Essuubi Eritaggwaawo
35 — Eddembe Ly&pos;okusinza Likangibwa
Eddiini y’Abaluumi esanyukirwa nnyo Obupulotestanti ensangi zino okusinga mu myaka egyo egyayita. Ensi ezo ezitaliimu nnyo Bukatoliki, nga n’obwapapa bufuba okuteekawo emirembe okusobola okufuna we businziira, mweyongeddemu nnyo embeera y’obutaffaayo ku njigiriza ezaawula ekkanisa ezadda obuggya ku ezo ez’obuyinza bw’obwapapa; nga n’ekirowoozo ekigenda kikula mu bo kye kino nti, anti tetulina nnyo bitwawula nga bwe tulowooza, era nga ne bwe wabaawo kye twefiiriza, kyakutusembeza ku kutegeregana ne Luumi. Waliwo ekiseera Obupulotestanti we bwassiza ennyo ekitiibwa mu ddembe ly’okusinza eryagulibwa n’omuwendo omunene ddala. Baayigirizanga abaana baabwe okukyawa obwapapa era nga bakitwala nti okwagala okuteekawo emirembe ne Luumi kuba kujeemera Katonda. Naye leero nga waliwo enjawulo nnene nnyo mu bigambo ebyogerwa! EE 362.1
Abawolereza obwapapa bagamba nti ekkanisa y’e Luumi ezze ewayirizibwa era nga n’Obupulotestanti buyinza okutunuulira ebyogerwa nga ebituufu. Era bangi ne bagamba nti si kyabwenkanya okusalira ekkanisa ya Luumi leero omusango olw’ebikolobero n’ebyennyamiza bye yakola bwe yali nga yeefuga mu byasa by’emyaka eby’obutamanya era ebyali eby’ekizikiza. Bawolereza obutemu bwe yakola nga bagamba nti bwasibuka ku bukopi obungi obwali mu bantu mu biseera ebyo era nga bagamba nti obugunjufu obuliwo ensangi zino nti bukyusizza nnyo endowooza ze. EE 362.2
Naye abantu bano beerabidde ebigambo ebizze byogerwa obwapapa kaakano emyaka lunaana egiyise nti obwapapa tebuwaba? Ebyo bw’obiteeka ku bbali, ebigambo bino byaddamu ne binywezebwa mu kyasa ekyekkuminomwenda mu maanyi amayitirivu okusingako ne mu kusooka. Ekkanisa y’e Luumi bw’ekikkaatiriza nti “yo tewaba ; era nga teriwaba, okusinziira ku Byawandiikibwa,” (John L. von Mosheim, Insititute of Ecclesiastical History, book 3, century II, part 2, chapter 2, section 9, note 17), olwo eyinza etya okulekayo enkola kweyatambuliranga mu mirembe egyayita? EE 362.3
Ekkanisa y’e Luumi terirekayo kwogera nti yo tewaba. Byonna by’ezze ekola ng’eyigganya abo bonna abazze bawakanya enjigiriza zaayo ebadde etegeeza nti yo ye eri mu mazima; kati olwo teyinza kuddamu bikolwa ng’ebyo singa eweebwa omukisa? Singa enkola etambulira ku mateeka eteekebwawo zi gavumenti emala n’egibwawo Luumi n’eddayo okufuna obuyinza bwe yalina, ejja kwanguwa mbiro okuzaawo obufuzi obwekyuma n’okuyigganyanga abantu. EE 362.4
Omuwandiisi omu omumanyifu ayogera ku ndowooza y’obwapapa ku kye bulowooza ku ddembe ly’okusinza n’obubi obuyinza okutuuka ku Amerika olw’enkola ze zeyateekawo nti: EE 362.5
“Waliwo bangi abalina endowooza ebaleetera okutya eddiini y’obukatoliki mu Amerika ng’esibuka ku bukyayi oba olw’okweyisa ng’abaana abato. Abantu abo tebanalaba wadde okuzuula ekiri mu mpisa ne mu ndowooza y’obukatoliki so nga kyabulabe eri eddembe lye tulina. Nsamba tusooke twetegereze agamu ku mateeka okufugirwa gavumenti yaffe n’amateeka g’ekkanisa y’e Luumi. EE 362.6
“Ssemateeka wa Amerika anyweza eddembe ly’okusinza. Tewali kirala kyonna kisinga nsonga eno. Papa Pius IX, mu bbaluwa ye gye yawandiika nga 15, Agusito, 1854, yagamba nti: ‘Enjigiriza zino ezitaliimu nsa era eziwabya nga zirwanirira eddembe ly’okusinza za butwa nnyo - oyo ye nnamuginga asingayo okuba omubi era agwanira okutiibwa mu ggwanga.’ Papa y’omu mu bbaluwa ye gye yawandiika nga 8 Desemba, 1864, EE 362.7
— EE 362.8
yakolimira ‘abo bonna abalwanirira eddembe ly’obuntu awamu n’ery’okusinza,’ era n’abo ‘abagamba nti ekkanisa tegwanira kukozesa maanyi ng’ekulembera.’ EE 362.9
“Luumi okulabika ng’ey’emirembe mu Amerika tekitegeeza nti yakyuka mu mutima. Erabika nga ey’ekisa naye Iwakubanga terina kyakukola. Omulabirizi O’Connor yagamba: ‘Eddembe ly’okusinza lisobola okubeerawo singa teriteekawo bulabe n’Obukatoliki.’.... Ssabalabirizi w’e St. Louis olumu yagamba nti: ‘Obutakkiriza n’okuva ku mazima musango gwa nnaggomola; era mu nsi z’Obukatoliki, nga mu Yitale ne Sipeyini abantu bonna gye bali nga Bakatoliki, era nga n’eddiini y’Obukatoliki nkulu nnyo mu mateeka agafuga ensi ezo, obonerezebwa nga azzizza emisango emirala gyonna.’... EE 362.10
“Kaliddinaali, ssabalabirizi na buli mulabirizi mu kkanisa y’Abakatoliki akola ekirayiro ky’okubeeranga omuwulize eri papa, era nga kirimu n’ebigambo bino: ‘Abava ku mazima n’abaleeta okweyawulayawulamu era n’abalabe ba mukama waffe ayogeddwako (papa), oba abo abalimuddira mu bigere, nja kufubanga okulaba nga mbayigganya n’okubawakanyanga.’ ” - Josiah Strong, Our Country, ch. 5, pars. 2-4. EE 362.11
Kyamazima, mu kkanisa y’e Luumi mulimu Abakristaayo abamazima. Era nkumi na nkumi baweereza Katonda okusinziira ku musana ogusingayo gwe balina. Olw’okubanga tebaweereddwa mukisa kwesomera kigambo, bwekityo tebayinza kuzuula mazima gasingako. Tebazuulanga njawulo eri wakati w’okuweereza mu mutima ogwamazima n’okutuukiriza obutuukiriza emikolo. Katonda atunuulira emyoyo gino era n’agisaasira, nga bayigiriziddwa okuba abakkiriza mu ddiini ebuzaabuza era etekkusika. Kyokka waakubateerawo omusana ogunaasensera nga guwagaanya okuyita mu kizikiza ekibeetoloodde. Waakubabikkulira amazima ago agali mu Kristo, era bangi bagenda kusalawo beegatte ku bantu be. EE 362.12
