Essuubi Eritaggwaawo

37/43

36 — Olutalo Olubindabinda

Setaani azze ng’akigenderera okulwanyisa amateeka ga Katonda okuviira ddala ku ntandikwa y’olutalo olunene olwatandikra mu ggulu. Ekyo kye yali ayagala okutuukiriza amale ajeemere Omutonzi, era newakubadde nga yamala n’agobwa mu ggulu azze nga alwana ng’ali ne wano ku nsi. Ekigendererwa kye kyazze afubako ennyo kwe kulimba abantu batuuke okwonoona amateeka ga Katonda. Oba nga kituukirizibwa gonna gasuuliddwa ku bbali, oba okujeemerako erimu ku go, ebivaamu byenkanankana. Kubanga oyo “asobya mu limu” aba anyoomye amateeka gonna; ekyokulabirako kye n’ebyo byayigiriza bibeera ku luuyi Iwa bujeemu; “aba n’omusango gw’okumenya amateeka gonna.” Yakobo 2:10. EE 373.4

Setaani anyoodde enjigiriza za Bayibuli, olw’okwagala abantu banyoome ebiragiro bya Katonda, n’ayingiza obulimba mu njigiriza z’abantu nkumi na nkumi abagamba nti bakkiriza Ebyawandiikibwa. Olutalo olunene olusembayo wakati w’amazima n’obulimba Iwe lunaafundikira olutalo oluludde nga lulwanyisa amateeka ga Katonda. Tunaatera okuyingira olutalo luno - olutalo wakati w’amateeka g’abantu n’ebiragiro bya Yakuwa, wakati w’eddiini eri mu Bayibuli n’eddiini ejjuziddwa enfumo n’obulombolombo bw’abantu. EE 374.1

Emikutu omunaayitibwa okulwanyisa amazima n’obutuukirivu mu lutalo luno kaakano weegiri gikola. Ekigambo kya Katonda ekitukuvu ekyatukwasibwa ku muwendo omunene ddala ng’abantu babonaabona n’okuyiwa omusaayi, tekirowoozeddwako ng’ekyomuwendo. Bayibuli esobola okufunibwa buli omu agyetaaze, kyokka batono nnyo abagikkirizza eruŋŋamye obulamu bwabwe. Obutali bwesigwa bubunye wonna mu ngeri etiisa, so si mu nsi mwokka, naye era ne mu kkanisa. Bangi batandise n’okuwakanya enjigiriza ezibadde empagi z’Obukristaayo. Amazima amakulu agakwata ku butonzi nga bwe gaawandiikibwa emikono egyaluŋŋamizibwa, omuntu okwonoona, ssaddaaka ya Kristo etangirira, n’amateeka ga Katonda ag’olubeerera, binyoomeddwa ekitundutundu kyabeeyita Abakristaayo era tebiteekeddwa mu nkola oba mu bulamba bwabyo oba ekitundu ku byo. Abantu nkumi na nkumi abeenyumiririza mu magezi gaabwe, babitunuulira nga akabonero akooleka obunafu okuteeka okukkiriza kwabwe kwonna mu Bayibuli; balowooza nti kyamagezi era kyabuyivu okubeerawo nga beemulugunyiza Ebyawandiikibwa, nga amazima amakulu agagirimu bagogeza n’okugannyonnyola mu ngeri eteri ntuufu. Abasumba bangi bayigiriza abantu baabwe, era n’abasomesa bangi ne bayigiriza abayizi baabwe nti amateeka ga Katonda gaakyusibwa oba nti gaggwaako; era nti abo abagalowooza nti gakyaliwo, nti kisaanira okugagondera nga bwe gali, beetaaga kusekererwa. EE 374.2

