Essuubi Eritaggwaawo

39/43

38 — Okulabula Okusembayo

“Ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina obuyinza bungi; n’ensi n’emulisibwa ekitiibwa kye. N’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’amaanyi, ng’ayogera nti: Kigudde, kigudde Babulooni ekinene, ne kifuuka ekisulo kya balubaale, n’ekkomera erya buli dayimooni, n’ekkomera erya buli nnyonnyi mbi ekyayibwa.” “Ne mpulira eddoboozi eddala eriva mu ggulu nga lyogera nti: Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye, era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” Kubikkulirwa 18:1,2,4. EE 387.1

Ekyawandiikibwa kino kisonga ku kiseera ekirangiriro ky’okugwa kwa Babulooni nga bwe kyayogerwa malayika owookubiri mu Kubikkulirwa 14 olunnyiriri 8, lwe kinaddibwamu, nga kyongerereza ku bulyake obwokweyongera mu bitongole ebyenjawulo ebikola Babulooni, okuva obubaka obwo lwe bwasooka okuweebwa mu ttoggo wa 1844. Tulagibwa embeera enzibu egenda okutuuka ku Bakristaayo. Ebirowoozo by’abantu byakweyongeramu ekizikiza ky’obutamanya olw’okugaana amazima, boongere okukakanyaza emitima gyabwe, okutuusa lwe balifuukira ddala abakafiiri. Bagenda kulaga obujeemu bwabwe eri Katonda nga boongera okulinnyirira erimu ku mateeka ekkumi, okutuusa lwe balitandika n’okuyigganya abaliraba nga ttukuvu. Kristo agenda kutunuulirwa ng’ekitaliimu olw’okunyooma ekigambo kye n’abantu be. Ekkanisa bwe ziriyingiza enjigiriza z’obusamize, olwo abantu baliba tebakyayinza kwefuga, eddiini eriba efuuse kyambalo ekyambalibwa okukweka obubi obusingirayo ddala. Amaanyi ga bamalayika ababi gagenda kuwulirwa mu ne kkanisa olw’okukkiririza mu byamagero omuva emyoyo egikyamya n’enjigiriza za basetaani. EE 387.2

Obunnabbi we bwogerera ku Babulooni mu kiseera kino ekigambo kiryogerwa nti: “Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda ajjukidde ebibi bye.” Kubikkulirwa 18:5. Aliba ajjuzizza ekigera ky’obubi bwe, era aliba anaatera okuzikirizibwa. Kyokka Katonda akyalina abantu mu Babulooni; era bw’aliba tannakisalira musango, abaddu be bano abeesigwa kiribagwanira okuyitibwayo, baleme okunywa ku kikompe ky’ebibi bye, “era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.” Eyo ye nsonga lwaki waliwo abantu nga bali mu kifaananyi kya malayika ava waggulu mu ggulu, nga bamulisa ensi n’ekitiibwa kye era nga boogerera waggulu n’eddoboozi ddene, nga balangirira ebibi bya Babulooni. Okufaanana n’obubaka bwe, bawulirwa nga boogera nti: “Mukifulumemu mmwe abantu bange.” Ebirangiriro bino, nga byegattidde wamu n’obubaka bwa malayika owookusatu, mwe tusanga okulabula okusembayo okw’okuweebwa abatuula mu nsi. EE 387.3

Entiisa yakubuutikira ensi. Obuyinza bw’ensi, nga bwegattidde wamu okulwanyisa amateeka ga Katonda, bujja kulangirira era abantu “bonna, abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’abeddembe n’abaddu” (Kubikkulirwa 13:16), nti kibagwanira okukola ng’empisa y’ekkanisa ey’okukuuma ssabbiiti ey’obulimba bw’eri. Abo bonna abanaagaana okuba abawulize bajya kubonerezebwa, EE 387.4

n’ekyenkomerero balangirirwe nti kibagwanira kuttibwa. Ate ku luuyi olulala, nga waliyo etteeka lya Katonda eriyita abantu bonna okuba abawulize nga bakuuma ekiwummulo ky’Omutonzi era nga liraga ekiruyi ekyokutuuka ku abo abonoona ebiragiro ebiririmu. EE 388.1

