Essuubi Eritaggwaawo
2 — Okuyigganyizibwamu Kyasa Ekyasooka
Yesu ng’ateeza abayigirizwa be eby’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, yababikkulira n’ebyo eby’okuba ku bantu be okuva mu kiseera lw’alibaggyibwako okutuusa ku kukomawo kwe mu maanyi n’ekitiibwa ekinene okubalokola. Yasinziira ku lusozi lwa Zeyituuni amaaso ge ne galaba ebyewala ebigenda okuba ku kkanisa y’abatume n’okuyigganyizibwa kw’abagoberezi be okw’entiisa. Yalaba ebintu eby’entiisa abafuzi bye balikola ekkanisa ya Katonda. Abagoberezi be bwe baali ab’okuyita mu kkubo lye limu nga Mukama waabwe ery’okunenyezebwa EE 25.4
n’okubonaabona n’okwetoowaza. Obulabe obwalagibwa ku Mununuzi w’ensi bwali bwa kulagibwa ne ku bakkiriza erinnya lye. EE 26.1
Ebyafaayo by’ekkanisa eyasooka, biraga bulungi okutuukirira kw’ebigambo ebyo eby’omulokozi. Amaanyi g’ensi n’amagombe gaalwana ne Kristo mu kulwanyisa abagoberezi be. Obukafiiri bwalengera ebijja okubaawo, enjiri nga bw’ejja okuwangula, amasabo n’ebyoto bwe bijja okuwangulibwa n’okusangulibwawo; ne bukuņņaanya amaggye gaabwo okuzikiriza Obukristaayo. Okuyigganya ne kutandika. Abakristaayo ne banyagibwako ebintu byabwe n’okugobebwa mu maka gaabwe. “Bagumiikiriza okubonaabona okunene ” “Abalala ne bakemebwa nga baduulirwa, era ne bakubibwa, era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera.” Abaebbulaniya 11:36. Bangi ne battibwa olw’okutegeeza kwabwe. Abekitiibwa, abaddu, abagagga, abaavu, abayigirize n’abatali bayigirize, bonna battibwa nga tebasaasirwa. EE 26.2
Okuyigganyizibwa okwatandikira ku mulembe gwa Nero nga mu kiseera omutume Pawulo we yattirwa ng’omujulizi, kwagenda kweyongeramu amaanyi oluusi ne kuddirira okuyita mu byasa by’emyaka egyaddirira. Abakristaayo ne bavunaanibwa emisango egya nnaggomola awatali nsonga era ne bajwetekebwako okuba nga be bavaako ebintu ebibi ebyatuukanga ku nsi omuli enjala, endwadde, ne musisi eyayuguumyanga ensi. Abantu batandika okubalyamu enkwe nga babaloopa olw’okukyayibwa nga babateberezanga. Basingisibwanga emisango nga bakyewaggula eri zi gavumenti, abalabe b’eddiini era n’abantu. Bangi ne basuulibwa mu nsolo enkambwe oba okwokwokebwa omuliro nga balamu mu bifo awalabirwa emizannyo. Abalala ne bakomererwa ku misaalaba; ate abamu ne basibibwako amaliba g’ensolo ne basuulibwa mu bisaawe embwa enkambwe ne zibayuza. Emirundi mingi okubonerezebwa kwabwe ne kufuulibwa eky’okusanyusa abantu ku mbaga zaabwe. Enkuyanja y’abantu n’ekurjņaana okunyumirwa n’okusanyukira okufa kwabwe mu bulumi nga bwe bakuba mu ngalo n’okuseka. EE 26.3
Abagoberezi ba Kristo ne bayiggibwanga ng’ensolo ez’okulya buli gye baddukiranga. Ne basalawo okwekweka mu malungu ne mu nsozi. “Nga babonyaabonyezebwa nga bakolwa obubi; (ensi beetesaanira, nga bakyamira mu malungu ne ku nzozi ne mu mpuku ne mu bunnya obw’ensi.” Oluny. 37,38. Empuku ne zikweka bangi. Ne basima emikwesese mu nsozi okwetoloola ekibuga Luumi, okuyita mu njazi wansi mu nzikiza n’okussukka ebweru w’ekibuga. Abagoberezi ba Kristo ne bafuna obuwummuliro mu mikwesese gino era mwe baaziika abantu baabwe. Oyo ensibuko y’obulamu bw&pos;alikowoola abo abeebaka oluvannyuma lw’okulwana olutalo olulungi, bangi abattibwa olwa Kristo baliva mu mpuku ezo. EE 26.4
