Mu kukola kino, omuntu anyigirizibwa kimuyamba emirundi ebiri; okusooka, afuna okuwabulwa okuva mu basoma ekiwandiikiddwa, n’ekyokubiri aggwamu okutya n’okutereeza endowooza ye, obutafukumula bigambo bingi olw’okutya abakulembeze abakambwe abayinza n’okumutiisa n’olulimi lwabwe oluduumira.” - Martyn, The Life and Time of Luther, page 271,272. EE 86.3

Luther yasobola okwogera obulungi ng’anyweza ensonga ze omulundi ogwookubiri nga basisinkanye, era ng’alina n’ebyawandiikibwa bingi bye yajulizanga. Buli kiwandiiko kye yamalanga okusoma, ng’akiwaayo eri kalidinaali newakubadde nga kalidinaali teyassangamu kitiibwa biwandiiko bye, era nga bw’abyogerera nti, ebiwandiiko n’okujuliza kweyajuliza bye tebiriimu nsa. Wano Luther yali amaze okusitula obusungu bw’omusajja ono eyali ow’amalala. EE 86.4

Era bwe yakizuula nti tayinza kwanukula Luther na kigambo na kimu, kwe kwogerera waggulu nti: “Wegaane ebigambo byo! Bw’ogaana nkuweereza Luumi gy’onosisinkana abalamuzi abansingako. Nnina n’obuyinza okukugoba ne mukanisa awamu n’abagoberezi bo.” Kwe kuddamu mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Wegaane ebigambo byo.” - D’Aubigne, London ed., b. 4, ch. 8. EE 86.5

Luther ng’ali wamu ne banne kwe kufuluma ekisenge mwe baali akabonero akaalaga nti talina by’alina kwegaana. Kino nno kalidinaali si kyeyali asuubira. Yalowooza nti ayinza okukirizisa Luther okuyita mu kumusendasenda. Bwatyo, naasigala ng’aswalidde mu kisenge ye n’abawagizi be okulaba nga ky’abadde ayagala tekituukiridde. EE 86.6

Ekibiina ekinene ekyaliwo ky’asobola okulaba n’okugerageranya abantu bano bombi, era ne bafuna n’omukisa okusalawo bwe baalaba buli omu engeri gye yasimbangamu ensonga ye, amazima n’obuvumu ebyayolesebwa. Nga baali ba njawulo nnyo! Luther nga mukkakkamu era omwesimbu, ng’ayimiriddewo mu maanyi ga Katonda, n’ekigambo ekyamazima nga kiri ku lulimi Iwe; ne kuludda olulala nga eyimiriddeyo omubaka wa papa ajjudde okwemanya, n’amalala, nga talina kigambo nakimu okuva mu Byawandiikibwa naye ng’ayogera kimu nti: “Wegaane bw’ogaana nkuweereza Luumi obonerezebwe.” EE 87.1

Abasajja b’e Luumi ne basala enkwe okumuggalira mukkomera newakubadde nga yaweebwa ebbaluwa omuwa obukuumi. Mikwano gye ne bamuwaliriza aleme kulwa era addeyo mangu e Wittenberg nnaddala nga bwe yali takyalina nsonga emulwisa, era yegendereze obutategezaako muntu yenna. Bwatyo, ekibuga Augsberg yakifuluma tebunnalaba mukyama nga yebagadde embalasi, era n&pos;awerekerwako omukuumi eyamuwebwa omukulu w’ekibuga. Eno ng’abalabe be beetegese okumuzikiriza, era nga basuubira nti tayinze kusimatukka mu mikono gyabwe. Kino kyali kiseera kya kusaba nnyo. Yatuuka ku luggi olutono olufuluma ekibuga n’aggulirwawo, ye n’omukuumi we ne bayitawo mirembe. Ng’abamaze okubomba ne bayanguyirira baleme kusangibwa mu kkubo. Setaani yali amaze okuwangulwa awamu n’ababaka be. Luther eyali atuuse mu mikono gyabwe kaakano ng’abatoloseeko ng’ekinyonyi bwe kitoloka mu mutego gw’omuyizzi. EE 87.2

