Essuubi Eritaggwaawo
32 — Emitego Gya Setaani
Olutalo olunene wakati wa Kristo ne Setaani, kaakano olukulungudde kumpi emyaka kakaaga lunaatera okutuuka ku nkomerero yaalwo; era n’omubi akubisizzaamu amaanyi ge ayinze okuwangula omulimu gwa Kristo gwakola ku lw’omuntu n’okunywereza emyoyo egyo mu mitego gye. Ekigendererwa kye era ne kyayagala okutuukiriza, kwe kukuumira abantu mu kizikiza ko n’obutenenya okutuusa ng’ekiseera ky’Omulokozi eky’okutangirira kiweddeko, era nga tewakyali mukisa mulala gwonna ogwa ssaddaaka eri ekibi. EE 333.2
Bwe watabaawo kufuba kwa njawulo okuwakanya amaanyi ge, ekkanisa bweyeyongera okugenda mu maaso nga teyeefiirayo, olwo Setaani aba talumwa; anti aba talina kabi konna nti afiirwa abo be yawamba okukola byayagala. Naye bwe bayitibwa beetegereze ebyo eby’emirembe n’emirembe nga n’emyoyo gibuuza nti: “Kiŋŋwanidde kukola ntya okulokolebwa?” olwo ajja wansi ng’anoonya okuwakanya obuyinza bwa Kristo n’okusaabulula amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu. EE 333.3
Ebyawandiikibwa bitugamba nti, olumu abaana ba Katonda bwe baagenda okukiika mu maaso ga Mukama, ne Setaani yajjiramu (Yobu 1:6), so si lwa kuvuunama mu maaso ga Kabaka wa bakabaka, wabula okwagala okusasaanya ettima lye eri abatukuvu. Mu ngeri yeemu, ajja n’ekigendererwa kye n’abeerawo abantu buli Iwe bagenda okusinza Katonda. Newakubadde nga talabika na maaso, akola na maanyi okusobola okufuga ebirowoozo by’abali mu kusinza. Okufaananako n’omuserikale omugezigezi akola enteekateeka ze nga bukyali. Bw’alaba nga omubaka wa Katonda ali mu kunoonya mu Byawandiikibwa, nga yeetegereza ekyokuyiga ekinaaketeegezebwa abantu. Olwo n’akozesa obukalabakalaba bwe n’obukujjukujju afuge embeera obubaka buleme okutuuka ku abo baabadde alimba ku nsonga eyo. Oyo eyandisinze okwetaaga okulabula okwo, n’awugulibwa okulowooza ku nsonga endala eyinza okutwala ebirowoozo bye, oba okuziyizibwa n’embeera yonna obutawuliriza bigambo ebyandimubeeredde ewumbe eriva mu bulamu erireeta obulamu. EE 333.4
Era, Setaani alaba nga abaddu ba Mukama bazitoowereddwa olw’ekizikiza eky’omwoyo ekibisse abantu ba Katonda. Awuliriza nga bali mu kusaba baweebwe ekisa kya Katonda n’amaanyi okuggyawo ekikolimo ky’obutafaayo, okwesulirayo ogwanaggamba n’obunafu. Olwo n’addamu buggya amaanyi okunyweza emitego gye. Akema abantu okweyonoonesa mu kulya oba okwekkusa mu ngeri endala yonna, bwebatyo ne basannyalaza okutegeera kwabwe nga tebayinza kuwuliriza ebintu ebyo byennyini bye basinga okwetaaga okuyiga. EE 334.1
Setaani akimanyidde ddala nga abo baanayinza okulemesa okunoonya mu Byawandiikibwa era ne bagayaalirira okusaba, ajja kubawangula. N’olwekyo kyava avumbula buli ngeri yonna esoboka okuwamba ebirowoozo by’abantu. Ebbanga lyonna, waddewo abantu abeelowooza nti batya Katonda, naye nga mukifo ky’okwagala okumanya amazima, bakifudde mpisa yaabwe okunoonya okulemwa kw’abalala oba ensobi mu ebyo abalala bye bakkiriza olw’okubanga balina obutakkaanya. Abo gwe mukono ogwaddyo ogwa Setaani mu kutuukiriza by’ayagala. Abaloopa baganda baffe si batono, era bakola butaweera Katonda nga akola omulimu gwe mu baddu be nga bamusinza. Basiiga ebifaananyi ebikyamu ku bigambo n’ebikolwa by&pos;abo abaagala era abawulize eri amazima. Boogera ku baddu ba Kristo abafuba, abatakoowa era abeerumya nti baalimbibwa oba nti balimba. Bagufudde mulimu gwabwe okulimbisa buli kikolwa ekirimu ebigendererwa ebirungi, nga babakuba obwama, n’okuleeta okubuusabuusa mu birowoozo by&pos;abalina okumanya okutono. Banoonya mu buli ngeri yonna esoboka okwonoona ekyo ekirabika nga kirungi era nga kitukuvu okukiraba nga ekyomuzizo era obulimba. EE 334.2