Abantu bwe bajeemera amazima, baba bajeemedde Omutandisi wa go. Bwe balinnyirira amateeka ga Katonda, baba banyoomye obuyinza by’oyo eyateeka amateeka. Kyangu nnyo okukola ekifaananyi ky’enjigiriza n’endowooza ez’obulimba okufaanana n’ekifaananyi ekikoleddwa mu muti oba mu mayinja. Setaani bw’alaga nti Katonda mulimba, aba ayagala abantu balabe empisa ze nga bweziri ez’obulimba. Abantu bangi baddidde ebifaananyi by’amagezi gaabwe ne babituuza ku ntebe eyandituuliddwako Yakuwa; so nga Katonda omulamu, nga bw’alagibwa okuyita mu kigambo kye, mu Kristo, ne mu butonde bwe, asinzibwa abantu batono ddala. Abantu nkumi na nkumi basinza obutonde ate ne bajeemera Katonda eyatonda obutonde. Okusinza ebifaananyi weekuli mu Bakristaayo leero nga bwe kwaliwo mu Isiraeri owedda mu biro bya Eriya, wadde nga babisinza mu ngeri ya njawulo. Katonda waabeeyita abagezigezi, bakagezimunnyu, ababumbi, bannabyabufuzi, bannamawulire katonda ali ku mulembe, mu masomero ne mu matendekero, wadde mu matendekero g’ebyeddiini - tasinga nnyo Baali, katonda-njuba ow’Abafoyiniiki. EE 374.3

Tewali bulimba businze kukkirizibwa mu Bakristaayo leero kyokka nga bulwanyisa buyinza bwa ggulu, tewali bantu gwe bajeemera mu magezi gaabwe, tewali kintu kisinga kuba kibi, okusinga enjigiriza eziriwo leero, nga zigenda zikwata omugamba, nti amateeka ga Katonda tegakyafuga bantu. Buli ggwanga lirina amateeka gaalyo, aganyweza obuwulize n’okulisaamu ekitiibwa; tewali bufuzi buyinza kunywera awatali ebyo; naye kiyinzika okukkirizika nti Omutonzi eyatonda EE 374.4

eggulu n’ensi talina mateeka gafuga bitonde byeyatonda? Lowooza ku baminisita abaatiikirivu nga bagenda bayigiriza mu lwatu nti amateeka n’ebiragiro ebifugirwako eggwanga lyabwe n’okukuuma eddembe lya bannansi tegakyalina gwe gafuga - nti gamalako abantu eddembe lyabwe, n’olwekyo tegagwanira kugonderwa; abantu abo bandigumiikiriziddwa kutuusa wa nga bakyayogera? Naye kibi nnyo okunyooma amateeka okufugirwa amawanga okusinga okulinnyirira ebiragiro bya Katonda ebikola omusingi gwa zigavumenti zonna? EE 375.1

Oboolyawo kisinga nnyo amawanga okuwera amateeka kwe geefugira, abantu ne balekerwa eddembe lyabwe okweyisa nga bwe balaba, okusinga Omufuzi w’ensi zonna Iw’asangulawo amateeka ge, ensi ne zisigala nga tezirina mateeka okusaliza omubi omusango oba okusonyiwa abadde omuwulize. Tutegeera kye kitegeeza okujjawo amateka ga Katonda era n’ebiyinza okukivaamu? Kyali kikoleddwako. Ebyatuuka ku Bufalansa byennyamiza obukaafiiri bwe bwatwala obuyinza. Kyeyoleka Iwantu eri ensi nti okujjawo amateeka Katonda ge yateekawo kuba kukkiriza bufuzi obw’emikono egy’ekyuma. Amateeka ag&pos;obutuukirivu bwe gajjibwawo, olwo omulangira w’ekizikiza aba agguliddwaawo oluggi okunyweza obuyinza bwe ku nsi. EE 375.2

