Essuubi Eritaggwaawo

1/43

Essuubi Eritaggwaawo

Ennyanjula

Ekibi nga tekinayingira mu nsi, Adamu yasanyukiranga mu mpuliziganya ennungi n’Omutonzi we; naye okuva omuntu lwe yeyawula okuva ku Katonda ng’amaze okwonoona, olulyo lw’omuntu lwasalibwako ku mukisa guno ogwa waggulu. Kyokka olw’enteekateeka y’obulokozi, ekkubo lyaggulibwawo abantu abatuula ku nsi mwe bayinza okufunira empuliziganya n’eggulu. Katonda yawuliziganyanga n’abantu okuyita mu Mwoyo we, era omusana gwa Katonda ne guweebwa eri ensi okuyita mu baddu be ababikkuliddwa. “Naye abantu baayogeranga ebiva eri Katonda nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu.” 2Peetero 1:21. EE 4.1

Emyaka enkumi ebbiri mu ebitaano egyasooka mu byafaayo by’omuntu, tewaaliwo buwandiike bwonna obw’okubikkulirwa kwa Katonda. Abo abaayigirizibwanga Katonda, baategeezanga bye bamanyi eri abalala, ne bigenda nga bisikirwa okuva ku kitaawe w’omwana okudda ku mwana, okuyita mu mirembe nga bwe gyagendanga giddiriņņana. Okuwandiika kwatandikira mu biseera bya Musa. Kati olwo okubikkulirwa kwonna ne kuteekebwa mu kitabo ekyaluņņamizibwa. Omulimu guno gweyongera okuyita mu kiseera ekiwanvu eky’emyaka nga lukumi mu lukaaga - kwe kugamba okuva ku Musa, munnabyafaayo w’obutonzi era n’amateeka, okutuuka ku Yokaana, omuwandiisi w’amazima amalungi ennyo nnyini ag’enjiri. EE 4.2

Bayibuli eyogera ku Katonda nga ye muwandiisi waayo; newakubadde nga yawandiikibwa bantu; era n’engeri z’ebitabo byayo nga bwe ziri, zooleka engeri ez’enjawulo ez’abantu abaagiwaandiika. Amazima gonna agabikkuliddwa okuyita mu yo, galina “okuluņņamya kwa Katonda” (2Timoseewo 3:16); wadde nga googerwa mu njogera ey’abantu. Oyo Ataggwaawo yamulisa n’Omwoyo we Omutukuvu mu birowoozo ne mu mitima gy’abaddu be. Yabaloosanga ebirooto n&pos;abawanga n’okwolesebwa, obubonero n&pos;ebifaananyi; olwo abo ababikkuliddwa amazima nabo ne bagawandiika mu lulimi lw’abantu. EE 4.3

Amateeka Ekkumi gaayogerwa Katonda yennyini, era ne gawandiikibwa n’omukono gwe ye. Ago ga Katonda, era tegaagunjibwa muntu. Kyokka Bayibuli, awamu n’amazima Katonda ge yawa agagirimu, ne googerwa mu njogera ey’abantu, eraga obweggafifu bwa Katonda n’omuntu. Obweggaffu obwo bwalabikira mu kuzaalibwa kwa Kristo, oyo eyali Omwana wa Katonda era Omwana w’omuntu. Bwekityo kye kiva kibeera ekituufu ne ku Bayibuli era nga bwekyali ne ku Kristo, nga “Kigambo yafiiuka omubiri, n’abeerako gye tuli.” Yokaana 1:14. EE 4.4

Yawandiikibwa mu mirembe egyenjawulo n’abantu abaali tebafaana mu bitiibwa n’ebyo bye bakola, wadde mu magezi ne mu birabo eby’Omwoyo: Bayibuli eyoleka EE 4.5

engeri ez’enjawulo inu mpaandiika era n’egatta obuwangwa obwenjawulo ku nsonga zeeyogerako. Abawaandiisi baayo bakozesa engeri ez’enjawulo mu kunnyonnyola ensonga; era emirundi egimu amazima ge gamu omu n’agategeeza mu ngeri esingako ku mulala. Era ng’abawaandiisi bwe bagenda nga bategeeza ensonga mu ngeri ez’enjawulo, omusomi aba tataddeyo birowoozo, asoma olukwakwayo, oba aba alina obukyayi, ayinza okugiraba ng’etekwatagana era alaba okukubagana empawa, so ng’omuyizi omwegendereza, alina ebirowoozo ebiteredde, agirabamu buluņņamu. EE 5.1