Abajulizi ba Kristo baakuuma okukkiriza kwabwe nga tekuliiko bbala mu kiseera okuyigganyizibwa we kwatuukira ku ntiko yaakwo. Newakubadde nga baggyibwako omukisa gwonna ogw’obulamu obulungi, era ne beekuumira mu bifo omusana gye gutatuuka, ne bafuula obunnya amaka gaabwe, tebafulumya kigambo kya kwemulugunya kyonna. Buli omu yagunyanga munne n’ebigambo ebigumya, eby’okukkiriza era n’essuubi okugumiikiriza okunyigirizibwa. Tebegaana kukkiriza kwabwe mu Kristo olw’okufiirwa emikisa ensi gy’egaba. Okugezesebwa n’okuyigganyizibwa byabafuukira madaala kwe bayita okutuuka amangu mu kuwummula n’okwefunira empeera. EE 26.5
Okufaanana n’abaddu ba Katonda ab’edda, bangi kubo “bayigganyizibwa nga tebaganya kununulibwa balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi.” Oluny. 35. Era kino kyabajjukiza ebigambo by’Omuyigiriza omukulu, nga, bwe bayigganyizibwa olwa Kristo baakusanyukanga kubanga baliba n’empeera nnene; kubanga ne bannabbi bwe batyo bwe bayigganyizibwa. Baasanyuka kubanga baalabibwa nga basaanira okubonaabona olw’amazima, era ennyimba ez’obuwanguzi ne ziwulirwa nga ziva wakati mu nnimi z’omuliro. Nga batunudde mu ggulu n’amaaso ag’okukkiriza, baalaba Kristo ne bamalayika be nga bayimye mu ggulu ne basiima obugumu bwe bayolesezza. Eddoboozi ne liva mu ggulu ku ntebe ya Katonda nga libagamba nti: “Beeranga mwesigwa okutuusa okufa, nange ndikuwa engule ey’obulamu.” Kubikkulibwa 2:10 EE 27.1
Okufuba kwa Setaani okwo okuzikiriza ekkanisa ya Katonda tekwagiyinza kugiziyiza. Mu lutalo olwo olunene abagoberezi ba Kristo mwe baawerayo obulamu bwabwe terwakoma awo we battirwa. Olw’okufuba baaluwangula. Newakubadde nga battibwa, omulimu gwa Katonda ogwo gwagenda mu maaso. Enjiri yeyongera okubuna, abakkiriza ne beeyongera okubuna era ne beeyongera obungi. Enjiri n’egendera ddala okutuuka mu bitundu ebizibu okuyingiraamu, n’etuukira ddala mu Luumi. Omukristaayo omu yagamba abafuzi bwe baali nga babayigganya nti: “Muyinza okututta, okutubonyaabonya, n’okutusalira omusango n’okutuzikiriza.... Ebikolwa byamwe ebitali bya mazima bye bikakasa nga bwetutaliko musango.... Eby’obukambwe bye mutukola.... tebibayamba.” Ebigambo ebyo byali byakusendasenda okw’amaanyi ebiyinza okuwalula abalala. “Gyemukoma okututta, gyetukoma okweyongera omuwendo; omusaayi gw’Abakristaayo nsigo.” - Tertullian, Apology, par. 50 EE 27.2
Nkumi na nkumi abaateekebwa mu makomera era abattibwa; abo bwe baamalanga okuttibwa abalala bangi ne bagolokoka ne bajjuza ebifo byabwe. Abo abattibwa olw’okukkiriza kwabwe beesiganga Kristo, era yababala nga bawanguzi. Baalwana okulwana okulungi, era baakuweebwa engule ez’ekitiibwa Kristo bw’anajja. Okubonaabona okwabatuukako kwabongeranga kusemberera Mununuzi waabwe, na kwegatta wamu. Okutegeeza kwabwe n’ekyokulabirako kyabwe ekiramu byali mujulirwa ow’amazima; awasuubirwanga ebitono, abaddu ba Setaani nga balekanga omulimu gwe ne beewandiisa wansi w’ebendera ya Kristo. EE 27.3
Setaani bwe yalaba ng’alemeddwa mu ngeri eyo n’ateekateeka engeri endala enemufunyisa omukisa mu kulwanyisa enfuga ya Katonda, kwe kuteeka ebendera ye ku kkanisa y’Abakristaayo. Abagoberezi ba Kristo bakyamizibwe okutuuka ku kunakuwaza Katonda, amaanyi, obugumu, n’obunywevu bwabwe bikendeere, alyoke asobole okubawamba amangu. EE 27.4