Luumi n’enkola ze tebatabaganangako na njiri ya Kristo wadde mu biseera bino oba ebyo ebyayita. Obupulotestanti buli mu kizikiza ddala, singa si bwekiri bandirabidde ku bubonero buno obulanga ebiseera. Ekkanisa ya Luumi etuuse wala mu nteekateeka ko n’enkola ze. Ekozesezza buli ngeri yonna okugaziya n’okwongera amaanyi ga yo nga yeetekerateekera olutalo olwamaanyi ddala wakati mu bumalirivu ensi yonna edde mu mikono gye, ezeewo okuyigganya n’okusaabulula ebyo byonna ebyateekebwawo Obupulotestanti. Obukatoliki bugenda buwangula ku buli luuyi. Ggwe labira ku bungi bw’amakanisa ga yo agagenda geeyongera buli lukya mu nsi z’Obupulotestanti. Laba amatendekero n’amasomero ga yo nga bwe gafunye etutumu mu Amerika era nga Abapulotestanti be bagawagira. Laba obusamize bwe bweyongedde mu Bungereza n’abeeyongera okwegatta ku Bukatoliki. Abalumwa mu mwoyo olw’enjiri eyamazima ka bazuukusibwe olwa bino ebirabwa ko. EE 362.13
Abapulotestanti bayingiridde era ne bawagira obwapapa; bekkiriranyizza era ne bekkakkanya ekintu ekyewunyisizza obwapapa ne balemererwa n&pos;okukitegeera. Abantu bazibye amaaso gaabwe ne batalaba mpisa za Luumi wadde okulaba obubi obuyinza okuva mu kwewaŋŋamya kwe. Abantu kibagwanira okuzuukusibwa bawakanye ebigendererwa by’omubi ono mu mbuga z’amateeka n’eddembe ly’obuntu. EE 362.14
Abapulotestanti bangi bagamba nti eddiini y’ObukatoIiki tesikiriza era nti okusinza kwabwe kusumagiza, mikolo bukolo omutali makulu. Wano we bakolera ensobi. Newakubadde nga eddiini y’Abaluumi yazimbirwa ku bulimba, kyokka si nkakanyavu nti tesikiriza. Okusinza mu kkanisa y’e Luumi mukolo gwa kitiibwa nnyo nnyini ddala. Buli kikolebwa, kikolebwa mu ngeri ya kitiibwa okusikiriza n’okusamaaliriza abantu ne batuuka n’okubulwa kye boogera. Amaaso gasamaalirira. Anti amakanisa ag’ekitiibwa, ennyiriri z’abaweereza, alutaali eza zaabu, amasabo agatimbiddwa, ebifaananyi ebisiige, n’ebibajye ebiwunde obulungi ddala biwamba ebirowoozo olw’obulungi obutuukiridde. Amatu nago gatwalibwa. Ennyimba tezenkanika. Amaloboozi amalungi okuva mu nnanga nga gasitukira wamu n’amaloboozi g’abantu nga galinnya mu bitikkiro ne mu busolya bwa zi lutikko, tebiyinza butawamba n’okusamaaliriza ebirowoozo. EE 363.1
Ekitiibwa kino ekyokungulu awamu ne misa ez’ekitibwa ebikudaalira obukudaalizi emyoyo emirwadde egiri mu kwetaaga, bwe bukakafu obulaga obulyake obuli mu nda. Eddiini ya Kristo teyetaaga ebyo eryoke ewaanibwe abagiraba. Obukristaayo obwamazima bulabibwa nga butuukiridde era nga bwagalibwa Iwa musana ogwaka nga gugimulisaako okuva ku musaalaba nga tekyetaagisa kugiteekako majjolobera eryoke erage amazima agagirimu. Obulungi obuva mu butukuvu, obuteefu n’omwoyo omuwombeefu, bye by’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda. EE 363.2
Ekifaananyi okutangalijua tekitegeeza nti kitukuvu ekigwanidde okussibwamu ekitiibwa. Ebirowoozo bulijjo bifumiitiriza ku bintu nga bino ebirungi ddala kyokka nga bya nsi bya mubiri. Setaani abikozesa nnyo okwerabiza abantu ebintu by’omwoyo, bajje amaaso ku ebyo ebigenda okujja, obulamu obutafa n’okubajja ku muyambi waabwe ow’olubeerera batunuulire nsi eno yokka. EE 363.3
Eddiini ey’oku ngulu esikiriza nnyo abagiraba naddala abatanakyuka mu mutima. Ekitiibwa ekirabikira mu kusinza kw’eddiini y’Abakatoliki kireetera okusikirizibwa n’okwewuunya era abantu bangi ne balimbirwa mu kyo; olwo ne batunuulira ekkanisa y’e Luumi nga gwe mulyango gwennyini oguyingira mu ggulu. Era tewali okujjako abo bokka abasimbye ebigere byabwe ku lwazi olunywevu olw’amazima, era abalina emitima egiziddwa obuggya n’Omwoyo wa Katonda, abayinza okuwona obulimba bwe. Enkumi n’enkumi z’abantu abatanamanya Kristo nga bw’akola baakukkiriza obulimba buno obw’ekifaananyi ekyokungulu eky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo. Eddiini efaanana ng’eyo yeesinga okwegombebwa abantu abasinga obungi. EE 363.4
Ekkanisa y’e Luumi okwogera nti erina obuyinza okusonyiwa ebibi kireetera abakkiriza ba yo okuwulira ng’abalina eddembe okwonoona; era n’ekiragiro ky’okwatula singa kikolebwa awatali Keleziya kusooka kukuwa lukusa na kyo kiringa ekyongera okuwa ebbeetu obubi okusasaana. Era buli muntu yenna afuukaamirira omuntu eyagwa, n’atandika okumwatulira ebyama by’ebirowoozo bye n’okufumiitiriza kw’omu mutima gwe, aba yeemalamu yekka ak’obuntu n’okwonoona ekitiibwa ky’omwoyo gwe. Bw’atandika okwanjululiza omusasedooti ebibi bye, - omuntu asobya, eyayonoona alina omubiri ogufa, so nga emirundi mingi ayonoonebwa n’okunywa omwenge awamu n’obwenzi, - aba yessizza yekka wansi, n’ekivaamu naye kwe kukolebwako ebyensonyi. Ebirowoozo bye engeri gye bitunuuliramu Katonda essibwa wansi okwenkanankana n’omuntu eyagwa, kubanga omusasedooti y’ayimirirawo nga Katonda mu maaso g’omuntu. Okwatula kuno EE 363.5
okufeebya omuntu ng’ayatulira muntu munne y’ensulo ey’ekyama eze ng’ekulukusa obubi obusinga obungi omuvudde ensi okugwagwawala nga kigyetaagisa okuzikirizibwa. Kyokka ye oyo ayagala okwekkusa olw’obuluvu, kimusanyusa okulaba nga omuntu ayatulira muntu munne ow’omubiri ogufa okusinga okuggulira Katonda oluggi Iw’omwoyo gwe. Omuntu kimwanguyira nnyo okwebonereza okusinga okulekayo okukola ekibi; era kyangu nnyo okubonereza omubiri ng’ogwambaza ebikutiya ebikadde n’okugukuba omwenyango nga bw’ogusiba ne mu njegere ezirumya okusinga okukomerera okwegomba kw’omubiri ku musaalaba. Omubiri kigwanguyira okwetikka ekikoligo ekizito okusinga okukakkana omuntu n’afukaamirira ekikoligo kya Kristo. EE 364.1