Omubaka wa papa n’asaalirwa nnyo bwe yategeera okutoloka kwa Luther era ne yejumuula naye ng’anakuwadde. Kubanga yasuubira okuweebwa empeera bwe yandizikirizza omuntu atabangula ekkanisa y’e Luumi. Yawandiikira ebbaluwa owessaza eriyitibwa Saxony mu Bugirimaani amanyiddwa nga Frederick, naamutegeeza nga bwali omunyiivu, era nti alagire Luther akomezebwewo aweerezebwe e Luumi bw&pos;atakikola ye afiirwe obukulu bwe obwessaza Saxony. EE 87.3

Luther n’asaba omubaka oba papa nti bamulage waali omukyamu okuva mu Byawandiikibwa era naasuubiza mu buwombeefu obwekitalo okwenenya enjigiriza ye nnaddala bw’eba nga ekontana n’ekigambo kya Katonda. Kyokka ne yeebaza Katonda okumubalira mu abo ababonaabona olw’okuweereza okutukuvu. EE 87.4

Wabula Frederick yali talina nnyo ky’amanyi ku njigiriza ya Luther mu kiseera ekyo, naye nga yeewunya ebigambo bye ebyanjulukufu, ate nga bitegerekeka bulungi; era n’asuubiza okumuwa obukuumi okutuusa nga naye alagiddwa ensobi ya Luther. Yamuddamu n’amuwandiikira nti: ‘“Nandikusuubidde gwe okuba omumativu olw’okubanga Dr. Martin yalabiseeko gy’oli mu Augsiberg. Era tetwakusuubira gwe okumugamba nti yeenenye ebigambo bye nga tosoose kumulaga waali omusobya. Ate era ewaabwe tevaangayo muntu n’omu antegeeza nti enjigiriza ya Martin si yabukristaayo oba nti ewabya.’ Era teyamuweereza Luumi wadde okumugoba mu matwale ge.” - D’Aubigne, b. 4, ch. 10. EE 87.5

Ekyennaku, omulangira Frederick ng’alaba ensi eggwawo olw’empisa okuggwa mu bantu. Nga kyeetaagisa okuzuukusa abantu. Okubawozesa n’okubabonereza nga kya bbeeyi era nga tekikyagasa okujjako ng’abantu bategedde era ne bagondera ebyo Katonda by’ayagala n’okuddamu empisa ez’abantu abategeevu. Era ng’alaba ekyo Luther ky’alafubanira so ng’ate n’empisa zitandise n’okulabikako mukanisa, bwatyo naamuwagirira mukyama. EE 87.6

Ekirala, yalaba nga Luther agenda ayitimuka akulakulanya ssettendekero. Waali wakayita omwaka gumu gwokka okuva lwe yatimba ekiwandiiko kye ku luggi lw’ekkanisa era nga n’abantu bangi tebakyagenda kujaguza lunaku lw’abatukuvu. Abalamazi nga tebakyagenda Luumi wadde okugenda okusinza n’okuwangayo ebirabo byabwe, naye nga kaakano mu kkanisa mujjuddemu bantu bangeri ndala nnyo: bayizi abagenda okuyiga ekigambo kya Katonda so si abagenda okusinza abafu. Ebiwandiiko bya Luther nga bikoleezezza omuliro n’obwagazi mu bantu obw’okuyiga Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, so si mu Bugirimaani mwokka naye era n’abayizi okuva mu nsi endala nnyingi nga beeyiwa ku ssettendekero. Abavubuka abatatukangako Wittenberg, “ne bawanika emikono gyabwe mu bbanga ery’eggulu nga bwe batendereza Katonda olw’okuleeta omusana ogw’amazima okwakira ensi nga guva mu kibuga kino, nga bwe kyali mu Sayuuni eky’edda, ne gubuna okutuuka ne mu nsi ezewala.” - Ibid., b. 4, ch. 10. EE 88.1

