Essuubi Eritaggwaawo

7/43

6 — Huss Ne Jerome

Ensigo z’enjiri zaali zaasimbwa dda mu Bohemiya eyo nga mu kyasa ekyomwenda. Bayibuli bwe yakyusibwa mu lulimi Iw’abantu nga n’okusinza kuli mu lulimi lwabwe. Naye amaanyi g’obwapaapa bwe geeyongera, Ekigambo kya Katonda ne kikalubirira abantu. Papa Gregory VII eyali amaliridde okukakkanya amalala g’abakabaka n&pos;asalawo okuzza abantu mu buddu, kwe kuwandiika ebbaluwa egaana abantu okusinza Katonda mu lulimi lwabwe olw’e Bohemiya. Papa n’alangirira nti: “Kyekisanyusa Omuyinza w’ebintu byonna abantu okumusinziza mu lulimi olutategerekeka era nga n’enjigiriza nnyingi ezawaba eziriwo ng&pos;ensonga eva mu butagondera tteeka eryo.” - Wylie, b. 3. Ch 1. Bwatyo Luumi bwe yawa ekiragiro omusana gw&pos;e kigambo kya Katonda ne guzikizibwa abantu baggalirwe mu kizikiza. Naye ng’eggulu litaddewo emikutu emirala okukuuma ekkanisa. Bangi ku bagoberezi ba Waldensi abadduka olw&pos;okuyigganyizibwa nga bava mu Bufaransa ne mu Yitale abajja mu Bohemiya. Newakubadde nga tebaayinza kuyigiririza mu Iwatu, bakola omulimu munene mu ngeri ey’ekyama. Bwegatyo amazima ne gakuumibwa okuyita mu buli mulembe. EE 61.3

Huss bwe yali nga tanasitukawo, waaliwo abantu mu Bohemiya abavumiriranga mu Iwatu obwonoonefu obwali mu kkanisa n’abantu okubeera mu bulamu obwa kyeyonoonere. Okufuba kwabwe kwakwata ku bantu bangi. Abakulembeze b’abantu ne batandika okulya, oluggi Iw’okuyigganya ne luggulibwawo okuyigganya EE 61.4

abayigirizwa b’enjiri. Ne baddukira mu bibira ne ku nsozi, nga bwe bayiggibwa abasirikale era bangi ne battibwa. Era oluwanyuma Iw’ekiseera ne balangirira nti buli yenna eyava ku kkanisa y’e Luumi ayokebwe. Naye Abakristaayo ne bawaayo obulamu bwabwe nga bwe batunuulidde essanyu ery’okuva mu buwanguzi. Omu ku abo eyayigirizanga nti: “Obulokozi buva mu kukkiriza saddaaka ya Mulokozi mwokka,” yagamba bwe yali afa nti: “Ekiruyi ky’omulabe ayigganya amazima kirabika ng’ekituwangudde kaakano, naye tekituwangule mirembe gyonna; wajja kusitukawo omuntu okuva mu bantu ababulijjo nga talina kitala wadde obuyinza, naye oyo tebalimuwangula.” - Ibid, b. 3, ch. I. Ekiseera kya Luther kyali kikyali wala nnyo, naye nga waliwo kaakano asituka, oyo anawakanya Luumi amawanga gonna ne gakankana. EE 62.1

John Huss yazaalibwa abantu ababulijjo era naasigala nga mulekwa olw’okufa kwa kitaawe. Nnyina eyali omukkiriza omulungi, n’amwagazisa nnyo okusoma n’okutya Katonda nga kyekyobusika kyayinza okulekera omwana we ng’avudde mu nsi. Huss yasomera mu ssomero eryali mu kitundu ky’ewabwe, gyeyava naagenda mu ssettendekero e Prague, gye bamukkiriza okusoma ng’ayambibwa buyambibwa. Nnyina yamuwerekerako okutuuka ku ssomero e Prague; omukyala omunaku era nnamwandu, bambi teyalina kantu konna keyamusibirira, naye nga banaatera okutuuka mu kibuga ekinene, kwe kufukamira wansi naasabira omwana ono kaakano atalina kitaawe naamuwonga mu mikono gya Kitaabwe ow’omu ggulu. Kyokka teyamanya ngeri Katonda bw’anayanukulamu saala eyo. EE 62.2

Ng’atuuse ku ssettendekero, Huss yeeragirawo ng&pos;omuntu owomugaso era alimu essuubi, so ng’ate, olw’okuba omukakkamu era omuteefu, naayagalibwa nnyo. Yali mugoberezi mulungi mu kkanisa y’e Luumi era ng’ayayaanira nnyo emikisa egy’obulamu obw&pos;omwoyo ekkanisa eyo gye yagambanga nti egigaba. Olumu bwe waaliwo ekijaguzo, yagenda okwenenya n’okwatula ebibi bye, naawaayo ekirabo kye eky’obusente obutono obwali busigadde mu nsawo ye, neyegatta mu kusinza ayinze naye okufuna okusonyiyibwa. Ng’amalirizza emisomo gye, naayingira obuweereza, naakuzibwa mangu okutuuka ku ddaala ly’obwa Kalidinaali, era naawerezebwa okuweereza mu lubiri Iwa kabaka. Yatuuka ku ddaala ly’obwa pulofeesa era oluvannyuma naawebwa okukulira ssettendekero eyo gye yasomera. Mu myaka mitono nnyo omwana ono eyali omunaku era eyasomera ku buyambi yali afuuse ekyokwenyumiriza eri ensi ye, n’erinnya lye ne limanyibwa mu Bulaaya wonna. EE 62.3

Naye enkyukakyuka Huss agikolera mu buweereza bulala ddala. Nga wayiseewo emyaka mingi okuva Iwe yayingizibwa mu busosodooti, yalondebwa okuba omubuulizi omukulu mu kkanisa ye Beserekemu. Ekyo kyajja bwekityo olw’okubanga omutandisi w’e kkanisa eno yayagala nnyo okusinza kukulemberwe mu lulimi lw’abantu. Newakubadde nga Luumi yali yakigaana, mu Bohemiya baali tebakijjirangawo ddala. Era waaliwo obutamanya bungi mu Bayibuli, nga n’ekisinga byonna, obubi bwali butuuse mu bantu ab’ebiti eby’enjawulo. Huss naayogerera bubi nnyo empisa ezo envundu, naayita abantu okuddayo ku Kigambo kya Katonda, okuzaamu amazima n’obutukuvu mu bantu. EE 62.4

Waaliwo omutuuze omu mu kibuga Prague ayitibwa Jerome eyali owomukwano ennyo ne Huss, eyamuleetera ebimu ku biwandiiko bya Wycliffe okuva e Bungereza. So ng’ate nnabakyala wa Bungereza naye eyali akyusiddwa olw’ebiwandiiko bya EE 62.5

Wyclifife, yali mumbejja wa Bohemiya, naayamba nnyo ebiwandiiko bya WyclifFe okubuna wonna mu Bohemiya. Huss naayagala nnyo ebiwandiiko bino, era n’akisuubira nti omuwandiisi ateekwa okuba nga Mukristaayo wa mazima ddala, era ng’akkiririza mu kuteekawo enkyukakyuka ye kennyini gye yali alwanirira. Huss kaakano yali akutte ekkubo erimwawukanya okuva ku Luumi naye nga tamanyi. EE 63.1

Kumpi mu kiseera kyekimu, ne wabaawo abantu babiri abatategerekeka abaali bakomyewo okuva e Bungereza oluwannyuma Iw’okusoma, naye nga bafunye omusana omuggya, nga kaakano bazze okugubunya mu nsi eno eYesudde. Baatandikira mu kunenya bwannakyemalira bwa papa era mangu nnyo ne basirisibwa ab’obuyinza, kyokka ne batakiriza kuwangulukuka, kwe kunoonya engeri endala mwe banakikolera. Olw’okubanga baali basiizi ba bifaananyi ate nga babuulizi, kwe kutandika okukozesa obukugu bwabwe. Ne basiiga ebifaananyi bibiri ne babiteeka mu kifo ekyolukale. Ekimu nga kiriko Yesu ng’ali mu mulyango oguyingira mu Yerusaalemi, “omuteefu, nga yebagadde omwana gw’endogoyi” (Matayo 21:5), ng’awerekerwako abayigirizwa be abambadde engoye eziyulise ate nga tebambadde ngatto mu bigere. Ekirala nga kiraga oluseregende Iw’abalabirizi - papa ng’ayambaziddwa engoye ez’ekitiibwa ng’atikkidde engule ey’emige esatu, nga yebagadde embalasi etoneddwa obulungi ennyo, ng’akulembeddwa abafuuyi b’emirere era n’agobererwa bakalidinaali n’abasasedooti abali mu ngoye ezitemagana. EE 63.2