Kyokka tewaba n’omu alimbibwa ku bantu abo. Kyangu kyakumanya ani abazaala, ani gwe bagoberera, era bakola mulimu gw’ani. “Mulibategeerera ku bibala byabwe.” Matayo 7:16. Ebigendererwa byabwe byefaananyiriza n’ebya Setaani ow’olulimi Iw’obusaggwa oluwaayiriza nga “aloopa baganda baffe.” Kubikkulirwa 12:10. EE 334.3
Omulimba ono alina ababaka bangi abeetefuteefu okuleeta ensobi eza buli ngeri okusuula emyoyo mu mitego - enjigiriza enkyamu nga zituukana n&pos;ebisanyusa awamu n’obusobozi bw’abo baayagala okuzikiriza. Kubanga enteekateeka ye eri nti, ayagala okuyingiza mu kkanisa abantu abeekibogwe era abataboneredde bayinze okuwagira okubuusabuusa n’obutakkiriza, era balemese abo bonna abaagala okulaba omulimu gwa Katonda nga gweyongera mu maaso so era nga batambulira wamu na gwo. Bangi ku batalina kukkiriza kwa mazima mu Katonda oba mu kigambo kye, baakukkiriza agamu ku mazima era batwalibwe nga Abakristaayo, bwebatyo bayinze okuyingiza ensobi zaabwe nga ez’enjigiriza ey’Ebyawandiikibwa. EE 334.4
Endowooza egamba nti si nsonga oba abantu bakkiriza ki, y’emu ku bulimba bwa Setaani mwasinze okufunira obuwanguzi. Akimanyi nti, amazima nga gaaniriziddwa mu kwagala gatukuza omwoyo gw’oyo agafunye; n’olwekyo afuba buli kiseera okwongerako enjigiriza enkyamu, n’enfumo, bitwalibwe ng’enjiri endala. Okuva olubereberye abaddu ba Katonda bazze balwanyisa abayigiriza ab’obulimba, so si lwakubanga balabe, wabula Iwakubanga bawaliriza obulimba obuleeta okuzikiriza emyoyo. Eriya, Yeremiya, Pawulo baawakanyanga mu buvumu awatali kutya abo bonna abakyusanga abantu okubajja ku kigambo kya Katonda. Eddembe eryo erirowoozesa enjiri eyamazima ng’ensonga eteri nkulu nnyo teryakwatirwako kisa mu balwanirizi b’amazima bano abatukuvu. EE 334.5
Entaputa ezitategerekeka era ezitakkirizika ez’Ebyawandiikibwa, n’enjigiriza ezikontana mu ddiini kaakano eziri mu nsi z’Abakristaayo, egyo gyonna mirimu gya mulabe waffe asinga obukulu olw’okutabulatabula abantu baleme kulaba mazima. Era obutakkaanya n’enjawukana ebiri mu makanisa ag’Obukristaayo bisinga kuva ku ndowooza ey’okukozesa Ebyawandiikibwa okuwagira enjigiriza eyagalwa. Mukifo ky’okuyiga ekigambo kya Katonda n&pos;obwegendereza n’omutima omuwombeefu olw’okutegeera ky’ayagala, bangi banoonya kuvumbulayo ekyo ekitali kyabulijjo. EE 335.1
Olwokwagala okunyweza enjigiriza eziwabya oba empisa ezitali zabukristaayo, abamu beenywereza ku nnyiriri z’ebyawandiikibwa ezitakwatagana mu makulu agali mu ssuula yonna, oluusi nga banokolayo ekitundu ku lunyiriri nga olukakasa ensonga yaabwe, so nga ekitundu ekisigaddeyo kyandiraze amakulu ganjawulo ddala. Awamu n’obukalabakalaba bwa Setaani, beebugiriza bokka na bokka n’ebigambo ebitakwatagana nga bitaputiddwa okutuukana n’okwegomba kwabwe. Bwekityo bangi ne banyoolanga mu bugenderevu ekigambo kya Katonda. Ate abalala abafaayo, beenywereza ku bifaananyi n’obubonero ebiri mu Byawandiikibwa Ebitukuvu, ne babitaputa nga babiteekako obuwakatirwa, olwo ne bayigiriza endowooza zaabwe ng&pos;enjigiriza ya Bayibuli, so ng’Ebyawandiikibwa byennyonnyola byokka. EE 335.2
