Essuubi Eritaggwaawo

34/43

33 — Okulimba Okunene Okwasooka

Setaani yatandikirawo okulimba olulyo lwaffe amangu ddala ng’omuntu yaakatonnya ku nsi. Oyo eyasooka okuleeta obujeemu mu ggulu era yayagala abatuula ku nsi nabo bamwegatteko mu lutalo Iwe olw’okulwanyisa gavumenti ya Katonda. Adamu ne Kaawa baali mu ssanyu erituukiridde era nga bawulize eri amateeka ga Katonda, so nga kino Setaani kye yali akaayaniranga eri mu ggulu nti, amateeka ga Katonda ganyigiriza era tegaliiwo ku Iwabulungi bwa bitonde. N’ekirala, Setaani yakwatibwa obuggya bwe yalaba amaka amalungi agaateekerwateekerwa abaagalana bano abatayononangako. Yamalirira agabalemese era abasuule, nga, bwe baaneeyawula okuva ku Katonda olwo bafuuke babe, ensi edde mu mikono gye era atuuze omwo obwakabaka bwe obulwanyisa oyo atuula wagggulu ennyo. EE 341.5

Singa Setaani yejjako kye yali yeebiseeko okulaga empisa ze zennyini, yandigaaniddwawo, kubanga Adamu ne Kaawa baali bamaze okulabulibwa ku mulabe ono owomutawaana; kyokka yakoleranga mu kizikiza, nga bwakweka ekigendererwa kye, ayinze okutuukira ddala ku ekyo kye yali ayagala. Yakozesa omusota, ekitonde ekyali kirabika obulungi ddala mu kiseera ekyo, n’alyoka agamba Kaawa nti: “Bw’atyo bwe yayogera Mukama Katonda nti, Temulyanga ku miti gyonna egy’omu lusuku?” olubereberye 3:1. Singa Kaawa yeekomako n’ateegatta mu mboozi n’omukemi, teyandifunye buzibu; wabula yeesuula mu buzibu bwe yatandika okuwanyisiganya naye ebigambo bwatyo n’agwa mu mitego gye. Eyo ye ngeri y’emu n’abalala mwe bawangulirwa. Batandika okubuusabuusa n’okuwakanya ebiragiro bya Katonda; sso mu kifo ky’okuwulira ebiragiro bye, basalawo kutwalamu ndowooza za bantu, ate nga mwe mwekwese emitego gya Setaani. EE 342.1

“Omukazi n’agamba omusota nti Ebibala by’emiti gy’omu lusuku tulya; wabula eby’omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Temugulyangako newakubadde okugukwatako muleme okufa. Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku Iwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe Iwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” Ennyir. 2-5. Yabagamba nti baliba nga Katonda, nga balina amagezi maangi okusingako ne mu kusooka era nga basobola n’okutuuka ku ddaala erya waggulu. Bw’atyo Kaawa n’awangulibwa ekikemo; era okuyita mu ye, ne Adamu n’ayonoona. Bakkiriza ebigambo by’omusota, nti Katonda yali takakasa bigambo bye; baabusabuusa Omutonzi waabwe nga balaba nti abamalako eddembe lyabwe era nga kibeetaagisa okufuna amagezi amangi n’okwegulumiza nga bamenya amateeka ge. EE 342.2

Kyokka makulu ki Adamu ge yazuula mu bigambo bino nti, “Kubanga olunaku lw’oligulyako tolirema kufa” oluvannyuma ng’amaze okwonoona? Yakizuula nga bitegeeza nga Setaani bwe yamuleetera okulowooza nti, yali waakuyingizibwa mu kitiibwa ekisingako? Ye, kituufu waaliwo obulungi bwe yatuukako oluvannyuma Iw’okwonoona, ye Setaani okuba nga ye mufuzi w’olulyo lw’omuntu. Kyokka kino Adamu si kye yasuubira okuba nga ebigambo bya Katonda kye byali bitegeeza. Katonda yagamba nti omuntu waakudda mu ttaka mwe yaggibwa ng’ekibonerezo ekyava mu kwonoona: “Kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda ” Olunny. 19. Era ebigambo bya Setaani, “Amaaso gammwe Iwe galizibuka,” awo wokka we byalabikira nga by’amazima, anti, Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda, amaaso gaabwe gaazibuka ne balaba obusirusiru bwabwe; baamanya ekibi, olwo ne balega ku mususa ogw’okumenya amateeka ga Katonda. EE 342.3

Wakati mu lusuku Adeni mwalimu omuti ogw’obulamu okwabalangako ebibala ebiwangaaza obulamu. Singa Adamu yasigala nga muwulize eri Katonda, yandibadde ng’akyalina omukisa ogw’okutuukanga ku muti guno era yandiyinzizza okubeerawo emirembe gyonna. Naye bwe yayonoona yaggibwako omukisa gw’okulya ku muti ogw’obulamu, olwo n’aba nga tayinza kuwona okufa. Ekigambo kya Katonda, “Kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw’olidda,” ekyo kitegeeza kusangulirawo ddala bulamu. EE 342.4

Obutafa obwali busuubiziddwa omuntu bwe yandibadde nga muwulize, bwamugibwako olw’okwonoona. Ne Adamu teyayinza kutuusa ku bazzukulu EE 342.5

be ekyo ky’atalina; era olulyo lw’omuntu terwandibadde na ssuubi lyonna singa Katonda, okuyita mu ssadaaka y’Omwana we, teyabasembereza ssuubi lya bulamu obutafa. Wadde nga “okufa kwabuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona,” ye Kristo “yaggyawo okufa n’amulisa obulamu n’obutazikirira olw’enjiri.” Abaluumi 5:12; 2Timoseewo 1:10. Era okujjako ng’oyise mu Kristo, lw’oyinza okufuna obulamu obutafa. Yesu yagamba nti: “Akkiriza Omwana alina obulamu; naye atakkiriza Mwana, talina bulamu.” Yokaana 3:36. Buli muntu alina eddembe okwetwalira ku mukisa guno ogwobwereere bw’akkiriza okubeera omuwulize eri obukwakkulizo obugulimu. Bonna “abanoonya ekitiibwa n’ettendo n’obutaggwaawo mu kugumiikiriza nga bakola bulungi, alibasasula obulamu obutaggwaawo.” Abaluumi 2:7. EE 343.1