Abantu bangi ne bakwatibwako olw’ebyokuyiga ebyali mu kifaananyi kino. Enkuyanja y’abantu n’ejja okwerabira ku kifaananyi. Nga tewali ayinza butalaba byakuyiga bikirimu, era bangi ne bawulira okunyolwa okulaba Kristo Omuyigiriza Omukulu omuteefu era omukakkamu, ne papa eyeyita omuddu we ng’ajjudde amalala n’okwemanya. Ne wabaawo akajagalalo mu kibuga, era abantu bano abataategerekeka ne bakiraba nga kyamagezi okudduka bawonye obulamu bwabwe. Naye ekyokuyiga kye baayigiriza tekyayinza kwerabirwa. Ekifaananyi ne kikwata nnyo ku bulamu bwa Huss, naatandika okusoma n’okunoonya mu Byawandiikibwa era ne mu biwandiiko bya Wycliffe. Newakubadde nga yali tannakkiririza ddala byonna Wycliffe bye yayogeranga, naye yayinza okutegeera obwapapa kye buli, ne yeyongera okunenya ennyo amalala, obwonoonefu n’okwagala okwekuza ebyalabikiranga mu bwo. EE 63.3

Omusana ne gusaasana okutuuka ne mu Bugirimaani, kubanga abayizi bangi abaalekulira emisomo ku ssettendekero e Prague olw’okutaataganyizibwa ne baddayo mu Bugirimaani. Bangi abafuna eby’okuyiga ebisooka ebya Bayibuli okuva ku Huss, bwe baddayo eka ne babunya enjiri mu nsi yaabwe eyobuzaaliranwa. EE 63.4

Amawulire ne gatwalibwa e Luumi, bwatyo Huss naayitibwa okulabikako mu maaso ga papa. Bwe yandigenze kyali kitegeeza kuttibwa. Kabaka ng’ali wamu ne nnabakyala wa Bohemiya, abakulu ba ssettendekero, abakungu n’abantu abakulu inu gavumenti, ne basaba omulabirizi w’e Luumi akkirize Huss asigale mu Prague gy’aba ayanukulira Luumi okuyita mu mukiise. Mu kifo ky’okukkiriza okusaba okumuweereddwa, papa yagenda mu maaso n’okusala omusango era naalangirira nti ekibuga kyonna kigiddwako emikisa gy’okufuna amasakalamentu olwa Huss. EE 63.5

Ekiragiro kino kyasamalirizanga nnyo ensi mu kiseera ekyo buli Iwe kyalangirirwanga. Anti abantu nga basuubira okutuukibwako ebikolobero EE 63.6

olw’okubanga baatunuuliranga papa nga omukiise wa Katonda yennyini, era ng’alina ebisumuluzo by’eggulu n’amagombe, era ng’alina obuyinza ku bintu byonna eby’omu nsi n’okusala emisango egy’omwoyo. Kyasuubirwanga nti emiryango gy’e ggulu gyaggalibwangawo olw’ekiragiro ekyo mu kitundu, era nti okutuusa ng’abantu ababeerayo benenyezza ne basanyusa papa okubagirawo okukugirwa okwo, abafu baabanga bakusigala nga baggaliddwa obutayingira mu kifo ekyokwesiima. Mu kiseera nga kino eky’obulabe, emikolo gyonna egy’eddiini nga giyimirizibwa. Amakanisa nga gaggalwawo. Abagole nga babagattira mu mpya za kkanisa. Abafu nga tebakkirizibwa kuziikibwa mu bifo ebitukuvu wadde okukola emikolo egy’okuziika. Bwetyo Luumi bwe yafuga endowooza z’abantu. EE 64.1

Ekibuga kyonna ne kijjula akajagalalo. Ekibiina kinene eky’abantu ne beegana Huss nga bwe bagamba nti ye nsibuko y’ebizibu bino byonna, era ne bagamba nti aweebweyo eri obusungu bwa Luumi. Huss kwe kuddayo ko eka mukyalo alabe oba nga embeera enekkakkana. Yawandiikira mikwano gye beyalekayo mu kibuga nti: “Nze okuddako emabega ngoberera kyakulasbirako kya Yesu Kristo, abantu abanyiize obutereetako musango ogw’emirembe gyonna, nammwe obutabareetera kubonaabona wadde okunyigirizibwa. Era nzizeeko emabega olw’okutya abasasedooti abatalina mwoyo si kulwa nga boongera okuziyiza omulimu gw’okubuulira enjiri mu mmwe; naye sirekulidde mmwe muve mu mazima ga Katonda ge nkakasa nti olw’okusaasira kwa Katonda ndi mwetegefu okugafiirira.” - Bonneschose, The Reformers Before the Reformation, vol. 1, p. 87. Kyokka Huss teyalekerawo buweereza bwe, naye yagenda mu maaso n’okutambula mu nsi eziriranyewo ng’abuulira mu bibiina by’abantu abakuņņananga okuwuliriza. Ekyo papa kye yayagala mu kuziyiza enjiri kyagiviirako okubuna mu bifo bingi. “Kubanga tetuyinza kuziyiza mazima, wabula okugayamba.” 2Kol. 13:8. EE 64.2

“Mu kiseera kino Huss yalabika nga alina olutalo olunyigiriza mu birowoozo bye. Yali tannajeemera buyinza bwa kkanisa, era ng’ekkanisa erabika nga eyagala kumumalawo n’amaanyi gaayo gonna. Ng’ekkanisa akyagiraba ng’omugole wa Kristo, era ne papa ng’omubaka era omukiise wa Kristo ku nsi. Era nga Huss kyalwanyisa, ye papa okukozesa obubi obuyinza bwe, so si obuyinza bwo bwennyini. Ne kisitulawo olutalo olw’amaanyi wakati mu nda mu ye, ng’ebirowoozo bye birwanagana n’okutegeerakwe. Obuyinza bwa papa bwe buba nga bwabwenkanya era nga takola nsobi, nga bwe yakikkirizanga, lwaki ate awalirizibwa obutamugondera? Bw’amugondera, akiraba ng’okwonoona; kaakati Iwaki okugondera ekkanisa etekola nsobi kimufuukira ensonga? Buno bwe bwali obuzibu bw’atayinza kugonjoola; okubuusabuusa okw’amulumirizanga buli kiseera. Kye yalabika nga atuuseeko mu kutegeera, nga kifaanana n’ekyo ekyatuuka ku Mulokozi mu nnaku ze, bakabona b’ekkanisa bwe baayonooneka ne bakozesa obuyinza bwabwe mu bumenyi bw’amateeka okutuukiriza okwegomba kwabwe. Bwatyo ne yefunira ekimuluņņamya n’okutegeeza abalala nti, okubuulira okuli mu Byawandiikibwa nga kuli mu kutegeera okwabulijjo, bye bifuga endowooza y’omuntu; mu ngeri endala, nti Katonda bwayogerera mu Bayibuli so si kkanisa okwogerera mu bakabona, bwe buluņņamu bwokka obutawaba.” - Wylie, b. 3, ch 2. EE 64.3

Akajagalalo bwe kakkakkana mu kibuga oluvannyuma nga wayiseewo ekiseera, Huss naakomawo mu kkanisa ye ey’e Beserekemu okwongera okubuulira Ekigambo EE 64.4

kya Katonda mu buvumu era n’amaanyi mangi. Kyokka nga era n&pos;abalabe be bakyali ba maanyi, naye nga nnabakyala awamu n&pos;abakungu bakyali mikwano gye nga kwotadde n&pos;abantu abalala bangi abaali ku ludda Iwe. Abantu bangi ne basalawo okumweyungako oluvannyuma lw’okugerageranya enjigiriza ye eyali esitula emyoyo n&pos;obulamu bwe obutalina kyakunenyezebwa awamu n’enjigiriza za Luumi eziswaza, omuli obuluvu n&pos;obugwenyufu bye baakolanga. EE 65.1