Buli lwe wabeerawo okuyiga Ebyawandiikibwa awatali kusooka kusaba, okwewombeeka era n’omwoyo ogwagala okuyigirizibwa, ebyawandiikibwa ebitegerekeka obulungi, ebyangu era awamu n’ebisinga obuzibu, binyoolebwa ne biggwaamu amakulu gaabyo agamazima. Ekyo abakulembeze mu kkanisa y’e Luumi kyebakola mu kulondayo ebitundu ku Byawandiikibwa ebituukiriza obulungi ebigendererwa byabwe, ne bitaputibwa okutuuka ku kyebaagala, olwo ne biweebwa abantu, ng’ate bwe babamma omukisa okwenoonyeza mu Bayibuli bayinze okwetegeerera bo ku bwabwe amazima amatukuvu. Abantu bagwanidde okuweebwa Bayibuli yonna nga bwesoma mu bulamba bwayo. Kisingako bo obutayigirizibwa Bayibuli n’akatono okusinga okuddira Ebyawandiikibwa byonna ne binyoolebwa. EE 335.3
Bayibuli yawandiikibwa okuba omuluŋŋamya eri abo bonna abaagala okumanya obulungi ebyo Omutonzi waabwe byayagala. Katonda yawa abantu ekigambo kya bannabbi ekinywevu; bamalayika ne Kristo mwene kye bajja okutegeeza eri Danieri ne Yokaana ebyo eby&pos;okubaawo amangu. Ensonga enkulu ng’ezo ezikwata ku bulokozi bwaffe teyazireka nga zakyama. Teyazibikkula olwo ziryoke zitabule n’okuwabya oyo omwesigwa anoonya amazima. Mukama ayogera ng’ayita mu nnabbi Kaabakuuku nti: “Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku bipande, akusoma adduke mbiro.” Kaabakuuku 2:2. Ekigambo kya Katonda kyangu eri oyo akisoma n’omutima omusabi. Buli mwoyo omwesigwa era ogw’amazima gwa kutegeera omusana ogw’amazima. “Omusana gwasigirwa eri omutuukirivu.” Zabbuli 97:11. So era tewali kkanisa eyinza kugenda mu maaso nga ntukuvu okuggyako ng’abantu ba yo banoonyezza amazima ng’ekyobugagga ekyakisibwa. EE 335.4
Olw’okwagala okuweebwa eddembe, abantu bazibiddwa amaaso gaabwe eri enkwe z’omulabe, so nga ye bw’akola buli kiseera okutuukiriza ekigendererwa kye. Bw’anaawangula mu kuwanyisa Bayibuli olw’enfumo z’abantu, amateeka ga Kalonda gakuggyibwako ebirowoozo ekkanisa ziddeyo wansi w’obufuge bw’ekibi ng&pos;cno bwezigamba nti zaaweebwa eddembe. EE 335.5
Amagezi ga saayaansi gafuuse ekikolimo eri abantu bangi. Katonda yakkiriza ensi okuyingirwamu omusana ogw’okuvumbula mu magezi ga saayaansi n&pos;okuyiiya mu EE 335.6
bungi; kyokka newakubadde ne bakagezimunnyu, singa tebakulemberwa na kigambo kya Katonda mu kunoonyereza kwabwe, baakutabuka nga bagezaako okunoonyereza butya saayaansi n’ekigambo kya Katonda bwe bitabagana. EE 336.1
Amagezi g’omuntu ku bintu eby’ensi awamu n’eby’omwoyo ga kitundu era tegatuukiridde; n’olwekyo bangi tebayinzizza kukwanaganya birowoozo byabwe ebya saayaansi awamu n’Ebyawandiikibwa. Abamu batutte ebirowoozo obulowoozo ng’amazima ga saayaansi ageetengeredde, ne balowooza nti ekigambo kya Katonda kyakugerageranyizibwanga ku kuyigiriza “kw’ebigambo eby’okutegeera (saayansi), okuyitibwa bwe kutyo mu bulimba.” lTimoseewo 6:20. Omutonzi n’ebyo bye yatonda bisukka okutegeera kwabwe; era olw’okubanga tebayinza kubinnyonnnyola nga bakozesa amateeka ag’obutonde, olwo balaba nga ebyafaayo bya Bayibuli tebyesigika. Ate nga abalimu okubuusabuusa kw’ebyafaayo by’Endagaano Enkadde n’Empya batera n’okweyongerayo ne babuusabuusa n’okubeerawo kwa Katonda nga bagamba nti amaanyi agabeezaawo ebintu gava ku butonde. Bwe bamala okuviibwako ekyo ekibanyweza ng&pos;ennanga bw’enyweza eryato, olwo ne batandika okutomera enjazi z’obutakkiriza. EE 336.2