Waliwo bingi ebifaanagana wakati w’ekkanisa y’e Luumi n’ekkanisa y’Abayudaaya eyaliwo mu kiseera Kristo we yasookera okujjira. Wadde nga Abayudaaya baasambiriranga buli kiragiro ekiri mu mateeka ga Katonda mu ngeri ey’ekyama, beeraganga nga bagakuuma butiribiri, nga bagataddeko obukwakkulizo n’obulombolombo ekyakalubirizanga n’okulumya abantu okugawulira. Nga Abayudaaya bwe beeraganga nti basaamu ekitiibwa amateeka, n’Abaluumi bwe bagamba nti basaamu ekitiibwa omusaalaba. Basinza akabonero k’okubonaabona kwa Kristo, wadde nga mu nda yaabwe bagaana oyo akabonero gwe kasonga ko. EE 364.2
Abakkiririza mu papa basimba emisaalaba ku buli awali ekkanisa, ku buli alutaali era ne ku buli kyambalo kye baambala. Buli wamu osangawo akabonero k’omusaalaba. Omusaalaba gussibwamu ekitiibwa eky’oku ngulu era ne gusuusuutibwa nnyo buli wantu. Kyokka enjigiriza za Kristo zo ne ziziikibwa wansi mu nkuyanja y’obulombolombo omutali makulu, mu ntaputa z’ebyawandiikibwa ez’obulimba n’okwekuuma obutiribiri obutakola nsobi. Ebigambo by’Omulokozi bye yategeezanga Abayudaaya bannanfuusi, bikyategeezebwa mu maanyi ge gamu eri n’abakulembeze b’ekkanisa ya Luumi leero, nti: “Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku bibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n’engalo yaabwe.” Matayo 23:4. Emyoyo egifuba ne gikuumibwanga wakati mu ntiisa nga gitya ekiruyi ky’okusobya ku Katonda, eno nga abanene mu kkanisa bwe bali mu kwejalabya n’okwesanyusa. EE 364.3
Okusinza ebifaananyi n’eŋŋumbaguba z’abafu, okwegayirira abatukuvu ko n’okusinza papa ze zimu ku nkwe za Setaani z’akozesa okuggya ebirowoozo by’abantu ku Katonda ne ku Mwana we. Afuba okubaggya ku oyo yekka mwe bayinza okufunira obulokozi olw’okwagala okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okubazikiriza. Era waakubakyusa ensingo batunuulire ekintu ekirala kyonna ekiyinza okudda mu kifo ky’Oyo eyagamba nti: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.” Matayo 11:28. EE 364.4
Setaani afuba buli kiseera okulimbisa Katonda, n’okubuzaabuza ekibi, awamu n’ensonga enkulu ezikwata ku lutalo olunene. Obulimba bw’akozesa bukendeeza obuvunaanyizibwa omuntu bw’alina eri amateeka ga Katonda bw’atyo n’aba ng’afunye olukusa okwonoona. Ate ku luuyi olulala ne buleetera abantu okutwala endowooza enkyamu ku Katonda balyoke bamutye era bamukyawe okusinga okumuwa okwagala kwabwe. Obukambwe ye bw’alina abulaga nga obuva ew’Omutonzi; yabuyingiza mu nkola zonna ez’eddiini era ne bulabikira ne mu kusinza okw’engeri ezitali zimu. Bwebityo ebirowoozo by’abantu ne bizibwa EE 364.5
amaaso, awo Setaani n’abazza ku luuyi Iwe okulwanyisa Katonda. Era Setaani bwe yanyoola endowooza z’abantu ze baalina ku Katonda, amawanga amakafiiri gaatuuka n’okulowooza nti okusaddaaka omuntu ba Katonda lwe bayinza okubakwatirwa ekisa; olwo ne bakola obukambwe obutayogerekeka mu kusinza ebifaananyi ebitali bimu. EE 365.1
Ekkanisa y’e Luumi bwe yagatta okusinza kw’obukaafiiri n’Obukristaayo, olwo, okufaanana n’obukaafiiri nga bwe bwalimbisa empisa za Katonda, n’etandika okukola obukambwe obutagambika. Mu biro Luumi we yafugira baali bagunjizaawo engeri z’okubonyaabonyamu abantu babawalirize okukkiriza enjigiriza ze. Abaagananga okugodera ebiragiro bye baayokerwanga ku miti. Waalingawo ekittabantu ku mutindo ogwa waggulu ogutaliyinza kumanyika okutuusa Iwe kiryebikkula ku lunaku lw’enkomerero. Abanene mu kkanisa baayigirizibwa wansi w’omuyigiriza omukulu Setaani ne bagunja engeri z’okulumya nga babonyabonya omuntu naye nga tebasse bulamu bwe. Era emirundi mingi ne baddangamu okubonyabonya omuntu ono okutuusa nga takyayinza kugumiikiriza, oba okutuusa Iwe yalemererwanga n’afa, nga kimusingira okufa okusinga okuba omulamu. EE 365.2
Ebyo bye byatuukanga ku baawakanyanga Luumi. So ng’ate eri abagikkiririzaamu yababonyabonyanga n’okubalumyanga enjala, nga balumyanga emibiri gyabwe mu buli ngeri yonna esoboka. Basajjabatu ne bakazibatu ne bamenyanga amateeka ga Katonda ag’obutonde olw’okwagala okufuna okusaasirwa okuva mu ggulu. Baayigirizibwanga okweyawula ne mikwano gyabwe mwe bandifuniddenga emikisa n’okusanyuka nga bali ku nsi. Empya z’ekkanisa ne zijjulanga obukadde n’obukadde bw’abantu nga bali mu kufuba okumalawo okwegomba kw’omubiri, nga bazibiikiriza ebirowoozo n’ebikolwa byonna eby’ekisa bye bandikoze eri bantu bannaabwe si kulwa nga basobya ku Katonda. EE 365.3
Kitugwanira kutunuulira byafaayo by’Abaluumi bwetuba twagala okutegeera obulungi obukambwe bwa Setaani era nga bw’ali omumalirivu, obukambwe bw’azze ng&pos;akola okumala ebikumi n’ebikumi by’emyaka, so si mu abo abatanategeera Katonda, naye wakati mu nsi z’Obukristaayo. Okuyita mu bulimba buno obunene ddala, omulangira w’ekizikiza mwasobodde okutuukira ku kigendererwa kye eky’okuswaza erinnya lya Katonda n’okutuusa obubi ku muntu. Era tusobola bulungi okutegeera engeri gye yakwawamu Bayibuli nga tulabira ku bwe yefuula n&pos;alabikira mu kifaananyi ky’abakulembe b’ekkanisa asobole okutuukiriza omulimu gwe okuyita mu bo. Ekitabo ekyo bwe kisomebwa, kibikkulira omuntu Katonda nga bw’ali omusaasizi era ajjudde okwagala; okuyita mu kyo osobola okulaba nga Katonda tatikka muntu migugu gino egizitowa. Kye yeetaaga kyokka gwe mutima ogumenyese era oguboneredde, omuwombeefu n’omwoyo ogw’obuwulize. EE 365.4
