Essuubi Eritaggwaawo
37 — Ebyawandiikibwa Bye Bikuuma Okuban’eddembe
“Tudde eri amateeka n’obujulirwa: oba nga teboogera ng’ekigambo ekyo bwe kiri, mazima obudde tebugenda kubakeerera.” Isaaya 8:20. Abantu ba Katonda basongerwa ku Byawandiikibwa nga ye mukuumi waabwe eri amaanyi g’abayigiriza b’obulimba n’eri okubuzaabuzibwa kw’amaanyi g’emyoyo egy’omukizikiza. Setaani akozesa buli ngeri yonna esoboka okuziyiza abantu okwefunira amagezi okuva mu Bayibuli; kubanga akimanyi nti Bayibuli ky’eyogera kibikkula obulimba bwe. Buli lwe wabaawo okuzza obuggya omulimu gwa Katonda omulangira w’obubi EE 380.4
azuukusibwa okweyongera okukola; era kakaano ali mu kukuŋŋaanya maanyi ge okulwanyisa Kristo n’abagoberezi be mu lutalo Iwe olusembayo. Kaakano anaatera okuleeta okubuzaabuza okusembayo. Omulabe wa Kristo waakukola ebyewuunyo bingi nga tulaba n’amaaso gaffe. Ebyamagero bye eby’obulimba byakwefaananyiriza ng’ebituufu era nga kizibu okubyawula wabula nga okozesezza Ebyawandiikibwa. Buli kigambo kye boogera na buli kyamagero ekikolebwa bigwanira kukeberwa na bujulirwa bwabwe. EE 381.1
Abo bonna abafuba okugondera ebiragiro bya Katonda byonna bajja kufuna okuwakanyizibwa n’okusekererwa. Bayinza kuyimirirawo Iwa Katonda yekka. Kibagwanira kutegeera ebyo Katonda by’ayagala nga bwe biri mu Byawandiikibwa basobole okuyita mu kugezesebwa okubalindiridde. Bwe banaafuna endowooza entuffu ku mpisa ze, ku gavumenti ye n’e ku bigendererwa bye era ne beeyisa nga bwe biri Iwe banaayinza okumussaamu ekitiibwa. Tewali n’omu aliyinza okuyimirirawo mu lutalo olunene olusembayo okujjako abo bokka abanywezezza ebirowoozo byabwe n’amazima agali mu Bayibuli. Buli omu waakufuna ekibuuzo: Obuwulize bwange mbuteeke eri Katonda oba eri abantu? Eno ye ssaawa ey’okusalawo. Ddala ebigere byaffe tubisimbye ku Iwazi olw’ekigambo kya Katonda ekitakyukakyuka? Ddala tweteeseteese okuyimirirawo nga tunywedde okulwanirira amateeka ga Katonda n’okukkiriza kwa Yesu? EE 381.2
Omulokozi nga tannakomererwa ku musaalaba yategeeza abayigirizwa be nga bweyali agenda okuttibwa, era azuukire okuva mu ntaana, ne bamalayika baaliwo okunyweza ebigambo bye ku mitima ne ku birowoozo byabwe. Kyokka abatume baali batunuulira kulokolebwa nga bajjibwa mu bufuge bwa Luumi, nga tebayinza na kukkiriza nti oyo gwe baalinamu essuubi lyabwe ayinza okuttibwa mu ngeri eswaza bw’etyo. Ebigambo bye baalina okujjukina byabava mu bwongo, era ekiseera bwe kyatuuka eky’okugezesebwa ne kibasanga nga tebeteeseteese. Baggwaamu essuubi olw’okufa kwa Kristo nga kiringa nti teyabalabula. Era bw’ekityo bwekiri n’eri Ife. Obunnabbi butubikkulidde ebyokubaawo mu maaso nga n’ebigambo bya Kristo bwe byabikkulira abatume ebyokumubaako. Obunnabbi butulaze bulungi ebyokubaawo ku nkomerero y’ekiseera eky’ekisa n’okweteekerateekera ekiseera eky’okubonaabona. Kyokka abantu bangi tebaagadde kutegeera mazima gano amakulu nga kiringa agatababikkuliddwa. Ne Setaani ali mu kutunuulira nkaliriza ayinze okubajjako buli kigambo kyonna ekiyinza okubageziwaza okufuna obulokozi, olwo ekiseera eky’okubonaabona kibasange nga tebeteeseteese. EE 381.3