Bwebatyo bangi bwe babula okuva mu kukkiriza era bwe basendebwasendebwa omulabe. Abantu baagadde okugeziwala okusinga Omutonzi waabwe; amagezi ag’abantu obuntu gagezezaako okunoonyereza n’okunnyonnyola ebyama ebitalibikkulibwa okuyita mu mirembe gyonna. Naye singa abantu banoonyerezza era ne bategeera ebyo Katonda bye yabikkula ebimukwatako awamu n’ebigendererwa bye, bandirabye ekitiibwa, obugulumivu n’amaanyi ga Yakuwa ne bategeera obutaliimu bwabwe era bandimatidde n’ebyo bye yabamanyisa abo n’abaana baabwe. EE 336.3
Ogwo mulimu gwa Setaani mu kuliimba akuumire abantu mu kunoonyereza n’okuteebereza ebyo Katonda byatategeezezza era byatagendererangako tTe tubitegeere. Ekyo kye kyasuula Lusifa okuva mu ggulu. Yawuliranga nga si mumativu kubanga ebyama byonna ebya Katonda teyabitegezebwangako, olwo naanyoomera ddala n’ebyo ebyamumanyisibwa ebikwata ku by’alina okukola mu kifo kye ekyekitiibwa ekyamuweebwa. Era bwatyo bwe yasuula ne bamalayika abaali wansi we ng’abateekamu embeera eyo ey&pos;obutamatira. Kaakano anoonya okuyingiza mu birowoozo by’abantu omwoyo gwe gumu era nabo abatwale mu kunyooma ebiragiro bya Katonda. EE 336.4
Bonna abanaagaana okukkiriza amazima ag’ekigambo kya Katonda agasala era agategerekeka obulungi, baakugenda mu maaso nga banoonya enfumo eziyinza okukakkanya ebirowoozo byabwe. Enjigiriza ezinaayigirizibwa gye zinaakomanga okuba nga tezikwata ku mwoyo, ku kwerumya n’okwetoowaza, gyeziggya okukoma okusanyukirwa. Abantu bano basalawo okukkakkanya okutegeera kwabwe olw’okwagala okusanyusa bye beegomba. Bawulira nga baakitalo nnyo nga tebayinza kunoonya mu Byawandiikibwa n’omutima oguboneredde awamu n’okusaba baluŋŋamizibwe Katonda, bwebatyo ne basigala nga tebalina bukuumi eri okulimbibwa kwonna. Kyokka Setaani mweteefuteefu okuwa omutima bye gwegomba nga bw&pos;abikka ku bulimba bwe okudda mukifo ky’amazima. Obwapapa bwebwakola mu kufuna obuyinza obufuga ebirowoozo by’abantu; n’Abapulotestanti nabo batambulidde mu kkubo lye limu bwe baajeemedde amazima kubanga EE 336.5
mu go mulimu okwetikka omusaalaba. Abo bonna abagayaalirira ekigambo kya Katonda olw’okwagala okusoma ebyo ebibanguyira ko n’enkola zaabwe, nti baleme okwawukana ennyo n’ensi, balirekerwa okuyigiriza okukyamu okuzikiriza mukifo ky’okukkiriza okw’amazima. Baakukkiriza obulimba bwonna obwa buli ngeri singa banaagenderera okujeemera amazima. Oyo anaatunuulira ensobi emu n’emutiisa waakukkiriza n’endala. Omutume Pawulo ng’ayogera ku kibiina ky’abantu bano “abatakkiriza kwagala mazima balyoke balokoke,” agamba nti: “Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba: bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.” 2Abasessaloniika 2:10-12. Okusinziira ku kulabula okwo, kitugwanira okutunula tukuume enjigiriza gye twaweebwa. EE 337.1
Erimu ku kkubo omulimba mwafunidde omukisa ze njigiriza ez’obulimba n’ebyamagero eby’obulimba eby’okwogera n’abafu. Setaani yekweka mu kifaananyi ekya malayika ow’omusana, olwo n’asasaanya emitego gye we gitasuubirirwa. Kale singa abantu bayiga ekigambo kya Katonda n’okusaba bayinze okutegeera ensonga eno, tebandisigadde mu kizikiza nga bakkiriza enjigiriza enkyamu. Naye bwe bajeemera amazima awo ne balyoka bagwa mu mitego gy’obulimba. EE 337.2
