Essuubi Eritaggwaawo

2/43

1 — Okuzikirizibwa Kwa Yerusaalemi

Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby’emirembe! Naye kaakano bikwekeddwa amaaso go. Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetoloola, balikuzingiza enjuyi zonna, balikusuula wansi, n’abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro byakukyalilwa kwo. Lukka 19:42-44 EE 12.1

Yesu ng’asinzira ku ntiko y’olusozi olw’emizeeyituuni, yatunuulira Yerusaalemi. Ekibuga kyonna nga kitebenkedde era nga kiri mulaala mu ndabika. Isiraeri yali mu kiseera eky’Okuyitako era nga ebika by’abaana ba Yisiraeri nga bakuņņaanye okujaguliza awamu okuyitako. Eweema ez’abalamazi nga zikkalidde mu nsuku ne mu nnimiro ez’emizabbibu, ne ku nsozi era nga zeetoolodde embiri n’okwetooloola ekibuga ekikulu ekya Isiraeri kyonna. Muwala wa Sayuuni nga yenna ajjude amalala awulirwa ng’agamba nti, Nze nnabakyala era sirina nnaku; era nga bwe yayagalwanga luli era nga yeeraba nga omuganzi mu maaso g’eggulu bamalayika nga bayimba ennyimba ez’ekitiibwa: “Olusozi Sayuuni lulungi mu kugulumira kwalwo, Lye ssanyu ery’ensi zonna.... Ekibuga kya Kabaka omukulu.” Zabbuli. 48:2. Yeekaalu nga yonna erabika bulungi. Yonna nga etemagana olw’omusana ogw’akawungeezi ogwaka ku mayinja ag’omuwendo omungi agagiriko. Eggwanga lyonna ery’Abayudaaya nga ligyenyumiririzaamu “olw’okutuukirira mu bulungi bwayo.” Nga mwana ki owa Isiraeri atajjula ssanyu n’okusamaalirira olw’okugitunuurira! Naye Yesu n’ajjirwa ebirowoozo ebyenjawulo. “Awo bwe yasembera okumpi, n’alaba ekibuga n’akikaabira.” Lukka 19:41. Omulokozi yajjula ennaku eyembagirawo wakati mu ssanyu eryali libuutikidde abantu nga bamuyimbira ozaana Kabaka, bwe baali nga bayingira ekibuga era nga bakutte amatabi g’enkindu. Oyo Omwana wa Katonda, essuubi lya Isiraeri, oyo eyawangula amagombe era mu maanyi ge n’azuukiza abafu, kaakano ng’ali mu maziga, si Iwa kulumwa okwabulijjo, naye olw’okunyigirizibwa okutagumiikirizika. EE 12.2

Teyeekaabira, newakubadde nga yali amanyidde ddala gye yali alaga. Gesusemaani yali emulindiridde, ekifo we yali agenda okubonaabonera. Yali alabira ddala bulungi oluggi lw’endiga mwe zaayisibwanga okugenda okussaddaakibwa okumala emyaka mingi; omwo mwe yali alina okuyisibwa “ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa.” Isaaya 53:7 Olusozi Gologoosa nga teruli wala, gye yali agenda okuwanikibwa ku musaalaba. Ekizikiza nga kibuutikidde ekkubo Kristo mwe yalina okutambulira okugenda okuwaayo ssaddaaka olw’ekibi. Naye ebyo byonna si bye byamuviirako okufuna ekizikiza mu birowoozo bye mu kiseera eky’essanyu. Omutima ogw’okwerowoozaako tegwayingira mu birowoozo bye olw’okutya okubonaabona. Yakaabira Yerusaalemi n’abantu enkumi n’enkumi abakirimu abaali balindiridde okuzikirira - olw’obuzibe bw’amaaso n’olw’obutenenya bw’abo be yajja okuwa omukisa era n’okulokola. EE 12.3

Ebyafaayo ebiri mu myaka enkumi n’enkumi eby’okusaasira n’obuzadde bwa EE 12.4

Katonda, ebizze biragibwa eggwanga eddonde, kaakano nga Yesu abiraba bituukirira. Olusozi Moliya, okwo omwana ow’okusuubiza, kwe yalina okuweebwayo awatali kuwalira - akabonero akassaddaaka ey’Omwana wa Katonda. Eyo endagaano ey’omukisa, era n’ebisuubizo eby’ekitiibwa gye byakakasibwa eri kitaawe w’abeesigwa. Lubereberye 22:9, 16-18. Awo ennimi ez’omuliro ogwasituka okuva ku kiweebwayo ku gguuliro lya Olunaani malayika omuzikiriza bwe yazzaayo ekitala kye mu kiraato kyakyo (1 Ebyomumirembe 21)- akabonero akatuukira ddala ku kiweebwayo eky’Omulokozi era omutabaganya w’abonoonyi. Katonda yali asukulumizza Yerusaalemi okusinga amawanga gonna mu nsi. Katonda “Yeeroboza Sayuuni n’akiyaayanira okukituulamu.” Zabbuli 132:13. EE 13.1

Okumala emyaka mingi nga bannabbi abatukuvu baweera eyo obubaka obulabula abantu. Bakabona nga banyokereza eyo obubaane awamu n’okusaba kw’abatukuvu ne kulinyanga mu ggulu eri Katonda. Omusaayi gw’endiga ezasalibwanga buli lunaku gye gwayiikanga olw’okuweebwayo, nga gusonga ku mwana gw’endiga owa Katonda. Awo Yakuwa gye yeeyoleseza mu kire eky’ekitiibwa ku ntebe ey’okusaasira. Amadaala agayunga ensi ku ggulu bamalayika ba Katonda kwe bakkiranga era ne balinnya nga bagagenda mu ggulu okuggulirawo ensi oluggi okutuuka eri omutukuvu wa byonna we gasinziiranga. (Lubereberye 28:12: Yokaana 1:51). Singa eggwanga lya Isiraeri lyasigala nga liwulize eri Katonda, Yerusaalemi singa weekiri ne kaakano ng’omulonde wa Katonda. (Yeremiya 17:21- 25). Ekyennaku, ebyafaayo eby’abantu ab’omukisa bijjuddemu bujeemu na kudda mabega. Bajeemera ekisa kya Katonda, ne bonoona emigabo gyabwe bwe batyo ne bafiirwa emikisa gyabwe. EE 13.2

Newakubadde nga Isiraeri “yaduuliranga ababaka ba Katonda ne banyomanga ebigambo bye ne basekereranga bannabbi be” (2Ebyomumirembe 36:16), yasigala nga abeeraga nga “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa ekingi, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi” (Kuva 34:6); ekisa kye nga kiyita buli kiseera nga tatunuulidde bujeemu bwabwe obutakoma. Nga kitawe w’omwana bw’asaasira omwana we, ne Katonda “yabatumiranga mu babaka be, ng’agolokoka mu makya n&pos;atuma; kubanga yasaasira abantu n’ekifo mw’abeera ” 2Ebyomumirembe 36:15. Bwe baalemwa okuwuliriza okuyita, n’okwegayirira, n’abaweereza ekirabo eky’eggulu; n’abaggonnomolera ekirabo ekimu kyokka ekikira byonna mu ggulu. EE 13.3

N’omwana wa Katonda yaweerezebwa okwegayiririra ekibuga ekijeemu. Era Kristo ye yajja Isiraeri mu Misiri ng’omuzabbibu omulungi. Zabbuli 80:8. Omukono gwe gwe gwagobamu abamawanga era n’amusimba ku “nsozi engimu,” N’amukolera olugo. N’atuma abaddu be okumulabirira. Yeebuuza, “Nandiyinzizza kukola ki nate olusuku Iwange olw’emizabbibu kye nnalemwa okulukola?” Isaaya. 5:1- EE 13.4