Kristo talina waatulagirako mu bulamu bwe nti abasajja n’abakazi kibagwanira okweggalira mu bigo basobole okusaanira eggulu. Era tayigirizangako nti omuntu kimugwanira okuggwaamu ekisa n’okwagala. Omutima gw’Omulokozi gwajjula okwagala okw’omuyiika. Omuntu gyakoma okusemberera obutuukirivu, gyakoma okuwulira nga akwatibwako, gyakoma okulaba obubi bw’ekibi, era gyakoma okulumirwa abanyigirizibwa. Papa yeteegeeza nga bwali omukiise wa Kristo; naye empisa ze oyinza kuzigerageranyiza wa ku ezo ez’Omulokozi waffe? Kristo yamanyibwako ng’omuntu asibira bantu banne mu makomera oba okubasibira ku EE 365.5
miti ne balengejja kubanga tebamusinzizza nga Kabaka w’eggulu? Yawulirwako ng’asalira abantu ogw’okufa kubanga tebamukkirizza? Abasamaliya bwe baamuŋŋoola bwe yali ng’ayise mu byalo by’ewaabwe, omutume Yokaana yajjula obusungu, n’alyoka agamba nti: “Mukama waffe oyagala tulagire omuliro guve mu ggulu okubazikiriza, nga Eriya bwe yakola?” Kristo bwe yabatunuulira n’asaasira abayigirizwa be, era n’abanenya okuba n’omwoyo omukambwe. Yabagamba nti: “Omwana w’omuntu teyajja kuzikiriza bulamu bwa muntu, wabula okubulokola.” Lukka 9:54,56. Nga waliwo enjawulo nnene wakati w’omwoyo gwa Kristo n’ogw’oyo eyeeyita omubeezi we! EE 366.1
Ekkanisa ya Luumi kaakano egezaako okwetereeza mu maaso g’ensi nga bw’esaba okusonyiyibwa olw’obukambwe bwe yakola. Yeeyambazza ebyambalo ebifaanana n’ebya Kristo; kyokka tekyukanga. Enkola zonna ez’obwapapa bwe zaali zibadde nabwo bukyazirina ne leero. Enjigiriza ze baagunja mu biro ebyekizikiza bakyazirina. Omuntu yenna teyerimbanga. Obwapapa Abapulotestanti bwe baagala okusinza bw’ebwo obwafuga ensi mu biro eby’okudda obuggya, abantu ba Katonda bwe baayimirirawo ne basingayo obulamu bwabwe nga baanika obubi bwe. Bukyalina amalala n’okwemanya nga bwe byali mu biro biri okutuuka okgulumiriza ku bakabaka n’abalangira era nga bukaayanira n’obuyinza bwa Katonda. Tcbuggwangamu mwoyo gwa bukambwe n’obufuzi obwekyuma gwe bwakozesanga mu kuzikiriza n’okusaanyawo eddcmbe ly’obuntu n’okuttanga abatukuvu b’Oyo ali waggulu ennyo. EE 366.2
Obwapapa bw’ebwo obwogerwako mu bunnabbi nti, kwe kujeemera Katonda okulibeerawo mu biro ebyoluvannyuma. 2Abasessaloniika 2:3,4. Eyo y’emu ku nkola ze mwayita okukweka empisa ze ng’ayagala okuluukirizaamu ebigendererwa bye obulungi; kyokka wansi w’eddiba lye eriringa erya nnawolovu mwakwese obusagwa bw’omusota. “Okukkiriza tekugwanidde kuteekebwa mu mikono gy’abo abaagwa, wadde mu bantu abateeberezebwa okuba n’enjigiriza ez’obulimba” (Lenfant, vol. 1, p. 516), bw’atyo bw’agamba. Ddala obuyinza buno obulina ebyafaayo ebyawandiikibwa mu musaayi gw’abatukuvu okumala emyaka egisobya mu lukumi, buyinza okutwalibwa ng’ekitundu ku kkanisa ya Kristo? EE 366.3
Okugamba nti Obukatoliki tebwawukana kinene nnyo n’Obupulotestanti nga bwe kyali mu biro ebyayita nga kyogerwa mu nsi omuli Obupulotestanti tekyogerwa watali kigendererwa. Kituufu wabaddewo enkyukakyuka; naye enkyukakyuka tevudde ku bwapapa. Obukatoliki bufaanana n’Obupulotestanti ensangi zino Iwa nsonga nti, Obupulotestanti bugudde kinene nnyo okuva mu biro by’Abazza b’ckkanisa. EE 366.4
Amakanisa g’Obupulotestanti olw’okwagala okulaba ekisa mu maaso g’ensi gazibiddwa amaaso nga ganoonya okufuna obuyambi. Tebayinzizza kwetegereza wabula okulowoonza nti kisinga okutwala ekirungi ku bibi ebingi, so ng’ekirivaamu kwe kutwala ebibi okusinga ebirungi. Mukifo ky’okuyimirirawo balwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu, bazze mu kimu kya kwetondera Luumi olw’endowooza zaabwe ez’obutayamba bali mu bwetaavu, era nga bwe gwali, n’okubasaba babasonyiwe okulabika nga abakakanyavu. EE 366.5
Ekibiina ky’abantu bangi nga kwotadde n’abo abatalina kusaasira eri Luumi, balaba obubi bw’obuyinza bwe naye nga butono ddala. Bangi bagamba nti EE 366.6
obutamanya obwalingawo mu myaka egyo egy’omumassekati gyayamba nnyo Luumi okusasaanya enjigiriza ze, obusamize n’okunyigirizanga abalala, era nti obutegeevu ensi bw’etuuseeko mu biseera bino, okumanya okusasaanye wonna n’eddembe ly’okusinza erigenze ly’eyongera, biremesa okuzaawo omwoyo gw’obutawuliriza balala n’obufuzi obwekyuma. Basekerera n’ekirowoozo kyennyini ekigamba nti embeera eno eyinza okukomawo mu mulembe guno omutegeevu. Kyamazima nti omusana mungi omuli ogw’okutegeera, empisa, ne mu ddiini gweyongedde era gwaka nga gumulisiriza abantu b’omulembe guno. Omusana okuva mu ggulu gwakidde ensi nga guva mu kigambo kya Katonda ekitukuvu. Naye kisaana okujyukirwa nti omusana gye gukomye okuba omungi, n’abo abaguwakanya n’okwagala okugunyoola gye bakomye okubeera mu kizikiza. EE 367.1