Amateeka ga Katonda bwe gajeemerwa, ekibi kikoma okulabikira mu bubi bwakyo era tewaba kwegomba butuukirwu. Era abo abagaana okugondera Katonda tebasaanira na kwefuga. Kubanga baba basiga mu bavubuka n’abaana omwoyo gw’obutali buwulize okuyita mu njigiriza zaabwe ez’obulabe, olwo ne bafuuka bakiwagi; n’ekivaamu ly’eggwanga erya bakyetwala, eryamanyiira okukola obubi. Wadde nga bayinza okusekerera bannaabwe olw’okumala gakkiriza okugondera ebiragiro bya Katonda, bo baba bakkiriza okutwalibwa obulimba bwa Setaani. Bakkiriza okufugibwa okwegomba kw’omubiri olwo ne bakola ebibi ebyasaliza omusango abatatya Katonda. EE 375.3

Abo abayigiriza abantu okulengezza amateeka ga Katonda baba basiga bujeemu okukungula obujeemu. Ebiragiro ebiri mu mateeka ga Katonda ne bimala bijjibwawo byonna, olwo n’amateeka agafuga abantu gaba tegakyaliwo. Anti Katonda agaana abantu obutaba beesigwa, okwegomba, okulimba n’obulyake; kyokka bo baagala kulinnyirira biragiro bye nti kubanga bibalemesa okufuna obugagga; wabula ebinaava mu kujjawo ebiragiro bino tekijja kuba nga bwe bakisuubira. Singa amateeka tegakyafuga, twanditiiridde ki okwonoona? Obugagga bwaffe tebwandibadde na bukuumi. Abantu bandinyaze ebintu bya bannaabwe Iwa mpaka, olwo owamaanyi n’aba nga ye mugagga asinga. Obulamu tebwanditeekeddwamu kitiibwa. Ekirayiro ekikolebwa abafumbo tekyandiyinzizza kukugira maka. Oyo alina amaanyi yandiyinzizza okutwala mukamulirwana we Iwa mpaka singa aba ayagadde. Etteeka eryookutaano lyandigiddwaawo awamu n’eryookuna. Abaana tebandikwatiddwa nsonyi okutta bazadde baabwe singa mu kukola ekyo bafuna omutima gwabwe omubi kye gwegomba. Obugunjufu obuli mu nsi bwandivuddewo abantu ne badda mu kunyaga n’okutta bannaabwe; olwo emirembe, okuwummula n’essanyu byandiwedde ku nsi. EE 375.4

Enjigiriza egamba nti abantu baasumululwa okuva mu bufuge bw’amateeka ga Katonda yamala dda okunafuya enneeyisa ey’obuvunaanyizibwa mu bantu era eggulidde obubi okuyingira mu nsi. Obwakyetwala, obugwenyufu n’obulyake buli EE 375.5

ku misinde emiyitirivu nga bujja bulinga ejjengo erizikiriza. Setaani ali eyo mu maka yeegiriisa. Bendera ye eri eyo yeewuuba, ne mu maka ag&pos;abeeyita Abakristaayo. Obukyayi, obubi, obunnanfuusi, okweyawulayawula, okukopperera, ennyombo, obutaffaayo ku bitukuvu, okwagala okukkusa okwegomba kw’omubiri, byonna biri omwo. Enkola yonna ey’eddiini awamu n’enjigiriza, okwandizimbiddwa obulamu bw’abantu, eri mu kuyuuga, eringa eneesaanawo. Abazzi b’emisango egyannaggomola bwe basuulibwa mu makomera olw’ebyo bye bakoze, baba ng’abaweereddwa ekirabo olwo ne basuusuutibwa ng’abakoze ekyomuwendo ennyo. Batandika okwogerwako wano ne wali. Amawulire ne gasaasaanya agabi agavundu agatayagalwa na kuwulirwa, nga galinga agayigiriza abalala okuyiga obubbi, obunyazi n’obussi; olwo Setaani n’ajaganya kubanga enkola ze ezizikiriza zisobodde okuwangula. Abantu bonna abatya Katonda bagwanira okuzuukuka olw’obwamalaaya, okuggwaamu empisa, obutegendereza, n’obugwenyufu obwa buli ngeri obugenda bweyongera mu nsi, beebuuze banoonye ekiyinza okukolebwa okukoma ku muyaga gw’obubi. EE 376.1