Omulimba yekka ye yasuubiza Adamu nti alibeera n’obulamu newakubadde nga mujeemu. Era n’ebigambo ebyayogerwa omusota eri Kaawa mu Adeni nti: “Okufa temulifa” - bwe bubaka obwasooka okubuulirwa ku butafa bw’omwoyo. So ng’ebigambo byebimu, ebyayogerwa obuyinza bwa Setaani, bigenda biddibwamu ku bituuti byonna eby’Abakristaayo era ne byanirizibwa abantu abasinga obungi era nga bwe byayanirizibwa ne bajjajjaffe abasooka. Ekigambo kya Katonda ekigamba nti: “Emmeeme eyonoona ye erifa” (Ezeekyeri 18:20), kikozesebwa okutegeeza nti, Emmeeme eyonoona, okufa terifa, naye yaakubeerawo emirembe gyonna. Tetuyinza wabula okwewuunya omukwano ogw’ekigwi ky’eddalu omuntu okumala gakkiriza ebigambo bya Setaani naye n’agaana ebigambo bya Katonda. EE 343.2

Singa omuntu oluvannyuma lw’okwonoona yakkirizibwa n’atuuka awali omuti ogw’obulamu, yandiyinzizza okubeerawo emirembe gyonna, olwo ekibi tekyandizikiridde. Naye bakerubi awamu n’ekitala ekimasamasa baayimira mu kkubo “ery’omuti ogw’obulamu” (Olubereberye 3:24), era tewali muzzukulu wa Adamu eyali akkiriziddwa okuyita ku misanvu egyo alye ku muti ogw’obulamu. N’olwekyo tewaliwo mwonoonyi atafa. EE 343.3

Wabula oluvannyuma ng’omuntu amaze okugwa, Setaani yakubaakuba ku bamalayika be bakole mu ngeri eyenjawulo okuyingiza enjigiriza ey’obutafa mu muntu; era bwe yandimaze okuyingiza obulimba buno mu bo, olwo balyoke balowooze nti omwonoonyi waakubeerawo ng’abonaabona emirembe gyonna. Kaakano omulangira w’ekizikiza, ng’akolera mu babaka be, agenda alaga Katonda nga kijambiya, nga bw’agenda ategeeza nti bonna abatasanyusa Katonda abasuula mu geyeena balyoke balege ku kiruyi kye; era nga bali eyo babonaabona ebitagambika n’okwenyoolera wakati mu muliro ogutazikira, olwo Omutonzi waabwe n’alyoka abatunuulira ng’ayima waggulu yenna nga musanyufu. EE 343.4

Bwatyo ssaabatemu bw’agenda ayambaza ebikolwa bye ku Mutonzi era Omulabirizi w’abantu. Setaani mutemu. Katonda kwagala; era ne bye yatonda byali nga bituukiridde, bitukuvu era nga bisanyusa, okutuusa omujeemi omukulu eyasooka Iwe yayingizawo ekibi. Setaani yennyini ye mulabe akema omuntu agwe mu kwonoona, era amuzikirize oba nga kiyinzika; bwe yeekakasa nga amaze okumuwamba, olwo n’ajaganya ng’amulaba azikirira. Singa afuna omukisa yandiwambye abantu bonna okugwa mu kitimba kye. Era singa tebwali buyinza bwa Katonda, tewandibaddewo mwana wa Adamu owoobuwala oba owoobulenzi eyandiwonye. EE 343.5

Setaani ky’anoonya kwe kuwamba abantu leero, nga bwe yasooka okuwamba bajuajjaffe abasooka, ng’aleeta okubuusabuusa mu bwesige bwe balina eri Omutonzi waabwe, bajje obwesige mu gavumenti ye awamu n’obutuukirivu bw’amateeka ge. Setaani n’abasajja be balaga Katonda nga mubi nnyo n’okubasinga, nga kye baagala bawolereze ebikolwa awamu n’obujeemu baabwe. Omulimba ono omukulu afuba okwejjako ebikolwa bye eby’obutemu byakola abiteeke ku Kitaffe ow’omu ggulu, alage nti ye yeyasobezebwako bwe yagobwa mu ggulu kubanga teyakkiriza kugondera mufuzi atali mwenkanya. Alaga eri ensi zonna eddembe lye zandifunye bwe zaandikkirizza okubeera wansi w’obufuzi bwe, bw’ogerageranya n’amateeka ga Yakuwa ag’obuddu agabasibibwako. Bw’atyo bw’agenda awangula emyoyo ng’agisendasenda okujja obuwulize bwagyo ku Katonda. EE 344.1

Nga enjigiriza eyo erwaza okumalawo ekyagala, ekisa n’entegeera yaffe ey’obwenkanya, nti abafu ababi babonaabona basiriirira mu muliro gwa ggeyeena etazikira; nga ku lw&pos;ebibi byabwe bye baakola mu bulamu buno obumpi obw’okunsi, baakubonaabona ebbanga lyonna Katonda ng’akyaliwo. Kyokka enjigiriza eno eyigiriziddwa wonna era ng’ekyali ne mu biwandiiko by’amakanisa g’Abakristaayo mangi. Omuyivu omu mu ddiini yagamba nti: “Abatukuvu okulaba ababi nga bali mu ggeyeena babonaabona, kyakubasanyusanga emirembe gyonna. Bwe banaalabanga abalala bwe baalina ekikula kyekimu era bwe baazaalibwa mu ngeri yeemu, nga basuuliddwa mu kubonaabona ng’okwo, kyokka bo nga baggiddwamu, olwo balyoke bamanye nga bwe bali ab’omukisa.” Omulala yakozesa ebigambo bino: “Wadde nga ababi bakusaanawo emirembe gyonna olw’obusungu bwa Katonda, omukka ogw’okubonaabona kwabwe gwakulinnyanga mu maaso g’abo abaakwatirwa ekisa, abo nabo abandibadde ekitundu ku kubonaabona kuno ne balyoka boogerera wamu nti: Amiina, Aleluuya! Mukama yeebazibwe!” EE 344.2