4. Newakubadde nga yasuubira lubale ezabbibu ennungi naye ne lubala zabbibu ez’omunsiko, yasigala ng’akyalusuubira okubala kyeyava ajja mu buntu mu lusuku Iwe aluwonye okuzikirizibwa. N&pos;alusimira olusalosalo; n’alusarira, n’alwagala nnyo nnyini. Teyawulira bukoowu bwe yafuba okuwonya omulimu gw’emikono gye. EE 13.5

Okumala emyaka esatu Mukama ow’ekitiibwa era omwanjulukufu mu mutima yagimala ng’atambulatambula mu bantu be. Yatambula ng’akola obulungi era ng’awonya bonna abaajoogebwanga Setaani,” ng’asiba abalina emitima egimenyese, EE 13.6

okulangirira eddembe eri abawambe n’okuzibula abazibe b’amaaso, ng’awonya abakoozimbye n’okuggula abaggavu b’amatu gawulire, ng’awonya abagenge era ng’azuukiza abafu n’okubuurira amawulire amalungi eri abaavu. Ebikolwa by’Abatume 10:38; Lukka 4:18; Matayo 11:5. Abantu bonna ng’abayita n’okuyita okw’ekisa nti, “Mujje gye ndi mmwe mwena abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” Matayo 11:28. EE 14.1

Newakubadde nga yasasulwamu obubi olw’obulungi, n’okukyawa olw’okwagala (Zabbuli 109:5), yasigala ng’anyweredde ku mulimu ogwamuleeta. Era ebyo tebyamulemesa kukwatirwa kisa eri abo abakyetaaga. Oyo eyabalirwanga awamu n’abatalina we basula, asekererwa era omwavu lunkupe, yajja okuweereza abantu abali mu bwetaavu n’okubasitulirako emigugu, ng’abeegayirira okukkiriza ekirabo eky’obulamu. Emitima emikakanyavu egy’abantu abajeemu gy’asitula ekisa mu ye n&pos;abasaasira n’okwagala okutayogerekeka. Naye nga Isiraeri akubye omugongo mukwano gwe era omuyambi we asingira ddala. Ng’anyoomye era ng’agaanyi okuyita okw’okwagala, okubuulirirwa n’okulabula ebyavanga eri mukwano gwe. EE 14.2

Ekiseera eky’ekisa n’essuubi nga kiyita mangu nnyo, era nga n’ekikopo eky’obusungu bwa Katonda nga kumpi kijjudde. Ekire eky’obubi n’obujeemu ekizze kyekulumulula okuyita mu mirembe kaakano nga kikutte kazigizigi omuli obulumi, nga kinaatera okutonnyera abantu abalina ebibi, so nga n’omuntu yekka eyandibawonyeza okuzikirira okubasemberedde anyoomeddwa n’asekererwa, n’agaanibwa era nga anaatera okukomererwa. Olunaku Kristo lwe yawanikibwa ku musaalaba ku lusozi e Ggologoosa, Isiraeri nga eggwanga Iwe yakoma okutwalibwa ng’omwagalwa era ow’omukisa eri Katonda. Newakubadde nga okuzikirira kw’omwoyo ogumu eri Katonda kumuluma okuyita mu mirembe gyonna era nga kusingira wala nnyo obugagga n’amasanyu ag’ensi eno, naye Kristo yatunuulira okuzikirira kw&pos;ekibuga Yerusaalemi, eggwanga lyonna, ekibuga kye, eggwanga lya Katonda eddonde, eky’obugagga bwe, n’alumwa. EE 14.3

Banabbi baakaabiranga Isiraeri olw’okwonoona kwe era n’okunakuwala olw’ebyo ebyavanga mu kwonoona kwe. “Omutwe gwange singa gubadde mazzi, n’amaaso gange singa lubadde luzzi lwa maziga, nkaabirenga emisana n’ekiro abo abattiddwa ab’omuwala w’abantu bange!” bwatyo Yeremiya bwe yeesabiranga, “olw’ekisibo kya Mukama ekikwatiddwa.” Yeremiya 9:1; 13:17. Kristo yandikaabye kyenkana ki oyo eyayiinza okwolesebwa ebyo okuyita mu mirembe gyonna! Yalaba malayika omuzikiriza ng’agaludde ekitala kye eri ekibuga ekibadde ekifo Katonda mw’atuula. Yakitunuulira ng’ayima ku lusozi olw’emizeeyituuni ekifo mwennyini Tito Omuluumi n’amaggye ge kye baawamba, n’ayisa amaaso okutuuka mu kiwonvu awali entebe ezisalirwako emisango, era n&pos;amaaso nga gajjude amaziga, n’alaba bbuggwe yenna nga yeebulunguluddwa amaggye g’abannamawanga. Yawulira emisinde gy’amaggye nga batabaala okulwana. N’awulira amaloboozi g’abazadde n&pos;abaana nga bakaabira okulya emmere mu kibuga ekimaze okuzingizibwa. Yalaba ekifo kye ekitukuvu n’ennyumba enuungi, embiri za Yerusaalemi n’emirongooti byonna nga bikumiddwaako omuliro, byonna bifuuse muyonga. EE 14.4

Bwe yalengera okuyita mu mirembe, n’alaba abantu be be yalagaana nabo endagaano nga basasaanye okubuna amawanga “okufaanana akabenje akagudde wakati mu ddungu.” Yalaba ekiruyi ekyali kirindiridde okutuuka ku baana be naye EE 14.5

nga kwe kulumwa okusooka ekiva ku kikompe ky’obusungu bwa Katonda bwe balina okunywa mu bujjuvu ku lunaku olw’okusalirako omusango. Ebigambo bya Katonda ebijjudde okusaasira n’okwagala nga byogera nti: “Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy’ali! Emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuņņaanya abaana bo nga enkoko bw’ekuņgaanya obwana bwayo munda w’ebiwawatiro byayo, ne mutayagala! Ai, ggwe eggwanga eryayagalwa okukira amawanga amalala singa wamanya ebiro eby’okukyalirwa kwo. Laba nkomye ku malayika omuzikiriza, era nkuyita okwenenya, naye n’otoyagala. Kubanga togaanyi bugaanyi baddu na babaka oba bannabbi benkutumira naye ogaanye nze mwene, Omutukuvu wa Isiraeri, Omununuzi wo. Bw’otyo onoovunaanyizibwa olw’okuzikirira kwo. “Era temwagala kujja gye ndi okubeera n’obulamu obutaggwaawo.” Matayo 23:37; Yokaana 5:40 EE 15.1

Kristo yalaba mu Yerusaalemi nga mulimu akabonero ak’obukakanyavu bw’omulima ogw’obutakkiriza n’okujeema nga byeyongera okutuuka ku lunaku Katonda Iw&pos;aliwolererako eggwanga. Yawulira okulaajana okw’abantu abaabula nga binyigiriza omutima gwe ekyamuleetera okukaaba mu ddoboozi ery’omwanguka. Yalaba ebikolwa eby’ekibi nga byetabudde wamu n’okunakuwala kw’abantu, amaziga n’omusaayi gwabwe; omutima gwe ne gwennyika olw’ekisa kye ekitakoma olw’abo ababonaabona era abanyigirizibwa mu nsi, ng’ayagala bonna okubawonya. Naye ng’omukono gwe teguyinza kuggyawo kulaajana kw’abantu; anti nga batono nnyo abanoonya ekkubo ery’obuwonero. Yali mweteefuteefu okufuka omwoyo gwe okutuusa okufa olw’okubatuusaako obulokozi, naye nga batono ddala abagenda gy’ali bafiine obulamu. EE 15.2