Ebifo gye basalira emisango bimaliddwaawo n’enguzi. Abafuzi bakola Iwa kwagala kufuna na kwesanyusa. Obutegendereza bubisse okutegeera kw’abasinga obungi era nga kaakano Setaani y’abafuga. Abakugu mu mateeka bawubisiddwa, basendeddwasendeddwa, babuzaabuziddwa. Obutamiivu, n’ebinyumu, okuyayaana, obukyayi, obunnanfuusi obwa buli ngeri, bye bijjudde mu abo abakwasisa empisa. “Tujjawo obwenkanya, n’ebituufu ne bitubeera wala. Amazima tegasangibwa mu nguudo, n’obwesimbu tebuliiwo.” Isaaya 59:14. EE 376.2

Obubi awamu n’ekizikiza eky’omu mwoyo ebyafuga mu kiseera Luumi we yafugira byasibuka ku bufuzi bwayo obwagaana abantu okwesomera Ebyawandiikibwa; kale olwo baali bagenderera ki mu kusasaanya obutali bwesigwa obwengeri eyo, abantu okugaana amateeka ga Katonda, omuvudde obubi obwenkanidde awo, wakati mu musana gw’enjiri omuyitirivu ogwakidde mu mulembe omuli eddembe ly’okusinza? Kaakano Setaani bw’alabye nga takyayinza kufuga nsi ng’azijjako omukisa gw’okwesomera Ebyawandiikibwa, akyukidde engeri endala asobole okutuukiriza ekigendererwa kye kimu. Okukkiriza kwa Bayibuli bwe kufa olwo ekigendererwa kye aba akifunye okufaanana n’azikirizza Bayibuli. Bwe yaleeta enjigiriza egamba nti amateeka ga Katonda tegalina gwe gafuga, mazima olwo aba aleetedde abantu okwonoona ng’abatalina kye bamanyidde ddala ku biragiro byonna ebigalimu. Era ne kaakano akoledde mu kkanisa ng’ayagala okutuukirizamu enkwe ze, okufaananako ne mu biro ebyayita. Amadiini mangi leero gagaanye okuwuliriza amazima gano agakaawa agayigirizibwa okuyita mu Byawandiikibwa, wabula basazeewo okugalwanyisa nga bagunjaawo ennyinnyonnyola endala ezisize ensigo z’okubuusabuusa buli wantu wonna. Beenywerezza ku bulimba bw’obwapapa nti omuntu tafiira ddala era nti ne bw’afa asigalamu akategeera, bagaanye enjigiriza yokka eyinza okubawonya obulimba bw’obusamize. Enjigiriza ya puligaatooli ereetedde abantu bangi okubuusabuusa Bayibuli. Era abantu bwe bategeezebwa okuwulira etteeka eryookuna kye libagamba, bakizuula nga libawaliriza okukuuma Ssabbiiti ey’olunaku olwoomusanvu; olwo bwe baagala okwejja ku buvunaanyizibwa obwo bwe batayagala kutuukiriza, ng’olwo abasomesa baabwe babategeeza ng’amateeka bwe gavaawo. Bwebatyo ne EE 376.3

basuula eri etteeka lyonna awamu ne Ssabbiiti yaakwo. Omulimu gw’okuzza obujja okukuuna Ssabbiiti bwe guneeyongera, n’ensi gyeneekoma okugaana etteeka lya Katonda eryookuna okwewala okukola kye ligamba. Enjigiriza z’abayigiriza b’eddiini zireeseewo obutali bwesigwa mu bantu, okusamira n’okunyooma amateeka ga Katonda amatukuvu; mazima abayigiriza bano beetisse obuvunaanyizibwa bw’obubi obuli mu nsi omuli Obukristaayo. EE 377.1