Enjigiriza eyo esangibwa wa mu kigambo kya Katonda? Abanunule abalibeera mu ggulu ddala baliba nga tebakyawulira kulumwa wadde okusaasira kwonna okw’obuntu? Baliba nga bawanyisiddwa okuba abatalumwa abatemu abateefiirayo? Nedda n’akatono; eyo si y’enjigiriza y’ekigambo kya Katonda. Abo abayigiriza batyo bayinza okuba nga bantu bayivu era abassibwamu ekitiibwa, naye nga baawabisibwa n’obulimba bwa Setaani. Setaani abaleetera okunyoola amakulu g’Ebyawandiikibwa ebikulu, nga babikka ku bubi n’obussi bwe, ebyo ye by’akola so si mu Mutonzi waffe. “Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’omubi: wabula omubi akyuke ave mu kkubo lye abeere omulamu: mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagaliraki okufa?” Ezeekyeri 33:11. EE 344.3

Katonda agasibwamu ki ffe bwe tukkiriza nti asanyukira okulaba ababi nga babonaabona olutata; nti annyumirwa okulaba okusinda n’okukuba emiranga n’okukolima n’okubonaabona kw’ebitonde ebisuuliddwa mu muliro gwa ggeyeena? Ddala Katonda ow’okwogala ayinza okunyumirwa ebiwoobe bino ng’omuntu bw’anyumirwa oluyimba mu matu ge? Bagamba nti, ababi okubonaabonanga batyo emirembe gyonna kyakulaga nga Katonda bw’akyawamu ekibi kubanga kizikiriza obutebenkevu n’enkola etambulizibwa ku mateeka mu nsi zonna. Obwo buwoozi bwennyini! Nga kiriga ekitegeeza nti Katonda akigenderera ekibi kiberengawo ebbanga lyonna. Kubanga, okusinziira ku njigiriza y’abannaddiini bano, ababi EE 344.4

okubonyabonyezebwanga nga tebalinaawo ssuubi lyakusaasirwa kyakwongera okubatabula, awo nga bali mu kulaajana, bakolima n’okuvuma buli kimu, baliba bakakasa nga bwe baali ababi. Ekitiibwa kya Katonda tekigulumizibwa kityo ekibi okugenda nga kyeyongerayongeranga okuyita mu mirembe gyonna. EE 345.1

Amagezi g’omuntu tegayinza kufumiitiriza bubi obuleeteddwa enjigiriza zino ezitali ntuufu ez’ababi okubonaaboneranga mu ggeyeena emirembe gyonna. Enjigiriza ya Bayibuli, ejjudde okwagala n’obulungi n’okusaasira n’eyonoonebwa n’obusamize awamu n’okutiisibwatiisibwa. Tuyinza okwewuunya bwe tulaba nga Omutonzi waffe ajjudde okusaasira atiibwa ng’omutemu, eyeraliikiriza abantu awamu n’okukyayibwa bw’olaba Setaani bw’ayononyeemu ekifaananyi kye? Enjigiriza eziraga Katonda nga bw’ali omubi ennyo ezibunye wonna mu nsi okuyita ku bituuti, zifudde abantu nkumi na nkumi, mazima, bukadde na bukadde okuba abakafiiri era ababuusabuusa. EE 345.2

Enjigiriza y’ababi okubonaaboneranga mu ggeyeena emirembe gyonna y’emu ku njigiriza ez’obulimba ezikola omwenge ogw’omuzizo ogwa Babulooni, gw’anywesa amawanga ne gatamiira. Kubikkulirwa 14:8; 17:2. Kyewuunyisa abasumba ba Kristo okutwala obulimba buno ne batandika okububuulirira ku mmeeza entukuvu. Baabujja ku Luumi, ng’era bwe baatwala ne Ssabbiiti. Kyamazima obulimba buno bwabuulirwa abasajja abalungi era abamaanyi; naye bakyalemeddwa okufuna omusana ku kyokuyiga kino nga ffe bwe twagufuna. Bali bavunaanyizibwa okusinziira ku musana ogwabaakira mu kiseera kyabwe; sso naffe tubalirwa omusana ogutwakira leero. Singa tukuba omugongo obujjulirwa obw’ekigambo kya Katonda, ne tukkiriza okutwala enjigiriza ez’obulimba kubanga bakitaffe be baazisomesanga, tujja kwesanga nga naffe tugudde mu kunenyezebwa kwa Babulooni; nga tutamidde omwenge gw’obwenzi bwe. EE 345.3

Kyokka ekibiina ekirala ekinene kiwakanya enjigiriza eyo ate ne bawabira ku luuyi olulala. Balaba nga Ebyawandiikibwa biraga Katonda nga owookwagala era omusaasizi, era tebayinza kukikkiriza nti ayinza okusibira ebitonde bye mu muliro gwa ggeyeena etazikira emirembe gyonna. Kyokka bakimanyi nti okusinziira ku butonde, emmeeme efa, era tebalabawo kkubo ddala wabula abantu okulokolebwa. Bangi balowooza nti okukanga okuli mu Bayibuli kugenderera kutiisa bantu babeere bawulize, nti kyokka si kwakubeererawo ddala. Olw’ekyo omwonoonyi ne bweyesanyusa, nga tafuddeeyo ku ebyo Katonda by’ayagala, asuubire nti ku nkomerero waakusaasirwa. Enjigiriza ng’eyo, esanyusa mubiri n’okunywereza omubi mu bubi bwe. EE 345.4

Kikulu mbanokolereyo mbalage ku ngeri abakkiririza mu kulokolebwa kw’abantu bonna bwe bameggana n’Ebyawandiikibwa basobole okunyweza enjigiriza zaabwe ezizikiriza emyoyo. Mu kuziika omuvubuka ataali Mukristaayo eyafiirawo oluvannyuma lw’okufuna akabenje, omusumba w’eddiini eno ekkiririza mu kulokolebwa kw’abantu bonna yakozesa Ekyawandiikibwa eky’ogera ku Dawudi nga kigamba nti: “Kubanga yakubagizibwa olwa Amunooni, okuba ng’afudde.” 2Samwiri 13:39. EE 345.5

“Abantu batera okumbuuza,” omubuulizi bw’agamba, nti, “kiki ekirituuka ku abo abava mu nsi okuyita mu kwonoona, ne bafiira oboolyawo mu butamiivu, ne bafa nga bali mu bikolwa eby’obutemu nga tebenenyezza, oba ne bafa ng’omuvubuka ono bwe yafudde, nga tannasalawo ky’akkiriza wadde okubeerako munnaddiini. EE 345.6