Katonda bw’aweereza obubaka obukulu obw’okulabula eri abantu nga bulagibwa mu kifaananyi kya bamalayika ababuuka mu bbanga ery’eggulu, aba ayagala buli omu afune omukisa asse omwoyo ku bubaka obwo. Okubonerezebwa okw’entiisa okw’okutuuka ku abo abasinza ensolo n’ekifaananyi kyayo (Kubikkulirwa 14:9-11), kugwana okuleetera abantu bangi okuyiga ennyo obunnabbi basobole okumanya akabonero k’ensolo kye kategeeza, n’engeri gye bayinza okwewalamu okukafuna. Kyokka abantu bangi tebaagadde kuteekayo matu gaabwe okuwulira amazima wabula bakyukidde enfumo z’abantu. Omutume Pawulo bwe yalengera ebyokubaawo kyeyava agamba nti: “Kubanga ekiseera kijja, abantu Iwe baligaana okuwulira enjigiriza ey’amazima.” 2Timoseewo 4:3. Ekiseera ekyo kimaze okutuuka. Abantu tebaagala kuwulira mazima ga Bayibuli, kubanga galemesa okwegomba kw’omutima omwonoonefu ogwagala ensi; ne Setaani kyava abateerawo obulimba bwe baagala. EE 381.4
Wabula Katonda agenda kwesigalizaawo abantu ku nsi ab’okunyweza Bayibuli, era Bayibuli yokka, ng’etteeka ekkulu okupimirwa enjigiriza zonna, era omusingi gwa buli kudda buggya. Amagezi g’abantu abayivu, amagezi ga sayaansi, enjigiriza z’eddiini n’ebiteeso by’enkiiko z’ekkanisa, mu bungi bwabyo byonna so nga bikubagana empawa okufaanana n’ekkanisa mwe biva, eddoboozi ly’abasinga obungi - byonna ebyo oba ekimu ku byo, tebigwanidde kutwalibwa ng’obukakafu obukakasa oba obuwakanya ensonga yonna ey’okukkiriza. Nga tewannabaawo yenna akkiriza njigiriza yonna oba ekiragiro kyonna, kitugwanidde okusooka okumanya oba nga “Bw’atyo bw’ayogera Mukama” tulyoke tukiwagire. EE 382.1
Setaani afuba okugissa abantu ebirowoozo byabwe ku Katonda babiteeke ku bantu bannaabwe mu kifo kya Katonda. Abakulembera okutunuulira abalabirizi, abasumba, abayivu mu ddiini, okuba nti be babaluŋŋamya, mukifo ky’okunoonya mu Byawandiikibwa bamanye ku bwabwe obuvunaanyizibwa bwabwe. Kati olwo, bw’atuula ku birowoozo by’abakulembeze bano, ayinza okuwubya abantu bangi n’abakoza by’ayagala. EE 382.2
Kristo bwe yajja n’ayogera ebigambo eby’obulamu, abantu ba bulijjo baamuwuliriza n’essanyu; era bangi ku bakabona n’abafuzi abaamukkiriza. Naye bakabona abakulu n’abantu abaamaanyi mu ggwanga baasalawo okumuteekako emisango n’okugaana okuyigiriza kwe. Baagaana obujulirwa bwennyini obulaga obwa Masiya bwe,wadde nga baatabulwa engeri gye bayinza okumusingisamu emisango, era nga tebaayinza wabula okuwulira amaanyi g’obuyinza bwa Katonda mu bigambo bye ebyamagezi, kyokka ne basalawo okumukwatirwa obuggya, si kulwa nga bawalirizibwa okufuuka abayigirizwa be. Abalabe ba Yesu bano baali basajja abantu be baayigiriza okussaamu ekitiibwa okuva mu buto bwabwe, nga balina okuvuunamira obuyinza bwabwe okusinziira ku buwangwa. “Kisoboka kitya abakulembeze baffe okuba nga tebakkirizza Yesu?” nga bwe bebuuza. “Abayivu bano tebandimukkirizza singa abadde nga ye Masiya Kristo?” Abayigiriza bano be baavaako eggwanga ly’Abayudaaya okugaana Omulokozi waabwe. EE 382.3
