Essuubi Eritaggwaawo
31 — Emyoyo Emibi
okubyawula. Waliwo endowooza egenda ng’ekula ng’ereetawo okubuusabuusa oba nga waliwo emyoyo emibi, ng’ate bamalayika abatukuvu “abaweereza olw’abo abagenda okusikira obulokozi” (Abaebbulaniya 1:14) bangi babalowooza nti gye myoyo gy’abafu. Wabula Ebyawandiikibwa tebikoma mu kuyigiriza ku kubeerawo kwa bamalayika kyokka, omuli abalungi era n’ababi, naye ekyoleka bulungi nti gino si mizimu egiva mu bafu. EE 329.1
Bamalayika baaliwo omuntu bwe yali tanatondebwa; kubanga emisingi gy’ensi nga teginateekebwawo, “emmunyeenye ez’enkya bwe zaayimbira awamu n’abaana ba Katonda ne boogerera waggulu olw’essanyu.” Yobu 38:7. Omuntu bwe yagwa, bamalayika baaweerezebwa okukuuma omuti ogw’obulamu, ate kino kyaliwo ng’omuntu tannafa. Bamalayika balina ekitiibwa ekisingako ku muntu mu butonde bwabwe kubanga omuyimbi wa zabbuli agamba nti omuntu yakolebwa “okubulako akatono okuba nga bamalayika.” Zabbuli 8:5. EE 329.2
Tutegeezebwa okuyita mu Byawandiikibwa ku muwendo ne ku buyinza awamu n’ekitiibwa ky’ebitonde eby’omu ggulu, bye bakola mu gavumenti ya Katonda, ne kye bakola eri omulimu gw’obununuzi. “Mukama yanyweza entebe ye mu ggulu; n’obwakabaka bwe bufuga byonna.” Era, nnabbi agamba nti: “Ne mpulira eddoboozi lya bamalayika abangi abeetoloode entebe.” Bali eyo mu bisenge bya Kabaka wa bakabaka gye bakuumira - “abazira abamaanyi,” “abaweereza be, abakola by’ayagala,” “nga bawulira eddoboozi ery’ekigambo kye.” Zabbuli 103: 19-21; Kubikkulirwa 5:11. Enkumi n’enkumi n’obukumi emirundi akakumi abo bebaweereza ab’omu ggulu Danieri nnabbi be yalaba. Pawulo ye aboogerako nga “obukumi bwa bamalayika.” Danieri 7:10; Abaebbulaniya 12:22. Ng’ abaweereza ba Katonda badduka mbiro, “ng’ekifaananyi eky’okumyansa kw’eggulu,” (Ezeekyeri 1:14), ekitiibwa kyabwe kyewunyisa, era babuuka ku misinde miyitirivu. Malayika eyalabikira ku ntaana y’Omulokozi ekifaananyi kye kyali nga kumyansa, n’engoye ze zaali zitukula ng’omuzira,” entiisa ye n’ekankanya abakuumi, “ne baba ng’abafudde ” Matayo 28:3,4. Sennakeribu Omusuuli owamalala, bwe yavuma Katonda era n’amuwoola ng’atiisatiisa Isiraeri okumuzikiriza, “olwatuuka ekiro ekyo malayika wa Mukama n’afuluma n’atta mu lusiisira olw’Abasuuli kasiriivu mu obukumi munaana mu enkumi ttaano.” “Malayika yamalawo abasajja bonna ab’amaanyi abazira n’abakulu n’abaami” mu ggye lya Sennakeribu. “Awo n’addayo mu nsi ye amaaso ge nga gakwatiddwa ensonyi.” 2Bassekabaka 19:35; 2Ebyomumirembe 32:21. EE 329.3