Tuli bagumu olw’Ebyawandiikibwa; kubanga byanukula bulungi era ne bigonjoola ensonga eno. Amunooni yali mwonoonyi kayingo; yagaana okwenenya, yanywanga omwenge n’atamiira, era yattibwa mutamiivu. Ate Dawudi yali nnabbi wa Katonda; era olw’ekyo yasobola okumanya enkomerero ya Amunooni mu nsi egenda okujja oba nga yali nnungi oba mbi. Omutima gwe gwogera gutya? ‘Kabaka Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu:kubanga yakubagizibwa olwa Amunooni, okuba ng’afudde.’ Olunny. 39. EE 346.1

“Ebigambo bino biyinza kuwumbibwawumbibwa bitya? Tokiraba nga okubonaabona kwe tekulina kye kwakola ku kukkiriza kwe mu ddiini? Bwekiri; anti muno tulabamu ensonga ezisanyusa, ezitwongera okutangaala ku njigiriza y’okulongoosebwa kw’ensi yonna, n’okuweebwa emirembe. Yagumizibwa, bwe yalaba omwana we ng’afudde. Lwaki? Kubanga olw’okuba yali nnabbi, yayinza okutunula n’alaba ekitiibwa ekigenda okujja, n’alaba ng’omwana we takyayinza kukemebwa, ng’asumuluddwa okuva mu busibe era ng’alongooseddwa okuvaamu ekibi, era nga yenna amaze okutukuzibwa era ng’amaze okutuuka ku ddaala ery’omuntu omukulu mu kukkiriza, waakukkirizibwa yeetabe n’emyoyo egiri mu ssanyu egyamala edda okulinnya mu ggulu. Ekyasinga okumugumya kye kino nti, omwana we omwagalwa bwe yamala okuggyibwa mu mbeera eno ey’ekibi n’okubonaabona, yasuumusibwa okutuuka Omwoyo Omutukuvu waatuula oyo ayinza okumulisa mu kizikiza ekiri mu mwoyo gwe, era eyo ebirowoozo gye bitayinza kukisibwa magezi ga ggulu, awali essanyu ery’okwagala okutaggwaawo; bwatyo n’aweebwa obutonde obutuukiridde ayinze okusanyukira awamu n’abatuula mu ggulu. EE 346.2

“Okusinziira mu birowoozo bino tuyinza okutegeerwa nga tukkiriza nti obulokozi obuva mu ggulu tebusinziira ku ebyo bye tuyinza okukola wano mu bulamu buno; wadde okusinziira ku kukyusibwa kw’omutima oba ku ndowooza eziriwo leero, newakubadde okukkiririza mu ddiini eziriwo.” EE 346.3

Bwatyo eyeyita omusumba wa Kristo bwe yaddiŋŋananga obulimba bwe ng’omusota bwe gwakola mu Adeni: “Okufa temulifa.” “Olunaku Iwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.” Kyategeeza nti ababi abasinga obubi mu babi, gamba: abassi, ababbi, n’abenzi - baakuteekebwateekebwa bayingire mu kwesiima okutaggwaawo oluvannyuma lw’okufa. EE 346.4

Olwo omulimba ono anyoola Ebyawandiikibwa bino byonna abiggyawa? Abiggya mu Iunnyiriri lumu Iwokka olwogera ku buwulize bwa Dawudi eri okukola kwa Katonda. Yalumwa mu mwoyo gwe ne “yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunooni okuba ng’afudde.” Ennaku eyali ku mwoyo gwe bwe yakkakkana oluvannyuma lw’ekiseera ekyayitawo, n’ajja ebirowoozo bye ku mwana eyafa n’abizza ku ono akyali omulamu, eyali yeekwese olw’okutya ekiyinza okumukolwa olw’okutta muganda we. Kaakano ekyo kikakasa nga Amunooni ataalimu nsonyi, era omutamiivu nti bwe yafa yatwalibwa mu kifo ky’okwesiima, abeereeyo ng’alongoosebwa n’okuteekebwateekebwa okuba nga bamalayika abatayonoona? Olwo lugero olunyuma okuwuliriza, nga lwagunjibwa olw’okusanyusa omubiri. Eyo njigiriza ya Setaani yennyini, era ekoze kinene mu kutuukiriza omulimu gwe. Banange, tuyinza okwewunya okulaba ng’obugwagwa bweyongedde olw’enjigiriza ng’ezo? EE 346.5

Enjigiriza eno eyigirizibwa omuyigiriza ow’obulimba etulaga abalala bangi abakola ekyo mu ngeri yeemu. Banokolayo ebigambo ebitonotono okuva mu Kyawandiikibwa ne babikozesa nga tebafuddeeyo ku makulu agali mu lunnyiriri olulamba, nga lwandiwadde amakulu malala okuva ku ekyo ekyogerwa; ne batandika okunyoola ebitundutundu by’ennyiriri okuteekawo enjigiriza ezitalina musingi mu kigambo kya Katonda. Ekyawandiikibwa kye tulabye ekyogera ku Amunooni omutamiivu nti ali mu ggulu okwo kuteebereza ate okuwakanyizibwa n’Ebyawandiikibwa ebitegerekeka obulungi nti newakubadde abatamiivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda. 1 Abakkolinso 6:10. Eyo y’ensonga lwaki ababuusabuusa, n’abatakkiriza ko n’abawakanyi bagaana amazima nga bagamba nti obwo bulimba. Era bangi balimbiddwa ne basibirwa mu nkomera ez’amayinja beebakire mu bukuumi obutaliiyo. EE 347.1

Singa kyali kituufu nti buli myoyo gy’abantu abafa gyali nga gigenderawo mu ggulu amangu ddala nga baakafa, olwo twandyegombye okufa okusinga okubeera abalamu. Era bangi balimbiddwa mu ngeri eyo ne b’etta. Ebizibu bwe bibasukkirira, okusoberwa n’okubulwa essuubi, olwo ne balaba nga kintu kyangu okukutula oluwuzi Iw’obulamu batere baseeyeeyeze mu bulamu obw’okwesiima obw’ensi ey’emirembe n’emirembe. EE 347.2