Okuyiga ekigambo kya Katonda wakati mu kusaba kye kiyinza okulaga Abapulotestanti empisa zennyini ez’obwapapa, era kye kiyinza n’okububakyayisa n’okubwejjako; wabula olw’okubanga bangi balowooza nti bagezi ekimala, balaba nga tekibetaagisa kwewombeeeka banoonye Katonda ayinze okubakulembera bategeere amazima. Newakubadde nga beenyumiriza nga bwe bali abategeevu, balina obutamanya bungi mu Byawandiikibwa awamu n’amaanyi ga Katonda. N’olwekyo banoonya engeri gye bayinza okukakkanyamu endowooza zaabwe, era banoonye ebyo eby’omwoyo ebisingayo okuba ebya wansi. Kye beetaaga y’engeri y’okubeerabizamu Katonda nga babalowoozesa nga gwe bajjukira. Ekyo obwapapa kye bwetaaga okutuukirizaamu obwetaavu buno. Buteeseteese obulimba ku Iw’ebibiina bibiri eby’abantu kumpi ebibunye wonna mu nsi - abo abalirokolebwa ku lw’ebikolwa byabwe ebirungi era n’abo abalirokolebwa mu bibi byabwe. Wano we wali ekyama ky’obuyinza bwe. EE 367.2
Olunaku olukulu olw’ekizikiza mu kutegeera Iwalabika nga olwali olulungi olw’ebyo obwapapa bye bwatuukako. Era kijja kweyoleka Iwatu nga n’olunaku olukulu mu kutegeera lwakutuusa ku bwapapa obuwanguzi. Anti mu biro ebyayita, abantu bwe baali nga tebamanyi kigambo kya Katonda era nga tebamanyi mazima, amaaso gaabwe gaazibwa, era nkumi na nkumi ne bagwa mu mitego gy’omubi, nga tebayinza kulaba kitimba kibategeddwa ku bigere byabwe. Ne mu mulembe guno, waliwo bangi amaaso gaabwe nga gazibiddwa olw’okusamaalirira nga beewunya enfumo z’abantu ezitassaamu Katonda kitiibwa, “abo abeerimba ze bayita ez’amagezi;” abajja okugwa mu kitimba kya Setaani nga balinga abazibiddwa amaaso. Katonda yakigenderera nga amagezi g’omuntu kye kimu ku birabo ekyamuweebwa okuva ew’Omutonzi we era nga kimugwanira okugakozesa olw’okuweereza mu mazima n’obutuukirivu; kyokka omuntu bw’ayingirwamu amalala n’okweyagaliza, abantu ne batandika okugulumiza endowooza zaabwe okusinga ekigambo kya Katonda, olwo agandibadde amagezi gaba gatuuse kuleeta bubi okusinga n’obutamanya. Bwekityo amagezi amakyamu agaliwo ensangi zino, agagezaako okuggyawo okukkiriza okuli mu Bayibuli, gajja kwanguyako mu kutereeza ekkubo abantu okukkiriza obwapapa, nga bwe baali baggyiddwako okumanya mu biseera by’ekizikiza we kyatandikira ekyali ekiwanvu ddala. EE 367.3
Abapulotestanti baba batambulira mu bigere bya bwapapa bwe batandikawo ebibiina mu Amerika ebirwanirira era ebyagala eggwanga liyambeko mu kutandikawo n’okunyweza enkola z’ekkanisa. Mazima ddala, bali mu kuggulira EE 367.4
oluggi obwapapa mu Amerika ey’Obupulotestanti okuddamu okufuna ekitiibwa kye bwalina cra kye bwali bufiiriddwa mu nsi eyedda. Era n’ekyo ekikakasa ensonga eno eri mu mugendo guno, kwe kuteesa ku tteeka ekkulu ery’okuwaliriza okukuuma olunaku Iwa Sande - so nga y’enkola Luumi gye yatandikawo, era gy’ekayanira nti ako ke kabonero k’obuyinza bwe. Ogwo mwoyo gwa bwapapa - omwoyo gw’okwefaananyiriza n’obulombolombo bw’ensi, nga bassaamu ekitiibwa obulombolombo bw’abantu okusinga ebiragiro bya Katonda - ogugenda gusensera ekkanisa z’Obupulotestanti nga bwe bagenda bagulumiza olunaku lwa Sande obwapapa kye bwabasooka okukola. EE 368.1
Omusomi bw’aba ayagala okumanya emikutu Setaani gy’agenda okukozesa mu lutalo luno olunaatera okubaawo, kimugwanira kunoonyeza ku buwandiike obulaga engeri Luumi gye yakolamu ng’atuukiriza ebigendererwa bye mu biro ebyayita. Bw&pos;anaamala okumanya engeri obwapapa n’Obupulotestanti gye bwegatta ne balwanyisa abo abaagaana okukkiriza enjigiriza zaabwe, awo lw&pos;anaategeera omwoyo Luumi gweyakozesa nga alwanyisa abakuumi ba Ssabbiiti n’abo abagirwanirira. EE 368.2
Emikolo gy’obukafiiri gyayingizibwa mu kusinza kw’Obukristaayo Iwa biwandiiko okuva mu mbiri, mu nkiiko z’amawanga n’amateeka agaateekebwa ekkanisa era ne giwalirizibwa obuyinza bw’ensi. Era n’etteeka eryasooka okuteekebwa ly’eryokukuuma olunaku Iwa Sande eryakolebwa Konstantino. (A.D. 321). Etteeka lino lyategeezanga nti abantu abali mu bibuga kibagwanira okuwummula “ku lunaku olukulu olw’enjuba,” kyokka nga liwa eddembe abantu abali mu byalo okugenda mu maaso n’emirimu gyabwe egy’obulimi. Wadde nga lirabikira ddala nti tteeka lya bakafiiri, lyawalirizibwa kabaka Konstantino oluvannyuma lw’okukkiriza Obukristaayo mu linnya-obunnya. EE 368.3
Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka tekyalina nsonga zimala okukiwagira nga akyusa ekiragiro kya Katonda, omulabirizi Eusebius, eyayagala okusiimibwa abalangira, so nga yali mukwano gwa kabaka Konstantino, kyava ategeeza nti Kristo yakyusa Ssabbiiti n’agizza ku Sande. Tewaaliwo Kyawandiikibwa kyonna kye yakozesa okunyweza enjigiriza eno empya. Wabula wakati mu butagaane Eusebius yakkiriza enjigiriza eno nga bw’eri ey’obulimba era n&pos;asonga ku buyinza bw’ennyini obwakyusa. “Emikolo gyonna egirina okukolebwa ku Ssabbiiti twagikyusa ne tugizza ku lunaku lwa Mukama.” - Robert Cox, Sabbath Laws and Sabbath Duties, p. 538. Kyokka olunaku lwa Sande newakubadde nga terwalinako musingi, Iwayanguyiza abantu okulinnyirira Ssabbiiti ya Mukama. Era bonna abaayagala ensi okubasiima bakkiriza okutwala olunaku lw&pos;abangi. EE 368.4