Kabaka ow’eggulu ng’akaaba! Omwana wa Katonda ataggwaawo ng’atabuddwa mu mwoyo gwe, n&pos;avuunama n’akaaba mu bulumi! Eggulu lyasamaalirira. Ekyo kitulaga obubi bw’ekibi; kitulaga obunene bw’omulimu gw’okulokola omwonoonyi okuva mu biva mu kumenya amateeka ga Katonda nga bwe guli. Yesu yatunuulira enkomerero y’ebyafaayo by’ensi eno, n’alaba ensi ng’ezingiddwaako obulimba obufaananako n’obwo obwaleetera Yerusaalemi okuzikirizibwa. Ekibi nnamutta Abayudaaya kye baakola, kwe kugaanira ddala Kristo; so ng’ate ekibi nnamutta eri Abakristaayo, kwe kugaana amateeka ga Katonda omusingi gw’obukulembeze bwa Katonda mu ggulu ne ku nsi. Amateeka ga Yakuwa gakunyoomebwa era gatwalibwe ng’ekitaliimu. Obukadde n’obukadde bw’abantu abasibiddwa mu kibi, era mu buddu bwa Setaani, baakuzikirira mu kufa okwokubiri olw’okugaana okuwuliriza ebigambo eby’amazima mu kiseera kyabwe eky’okukyalirwa. Obwo buzibe bw’amaaso ddala! Okwagala okw’omunguuba! EE 15.3

Nga wabula ennaku bbiri Kristo asembyeyo okuyingira mu yeekaalu, ng’amaze okuvumirira obunaanfuusi bw’abafalisaayo n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’alinnya nate wamu n’abayigirizwa be ku lusozi olwa Zeyituuni ne batuula ku muddo okwolekera ekibuga. Era nate ne yeekaliriza amazimba ga Yerusaalemi, ebitikkiro n’embiri ze. N’alaba yeekaalu mu kitiibwa kyayo ng’etemagana, engule ey’ekitiibwa ng’ebuutikidde olusozi olutukuvu. EE 15.4

Ng’ebula emyaka nga lukumi Kristo okujja, omuyimbi wa zabbuli yayimba ng’asukkulumya okwagala kwa Katonda eri Isiraeri ng’amufuula ennyumba ye entukuvu ey’okubeeramu bwe yagamba nti: “Era mu Saalemi eweema ye mweri, EE 15.5

n’ekifo kye ky’atuulamu mu Sayuuni.” “Naye n’alonda ekisa kya Yuda, olusozi Sayuuni lwe yayagala, N’azimba awatukuvu we okufaanana ng’ensozi, ng’ensi gye wanyweza emirembe gyonna.” Zabbuli 76:2; 78:68,69. Yeekaalu eyasooka yazimbibwa mu kiseera Isiraeri we yagaggawalira obulungi. Amayinja amanene era ag’omuwendo bwe gaakuņņaanyizibwa kabaka Dawudi olw’omulimu guno Katonda bwe yamuluņņamya enzimba y’ayo. 1 Ebyomumirembe 28:12,19. Sulemaani kabaka wa Isiraeri eyali omugezi ennyo ye yagimaliriza. Era yeekaalu eno kye kimu ku bizimbe ebyali byewuunyisa, ensi bye yali erabyeko. So ate Mukama yali amaze okulangirira ku yeekaalu eyokubiri okuyita mu Kaggayi nnabbi nti: “Ekitiibwa eky&pos;ennyumba eno eky’oluvannyuma kirisinga kiri ekyasooka.” “Era ndinkankanya amawanga gonna, n’ebyo ebyegombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukama ow’eggye.” Kaggayi 2:9,7. EE 16.1

Oluvannyuma nga yeekaalu emaze okuzikirizibwa Nebukadduneeza, yazimbibwa nate abantu abaali bamaze kumpi obulamu bwabwe bwonna mu bunyage bwe baakomawo mu nsi eyali efuuse amatongo ng’ebula emyaka nga ebikumi bitaano Kristo okuzaalibwa. Nga mu bo mulimu abasajja abakulu mu myaka abaalabako ku kitiibwa kya yeekaalu eyasooka eyazimbibwa Sulemaani ne bakaaba amaziga olw’emisingi gya yeekaalu ey’okubiri obutatuuka ku kitiibwa ky’eri eyasooka. Nnabbi annyonnyola mu bulumi embeera nga bwe yali: “Anti ani asigadde mu mmwe eyalaba ennyumba eno mu kitiibwa kyayo ekyasooka? Era mugiraba mutya kaakano? Temugiraba nga teriimu kabuntu mu maaso gammwe?” Kaggayi 2:3; Ezera 3:12. O1uvannyuma kwe kulangirira amawulire ag’essuubi nti ekitiibwa kya yeekaalu eyokubiri kirisinga eky’eyo eyasooka. EE 16.2

Naye yeekaalu eyokubiri teyatuuka mu kitiibwa ku eri eyasooka, wadde okulabikamu ekitiibwa kya Katonda nga bwe kyali mu eri eyasooka. Amaanyi ag’obwa Katonda tegaalabika bwe yali ng’ewongebwa. Ekire eky’ekitiibwa tekyalabikako kujjuza watukuvu. Wadde omuliro okuva mu ggulu okwokya ekiweebwayo nga kiri ku kyoto. Entebe ey’okusaasira mu kifo ekitukuvu nga tekyaliwo wakati wa bakerubi. Essaanduuke ey’endagaano n’emeeza ez’obujulirwa nga tezikyalimu. Nga tewakyawulirwa ddoboozi kuva mu ggulu eryanukula kabona ku ebyo bye yeebuuza ku Yakuwa. EE 16.3

Okumala ebyasa by’emyaka mingi ng’Abayudaaya beebuuza ebisuubizo bya Katonda bye yasuubiza okuyita mu nnabbi Kaggayi lwe birituukirira naye nga buteerere, so nga ate amalala n’obutakkiriza bye bizibye amaaso gaabwe ag’omwoyo obutategeera mazima g’ebigambo bya nnabbi. Ekire eky’ekitiibwa kya Yakuwa tekyabuutikira yeekaalu ey’okubiri, wabula n’okubeerawo ku oyo omu Obwakatonda bwonna mwe bwatuula - Katonda yennyini eyalabisibwa mu mubiri. Oyo “Okuyaayaana kw’amawanga” mazima yali atuuse, Omusajja Omunazaaleesi bwe yayigiriza n’awonya abalwadde bwe yali mu luggya olutukuvu olwa yeekaalu ye. Yeekaalu eyookubiri yasukkuluma mu kitiibwa olw’okubeerawo kwa Kristo. Naye Isiraeri n’eteetwalira kirabo kya ggulu. Ekitiibwa kyabavaako era ne ku yeekaalu emirembe gyonna Omuyigiriza omukakkamu bwe yayita mu mulyango ogwa zaabu n’afuluma ku lunaku olwo. Ebigamba by’omulokozi byali bimaze okutuukirira nti : “Ennyumba yammwe ebalekeddwa kifuluka.” Matayo 23:38 EE 16.4