Ensobi endala ey’obulabe ye njigiriza egaana obwakatonda bwa Kristo, nga bagamba nti teyasooka kubaawo okutuusa Iwe yajja ku nsi. Enjigiriza eno eyagaddwa nnyo abantu bangi abagamba nti bakkiriza Bayibuli; so ng’ate enjigiriza eyo ewakanyizibwa n’ebigambo by’Omulokozi byeyayogera ku nkolagana ye ne Kitaawe, empisa ze ez’obwakatonda ne nga bwe yaliwo ng’ensi tennabaawo. Ekyo tekiyinza kugumiikirizika awatali kugirwanyisa na Byawandiikibwa. Anti tekoma mu kutyoboola ngeri muntu gyaweebwamu bulokozi kyokka, naye era esaabulula n’okukkiririza mu Bayibuli nga eyawandiikibwa Katonda. Ng’ogyeko okuba nti yaabulabe, ekaluubiriza n’okugikkiriza. Abantu bwe bagaana obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa ate nga bye byogera ku bwakatonda bwa Kristo, olwo oba tokyayinza kuwakana nabo; kubanga oba tolina woosinziira kubamatiza. “Naye omuntu ow’omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy’ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.” lAbakkolinso 2:14. Tewali n’omu akkiririza mu ndowooza eno ayinza okulaba mu ngeri entuufu empisa n’omulimu gwa Kristo oba enteekateeka ya Katonda enkulu ey’okununulamu omuntu. EE 337.3
Sso ate n’obukujjukujju obulala era ensobi ey’obulabe ye y’endowooza egenda ng’esaasaanyizibwa wonna nti Setaani ye mwene taliiyo; nti erinnya lye likozesebwa bukozesebwa mu Byawandiikibwa okulaga ebirowoozo ebibi n’okwegomba kw’abantu okubi. EE 337.4
Enjigiriza egenda ng’ewulirwa ku bituuti ensangi zino nti okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri kwekwo okubeerawo ng’omuntu afudde, olwo lukwe Iwa Setaani olugenderera okuwugula ebirowoozo by’abantu okubijja ku kujja kwa Kristo ng’ajjira ku bire eby’eggulu. Setaani azze ng’ayogera bwatyo okumala emyaka mingi nti: “Laba, Kristo ali wano” (Matayo 24:23-26); era emyoyo mingi gibuze olw’okuwuliriza obulimba obwo. EE 337.5
Ekirala, amagezi g’ensi eno gayigiriza nti okusaba si y’ensonga enkulu. Abantu abakkiririza mu saayaansi bagamba nti tewayinza kubaawo kuddibwamu EE 337.6
kwamazima okuyita mu kusaba; nti eyo ebeera nkozesa mbi ey’amateeka; ate ebyamagero, nti ebyo tebiriiyo. Bagamba, nti ensi eziri mu bwengula zifugibwa amateeka agatakyukakyuka, nga ne Katonda talina ky’ayinza kugakolako. Bwebatyo ne balaga Katonda nga naye afugibwa amateeka geyateeka - nga kiringa nti okukola kw’amateeka ga Katonda tekuzingiramu ddembe ly’abo ab’omu ggulu. Enjigiriza ezo ziwakanyizibwa obujulirwa obw’Ebyawandiikibwa. Mukama waffe era awamu n’abatume tebaakola byamagero? Omulokozi oyo ajjudde okusaasira y’omu akyaliwo ne leero, era mweteefuteefu okuwuliriza okusaba okwo okujjudde okukkiriza nga bwe yali ng’akyatambula alabibwa abantu. Obutonde bugondera bulungi nnyo obwakatonda. Ekyo kitundu ku nteekaateeka ya Katonda okutuwa ebyo bye tumusaba okuyita mu kwanukula essaala ejjudde okukkiriza, era nga kyatatuwadde tuba tetukimusabye. EE 338.1
Enjigiriza eziwabya era ezibuguumiriza nkumu nnyo leero era nga zigenda ziwamba amakanisa mangi ag’Abakristaayo. So ng’ate kizibu okufuumitiriza obuzibu bwenkana ki obuva mu kusangulawo ebyo ekigambo kya Katonda bye kyateekawo ng’ebijjukizo. Abatonotono bakoma mu kujeemera amazima ga mulundi gumu. Ate abasinga obungi ne beeyongerayo nga bagasangulawo mpolampola, okutuusa Iwe bafuukira ddala abakafiiri. EE 338.2
Ensobi eziri mu njigiriza eziriwo ensangi zino zireetedde bangi okufuna okubuusabuusa oboolyawo abandibadde abakkiriza mu Byawandiikibwa. Bakaluubirirwa okukkiriza enjigiriza ezibanyiiza ne balemererwa okusalawo, okufuna okusaasira n’okwagala; era olw’okubanga bino Bayibuli byeyigiriza, ne babigaana nti ebyo si kye kigambo kya Katonda. EE 338.3