Kyokka ekibiina ky’abantu bano kigenda kigamba nti obubi obugenda busasaana buvudde mu kutyoboola eyitibwa “Ssabbiiti y’Abakristaayo,” era nti okuwaliriza olunaku Iwa Sande kye kiyinza okuleetawo enkyukakyuka mu mpisa z’abantu. Ebigambo bino bisinze kulabikira nnyo mu Amerika awasinze okubuulirwa enjigiriza ya Ssabbiiti ey’amazima. Wano bagasse okwegendereza, emu ku njigiriza enkulu ennyo ekwata ku mpisa n’omugendo ogulwanirira olunaku Iwa Sande nga bagamba nti bafuba kunyweza ebintu abasinga bye beetaaga; era ng’abo abagaana okwegatta nabo babatwala ng’abalabe b’okwegendereza n’okudda obuggya. Naye okugatta omugendo ogwagala okuteekawo obulimba ku mulimu gwo-ku-bwagwo nga mulungi, tekireetera bulimba kuba nti bulungi. Tuyinza okugatta obutwa mu mmere ezimba omubiri, naye ekyo tekikyusa kikula kyabwo. So ate, kyakabi nnyo kubanga obulya totegedde. Eyo yenkola ya Setaani okugatta obulimba ku mazima ng’ayagala okusendasenda. Abakulembera omugendo gwa Sande bayinza okukubiriza okudda obuggya abantu kwe beetaaga, ne bakubiriza enkola esiimibwa mu Bayibuli; kyokka nga mu yo mulimu ebikoonagana n’amateeka ga Katonda, abaana ba Katonda tekibagwanira gwegatta nabo. Tebayinza kwejjako musango nga batadde eri ebiragiro bya Katonda ne bakwata obulombolombo bw’abantu. EE 377.2

Okuyita mu bulimba buno obukulu obwemirundi ebiri: omwoyo ogutafa n’obutukuvu bwa Sande, Setaani mwanaayita okunywereza abantu mu bulimba bwe. Obusooka bwebusima omusingi gw’obusamize, obwookubiri buteekawo bwa sseruganda wakati waabwe ne Luumi. Abapulotestanti b’omu Amerika be balisooka okuweereza omukono gwabwe okugusomosa ekyondo bakwatagane mu mikono n’obusamize; olwo balyoke bagwambuse mu bwengula okugusisinkanya n’ogw’obuyinza bwa Luumi; awo olw’okwegatta kuno okwemirundi esatu, ensi eno eryoke etambulire mu bigere bya Luumi ng’erinnyirira eddembe ly’okusinza. EE 377.3

Obusamize bulina amaanyi mangi okulimba n’okusuula abantu mu mitego okuva Iwe bwefaananyirizza n’Obukristaayo obwerinnya obunnya obuliwo leero. Setaani yennyini akyuse okufaanana n’ebintu ebiriwo. Waakweyoleka nga malayika ow’omusana. Waakukola ebyamagero ng’ayita mu mukutu gw’obusamize, abalwadde bawonyezebwe, era akole ebyewuunyo ebitayinza kubusibwabuusibwa. Olwo emizimu bwe giryeraga ng’egikkiririza mu Bayibuli, ekkanisa n’etandika okugissaamu ekitiibwa, okukola kwagyo kulitwalibwa nga okulabisibwa kw’obuyinza bwa Katonda. EE 377.4

Enjawulo eri wakati w’abeeyita Abakristaayo n’abatatya Katonda abaliwo leero nzibu okujeetegereza. Abekkanisa baagala ensi by’eyagala era bamalirivu okubeegattako, ne Setaani amaliridde okubagatta mu mubiri gumu olwo afune amaanyi mu bigendererwa bye ng’abatwala mu busamize. Abagoberezi ba papa, abeenyumiririza mu byewuunyo nti ke kabonero akalaga ekkanisa ey’amazima, nabo baakulimbibwa olw’obuyinza buno obukola ebyamagero; era n’Abapulotestanti, EE 377.5

olw’okubanga baasuula eri engabo ey’amazima, nabo baakuwubisibwa. Abagoberezi ba papa, Abapulotestanti, n’abaagala ensi, bonna baakweyambaza ekifaananyi ky’okutya Katonda naye nga tebalina maanyi gaakwo, awo balyoke balabe mu bwegaffu buno omugendo ogugenda okukyusa ensi yonna ko n’okwaniriza emyaka olukumi egirudde nga girindibwa. EE 378.1