Olw’okubanga yaweebwa okuyita mu bantu ab’enjawulo, amazima nago gategeezebwa mu ngeri zanjawulo. Omu ayinza okulumirizibwa ennyo ku katundu akamu ku nsonga eyogerwako; n’anyweza obutundu obwo ng’abukwataganya n’okumanya kwe oba okusinziira ku ye nga bw’alaba ensonga; ate omulala n’anyweza akatundu akalala; kyokka buli omu ng’aluņņamizibwa Omwoyo Omutukuvu n’ategeeza ekyo ekisinze okulumiriza omutima gwe - buli omu ng’ayogera ku mazima mu ngeri ey’enjawulo, naye bonna nga bakwatagana bulungi. N’amazima agabikkuliddwa ne geegattira wamu okukola ekitole ekituukiridde, nga kibumbiddwa okutuukana n’obwetaavu bw’abantu okuyita mu mbeera zonna ez’obulamu. EE 5.2

Katonda yasiima okutegeeza amazima ge eri ensi okuyita mu bantu, era ye mwene, okuyita mu Mwoyo we Omutukuvu, n’asaanyiza abantu era n’abasobozesa okukola omulimu ogwo. Yaluņ^amyanyanga ebirowoozo mu ebyo ebigwanidde okwogerwa era n’okuwandiika. Obugagga obwo yabuteresa mu bibya eby’ebbumba eby’ensi, kyokka newakubadde nga bwo bwa mu ggulu. Obujulirwa bwayisibwa okuyita mu njogera z’abantu ezitatuukiridde, newakubadde nga bujulirwa bwa Katonda; olwo omwana wa Katonda omuwulize n’alaba mu bwo ekitiibwa ky’amaanyi ga Katonda, ng’ajjudde ekisa n’amazima. EE 5.3

Katonda yateeka mu kigambo kye okumanya kwonna omuntu kwe yeetaaga okufuna obulokozi. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bigwanira okutwalibwa ng’Okubikkulirwa kwa Katonda okw’obuyinza era okutawaba. Ebyo kye kigera ky’empisa, ekibikkula enjigiriza zonna era ekikema okumanya kwonna. “Buli Ekyawandiikibwa kirina okuluņņamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga, olw’okubuulilira okuli mu butuukirivu: omuntu wa Katonda alemenga okubulwa kyonna, ng’alina ddala byonna olwa buli mulimu omulungi.” 2Timoseewo 3:16,17. EE 5.4

Kyokka wadde nga Katonda yeebikkula eri omuntu okuyita mu kigambo kye, ekyo tekiggyawo kubeerwa n’okuluņņamizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu. Wabula, yasuubiza ng’ayita mu Mulokozi waflfe ekirabo eky’Omwoyo, abikkulire abaddu be ekigambo kye, abaluņņamye era abayigirize n’okukiteeka mu nkola. Era olw’okubanga Omwoyo ye yawandiisa Bayibuli eyaluņņamizibwa, n’olwekyo EE 5.5

kizibu enjigiriza y’Omwoyo okuba ng’ekontana n’ekigambo kye yawandiisa. EE 6.1

Omwoyo teyaweebwa so era taliweebwa olwo Bayibuli eveewo; kubanga Ebyawandiikibwa biyigiriza bulungi nti ekigambo kya Katonda kye kigera okugererwa n’okukema enjigiriza zonna. Omutume Yokaana agamba, “Temukkirizanga buli mwoyo, naye mukemenga emyoyo, oba nga gyava eri Katonda: kubanga bannabbi ab’obulimba bangi abafuluma mu nsi.” lYokaana 4:1. Era ne Isaaya n’agamba nti: “Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Oba nga teboogera ng&pos;ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.” Isaaya 8:20. EE 6.2

Omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu guvumisiddwa nnyo olw’obulimba bw’abantu abamu, nga bagamba nga bwe baafuna omusana gwe, n’olwekyo tebeetaaga kuluņņamizibwa kwa kigambo kya Katonda. Bakulemberwa ndowooza zaabwe ze balowooza nti lye ddoboozi lya Katonda mu muntu. Naye omwoyo ogubifuga si ye Mwoyo wa Katonda. Okugoberera kuno ebirowoozo, Ebyawandiikibwa ne bigayaalirirwa, kuleeta kutabukatabuka, kulimbibwa na kuzikirira. Kwongera kuleeta nkwe za mulabe. Olw’okubanga obuweereza bw’Omwoyo Omutukuvu bukulu nnyo eri ekkanisa ya Kristo, bwekityo ne Setaani akigenderera ng’ayita mu nsobi ezikolebwa abantu abalina akajanja n’abo abaagala okusukkiriza, okuvumisa omulimu gw’Omwoyo n’aleetera abantu ba Katonda okulagajjalira ensibuko y’amaanyi gano Mukama waffe yennyini ge yasuubiza. EE 6.3

Omwoyo we yali wakweyongera okukola okuyita mu kiseena enjiri we yasaasanira ng’alugņamiza wamu n’ekigambo kya Katonda. Mu mirembe Ebyawandiikibwa eby’Endagaano Empya n’Enkadde we byaweerwa, Omwoyo Omutukuvu teyakoma kutegeeza musana gwe eri ebirowoozo by’abantu, ng’ogyeko ebyo bye baabikkulirwa nga byakuwandiikibwa mu Bitabo Ebitukuvu... EE 6.4

Yesu yasuubiza abayigirizwa be, “Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.” ‘“Naye bw’alijja oyo Omwoyo ow’amazima, anaabaluņņamyanga mu mazima gonna:... ye anaababuuliranga ebigenda oku[ja.” Yokaana 14:26; 16:13. Ebyawandiikibwa biyigiriza nga, ebisuubizo bino tebyakoma kutuukiririra mu nnaku z’abatume zokka, naye era byeyongerayo n’okutuuka eri ekkanisa ya Kristo ezze ebeerawo okuyita mu mirembe gyonna. Omulokozi akakasa abagoberezi be nti, “Laba nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” Matayo 28:20. Ate omutume Pawulo n’agamba nti ekkanisa yaweebwa ebirabo n’okukola kw’Omwoyo, “olw’okutuukiriza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, olw’okuzimba omubiri gwa Kristo: okutuusa Iwe tulituuka fenna mu bumu obw’okukkiriza, n’obw’okutegeera Omwana wa Katonda, lwe tulituuka okuba omuntu omukulu okutuuka mu kigera eky’obukulu obw’okutuukirira kwa Kristo.” Abaefeso 4:12,13. EE 6.5

Omutume yasabira abakkiriza ab’e Efeso nti: “Katonda wa Mukama waffe Yesu EE 6.6

Kristo, Kitaffe ow’ekitiibwa, abawe Omwoyo ogw’amagezi n’ogw’okubikkulirwa mu kumutegeera ye; nga mumulisibwa amaaso ag’omutima gwammwe, mmwe okumanya essuubi ery’okuyita kwe bwe liri... era obukulu obusinga ennyo obw’amaanyi ge eri ffe abakkiriza bwe buli, ng’obuyinza obw’amaanyi ge bwe bukola.” Abaefeso 1:17-19. Guno gwe mukisa Pawulo gwe yasabira ekkanisa y’Abaefeso bafune okuweereza kw’Omwoyo wa Katonda mu kumulisibwa amaaso ag’omu mutima okutegeera ebintu eby’ebuziba eby’ekigambo kya Katonda. EE 7.1

Oluvannyuma nga Omwoyo Omutukuvu amaze okuweebwa ku Lunaku lwa Pentekoote, Peetero yabuulirira abantu beenenye era babatizibwe okuyingira mu linnya lya Kristo, bagibweko ebibi byabwe; era n’agamba nti: “Munaaweebwa ekirabo gwe Mwoyo Omutukum Kubanga okusuubiza kwammwe era kw’abaana bammwe n’abo bonna abali ewala, bonna abaliyitibwa Mukama Katonda waffe.” Ebikolwa by’Abatume 2:38,39. EE 7.2

Ng’alaga eby’okubaawo ku lunaku olukulu olwa Katonda, Mukama yayogerera mu nnabbi Yoweeri ng’asuubiza okulagibwa kw’Omwoyo. Yoweeri 2:28. Obunnabbi buno bwatuukirirako ekitundu Omwoyo bwe yafukibwa ku lunaku lwa Pentekoote; kyokka bwakutuuka ku ntikko yaabwo ekisa kya Katonda bwe kirirabisibwa ng’omulimu gw’okubuulira enjiri gukomekkerezebwa. EE 7.3