Abantu bwe baliba bamaze okutegeezebwa nti buli anaalinnyirira amateeka ga Katonda ng’ayagala okugondera amateeka g’abantu ajja kuweebwa enkovu y’ensolo; era aliba akkirizza okuweebwa akabonero akalaga obuwulize eri obuyinza bw’asazeewo okuwulira okusinga obwa Katonda. Okulabula okuva mu ggulu kugamba nti: “Omuntu yenna bw’asinza ensolo n’ekifaananyi kyayo, era bw’akkiriza enkovu ku kyenyi kye, oba ku mukono gwe, oyo naye alinywa ku mwenge ogw’obusungu bwa Katonda, ogufukibwa ogutatabulwamu mazzi mu kikompe eky’obusungu bwe.” Kubikkulirwa 14:9,10. EE 388.2

Kyokka tewali n’omu agenda kunywa ku kikompe kya Katonda wabula ng’amaze okutegeezebwa amazima gonna era ng’amaze okugategeera naye n’agagaana. Waliwo bangi abatannafuna mukisa kuwulira mazima gano ag’enjawulo ag’ekiseera kino. Obuvunaanyizibwa bw’etteeka eryookuna nga tebubategeezebwangako mu musana gwalyo ogwamazima. Oyo asoma emitima gy’abantu bonna era n’akema buli ndowooza, taliyinza kuleka muntu yenna ayagala okutegeera amazima kulimbibwa ku nsonga zino enkulu ez’olutalo olunene. Abantu tebagenda kuwalirizibwa kukuuma tteeka mu buzibe bwa maaso. Buli omu agenda kuweebwa omusana ogumala asalawo mu kutegeera kwe. EE 388.3

Obukakafu obulaga obuwulize bwakusinziira ku Ssabbiiti, kubanga eyo y’ensonga eyamazima ebadde erwanyisibwa. Abantu bwe balituuka mu kusalawo okusembayo, olwo lwe walibaawo omusittale ogwawula wakati w’abo abaweereza Katonda okuva ku abo abatamuweereza. Bwe baliba bakuuma ssabbiiti ey’obulimba nga bawakanya etteeka eryookuna olw’okwagala okutuukiriza amateeka g’ensi, baliba bakakasa nga bwe bali abawulize eri obuyinza obuwakanya Katonda, ate nga okukuuma Ssabbiiti ey’amazima, olw’okugondera etteeka eryookuna bwe bukakafu obulaga obuwulize eri Omutonzi. Ekibiina ekimu bwe kiriweebwa enkovu y’ensolo olw’okukkiriza akabonero k’obuwulize eri obuyinza bw’ensi, ate ekirala olw’okulondawo akabonero k’obuwulize eri obuyinza bw’eggulu, baliba bateekebwako nvumbo ya Katonda. EE 388.4

N’okutuusa leero, abo bonna ababadde bategeeza amazima g’obubaka bwa malayika owookusatu babadde batunuulirwa nga abawowoggana obuwowogganyi. Bye babadde balangirira nti okulwanyisa eddembe ly’okusinza kwakuddamu okubaawo mu Amerika, nti ekkanisa n’ensi byakwegattira wamu okuyigganya abakuuma amateeka ga Katonda, tebiriiko musingi, temuli magezi. Kibadde kyogerwa lunye nti ensi eno teriyinza kukyuka okuva ku ekyo ky’ebadde - eky’okulwanirira eddembe ly’okusinza. Wabula abantu okubuna wonna olw’okugenda nga basokasoka etteeka ly’okukuuma Sande, kye babadde babuusabuusa era kye babadde batakkiriza kitandise okusembera, n’obubaka bwa malayika owookusatu bw’akukola ekyo kye babadde tebalabangako. EE 388.5