Mu kiseera kino omulabe yali agezaako okufuna mu magezi ekyo ekyamulema okufuna olw’amaanyi. Okuyigganya kwakoma, mu kifo kyakwo ne muteekebwamu ebisendasenda eby’akaseera obuseera n’ekitiibwa eky’ensi eno. Abakaafiri bakkiriza okutwala ekitundu ku nzikiriza y’Obukristaayo, amazima agamu agetaagibwa ne bagagaana. Baayatula bwe bakkiriza Yesu nga Mwana wa Katonda, okufa kwe era n’okuzuukira kwe; naye nga mu mitima gyabwe nga tebawuliramu kulumirizibwa kibi, n’okwenenya oba okukyusa omutima. Bo olw’okulekayo empisa ezimu ez’obukaafiri okufuuka Abakristaayo, baasaba n’Abakristaayo nabo balekeyo ebimu balyoke beegatte wamu mu “kukkiriza Kristo.” EE 27.5
Mu kiseera kino ekkanisa yali ng’etuuse mu kiseera eky’akabi akanene. Mu kugerageranya n’akabi kano, okuyigganyizibwa, okubonyabonyezebwa, ekkomera n’omuliro byo byali mikisa. Abamu ku Bakristaayo baayimirirawo nga bakyali banywevu, nga bamaliridde obutasuula kintu na kimu kyonna ku nzikiriza yaabwe. Abalala ne balowooza nti bwe baleka ebimu ne begatta n’abo abavudde mu bukaafiri nti banabafuulira ddala abakyufu abalungi oluvannyuma. Ekikolwa kino ky’alumya nnyo abagoberezi ba Kristo abeesigwa. Setaani yali nga yeyingizza yennyini mu kkanisa neyeyambazza ekyambalo ky’Obukristaayo alyoke ayonoone okukkiriza kwabwe n’okyusa ebirowoozo byabwe okuva ku kigambo eky’amazima. EE 28.1
Ekitundu ekisinga obunene ku kibiina ky’Abakristaayo bassa wansi eddaala ly’Obukristaayo ne begatta n’obukaafm. Newakubadde abakaafiri baagamba nti bakyuse ne beegatta ku kkanisa, baali nga bakyalemedde ku kusinza ebifaananyi, kye baava bakyusa obukyusa ebifaananyi bye baali basinza, ne basinza ekifaananyi kya Yesu, ekya Maliyamu n’eby’abatukuvu. Bwekityo ekibi ky’okusinza ebifaananyi bwe kyayingizibwa ne kigenda nga kyeyongera okukola omulimu gwakyo omubi. Enjigiriza ezitali za mazima, okusinza ebifaananyi, n’empisa ez’obukaafiri ne bigattibwa ku kukkiriza kw’ekkanisa. Abagoberezi ba Kristo olw’okwegatta n’obukaafiri, Obukristaayo kwe kwonooneka ne bufiirwa obutukuvu bwabwo n’amaanyi gabwo. Wasigalawo abamu abataakyamizibwa bulimba obwo, bo ne bakuuma obwesigwa bwabwe eri Kristo n’okusinza Katonda yekka. EE 28.2
Ennaku zonna abo abagamba nti basinza Kristo balimu ebibiina bibiri. Ekibiina ekimu nga kiyiga obulamu bwabwe okubufaananya obubwe, ekibiina ekirala tekyagala ekyo, bo tebaagala mazima agabalaga ensobi zaabwe. Newakubadde nga ekkanisa mu mbeera yaayo esingira ddala obulungi bonna abaagirimu tebaali ba mazima, wadde okuba abalongoofu era abeesimbu. Omulokozi waffe yatuyigiriza nti abo abaagalira ddala okusanyukira ekibi tebasaana kusembezebwa mu kkanisa; kyokka ye yennyini yabeera wamu n’abantu abalina ensobi mu mpisa, ne bafuna okuyigirizibwa kwe n&pos;ekyokulabirako kye, ne baweebwa omukisa gw’okulaba n’okulongoosa empisa zaabwe embi. Ne mubayigirizwa ekkumi n’ababiri mwalimu eyamulyamu olukwe. Yuda yamukkiriza si lwa nsobi ze naye asobole okuzeeyawulako. Yagattibwa ku bayigirizwa asobole okuyigirizibwa awamu nabo okuyita mu kyokulabirako kya Kristo, empisa ez’Obukristaayo