N’okutuusa kati, Huss yali akyali bw&pos;omu mu kufuba kwe; naye yegattibwako Jerome eyali yakava mu Bungereza gye yakkiririza okuyigiriza kwa Wycliffe, ne yegatta ku mulimu gw&pos;okuzza ekkanisa obuggya. Bombi ne beegattira wamu nga newakubaddc mu kufa nga si bakwawukana. Yalina ebirabo by&pos;okutegeera, okwogera obulungi, n’okuyiga, ebyamwagazisa ennyo abantu, naye nga mu birabo ebikola omuntu ow’enjawulo, Huss amusingako. Omulimu gw’okulongoosa ekkanisa gweyongeramu amaanyi oluvannyuma lwa bombi okwegattira awamu. EE 65.2

Katonda yakkiriza omusana ogw’enjawulo okwakira abasajja bano be yalonda, n’ababikkulira ensobi nnyingi Luumi ze yakolanga; naye ne batafuna musana gwonna ensi gwe yalina okufuna. Era naakulembera abantu be okubafulumya mu kizikiza kya Luumi okuyita mu baddu be bano; naye nga baakusisinkana emiziziko mingi, naabakulembera mutendera ku mutendera nga bwe baayinza. Anti tebaali beteefuteefu kwaniriza musana gwonna omulundi gumu. Okufaanana n&pos;ekitiibwa ky&pos;enjuba mu ttuntu bwe yandyakidde abantu ababadde mu kizikiza, bandigidduse singa omusana guzze gwonna. Bwekityo, yagendanga ababikkulirako kitundu kitundu, okutuukana n&pos;ogwo abantu gwe bayinza okwaniriza. Abaweereza abalala abeesigwa baali bakusitukawo okuyita mu byasa by’emyaka egy’enjawulo, okukulembera abantu n&pos;okubongerayo mu kkubo ery’okulongoosa ekkanisa. EE 65.3

Ekkanisa yali ekyeyongera okukutukakutukamu olw’enjawukana. Bapapa basatu nga bonna balwanirira buyinza, n’entalo zaabwe ne zijjuza obumenyi bw’amateeka n’obujagalalo mu nsi zonna omuli Obukristaayo. Nga tabamatidde olw’okuwanyisiganya ebivumo awamu n’ebikolimo, kwe kukyukira ebyokulwanyisa ensi byezikozesa. Buli omu ne yewerera okugula ebyokulwanyisa nga kwotadde abaserikale. Ekyamazima nga sente zirina okufunibwa; nga n’okugula bye baagala, balina okutunda ebirabo, ebifo omukolerwa n’emikisa okuva mu kkanisa. Abasasedooti nabo ne badda mu kutunda mikisa na kulwana ntalo ne bwe bali ku mbiranye awamu n’okwenyweza mu buyinza nga bakama baabwe. Huss naagendanga mu maaso ng’ayanika n’okunenya emizizo egyakolebwanga mu linnya ly&pos;ekkanisa; nga n&pos;abantu bwe bavunaana mu lwatu obukulembeze bwa Luumi olw’ebibonyobonyo ebituuse ku Bukristaayo. EE 65.4

Ekibuga Prague nate ne kijjula entiisa olw&pos;entalo ezaali zibindabinda. Omuddu wa Katonda n’anenyezebwa nga mu biseera ebyedda nti “ye wuuyo ateganya Yisirayeri.” IBassekabaka 18:17. Ekibuga ne kigibwako emikisa gy’okuluna amasakalamentu nate, Huss naddayo mukyalo kyewaabwe. Obujulirwa obwamazima bwe yayogereranga mu kkanisa ye ey’e Beserekemu gye yayagalanga ennyo ne bukoma. Naasigala mu kwogerera mu nsi zonna omuli Obukristaayo, bwe yali nga tannattibwa ng’omujulizi owamazima. Olukiiko ne luyitibwa okutuula e Konstansi okusalira amagezi ebibi byonna ebyali biteganya Bulaaya. Lwayitibwa kabaka Sigismund olw’okusaba kwa papa John XXIII omu ku baali ku mbiranye. EE 65.5

Ekigendererwa ekikulu ekyayisa olukiiko kwe kumalawo enjawukana mu kkanisa awamu n’okwekutulakutulamu. Kye baava bayita bapaapa bali ababiri abatakwatagananga okujja mu lukiiko, awamu ne John Huss ayigiriza enjigiriza eno. Naye ababiri tebajja mu buntu olw’okuwonya obulamu bwabwe, naye ne baweerezaayo ababaka okubakiikirira. Kyokka papa John eyalabika nga atalina musango era nga ye yasaba olukiiko lubeewo, yajja naye ng’ajjudde okutya ng&pos;asuubira kabaka nti yandiba n’ekigendererwa ekikusike n’amwambula obwapaapa, oba okumuwozesa olw’ebibi ebiviiriddeko engule y’obwapaapa okwonooneka. Kyokka era yayingira mu kibuga Konstansi wakati mu mizira, nga yetooloddwa bannaddiini abamadaala agawaggulu era ng’awerekeddwako abakuumi ba kabaka. Abasasedooti n’abakungu ab&pos;omu kibuga awamu n’enkuyanja y’abantu ne bagenda okumwaniriza. Yali atikkidde engule ya zaabu, eyamuweebwa abalamuzi bana. Oluseregende lw’abantu olwali lumugoberera, ebyambalo eby’omuwendo nga kwotadde bakalidinaali n’abalangira abamugoberera ne bimukolera ekitiibwa kinene. EE 66.1

N’omuntu omulala nga naye ali mu kutambula, asemberera Konstansi. Huss yali amanyi mulungi obubi obwali bumwolekedde. Nasiibula mikwano gye ng’alinga amanyi nti si wakuddamu kubasisinkana nate; naagenda ng’amanyi nti agenda kwokebwa muliro. Naye yali aweereddwa ebbaluwa ey&pos;obukuumi okuva ewa kabaka wa Bohemiya n’eyokubiri okuva ewa kabaka Sigismund. EE 66.2

Mu bbaluwa gye yawandiikira mikwano gye abali e Prague yabagamba nti: “Baganda bange, Pņenze okusisinkana abalabe bange ab’omubiri nga mpereddwa ebbaluwa y’obukuumi okuva ewa kabaka Nteeka obulamu bwange mu mikono gya Katonda owamaanyi era Omulokozi; nkakasa nga anawulira okusaba kwammwe, era naateeka mu kamwa kange amagezi n’okumanya nsobole okunywera, ampe Omwoyo we Omutukuvu anywereze mu mazima nsobole okubaņņanga n&pos;obuvumu, nga sitya kukemebwa kwa ngeri yonna wadde ekkomera ne bwekinaategeeza kuttibwa. Yesu Kristo yabonaabona ku lwa mikwano gye; nafTe kitwewunyisa bwetugoberera ekyokulabirako kye, tusobole okugumira byonna olw’obulokozi bwaffe? Oyo ye Katonda, naffe tuli bitonde bye; oyo ye Mukama ow’ensi zonna, naffe tuli nfuufu - naye naatufiirira! Lwaki nafle tetwandibonyebonye, nnaddala ng’okubonaabona kutuleetera okulongoosebwa? Nolwekyo baganda bange, okufa kwange bwe kuba nga kunaamuweesa ekitiibwa, musabe kuleme kulwawo, era ampanirire mu bikemo mbe mwesigwa. Naye bwe kinaaba ekirungi ne nkomawo wakati mu mmwe, tusabe Katonda nkomewo nga ssirina bbala lyonna - kwe kugamba, nneme kusirikira newakubadde akatonyeze akamu mu mazima gonna ag’enjiri, mbalekere ekyokulabirako ekirungi. Oba oli awo muyinza obutaddamu kundabako e Prague, naye Katonda Omuyinza w’ebintu byonna bwanakkiriza n’ankomyawo mirembe, nsaba tugende mu maaso n’omutima omunywevu mu kumanya n’okwagala amateeka ge.” - Bonnechose, vol. 1, pp, 147, 148. EE 66.3