Katonda abadde ajja aweereza abaddu be ku buli mulembe okunenya ekibi ekikolebwa mu nsi awamu ne mu kkanisa. Kyokka abantu baayagala kuwulira bigambo birungi era ebiwoomerera, so si kuwulira mazima agataliimu bulimba. Abazza b’ekkanisa bangi abamaliriranga okubeera abamazima ekimala mu EE 388.6

kulwanyisanga ebibi by’ekkanisa awamu n’ensi nga batandika omulimu gwabwe. Baasuubiranga nti, bo olw’okubeeranga ekyokulabirako eky’obulamu Obukristaayo obwamazima, Iwe banaayinza okukomyawo abantu ku njigiriza za Bayibuli. Naye Omwoyo wa Katonda bwe yajjanga ku bo nga bwe yajja ku Eriya, yaboogererangako nga Eriya bwe yanenya ebibi bya kabaka eyali omwonoonyi n’eggwanga eryali livudde ku Katonda; kyokka tebayinzanga kulaba mu bigambo ebibuulirwa kubuulirira kwa Bayibuli - ebigambo bye batandiyagadde byogerweko. Baawalirizibwanga okutegeeza amazima n’okulabula ku kabi akayinza okutuuka ku myoyo. Baayogeranga ebigambo Mukama nga bwe yabibawanga, nga tebatidde biyinza kuvaamu, n’abantu ne bawalirizibwanga okuwulira okulabula. EE 389.1

Bwebutyo obubaka bwa malayika owookusatu bwe bugenda okubuulirwa. Ekiseera bwe kinaatuuka okusobola okuweebwa mu maanyi amangi, Mukama ajja kukolera mu bantu abanyoomebwa, nga bakulembera ebirowoozo by’abo abeewonze okumuweereza. Abakozi baakusaanyizibwa olw’okufukibwako kw’Omwoyo wa Katonda so si Iwakuyita mu matendekero g’abayivu. Abantu abalina okukkiriza era abasabi baakuwalirizibwa olw’omuliro gw’omwoyo, bategeeze ekigambo Katonda ky’anabawa. Bagenda kwanjuluza ebibi bya Babulooni. Obubi obw’entiisa obw&pos;okubaawo oluvannyuma Iw&pos;ensi okuwaliriza amateeka g’ekkanisa, okusaasaana kw’obusamize, obuyinza bw’obwapapa obujja bukula mu ngeri y’obubba - byonna byakwanikibwa. Nkumi na nkumi bajja kuwulira ebigambo nga bino bye batawulirangako. Beewuunye olw’okuwulira obujulizi obukakasa nti ekkanisa ye Babulooni eyagwa olw’ensobi n’okwonoona, awamu n’okugaana amazima agagiweerezebwa okuva mu ggulu. Abantu bwe baligendanga eri abayigiriza baabwe okwebuuza oba nga ebyogerwa bituufu, abayigiriza balyoke babaanukule nga bakozesa nfumo, n’okulagula ebigambo eby’akawoowo, okukkakkanya okutya kwabwe n’okwebasa endowooza zaabwe. Kyokka abamu olw’okugaana okumala gakkiririza mu buyinza bw’abantu bajja kusigala nga baagala okumanya oba nga ddala “Bw’atyo bw’ayogera Mukama.” Ekyo kyakunyiiza abasumba baabwe okufaanana n&pos;abafalisaayo abedda bwe bajjula obusungu abantu bwe baabuuza ku buyinza bwabwe, balyoke bavumirire obubaka nti bwa Setaani era bakubirize abantu abaagala okukola obubi okuvuma n’okuyigganya ababubuulira. EE 389.2