Omwoyo ogwakoza bakabona n’abakulembeze bano gukyalabikira ne mu balala bangi leero abeeraga nga abalina okukkiriza okwamaanyi. Bagaanye okukebera mu bujulirwa by’Ebyawandiikibwa obulaga amazima ag’enjawulo agaliwo ku Iw’ekiseera kino. Beeraga nga bwe bali abangi, abagagga era nga bwe bamanyiddwa wonna, nga bwe banyooma abaliwo ku Iw’amazima nti tebawera, banaku era tebamanyiddwa, ate nga balina n’eddiini ebalaga nga bwe bali abenjawulo okuva ku nsi. EE 382.4
Kristo bwe yatunula ku biribaawo mu maaso eyo, yalaba nga obuyinza buno abawandiisi n’abafalisaayo bwe beeyagaliramu nga si bwakukoma Abayudaaya ne bwe banasaasaana. Yatunula okuyita mu bunnabbi n’alaba ng’abantu bagulumiza obuyinza bwabwe okufuga endowooza za bannaabwe: obuyinza obwafuukira ekkanisa ekikolimo okuyita mu mirembe gyonna. Engeri gye yanenyamu abawandiisi n’abafalisaayo, ne bwe yalabulamu abantu obutagobereranga bakulembeze abazibe b’amaaso, byawaandiikibwa okulabulanga ab’emirembe egirijja. EE 382.5
Ekkanisa y’e Luumi yalonda abasasedooti nga be balina bokka obuyinza okunnyonnyola Ebyawandiikibwa. Olw&pos;okubanga ababuulizi bokka be basobola okunnyonnyola ekigambo kya Katonda, bakyekuumira obutakiwa bantu. Era wadde nga okudda obuggya okwaliwo kwaleetera abantu bonna okufuna Ebyawandiikibwa, omwoyo ogwo gwegumu ogwali e Luumi gulemesa bangi mu kkanisa z’Abapulotesanti okwenoonyeza mu Bayibuli. Baayigirizibwa kutwala njigiriza ezo zokka ekkanisa z’emaze okunnyonnyola; era waliwo bangi abatagerezaako ddala kutwala njigiriza yonna, wadde nga etegeerekeka kyenkana ki mu Byawandiikibwa, bw’eba nga eyawukana n’ebyo bye bakkiriza oba ng’ekkanisa yaabwe bw’eyigiriza. EE 383.1
Kyo kituufu Bayibuli ejjuddemu okulabula kungi eri abayigiriza ab’obulimba, n’olwekyo bangi abaasalawo okuteeka obwesige bw’emyoyo gyabwe mu bannaddiini. Era waliwo nkumi na nkumi leero ku bayivu mu ddiini abatalinayo nsonga ndala yonna ekwata ku kukkiriza kwabwe okujjako eyabasomesebwa abakulembeze baabwe. Bayita ku kuyigiriza kw’Omulokozi kumpi nga tebakutaddeeko maaso, ne bateeka okukkiriza n’obwesige bwabwe bwonna mu bigambo by’abasumba. Naye abasumba tebasobya? Tuyinza tutya okubakwasa emyoyo gyafTe batuluŋŋamye wabula nga tutegedde okuyita mu kigambo kya Katonda nti balimu omusana? Abantu okulemwa okufuna embavu okuva mu kigaali ekikubiddwakubiddwa ensi kibaleetedde okutambulira mu bigere by’abayivu; era bwe balemereddwa okwenonyereza bo ku bwabwe, balabika ng’abatakyalina ssuubi abasibiddwa enjegere z’obulimba. Balaba nga