nga bwe zifaanana, bwatyo, alabe ensobi ze, yeenenye era olw’ekisa kya Katonda atukuze omwoyo gwe “olw’okugondera amazima.” Ebyembi Yuda teyakkiriza kisa ekyamuweebwa okumwakira. Yasalawo okuzannyira mu kibi bwatyo n’agwa mu bikemo bya Setaani. Obubi bwe ne bulabikira ddala. Yakkiriza okuwaayo ebirowoozo bye okufugibwa amaanyi g’ekizikiza, bwatyo n’aba musunguwavu ensobi ze buli lwe zaayogerwangako, ekyamutuusa mu kukola ekibi ekisinga obubi eky’okulyamu Mukamawe olukwe. Bwekityo bwe kiba eri abo abalina empisa ez’okutya Katonda naye nga basanyukira ekibi: bwe banyiiga olw’okunenya ekibi kyabwe. Era singa omukisa gubeerawo bandiyinzizza okulyamu banaabwe enkwe, ababanenyako olw’obulungi okufaananako ne Yuda. EE 28.3
Abantu ab’engeri eno abeeraga nga batya Katonda naye nga basanyukira ekibi eky’omukyama baasisinkanibwa nnyo abatume. Ananiya ne Safira bo baali balimba, EE 28.4
ne balaga nga bwe bagenda okuwaayo omuwendo gwonna eri Katonda, so ng’ate beezibise ekitundu ku ggwo. Omwoyo ow’amazima kyeyava abikkulira abatume obulimba bw’abantu bano abeefuula obwefuuzi abatya Katonda, bwatyo Katonda ne yeerongoseza ekkanisa ye okuvaamu ebbala lino. Akabonero kano ak’omwoyo wa Kristo ak’okubikkula ebyama mu kkanisa kaagobera wala bannanfuusi n’abakozi b’obubi. Baali nga tebakyayinza kutabagana na babaka ba Kristo mu mpisa n’obwesimbu. Abatume n’abagoberezi ba Kristo bwe baayigganyizibwa, abaayinza okuyimirirawo b’ebo abakkiriza okufiirwa byonna olw’amazima era ne baftiuka abayigirizwa. Bwe kityo, ekkanisa n’esigala nga nnongoofu buli okuyigganyizibwa gye kweyongeranga. Naye bwe kwakakananga, abakyufu ab’ekibogwe bangi ne beeyongera ku kkanisa bwatyo Setaani n’afuna ekitebe mu kkanisa. Ng&pos;omulangira w’omusana n’owekizikiza bwe batassa kimu, n’abagoberezi baabwe tebayinza kussa kimu. Abagoberezi ba Kristo bwe beegatta awamu n’abo abaali ekitundu obutundu okuva mu bukafiiri, baali nga beetadde bokka mu kkubo ery’okubongerayo okubaggya ku mazima. Setaani bwe yatuusa ekibiina ekinene eky’abagoberezi ba Kristo kwekyo ne yeenyumiriza. Yayongera nate amaanyi amalala agayongera okubanyweza n’okubakozesa okuyigganya bali abakyali mu mazima gennyini ne ku Katonda. Tewali basobola bulungi kulwanyisa nkikiriza ya Bukristaayo okusinga abo ababadde bagirwanirira; abo abaleka amazima begatta n’abantu abatakyukidde ddala bulungi okuleka obukafiiri, awamu ne balwanyisa enjigiriza za Kristo ezisinga okwetaagibwa ennyo. EE 29.1
Abo abayagala okuyimirira nga beesigwa okulwanyisa obulimba n’emizizo ebyali biyingizibbwa mu kkanisa nga bibikiddwako ekyambalo ekitukuvu, kyali nga kibasaanira kulwana lutalo olw’entiisa ennyo. Bayibuli yali tekkirizibwa nti gw’emusingi gw’enzikiriza. Eddembe ly’eddiini ng’enjigiriza yayitibwa obukyamu, n’abo abaagirwaniriranga ne bayitibwa bakyamu ne bakyayibwa era ne basalirwa emisango okuzikirizibwa. EE 29.2