Setaani wakweyongera okutabuka olutalo nga lweyongedde okugaziwa n’okutuuka mu bitundu ebirala olw’ebirowoozo by’abantu okukyukira amateeka ga Katonda agalinnyirirwa. Amaanyi agalibeera mu bubaka gakusuula eddalu abo ababuwakanya. Bannaddiini kaakukozesa amaanyi kumpi agatali ga buntu okuziyiza omusana sikulwa nga gwakira ebisibo byabwe. Bajja kukozesa engeri zonna okulemesa abakubaganya ebirowoozo ku nsonga zino enkulu. Olwo ekkanisa eryoke eyite omukono gw’obuyinza bw’ensi ogwamaanyi, obwapapa n’Obupulotestanti bulyoke bwegattire wamu mu kukola omulimu guno. Okukuuma olunaku lwa Sande bwe kuneeyongeramu amaanyi era nga kukakasiddwa, olwo etteeka liryoke liteekebwe mu nkola okuwaliriza abakuuma amateeka ekkumi. Bajja kutiisibwa okubaweesanga engassi n’okubasiba mu makomera, n’abamu baakuweebwa ebifo ebyamaanyi okuli empeera ezitali zimu awamu n’emikisa, nga kasenda-baguzi basuule eri okukkiriza kwabwe. Wabula ekyokuddamu kye balibagamba kye kino nti: “Mutulage okuva mu kigambo kya Katonda awali ensobi yaffe,” - ekyokuddamu Luther kye yaddamu EE 389.3

bweyatuuka mu mbeera yeemu. Abo abalisimbibwa mu bifo omuwolezebwa emisango, bagenda kulwanirira amazima mu maanyi amangi, era n’abamu abalibawuliriza basalewo okukuuma amateeka ga Katonda. Bwegutyo omusana Iwe gujja okutuuka ne ku bantu nkumi na nkumi oboolyawo abatandiwulidde mazima gano. EE 390.1

Obuwulize eri ekigambo kya Katonda bwakutwalibwa nga obujeemu. Abazadde Setaani ng’abazibye amaaso, bagenda kubonerezanga abaana mu bukambwe obuyitirivu olw’okubanga bakkirizza Katonda; n’abakozesa bannaabwe banyigirize be bakozesa. Abeemikwano batwalibwe nga bannaggwanga; abazadde bagenda kwegaana abaana baabwe era babagobe ne mu maka. Ebigambo bya Pawulo biryoke bituukiririre ddala nti: “Era bonna abali mu bulamu obussaamu Katonda ekitiibwa nga bali mu Kristo Yesu, ba kuyigganyizibwanga.” 2Timoseewo 3:12. Abalwanirizi b’amazima bwe banaagaana okussaamu ekitiibwa ssabbiiti ey’olunaku Iwa Sande, abamu baakusuulibwa mu makomera, abalala bawaŋŋangusibwe, n’abalala batwalibwe ng’abaddu. Bino birabika ng’ebitasoboka mu kutegeera okw’obuntu; naye Omwoyo wa Katonda akyakwatiridde bw’alimala okuggibwawo okuva ku bantu, ng’olwo bafugibwa Setaani, oyo akyawa ebiragiro bya Katonda, ebintu bingi ebyewunyisa byakweyongera okubaawo. Omutima guyinza okuba omutemu entiisa ya Katonda n’okwagala kwe bwe bivaawo. EE 390.2

Omuyaga bwe gulyeyongera, ekibiina ekinene ekibadde kitegeeza nga bwe kirina okukkiriza kwabwe mu bubaka bwa malayika owookusatu, naye nga tekyetukuzanga okubeera mu buwulize eri amazima, bajja kulekawo okukkiriza kwabwe beegatte ku luuyi oluwakanya. Bajja kutuuka okutunuulira ensonga kumpi mu ngeri yeemu olw’okufaanana n’ensi n’olw’okwegatta nayo era bafune n’omwoyo gwayo; kati olwo okugezesebwa bwe kujja, baanguwa okulondawo ekisinga obwangu, era ekisinga okwagalibwa abangi. Abantu abaalina ebirabo ebirungi era abategerekeka, abaasooka okusanyukira mu mazima, bajja kukozesa obuyinza bwabwe okulimba n’okubuzaabuza emyoyo. Bajja kufuuka abalabe abasingayo okuba ababi eri baganda baabwe bwe baalinga. Abakuumi ba Ssabbiiti bwe balireetebwa mu bifo omusalirwa emisango okuwoza ensonga y’okukkiriza kwabwe, abantu bano abaava mu mazima be balibeera ababaka ba Setaani abalisinga okubawaayiriza n’okubavunaana, era n’olw’obulimba bwabwe awamu n’okwagala okwagalibwa, bajja kuweerera abafiizi balwanyise abakuumi ba Ssabbiiti. EE 390.3