Era ekyo Setaani ky’ayagala okutuukiriza. Tewali kyasinga kusanyukira nga okwonoona obwesige bw’abantu bwe balina mu Katonda n’ekigambo kye. Setaani akulembedde eggye eddene ery’ababuusabuusa era akola kyonna ekisoboka mu buyinza bwe okusekeeterera emyoyo gyabwe bamwegatteko. Kaakano kifuuse musono okubuusabuusa. Waliwo abantu bangi abatunuulira ekigambo kya Katonda nga tebakyesiga ng’era bwe bateesiga muwandiisi waakyo - kubanga kivumirira n’okunenya ekibi. Abo bonna abawulira nga sibeteefuteefu kukiwuliriza basala gonna kireme okubafuga. Basoma Bayibuli oba ne bawuliriza ebyo by’eyigiriza nga bwe biba byogeddwa ku kituuti, naye nga baagala kunoonya nsobi mu yo oba mu bubaka bwayo. Sso era si batono kaakano abagenderera obugenderezi okubeera abakafiiri olwo babe ne kyebeekwasa olw’okugayaalirira obuvunaanyizibwa bwabwe. Abalala bakozesa enkola ey’okubuusabuusa olw’amalala gaabwe n’obunafu. Okujjako olw’okubalabira ku kwagala ebiwedde mukifo ky’okukola ebyo ebigwanira okuweebwa ekitiibwa, omuli n’okweresa, badda mu kwekolera mannya nga bwe balina amagezi agakolokota Bayibuli. Waliwo ebintu bingi amagezi g’omuntu bye gatayinza kufuumitiriza singa abantu tebageziwazibwa na magezi ga bwakatonda; ate ago ge baagala okukolokota. Waliwo n’abalala abalowooza nti kyamagezi okuyimirirawo ku luuyi olw’abatakkiriza, ababuusabuusa, era n’abatali beesigwa. Kyokka bw’ogenda okubeetegereza mu mbeera zaabwe ezabulijjo, okizuula nga abantu abo bakolera mu malala na kwegulumiza. Abalala basanyuka nnyo bwe bazuulayo ensonga emu mu Byawandiikibwa olwo balyoke batabule ebirowoozo by’abalala. Abamu basooka ne bakuba empaka naye ku luuyi olukyamu, wabula EE 338.4
lwakwagala kuwakana buwakanyi, kyokka ne batamanya nti bali mu kwesuula bokka mu mitego gy’omuyizzi. Naye bwe bamala okweraga nga bwe batakkiriza, olwo bamalirira okunywerera ku nsonga yaabwe. Bwebatyo ne beegatta n’abatakkiriza Katonda nga beggalidde bokka ebweru w’eggulu. EE 339.1
Katonda ataddewo obujjulizi obumala mu kigambo kye obukakasa nti kirimu omukono gw’obwakatonda. Kyoleka lwatu amazima amakulu agakwata ku bulokozi bwaffe. Buli muntu ayinza okwezuulira amazima gano ng’ayambibwako Omwoyo Omutukuvu eyasuubizibwa okuweebwa abo abamunoonya mu mazima. Katonda yawa omuntu omusingi omunywevu kwe bayinza okuwummuliza okukkiriza kwabwe. EE 339.2
Kyokka ebirowoozo by’abantu obuntu tebyemala okutuuka okutegeera enteekateeka n’ebigendererwa bya Katonda byonna. Tetuliyinza okuyita mu kunoonyereza okuzuula Katonda. Era tekitugwanira kwaŋŋanga kubikkula lutimbe lweyabikka ku kitiibwa kye. Omutume agamba: “Emisango gye nga tegitegerekeka, n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!” Abaluumi 11:33. Wabula tuyinza okutegeera emirimu gye gy’akola mu fife era n’ensonga emukoza ebyo, tusobole okulengera okwagala okutagerwa n’okusaasira kwe bwe byegattira awamu mu maanyi g’obwakatonda. Kitaffe ow’omu ggulu y’afuga byonna mu magezi ge era ne mu butuukirivu bwe, era tekitugwanira kukeŋŋeentererwa mmeeme n’okuggwaamu obwesige, okujjako okuvuunama nga tumugondera okumuwa ekitiibwa. Ajja kutubikkulira ebigendererwa bye ebyo ebisaanira ku Iw’obulungi bwaffe okumanya, ebissukka awo tubikwase omukono gw’omuyinzawabyonna, alina omutima ogu[judde okwagala. EE 339.3