Obwapapa gye bweyongera okunyweza entebe ya bwo, n’olunaku lwa Sande gye Iwakoma okugulumizibwa. Abantu baasooka ne basigala nga bakyalukolerako emirimu okumala ekiseera era nga tebagenda mu kkanisa era nga n’olunaku olwoomusanvu lukyatwalibwa nga ye Ssabbiiti. Kyokka etteeka lyamala ne liteekebwa mu nkola. Abo abakola mu bifo omusalirwa emisango baagaanibwa okuddamu okusala emisango nga bataawulula ennyombo zonna mu bantu ku lunaku lwa Sande. Ate oluvannyuma, abantu bonna mu biti byabwe ebyenjawulo, baalagirwa nabo bawummuze emirimu gyabwe okwewala okusasula engassi ku muntu oweddembe oba okukubwa cmiggo bw’aba nga muddu. Oluvannyuma ddala, EE 368.5
etteeka ne lirangirirwa ne ku bagagga nti nabo baakubonerezebwa nga baggibwako ekitundu ku bugagga bwabwe; n’ekyenkomerero, nga singa beerema bafuulibwe abaddu. Abakopi bo nga bawaŋŋangusibwa obutaddamu kulabikako nate. EE 369.1
Ebyamagero nabyo byatandika okwogerwako. Era ekimu ku byewuunyo, kyategeezebwa nti waaliwo omulimi eyali anaatera okutandika okulima mu nnimiro ye ku lunaku lwa Sande bwe yali ali mu kuwagala enkumbi ye, ekyuma ekiwagala ne kimuyingira mu kibatu ky’engalo ze, n’abonaabona nakyo okumala emyaka ebiri, tlwakati mu bulumi obuyitirivu n’okuswala.” - Francis West, Historical and Practical Discourse on the Lord’s Day, page 174. EE 369.2
01uvannyuma papa yawa ebiragiro nti abasasedooti abookumiruka nabo baweereddwa obuyinza okubuulirira abo bonna abayonoona olunaku Iwa Sande era babategeeze bagende ku kkanisa basabe, si kulw&pos;a nga beeretako ekikolimo oba ne ku baalirwana baabwe. Olukiiko lw’ekkanisa y’e Luumi lwatandika n’okuyigiriza enjigiriza kumpi ebunye wonna, so era n’Abapulotestanti nti, olw’okubanga abantu bangi bakubiddwa eggulu olw’okukolanga ku lunaku Iwa Sande, n’olwekyo eyo eteekwa okuba nga ye Ssabbiiti. Omulabirizi omu yagamba nti, “Kirabika lwatu nga Katonda bw’ali omunyiivu olw’okulagajjalira olunaku luno.” Baateekawo okusaba okwenjawulo nga abasasedooti, abaweereza, bakabaka n’abalangira, awamu n’abantu bonna abeesigwa “bakole kyonna ekisoboka era bafeeyo okulaba nga olunaku olwo luzzibwayo ku kitiibwa kyalwo era balukuume butiribiri ku lw’obulungi bw’Abakristaayo bonna olw’ekiseera ekijja.” - Thomas Morer, Discourse, in Six Dialogues on the Name, Notion, and Observation of the Lord’s Day, page 271. EE 369.3
Ebiragiro ebyakolebwanga ekkanisa bwe baalaba nga biremeddwa, ne baayingizaawo obuyinza bw&pos;a zigavumenti ziyise ebiragiro ebiteeka entiisa ku mitima gy’abantu olwo balyoke batye era balekere awo okukolera emirimu ku lunaku Iwa Sande. Ebiragiro byonna ebyasooka okukolebwa byaddamu nate ne binywezebwa mu maanyi amangi olukiiko lw’ekkanisa olwatuula e Luumi. Byayingizibwa mu biragiro by’ekkanisa era abafuzi b’ensi ne babiwaliriza ku bantu okubikuuma kumpi okwetoloola wonna mu nsi z’Obukristaayo. (Laba Heylyn, History of the Sabbath, pt. 2,ch. 5, sec. 7.) EE 369.4
Kyokka era nga tebayinza na kukwatibwa nsonyi olw’okubulwa Ebyawandiikibwa ebinyweza okukuuma olunaku lwa Sande. Abantu ne baabuuzanga abasomesa baabwe obuyinza gye baabujja obw’okujjaw&pos;o ekiragiro kya Yakuwa ekinywevu ekigamba nti “Olunaku olwoomusanvu ye Ssabbiiti eri Mukama Katonda wo,” ne bazzaawo okukuuma olunaku lw’enjuba. Bwe baayagala okubaako kye bajuliza olw’okubulwa obujjulirwa bw’Ebyawandiikibwa, ne bayiiya engeri endala. Waaliwo omulwanirizi w’olunaku lwa Sande eyagenda e Bungereza awo nga ku nkomerero y’ekyasa eky’ekkuminebibiri eyawakanyizibwa ennyo abajulirwa b’obutuukirivu; era nadduka okuva mu nsi okumala ekiseera nga talina kyafunye. Bwe yakomawo nate kwe kujja n’obujulizi obw’obulimba, era ku mulundi guno n’atuuka ku buwanguzi obwamaanyi. Yajja n’omuzingo gwe yagamba nti gwava wa Katonda mwene, nga kuliko obuwandiike obulagira okukuuma olunaku lwa Sande, ko n’okukanga okusobola okutiisa abajeemu. Ekiwandiiko kino ekyomuwendo - ekyali ekicupuli kyennyini okufaanana n’olunaku lwe kyogerako - kyagambibwa nti kyagwa okuva mu ggulu ne kisangibwa e Yerusaalemi ku alutaali ya Simiyooni omutuukirivu, e EE 369.5
Gologoosa. Kyokka ekyamazima, kyajjibwa mu lubiri Iw’abalabirizi b’e Luumi. Obuyinza bw’obwapapa bubadde butunuulira obubbi n’obulyake ng’obuli mu mateeka okumala emyaka mingi, kavuna bubeera nga buleetera ekkanisa okufuna obuyinza n’okukulakulana. EE 370.1
Omuzingo guno nga guziyiza okukola omulimu gwonna okuva ku ssaawa eyoomwenda ku lunaku Iwa Satade olweggulo, okutuusa enjuba ng’evuddeyo ku Mande; era ebyamagero bingi ebyayogerwa nga bikakasa nga bweguli ogwamazima. Kyategeezebwa nti abantu abaakolanga okusukka ku ssaawa endagire baafunanga endwadde y’okusannyalala. Omukubi w’akawunga eyagezangako okukuba akawunga, mukifo ky’akawunga okuyiika, yalabanga musaayi nga guyiika n’ekyuma ne kyesiba obutasaako mazzi amayitirivu agayiikanga. Omukazi eyateekanga eŋŋaano enkande mu oveni yasaŋŋanga evunze mu kugijjamu, wadde nga oveni yabanga eyokya. Ate omulala eyakandanga eŋŋaano ye essaawa eyoomwenda n’etuuka kyokka n’amalirira okugirekawo okutuuka ku lunaku Iwa Mande, mbu, enkeera yagisanganga efuuseemu emigaati nga gifumbiddwa buyinza bwa Katonda. Sso omusajja eyafumbanga emigaati gye oluvannyuma Iw’essaawa eyoomwenda ku lunaku Iwa Satade, bwe yagimenyangamu enkeera kumakya, musaayi gwe gwavangamu. Bwebatyo abalwanirizi ba Sande bwe basaasaanyanga enfumo ez’obulimba nga baagala okunyweza obutukuvu bwa Sande. (Laba Roger de Hoveden, Annals, vol. 2, pp. 528- 530.) EE 370.2