Okukkiriza kw’abaddu ba Katonda kwakuyita mu kugezesebwa okungi mu kiseera kino eky’okuyigganyizibwa. Balabudde ensi mu bwesigwa, era kaakano batunuulidde Katonda waabwe n’ekigambo kye. Bawulira nga bawalirizibwa okwogera olw’Omwoyo wa Katonda ali mu mitima gyabwe. Batandika okukola obuvunaanyizibwa bwabwe nga bategeeza abantu ekigambo Mukama ky’abawadde awatali kusooka kubalirira binavaamu olw’omuliro gw’Omwoyo ali mu nda mu bo n’olw’okukola kwa Katonda okubayinze amaanyi. Tebasooka na kusooka kwebuuza ku ebyo bye basinga okwagala mu nsi, wadde okwagala okuwonya obulamu bwabwe oba ebitiibwa byabwe. Kyokka omuyaga gw’okuwakanyizibwa n’okuswazibwa be gwabalukawo, abamu ne kibasukkirirako nga beewuunya, anti balituuka n’okugamba nti: “Singa twalengererawo ebiyinza okuva mu bigambo byaffe, twandisirise ne tukuuma emirembe.” Wabula bateereddwako olukomera wakati mu buzibu obungi. EE 390.4

Setaani ali mu kubakasuukirira ebikemo ebikambwe. Omulimu gwe baatandika okukola kaakano gulabika nga tebakyaguyinza. Bali mu kutiisibwa okubazikiriza. Amaanyi ge baalina agaabakozanga bino kaakano nga gaweddewo; kyokka nga tebakyayinza kudda mabega. Awo, bwe bamala okulaba nga bwe batakyeyinza olwo ne baddukira eri Omuyinzawabyonna okuweebwa amaanyi. Kati olwo ne bajjukira nti ebigambo bye babadde boogera tebyali byabwe, wabula byoli eyabatuma okulabula ensi. Katonda yajjuzza mu mitima gyabwe amazima, naye nga tebayinza butayogera mazima ago. EE 391.1

Okugezesebwa kwe kumu abaddu ba Katonda kwe baayitamu mu mirembe egyayita. Wikilifu, Huss, Luther, Tyndale, Baxter, Wesley, bonna baakayananga nti, buli njigiriza kigigwanira okulamulibwa ne Bayibuli era ne bategeeza nti bajja kuzivaako singa Bayibuli evumirira ensonga yonna ku zo. Abantu bano ne balyoka bayigganyizibwa mu busungu obwekiruyi obutakoma; kyokka tebayinza kulekeraawo kwogera mazima. Okuyita mu biseera ebyenjawulo mu byafaayo by’ekkanisa, wazze wabeerawo amazima ag’enjawulo nga gaatuukana n’obwetaavu bw’abantu ba Katonda mu kiseera ekyo. Kyokka buli amazima ago lwe gabadde gaaleetebwa, gabadde gakyayibwa n’okulwanyisibwa; era abo abaagasanyukiranga ne bayitanga mu bikemo ebingi n’okugezesebwa. Mukama awa amazima ag’enjawulo eri abantu be abali mu mbeera ey’obwetaavu. Ani ayinza okwagŋanga obutagoogera? Kaakano aligidde abaddu be bategeeze okuyita okusembayo eri ensi. Tebayinza kuziba mimwa gyabwe, wabula nga baagala emyoyo gyabwe gizikirire. Ababaka ba Kristo ebirowoozo byabwe tebabiteeka ku biki ebinaavaamu. Bo bakola mulimu gwabwe ebirala ne babirekera Katonda. EE 391.2