Bamalayika baweerezebwa ku mirimo gy’okutuusa okusaasira kwa Katonda eri abaana be. Baatumibwa eri Ibulayimu okumutwalira ebisuubizo eby’omukisa; mu kibuga Sodoma, okununula omutukuvu Lutti awone okuzikirizibwa n’omuliro; eri Eriya bwe yali anaatera okufa olw’obukoowu n’enjala ng’ali mu ddungu; eri Erisa bwe yeetoloolwa amagaali n’embalaasi ez’omuliro bwe yali mu kibuga nga aggaliddwa abalabe be; eri Danieri, bwe yali anoonya Katonda okumugeziwaza ng’ali mu lubiri lwa kabaka w’abamawanga ne bwe yasuulibwa mu bunnya empologoma okumulya; eri Peetero, bwe yali mu kkomera Kerode ng’amusalidde ogw’okufa; eri abasibe abaali e Firipo; eri Pawulo ne banne bwe baali wakati mu muyaga mu buziba bw’ennyanja; eri Koluneeriyo amale amusumulule ebirowoozo bye ategeere enjiri; eri Peetero mu kutwala obubaka obw’obulokozi eri abamawanga EE 329.4
- bwebatyo bamalayika abatukuvu bwe bazze nga bakola okuyita mu buli mulembe nga baweereza eri abantu ba Katonda. EE 330.1
Buli mugoberezi wa Kristo aweebwa Malayika amukuuma. Abatunuulizi bano okuva mu ggulu beebungulula omutuukuvu okumukugira eri amaanyi g’omubi. Kino ne Setaani yennyini akimanyi. Yagamba nti: “Yobu tatiira bwereere Katonda? Tomukomedde olukomera okumwetoloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina enjuyi zonna? Yobu 1:9,10. Omukutu Katonda gw’akozesa okukuuma abantu be gulagibwa okuyita mu bigambo by&pos;omuwandiisi wa zabbuli: “Malayika wa Mukama asiisira okwetoloola abo abamutya, n’abalokola.” Zabbuli 34:7. Omulokozi yagamba, bweyali ayogera ku abo abaamukkiriza nti: “Mulabe nga temunyoomanga omu ku abo abato bano; kubanga mbagamba nti mu ggulu bamalayika baabwe batunuulira ennaku zonna amaaso ga Kitange ali mu ggulu.” Matayo 18:10. Bamalayika abaalondebwa okuweereza ku lw’abaana ba Katonda balina obuyinza okutuuka mu maaso ga Katonda ebbanga lyonna. EE 330.2
Bwebatyo abantu ba Katonda abeebulunguluddwa amaanyi g’obulimba n&pos;ettima ly’omulangira w’ekizikiza ono ateebaka, era nga bali mu lutalo n’amaanyi g’obubi, bakakasibwa nga waliwo bamalayika okuva mu ggulu ababakuuma obutakoowa. Tewandibaddewo bukakatu ng’obwo bwe watabaawo bwetaavu. Katonda bw’aba nga asuubizza abaana be ekisa kye awamu n’obukuumi, kitegeeza nti waliwo obuyinza bw&pos;emyoyo emibi egyamaanyi gye balina okusanga - emyoyo egitabalika, egimaliridde, era egitakoowa, ng’obubi bwagyo tewali atayinza kubula. EE 330.3
Emyoyo emibi mu kusooka gyatondebwa nga tegyonoona, gyatondebwa nga gyenkanankana, mu buyinza ne mu kitiibwa n’ebitonde ebirala ebitukuvu kaakano ebiweereza mu maaso ga Katonda. Naye bwe gyagwa oluvannyuma Iw’okwonoona, olwo ne gyekobaana okuvumisa Katonda n’okuzikiriza abantu. Bwe gyegatta ne Setaani mu bujeemu bwe so nga bwe baagobwa mu ggulu, bazze bakolera wamu okuyita mu mirembe era ne bagatta amaanyi mu lutalo Iwe okulwanyisa obuyinza bwa Katonda. Tutegeezebwa okuyita mu Byawandiikibwa nga bwegikolera awamu era ne gavumenti zaagyo, ebitongole byagyo ebyenjawulo, amagezi g’agyo awamu n’obukujjukujju, nga bwe gyagala okutabulatabula emirembe n’essanyu ly&pos;abantu. EE 330.4