Mu bbaluwa ye endala gye yawandiikira omusasedooti eyali yakakyuka okuyingira obuyigirizwa bw’enjiri, Huss yayogera nga yeenenya wakati mu bwetowaze “olw’ebyambalo eby’omuwendo bye yayambala n’okwonoona ebiseera bye ng’ali mu kukola omulimu ogutalina kye gugasa.” Kyava ayongerako n’ebigambo bino ebibuulirira nti: “Ekitiibwa kya Katonda n’omwoyo ow’okulokola emyoyo bikuijuze, EE 66.4

naye oleme okutwalibwa ebitiibwa by’ekkanisa. Wegendereze obutalongoosa nnyumba yo nnyo okusinga okulongoosa omwoyo gwo; n&pos;okusinga byonna, fTaayo nnyo ku nnyumba yo ey’omwoyo. Beeranga munyiikivu mu mwoyo era omwetowaze eri abanaku, era wegendereze obutamalibwawo na masanyu agali mu nsi. Tokkiriza kumala gakyusibwa era wewale obuluvu, kubanga kirikuviiramu okubonerezebwa nga nze.... Wamanya era n’ogoberera okuyigiriza kwange okuva mu buto bwo; n’olwensonga eyo tekiņņwanira kukuwandiikira bingi okusinga wano. Naye nkegayirira olw’ekisa kya Katonda, obutangoberera mu nsobi zange mw’ondabye nga nemererwa.” Naayongerako na kino ku ddiba nti: “Nkwegayirira mukwano gwange, obutasumulula nvumbo eno okutuusa ng’okakasizza nti nfudde.” - Ibid., vol. 1 pp.148, 149. EE 67.1

Huss yagendanga alaba obubonero obw’okusaasana kw&pos;enjigiriza ze n’engeri abantu gye baasiimamu okufuba kwe okuyita mu lugendo Iwonna. Ebibiina by’abantu ne bimwetoloola nga bimwaniriza, era ne mu bibuga ebimu naayanirizibwa n’abakulembeze baamu. EE 67.2

Yalekerwa eddembe Iye ng’atuuse e Konstansi. Era n’asuubizibwa obukuumi okuva ewa Paapa awamu ne kabaka obutatuusibwako kabi. Naye bennyini ne bamenya amateeka bo ge beeteredewo: bwe baamukwata olw’ekiragiro kya papa ne bakalidinaali ne bamusuula mukkomera erya wansi mu ttaka. 01uvannyuma nnagibwayo naatwalibwa okuliraana omugga Rayini mu lubiri Iw’abakungu gye yasibirwa inukkomera. Ekkomera lye limu oluvannyuma Papa naye mweyasibirwa. Ibid., vol. p. 247. Olukiiko bwe Iwasingisa paapa emisango egya nnaggomola omuli okutta, okutunda ebitukuvu n’obwenzi, “ebibi ebitayinza kuyisibwa na mu kamwa.” Bwe lutyo, ne lulangirira nga lumugyeko engule y’obwapaapa era naasuulibwa mukkomera. Abaali bamuwakanya nabo ne baggibwako obuyinza, olukiiko ne lulonda papa omulala. EE 67.3

Newakubadde nga papa yali azizza emisango egya nnaggomola egisinga n’egyabasasedooti gye baali bavunaana Huss, era nga Huss kwe yasinziiranga okusaba wabeewo ekyukakyuka, olukiiko lwe lumu olwaswaza papa ne lusalawo okuzikiriza omuzza w’ekkanisa obuggya. Bwekutyo okusibwa kwa Huss ne kunyiiza nnyo ab’ensi ye mw’ava eya Bohemiya. Abakungu ne balaga okunyiiga kwabwe mu lukiiko n’okuvumirira okusibwa kwe. Ne kabaka atasanyukira kumenya mateeka olw’ebbaluwa gye yamuwa ekakasa obukuumi bwe eri Huss, naawakanya okuwozesebwa kwe. Naye ng’abalabe be bamaliridde okukola obubi okumuzikiriza. Ne bawakanira mu maaso ge okumala ekiseera kiwanvu nga bagamba nti: “Omuntu eyaggwa mu kukkiriza tayinza kuba nga yatuyigiriza okukkiriza, wadde ateberezebwa okuba n’enjigiriza ewakanya si nsonga oba aweereddwa ebbaluwa ey’obukuumi okuva ewa kabaka.” - Jacques Lefant, History of the Council of Constance, vol. 1, p. 516 bwebatyo ne bawangula. EE 67.4

Ng’amaze okunafuyizibwa n’obulwadde awamu n’okusibibwa mukkomera ery’omuttaka olw’obunnyogovu obungi obwali mu mpewo gye yassanga, n’afuna omusujja ogwajula okumutta, - bwatyo naaleetebwa mu maaso g’olukiiko okuwozesebwa. Nga yenna asibiddwa enjegere, kwe kuleetebwa mu maaso ga kabaka, eyamusuubiza okumuwa obukuumi olw’ekitiibwa kya kabaka. Yasigala nga munywevu wakati mu kuwozesebwa kwe okwatwala ekiseera ekiwanvu, EE 67.5

era naavumirira nnyo obwonoonefu obwali mu kkanisa y’e Luumi awamu n&pos;obukulembeze wakati mu lukiiko olw’abantu abeebitiibwa abaali bakuņgaanye. Bwe yasabibwa okulondawo ku bibiri, okwenenya enjigiriza ze oba si kyo attibwe, nalondawo okuttibwa ng’omujulizi. EE 68.1

Ekisa kya Katonda mazima kyamuwanirira. Yajjuzibwa emirembe gy’eggulu mu mwoyo gwe okuyita mu kiseera bwe yali ng’abonyabonyezebwa okutuuka Iwe yasalirwa omusango. Yagamba mukwano gwe nti: “Nkuwadiikira ebbaluwa eno, nga ndi mukkomera era nga nsibiddwa enjegere ku mikono gyange, nga nnindirira okusalirwa omusango okuttibwa olw’enkya.... Yesu Kristo bw’anannyamba, tulisisinkana nate mu mirembe egy’obulamu obujja, era olimanya nga Katonda bw’abadde ow’ekisa ennyo gye ndi, era ne bwannyambye wakati mu bigezo n&pos;okukemebwa.” - Bonnechose, vol. 2, p. 67. EE 68.2

Yalaba obuwanguzi obw&pos;okukkiriza okw’amazima okulibaawo mu maaso ng’ali eyo mukkomera erikutte enzikiza. Era yajjukira wakati mu birooto ekkanisa ye ey’e Plague mwe yabuuliriranga enjiri, naalaba papa n&pos;abalabirizi be nga basangula ekifaananyi kya Kristo, Huss kye yali asiize ku bisenge by&pos;ekkanisa. Ekirooto kino kyamunakuwaza nnyo. “Naye ate mu kirooto ekirala, naalaba abasiizi b’ebifaananyi abalala bangi nga basiiga ebifaananyi ebirala bingi ate mu langi ezirengerekeka obulungi. Abasiizi nga bamaze omulimu gwabwe ogw’okusiiga, bonna nga beetoloddwa ebibiina by&pos;abantu, ne bagamba nti: ‘Ne kaakano, bapaapa awamu n&pos;abalabirizi be bajje; tcbalyongcra ku bisiimulawo nate!”‘ Huss agamba bwe yali alootolola ekirooto kye nti: “Nkakasa nga ekifaananyi kya Yesu tekirisangulwawo nate. Baagadde okukizikiriza, naye kiriddamu okusiigibwa nate mu mitima gy’abantu n&pos;ababuulizi abasinga nze.” - D&pos;Aubigne, b. 1, ch. 6. EE 68.3

Huss n&pos;addamu okuleetebwa mu lukiiko omulundi ogusembayo. Lwali lukiiko Iw&pos;abantu nga bangi era abeebitiibwa omwali - kabaka, abalangira b’obwakabaka, abakungu, bakalidinaali, abalabirizi n’abasasedooti awamu n’ebbiina ly’abantu bangi abaali bazze okwerabira ku bigenda okubaawo. Abantu bangi okuva mu nsi ez’Obukristaayo abajja okujulira nga balaba ssaddaaka eno enkulu esoose mu byafaayo mu lutalo olw&pos;okulwanirira eddembe ly&pos;okusinza. EE 68.4