Abayigirizwa beewuunya era ne basamaalirira Kristo bwe yalagula nga yeekaalu EE 16.5

bwe yali egenda okuwambibwa bwe batyo ne baagala okumanyira ddala mu bujjuvu amakulu g’ebigambo bye. Yeekaalu yali ekoleddwa n’amagezi ag’ekikugu ng’emaliddwako obulindo bw’ensimbi okumala emyaka egisoba mu makumi ana. Kerode omukulu ng’agyonooneddeko obugagga bwonna obw’Abaluumi era n’Abayudaaya, era kabaka w’ensi ezo ng’agigaggawazza n’ebitone. Amayinja ag’omuwendo amanene ddala okuva e Luumi, ge gamu ku gaagizimba, abayigirizwa kwe baasinziira ne bawenya ku Mukama waabwe nga bagamba nti: “Laba amayinja gano n’enzimba eno bw’eri.” Makko 13:1 Yesu yabaddamu mu bigambo eby’ennaku era ebyewuunyisa ng’asinziira ku bigambo bino nti: “Mazima mbagamba nti, Tewalisigala wano jjinja eriri kungulu ku jjinja eritalisuulibwa wansi.” Matayo 24:2 Abayigirizwa baakwataganya okukomawo kwa Kristo mu kitiibwa alye obwakabaka bw’ensi eno, okubonereza Abayudaaya abateenenya n’okukutula ekikoligo ky’Abaluumi mu kuwambibwa n’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Mukama yali abagambye nti waakukomawo omulundi ogwookubiri. Bwebatyo nga mu kwogera ku kusalira Yerusaalemi emisango ebirowoozo byabwe byaddayo ku kukomawo kwe; era bwe baakuņņaanira waali ku lusozi Iwa Zeyituuni baamugamba nti: “Tubuulire bino we biribeererawo n’akabonero ak’okujja kwo bwe kaliba, n’ak’emirembe gino okuggwaawo?” Matayo 24:3 Katonda mu kisa kye yaziba amaaso g’abayigirizwa be obutalaba bya mu maaso. Era singa mu kiseera ekyo baalaba amazima agatiisa ag’emirundi ebiri, omuli okubonaabona n’okufa kw’Omulokozi era n’okuzikirizibwa kw’ekibuga ne yeekaalu, banditidde nnyo olw’entiisa. Kristo yali abalambululidde obubonero obw’ebiseera nga bwe buliddiriņņana ensi nga tenatuuka ku nkomerero. Naye ng’ebigambo bye tebannabitegeerera ddala, era nga amakulu g’abyo gaakubikkulirwa abantu be mu kiseera we beetaagira okumanyira ebiragiro ebibirimu. Obunnabbi bwe yalagula bw&pos;alina amakulu ga mirundi ebiri: nga bulengeza ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, era ne bulanga ku bubi obulibeerawo ku lunaku olukulu olw’enkomerero. EE 17.1

Kristo yayogera nga abayigirizwa be bawuliriza emisango n’ekiruyi Isiraeri eyagwa bye yali egenda okuvunaanibwa naddala ogw’okugaana n’okukomerera Masiya. Era ng’olunaku olwo olw’entiisa Iwakukulemberwa obubonero obutabuusibwabuusibwa. Essaawa eyo ey’entiisa nga yakwanguwako nnyo era mu bwangu. Omulokozi yalabula abagoberezi be ng&pos;abagamba nti: “Kale bwe muliraba eky’omuzizo ekizikiriza, Danieri nnabbi kye yayogerako, nga kiyimiridde mu kifo ekitukuvu, (asomamu ategeere), kale abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.” Matayo 24:15,16. Eky’omuzizo bwe kiriyimirizibwa mu nsi entukuvu, kwe kugamba okusukka ku bbuggwe w’ekibuga, olwo abayigirizwa ba Kristo nga beenoonyeza obuwonero. Obubonero obulabula bwe bulirabibwa, abalina okudduka tebalina kulwa. Okwetoloola Buyudaaya yenna ne Yerusaalemi nga balina okwetegereza obubonero era badduke mbagirawo. Oyo akwatiddwa omukisa n’abeera waggulu ku nnyumba nga talina kukka wansi mu nnyumba okusobola okuwonya ku bugagga bwe. Ng’abo abali mu nnimiro nga balima, tebalina kukomawo kukima ngoye zaanikiddwa mu kiseera we babeeredde nga bakolera mu bbugumu. Nga tebalina kulwa, si kulwa nga bazikiririra wamu. EE 17.2

Mu kiseera Kerode bwe yali nga y’afuga, Yerusaalemi teyakoma ku kuyonjebwa EE 17.3

buyonjebwa kyokka, naye era kyawanikibwamu emirongooti, bbuggwe n’agaziyizibwa, obukuumi ne bweyongera, byonna ebyo bwe byeyongera ku bukuumi bw’akyo obw’obutonde okusinziira we kiri, ne kiba nga si kyangu kuwangulwa. Ng&pos;oyo akyogerako mu kiseera ekyo n’alagula nga bwe kiyinza okuzikiribwa, afaanaanyizibwa Nuuwa mu kiseera kye bwe yayitibwa omulalu. Naye Kristo yali agambye nti: “Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggweerawo ddala.” Matayo 24:35. Okuzikirira n’ekiruyi byalangirirwa ku Yerusaalemi era ne bikakasibwa olw’ebibi bye n’obukakanyavu bw’omutima gwe. EE 18.1

Anti Mukama yali amaze okwogerera mu nnabbi Mikka nti: “Muwulire kino, mbeegayirira mmwe abakulu b’ennyumba ya Yakobo, nammwe abafuga ennyumba ya Isiraeri, abatamwa omusango era abalya ensonga zonna. Bazimba Sayuuni n’omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n’obukyamu. Abakulu baakyo basala omusango, baweebwe empeera, ne bakabona baakyo bayigiriza bafune ebintu, ne bannabbi baakyo balagula baweebwe effeeza; naye bo balyesigama ku Mukama nga boogera nti Mukama tali wakati waffe? Akabi tekalitutuukako.” Mikka 3:9-11. EE 18.2

Ebigambo bino binnyonnyolera ddala bulungi obulyake n’okwerowoozaako obw’abantu abaali mu Yerusaalemi. Nga beerowooza okuba abakuuma obutiribiri amateeka ga Katonda, so ng’ate bwe bamenya ebikulu mu go. Baakyawa Kristo kubanga olw’obutukuvu bwe obubi bwabwe bwonna bwabikkulwa; era ne bamuvunaana olw’okusibukako okubonaabona okuva mu bibi byabwe. Newakubadde nga baamumanya nga atayonoonangako, naye baasalawo nti okufa kwe kwe kunaabawonya ng’eggwanga. “Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukiriza: n&pos;abaluumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n’eggwanga lyaffe.” Yokaana 11:48 Kristo bw’aweebwayo nga saddaaka, baandiddamu okufuna amaanyi n&pos;ettuttumu nga lye baalina. Bwebatyo bwe baalowoozanga era ne bakkiriziganyiza wamu ne kabona asinga obukulu nti, kye kirungi omuntu omu okufa okusinga eggwanga lyonna okuzikirira. EE 18.3

Bwebatyo abakulembeze b’abayudaaya bwe baazimba “Sayuuni n’omusaayi, era Yerusaalemi bakizimba n’obukyamu.” Mikka 3:10. Bwe batta Omulokozi waabwe olw’okwogeranga ku bibi byabwe, ne beerowooza okuba abatuukirivu era abasiimibwa Katonda, bwebatyo ne basuubira Mukama okubalokola eri abalabe baabwe. “Sayuuni kyeruliva lulimibwa ng’omutala ku bwammwe, ne Yerusaalemi kirifuuka ekifunvu, n’olusozi olw’ennyumba ng’ebifo ebigulumivu eby’omu kibira.” Nnabbi bwatyo bwe yeeyongera okulagula. Mikka 3:12. EE 18.4