Ebyafaayo by’Endagaano Enkadde byogerako ku kubeerawo kw’emyoyo gino era ne bwegikolamu; kyokka gy’asinga nnyo okweyoleka mu biseera bya Kristo bweyali ku nsi kuno bwegyalaga obuyinza bw’agyo mu ngeri eyewuunyisa. Kristo yali azze okutandika enteekateeka ye eyakolebwa olw’okulokola omuntu, ne Setaani n’amalirira okunyweza obuyinza bwe obw’okufuga ensi. Yali amaze okutuuka ku buwanguzi mu kugunjawo ebifaananyi olw’okubisinza mu nsi zonna ng’ogyeko ensi ya Palesitina. Eno y’ensi eyali tenawambirwa ddala mukemi Kristo mwe yajja okumulisiza omusana gw’eggulu. Era wano obuyinza obw’emirundi ebiri gye bwasinziira okunoonya asinga ku buyinza. Yesu yayanjuluza emikono gye wakati mu kwagala ng’ayita buli yenna ayagala okusonyiyibwa n’okuweebwa emirembe mu ye. Emyoyo egy’omu kizikiza gyakirabirawo nga tegikyalina ddembe lyakwetaaya, era ne gimanya nga singa omulimu gwa Kristo gwakutuukirira, obufuzi bwagyo bwakutuuka mangu nnyo ku nkomerero ya bwo. Setaani kwe kuwuluguma ng’empologoma esibiddwa ku lujegere era n&pos;aguguba ng’ayolesa obuyinza bwe ku mibiri ne ku myoyo gy’abantu. EE 330.5
Endagaano Empya eyogera Iwatu ku bantu abaliko dayimooni. Abantu bano abaalinga babonyabonyezebwa baalinga tebabonabona Iwa ndwadde eziva ku butonde. Ekyo Kristo yakimanya bulungi ddala era nga eyo ye nsonga eyali emuleese era nga mu bo abalabamu emyoyo emibi. EE 331.1
Ekyokulabirako ekyewunyisa ekyogera ku muwendo gwagyo, obuyinza, awamu n’ettima, ko n’obuyinza, n&pos;okusaasira ebya Kristo kiri mu ssuula ey’Ebyawandiikibwa eyogera ku kuwonya abantu abaaliko dayimooni mu nsi y’Abagerasene. Basajja batu bano abaali batabuse, abatakkiriza muntu yenna kubakwatako, abeekulungula obwekuunguzi, babimba jjovu, abatalina muntu yenna abayinza, baakaabanga okuyita mu kiro nga bwebeekola buli kibi ekisoboka n’okulumya buli yenna abasemberera. Emibiri egyali gijjuddeko amabwa n’ebiwundu ebingi, ko n’ebirowoozo ebitabusetabuse nga bituuse kya kwerorera eri omulangira ono ow’ekizikiza. Omu ku badayimooni eyali ku bantu bano ababonaabona yagamba nti: “Erinnya lyange Liigyoni: kubanga tuli bangi.” Makko 5:9. Mu maggye ga Luumi Liigyoni yabangamu abasajja abali wakati w’enkumi essatu n’enkumi ettaano. N&pos;amaggye ga Setaani gali mu bibinja, era nga ekibinja ekimu omwali badayimooni bano nga kiweramu Liigyoni ezisukka mu emu. EE 331.2