amazima g’ekiseera kino galagibwa bulungi mu Bayibuli; ne bawulira n’amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu agali mu bigambo bino; kyokka ne bakkiriza okutwalibwa empaka z’abannaddiini okubajja awali omusana. Wadde ng’amagezi gaabwe n&pos;okutegeera kwabwe bifunye okuluŋŋamizibwa okulungi, emyoyo gino egyabuzaabuzibwa tegigezezaako kulowooza mu ngeri ndala okuva ku y’abasumba baabwe; olwo okusalawo kwabwe, ebibagasa eby’obulamu obutaggwaawo ne babifiirwa nga babiteeka mu mikono gy’abatakkiriza, abajjudde amalala n&pos;obuggya. EE 383.2
Setaani akola mu ngeri nnyingi okunywezaamu abawambe be ng’akozesa abantu. Abanyweza ng’abasibidde ku mikwano gyabwe abalina obulabe ku musaalaba gwa Kristo. Si nsonga oba mukwano gwa ngeri ki, oba bazadde, oba baana, oba bafumbo, oba mukwano bukwano, tewali njawulo; abalwanyisa amazima bakozesa amaanyi gaabwe gonna okufuga endowooza zaabwe, olwo emyoyo egiwambiddwa ne gibulwa amaanyi okwetaakkuluza bafune eddembe okugondera ebirowoozo byabwe. EE 383.3
Ekitiibwa kya Katonda awamu n’amazima tebiteŋŋana; era Bayibuli bw’eba mu mikono gyaffe kizibu okusinza Katonda mu bukyamu. Bangi balowooza nti si nsonga ki kyokkiriza, kasita obulamu bwo buba nga bwesimbu. Naye obulungi bubumbibwa kukkiriza. Omusana n’amazima bwe biba nga biri mu mikono gyaffe, kyokka ne tulagajjalira okukozesaamu omukisa gw’okuwulira obulungi oba okubiraba obulungi, kitegeeza nga ababigaanye; tuba tulonzeewo kizikiza mu kifo ky’omusana. EE 383.4
“Waliwo ekkubo omuntu ly’ayita eddungi, naye enkomerero yaalyo makubo ga kufa.” Engero 16:25. Obutamanya tebukuleetera kwekwasa olyoke okole ensobi oba oyonoone, ng’ate wabaddewo emikisa gyonna egy’okutegeereramu Katonda by’ayagala. Kuba ekifaananyi ng’omuntu atambula n’atuuka mu masaŋŋanzira omuli amakubo agawerako era nga waliwo n’ekipande ekiragirira buli limu gye liraga. Singa omuntu oyo asalawo okunyooma obukulu bw’ekipande, n’akwata ekkubo erimulabikidde obulungi, ayinza okuba nga ddala yekakasa, kyokka mazima taliyinza kutuuka gy’abadde agenda. EE 383.5
Katonda yatuwa ekigambo kye tuyinze okumanya obulungi bye kiyigiriza, era twetegeerere byatwetaaza. Omuwandiisi w’amateeka bwe yajja eri Yesu ng’amubuuza, “Nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Omulokozi yamujuliza mu Byawandiikibwa, ng’agamba nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?” Obutamanya tebugenda kusonyiyisa yadde omwana oba omuntu omukulu, wadde okubajjako omusango gw’okumenya amateeka ga Katonda; kubanga balina mu mikono gyabwe obuwandiike bw’amateeka n’ebiragiro awamu ne kyegagamba. Tekimala okuba nti olina ebigendererwa eby’okukola obulungi; era tekimala omuntu okukola ky’alowooza nti kye kituufli oba omusumba ky’amugambye nti kye kituufu. Omwoyo gwe gweguli mu katyabaga, era kimugwanira okwenoonyeza ye mwene okuva mu Byawandiikibwa. Si nsonga muli yeekakasa atya, si nsonga omusumba amwekakasa atya nti amanyi amazima, ebyo si gwe musingi gwe. Alina ekipande ekimulaga amakubo gonna mwalina okuyita okugenda mu ggulu, n’olwekyo tekimugwanira kuteebereza kintu kyonna. EE 384.1