Waali waakayita emyaka nga makumi ana Yesu yennyini ng’amaze okulangirira okuzikirira ku Yerusaalemi, naye nga Mukama akyagumiikirizza okusalira ensi eno n’ekibuga kyayo omusango. Nga waakitalo Mukama alwaawo okusunguwala bwe yagumiikiriza abaajeemera enjiri n’okutta omwana we! Olugero Iw’omuti omutiini ogutaaliko bibala gwagerageranyizibwa n’engeri Katonda gye yasaasiramu eggwanga lya Isiraeri. Kubanga ekiragiro kyagamba nti: “Guteme; n’okwemala gwemalira ki ekifo obwereere?” (Lukka 13:7), naye nga Katonda akyaguwaddeyo omukisa omulala. Nga wakyaliiwo Abayudaaya bangi abatanategeerera ddala bulungi mpisa n’emirimu gya Kristo. Era ng’abaana bonna tebanassanyukira oba okufuna omusana nga ogwo bazadde baabwe gwe bajeemera. Katonda yaboongera okubaakiza omusana okuyita mu kubuulirira kw’abatume nga kw’otadde n’abayambi EE 18.5

baabwe; bafune omukisa okulaba obunnabbi nga butuukirira, si mu kuzaalibwa ne mu bulamu bwa Kristo mwokka, naye era ne mu kufa kwe era n’okuzuukira kwe. Abaana tebaavuunaanibwa lwa bibi by’abazadde baabwe kyokka, naye n’olw’omusana gwonna ogwaweebwa abazadde, abaana bajeemera okukkiriza omusana ogwaboongerwako, bwebatyo ne bagabana ku bibi by’abazadde baabwe ne bajyuzza ekikompe eky’obubi. EE 19.1

Katonda okugumiikiriza Yerusaalemi kwanywereza Abayudaaya mu bukakanyavu bw’emitima gyabwe. Olw’obukyayi n’obukambwe bye baakola ku bayigirizwa ba Yesu, bwebatyo ne bateetwalira mukisa gusembayo. Katonda n’abaggyako omukono gwe ogw’obukuumi n’amaanyi agaaziyizanga Setaani ne bamalayika be, eggwanga ne lisigala mu bukuumi bw’omukulembeze bo gwe beerondera. Abaana be nga bajeemedde ekisa kya Kristo ekyandiwangudde ebirowoozo ebibi, kaakano bano nga bebatuga. Setaani n’asitula mu bo empisa envundu. Nga buli kye bakola tebamala kulowooza era nga tebakyalimu kulowooza, wabula okufugibwa endowooza zaabwe ez’obuzibe bw’amaso. Ne baba bakambwe nga Setaani. Mu maka ne mu ggwanga okutwalira awamu, mu beebitiibwa n&pos;abakopi nga buli inuntu takyesiga munne, nga balina enge, obukyayi, ekiruyi, obunyoomi n’obussi. Nga wonna tewakyali buddukiro. Ng’ab’emikwano n’ab’erjņanda buli omu alyamu munne olukwe. Abazadde nga batta abaana baabwe, n’abaana nga batta abazadde baabwe. Ng’abakulembeze tebakyalina maanyi kufuga bulungi bantu. Ng’obuteefuga bubafudde bannakyemalira. Abayudaaya nga bakkiriza obujulirwa obw’obulimba ne basingisa omusango Omwana wa Katonda ataalina musango. Ne batandika okulumirizibwa n’obuteekakasa. Kubanga olw’ebikolwa byabwe ebyo baali baasaba dda nga boogera nti: “Omutukuvu owa Isiraeri mumumaleewo mu maaso gaffe.” Isaaya 30:11. Kaakano ng’okusaba kwabwe kuddiddwaamu. Nga tebakyalina kutya Katonda. Setaani nga ye mukulembeze w’eggwanga, era nga n’abakulembeze abawaggulu ne bannaddiini nga yabawamba. Abakulembeze ab’ebiwayi ebibadde biwakanya mu kiseera ekyo nga byegattidde wamu okulwanyisa n’okubonyaabonya abatalina musango, ne batandika okwegwaako ne betta awatali kusaasira. Nga n’obutukuvu bwa yeekaalu tebuyinza kuziyiza bumenyi bw’amateeka obw’ekika ekya waggulu bwe batuuseeko. Abantu abali mu kusinza nga babattira mu maaso ga woolutaali, awatukuvu ne wonoonebwa n’emirambo egigaņņalamye. Mu bikolwa byabwe eby’obuwoozi era n&pos;obuzibe bw’amaaso, nga bakyerowooza era nga tebalina kutya nti Yerusaalemi tekyiyinza kuzikirizibwa, kubanga kibuga kya Katonda. Okunyweza obulimba bwaabwe, ne bawa enguzi bannabbi ab’obulimba balagule newakubadde nga n’abasirikale b’Abaluumi baali beebulunguludde yeekaalu nti, ‘abantu balina okulindirira Mukama okubalokola.’ Era bangi abaasigalamu nga balowooza nti Oyo owawaggulu ennyo waakukyusa embeera awangule abalabe baabwe. Naye nga Isiraeri yali egaanyi obukuumi bwa Katonda, bwatyo nga takyalina bukuumi. Yerusaalemi ng’onakuwaza! Yenna ng’akutusekutuseemu olw’ennyombo n’omusaayi gw’abaana be abattiddwa buli ayinza, nga omusaayi gusaasaanidde enguudo z’omukibuga kye, amaggye g’abannaggwanga nga bwe gasensera okumenya bbuggwe okutta abalwanyi be! EE 19.2

Buli kigambo Kristo kye yalanga okutuukirira ku Yerusaalemi okuzikirizibwa, ky’atuukirira okutuuka ku buli nnukuta. Abayudaaya ne bategeera amazima EE 19.3

g’ebigambo bya Katonda ebirabula nti: “Ekigera kye mugereramu, ekyo kye muligererwa nammwe.” Matayo 7:2. EE 20.1

Obubonero n’ebyewunyisa byalabibwanga okulanga akabi n’okuzikirira. Omuliro ogutali gwa bulijjo gwayakanga mu yeekaalu ne ku woolutaali eyo wakati mu ttumbi. Ebire by’akolanga ebifaananyi by’abasajja ababagalidde eby’okulwanyisa n’amagaali g’embalaasi ng’enjuba egolooba. Bakabona abaweerezanga ekiro baatabulwanga amaloboozi agataategeerwanga; musisi n’ayuguumyanga ensi era amaloboozi g&pos;abantu bangi ne gawulirwa nga gakaaba nti: “mutuleke tuve wano.” Oluggi olunene olw’ebuvanjuba, olw’ali oluzito ennyo nga si kyangu abasajja nga baabo okuluggala, nga Iwanywezebwa n’emitayimbwa egy’ekyuma wakati mu mayinja agasibiddwa obulungi, lweggula awatali mukono - Milman, The History of the Jews, Book 13. EE 20.2

Waaliwo omusajja eyagendanga ng’alangiriranga akabi akaali kagenda okutuuka ku kibuga okumala emyaka musanvu. Ng’agenda addiņņana ennyimba ezikungubaga buli kiro n’emisana nti: “Eddoboozi okuva ebuvanjuba! eddoboozi okuva ebugwanjuba! eddoboozi okuva mu mpewo ennya ez’ensi! eddoboozi eri Yerusaalemi era n’eri yeekaalu! eddoboozi eri omugole omusajja era n’eri omugole omukazi! eddoboozi eri abantu bonna!” Ibid. Omuntu ono ataategeerwa yasibwa era n’abonyabonyezebwa naye nga teyeemulugunya. Bwe baamuvuma era ne bamuwandulira amalusu ng’abaddamu kimu kyokka nti: “Yerusaalemi zikusanze, zikusanze!” “zibasanze abakituulamu!” Teyalekeraawo kulabula okutuusa Iwe yattirwa awamu n’abo beyalagula. EE 20.3