01uvannyuma lw’okulwana olutalo olutaali lwangu bwe Iutyo, abatono abaali abeesigwa baamalirira okweyawula ku kkanisa eyo evudde ku mazima singa eremera ku bulimba n’okusinza ebifanaanyi. Baalaba ng’okwawukana kusaana okubaawo bo balyoke basobole okugondera Ekigambo kya Katonda. Tebayagala kweyongera kukkiriza nsobi ezizikiriza emyoyo gyabwe n’okuteekawo ekyokulabirako ekinayonoona okukkiriza kw’abaana n’abazzukulu baabwe. Mu kufuna emirembe n’okutabagana baali nga beteeseteese okusemberegana singa tebasuula mazima ga Katonda; mu mitima gyabwe ne bamanya nti okufuna emirembe olw’okuzuula amazima, emirembe ginaaba nga giguze muwendo munene oguyitiridde. Ne bamalirira nti obanga emirembe n’okwegatta byakufunibwa Iwa kusuula amazima n’obutuukirwu, wasaana wabeewo olutalo n’okwawukana. EE 29.3
Nga kye kinaaba ekirungi eri ekkanisa n’ensi amazima okukomezebwawo mu ngeri eyo mu mitima gy’abantu abagamba nti beesiga Katonda. Wasituseewo endowooza y’obuttafifaayo ku njigiriza enkulu ez’okukkiriza kw’Obukristaayo. Era endowooza eno efunye okuganja nga erowozesa abantu nti enjigiriza zino si nkulu nnyo. Era abagoberezi ba Setaani bagenda nga banyweza emokono gyabwe olw’okwonooneka kuno; enjigiriza zino ez’obulimba era eziwabya ezaaleetera abakkiriza abaaliwo mu kiseera ekyayita okufiirwa obulamu bwabwe olw’okuzijeemera n’okuzaanika nga kaakano ziwagirwa enkuyanja y’abantu abeerowooza okuba abagoberezi ba Kristo. EE 29.4
Abagoberezi ba Kristo abasooka mazima ekyokulabirako ky’obulamu bwabwe obutaaliko bbala awamu n’okukkiriza kwabwe okutayugayuga byasingisanga nnyo omusango abonoonyi. Newakubadde nga baali batono, abatalina bugagga bwonna wadde ekitiibwa mu bidibwa by’ensi, baalinga ntiisa eri abakozi b’ebibi buli empisa zaabwe n’enzikiriza zaabwe lwe zamanyibwanga. Bwebatyo ne bakyayibwa abakozi b’ebibi nga ne Abiri bwe yakyayibwa Kayini ataalimu kutya Katonda. Nga Kayini bwe yatta muganda we Abiri awatali nsonga, bwebatyo n’abo bwe baateesa awatali kufugibwa Mwoyo, ne batta abantu ba Katonda. Yengeri yeemu Abayudaaya mwe baagaanira era ne bakomerera Omulokozi; kubanga obutukuvu bw’empisa ze bwasomoozanga nnyo embeera yaabwe oy’okwerowoozako n’obwonoonefu bw’empisa. Era okuviira ddala mu kiseera kya Kristo n’okutuusa olwaleero abayigirizwa be ababadde abeesigwa bazze nga basomooza obukyayi n’okuwakanya abo abaagala okukola obubi. EE 30.1
Abaffe, olwo enjiri eyitibwa etya obubaka obw’emirembe? Isaaya bwe yali alagula ku kuzaalibwa kwa Masiya, yamuyita “Omulangira Ow’emirembe.” Bamalayika bwe baali batendereza okuzaalibua kwa Kristo eri abasumba abaali ku ttale waggulu mu bwengula bw’e kibuga Besirekemu baagamba nti: “Ekitiibwa kibe eri Katonda waggulu ennyo; ne mu nsi emirembe gibe mu bantu abasiimibwa.” Lukka 2:14. Kirabika nga waliwo okukontana mu bigambo eby’obunnabbi buno n’ebigambo bya Kristo ebigamba nti: “Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.” Matayo 10:34. Naye bwe bitegeerwa obulungi okiraba nga tebiriimu kukontana n&pos;akatono. Mu njiri mulimu bubaka bwa mirembe. Era Obukristaayo bwe butegeerwa obulungi era ne bugonderwa busasaanya mirembe, kutabagana na kusanyuka okubuna ensi yonna. Eddiini ya Kristo egatta abantu bonna abagitegedde obulungi mu lulyo lw&pos;abooluganda. Era eyo ye nsonga eyaleeta Kristo okutabaganya abantu eri Katonda era na buli muntu eri munne. So ng&pos;ate ensi yonna eri mu bufuge bwa Setaani omulabe wa Kristo asinga. Ekirala, enjiri eyigiriza misingi gya bulamu ekireetawo okukuubagana wakati w’empisa zaabwe n’ebyo bye beegomba awo ne wasitukawo olutalo. Bakyawa omusana ogumulisa era ne gunenya ekibi kyabwe, n’ekivaamu kwe kuyigganya n&pos;okuzikiriza abagezaako okubanenya n’okubaagazisa obutukuvu. Mu ngeri eyo enjiri ky’eva eyitibwa ekitala kubanga emirundi mingi esitulira waggulu amazima, obukyayi n’ekiruyi ne bisituka. EE 30.2