Abaddu ba Katonda beeyongera okusoberwa nga balaba okuwakanyizibwa kweyongeddemu amaanyi, olwo ne balowooza nti bo be bavuddeko obuzibu. Kyokka bagumizibwa olw’ekigambo kya Katonda awamu n’emmeeme yaabwe nga balaba ekkubo lye bakutte lyettuufu; era newakubadde ng’ebigezo byeyongera, baweebwa amaanyi ne babigumira. Olutalo lunnyinnyitira, naye nabo okukkiriza kwabwe n’obuvumu ne byeyongera nga balaba obwetaavu mu bantu. Boogera ekigambo kimu: “Tetuyinza kwaŋŋanga kukwata ku kigambo kya Katonda, nga twawuzaamu amateeka ge amatukuvu; ekitundu ekimu tukirowooze nti kikulu ate ekirala nti sikukulu nnyo, mbu twagala okusaasirwa ensi. Mukama gwe tuweereza ayinza okutununula. Kristo yawangula amaanyi g’ensi; kakati kitugwanidde okutya ensi eyamala edda okuwangulibwa? EE 391.3

Okuyigganyizibwa mu ngeri zaakwo ezenjawulo kusibuka ku ngeri emu yokka ey’okubaawo ebbanga lyonna kavuna Setaani aba nga akyaliwo n’Obukristaayo nga bukyalina amaanyi. Tewali muntu ayinza okuweereza Katonda nga teyewandiisizza ku lutalo okulwanagana n’amaanyi g’ekizikiza. Bamalayika ababi bajja kumuwerekereza ebyokulwanyisa, atuuke okutya ng’alaba ng’omubi agenda okumumalawo. Ababi bagenda kumunenya olw’ebyo by’akola, beegatte ku ludda lwe bakozese ebikemo ebisendasenda nga baagala okumwawula okuva ku Katonda. Bino bwe biremererwa, olwo bakozese obuyinza okumuwaliriza. EE 391.4

Wabula Yesu olw’okubanga akyakola nga omuwolereza w’omuntu mu yeekaalu ey’omu ggulu, abakulembeze n’abafuzi bajja kuwulira amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu aziyiza obubi. Ajja kusigala nga yaafuga agamu ku mateeka ensi kwe EE 391.5

zitambulira. Era singa tegaali mateeka gano, embeera y’ensi yandibadde mbi nnyo okusinga ne bweri kati. Wadde nga abamu ku bakulembeze bafife bakozi ba Setaani, era ne Katonda alinayo abakozi be abafugira amawanga awamu nabo. Omulabe akozesa ababaka be okuleeta amateeka agayinza okulemeseza ddala omulimu gwa Katonda; kyokka ba mwoyogwaggwanga abatya Mukama nga bayambiddwako bamalayika abatukuvu ne bawakanya amateeka ago nga tabaliiko kye bayinza na kuddamu. Bwebatyo abantu abatawera bwe bajja okulemesa omuyaga gw’obubi oguyuza ensi. Amaanyi g’omubi gajja kuziyizibwa okutuusa nga obubaka bwa malayika owookusatu bumaze okukola omulimu gwabwo. Okulabula okusembayo nga kugenda kutegeezebwa, n’abakulembeze bano Mukama baakoleramu kaakano bajja kukwatibwako obubaka buno, era n’abamu babukkirize era bayimirire wamu n’abantu ba Katonda mu kiseera eky’okubonaabona. EE 392.1

Malayika oyo eyegattidde awamu n’abantu ba Katonda mu kutegeeza obubaka bwa malayika owookusatu, ajya kumulisa ensi yonna n’ekitiibwa kye. Wano obunnabbi butulaga omulimu ogw’okutuuka mu nsi yonna mu maanyi agatayogerekeka. Obubaka bw’okukomawo kwa Kristo obwaliwo mu 1840-44, bwayolesa ekitiibwa ky’amaanyi ga Katonda; obubaka bwa malayika eyasooka bwatuusibwa buli wonna awaatuuka omulimu gw’obuminsane mu nsi yonna, era mu nsi ezimu ne wabaawo abantu okwagala ennyo eddiini okutalabwangako okuva Iwe waaliwo okudda obuggya mu kyasa ky’ekkuminoomukaaga. Kyokka kuno okwa malayika owookusatu ng’alabula ensi omulundi ogusembayo kwa kusingawo nnyo mu maanyi. EE 392.2