Mu kiseera kino, Luther ngayakategeerako kitundu ku bulimba bwa Luumi. Era bwayagerageranyanga Ebyandiikibwa Ebutukuvu n’ebiragiro era n&pos;amateeka ga papa ne yeewuunya. Agamba nti: “Bwensoma ebiragiro bya papa, sitegeera oba nga papa yennyini si ye mulabe wa Kristo oba omutume w’omulabe wa Kristo, era mu byo olaba ng’ekifaananyi kya Kristo eyakomererwa kyonooneddwa.” - ibid., b. 5, ch. 1. EE 88.2

Naye era Luther yali akyali muwagizi w’ekkanisa y’e Luumi era nga takisuubirangako nti aliba edda ne baawukana. EE 88.3

Ebiwandiiko bye ne bigenda nga bibuna okutuuka mu nsi nnyingi ez’Obukristaayo. Omulimi ne gutuuka ne mu Switizilandi awamu ne mu Hollandi. Ebirala ne bisiņņanibwa nga bituuse mu Bufaransa ne Sipeyini. Ebungereza ne byanirizibwa ng’ekigambo eky’obulamu. Amazima ne gatuuka mu Yitale ne mu Bubirigi. Abantu nkumi na nkumi ne bava mu tulo ng’ababadde bazirise okwaniriza amazima awamu n’essuubi ery’obulamu obuli mu kukkiriza. EE 88.4

Luumi n’ejula okwabika obusungu olwa Luther, n’abamu ku bayivu okuva mu zi ssettendekero za Luumi ne batuuka n’okwogera nti, omuntu yenna atta omusasedooti eyewaggudde taba na kibi eri Katonda. EE 88.5

Olumu bwe yali atambula n’asisinkana n’omusajja eyalina emmundu entono ng’agikwese mukyambalo kye, naamubuuza nti Iwaki otambula bw’omu. Luther kwe kumuddamu nti: “Ndi mu mikono gya Katonda. Oyo ye mukuumi wange era ge maanyi gange. Ani ayinza okuntuusaako akabi?” - Ibid., 6. Ch. 2. Omusajja bwe yawulira bino, n’adduka okumuviira ng’anga adduse mu maaso ga malayika ow’omu ggulu. EE 88.6

Luumi yayagala nnyo okuzikiriza Luther naye nga omukono gwa Katonda guli ku ye. Enjigiriza ye n’ewulirwa buli wantu wonna, “mu buyumba obw’abantu abanaku okutuuka ku bagagga... mu balangira n’abakopi, mu zi ssettendekero ne mu mbiri za bakabaka;” n’abalangira bangi ne bamwegattangako okumuwa obukuumi n’okumuwanirira. - Ibid., b. 6, ch. 2. EE 88.7

Mu kiseera kino Luther n’afuna omukisa okusoma ku biwandiiko bya Huss, naasiŋŋaana mu byo amazima agakwata ku butuukirivu olw’okukkiriza, ge yali anoonya okumanya n’okuyigiriza, era nga ne Huss yagayigirizanga. “Ffenna tubadde bagoberezi ba Huss, nze, Pawulo ne Agugastine naye nga tetumanyi!” bwatyo bwe EE 88.8

yeewuunya. N’ayongera okugamba nti: “Mazima Katonda wakusalira ensi eno omusango, kubanga amazima gaabuulirwa emyaka kikumi egiyiseewo naye ne gookebwa!” Wylie, b. 6, ch. 1. EE 89.1