Awo abanafu mu kukkiriza we bagweramu amaanyi: Katonda okukkiriza abatukuvu okubonyabonyezebwa ababi. N’abamu baali beteefuteefu okusuula obugumu bwabwe mu Katonda kubanga akkiriza ababi okusanyuka so ng’ate abatuukirivu babonyabonyezebwa n’okusambirirwa ababi. Bebuuza nti: Kiyinzika kitya Katonda ow’amazima era ow’ekisa era Omuyinza wa byonna okugirira ekyejo embeera eyo omutali bwenkanya n’okunyigiriza? Kino kye kibuuzo ekitalina kyakuddamu. Katonda atuwadde obukakafu obumala obulaga okwagala kwe, era tekitugwanira kumubusabuusa olw’obulungi bwe kubanga tetuyinza kutegeera nkola ya mirimu gye. Kristo bwe yategeera ebigenda okutuuka ku bayigirizwa be era bwe bagenda okujjirwa okubusabuusa mu kiseera eky’ekizikiza omuli okugezesebwa, yabagamba nti: “Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga.” EE 30.3
Yokaana 15:20. Kristo yabonaabona ku Iwaffe okusinga abagoberezi be bonna abaali babonyabonyezebbwa nga omuntu asingayo okuba omubi. Era abo abayitibwa okugumiikiriza okubonaabona n’okuttibwa olwa Kristo batambulira mu buufu obw’Omwana wa Katonda omwagalwa. “Mukama waffe talwisa kye yasubiza ” 2Peetero 3:9. Teyerabira baana be wadde okubasuulirira; naye akkiriza omubi ayolese empisa ze zennyini, abantu bonna abeegomba okukola by’ayagala baleme okulimbibwa. Ekirala, abatukuvu basuulibwa mu kabiga ak’okubonaabona basobole okulongoosebwa, ekyokulabirako kyabwe kyagazise abalala okukkiriza amazima n’okutya Katonda; era nga bwe banywera baakusaliza abatatya n’abatakkiriza Katonda omusango. EE 31.1
Katonda akkiriza ababi okulaba omukisa n’obukyayi bwabwe bubikkulwe, nga, ekikompe kyabwe eky’obubi bwe kinajjula, bonna balyoke balabe amazima n’okusaasira kwa Katonda mu kuzikirizibwa kwabwe. Olunaku lwa Mukama olw’okuwolerako eggwanga lwanguwa mangu nnyo eri abo bonna abaamenya amateeka ge era abayigganyiza abantu be lwe balisasulibwa ng’ebikolwa byabwe bwe biri: olunaku buli kikolwa kyonna eky’obukambwe oba omutali bwenkanya ekyakolebwa eri abeesigwa ba Katonda Iwe kiribaleetako okubonerezebwa nga abaakikola ku Kristo yennyini. EE 31.2
Omutume Pawulo yagamba nti: “Bonna abaagala okukwatanga empisa ey’okutya Katonda banayigganyizibwanga.” 2Timoseewo 3:12. Lwaki okuyigganya kulabika nga kwebase otulo tungi? Ensonga y’eno, ekkanisa yekutte ku ddaala ly’ensi ekyo kye kiziyizza okuyigganya okusituka. Enzikiriza y’eddiini mu nnaku zino si nnongofu era si ntukuvu nga okukkiriza kw’Abakristaayo bwe kwali mu nnaku za Kristo n’abatume. Ekyo kizze lwa mwoyo ogwagala okutabagana n’ekibi n’obutassaayo nnyo mwoyo ku mazima g’Ekigambo kya Katonda, n’okutya kutono nnyo mu kkanisa, ensi erabise ng’eyagala Obukristaayo. Ka wabeewo okuzza obuggya okukkiriza n’okuzza obuggya amaanyi g’ekkanisa eyasooka, n’omwoyo gw’okuyigganya nagwo teguuleme kusituka n’omuliro gw’okuyigganya gunaakoleera. EE 31.3