Katonda yayogera mu kigambo kye ng’akakasa nti waakubonereza abamenya amateeka ge. N’olwekyo abo abeerowozesa nti alina okusaasira kungi tayinza kuzikiriza mwonoonyi, batunuulire omusaalaba e Gologoosa. Okufa kw’Omwana wa Katonda atalinaako bbala kukakasa nga “empeera y’ekibi kwe kufa,” era nga buli amenya amateeka ga Katonda waakuweebwa empeera ye. Kristo ataayonoona yafuuka ekibi ku lw’omuntu. Yeetikka omusango gw’ekibi, obutaddamu kutunula ku maaso ga Kitaawe, okutuusa omutima gwe lwe gwayabika n’obulamu bwe ne bubetenteka. Ssaddaaka eno yonna yaweebwayo abonoonyi bayinze okulokolebwa. Tewaaliwo ngeri ndala yonna omwonoonyi mwe yandiyise okusonyiyibwa omusango gw’ekibi. N’olwekyo omuntu yenna agaana okugabana ku ssaddaaka eno ey’omuwendo waakwetikka omusango n’ekibonerezo ky’ekibi ye kennyini. EE 347.3

Ka tweyongere okwetegereza Bayibuli ky’eyigiriza ku batatya Katonda era abatayagala kwenenya abagambibwa nti bali mu ggulu batukuvu okwenkana bamalayika. EE 347.4

“Ndi muwa buwa okunywa mu luzzi olw’amazzi ag’obulamu buwa.” Kubikkulirwa 21:6. Ekisuubizo kino ky’abo bokka abalumwa ennyonta. Tewali n’omu aligaweebwa okujjako abo bokka abawulira nga balina obwetaavu obw’amazzi ag’obulamu, era nga baganoonya oluvannyuma lw’okwefiriza ebirala byonna. “Awangula alisikira ebyo; nange nnaabeeranga Katonda we, naye anaabeeranga mwana wange.” Olunny. 7. Ne wano waliwo obukwakulizo. Bwe tuba ab’okusikira ebyo byonna, kitugwanira okuwakanya n’okuwangula ekibi. EE 347.5

Mukama ayogera ng’ayita mu nnabbi Isaaya nti: “Mwogere ku mutuukirivu nti anaabanga bulungi.” Zisanze omubi! Anaabanga bubi: kubanga anaalyanga ku mpeera y’engalo ze.” Isaaya 3:10,11. “Alina ebibi newakubadde ng’akola ekibi emirundi kikumi n’awangaala nnyo,” omugezigezi agamba, nti “era naye mazima mmanyi ng’abo abatya Katonda banaabanga bulungi; naye omubi taabenga bulungi.” EE 347.6

Omubuulizi 8:12,13. Ne Pawulo akikakasa nga omubi yeeterekera “obusungu obuliba ku lunaku olw’obusungu omusango gw’ensonga gwa Katonda kwe gulibikkukira; alisasula buli muntu ng’ebikolwa bye bwe byali;” “okubonyabonyezebwa n’okulumizibwa ku buli bulamu bw’omuntu akola obubi.” Abaluumi 2:5,6,9. EE 348.1

“Tewali mwenzi, oba omugwagwa, oba eyegomba, ye oyo asinza ebifaananyi, alina obusika mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda.” Abaefeso 5:5. “Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n’obutukuvu, awatali obwo, siwali aliraba Mukama.” Abaebbulaniya 12:14. “Balina omukisa abayoza ebyambalo byabwe, balyoke babeere n’obuyinza ku muti ogw’obulamu, era balyoke bayingire mu kibuga nga bayita mu miryango. Ebweru ye eri embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza ebifaananyi, na buli ayagala okukola obulimba.” KubikkuJirwa 22:14,15. EE 348.2

Katonda yategeeza dda abantu nga ye bw’afaanana era ne bw’agenda okumalawo ekibi. “Mukama ye Katonda, ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n&pos;amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi: era atalimuggyako omusango n’akatono oyo aligubaako.” Okuva 34:6,7. “Naye ababi bonna alibazikiriza.” “Aboonoonyi bo, balizikirizibwa bonna: ezzadde lyabwe ne liggweerawo ddala.” Zabbuli 145:20; 37:38. Katonda waakukozesa amaanyi n’obuyinza bwe okumalirawo ddala obujeemu; kyokka obwenkanya bwe ng’awoolera eggwanga bugenda kusigala nga bwe bumu n’empisa ze nga Katonda ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okusaasira okungi. EE 348.3

Katonda tawaliriza muntu yenna wadde okumusazisaawo. Tasanyukira bantu bamugondere ng’abaddu. Ky’ayagala bye bitonde bye bye yakola n’emikono gye okumwagala kubanga agwanidde okwagalibwa. Ayagala bimuwulire kubanga biwulira okusiima mu nda mu byo olw’amagezi ge, obwenkanya bwe n’okwagala okungi. Era abo bonna abategedde obulungi bwe baakumwagala kubanga okwagala kubasika okubasembeza gy’ali nga bamwewuunya olw’ekyo ye kyali. EE 348.4

Amateeka omuli okusaasira, ekisa n’okwagala agaayigirizibwa era ne galabikira mu bulamu bw’Omulokozi waffe, kye kifaananyi eky’empisa za Katonda n’ebyo by’ayagala. Kristo yagamba nti teyayigirizaako bigambo bye wabula ebyo bye yafuna okuva eri Kitaawe. N’olwekyo amateeka ga gavumenti ya Katonda gaatuukiririra ddala mu bulamu n’okuyigiriza kw’Omulokozi waffe bwe yagamba nti, “Mwagalenga abalabe bammwe.” Katonda agenda kusalira ababi omusango okubasinga, naye ku lw’obulungi bw’ensi zonna, era ne ku Iw’obulungi bwabwe bennyini. Agenda kubakola bulungi bw’alikikola okusinziira ku mateeka ge agafuga gavumenti ye n’obutuukirivu obw’empisa ze. Abalaze okwagala kwe, abawadde amagezi bayinze okutegeera amateeka ge, agenze ng’abanooya olw’okusaasira kwe; kyokka ne banyooma okwagala kwe, amateeka ge tebagabazeemu ka buntu, era bagaanye ekisa kye. Wadde nga basanyukira ebirabo okuva mu ggulu, banyooma oyo abibawa; bakyawa Katonda kubanga bakimanyi nti Katonda akyawa ekibi. Mukama agumiikirizza emputtu yaabwe; naye essaawa egenda kutuuka lwe balikakasa gye basazeewo okubeera obulamu bwabwe bwonna. Olwo alibateekako njegere badde ku luuyi lwe? Alibawaliriza okukola by’ayagala? EE 348.5