Omulimu gujja kufaanana n’ogwo ogwaliwo ku lunaku Iwa pentekoote. “Enkuba eyasooka” bwe yatonnya, Omwoyo Omutukuvu bwe yakka mu kuggulawo omulimu gw’enjiri ng’ameza ensigo ez’omuwendo, “n’enkuba ey’oluvannyuma” bw’ejja okutonnya okwengeza amakungula. Kale “Tufube okumanya Mukama. Ajja kujya gyetuli awatali kubuusabuusa, ng’olunaku bwe lukya era ng’ekuba esooka mu mwaka bw&pos;efukirira ettaka.” “Kale musanyuke mmwe abaana ba Sayuuni, era mujagulize Mukama Katonda wammwe: kubanga abawa enkuba eya ttoggo mu kigera kyayo ekisaana, era abatonnyeseza ekuba, enkuba eya ttoggo era n’enkuba eya ddumbi.” Yoweeri 2:23. “Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma, bw’ayogera Mukama, ndifiika ku Mwoyo gwange ku bonna abalina omubiri.” Olulituuka buli alisaba erinnya lya Mukama alirokoka.” Ebikolwa By’abatume 2:17,21. EE 392.3

Katonda si wakukomekkerereza mulimu omukulu ogw’enjiri ye mu maanyi nga matono agatenkana n’ago bwe yali ng’eggulibwawo. Obunnabbi obwatuukirizibwa ng’enkuba eyasooka etonnya mu kuggulawo omulimu gw’enjiri, bwakuddamu okutuukirira mu nkuba ey&pos;oluvannyuma ng’omulimu gukomekkerezebwa. Wano “ebiro eby’okuwummuzibwa” omutume Peetero byeyalengera amale agambe nti: “Kale mwenenye, mukyuke, ebiro eby’okuwummuzibwa mu maaso ga Mukama bituuke; naye atume Kristo eyabaawulirwa edda, ye Yesu.” Ebikolwa By’abatume 3:19,20. EE 392.4

Abaddu ba Katonda, nga baakayakana mu maaso gaabwe olw’okutukuzibwa okutukuvu, bajja kugenda nga batuuka mu buli kifo okutegeeza abantu obubaka okuva mu ggulu. Nkumi na nkumi okwetoloola ensi yonna baj^a kutegeeza abantu okulabula okusembayo. Ebyamagero bikolebwe, abalwadde bawone; obubonero EE 392.5

n’ebyamagero ne bikakasanga obubaka bw’abakkiriza. Ne Setaani n’akola ebyewuunyo, omuli n’okussa omuliro okuva waggulu mu ggulu mu maaso g’abantu. Kubikkulirwa 13:13. Abatuula mu nsi bwebatyo bwe balituuka okusalawo oludda kwe banaayimirira. EE 393.1

Obubaka tebugenda kwogerebwa mu kuwakana, wabula Omwoyo wa Katonda yaagenda okulumiriza emyoyo gyabwe. Ebigambo byogeddwa. Ensigo zisigiddwa, n’ekisigaddeyo ensigo kwe kumera n’okubala ebibala. Ebitabo ebisaasaanyiziddwa abaminsani bikoze omulimu gwabyo, kyokka bangi abakwatiddwako bakyalemeseddwa okutegeera amazima oba okugagondera. Kaakano omusana gusensera buli wamu, amazima galabibwa bulungi, n’abaana ba Katonda abeesigwa bajja kwekutula okuva ku miguwa egibasibye. Emiguwa gy’amaka, enkolagana mu kkanisa, byonna ebyo tebirina maanyi agayinza okubalemesa. Amazima bagalaba nga gamuwendo nnyo okusinga ebirala byonna. Wadde nga ebitongole bya Setaani byonna byegattidde wamu okulwanyisa amazima, bangi ku bo bajja kusalawo okuyimirira ku lwa Mukama. EE 393.2