Setaani ng’akolera mu busamize, yeeraga nga yaawa obuyambi abali mu lutalo, nga bwawonya abantu endwadde, nga kwotadde okutegeeza nga bw’agenda okuleeta eddiini empya esingako; kyokka ate mu ngeri endala akole ng’omuzikiriza. Ebikemo bye bitutte bangi mu kuzikirira. Obutegendereza bumalawo okutegeera; n’ekiddirira bwe bugwenyufu, ennyombo n’okuyiwa omusaayi. Entalo zisanyusa nnyo Setaani, kubanga zisitula ebirowoozo ebibi mu muntu olwo ne zitwala abazetabyemu mu kuzikirira okwemirembe gyonna nga baju’udde ebibi n’omusaayi. Era eyo yensonga Iwaki asokasoka amawanga okulwana ne ganaago, kubanga olw’ekyo, ajjissa ebirowoozo by’abantu ku kweteekateeka bayinze okuyimirirawo ku lunaku Iwa Katonda. EE 378.2

Setaani akolera ne mu bintu ebyenjawulo ng’ayagala okukurjŋaanya omunyago gwe ogw’emyoyo egiteteeseteese. Amanyi obutonde bwe bukolamu, era akozesa n’amaanyi ge gonna okulaba ng’abufuga singa Katonda akkiriza. Bwe yakkirizibwa okubonyabonya Yobu, yafaafaaganya ebintu bye mu kaseera katono ddala omwali ebisibo n’amagana g’ensolo, abaddu, amayumba, n’abaana be, buli kimu nga kigobererwa ekirala. Katonda yekka yakuuma ebitonde bye n’abikugira okuva mu maanyi g’omuzikiriza. Kyokka Abakristaayo bagiridde ekyejjo amateeka ga Yakuwa; ne Mukama waakukola ekyo kyennyini kye yagamba nti ajja kukikola - ensi agenda kugijjako emikisa gye era ajje obukuumi bwe ku abo bonna abagaana amateeka ge era abayigiriza n’okuwaliriza abalala okukola nga bo. Abo bonna abataliiko bukuumi bwa Katonda obwenjawulo, Setaani abalinako obuyinza. Abamu ajya kubakwatirwa ekisa era abagaggawaze ng’ayagala ye okutuukirizaamu ebigendererwa bye, ate abalala abaleetere ebizibu olwo abantu balowooze nti Katonda yaababonyaabonya. EE 378.3

Nga yeeragamu yekka eri abantu nga bw’ali omusawo omukugu ayinza okuwonya endwadde zaabwe zonna, ajja kubaleetera endwadde n’okuzikiriza okutali kumu, okutuusa ebibuga omujyudde abantu Iwe binaasaanawo n’okufuuka amatongo. So era ne kaakano ekyo kyali mu kukola. Setaani akola mu maanyi ge gonna ng’aleeta obubenje n’okulumya abantu ku nnyanja, ne ku lukalu, ng’ayokerera emiriro, asitula omuyaga ogwamaanyi n’okutonnyessa enkuba erimu omuzira omungi, amataba, embuyaga, amayengo amanene ku nnyanja n&pos;okukankana kw’ensi, kumpi mu buli kifo ate ne mu ngeri ezitali zimu. Asaanyaawo emisiri gy’emmere ekuze obulungi, olwo enjala n’egwa mu nsi. Empewo agyonoona ng’agiteekamu emikka egy’obutwa, abantu ne bazikirira olw’endwadde embi. Ebintu bino byakugenda nga byeyongera buli lukya awamu ne mu kuzikiriza. Byakuzikiriza abantu n’ebisolo. “Ensi ewuubaala era esaanuuka,” “abantu abagulumivu.. .baggwaamu amaanyi. Era ensi esiigiddwako empitambi wansi w’abagituulamu; kubanga basobezza amateeka, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo.” Isaaya 24:4,5. EE 378.4