Abo bonna abasazeewo okulondawo Setaani okuba nga ye mukulembeze waabwe era nga yaabafuga, sibeeteefuteefu kubeera mu maaso ga Katonda. Amalala, EE 348.6

obulimba, obugwagwa, obukambwe, bye biri mu bulamu bwabwe. Olwo bayinza okutuula awamu n’abo be baanyoomanga era be bakyawanga nga bali ku nsi? Amazima tegayinza kutabagana na bulimba; obuwombeefu tebuyinza kuwanyisibwa na kwematira wadde amalala; omubiri oguvunda teguyinza kusanyukira butukuvu; okwagala okw’obuterowoozaako tekunoonya byakwo. Kati olwo ssanyu ki lye bayinza okufuna okuva mu ggulu so nga baamala okumalibwawo amasanyu g’ensi n ‘ okwero woozaako? EE 349.1

Ddala abantu abaamala obulamu bwabwe bwonna nga balwanagana ne Katonda bayinza okutwalibwa mangu ago mu ggulu balabe ku oyo atuula waggulu ko n’embeera entukuvu etuukiridde ab&pos;omu ggulu gye basanyukiramu ebbanga lyonna, - nga buli mwoyo oguli eyo gujjudde okwagala, obwenyi bwabwe nga ssanyu jjereere, ennyimba ez’amaloboozi amanyunyuuntuvu nga zikoolobezebwa olw’okusinza Katonda n’Omwana gw’endiga, okumyansa okutakoma nga kuva mu maaso g’oyo atuula ku ntebe kumulisa ku banunule, - ddala abantu abalina emitima egyakyawa Katonda, amazima n’obutukuvu, bayinza okwetaba awamu n’ekibiina ky’abanunule nga bayimba ennyimba ez’okutendereza? Bayinza okuyimirirawo mu maaso g’ekitiibwa kya Katonda era n’eky’Omwana gw’endiga? Tekisoboka n’akatono; baaweebwa ekiseera ekimala bayinze okufaanana n’ab’omu ggulu; ekyennaku tebaayinza kuyigiriza magezi gaabwe okwagala ebitukuvu; baalemwa okuyiga olulimi lw’eggulu, kaakano obudde bulabika nga buyise nnyo. Okwagala okulwanagana ne Katonda kye kibalemesezza okuyingira eggulu. Obutukuvu n’obutuukirivu awamu n’obutebenkevu ebiri eyo tebiyinza kubawa mirembe; ekitiibwa kya Katonda bakiraba ng’omuliro oguzikiriza. Bawulira nga bandyagadde okudduka okuva mu kifo ekyo ekitukuvu. Bawulira nga kirungi okufa beekweke okuva mu maaso g’oyo eyabafiirira okubanunula. Eyo y’embeera gye baasalawo ku bwabwe okubeerangamu. Be baayagala bagobebwe mu ggulu, ne Katonda n’asigala nga mwenkanya era nga wa kisa. EE 349.2

Okufaananako n’amataba ga Nuuwa, n’omuliro ogulyokya ababi ku lunaku olw’enkomerero kulikakasa okusalawo kwa Katonda nti ababi tebaayinza kukyusika. Tebaayinza kukkakkana bagondere obuyinza bwa Katonda. Baalinga bajeemu; era kati ng’obulamu bwe butuuse ku nkomerero, kizibu okukyusa ebirowoozo byabwe okutunula oludda olulala, obudde buyise nnyo nga tebakyayinza kuva mu bwonoonefu okuba abawulize, okuva mu bukyayi okudda mu kwagala. EE 349.3

Katonda bwe yalekawo Kayini omussi nga ttattiddwa, yali alaga eri ensi ekyokulabirako ku biki ebiva mu kuleka omwonoonyi okwonoona nga takugiddwa. Newakubadde nga olw’ebyo Kayini bye yayigirizanga ne bye yakolanga, bazzukulu be nkumu baagwa mu kwonoona, okutuusa “lwe yalaba ng’abantu boonoonese nnyo ku nsi,” era “nga balowooza bubi bwereere mu mitima gyabwe bulijjo.” “Ensi n’eyonooneka mu maaso ga Katonda, era n’ejjula eby’obukambwe.” Olubereberye 6:5,11. EE 349.4

Katonda olw’okusaasira ensi, yasalawo okuzikiriza abantu bonna ababi abaaliwo mu biro bya Nuuwa. Era olw’okusaasira kwe yazikiriza aboonoonyi b’e Sodoma. Okuyita mu bulimba bwa Setaani abakozi be bagumizibwa ne beeraba nga bye bakola birungi bwebatyo ne beeyongera okuleetera abalala okujeema. Bwekityo bwe kyali mu biro bya Kayini ne Nuuwa, era ne mu biseera bya Ibulayimu ne Lutti; EE 349.5

era bwe kijja okuba ne mu biseera byaffe. Katonda waakumala azikirize abagaanyi okwetwalira ekisa kye ku nkomerero ya byonna. EE 350.1

“Kubanga empeera y’ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Abaluumi 6:23. Abatukirivu nga baweebwa obulamu, ababi nabo baakuweebwa omugabo gwabwe, kwe kufa. “Laba, leero ntadde mu maaso go obulamu n’obulungi, n’okufa n’obubi.” Ekyamateeka 30:15. Okufa okwogerwako mu kyawandiikibwa kino si kwekwo Katonda kwe yagamba Adamu, kubanga abantu bonna balega ku kibonerezo ky’okwonoona. Okwo kwe “okufa okwookubiri” okugerageranyizibwa n’obulamu obutaggwaawo. EE 350.2