Olw’ekiragiro kya Kristo emyoyo emibi gyava ku basajja bano, ne gibaleka nga bakkakanye batudde ku bigere bya Yesu, basirise, bategeera bulungi era nga bawombeefu. Wabula badayimooni bakkirizibwa okuyingira mu ggana ly’embizzi ne ziggweera mu nnyanja; kyokka abagerasene okufiirwa embizzi zaabwe ne kibasingira emikisa Kristo gye yabawa, era ne bawaliriza Omuwonya okuva ewa Katonda abaviire. Ekyo Setaani kye yali ayagala. Yateeka okutya okwokwerowoozaako mu bantu nga banenya Yesu okubafiiriza olwo abaziyize obutawuliriza bigambo bye. Buli kiseera Setaani alumiriza Abakristaayo nti be bavaako okufiirwa, ebisiraani n’okubonaabona, mukifo ky&pos;okuteeka ekivume ku oyo avunaanyizibwa - y’oyo mwene awamu n’ababaka be. EE 331.3
Wabula ebigendererwa bya Kristo tebyaziyizibwa. Yakkiriza emyoyo emibi okuzikiriza eggana ly’embizzi nga anenya ku Bayudaaya bano abaali balunda ensolo ezitali nnongoofu olw’okwagala okufuna. Singa Kristo teyakoma ku zidayimooni, zandyeyiye mu nnyanja, si na mbizzi zokka, naye era n&pos;abaali bazikuuma era ne banannyini zo. Abaali bazikuuma ne banannyini zo baawonyezebwa lwa buyinza bwe, ng’abasaasira bafune obulokozi. N’ekirala, kino kyaliwo abayigirizwa bayinze okwerabirako n’amaaso gaabwe obutemu bwa Setaani bw’alina eri abantu era n&pos;ensolo. Omulokozi yayagala abayigirizwa be bamanye omulabe gwebaalina okulwanyisa, baleme okulimbibwa n’okuwangulibwa obulimba bwe. Era yayagala abantu b’ekitundu ekyo balabe amaanyi ge agamenya ebigo bya Setaani n’asumululamu abawambe be. Era newakubadde nga Yesu yabaviira, abasajja abaawonyezebwa mu ngeri ey’ekyamagero, baasigala batendereza ekisa ky&pos;oyo eyabayamba. EE 331.4
Waliwo n’ebyokulabirako ebirala ebifaananako ng’ebyo nga biri mu Byawandiikibwa. Omwana omuwala ow’omukyala Omusulofoyiniiki yali abuziddwako emirembe ne dayimooni Yesu gwe yagoba olw’ekigambo kye. (Makko 7:26-30). “Ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng’azibye amaaso n’omumwa” (Matayo 12:22); omuvubuka eyaliko dayimooni atayogena nga buli kiseera “amusuula EE 331.5
mu muliro ne mu mazzi okumutta” (Makko 9:17-27); omutabufu w’omutwe eyabonyabonyezebwanga dayimooni (Lukka 4:33-36), yatataaganyanga okusinza mu kkuŋrjaaniro e Kapemnawumu buli Iwa Ssabbiiti - bonna ne bawonyezebwa Omulokozi omusaasizi. Kumpi ku buli mulundi, Kristo yayogeranga eri dayimooni zino nga ayogera n’omuntu, ng’amulagira okuva ku muntu abonaabona era aleme kuddamu kumubonyabonya. Abaali mu kusinza e Kaperunawumu, bwe baalaba obuyinza obw’amaanyi ge “okuwuniikirira ne kubakwata nga beebuuzagana bokka na bokka nga bagamba nti Kigambo ki kino? kubanga alagira n’obuyinza n’amaanyi badayimooni ne bavaako.” Lukka 4:36. EE 332.1
Abaalinga baliko zi dayimooni balagibwa nga baabanga mu bulumi obuyitirwu; kyokka si bonna abaabanga batyo. Abamu baasanyukiranga amaanyi ga Setaani olwokwagala okufuna amaanyi agatali ga buntu. N’olwekyo bano tebaabanga na lutalo eri Setaani. Mu bano mwabangamu abaliko omwoyo gw’obulaguzi, - Simyoni eyali ayitibwa Niga, Eruma omulogo n’omuwala eyagobereranga Pawulo ne Siira e Firipi. EE 332.2