Bwe yali ajulira eri kabaka era n’eri abakungu b’obwakabaka mu Bugirimaani ku nsonga y’Obukristaayo okuzzibwa obuggya, Luther yawandiika ku papa nti: “Kikuba ensonyi okulaba omuntu eyeyita omukiise wa Kristo ku nsi nga yeeyisa mu bitiibwa ebisinga n’ebya bakabaka. Kuno kwe kweyisa nga Kristo omuntu owennaku oba nga Peetero omuteefii? Bagambe nti ye mukama w’ensi eno! Naye Kristo gwe yeeyita okuba omukiise we, yagamba nti: ‘Obwakabaka bwange si bwa munsi muno.’ Amatwale g’omukiise gayinza okussukka aga mukama we we gakoma?” - D’Aubigne, b. 6, ch. 3. EE 89.2

Bwatyo n’awandiika ne ku zi ssettendekero nti: “Nnina okutya kungi eri zi ssettendekero kubanga ziyinza okufuuka emiryango eminene egitwala abantu mu kuzikirira, okujjako nga wabaddewo okufuba okw’amaanyi ne bannyonnyola Ebyawandiikibwa Ebitukuvu era ne byoolebwa ku mitima gy’abavubuka. Siwa magezi eri muntu yenna kuteeka mwana we mu kifo Ebyawandiikibwa gye bitaweebwa kifo kisooka. Nabuli ttendekero omuli abantu abatenyigidde mu kuyiga Byawandiikibwa lyakwonooneka.” Ibid., b. 6, ch. 3. EE 89.3

Okusaba kwe kuno kwabunyisibwa wonna mu Bugirimaani era ne kukwata ne ku bantu bangi. Ensi yonna ne yegattira wamu okuteekawo enkyukakyuka. Eno nga n’abalabe ba Luther bwe baagala okuwolera eggwanga, ne basendasenda abantu bamweggyeko. Ne bagamba nti enjigiriza ze zivumirirwe bunnambiro. Era Luther n’aweebwa ennaku mukaaga gwokka yegaane ye n’abagoberezi be enjigiriza ze bwe bagaana bagobebwe mu kkanisa. EE 89.4

Kino kye kyali ekiseera ekisinga obuzibu mu kuzzibwa kw’ekkanisa obuggya. Ng’okumala ebyasa by’emyaka bingi, Luumi buli lweyayisanga ekiragiro kino, nga bakabaka abamaanyi bakankana, era n’obwakabaka bungi busigala mu matongo. Anti ng’abasaliddwako bavunaanirwa wamu, nga tebasembererwa wadde okwetaba nabo mu kusinza, era bayisibwa nga bannamawamga, abagwanira okuyiggibwa basanyizibwewo. Luther teyali muzibe w’amaaso obutalaba kyali kimujjira; naye yayimirira nga mugumu mu Mukama waffe, nga yeesiga Kristo okumukuuma n’okumuwagira. Yawandiika nga mugumu okukira omujulizi agenda okuttibwa nti: “Simanyi kigenda kuddirira, era sandyagadde kukimanya... Ekikonde ka kikube wekyagala, sitidde naakatono. Ng’ekikoola bwe kitagwa kuva ku muti awatali kwagala kwa Kitaffe. Ate ffe tatufeeko nnyo! Kye kyangu okufirira ekigambo, kubanga ne Kigambo eyafuuka omubiri naye yatufiirira. Bwe tufiira awamu naye, tulibeera naffe balamu ku bubwe era tubeere naye; era bwe tuyita mu ekyo ye kye yasooka okuyitamu, tulibeera naye eyo gy’ali emirembe gyonna.” Ibid., 3d London ed., Walther, 1840, b. 6, ch. 9. EE 89.5

Luther ng’aweereddwa ekiwandiiko kya papa kyava agamba nti “Nkinyooma, era nkiraba nga ekitali kya bukristaayo, temuli mazima. Kiwoola Kristo yennyini... Kyokka ndi musanyufu okuvunaanibwa olw’ensonga ennungi. Era mpulira eddembe lingi mu mutima gwange; kubanga ntegeredde ddala nti papa ye mulabe wa Kristo era nga kennyini y’atudde ku kitebe kya Setaani.” - D’Aubigne, b. 6, ch. 9. EE 89.6