Olutalo olunene wakati w’obulungi n’obubi lwakweyongeramu amaanyi awo nga ku nkomerero y’ebiseera. Setaani azze alaga obusungu bwe eri ekkanisa ya Kristo okuyita mu mirembe gyonna, kyokka ne Katonda n’ateekawo ekisa kye n’Omwoyo we ku bantu be okubazzangamu amaanyi bayinze okuyimirirawo eri amaanyi g’omubi. Abatume ba Kristo baaweebwanga okuluņņamizibwa kw’Omwoyo mu ngeri ey’enjawulo buli lwe baatwalanga enjiri ye eri ensi n’okubeera obujulirwa obw’emirembe gyonna egirijja. Kyokka ekkanisa ng’esemberedde okununulibwa, Setaani waakukola mu maanyi mangi. Ajja kujja “ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” Kubikkulirwa 12:12. Ajja kukola “n’amaanyi gonna n’obubonero n’ebyamagero eby’obulimba.” 2Abasessaloniikka 2:9. Omulyolyomi oyo okusooka eyali omukulu mu bamalayika ba Katonda, azze nga yeefunyirira okulimba n’okuzikiriza okumala emyaka kakaaga. Amagezi gonna aga Setaani, obukujjukujju bw’afunye n’obutemu bwonna bw’agunjizza okuyita mu lutalo luno olukulungudde emyaka, ajja kubikomyawo okulwanyisa abantu ba Katonda mu lutalo olusembayo. Ate era mu kiseera kino abagoberezi ba Kristo mwe bajja okutwalira okulabula kw’okukomawo kwa Kristo eri ensi; era n’abantu beeteekereteekere okuyimirirawo mu maaso ge mu kujya kwe, nga tebalina “bbala newakubadde omusango mu maaso ge.” 2Peetero 3:14. Ekirabo kino Katonda ky’agaba omuli ekisa n’amaanyi ge kyetaagibwa nnyo leero eri ekkanisa okusinga ne mu biro by’abatume. EE 7.4

Okuyita mu kuluņņamizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, omuwandiisi w’ekitabo EE 7.5

kino yabikkulirwa ebyo ebizze bibaawo mu lutalo luno olw’obulungi n’obubi olumaze ebbanga eddene. “Nzize nfunanga omukisa buli kiseera ne ndaba okukola kw’Omulangira w’obulamu, Omutandisi w’obulokozi bwaffe mu lutalo luno olunene, ne Setaani, omulangira w’obubi, era omutandisi w’ekibi, oyo eyasooka okumenya amateeka ga Katonda amatukum Obulabe bwa Setaani eri Kristo azze abwolekeza abagoberezi be. Era n’obukyayi bwe bumu eri amateeka ga Katonda, enkola ye ey’okulimba, n’afuula obulimba ne bulabika ng’amazima, amateeka ga Katonda ne gawanyisibwamu ag’abantu, abantu ne badda mu kusinza ekitonde mu kifo ky’Omutonzi, byonna bisobola okulabibwa mu byafaayo ebyayita. Setaani okufuba okwonoona ekifaananyi kya Katonda, n’ayagala abantu batunuulire Omutonzi ng’omubi, olwonno balyoke bamutye era bamukyawe mu kifo ky’okumwagala; okufuba kwe mu kujjawo amateeka ga Katonda, ng’ayagala abantu balowooze nti tegakyabafuga; okuyigganyanga abo abaagezangako okuwakanya obulimba bwe, byonna ebyo azze ng’abikola okuyita mu mirembe gyonna. Bisobola okuzuulwa mu byafaayo bya bajuajja, bannabbi era n’abatume, mu bantu abattibwanga ne mu bazza b’ekkanisa obuggya.” EE 8.1

Mu lutalo luno olunene era olusembayo, Setaani ajja kukozesa enkola yeemu era akolerere ebigendererwa bye bimu ne mu mirembe eginaddako. Ebyo byonna ebyaliwo byakuddamu okubaawo, kyokka nga mu lutalo olujja, byakweyoleka mu bukambwe obwekitalo ensi bweterabangako. Ajja kuba mukugu mu kulimba, era nga mumalirivu mu kulumba. Era oba nga kiyinzika akyamye n’abalonde. Makko 13:22. EE 8.2