Omulimu omukulu era ogusingayo eri omuntu yenna alowooza, gwe gw’okuyiga okuva mu Byawandiikibwa ategeere amazima kye gategeeza, era atambule ng’agoberera omusana era ategeeze ku balala okukola nga ye bw’akola. Kitugwanira buli lunaku okufuba okuyiga Ebyawandiikibwa, nga tufumiitiriza ku buli nsonga n’okugerageranya olunnyiriri ku lunnyiriri. Awamu n’okubeerwa kwa Katonda tujya kwetegeerera kubanga era ffe tugenda okweyanukulira mu maaso ga Katonda. EE 384.2
Abayivu babadde babuusabuusa amazima nga bwe galagibwa obulungi mu Bayibuli, era olw’okwerowooza nti balina amagezi agawaggulu, ne bayigiriza nti Bayibuli erimu amakulu amakusike agategeerwa mu mwoyo mwokka nga tetegeerekeka mu lulimi olwabulijjo. Abantu bano be bayigiriza ab’obulimba. Abo Kristo be yayogerako nti: “Si kyemuva mukyama nga temumanyi Ebyawandiikibwa newakubadde amaanyi ga Katonda?” Makko 12:24. Bayibuli egwana okunnyonnyolwa okusinziira ku makulu gaayo agategerekeka obulungi, okujjako nga ebadde ekozesezza akabonero oba ekifaananyi. Kristo yasuubiza nti: “Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno.” Yokaana 7:17. Singa abantu batwala Bayibuli nga bwesoma, singa tewaaliwo bayigiriza ab’obulimba okubuzaabuza ebirowoozo byabwe, omulimu munene ogwandikoleddwa ne gusanyusa ne bamalayika era ne guleeta nkumi na nkumi mu kisibo kya Kristo kaakano abali eyo nga babuungeetera mu bulimba. EE 384.3
Kitugwanira okuteeka amaanyi gaffe gonna ag’ebirowoozo ku kuyiga ebintu bye buziba ebya Katonda okuva mu Byawandiikibwa era tweyame okubitegeera nga bwe kisoboka mu bunafu bwaffe; kyokka tetwerabira nti obuwombeefu n’obuwulize bw’omwana gwe mwoyo omutuufu ogw’omuyizi. Ebizibu okutegeera mu Byawandiikibwa tebiyinza kutegeerebwa mu ngeri yeemu gye tukozesa nga tumeggana n’ebibuuzo ebizubu eby’obulamu. Tetugwana kuyiga Bayibuli nga twemaliridde ng’abamu bwe bakkira amagezi ga sayaansi, wabula wakati mu kusaba nga twesigamye ku Katonda n’omwoyo ogwagala okuyiga. Tugwana okujya n’omutima omukakkamu era oguyigirizika tufune okumanya okuva eri Katonda Omukulu. Bwekitaba kityo, bamalayika ababi baakuziba ebirowoozo byaffe era bakakanyaze emitima gyaffe amazima galeme okutukwatako. EE 384.4
Bingi ku Byawandiikibwa abayivu bye bagamba nti birimu amakulu ameekusifu, oba bye bayitako nga bagamba nti si bikulu nnyo, mujjudde ebigambo ebigumya n’okuyigiriza eri oyo ayigrizibwa mu ssomero lya Kristo. Emu ku nsonga Iwaki abayiga eddiini balemererwa okutegeera obulungi ekigambo kya Katonda eri nti, baziba amaaso gaabwe ne batalaba mazima ge batayagala kuteeka mu nkola. Okumanya amazima ga Bayibuli tekusinziira ku magezi omuntu gaaba nago mu kunoonyereza, wabula lwa kigendererwa kimu kyokka, kwe kunoonya obutuukirivu. EE 385.1