E Sikotilandi, okufaananako n’e Bungereza, abantu bangi baakuumanga olunaku Iwa Sande nga balugasseeko ekitundu ku lunaku Iwa Ssabbiiti eyasooka. Kyokka essaawa gye baalina okukuuma nga ntukuvu nga tefaanagana. Ekiragiro Kabaka w’e Sikotilandi kye yawa nga kigamba nti “Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu ku lunaku Iwa Satade zitwalibwe okuba nga ntukuvu,” era nga tewali muntu yenna alina okukola omulimu gwonna ogw’ensi okuva mu ssaawa ezo okutuusa ku Mande nga enjuba evuddeyo. - Morer, pages 290,291. EE 370.3
Kyokka newakubadde nga baakola kyonna ekisoboka okufuula olunaku Iwa Sande okuba nga lutukuvu, abagoberezi ba papa bakkiriza era ne balaga n’enjawulo wakati wa Ssabbiiti eyalagirwa Katonda n’ekijjukizo ekyaleetebwa omuntu ekyadda mu kifo kyayo. Olukiiko Iwa papa olwatuula mu kyasa ky’ekkuminoomukaaga Iwayogera Iwantu nti, “Abantu ka bajjukire bulungi nti olunaku olwoomusanvu Iwatukuzibwa Katonda, era lubadde lukkirizibwa era nga lukuumibwa, so si Bayudaaya bokka, naye n’abo bonna abeegamba nti basinza Katonda; wadde nga ffe Abakristaayo twakyusa Ssabbiiti yaabwe ne tugizza ku lunaku Iwa Mukama.” - Ibid., pages 281,282. Abo abaazannyira ku tteeka lya Katonda tebaakikola mu butamanya. Baali beeraga bokka nga bwe bali waggulu wa Katonda. EE 370.4
Ekyokulabirako ekyangu ennyo ku nkola za Luumi mu kuyigganya abantu bwe batakkaanya kyalabikira mu kuyigganya okwali okuwanvu ennyo era okwajjula omusaayi nga bayigganya abagoberezi ba Waludensi, nga n’abamu ku bo baali bakuumi ba Ssabbiiti. Abalala baabonaabona mu ngeri yeemu olw’obwesigwa bwabwe obutayonoona tteeka eryookuna. Ebyafaayo by’ekkanisa z’omu Esiyopiya ne Abisiiniya bikulu ddala ku nsonga eno. Wakati mu kizikiza ekikutte zigizigi ekyabuutikira ensi, Abakristaayo b&pos;omu massekkati ga Afirika bagibwako amaaso ne beerabirwa ensi, olwo ne basanyukira mu ddembe ly’okukkiriza kwabwe okumala EE 370.5
ebyasa by’emyaka. Naye oluvannyuma Luumi yabategeera, era mangu nnyo n’ebuzaabuza kabaka we Abisiiniya akkirize nti papa ye mukiise wa Kristo wano ku nsi. Amateeka amalala ne gagoberera. Yaweereza ekiwandiiko nga kibaziyiza okukuuma olunaku Iwa Ssabbiiti nga kiriko ebibonerezo ebikambwe. (Laba Micheal Geddes, Church History of Ethiopia, pages 311,312.) kyokka obufuzi bwa papa bwatuuka ne bubabeerera ekikoligo nga bubamazeeko eddembe, abantu be Abisiiniya ne bamalirira okwekutulako ekikoligo ekyali mu bulago bwabwe. 01uvannyuma Iw’okulwana okwamaanyi, Abaluumi baagobwa mu matwale gaabwe, abantu ne baddamu okusinza nga bwe gwali mu kusooka. Ekkanisa zaasanyukira mu ddembc lyabwe nate oluvannyuma lw’okuyiga ebyokuyiga ebikwata ku bulimba, ebyobufuzi n’obuyinza bwa Luumi obwekyuma era tebalibyerabira nate. Baasanyuka okusigala nga bamativu olweyawula nga bali mu bwakabaka bwabwe nga tebamanyiddwa mu nsi endala ez’Obukristaayo. EE 371.1
Ekkanisa z’omu Afirika zaakuumanga olunaku lwa Ssabbiiti nga bwe lwakuumibwanga ekkanisa y’e Luumi nga tennagwira ddala. Wadde nga baakuumanga olunaku lw’omusanvu nga bagondera etteeka lya Katonda, baawummuzanga n’emirimu gyabwe ku Sande olw&pos;akalombolombo k’ekkanisa y’e Luumi. Wabula Luumi yalinnyirira Ssabbiiti ya Katonda ng&pos;eyagala okugulumiza eya yo bwe yanyweza obuyinza bwayo; kyokka ekkanisa z’omu Afirika tezaalimu njigiriza eno eyobulimba okumala emyaka egisoba mu lukumi olw’okubanga zaali tezimanyiddwa. Bwe zaayingizibwa mu bufuge bwa Luumi, zaawalirizibwa okulekawo Ssabbiiti entuufu ne bagulumiza ey&pos;obulimba; kyokka amangu ddala nga baakafuna obwetwaze baddayo ne bagondera etteeka eryookuna. EE 371.2
Obuwandiike buno obw’ebyo ebyaliwo bulagira ddala obukyayi Luumi bw’erina ku Ssabbiiti eyamazima n’abo abagirwanirira, ko n’engeri z’ekozesa abantu basseemu ekitiibwa ekijjukizo yo kye yateekawo. Ekigambo kya Katonda kituyigiriza nga ebintu bino byakuddamu okubaawo ekkanisa y’e Luumi n’Abapulotestanti bwe baneegatta bagulumize olunaku lwa Sande. EE 371.3
Obunnabbi bwa Kubikkulirwa 13 bugamba nti obuyinza bw’ensolo eyalina amayembe ng’ag’omwana gw’endiga, yaakusinzisa ensi n’abo abagituulamu, obwapapa - obwogerwako wano ng’ensolo “efaanana ng’engo.” Ensolo erina amayembe abiri era nayo yakwogera “ng’egamba abatuula ku nsi, okukolera ensolo ekifaananyi;” n’ekirala, eragire bonna “abato n’abakulu, n’abagagga n’abaavu, n’ab’eddembe n’abaddu,” okuweebwa akabonero k’ensolo. Kubikkulirwa 13:11-16. Kimaze okutegerekeka nti Amerika bwe buyinza obulabikira mu kifaananyi ky’ensolo erina amayembe ng’ag’omwana gw’endiga, era nga obunnabbi buno bwakutuukirira Amerika bw’enewaliriza abantu okukuuma olunaku lwa Sande, Luumi lw’egamba nti lwateekebwawo buyinza bwe. Kyokka mu kusinza obwapapa Amerika tegenda kubeera yokka. Ettuttumu lya Luumi eryali mu nsi ze yafugako teriggwerangawo ddala. Ate nga n’obunnabbi bulagula nti eriddamu okufuna obuyinza bwayo. “Ne ndaba ogumu ku mitwe gyayo nga gufumitiddwa okufa, n’ekiwundu eky’okufa ne kiwona.” Olunny. 3. Obulumi bw’ekiwundu kyeyafuna busonga ku kugwa kw’obwapapa mu 1798. 01uvannyuma Iwa kino, nnabbi agamba nti, “n’ekiwundu eky’okufa ne kiwona: n’ensi zonna ne zigoberera ensolo eyo nga zeewuunya.” Ate Pawulo n’agamba Iwatu nti “omuntu w’okwonoona” waakubeerawo okutuusa EE 371.4