Omwoyo wa Katonda bwe yandaga amazima amakulu ag’ekigambo kye, n’ebyo ebyaliwo era n’eby’okubaawo, ne ndagirwa okutegeeza ne ku balala ebyo bye nnabikkulirwa - okuzuula ebyafaayo ebyayita eby’olutalo, era n’okubitegeeza bimulise omusana ku lutalo olunaatera okubaawo amangu. Mu kwagala okutuukiriza ekigendererwa kino, nnegenderezza nga nnokolayo n’okuliraanya ebintu ebizze bibaawo mu byafaayo by’ekkanisa mu ngeri egoberera amazima amakulu nga bwe gaagendanga geebikkula nga gagenda gaweebwa mu biseera ebyenjawulo eri ensi, ne gasitula obusungu bwa Setaani, era n’obulabe bw’ekkanisa erina okwagala kwayo eri ensi, kyokka ne gakuumibwa abajulirwa abo “abataayagala bulamu bwabwe okutuusa okufa.” EE 8.3

Mu buwandiike obwo, tujja kusangamu okulabula ku lutalo olutulindiridde. Bwe tunabutunuulira nga tukozesa ekigambo kya Katonda, n’okuluņņamizibwa kw’Omwoyo Omutukuvu, tujja kuzuula enkwe z’omulabe nga zibikkuliddwa, n’obulabe bwe balina okwewala abo abalisangibwa nga “tebaliiko bulema” mu maaso ga Mukama mu kujja kwe. EE 8.4

Ebyo ebyaliwo, okwava enkyukakyuka mu mirembe egyayita nsonga nkulu mu byafaayo, ezimanyiddwa obulungi era ezikkirizibwa ensi zonna ez’Obupulotestanti; EE 8.5

gano ge mazima omuntu yenna g’atayinza kuwakanya. Ebyafaayo bino mbiwandiise mu bufunze, nga ngerageranya ku bunene bw’ekitabo, so n’okwekuuma obutagaziya nnyo nsonga, nga nfuunza okutuuka ku ekyo ekisoboka okuba nga kitegeerekeka bulungi.... EE 9.1

Ekigendererwa ekikulu ennyo eky’ekitabo kino si kwe kuleeta amazima amaggya agakwata ku lutalo olw’ebiseera ebyayita, nga okutegeeza amazima n’ebigendererwa ebituufu eby’ebyo ebigenda okubaawo. Wabula awamu n’olw’okutulengeza ekitundu ku lutalo olunene oluliwo wakati w’amaanyi ag’omusana era n’ekizikiza, obuwandiike buno bwonna obw’ebiseera ebyayita bulabika nga bulina omuzinzi; era okuyita mu byo omusana ne gumulisa mu maaso, nga gulaga ekkubo ly’abo, okufaanana n’abazza b’ekkanisa obuggya abaaliwo, ne bayitibwa, newakubadde nga kyali kitegeeza kufiirwa ebirungi eby’ensi, ne baba abajulirwa “b’ekigambo kya Katonda era n’olw’okutegeeza kwa Yesu.” EE 9.2

Ekigendererwa ky’ekitabo kino kwe kwanjuluza ebintu eby’olutalo luno olunene wakati w’amazima era n’obukyamu; okubikkula enkwe za Setaani, era n’okuzuula engeri zonna mwetuyinza okufunira emikisa okumuziyiza; okulaga engeri esingira ddala obulungi mu kugonjoolamu omutawaana gw’ekibi, nga kimulisa ku musana ogulaga entandikwa era n’okumalawo ekibi okwenkomeredde, era n’okulaga obutukuvu n’okwagala kwa Katonda mu ebyo byonna by’akola ku lw’ebitonde bye; n’okulaga obutukuvu bw’amateeka ge agatakyukakyuka. Nga okuyita mu kyo, abantu bangi balokolebwe okuva mu maanyi g’ekizikiza, bafuuke “abasika awamu n’abatukuvu mu musana,” ekitiibwa kidde eri oyo eyatwagala, ne yeewaayo ku Iwaffe, kwe kusaba kw’omuwandiisi. EE 9.3