Bayibuli tegwanidde kusomebwa awatali kusooka kusaba. Omwoyo Omutukuvu yekka yayinza okutuleetera okuwulira obukulu bw’ebintu ebyo ebyangu okutegeera, oba okutuziyiza obutameggana na bintu ebizibu okutegeera. Bamalayika ab’omu ggulu be bateekateeka emitima ne gisobola okutegeera ekigambo kya Katonda olwo ffe ne tusanyuka olw’obulungi bwakyo, ne tunenyezebwa olw’okulabula okugirimu, oba ne tuzzibwa buggya n’okugumizibwa olw’ebisuubizo byayo. Tusaana okufuula okusaba kw’omuwandiisi wa zabbuli ng’okwaffe, nti: “Onzibule amaaso gange, ndabe eby’ekitalo ebiva mu mateeka go.” Zabbuli 119:18. Ebikemo oluusi birabika nga ebiremeddewo Iwansonga, akemeddwa aba tajjukira bisuubizo bya Katonda asisinkane Setaani n’ebyokulwanyisa eby’ekigambo kya Katonda. Kyokka bamalayika be bebulunguludde okwetoloola abo abaagala okuyigirizibwa mu bintu by’eggulu; era babajjukizze amazima ge beetaaga mu kiseera eky’obwetaavu. Bw’atyo, “Alijja (omulabe) ng’omugga ogukulukuta n’amaanyi, ogutwalibwa embuyaga ye yennyini Mukama gy’asindika.” Isaaya 59:19. EE 385.2
Yesu yasuubiza abayigirizwa be nti: “Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu Kitange gw’alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.” Yokaana 14:26. Wabula ebigambo bya Kristo biteekwa okuba nga byasooka ne biterekebwa mu birowoozo olwo Omwoyo wa Katonda alyoke abitujjukize mu kiseera eky’obwetaavu. ‘TMterese ekigambo kyo mu mutima gwange, nneme okwonoona mu maaso go.” Zabbuli 119:11. EE 385.3
Abo bonna abawulira nga obulamu obwemirebe gyonna bukulu balina okwekuuma eri endowooza yonna ey’okubuusabuusa. Emisingi gyennyini egy’amazima gyakulumbibwa. Kizibu okwewala abatukiina, n’abanatuzuulangako ensobi, ab’enkwe n’enjigiriza ez’obutwa ez’abatali beesigwa ab’omulembe guno. Setaani akozesa ebikemo bye ebigya ku buli bantu. Alumba abatali bayivu nga bw’abazanyiikiriza, ate n’alumba abayivu ng’akozesa magezi ga sayaansi n’obufirosoofo, bonna ng’ayagala kubakyayisa oba banyoome Ebyawandiikibwa. N’abavubuka abatalina kye bamanyi nnyo bakozesa embeera eno ne balaga okubuusabuusa mu bintu ebikulu bityo eby’Obukristaayo. Era obutali bwesigwa buno obuli mu bavubuka, wadde nga bamanyi kitono nga bwe kiri, bulina amaanyi mangi. Bangi basekerera okukkiriza kwa bakitaabwe ne bawakanya Omwoyo ow’ekisa. Abaebbulaniya 10:29. Obulamu bw’abantu bangi obwandibadde obwekitiibwa eri Katonda era omukisa eri ensi ne bwonoonebwa n’ekibi ky’obutali bwesigwa. Abo bonna abeesiga okulowooza kw’amalala g’omuntu, ne balowooza nti olw’okwo bayinza okunnyonnyola ebyama bya Katonda ne batuuka ku mazima nga tebayambiddwako magezi ga Katonda bali mu kitimba kya Setaani. EE 385.4