Adamu bwe yamala okwonoona, okufa kwatuuka ku bantu bonna. Bonna bafa era ne baziikibwa mu ntaana. Era okuyita mu nkola eyateekebwateekebwa ey’obulokozi, bonna baakuzuukizibwa okuva mu ntaana zaabwe. “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu;” “kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era ne mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.” Ebikolwa 24:15; lAbakkolinso 15:22. Kyokka waliwo enjawulo wakati w’ebibiina byombi ebirizuukizibwa. “Kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana Iwe baliwulira eddoboozi lye, ne bazivaamu; abo abaakolanga ebirungi, balizuukira ne baba balamu. Abo abaakolanga ebibi, balizuukira ne basingisibwa omusango.” Yokaana 5:28,29. “Ba mukisa” abalisangibwa nga “basaanidde,” okuzukirira obulamu. Kubanga abo “okufa okwookubiri tekulina buyinza ku bo.” Kubikkulirwa 20:6. Wabula abo abagaanyi okunoonya okusonyiyibwa, okuyita mu kwenenya n’okukkiriza Yesu, baakusasulwa “empeera y’ekibi” olw’okubanga boonoonyi. Baakubonerezebwa ebiseera ebitenkananka okusinziira ku buzito bw’ekibi, “ng’ebikolwa byabwe bwe byali,” kyokka era bafe okufa okwookubiri. Olw’okubanga Katonda kimukalubirira okulokola omuntu ng’ali mu bibi bye, wadde nga abadde amukwatirwa ekisa n’okumuteerangawo obuddukiro, agenda kumujjako omukisa ogw’okubeera omulamu olw’omuntu okwesalirawo gumufe ng’amenyanga amateeka ga Katonda era n’akakasa nti tegumusaanira. Omuwandiisi eyaluŋŋamizibwa agamba: “Mukaseera katono ababi baliba tebakyaliwo. Ne bw’olibanoonya we babadde, tolibalaba.” Zabbuli 37:10; Obadiya 16. Balikka ne babulira mu nsi ey’aberabirwa bonna nga baswavu. EE 350.3

Eyo y’eribeera enkomerero y’ekibi, ekyaleetera ebitonde okulumwa n’okuzikirira. Omuyimbi wa zabbulu agamba: “Waboggolera amawanga, wazikiriza ababi, wasangula erinnya lyabwe emirembe n’emirembe. Era n’ekijjukizo kyabyo kizikiridde.” Zabbuli 9:5,6. Yokaana mu kitabo kya Kubikkulirwa, bwe yali atunula alengera ebyokubaawo emirembe n’emirembe, yawulira nga bayimba oluyimba olw’amawanga gonna olutendereza nga temuli ddoboozi lyonna litabulatabula. Yawulira nga buli kitonde ekiri mu ggulu ne ku nsi nga kigulumiza Katonda. Kubikkulirwa 5:13. Kyokka teyawulirayo myoyo gy’abo abaabula nga babonaabona olutata nga bwe bavuma Katonda; wadde ababi abali mu ggeyeena nga bakuba ebiwoobe okutabuulatabula ennyimba z’abalonde. EE 350.4

Mu njigiriza eno ey’obulimba ey’omyoyo egitafa mwe muli n’enjigiriza ey’abafu okusigala nga bategeera, - enjigiriza ey’okubonaaboneranga mu ggeyeena, so ng’ewakanyizibwa n’enjigiriza y’Ebyawandiikibwa, ng’okozesa amagezi aga bulijjo n’okulowooza kw’obuntu. Okusinziira ku njigiriza eziriwo ensangi zino, bagamba nti EE 350.5

abanunule abali mu ggulu balaba buli ekikolebwa ku nsi na buli ekituuka ku mikwano gyabwe abali wano ku nsi. Kale olwo abafu abatukuvu bayinza batya okusanyuka nga bategedde obulabe obw’okutuuka ku balamu, nga balaba mikwano gyabwe bakola ebibi, nga babalaba bali mu nnaku etegambika, okufiirwa n’okubonaabona? Eggulu liyinza litya okuba ekifo eky’okwesiima nga balaba mikwano gyabwe bwe baabeeranga nabo ku nsi? Ng’enjigiriza eyo tegwana na kuyisika mu kamwa nti omuka oluggwa mu mubiri omwoyo ne gutwalibwa mu ggeyeena etazikira! Nnaku yeenkana ki abantu gye bafuna nga balaba mikwano baziikibwa mu ntaana nga tebeteeseteese, nga bayingizibwa mu ggeyeena etazikira bakubenga ebiwoobe n’okwonoona! Bangi nnyo beesanze nga batabuse obwongo olw’okulowoozanga ku bintu ng’ebyo. EE 351.1

Ebyawandiikibwa byo byogera bitya ku nsonga eno? Dawudi agamba nti omuntu bw’afa aba tategeera. “Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku luunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” Zabbulu 146:4. Ne Sulemaani ajulira mu ngeri yeemu. “Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” “Okwagala kwabwe kwenkana n’okukyawa, n’obuggya bwabwe okuzikirira kaakano; so nga tebakyalina mugabo ennaku zonna mu byonna ebikolebwa wansi w’enjuba.” Kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy’ogenda.” Omubuulizi 9:5,6,10- EE 351.2

Katonda bwe yayanukula okusaba kwe, obulamu bwa Kezekiya bwayongerwako emyaka kkumineetaano, kabaka ne yeebaza nga bwatendereza Katonda olw’ekisa kye ekingi. Ayogera ng’ategeeza mu luyimba lwe ensonga emuleetedde okusanyuka nti: “Kubanga amagombe tegayinza kukutendereza, okufa tekuyinza kukusuuta: abo abakka mu bunnya tebayinza kusuubira mazima go. Omulamu, omulamu ye alikutendereza nga nze bw’enkola leero.” Isaaya 38:18,19. Eddiini eziriwo ennaku zino zoogera nga zigamba nti abafu abatuukirivu bali mu ggulu, bali mu kwesiima era bali mu kutendereza Katonda mu bulamu obutafa, kyokka ye Keezeekiya teyayinza kulabayo ssanyu mu magombe. Ebigambo bye bikkaanyiza wamu n’eby’omuwandiisi wa zabbuli nti: “Kubanga tewali akujjuukirira mu kufa. Ani alikwebaliza mu magombe?” “Abafu tebatendereza Mukama, newakubadde abo bonna abakka mu kusirika.” Zabbuli 6:5; 115:17. EE 351.3