Kyokka ekiragiro kya Luumi tekyaviirayo bwereere. Amakomera, amafumu, EE 89.7

n’ebirala bingi ne bikozesebwa ng’ebyokulwanyisa okuzza obuwulize mu bantu. Abanafu n’abantu abatakkiriza Katonda ne bakankana; era newakubadde ng’abantu baalumwa ku Iwa Luther olw’omulimu gwe, naye ne bawulira nga obulamu bwe businga omulimu gw’akola. Era ng’obubonero bwonna bulaga nti omulimu gwa Luther gutuuse ku nkomerero. EE 90.1

Luther nga taliimu kutya n’akatono. Luumi n’egenda mu maaso nga bw’emukolimira n’okumugoba mu kkanisa, era nga tewali kubuusabuusa nti Luther anaayinza okuwona okuttibwa oba okuwalirizibwa akkirize. Wabula Luther yasituka mu maanyi ag’ekitalo naayatula mulwatu nga bwayabulidde Luumi emirembe gyonna. Era ng’ali mulujjudde lw’abayizi ku ssettendekero, ba dokita awamu n&pos;abantu abalala bangi, Luther kwe kukwata ekiwandiiko kya papa nga mw’otwalidde n’amateeka ge, n’ebiwandiiko ebirala bingi ebiwa papa obuyinza okufuga, n’abikumako omuliro. Yagamba: “Abalabe bange baakuma omuliro ku bitabo byange olw’okwagala okuzikiza amazima omuntu wabulijjo g’abadde yeyagaliramu, bazikirize emyoyo gyabwe; nange kyenva nsanyawo ebitabo byabwe. Olutalo lutandise butandisi. Mbadde nzannya buzannyi ne papa. Nnatandika omulimu guno mulinnya lya Katonda, era gulimalirizibwa mu maanyi ge ag’ekitalo newakubadde nze nga siriiwo.” - Ibid., b. 6, ch. 10. EE 90.2

Ng’akyukidde ebivumo n’okurjoolebwanga abalabe be mbu olw’obunafu obwali mu bigendererwa bye, yabaddamu nti: “Ani amanyi oba nga Katonda yanoonda era n’ampita, era nga bwe munnyooma temunyooma nze wabula Katonda yennyini? Musa yayimirira bw’omu nga bava e Misiri; Eriya yali bw’omu mu kiseera kabaka Akabu we yafugira; Yisaaya naasigala bw’omu mu Yerusaalemi; Ezekieri yali yekka mu Babulooni... Katonda teyabalonda nga bannabbi oba bakabona bakulu oba okulonda omuntu omulala yenna nga wakitiibwa; naye yalonda bantu babulijjo era abanyoomebwa nga mwe muli ne Amosi eyali omusumba w’endiga. Naye ku buli mulembe, abatukuvu bazze nga banenya ku bantu abamaanyi, bakabaka, abalangira, bakabona n’abantu abagezi ku kabi akoolekedde obulamu bwabwe... Sigamba nti nze ndi nnabbi; naye ņņamba nti kibagwanidde okutya kubanga nze ndi bw’omu so ng’ate bo bangi. Era ndi mukakafu nga ekigambo kya Katonda kiri ku lulimi lwange, so nga ne Katonda tali ku bo.”- lbid., b. 6, ch. 10. EE 90.3