Tewali Mukristaayo n’omu eyazikiririra mu kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Kubanga Kristo yali amaze okulabula abayigirizwa be, era nga bonna abakkiriza ekigambo kye beetegerezza obubonero obwasuubizibwa. “Naye bwe mulabanga Yerusaalemi nga kyetolooddwa eggye, ne mulyoka mutegeera nti okuzikirira kwakyo kunaatera okutuuka. Mu biro ebyo ababanga mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, n&pos;ababanga wakati mu kyo bakifulumangamu; n’ababanga mu byalo tebakiyingirangamu.” Bwatyo Yesu bwe yalabula. Lukka 21:20,21. 01uvannyuma nga Cestius Omuluumi amaze okwebulungulula ekibuga ne badduka ekiwalazzima nga balese ekibuga tekirina bukuumi Cestius n’ayanguyirwa okukirumba mu bwangu. Abaaziingizibwa mu kibuga, bonna nga baweddemu essuubi okusobola okwerwanako era nga banaatera okwewaayo mu mikono gye, omugabe wa Luumi naakola akadda - nnyuma awatali nsonga ntuufu. Naye ng’omukono gwa Katonda guli mu buli kyali kikolebwa olw’obulungi bw’abantu be. Abakristaayo abaali mu kugumiikiriza nga baweereddwa akabonero ak’essuubi, era nga, guno gwe mukisa gwokka ogwali guweereddwa eri buli yenna ayagala, okugondera okulabula kw’Omulokozi. Nga tewali kiyinza kuziyiza mukristaayo kukifuluma ka kibe Muluumi oba Omuyudaaya. Cestius bwe yaddako emabega, Abayudaaya ne beekuņgaanya okulumba nga basinziira mu Yerusaalemi okugoberera eggye ly&pos;Abaluumi. Awo bwe baali nga bali mu kulwanagana era ng’olutalo lunyinyitidde, Abakristaayo ne bafuluma ekibuga ne badduka. Ensi yaabwe yonna mu kiseera ekyo nga emaliddwamu empeke zonna ez’abayeekera ezandibakaluubiriza okukifuluma. Era olw’okubanga Abayudaaya mu kiseera ekyo baali bakuņņaanye okujaguzza embaga ey’okuyitako mu Yerusaalemi Abaluumi we baakiziingiriza, Abakristaayo okw etoloola ensi yonna baayanguyirwa okutoloka nga tebatuusiddwaako bulabe. Ne EE 20.4

baddukira mu bifo ne mu bibuga nga Pella ne Pereya emitala wa Yoludaani omutaali bulabe awatali kulwa. EE 21.1

Eggye ly’Abayudaaya nga ligenda liwerekereza Cestius n’abalwanyibe, ly’agezaako okubatiisa nga liringa erinaabazikiriza. Era nga tekyaali kyangu Abaluumi okwerwanako. Abayudaaya bwebatyo ne bakomawo e Yerusaalemi nga bajaguza n’omunyago gwaabwe kumpi nga tewali n’omu afudde. Naye obuwanguzi buno obwekiyita mu luggya, bw’abaleetera bubi bwereere. EE 21.2

Omutawaana gwatuuka ku Yerusaalemi bwe kyaddamu okuzindibwa nate Tito Omuluumi. Ekibuga kyazingizibwa mu kiseera eky’embaga eyokuyitako obukadde n’obukadde bw’Abayudaaya bwe bwali bukuņņaanidde mu bisenge byakyo. Amawanika gaakyo ag’emmere agaali gakuumiddwa obulungi agandisobodde okuliisa abatuuze baamu okumala emyaka mingi, gaali gaakamala okuzikirizibwa olw’obuggya n’ennyombo ebyali mu bibinja ebyali birwanagana, kaakano ng’ensi erekeddwa mu ntiisa ey’enjala. Ekigera eky’eņņaano nga kigulwa talanta. Enjala n’ebaluma ekyenkanidde awo, abantu ne batuuka n’okulya emisipi gy’empale zaabwe awamu n’engatto ko n’ensawo zaabwe. Abantu nkumu ne beebbiriranga mu kiro okugenda ebweru w’ekibuga bakuņņaanye ebyokulya okuva mu ttale eryali okumpi n’ekibuga, wadde nga n’abamu baakwatibwanga ne battibwa mu nzitta ey’obukambwe, era nga n’abo abaawonangawo baakomangawo nga banyagiddwako ebyo bye bakuņņaanyirizza mu bugubi. Okubonyaabonya okutali kwa buntu okwali kusinga obubi, nga kukolwa abo abaali mu buyinza, nga bawaliriza abantu abaali beetaaga baleme okufuna ku ako akatono akaali kasigaddewo. Kyokka ng’obukambwe buno bukolebwa abantu abaali balina byonna bye beetaaga, era nga baagala kweterekera olw’ebiseera eby’omumaaso. EE 21.3

Abantu nkumi na nkumi ne bafa olw’enjala n’endwadde. Ng’ensonyi zirabika ziwedde ku bantu. Abasajja nga banyaga bakyala baabwe, n’abakyala abaami baabwe. Abaana ne balabibwanga nga basika emmere okuva ku mimwa gya bazadde baabwe abakaddiye. Ekibuuzo kya nnabbi ekigamba nti, “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka?” ne kifuna okuddibwamu wakati mu kibuga ekirindiridde okuzikirira: “Abakazi ab’okusaasira okungi bafumbye abaana baabwe bo n’emikono gyabwe bo, baabanga baakulya mu kuzikirira kw’omuwala w’abantu bangeIsaaya 49:15; Okukungubaga 4:10. Era nate obunnabbi obulabula obwayogerwa ebyasa by’emyaka kkumi nabitaano ebyali biyise ne butuukirira: “Omukazi omugonvu mu mmwe era omwenaanyi, ataganya kulinyisa ku ttaka kigere kye olw’okwenaanya n’obugonvu, eriiso lye linaaba bbi eri bba ow’omu kifuba kye, n’eri mutabani we, n’eri muwala we; n’eri omwana we omuto afuluma wakati w’ebigere bye, n’eri abaana be baalizaala; kubanga anaabalyanga nkiso olw’okubulwa ebintu byonna mu kuzingizibwa ne mu kuziyizibwa omulabe wo kw’anakuziyizanga mu miryango gyo.” Ekyamateeka Olwookubiri 28:56,57. EE 21.4

Abakulembeze b’Abaluumi baakola kyonna ekisoboka okutuusa entiisa ku Bayudaaya bwebatyo basobole okwewaayo mu mikono gyabwe. Abo abaawambibwanga ne batwalibwanga mu busibe, nga babakooza kagiri, n’okubabonyaabonyanga awamu n’okukomererwanga ku bbugwe w&pos;ekibuga. Bikumi na bikumi ne battibwanga mu ngeri eyo, ne bagendanga nga bakola batyo okutuusa, ekiwonvu kyonna ekya Yekosafaati n’okutuuka ku lusozi Gologoosa lwe EE 21.5

wajuzibwa emisaalaba emingi nga tewakyali na kifo w’oyinza kutambulira. Mazima ekikolimo eky’entiisa kye beesabira nga bali mu kifo awasalirwa emisango ewa Piraato kyabatuukirira: “Omusaayi gwe gube ku ffe ne ku baana baffe.” Matayo 27:25. EE 22.1

Tito yaandiyinzizza okulagira ne balekeraawo ebikolwa ebikambwe bityo, era bwatyo n’awonya Yerusaalemi ereme okunywa ekikompe ekijjuvu eky’okuzikirira kwe. Mazima entiisa yamukwatanga buli lwe yalabanga emirambo egigudde nga gituumiddwa entuumu wakati mu kiwonvu. Okufaanana n’omuntu atakyategeera, yasinziira ku ntikko y’olusozi olw’emizeyituuni awaali yeekaalu etemagana obulungi n’alagira obutakwata ku jjinja lyayo lyonna. Bwatyo yeegayirira abakulembeze b’Abayudaaya obutamuwaliriza kwonoona butukuvu bwa yeekaalu. Yosephus yennyini, ng’akozesa ebigambo ebirungi ennyo, n’abeegayirira beeweeyo mu mikono gye, basobole okwewonya, n’okuwonya ekibuga n’ekifo kyabwe eky’okusinzizaamu. Kyokka ebigambo bye baabyanukula nga bakolimira mukolimire. Baakasuukirira mukasuukirire busaale oyo eyali omutabaganya waabwe yekka, ng’ayimiridde abeegayirira. Abayudaaya baagaana okuyita okw’Omwana wa Katonda, olwo empaka n’okubeegayirira ne byongera bwongezi kukakanyaza mitima gyabwe okutuuka ku muntu asembayo. Tito yatawaanira bwereere ng’ayagala okuwonya yeekaalu; Oyo eyali amusinga yali agambye nti tewali jjinja eririsigala kungulu ku jjinja linnaalyo. EE 22.2