okuja kwe. 2Abasessaloniika 2:3-8. Waakugenda mu maaso nga akola omulimu gwe ogw’okulimba okutuusa enkomerero. Era Yokaana agamba ng’ayogera ku bwapapa nti: “Era bonna abatuula mu nsi baligisinza, buli ataawandiikibwa linnya lye mu kitabo ky’obulamu.” Kubikkulirwa 13:8. Obwapapa buzze nga businzibwa okuva edda nedda era bwakusinzibwa Iwa kijjukizo kya lunaku Iwa Sande bwo kye bweteerawo olw’obuyinza bw’ekkanisa y’e Luumi. EE 372.1
Abayizi b’obunnabbi mu Amerika bazze nga bategeeza ensi obujulirwa buno okuva awo nga mu makkati g’ekyasa ky’ekkuminomwenda. Era obunnabbi bugenda butuukirira ku misinde miyitirivu bwe weetegereza ebintu nga bwe bigenda bibaawo. Kyokka abasomesa b’ObupuIotestanti bakyagenda mu maaso n’okuyigiriza abantu okukuuma olunaku Iwa Sande nga bakozesa obuyinza bwa Katonda, awatali bujulizi bwa Byawandiikibwa, okufaanana n’obwapapa obwagunjawo ebyamagero balage nga nti Katonda yalagidde. Baakugenda mu maaso n’okukkaatiriza nti Katonda waakukuba ensi n’ekikolimo olw’okwonoona Sande nga Ssabbiiti; so era batandise n’okukyogera. Era n’omugendo gw’okuwaliriza okukuuma olunaku lwa Sande gugenda gweyongera mbiro okunywera. EE 372.2
Ekkanisa y’e Luumi yewuunyisa olw’obujagujagu n’obukalabakalaba bwayo. Esobola okutegeera ekyokubaawo mu maaso. Ekyagumiikirizaako anti eraba nga ekkanisa z’ObupuIotestanti ziri mu kugisinza bwe zakkiriza okutwala Ssabbiiti eyobulimba era nga beeteeseteese okugiwaliriza ku bantu mu ngeri yeemu nga bwe yakola mu biseera ebyayita. Abo bonna abanaagaana omusana ogwamazima nga baagala okugulumiza olunaku olwatandikibwa Luumi baakunonya engeri gye banatunamu obuyambi bw’obuyinza buno obweyita nti tebusobya. Si kizibu okuteebereza engeri gy’eyinza okwanguwamu okusobola okuyamba Abapulotestanti mu mulimu guno. Ye ate ani asinga abakulembeze b’obwapapa okumanya engeri gye bagololamu abajeemedde ekkanisa? EE 372.3
Ekkanisa y’e Luumi, awamu n’amatabi gaayo okwetoloola ensi yonna, ekola ekibiina kimu ekinene ddala nga kifugibwa, era nga kyateekebwateekebwa okutuukiriza ebigendererwa by’ekitebe ky’obwapapa. Abagoberezi baayo abali eyo mu bukadde bw’abantu, nga bali mu buli nsi okwetoloola ensi yonna, bayigirizibwa beeyise era beebale okuba abawulize eri papa. Si nsonga bava mu ggwanga ki, obuyinza bw’ekkanisa bwe batwala nga bukira ku bwonna. Wadde nga bakola ebirayiro okubanga abawulize eri amawanga gye baaweerereza, kyokka emabega wakyo waliyo ekirayiro ekikulu ekyobuwulize eri Luumi ekisaabulula ebirayiro byonna ebyobulabe eri ebigendererwa bye. EE 372.4
Ebyafaayo bitukakasa nga Luumi bw’erina obukujjukujju n’okulemerako singa eyagala okweyingiza mu nsonga zonna ez’amawanga; era ne bweyamala okufuna kwesinziira okutuukiriza ebigendererwa bye, wadde nga abalangira awamu n’abantu basaanawo. Mu mwaka 1204, Papa Inocenti III yawandiika ekirayiro ng’akijja ku kya kabaka wa Abarragoni ayitibwa Peetero II. Kyali kigamba nti: “Nze, Peetero, kabaka wa Abanragoni njatula era nsuubiza okubeeranga omwesigwa era omuwulize eri mukama wange Papa Inocenti, n’eri Abakatoliki abalimusikira, n’eri ekkanisa y’e Luumi, era okubeeranga omwesigwa nga nkulembera obwakabaka bwange nga bumuwulira, nga nnwanirira eddiini y’Obukatoliki, era nga njigganyanga abayigiriza ebyobulimba.” - John Dowling, The History of Romanism, b. 5, ch. 6, sec. 55. EE 372.5
Ebigambo bino bikkaanya bulungi n’ebigambo by’omulabirizi w’e Luumi by’agamba nti, “alina obuyinza okumaamulako bakabaka” era nti “asobola okugamba abantu ne bajja obuwulize bwabwe ku bakulembeze abatali batuukirivu.” - Mosheim, b. 3, cent. 11, pt. 2, ch. sec. 9, note 17. EE 373.1
Ate njagala kino kijjukirwe, Luumi yeenyumiriza nti yo tekyukakyuka. Enkola ya Gregory VII ne Inocenti III y’ekyali enkola y’ekkanisa y’e Luumi. Era singa ebadde n’obuyinza, yandigitadde mu nkola mu maanyi amangi leero nga bwe yakola ne mu byasa ebyayita. Abapulotestanti bategeerako kitono ku kye bakola nga basaba bayambibweko Luumi ku mulimu gw’okugulumiza olunaku Iwa Sande. Bo nga beefunyiridde batunuulira kutuukiriza bigendererwa byabwe, Luumi enoonya kuzaawo buyinza bwayo na kitiibwa kye yafiirwa. Etteeka ne limala liyita mu Amerika nti ekkanisa esobola okukozesa oba okufuga obuyinza bw’eggwanga, nti emikolo gy’ekkanisa gisobola okuwalirizibwa amateeka g’eggwanga; kwe kugamba, nti obuyinza bw’ekkanisa n’obw’ensi nga bwe bufuga endowooza y’omuntu, olwo Luumi eneeba etuuse ku buwanguzi mu nsi eno. EE 373.2
Kino tekyerabirwa, anti ekigambo kya Katonda kiwadde okulabula ku kabi akanaatera okubaawo; wabula ekkanisa y’Obupulotestanti weeritegeerera ebigendererwa bya Luumi, obudde buliba buyise nnyo nga tekyayinza kuwona mitego gye. Egenda ekula nga yeyongera mu maanyi. Enjigiriza ze zigenda zikola omuzinzi mu nkiiko z’amawanga, mu makanisa, ne mu mitima gy’abantu. Egenda eteekawo ebizimbe bingi era ebiwanvu mu bifo ebyekusifu mweneeyigganyirizanga abantu. Egenda ekurjŋaanya amaggye ge mu bubba egakozese okutwala mu maaso ebigendererwa bye ekiseera nga kituuse. Kye yeetaaga kyokka kwe kuweebwa enkizo, ate nga kino yamala dda okukifuna. Tunaatera okulaba era n’okuwulira ki Luumi kyetegeeza ku bigendererwa bye. Buli alikkiriza era n’agondera ekigambo kya Katonda waakulega ku kuvumibwa n’okuyigganyizibwa. EE 373.3