Tuli mu kiseera ekikulu ennyo eky’ebyafaayo by’ensi. Ensi eneetera okukuŋŋaanya ebyayo. Ekiseera kyafife eky’omumaaso era n’obulokozi bw’emyoyo emirala kyesigamye ku ebyo bye tukola olwaleero. Twetaaga okuluŋŋamizibwa Omwoyo ow’amazima. Buli mugoberezi wa Kristo kimugwanira okwebuuza nti: “Mukama, oyagala nkole ki?” Twetaaga okwewombeeka mu maaso ga Mukama, nga tusaba n’okusiiba, n’okufumiitiriza ennyo ku kigambo kye, naddala ku ebyo ebiri mu kifo awasalirwa emisango. Kitugwanira okunoonya mu bintu bya Katonda eby’ebuziba ebirabika. Tetulina kiseera kya kufiirwa. Ebintu ebikulu bijja bibaawo okutwetoloola; tuli mu matwale ga Setaani. Temwebaka, mwe abakuumi ba Katonda; omulabe atuliinze, nga mweteefuteefu ekiseera kyonna okutugajambula ng’omunyago singa tubongoota ne tugayaala. EE 386.1
Bangi balimbiddwa nga tebayinza kwetegeera nga bwe bafaanana mu maaso ga Katonda. Bali mu kweyozaayoza olw’ebibi bye batakola, ne beerabira okubalirira emikisa egiri mu bikolwa ebirungi Katonda by’abaagaza, kyokka ne babigayaalirira okubikola. Emiti okubeera mu nnimiro ya Katonda tekimala. Girina okubala ebibala kubanga ekyo kyagisuubiramu. Givunaanyizibwa singa giremererwa okuvaamu akalungi akandisobodde okugivaamu okuyita mu kisa kye ekiwa amaanyi. Gibalibwa nga egimala obumazi ekifo mu bitabo by’omu ggulu. Kyokka newakubadde bw’ekityo bwe kiri, abantu bano akyabalinamu essuubi. Omutima ogujjudde okwagala-okusonyiwa gukyabakowoola wadde nga baanyooma okusaasira kwa Katonda ne bazannyisa ekisa kye. Agamba nti: “Zuukuka, ggwe eyeebase, ozuukire mu bafu, Kristo anaakwakira. Kale mutunule nnyo bwe mutambulanga,... nga mweguliranga ebbanga, kubanga ennaku zino mbi.” Abaefeso 5:14-16. EE 386.2
Ekiseera ky’okugezesebwa bwe kinajja, kijja kwoleka abo abaafuula ekigambo kya Katonda okuba empisa mu bulamu bwabwe. Mu kiseera eky’enkuba oba toyinza kwawula miti gikunkumula makoola ku egyo egitakunkumula makoola; naye mu kiseera eky’ekyeeya, egitakunkumula makoola gisigala tegikyuse so ng’egiwaatula gisigala myeereere. Bwekityo bwekiri ne ku beeyita abakkiriza kaakano abatasobola kwawulwa okuva ku Bakristaayo abamazima, naye ekiseera kijja ekiryoleka enjawulo. Okuwakanyizibwa ne kumala kusituka, okusosola n’obutasonyiwa ne bimala bijja, okuyigganya ne kukoleera, abalina omutima ogw’ekibogwe ne bannanfuusi baakukankana baweeyo okukkiriza kwabwe; naye Abakristaayo abamazima baakuyimirira banywere ng’olwazi, okukkiriza kwabwe nga kugumu, essuubi lyabwe nga litangaavu okusinga ne bwekiba nga obugagga bweyongera. EE 386.3
Omuwandiisi wa zabbuli agamba: “Nnina okutegeera okusinga abayigiriza bange bonna; kubanga ndowooreza ku bye walagira. “By’oyigiriza binfuula mugezi ne nkyawa empisa zonna ez’obulimba.” Zabbuli 119:99,104. (Ekikyuse ekiggya.) EE 386.4
“Aweereddwa omukisa omuntu alaba amagezi.” “Kubanga aliba ng’omuti ogwasimbibwa awali amazzi ne gulanda emirandira gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.” Ngero 3:13; Yeremiya 17:8. EE 386.5