Tewali basinga kuba mu kabi ak’okulumbibwanga amaanyi g’emyoyo emibi okusinga abo abagaana Setaani, badayimooni ne bamalayika be nti weebali newakubadde nga balina obujulirwa by’Ebyawandiikibwa. Gyetukoma okuba nga tetumanyi nkwe ze, olwo aba n’omukisa ogutayogerekeka; bangi ne bawuliriza n’okuteesa kwe nga bwe basuubira nti bagoberera ndowooza ey’amagezi gaabwe. Eno ye nsonga lwaki, bwe tuliba tusemberedde enkomerero y’ekiseera, Setaani ng’akola mu maanyi ag’ekitalo okulimba n’okuzikiriza, alisasaanya enjigiriza ze buli wamu nti taliiyo. Eyo ye nkola ye okwebuzaabuza n’okukweka engeri gy’akolamu emirimu gye. EE 332.3
Tewali kintu omulimba ono kyasinga kutya nga bwe twanditegedde engeri gy’akolamu emirimu gye. Kyavudde afuba okukweka empisa ze era n’ebigendererwa bye n’okweragira mu bintu ebirala aleme okutegerekeka si kulwa nga asekererwa oba n’anyoomebwa. Kimusanyusa okumutunuulira ng’atalina magezi oba ng’ekikulekule ekitundu muntu n’ekitundu nsolo. Kimusanyusa okuwulira nga erinnya lye lyogerwako abo abeerowooza nti bamagezi era bamanyi byonna nga bali mu mizannyo ne mu kujerega. EE 332.4
Ekyo asobodde okukikola Iwansonga nti yeyambazza akakookolo mu magezi ag’ekitalo nga abantu batuuse n’okwebuuza nti: “Ddala ekitonde ekyo gyekiri?” Byakoze era ne byatuuseeko bikakasa okuggyawo obulimba obw’endowooza eziwakanya enjigiriza ey’Ebyawandiikibwa mu nsi ezikkiririza mu Katonda. N’ekirala, Iwansonga nti Setaani asobodde okufuga endowooza z’abo abatanategeera maanyi ge, so ng’ekigambo kya Katonda kitulaga ebyokulabirako bingi ku mirimu gye egy’obulabe, nga kitubikkulira amaggye ge ageekyama, bwetutyo ne tusobola okuyimirira nga twekuumye eri obusaale bwe. EE 332.5
Amaanyi n’ettima Setaani n’amaggye ge bye bakozesa byanditukutudde singa tetwalina buddukiro era awamu n’obulokozi mu maanyi agasinga ag’Omununuzi wafife. Twegendereza nnyo okuggala amayumba gaffe nga tugateekako ebisiba n’ekkufulu okukuuma ebyobugagga n’obulamu bwaffe eri abantu ababi; kyokka tetulowooza nnyo ku bamalayika ababa baagala buli kiseera okuyingira gye tuli, era abatulumba mu maanyi gaflfe amatono nga tetulina ngeri gye tuyinza kwekuumamu. EE 332.6
Singa bakkirizibwa, bandiyinzizza okuwabya ebirowoozo byaffe, okugongobaza n’okulumya emibiri gyaffe, okuzikiriza ebintu byaffe awamu n&pos;obulamu bwaffe. Kye basinga okusanyukira kwe kuleetera abantu ennaku n’okubazikiriza. Zibasanze abo abawakanya ekigambo kya Katonda ne beewaayo eri ebikemo bya Setaani, okutuusa ne Katonda lw’abawaayo okufugibwa emyoyo emibi. Kyokka abo abagoberera Kristo bakuumibwa wansi w’obukuumi bwe mirembe. Bamalayika abasinga mu maanyi baweerezebwa okuva mu ggulu ne bajja okubakuuma. Omubi tayinza kumenya lugo Katonda lweyetoolozezza ku bantu be. EE 333.1