Ng&pos;asabiddwa ayogere ku kusalawo kwe okusembayo, Huss naagaana okwenenya ebigambo bye, era, ng&pos;amaaso ge agasimbye kabaka eyali asobeddwa olw&pos;okunyooma ekigambo kye, ky’ava ayogera nti: “Nasalawo okujja mu lukiiko luno nga sikakiddwa, olw’ekigambo kya kabaka atudde wano n’obukuumi obwansubizibwa.” Kabaka Sigismund n’amyuka mu maaso ng&pos;alaba abantu bonna amaaso bagamusimbye. EE 68.5

Omusango ne gusalibwa, naatandika okuswazibwa wakati mu nkuyanja y’abantu. Abalabirizi ne bamwambaza ebyambalo by&pos;abasasedooti, era yenna ng’ali ng&pos;omusasedooti, kyava ayogera nti: “Mukama waff&pos;e Yesu Kristo yayambazibwa n’ekyambalo ekyeru, nga balinga abamuvuma, Kerode bwe yalagira atwalibwe eri Piraato.” - Ibid., vol. 2 p. 86. Nawalirizibwa yenenye enjigiriza ye nate, naye naddamu nga bw’atunuulidde abantu nti: “Eggulu linantunuulira litya? Naatunula ntya ku bantu enkuyanja bc nnabuulira enjiri eyamazima? Nedda; nzisaamu nnyo ekitiibwa obulokozi bwabwe okusinga omubiri gwange guno kaakano ogulundiridde okufa.” Abalabirizi ne bamwabulako ebyambalo kimu ku kimu, nga buli omu EE 68.6

bw’amukolimira n’okumuduulira. N’ekyasembayo kwe “kumuttikkira ku mutwe gwe engule ekoleddwa mu lupapula eyasiigibwako ebifaananyi bya balubaale ebitiisa era nga kuwandiikiddwako ekigambo ekirabika obulungi ekitegeeza nti: ‘Ssabawakanyi.’ Huss naddamu mu ssanyu nti, ‘nnaayambala engule eno ey’obuswavu ku lulwo, ai ggwe Yesu eyayambala engule eyaggwa ku Iwange.’” EE 69.1

Yenna ng’amaze okuteekebwateekwa obulungi, “abalabirizi b’e Luumi kwekugamba nti: ‘Kaakano tuteeka omwoyo gwo eri Setaani.’ Naye n’addamu nga bwasitudde amaaso ge okutunuulira eggulu nti: ‘Nange nteeka omwoyo mu mikono gyo, ai Yesu, Ggwe eyannunula.’” - Wylie, b. 3, ch. 7. EE 69.2

Awo naweebwayo mu mikono egy’abobuyinza naatwalibwa mu kifo aw’okumuttira. Enkuyanja y’abantu n’egoberera, abaserikale abambalidde ebyokulwanyisa, abasasedooti n’abalabirizi nga bambadde ebyambalo byabwe eby’omuwendo awamu n’abatuuze b’omukibuga Konsitansi. Bwe yamala okusibibwa ku muti, nga n’omuliro guteekeddwateekeddwa bulungi, ne baddamu okuwaliriza omujulizi ono yeegaane ensobi ze awonye obulamu bwe. “N’ababuuza nti nsobi ki ze mba neenenya?” Mmanyi nga sirina nsobi. Mpita Katonda okuba omujulirwa wange nga byonna bye nnawandiika ne bye nnabuuliranga, nnabikola olw’okulokola emyoyo okuva mu kibi ne mu kufa okw’emirembe n’emirembe; nabwekityo, nnyweza ebigambo byange bye nnawandiika ne bye nnabuuliranga n’omusaayi gwange okuba nga byamazima.” - Ibid., b. 3, ch. 7 EE 69.3

Omuliro bwe gwakoleezebwa, naatandika okuyimba, “Yesu, Omwana wa Dawudi onsaasire,” n’agenda mu maaso ng’ayimba okutuusa eddoboozi lye lwe lyasirikira mu muliro obutaddamu kuwulirwa nate. N’abalabe be ne batya olw’obuvumu bwe yalaga. Omu ku bagoberezi ba papa kayingo yayogera ku kuttibwa kwa Huss ne Jerome naye eyattibwa oluwannyumako nti: “Bombi baalaga obuvumu mu kiseera kyabwe ekisembayo eky’okufa. Beteekerateekera omuliro nga balinga abagenda ku mbaga. Tebakaaba Iwa bulumi. Omuliro bwe gwakoleezebwa ne batandika okuyimba ennyimba ezitendereza, era obulumi bw’omuliro tebwabalobera kuyimba.” Ibid., b. 3, 7. EE 69.4

Omubiri gwa Huss nga gusanyiziddwawo omuliro, ewu awamu n’ettaka kwe lyali ne biyolebwawo ne bisuulibwa mu mugga Rayini, ne bikulukusibwa okutuuka mu gayanja. Abamuyigganya ne balowooza nti olwo baggyewo amazima geyabuuliranga. Tebakimanya nti ewu eryakulukusibwa okutwalibwa mu nnyanja lyali nsigo ezasimbibwa ne zisasaanira amawanga gonna ag’omu nsi; nga ne munsi ezaali tezinnamanyibwa mu kiseera ekyo, ensigo zaali zaakubala olw’okujulira amazima. Eddoboozi eryayogerera mu kisenge omwatuula olukiiko lw’e Konstansi lyasisimula amaloboozi amalala mangi agaali ag’okuwulirwa okuyita mu mirembe egirijja. Huss yali takyaliwo naye ng’amazima ge yafiirira tegayinza kusaanawo. Era abantu bangi ne balabira ku ye olw’okukkiriza kwe n’obwesigwa bye yalaga ne bayimirira nga banywevu ku Iw’amazima, newakubadde mu kiseera eky’okunyigirizibwa n’okuttibwa. Ekirala, okuttibwa kwa Huss kwayoleka obunnanfuusi n’obutemu ebyali mu Luumi. Kyokka ng’abalabe ab’ekigambo eky’amazima tebakimanyi nti kye bakola baali mu kusaasaanya amazima bo ge baagala okuzikiriza. EE 69.5

Nate omuntu omulala yali ateekebwateekebwa okuttibwa e Konstansi. Omusaayi gw’omujulizi omulala nagwo guyiibwe ku Iw’amazima. Jerome ng’amaze okusiibula EE 69.6

Huss bwe yali agenda mu lukiiko gye yayitibwa, naamugumya ng’agamba nti, bw’anatuuka mu buzibu bwonna, yali wakujja amuyambe. Era bwe yawulira nti Huss asibiddwa mukkomera, musajja wattu naasitukirawo mangu okugenda okumuyamba nga bwe yamusuubiza. Naagenda nga talina bbaluwa emuwa bukuumi, wadde okubaako amuwerekera okutuuka e Konstansi. Yakimanyirawo nti yali Yesudde yekka mu buzibu amangu ddala nga yakatuuka mu kibuga, era nga talaba nangeri yonna mwayinza kuyambiramu Huss. Kyava abulawo okuva mu kibuga, naye naawambibwa abaserikale ng’ali mu lugendo Iwe okuddayo eka, naaleetebwa ng’asibiddwa mu njegere wakati mu baserikale abawerako abaali bamukuuma. Ng’aleeteddwa mu lukiiko yewozeeko omulundi gwe ogusooka, abantu ne bogerera wamu mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Ayokebwe! Ayokebwe!” - Bonnechose, voI. 1, p. 234. Naasuulibwa mukkomera ery’omuttaka, ng’asibiddwa mu njegere obutasobola kwekyusa ekyamuleetera okubonabona ennyo, so ng’alya migaati na mazzi. Oluwannyuma nga wayiseewo emyezi si mingi naafuna obulwadde obwabulako katono okumutta olw’engeri ey’obukambwe gye yasibwamu, ne batya nti ayinza okubabulako, kwe kuddiriza ku ngeri ey’obukambwe gye baamuyisangamu, newakubadde nga yasigala mukkomera okumala omwaka mulamba. EE 70.1