Mu kiseera ekyo omulimba omukulu agenda kusendasenda abantu abalimbe nti Katonda y’ensibuko y’obubi buno bwonna. Abantu bano abamenya ebiragiro bya Katonda era abamusomoza balikyusa ekivume kyabwe ekiviiriddeko ensi EE 378.5

okubonaabona bakiteeke ku abo abalina obuwulize bwabwe mu mateeka ga Katonda. Bagenda kwogera nti abantu bali mu kwonoona ku Katonda nga basobya ssabbiiti ey’olunaku Iwa Sande; era nga ku Iw’ekibi kino ensi kyevudde egwamu ebizibu bino ebitajja kukoma okutuusa nga batadde etteeka erinyweza okusinza Sande; era nga abo aboogera ku tteeka eryookuna, nga baagala okujjawo obutukuvu bwa Sande, be bavuddeko okutegana okuli mu bantu, nga babalemesa Katonda okuddayo okubakwatirwa ekisa n’okufuna obugagga bw’ensi. Bwebatyo bwe bagenda okuvunaanibwa nga bwe baavunana omuddu wa Katonda mu biseena biri nti: “Awo olwatuuka Akabu bwe yalaba Eriya Akabu n’amugamba nti ggwe wuuno, ggwe ateganya Isiraeri? N’addamu nti nze sinnateganya Isiraeri; naye ggwe n’ennyumba ya kitaawo, kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, n’ogoberera Babaali.” IBassekabaka 18:17,18. Abantu bonna nga bajjudde obusungu olw’obujulizi obw’obulimba, balitandika okuyigga abantu ba Katonda nga Isiraeri eyava ku Katonda bwe baayigga Eriya. EE 379.1

Obuyinza buno obukola ebyamagero obulyeragira okuyita mu busamize bwakukozesa amaanyi gaabwo nga bulwanyisa abo abasazeewo okugondera Katonda okusinga okuwulira abantu. Emizimu gigenda kwogera nga gitegeeza nti gitumiddwa okuva ewa Katonda okujja gisendesende abagaanye okukkiriza Sande bave mu nsobi yaabwe, nga ginyweza nti bagwanidde okugondera amateeka okufugirwa ensi nga amateeka ga Katonda. Gyakulaga okunyolwa olw’obubi obungi obuli mu nsi era gikakase okuyigiriza kw’abasomesa b&pos;eddiini nti abantu okuggwaamu empisa kivudde ku batyoboola obutukuvu bwa Sande. Abo bonna abaligaana okukkiriza ebigambo byabwe balikwatirwa obusungu bungi. EE 379.2

Enkola ya Setaani mu lutalo luno olusembayo ng’alwanyisa abantu ba Katonda yeemu n’eyo gye yakozesa ng’atandika olutalo olunene olwatandikira mu ggulu. Yeeraga nga ayagala okuteekawo obutebenkevu mu gavumenti ya Katonda, naye nga bw’akola kyonna ekisoboka mu kugimenyawo. Era omulimu ye gwe yali ayagala okutuukiriza n’aguteeka ku bamalayika abawulize. Enkola yeemu ey’obulimba yeyalabikira ne mu byafaayo by’ekkanisa y’e Luumi. Ezze nga yeeraga nti ekola ku Iwa Katonda ku nsi, ng’ate bw’eyagala okwegulumiza okusinga Katonda ate nga bw’ewanyisa amateeka ge. Abantu bangi abattibwanga olw’obuwulize bwabwe eri enjiri wansi w’obukulembeze bwa Luumi, baalangibwanga nti bakozi ba bubi; baalangibwa ogw’okwekobaana ne Setaani; era ne bakola kyonna ekisoboka okubametta enziro, ne balabika mu maaso g’abantu ne mu maaso gaabwe gennyini ng’abazzi b’emisango egyannaggomola. Era bw’ekityo bwe kiriba ne ku luno. Setaani bw’aliba ayagala okuzikiriza abo abagondera amateeka ga Katonda, alibateekako emisango ng’abamenyi b’amateeka, ng&pos;abantu abaswaza Katonda era abaleetedde ensi okusalirwa omusango. EE 379.3