Obukakanyavu bw’ekizibi ky’amaaso obw’abakulembeze b’Abayudaaya, n’obuliisa maanyi obutayogerekeka ebyali mu kibuga ekimaze okuzingizibwa, ne bitabula obusungu bw’Abaluumi, bwatyo Tito n’asalawo okuzikiriza yeekaalu Iwa mpaka. Wabula, yamalirira nti oba nga kiyinzika aleme okugizikiririza ddala. Kyokka ebigambo bye tebaabisaako mwoyo. 01uvannyuma ng’agenze okwebakako ekiro, Abayudaaya nga basalinkiriza okuva mu yeekaalu, baalumba abaserikale abaali wabweru. Wakati mu lutalo, omuserikale yakasuka ekitawuliro ky’omuliro ng’ayima mu ddirisa, amangu ago emiti egyali ku kasolya k’ennyumba entukuvu ne gikwata omuliro. Tito yadduka mbiro okutuuka mu kifo ng’ali wamu n’abagabe be, n’alagira abaserikale bazikirize omuliro. Ebigambo bye tebaabiwuliriza. Bonna nga basunguwadde, abaserikale baagenda mu maaso n’okukoleeza omuliro ku bisenge ebiriraanye yeekaalu, era ne bagenda nga batta n’ebitala byabwe nga babigaludde enkumi n’enkumi z’abantu abaali baddukiddemu. Omusaayi ne gukulukuta nga guva ku madaala ga yeekaalu okufaanana amazzi. Abayudaaya nkumi na nkumi ne bazikirira. Wakati mu luyoogaano olw’olutalo, ne muwulirwa amaloboozi nga googerera waggulu nti: “lchabod!” — ekiwuunulwa nti Ekitiibwa kigenze. EE 22.3

‘Tito yakaluubirirwa okukoma ku busungu bw’abaserikale; yayingira ye awamu n’abaserikale be nga bwe yeetegereza munda w’ekifo ekitukuvu. Ekitiibwa ky’ajula okubatta; era olw’okubanga omuliro gwali tegunnayingirira ddala munda w’ekifo ekitukuvu, n’asala amagezi okugiwonya, n’akomawo nate n’awenya ku baserikale bakomye nnabbambula w’omuliro. Omuserikale ono omutegeevu naafuba nnyo okuzza obuwulize mu mu baserikale be; kyokka nga obuwulize bwa kabaka waabwe bw’abasinza amaanyi olw’obukyayi bw’Abayudaaya, olutalo ddekabusa olwali lubaluse n&pos;essuubi ly’okwagala okunyaga ebyobugagga. Abaserikale nga balaba ebintu byonna bimasamasa olwa zaabu eyali atemagana olw’ekitangaala ky’ennimi EE 22.4

z’omuliro ogwali gwaka; nga bateebereza nti ebyobugagga nkumu ebyali mu kiggwa. Omuserikale ataategeerwa, yakasuka omumuli gwe ng’ayita wakati mu mpagaanya z’oluggi, amangu ago ekizimbe kyonna ne kikwata omuliro. Abaserikale ne mukama waabwe ne badduka olw’omukka ogwali gubazibye amaaso n’olw’omuliro, bwekityo ekizimbe eky’ekitiibwa ne kisigalira kutokomoka. EE 23.1

“Abaluumi baalumwa byakitalo - ate olwo Abayudaaya? Akasozi konna akaali entikko y’ekibuga kaakwata omuliro okufaanana omuliro gw’ekyanda. Ebizimbe ne bigenda nga byemoggola ku ttaka kimu ku kimu era nga bwe bigenda bisaanawo mu muliro. Obusolya obwali obw’emiti egy&pos;emivule nga bwonna nnimi za muliro; entikko z’ebitikkiro eby’omuwendo byonna nga bimyuse olw’omuliro; eminaala egyalinga ku miguukiriro gy’ekibuga ne gyaka ennimi z’omuliro ezituuka waggulu mu bbanga. Obusozi obwali buliraanye wo bwonna ne bumulisibwa olw’omuliro; n’abantu abaali beekwese mu biseguusi ne balabibwa nga beetegereza wakati mu ntiisa ey’ekitalo engeri ebintu gye bizikiriramu: bbugwe n’ebizimbe ebiwanvu nga bijjuddeko abantu, ng’amaaso gaabwe gamyuse olw’obulumi obw’entiisa, abalala ng’emitaafu gibeesibye okulaga ekiruyi kye balina. Okuwowoggana kw’abaserikale b’Abaluumi nga bwe bagenda badda eno n’eri awamu n’enduulu z’Abayudaaya abazikiririra mu muliro ne kwetabula n’okubwatuka kwa nnabbambula w’omuliro awamu n’okugwa kw’embaawo ezisereka ebizimbe. Amaloboozi ne gagenda nga gatomera ensozi eno nga bwe gakomawo okuwuliza okukaaba kw’abantu abali waggulu; okwetoloola wonna ku bbugwe ng’owulira biwoobe na kukaaba; abantu abaali bafa olw’enjala ne basonda amaanyi gaabwe agasembayo bakaabe olw’ekibuga kyabwe ekifuuse amatongo. EE 23.2

Abantu abaali basanjagibwa munda wa bbugwe nga basinga ekyo ekyali kirabibwa wabweru. Abasajja n’abakazi, abato n’abakulu, bakyewaggula ne bakabona, abo abaali abalwanyi n’abo abaakaabiriranga okufuna okusaasirwa, ne basalibwa awatali kusaasira. Omuwendo gw’abattibwa ne gusinga ogw’abassi. Abaserikale b’Abaluumi nga balina kutambulira ku mirambo egigudde bagende mumaaso n’okuzikiriza.” - Milman, The History of the Jews, book 16. EE 23.3

O1uvannyuma nga yeekaalu emaze okuzikirizibwa, olwo ekibuga kyonna ne kigwa mu mikono gy’Abaluumi. Abakulembeze b’Abayudaaya baayabulira eminaala gyabwe egyali egy’amaanyi, Tito Omuluumi n’agisaanga nga tegirina akuuma. Yagitunuulira ne yeewuunya, era bwatyo n’ategeeza nga mazima Katonda yali abawaddeyo mu mikono gye; kubanga tewaaliwo mundu; wadde nga nnene kyenkana ki, eyandiyinzizza okusiguukulula ebisenge ebyo. Ekibuga era ne yeekaalu byombi ne byokebwa omuliro okutuuka ku misingi gyabyo, era n’ettaka okwali kuzimbiddwa ennyumba entukuvu ne “likabalibwa ng’ennimiro.” Yeremiya 26:18. Mu kuzingiza okwo era n&pos;okutta okwaddirira, mwafiiramu abantu abasukka mu kakadde; abaawonawo ne batwalibwa nga banyage, ne batundibwa ng’abaddu, ne batwalibwa e Luumi okuweesa obuwanguzi bwabwe ekitiibwa, ne basuulibwa mu nsolo enkambwe mu bifo awazannyirwa emizannyo, oba ne basasaanyizibwa okufaanana empunzi mu nsi. EE 23.4

Abayudaaya be besimira obunnya; be bejjuliza ekikompe eky’ekiruyi kyabwe. Okuzikiriza okwabatuukako ng’eggwanga, era n’okukaaba okwaddirira nga bamaze okusasaana, baali bakungula ebibala bo bye beesigira n&pos;emikono gyabwe. EE 23.5