Wadde nga Katonda ataddewo obukakafu obumala obukwata ku kukkiriza, kyokka si wakusonyiwa abo abeewolereza olw’obutaba bakkiriza. Bonna abanoonya kye bayinza okwekwatako olw’okubuubabuusa kwe balina, baakumusisinkana. Era n’abo abagaana okukkiriza n’okugondera ekigambo kye nga bagamba nti bamala kwanukulwa bibuuzo byonna, nga tebakyalina kubuusabuusa kwonna, omusana si gwakubaakira. EE 339.4
Obuteesiga Katonda buju’a bubaawo mpola eri abo abalina omutima omukakanyavu sso ng’omutima ogw’engeri eyo gwabulabe eri Katonda. Kyokka ate okukkiriza kirabo ekiva eri Omwoyo Omutukuvu era nga kyeyongera okukula bwe kiyayaanirwa. Era tewali muntu ayinza kubeera wa maanyi mu kukkiriza okujjako ng’amaliridde. Obutakkiriza bufuna amaanyi singa bukugirwa; era singa abantu mukifo ky’okudda ku ebyo Katonda bye yateekawo ebinyweza okukkiriza kwabwe, basalawo okudda mu kwemulugunya n’okubuuza ebibuuzo ebitagasa, baakwesanga nga beeyongera okubuusabuusa. EE 339.5
Kyokka era abo ababuusabuusa ebisuubizo bya Katonda era ne bateesiga obukakafu obwekisa kye bavumaganya erinnya lya Katonda; abandibadde basikiriza abalala okujja eri Kristo, babasindiikiriza busindiikiriza. Balinga omuti ogutabala bibala, ogwanjaaza amakoola gaagwo amaziyivu agabikka ebimera ebirala obutafuna musana n’ekivaamu ne biwotoka era ne bifa olw’obunnyogovu n’ekisiikirize. Bye bakola mu bulamu bwabwe tebirikoma kujjukirwa eri abantu abo. Basiga ensigo ez’okubuusabuusa n’okutiisatiisa balyoke bakungule bingi. EE 339.6
Waliwo ekkubo limu lyokka eri ababuusabuusa abaagala okusumululwa okuva mu busibe bw’okubuusabuusa. Mukifo ky’okubuuzanga n’okwemulugunyanga mu bintu ebitaliimu era ne bye batategeera, ka baseeyo omwoyo eri omusana gwe balina era ogubaakira, olwo nno banaafuna omusana ogusingako. Ka bakole ebyo bye bagwanira okukola era ebyangu okutegeera, olw’ekyo banaayinza okutuuka mu kumanya obisingako era bakole n’ebyo bye babuusabuusa kati. EE 340.1
Setaani ayinza okukola ekicupuli nga kifaananira ddala n’amazima okulimba abo abaagala okulimbibwa, abasalawo okugaana okweresa n’okwerumya ebiva mu kutegeera amazima; wabula tayinza kulemera wadde omwoyo ogumu bweguti mu buyinza bwe nga gusazeewo okunoonya amazima. Kristo ge mazima era ye “gwe musana ogwakira buli muntu nga gujja mu nsi.” Yokaana 1:9. Omwoyo ow’amazima yaweerezebwa okuluŋŋamyanga abantu mu mazima. Ate Omwana wa Katonda yagamba nti: “Munoonye, mulizuula.” “Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno.” Matayo 7:7; Yokaana 7:17. EE 340.2
Abagoberezi ba Kristo nga bamanyi kitono ku nkwe za Setaani n’amaggye ge ze bakoze okubatega! Naye oyo atuula mu ggulu waakulemesa enteekateeka z’omulabe olw’okutuukiriza ebigendererwa bye. Kyokka era Mukama akkiriza abantu be balege ku bikemo nga bino, so si lwakubanga nti kimusanyusa bwe babeera mu kunyigirizibwa n’okunyolwa, naye lwakubanga embeera eyo nkulu nnyo olw’okununulibwa kwabwe ku lunaku olwenkomerero. Tayinza kubaziyiza eri ebikemo ng’abateekako entiisa ey’ekitiibwa kye buli kiseera; kubanga ekigendererwa ekikulu eky’okugezesebwa kuno kwe kubateekateeka bawakanye ebisikiriza eby’omubi. EE 340.3