Mazima tekyali kyangu Luther okusalawo ayawukanire ddala n’ekkanisa y’e Luumi. Era mu kiseera kino we yawandiikira nti: “Buli lunaku oluyitawo, n’eyongera okukizuula nga sikyangu okwerabira empisa ezoolebwa mu mwana ng’akyali muto. Nga mpulidde okukosebwa mu nda yange okukkiriza nti nyinza okwaŋŋanga okuyimirira mu papa ne mulumiriza nti ye mulabe wa Kristo newakubadde nga nnina n’obukakafu okuva mu Byawandiikibwa! Omutima gwange nga gubonyebonye n’ebirowoozo! Emirundi emeka gye nneebuzizza ekibuuzo kino wakati mu bulumi, ababaka ba papa nabo kye babadde bambuuza bulijjo nti: ‘Ggwe wekka ggwe mugezi? Abantu abalala bonna bayinza okuba nga bebakyamu? Kiri kitya bwe kirizuulwa nga ggwe obadde omukyamu era ng’okyamizza n’emyoyo gy’abalala bangi okubula emirembe gyonna?’ Bwentyo bwe nnalwananga n’omutima ngwange awamu ne Setaani, okutuusa Kristo lwe yanyweza omutima gwangwe n’ekigambo kye ne gugwamu okubuusabuusa.” - Martyn, pages 372,373. EE 90.4

Emirundi mingi nga papa atiisatiisa Luther n’okumugoba mu kkanisa y’e EE 90.5

Luumi bw’agaana okwenenya ebigambo bye, era wano we kyatuukiririra. Papa yamuweereza ekiwandiiko ekirala ekimukakasa nga bw’agobeddwa mu kkanisa y’e Luumi, era ne bw’akolimiddwa ekikolimo okuva mu ggulu ye ne banne abamugoberera. Kaakano yali ayingiridde olutalo olusinga obunene. EE 91.1

Abantu Katonda baalonze okubunyisa amazima basisinkana okuwakanyizibwa mu kiseera kyabwe. Waaliwo amazima ag’okubunyisa eri ensi mu kiseera kya Luther - amazima agaali geetaaga okussaako ennyo essira; era waliwo n’amazima ag’ekiseera kino eri ekkanisa leero. Buli yenna eyeyisa nga Katonda bw’ayagala aweereddwa omukisa okutegeeza abantu ekiseera kyebalimu n’okubajjukiza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’enjawulo obw’ekiseera ekyo. Omusana ogubaweereddwa bwe bagusanyukira ne bagutwala ng’ekyomuwendo, baakweyongera okumanya amazima agasingako. Ekyennaku abantu bangi leero beeyongedde okukyawa amazima n’okusinga ne bwegwali mu biro bya Luther bwe yawakanyizibwa obwapapa. Era abantu baagala okuwulira enfumo n’obulombolombo okusinga okuwulira ekigambo kya Katonda okufaanana ne mu mirembe egyayita. N’olwekyo, abalina okutegeeza amazima ag’ekiseera kino tebasuubira nti baakwanirizibwa okusinga abo ababasooka. Olutalo olunene wakati w’amazima n’obulimba, wakati wa Kristo ne Setaani, Iwakugenda Iweyongera mu maanyi okutuusa ku nkomerero y’ebyafaayo by’ensi. EE 91.2

Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo: naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa. Mu[jukire ekigambo kye nnabagamba, Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banabayiggannyanga; oba nga bakwata ekigambo kyange, n’ekyammwe banaakikwatanga.” Yokaana 15:19, 20. Ate era Mukama waffe n’agamba nti: “Zibasanze abantu bonna bwe balibasiima! Kubanga bwebatyo bajjajjaabwe bwe baakolanga bannabbi ab’obulimba.” Lukka 6:26. Mu kiseera kino okusingako ne bwe kyali luli, omwoyo afuga ensi tassa kimu na mwoyo wa Kristo, era abo bonna abategeeza amazima mu butukuvu bwago, si baakukwatirwa kisa okusingako nga ne luli. Engeri amazima gye gawakanyizibwamu eyinza okwawukanamu, omulabe ayinza obuteyoleka nnyo kubanga naye mugezigezi; naye akyalina obukyayi bwe bumu era obujja okugenda nga bweyoleka okutuusa enkomerero. EE 91.3