Papa teyalaba kalungi konna ke yafuna mu kuttibwa kwa Huss nga bwe yali asuubira. Abantu baanyiigira olukiiko bwe lwanyooma ebbaluwa ya papa ewa obukuumi, olukiiko ne lunoonya engeri enyangu ey’okuwalirizamu Jerome oba nga kiyinzika yegaane byayigiriza mu kifo ky’okumwokya n’omuliro. Naaleetebwa mu lukiiko, naaweebwa omukisa gw’okwegaana, oba si bwekiri attibwe ng’ayokebwa n’omuliro ku muti. Singa yattibwa mu kiseera nga yakakwatibwa yandibadde akoleddwa eby&pos;ekisa bw’ogerageranya okubonabona okwekitalo kwe yabonaabona; naye kaakano ng’amaze okunafuyizibwa n’obulwadde, n’engeri gye yakoozebwanga mukkomera gye yasibirirwa, awamu n’okwawukanyizibwa ku mikwano gye n&pos;okusaalirwa olw’engeri Huss gye yattibwamu, Jerome nawangulukuka, nakkiriza okugondera olukiiko. Naasuubiza okuba omuwulize eri okukkiriza kw’Ekereziya, era naasemba ekikolwa ky’olukiiko mu kuvumirira enjigiriza za Wycliffe ne Huss, ng’ojjeko “amazima amatukuvu” ge baali bayigiriza. - Ibid., vol. 2, p. 141. EE 70.2

Mu ngeri eno Jerome naawona okufa bwe yakakkanya eddoboozi ery’okutegeera kwe. Naye yayinza okulaba byonna bye yakola bwe yali eyo mukkomera obwomu. Yafumiitiriza ku buvumu bwa Huss awamu n’obwesigwabwe nabigerageranya n’engeri gye yegaanyemu amazima. Naalowooza ku Muyigiriza omukulu oyo gwe yeyama okuweereza, era eyagumira obulumi bw’omusalaba ku lulwe. Bwe yali taneegaana yawuliranga emirembe mu mutima, newakubadde nga yabonaabonanga, olw’okulaba ekisa mu maaso ga Katonda; naye kaakano ng’obuswavu n’okubuusabuusa bimunyigiriza mu mwoyo gwe. Era naakimanya nti alina okwenenya emirundi emirala mingi asobole okufuna emirembe ne Luumi. Nga n’omugendo gwakutte gumutwala mu kwegaana mazima. Neyeddamu: Sseyegaane Mukama wange olw&pos;okubonaabona kuno okw’akaseera obuseera. EE 70.3

Nakomezebwawo nate mu lukiiko okwewozaako kubanga teyamatiza balamuzi na mpoza ye. Beeyongera okulumwa ennyonta ey’okwagala okuyiwa omusaayi bwe baawunya ku musaayi gwa Huss. Era nga okuggyako Jerome yegaanyi amazima EE 70.4

gaayigiriza, Iwe yandiyinzizza okuwonya obulamu bwe. Naye yali amaliridde okunywerera mu kukkiriza naye agoberere muganda we mu kuttibwa ng’omujulizi ng’ayokebwa n’omuliro. EE 71.1

Neyegaana okwenenya kwe yasooka okukola, nga n’okutya tatya kufa kyava asaba aweebwe omukisa yewozeeko. Naye abalabirizi b’e Luumi bwe baatya ebigambo bye, ne bamuwaliriza akkirize bukkiriza oba yegaane ebimwogerwako. Jerome ne yejuumuula olw&pos;ettima n’obutali bwenkanya ebyeyolekera mu kuwozesebwa kwe. “Munnemesezza okwogera okumala ennaku bisatu mu ana nga nsibiddwa mukkomera ery’entiisa, wakati mu mpitambi, mu bivundu n’okuwunya okutayogerekeka, nga siweebwa bye neetaaga; kaakano mundeese mpulire abalabe EE 71.2

bange bye nnumiriza, naye mmwe temwagala kumpuliriza Bwe muba bamagezi EE 71.3

so ng’ate mmwe mukutte omusana gw’ensi, mwegendereze obutaba na kyekuubiira. Nze ndi muntu buntu, era obulamu bwange tebulina na kyebugasa, era bwembasaba obutasala musango mu butali bwenkanya, nnyamba mmwe so si nze,” bwatyo bwe yayogera. - Ibid., vol. 2, pp. 146,147. EE 71.4

Bwebatyo ne bamukkiriza yewozeeko. Jerome naafukamira mu maaso ga balamuzi, naasaba Omwoyo wa Katonda afuge ebirowoozo bye n’ebigambo bye, aleme kwogera byawukana kuva ku mazima oba ebyo ebitasaana eri Omuyigiriza omukulu. Ekyawandiikibwa eky’okusuubiza kwa Katonda ne kituukirira mu matu ge ku lunaku olwo nti: “Era mulitwalibwa eri abamasaza n’eri bakabaka okubalanga nze... Naye bwe banaabawangayo, temweralikiriranga nti ‘Tunaagamba tutya?’ Nti ‘Tunaayogera ki?’ Kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera. Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo wa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe.” - Matayo 10: 18-20. EE 71.5

Ebigambo bya Jerome byawuniikiriza era n&pos;abalabe be. Yali asibiddwa mukkomera okumala omwaka mulamba, nga talaba wadde okubaako kyasoma, mu bulumi obwekitalo n’okutya. Naye ebigambo bye nga bitegerekeka bulungi era nga byamaanyi okufaanana n&pos;abadde alina eddembe ly’okuyiga buli lunaku. Yalaga abalabe be olukalala lw’abatukuvu abazze nga battibwa olw’abalamuzi ababadde batali beenkanya mu kubasarira emisango. Nga mu buli mulembe, wabaddewo abanoonya okuyimusa abantu b’omu kiseera ekyo, naye ne banenyezebwanga n’okuboolebwa, naye ne bafuna ekitiibwa oluwannyuma Iwabwe. Nga ne Kristo yasalirwa omusango ng’omumenyi w’amateeka n’abalamuzi abatali batuukirivu. EE 71.6

Jerome yali akkirizza mu kusalira Huss omusango bwe yakkiriza nti yakola nsobi okuyigiriza ebigambo bye; naye kaakano ne yejjusa okulumiriza omuntu atalina musango era eyattibwa nga mutukuvu. “Namumanya okuva mu buto bwe. Yali muntu mulungi, omwesimbu era omutukuvu, naye naasingisibwa omusango atalina musango.... Nange ndi mweteefuteefu okufa. Sigenda kwekyusa olw’ebibonyobonyo ebintegekeddwa abalabe bange n’abajulizi ab’obulimba, abaliyimirira mu maaso ga Katonda omunene atayinza kukisibwa kigambo kyonna.” - Bonnechose, vol. 2 p. 151. EE 71.7

Bwe yali yenenya olw’okwegaana amazima, Jerome yagamba nti: “Mu bibi bye nnali nkoze okuva mu buto bwange, tewali kisinga kuzitoowereza birowoozo byange ne nfuna muli okwejjusa okufaanana ne kyenkoze mu kifo kino bwe nnakakasa ensala y’omusango eyali ey’obulabe ku Wycliffe ne John Huss omujulizi ow’amazima, EE 71.8

omuyigiriza wange era mukwano gwange. Kyamazima! Nejjusa mu buswavu kubanga nnawumirira enjigiriza yabwe olw’okutya okufa. Kyenva nnegayirira Katonda asonyiwe okwonoona kwange kwonna nnaddala ekibi kino ekyobuswavu.” Nga bwasonze mu bulamuzi be, kwe kubagamba mu ddoboozi eryamaanyi nli: “Mwasingisa omusango Wycliffe ne Huss, si Iwakubanga baayonoona enjigiriza y’ekkanisa, naye Iwakubanga baali tebakkiririza mu bibi ebiswaza ebikolebwa bannaddiini, omuli: okweraga, amalala, n’agayisa gaabwe agabi. Ebyo bye bibi bye baavumiriranga nange bye siyinza kugaana. Bwentyo bwe ndowooza era bwe njatula.” EE 72.1