Wadde abantu ababi oba Setaani yennyini tebayinza kuziyiza mulimu gwa Katonda, oba okuggalira wabweru okubeerawo kwe mu bantu be, singa abantu abo baatula ne baleka ebibi byabwe okuyita mu kukkiriza ne bakaayanira ebisuubizo bya Katonda mu mutima ogumenyese, era ogwenenyezza. Buli kukemebwa kwonna, amaanyi agawakanya, oba nga ga lwatu oba ga mukyama, gayinza okuwangulibwa, “so si lwa maanyi so si lwa buyinza, naye lwa mwoyo gwange, bw’ayogera Mukama w’eggye.” Zekkaliya 4:6. EE 340.4
“Kubanga amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.... Era ani anaabakolanga obubi bwe munaanyiikirangaokukola obulungi?” lPeetero 3:12,13. Balamu bwe yasendebwasendebwa ng’asuubiziddwa okuweebwa obugagga, amale akole eby’obulogo eri Isiraeri, n’awaayo ssadaaka eri Mukama ng’ayagala okutuusa ekikolimo ku bantu be, Omwoyo wa Mukama yaziyiza obubi bweyali ayagala okubatuusaako, era Balamu naawalirizibwa okwogerera waggulu nti: “Nnaakolimira ntya oyo Katonda gw’atakolimidde? Nnaavumirira ntya oyo, Katonda gw’atavumiridde?” “Singa nnyini obulamu bwange buggwaako nga ndi mutuukirivu! Singa n’enkomerero yange eba ng’ey’omutuukirivu!” Bwe yayongera okuwaayo ssadaaka, nnabbi ono atatya Katonda kwe kugamba nti: “Laba, Katonda andagidde okuwa omukisa. N’olwekyo Katonda bw’awa omukisa siyinza kugujjulula. Talabye kibi ku Yakobo, wadde ekikyamu ku Isiraeri: Mukama Katonda we ali naye. Baatula bw’ali Kabaka waabwe.” “Mazima tewali ddogo awali Yakobo, so tewali bulaguzi awali Isiraeri: kaakano kinaayogerwanga ku Yakobo ne ku Isiraeri, nti Katonda ng’akoze!” Kyokka era baateekawo ekyoto omulundi ogwookusatu, ne Balamu n’ayagala addemu abakolimire. Wabula Omwoyo wa Mukama n’ayogeza EE 340.5
emimwa gya nnabbi olw’obutaagaane ng’alangirira omukisa ku balonde be, era n’anenya nnyo obuggya n’enkwe z’abalabe baabwe nti: “Aweebwenga omukisa buli anaakusabiranga omukisa, era akolimirwenga buli anaakukolimiranga.” Okubala 23:8,10,20,21,23; 24:9. EE 341.1
Abantu ba Isiraeri mu kiseera kino baali bakyali bawulize eri Katonda; era singa baasigala bakyali bawulize eri amateeka ge, tewandibaddewo buyinza bwonna ku nsi oba emagombe obwandibawangudde. Kyokka ekikolimo Balamu kye yalemesebwa okulangirira ku baana ba Katonda, kyamala ne kituukirira bwe baasendebwasendebwa okukola ekibi. Bwe baamenya amateeka ga Katonda, olwo ne beeyawula okuva ku Katonda, bwebatyo ne basigalira okulega ku maanyi g’omuzikiriza. EE 341.2
Setaani akimannyidde ddala nti omwoyo gwonna oguli mu Kristo kyokka nga munafu, gusinga amagye g’emyoyo emibi mu nsi eno ey’ekizikiza, era singa yeesowolayo okujja okugulwanyisa, naye awangulibwa. N’olwekyo afuba nnyo okujja abaserikale b’omusaalaba ku kigo kyabwe eky’amaanyi, nga bweyekwese ye n’amagye ge okuzikiriza oyo yenna anaŋŋanga okutambulira mu matwale ge. Okujjako nga twewombeese era ne twesiga Katonda awamu n’okubeera abawulize eri amateeka ge, lwe tunaayinza okuba n’obukuumi. EE 341.3
Tewali muntu n’omu alina bukuumi bumala okumuyisa mu lunaku olumu wadde essaawa emu bweti awatali kusaba. N’olwekyo kikulu nnyo tusabe Mukama atuwe amagezi tutegeere ekigambo kye. Okuyita mu kyo mwetulagirwa enkwe z’omukemi n’engeri mwetuyinza okumuwakanyiza. Setaani mukugu nnyo mu kukozesa Ebyawandiikibwa, nga bw’ateekamu naye ennyinnyonnyola eyiye gy’amanyi nti etuviiramu okwesittala. Kitugwanira okusoma Bayibuli n’omutima omuwombeefu, nga tetuggye maaso ku bwesige bwaffe ku Katonda. Wadde nga kitugwanira okutunula ennyo twetegereze enkwe za Setaani, era kitugwanira buli kiseera n’okusaba okuyita mu kukkiriza nti: “Totutwala mu kukemebwa.” EE 341.4