Nnabbi agamba nti: “Kwe kuzikirira kwo ggwe ai Isiraeri;” “kubanga ogudde olw’obutali butuukirivu bwo.” Koseya 13:9; 14:1. Emirundi mingi okubonaabona kwabwe kulagibwa ng’ekibonerezo Katonda ky’abatuusizaako mu bugenderevu. Bwatyo Setaani omuliba omukulu ng’ayagala okukweka ebyo by’akola. Olw’okukakanyazanga emitima gyabwe nga banyooma okwagala kwa Katonda era n’ekisa kye, Abayudaaya beggyako obukuumi bwa Katonda bw’abateekako, ne Setaani n’afuna omukisa okubafuga nga bw’ayagala. Ebikolwa eby’obukambwe bye baakola nga bazikiriza Yerusaalemi, bwe bubonero obulaga amaanyi g’ekiruyi kya Setaani eri abo abamwewa okubafuga. EE 24.1

Tetuyinza kumanya kye tugwanidde kusasula Kristo olw’eddembe n’obukuumi bye tusanyukiramu. Ago maanyi ga Katonda agakuuma ne gayiza olulyo Iw’omuntu aleme okugwa yenna mu mikono gya Setaani. Abanyoomi n’abateebaza kibagwanira okusiima ekisa kya Katonda n’olw’okulwawo okusunguwala olw’okuziyiza ettima n’obukambwe bw’amaanyi g’omubi. Naye abantu bwe basukka okugumiikiriza kwa Katonda, obukuumi obwo bugibwawo. Katonda taliiwo ng’omussi eri omwonoonyi olw’okwonoona kwe; wabula aleka abo abagaanyi ekisa kye ne bakungula kye basize. Buli musana ogugaaniddwa, buli kulabula okunyoomeddwa oba ne kutateekebwako birowoozo, buli kweyonoonesa kwonna, na buli tteeka lya Katonda lyonna eryonoonebwa, ezo zonna nsigo ezisigibwa era ezirina okukungulibwa. Omwoyo wa Katonda bw’awakanyizibwa buli kiseera, amala nagibwa ku mwonoonyi, olwo n’aba nga takyalina maanyi kuziyiza kwegomba kwa mubiri, bwatyo n’asigala nga talina bukuumi eri ekiruyi n’obukyayi bwa Setaani. Okuzikirira kwa Yerusaalemi kulabula kunene kwa ntiisa eri abo abazanyisa ekisa kya Katonda ky’agaba era ne baziyiza okuyita okw’okusaasira kwa Katonda. EE 24.2

Obunnabbi bw’Omulokozi obukwata ku Yerusaalemi okusalirwa omusango bujjakuddamu okutuukirizibwa, ng’ekyo ekyatuuka Yerusaalemi okufuuka amatongo kyalinga ekisiikirize. Mu ntiisa eyatuuka ku kibuga ekironde tuyinza okulabamu okuzikirira okujja okutuuka ku nsi egaanye okusaasira kwa Katonda era n’erinnyirira amateeka ge. Ensi erabye ebikolobero ebizze bibaawo okuva obubi Iwe bwasooka okubaawo. Omutima gulwala n’ebirowoozo ne bikogga bw’obifumiitirizaako. Obubi obwentiisa buzze bubaawo olw’okujeemera obuyinza bw’eggulu. Kyokka obubi obusinga awo butulagibwa nga bwakubaawo mu maaso eyo. Ebyo ebizze bibaawo, - okutabukatabuka okutakoma, entalo n’enkyukakyuka, “ebyokulwanyisa byonna eby’oyo alina ebyokulwanyisa mu luyoogaano n’ebyambalo ebikulukuunyizibbwa mu musaayi” Isaaya 9:5, - birina makulu ki, bw’obigerageranya ku ntiisa ey’olunaku olwo Omwoyo wa Katonda aziyiza bw’aligibwawo yenna, nga takyakoma ku busungu bw’abantu n’ekiruyi kya Setaani! Ensi ku olwo eriraba kyeterabangako - ebiva mu bufuzi bwa Setaani. EE 24.3

Naye ku lunaku olwo, era nga bwe kyali ne mu kuzikirira kwa Yerusaalemi, abantu ba Katonda bagenda kulokolebwa, buli alisangibwa nga yawandiikibwa mu bulamu. Isaaya 4:3. Kristo yagamba nti alikomawo omulundi ogwookubiri okunona abeesigwa be abatwale gyali: “N’ebika byonna eby’ensi lwe birikuba ebiwoobe, biriraba Omwana w’omuntu ng’ajjira ku bire eby’eggulu n’amaanyi n’ekitiibwa ekinene. Era alituma bamalayika be n’eddoboozi ddene ery’ekkondeere, nabo balikuņņaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y’eggulu EE 24.4

n’okutuusa ku nkomerero yaalyo.” Matayo 24:30,31. Olwo abo abatagondera njiri lwe balimalibwawo n’omukka ogw’omu kamwa ke, n’okulabisibwa kw’okujja kwe. 2Abasessaloniika 2:8. Okufaanana ne Isiraeri owedda, ababi beezikiriza bokka; bagwa olw’okwonoona kwabwe. Olw’okubeeranga mu bulamu obw’onoonyi, baafuuka kabwa-na-ngo ne Katonda, obutonde bwabwe bwayonoonebwa n’ekibi, ng’olwo okulabisibwa kw’Omwoyo we kubafuukira omuliro ogwokya. EE 25.1

Abantu ka batunule si kulwa nga bagayaalirira ekyokuyiga ekiri mu bigambo bya Kristo. Nga bwe yalabula abayigirizwa be ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, ng’abawa akabonero ak’okuzikirira okusembedde bayinze okudduka; bwatyo bw’awadde ensi okulabula ku lunaku olw’okuzikiriza okusembayo era ng’abawadde n’obubonero obulaga nti kusembedde, ng’abo abaagala bayinza okudduka okuva mu busungu obugenda okujja. Yesu agamba: “Era walibaawo obubonero ku njuba ne ku mwezi ne ku munnyeenye; ne ku nsi amawanga galinakuwala.” Lukka 21:25; Matayo 24:29; Makko 13:24-26; Kubikkulirwa 6:12-17. Abo abalaba obubonero buno obulanga okujja kwe kibagwanira okumanya nti: “Ali kumpi, ku luggi.” Matayo 24:33. “Kale mutunule,” bw’atyo bwatubuulirira. Makko 13:35. Abo abalissaayo omwoyo eri okulabula kuno tebalisigala mu kizikiza, olunaku olwo okubatuukako ng’ekyambika. Naye abo abatalitunula, “olunaku Iwa Mukama waffe lujja ng’omubbi ekiro.” 1 Abasessaloniika 5:2-5. EE 25.2

Ensi si nneeteefuteefu kwaniriza bubaka obw’omu kiseera kino nga n’Abayudaaya bwe bataali mu kukkiriza okutwala okulabula kw’Omulokozi ku Yerusaalemi. Olunaku olwo ka lujje, lwa kutuuka ku batatya Katonda ng’ekyambika. Obulamu nga bukyatambula bwetoloola awatali nkukyukakyuka yonna; abantu nga bamaliddwaawo amasanyu, emirimu, mu kutambula, n’okukola sente; ng’abakulembeze b’eddiini bakyakulembeza okukulakulana kw’ensi n’obugunjufu, n’abantu nga balimbibwa n’obukuumi obutaliimu - ng’omubbi bw’ajja ekiro mu ttumbi mu kifo awatali bukuumi, n’okuzikiriza okwamangu bwe kujja okutuuka ku abo abatafaayo era abatatya Katonda, “so tebaliwona n’akatono.” Olunny. 3. EE 25.3