Katonda tawaliriza ndowooza ya muntu yenna kumusinza; wabula Setaani ekyo ye ky’asinga okwagala - ng&pos;abawaliriza mu bukambwe kubanga aba tasobola kuboogereza ku lwabulungi. Akozesa okutiisatiisa oba okukozesa amaanyi asobole okufuga endowooza ng’ayagala okusinzibwa. Akozesa obuyinza bw’ekkanisa awamu n’obw’ensi ng’ayala okutuukirizaamu kino, ng’abakozesa okuwaliriza amateeka g’abantu okulwanyisa amateeka ga Katonda. EE 379.4

Abo bonna abassaamu ekitiibwa Ssabbiiti eya Bayibuli baakuvunaanibwa ng’abalabe b&pos;amateeka abatayagala butebenkevu, abaagala okwonoona ebiragiro ebireeta emirembe mu bantu, abaagala okuteekawo obuvuyo n’obulyake, awamu n’okwagala Katonda abonereze ensi. Obwesigwa bwabwe bwakutwalibwa ng’abalina emputtu, abakakanyavu era abanyooma aboobuyinza. Baakuvunaanibwa olw&pos;okweyawula okuva ku mugendo. Abasumba abaliryamu olukwe amateeka ga Katonda baakusinziira ku bituuti bayigirize abantu okussaamu ekitiibwa aboobuyinza kubanga baalondebwa Katonda. Abakuumi b’amateeka baakujwetekebwako era basingisibwe emisango mu bifo omusalirwa emisango ne mu nkiiko ezikola amateeka. Ebigambo byabwe bajja kubinyoola bitegeezeemu amakulu amalala; era n’ebigendererwa byabwe birowoozebwe okuba eby’obulabe ddala. EE 380.1

Ekkanisa z’Obupulotestanti olw’okugaana okukkiriza Ebyawandiikibwa ky’ebiyigiriza ku mateeka ga Katonda, bajja kwagala okuziba obumwa bw’abo abalina okukkiriza kwabwe okutayinza kuwangulwa okuyita mu Bayibuli. Wadde nga baziba amaaso gaabwe obutalaba mazima, basazeewo okukwata ekkubo erinaabatuusa mu kuyigganya Bakristaayo bannaabwe abagaanye mu bugenderevu bo kye bakola eky’okukkiriza ssabbiiti y’obwapapa. EE 380.2

Abakungu mu kkanisa ne mu ggwanga baakwegattira wamu baliise abantu enguzi, babasendesende, oba okubawaliriza bonna basinze Sande. Olw’okubanga tebalibeera na bujulirwa bwa Byawandiikibwa obusemba kye bakola, baakuteekawo amateeka nga makambwe. Obufizi omujjudde obulyake bumalawo obwenkanya n’amazima, era ne mu Amerika ensi ey’eddembe, bwe baliba baagala okusiimibwa abantu, abafuzi n’abateesi b’amateeka baakwagala okubasanyusa nga bawaliriza etteeka ly’okukuuma olunaku Iwa Sande. Eddembe ly’obuntu eryagulibwa n’omuwendo omunene gutyo, teririjjukirwa ng’ekyomuwendo. Okuyita mu lutalo luno olunaatera okubaawo Iwe tunaalaba ebigambo bya nnabbi nga bituukirira nti: “Ogusota ne gusunguwalira omukazi, ne gugenda okulwana n’ab’omu zzadde lye abaasigalawo abakwata ebiragiro bya Katonda era abalina okutegeeza kwa Yesu.” Kubikkulirwa 12:17. EE 380.3