Yali akyayogera abalabirizi ne bamwambalira, bonna nga bajjude okutya era na bakankana ne bawoggana nga bwe bagamba nti: “Bujulizi ki obusinga wano bwe tulinda? Twerabiddeko n&pos;amaaso gaffe obukakanyavu bwe.” EE 72.2

Nga yenna tatidde Jerome kwekubabuuza nti ate kiki? Mulowooza nti ntya okufa? Mwakansibira omwaka mulamba mukkomera ery&pos;omuttaka, omuli enzikiza, eritiisa okusinga n&pos;okufa. Mumpisizza ng’omuntu omuboole era omukafiiri, ne nnyama y’omubiri gwange kumpi envundidde kku magumba gange nga nkyali mulamu; naye ssemulugunyangako, kubanga bw&pos;okungubagira bino oba olwanirira mubiri; naye okujjako okwewunya obwewunya bwe muyisaamu omukristaayo mu bukambwe butyo.”-Ibid., vol. 2, pp. 151-153. EE 72.3

Ne bajjula ensasagge, kwe kutwala Jerome mukkomera mu bwangu. So ng’ate waliwo abaaliwo nga yewozaako ne bakwatibwako ebigambo bye era ne baagala okuwonya obulamu bwe. Abakungu mu kkanisa ne baamukyaliranga mukkomera gye yali ne bamwegayirira agondere olukiiko. Ne bamusuubiza bingi byakitalo bw&pos;anakkiriza okukomya empaka ne Luumi. Naye naasigala nga munywevu okufaanana n&pos;Omuyigiriza omukulu bwe yasuubizibwa okuweebwa ebitiibwa by&pos;ensi eno. EE 72.4

“Munkakase okuva mu Byawandiikibwa Ebitukuvu we ndi omukyamu, nange nja kwejjussa.” Bwatyo bwe yabagamba. EE 72.5

“Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byennyonnyola byokka, era ani ayinza okubitegeera okuggyako ng’ekkanisa ebinnyonnyodde?” Omu ku baali bamukema bwe yewuunya. EE 72.6

Jerome n&pos;amuddamu nti, “Obulombolombo bw&pos;abantu bwe businga okukkiriza kw’enjiri ya Mukama waffe Omulokozi? Pawulo yagumya be yawandiikiranga nti baleme kuwuliriza bulombolombo bw’abantu naye nti ‘Banoonye mu Byawandiikibwa.*” EE 72.7

“Ggwe waggwa!” Bwe yamuddamu, “era nnejjusa lwaki mmazze ekiseera kino kyonna nga nkwegayirira, era ndaba nga Setaani yakuwaga.” - Wylie, b. 3, ch. 10. EE 72.8

Naasalirwa omusango oluwannyuma Iw’ekiseera si kiwanvu. Naaleetebwa mu kifo wennyini Huss we yattirwa. Yagendanga ayimba, n’amaaso ge nga gajjudde essanyu n’emirembe. Ebirowoozo bye ng’abitadde ku Kristo, era nga tawulira bulumi bwa kufa. Omussi bwe yali anaatera okukoleeza omuliro, naamudda emabega we, naye Jerome n&pos;amuyitayo nti “Jjangu wano mu maaso gange ogukoleeze nga ndaba. Singa nabadde ntya nandibadde siri wano.” EE 72.9

Ebigambo bye ebyasembayo wakati mu muliro kwali kusaba. “Mukama, Kitange Omuyinza w’ebintu byonna, onsasire nze, sangula ebyonoono byange byonna, kubanga omannyidde ddala nga bwe mbadde njagalamu amazima go.” - EE 72.10

Bonnechose, vol. 2, p. 168. Eddoboozi lye ne libula naye ng’emimwa gye giri mu kusaba. Ng’amaze okwokebwa omuliro, ewu lye n’ettaka ne biyolebwa, okufaanana n’ebya Huss ne bisuulibwa mu mugga Rayini. EE 73.1

Bwebatyo abasituzi b’omumuli abeesigwa aba Katonda ne bazikirira. Naye omusana ogwali mu mazima ge baabuulira - omusana ogw’ekyokulabirako eky’obuzira - tegwayinza kuzikizibwa. Abantu nga tebayinza kuzzaayo nnyuma njuba mu lugendo Iwayo okuziyiza olunaku okukya ensi we yali etuuse. EE 73.2

Okuttibwa kwa Huss kwasitula obusungu n’ekiruyi mu Bohemiya. Anti ensi yonna yamanya Huss bwe yagwa mu mikono gy’abasasedooti n’obunnanfuusi bwa kabaka. Era naalangirirwa nga omuyigiriza w’amazima omwesigwa, n’olukiiko olwamusalira omusango okuttibwa ne luvunaanibwa ogw’obutemu. Enjigiriza ze ne zaagalibwa nnyo abantu n’okusingako mu kusooka. Papa yali amaze okulagira ne bookya ebiwandiiko bya Wycliffe. Naye ebyo ebyawonawo ne bikukunulibwayo ne bikwanaganyizibwa ne Bayibuli oba n’ebitundu byayo ng’abantu bwe baayinza okugifuna, era bangi ne bazzibwa buggya mu kukkiriza. EE 73.3

Abatta Huss tebatunula butunuzi nga balaba bye yattirwa nga byeyongera mu maaso. Papa ng’ali ne kabaka ne beegatta okuzikiriza omugendo ogwali gusituseewo, n’amaggye ga Sigismund ne gaddusibwa ne gatwalibwa mu Bohemiya. EE 73.4

Naye ne wasituka omununuzi. Ziska yaziba amaaso amangu ddala ng’olutalo Iwakasitukawo, so ng&pos;ate yali mukulembeze wamaanyi mu kiseera kye. Nga yeesiga Katonda okubalwanirira n’olwekigendererwa kyabwe ekyobwesimbu, naakulembera abantu ne balwanyisa amaggye mu buvumu. Kabaka naayongerangayo buli kiseera amaggye amalala okuzindanga Bohemiya naye ne balemesebwa bubi nnyo. Abagoberezi ba Huss nga tebatya kufa, era nga tewali kiyinza kubaziyiza. Omuzira Ziska n&pos;afa oluwannyuma nga wayiseewo emyaka; naye naasikirwa Procopius eyali omuzira okumufaanana era eyali omukulembeze owamaanyi. EE 73.5

Abalabe ba Bohemiya bwe baawulira nti omulwanyi omuzibe w’amaaso nti yafa, ne bagulaba ng’omukisa okukomyawo bye baafiirwa. Papa naalangirira olutalo Iw&pos;eddiini eri abagoberezi ba Huss, era amaggye mangi ne gaweerezebwa mu Bohemiya, naye nga bakubwa bubi nnyo. N’alangirira nate olutalo olulala. Ne bakuņņaanya abasajja, esente, n&pos;ebyokulwanyisa okwetoloola Bulaaya yenna na buli nsi papa gye yali afuga. Abantu bangi ne bewandiisa ewa papa, era n’abakakasa nti kaakano enkomerero y’Abahusi etuuse. Eggye ne liyingira mu Bohemiya nga yekakasa nga bw’atuuse ku buwanguzi. Abantu ne beegatta okumulwanyisa. Amaggye gombi ne galwanagana okutuusa omugga Iwe gwabaawula. “Bakalintalo mu kifo ky’okusala omugga, so ng’ate baali ggye ly’amaanyi, bajje bazikirize Abahusi be baali bazze okutta, badda mu kutunuulira batunuulire.” - Wylie, b. 3, ch. 17. EE 73.6

Ne wabaawo ekyentiisa ekyagwa mu ggye eryajja okulwana. Badduka ne basaasaana mangu nnyo nga tewali na kubwatuka kwonna, nga walinga awabaddewo amaanyi agatalabika agakikoze. Bangi ne battibwa amaggye g’Ahusi, ne babagobera ddala era ne babasuuza n’omunyago nga mukifo ky’okwavuwala ate bagaggawala bugaggawazi. EE 73.7

Papa omulala bwe yalinnya ku bufuzi, naye naalangirira olutalo Iw’eddiini. Abantu n’ebyetaagibwa ne bikuņņaanyizibwa okuva mu Bulaaya yenna nga mu kusooka. EE 73.8

Era ne basuubizibwa bingi, abo bonna abaneetaba mu lutalo luno oluzibu ddala. Ne basonyiyibwa ebibi byabwe byonna. Na buli anaafiira mu lutalo naasuubizibwa empeera ennene mu ggulu, era na buli anaawona wakuweebwa ebitiibwa n&pos;obugagga. Amaggye ne gakuņņaanyizibwa, ne basala ensalo nga batambuza bigere ne bayingira mu Bohemiya. Ku luno Abahusi ne badda ennyuma, amaggye ne gayingira ne gasensera mu nda mu nsi yaabwe, ne balowooza nti bawangudde olutalo. Oluwannyuma amaggye ga Procopius ne gakomawo nate, ne gakyukira omulabe okumukuba. Bakalintalo nga bamaze okuzuula ensobi yaabwe, kuluno ne baasigala mu nsiisira zaabwe ne balindirira ekirangiriro. Amaggye g’Abahusi nga gajja gasembera ne bajjula okutya, newakubadde nga baali tebanabalaba nako. Abalangira, abaduumizi n’abaserikale ababulijjo, ne basuulawo ebyokulwanyisa byabwe, ne badduka okubuna emiwabo. Bwatyo omukiise wa papa eyali omukulu mu lutalo, naalemererwa okukuņņaanya eggye lye nate. Naye newakubadde nga yagezaako nnyo, y’omu ku badduka ekibambulira. Olutalo ne luwangulwa, n’omunyago ne gutwalibwa abawanguzi. EE 74.1

Bwerityo eggye eddene eryatendekebwa okulwana ne liweebwa n’ebyokulwanyisa okuva mu mawanga amanene, bwe lyalemererwa omulundi ogwookubiri okuwangula abantu abatono ate okuva mu ggwanga erinafu ddala. Amaanyi ga Katonda mazima geyolekera wano. Amaggye ga papa gaakubwa n&pos;omukono ogutategerekeka. Oyo eyawangula eggye lya Falaawo n’aliwangulira mu Nnyanja Emyufu, oyo eggye ly’Abamidiyani gwe lyadduka okuyita mu Gidiyoni, era n’akakanya amalala ga Bwasuli n’abasajja ebikumi bisatu mu kiro kimu, kaakano yali asitudde omukono gwe okukakanya amalala ga papa. “Awatali kya kutya, we batiira ennyo: Kubanga Katonda asaasaanyizza amagumba g’oyo akukolakoolusiisira.”Zabbuli 53:5. EE 74.2

Ababaka ba papa ne badda mu kuteesa nga baweddemu essuubi ery’okuwangula nga bakozesa maanyi. Ne wabaawo okukaanya, okusinga Iwe basuubiza Ababohemiya eddembe ly’okwerowooleza ate ne babalyamu olukwe nga baweebwayo mu mikono gya Luumi. Ababohemiya ne bawa obukwakulizo buna walyoke wabeewo okuteesa ne Luumi: eddembe ly’okubuulirira mu Bayibuli; abantu bonna mu kkanisa okuba n’omugabo gwe gumu mu kusembera ku mugaati ne nvinnyo, awamu n’okusinza mu lulimi oluzaaliranwa; abakulembeze b’eddiini okuva mu bifo n&pos;obuyinza obw’ensi; era nga wabaddewo azizza omusango, wabeewo obwenkanya mu kusala omusango eri bannaddiini n’abantu ababulijjo. Obwapaapa ne bukkiriza nti ensonga ennya eziweereddwa Abahusi zaakukirizibwa, naye, obuyinza obuzinnyonnyola, kwe kugamba, okusalawo kuli mu lukiiko Iwa papa ne kabaka.” Wylie, b. 3, ch. 18. EE 74.3

Endagaano n’eteekebwako emikono, bwetyo Luumi n&pos;efuna ky’ebadde eyagala, kye yalemererwa okufuna okuyita mu kulwana naye nga tekyogedde; kubanga, okugamba nti ye yali eyokunnyonnyola amateeka ago nga bw’ekola ku Bayibuli, nga yakuganyoola okutuukana ne kyeyagala. EE 74.4

Ekibiina ky’abantu bangi ne balaba nga endagaano ebaliddemu olukwe, era ne batagikkiriza. Ne wabaawo enjawukana n’okwekutulamu bokka na bokka. Ne balwanagana n’okuyiwa omusaayi, era bwatyo Procopius n’afiiira mu kulwanagana okwo, eddembe ly’Ababohemiya bwerityo ne lisaanawo. EE 74.5

Sigismund eyalyamu olukwe Huss ne Jerome, bwatyo naafuuka kabaka wa EE 74.6

Bohemiya nayo, era nga tafuddeyo ku kirayiro kyeyalayira okukuuma obuyinza bw’Ababotiemiya, yanyweza bunyweza bwapaapa. Kyokka teyalina kalungi ka nnyo ke yafuna Luumi. Kubanga mu myaka amakumi abiiri ag’obufuzi bwe, mwali mujuuddemu ntalo na bizibu. Amaggye ge nga gaweddewo n’ebyobugagga bwe nga bisaasaanyiziddwa olw’entalo ezitaggwa era omutali kalungi; n’afa nga yakatugako omwaka gumu, obwakabaka n’abuleka mu ntalo ezoomunda, n’abuleka ng’abuswazizza. EE 75.1

Obuvuyo, okulwana, n’okuyiwa omusaayi ne bibuna ensi. Amaggye amalala nago ne gazinda Bohemiya, ensi ne yeeyongera okwekutulakutulamu. Abaalemera ku mazima g’enjiri ne battibwa wakati mu kuyigganyizibwa okungi. EE 75.2

Okufaanana ne muganda waabwe, bwe baayingira mu ndagaano ne Luumi, baasembeza ensobi ze, era n’abo abaalemera ku nzikiriza yaabwe ey’edda ne beekolamu ekkanisa ey’enjawulo, ne beetuuma n’erinnya erya “United Brethren.” Ne kye baakola ne kibaviiramu okuvumibwa n&pos;okukolimirwa okuva mu bantu ab’engeri ez’enjawulo. Naye ne basigala nga banywevu. Nga basinza Katonda waabwe nga bali bumu newakubadde nga bawalirizibwa okudukira mu bibira ne mu mpuku gye baafuna obubudamo. EE 75.3

Newakubadde nga baaweerezanga ababaka mu nsi ez’enjawulo, baakimanya nti baali beesudde mu bitundu ebitali bimu era nga si be bangi “abaatula okukkiriza okwamazima, so ng’ate bayiggibwa; ne bateeka ekkanisa yaabwe wakati mu nsozi za Alps, ekkanisa eyimiriddewo ku Byawandiikibwa, era ewakanya obusamize bwa Luumi.”- Wylie, b. 3, ch. 19. EE 75.4

Ababohemiya ne bayimirira nga banywevu eri enjiri, ne bagumiikiriza okuyita mu kizikiza eky’okuyigganyizibwa, nga batunuulira okulaba emyambya bwenesala okufaanana n’abatunuulira emunnyeennye ey’enkya. “Omugabo gwabwe gwatuukira mu biro eby’okulaba ennaku...., ne bajjukira ebigambo ebyayogerwa Huss era ne Jerome n’abiddamu, nga ekiseera kiriyitawo, era olunaku lulijya. Bino ng’abigambibwa bagoberezi ba Huss, nga ne Yusuufu bwe yabigamba ebika bya Yisiraeri bwe baali mu busibe nti: ‘Nfa: naye Katonda talirema kubajuira n&pos;okubajya mu nsi eno.’” - Ibid., b. 3, ch. 19. “Ekyasa ekyekkuni n’ebitaano we kyagwerako, amakanisa g’abolugamba geyongera okusitukawo newakubadde mu maanyi nga matono. Era ne beyongera okufuna ku sannyu naye nga bwe bateganyizibwa. Amakanisa gaabwe ne awera nga kikumi mu ataano okwetoloola Bohemiya ne Moravia.” - Ezra Hall Gillet, Life and Times of Huss, vol. 2, p. 570. Lyali sannyu lingi eri abaasigalawo mu kkanisa, nga bawonye okwokebwa n’omuliro awamu n’ekitala, kubanga baasobola okulaba ku nkya ennungi ey’olunaku olulala nga Huss bwe yabalagula.” - Wylie, b. 3, ch. 19. EE 75.5