Peetero ku lunaku Iwa Pentekoote yayogera ku jjajjafTe omukulu Dawudi nti “yafa era n’aziikibwa era n’amalaalo ge gali waffe ne kaakano.” “Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu.” Ebikolwa 2:29,34. Dawudi okuba nga akyali mu ntaana ye okutuusa ku lunaku Iw’okuzuukira kyongera okukakasa nti abatuukirivu tebagenda mu ggulu oluvannyuma Iw’okufa. Okujjako okuyita mu kuzuukira era n’olw’obulungi bw’okuzuukira kwa Kristo, olwo ne Dawudi lw’aliyinza okutuula ku mukono ogwaddyo ogwa Katonda. EE 351.4

Ne Pawulo yagamba nti: “Kuba oba ng’abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa: era oba nga Kristo teyazuukizibwa okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe. Kale era n’abo abeebaka mu Kristo baabula.” lAbakkolinso 15:16-18. Bwe kiba nti abatuukirivu abajja nga bafa okutuusa mu kiseera ekyo, gy’emyaka ng’enkumi nnya egyali giyise nti babadde bagenderawo mu ggulu, ate olwo Pawulo yandisinzidde wa okwogera nti bwe waba tewaliiyo kuzuukira “kale era n’abo abeebaka mu Kristo baabula?” Okuzuukira kuba tekwetaagisa. EE 351.5

Omujulizi Tayindale, ng’ayogera ku bituuka ku bafu, yagamba nti: “Njagala okwatula nti, siyinza kukkiriza nti baba batuuse mu kitiibwa ekijjuvu ng’ekyo ekya Kristo oba bamalayika ba Katonda abalonde kye balimu. Era siyinza kuwandiika ku nsonga nti kye nzikiriza; kubanga bwekiba kityo, olwo kiba kya bwereere okubuulira nti abafu baakuzuukira.” William Tyndale, Preface to New Testament (ed. 1534). Reprented in British Reformers - Tindal, Frith, Bames, page 349. EE 352.1

Amazima agatayinza kugaanibwa ge gano nti essuubi ery’omukisa gw’okufuna obulamu obutafa oluvannyuma ng’omuntu afudde liviiriddeko bangi okugayaririra enjigiriza y’okuzuukira. Era engeri eno ne Dr. Adamu Clerke yagyetegereza n’agamba nti: “Enjigiriza y’okuzuukira erabika nga yasinga nnyo okulowoozebwako Obukristaayo we bwatandikira okusinga leero!. Kino kijja kitya? Anti abatume baakwogerangako, abakkiriza Katonda ne basanyuka nga bafubanga okukulowoozaako, okubeeranga abawulize n’okukwesunga. Abasika baabwe abaliwo ensangi zino bakwogerako bbalirirwe! Abatume baabuulira, Abakristaayo ne bakkiriza; naffe bwetutyo tubuulira, abawuliriza ne bakkiriza kye twogedde. So tewali njigiriza mu njiri esinga kwogerwako ng’enjigira y’okuzuukira; ate era tewali njigiriza mu kubuulira okw’ensangi zino esinze kwerabirwa nga enjigiriza y’okuzuukira!” - Commentery, remarks on lCorithians 15, par. 3. EE 352.2

Kino kizze kibeera bwekityo okutuusa amazima ag’ekitiibwa agakwata ku kuzuukira Iwe gasiikiriziddwa gonna n’Abakristaayo ne bagajjako amaaso. Omuwandiisi omunaddiini omu omututumufu ng’ayogera ku bigambo bya Pawulo ebiri mu 1 Abasessaloniika 4:13-18, kyeyava agamba nti: “Enjigiriza erimu okubuusabuusa ey’okukomawo kwa Mukama waffe omulundi ogwookubiri ezze ng’esikirwa n’endowooza etegeeza nti abatuukirivu bafuna obulamu obutafa oluvannyuma lw’okufa okusobola okubagumya emyoyo. Mukama waffe ajja gyetuli nga tufudde. Ekyo kye tugwanidde okulindirira n’okutunuulira. Abafu baba bamaze okutuuka mu kitiibwa. Bo tebalinda kagombe ka nkomerero olw’okusalirwa omusango n’okuweebwa omukisa.” EE 352.3

Naye Yesu bwe yali anaatera okwawukana n’abayigirizwa be, teyabagamba nti baakugenda okumusisinkana nga yaakagenda. Wabula yagamba nti: “Dŋenda okubateekerateekera ekifo, era oba nga ŋŋenda okubateeketateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi.” Yokaana 14:2,3. Era Pawulo ayongera okutugamba nti: “Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n’eddoboozi lya malayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda: n’abo abaaffiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwetutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.” Era n’ayongerako nti: “Kale musanyusaganenga mwekka na mwekka n’ebigambo bino.” 1 Abasassaloniika 4:16-18. Nga waliwo enjawulo nnene nnyo wakati w’ebigambo bino ebigumya n’eby’omusumba w’eddiini eyayogeddwaako mu bigambo ebyasoose! Eyasoose akubagiza bafiiriddwaako mikwano gyabwe nga bw’abagumya nti, si nsonga omufu yayonoona kyenkana ki, bwe yassa omukka gwe ogusembayo wano, eri n’ayanirizibwa bamalayika. Kyokka Pawulo ategeeza baganda be ng’abasongera ku kujja kwa Mukama, alikutula enjegere z’amagombe, n’abo “abaafiira mu Kristo” bazuukizibwe okuweebwa obulamu obutaggwaawo. EE 352.4

Nga tewannabaawo ayingizibwa mu bisenge eby’omu ggulu, wateekwa okubaawo okunoonyereza ku buli muntu, empisa zaabwe n’ebikolwa byabwe byetegerezebwe mu maaso ga Katonda. Bonna balyoke basalirwe omusango okusinziira ku ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, era baweebwe n’empeera ng’ebikolwa byabwe bwe byali. Kuno okusala omusango tekubeerawo ng’omuntu afudde. Wetegereze ebigambo bya Pawulo: “Kubanga yateekawo olunaku lw’agenda okusaliramu omusango ogw’ensonga ensi zonna mu muntu gwe yayawulamu, bwe yamala okuwa bonna ekikkirizisa bwe yamuzuukiza mu bafu.” Ebikolwa 17:31. Wano omutume agamba nti, waateekebwawo ekiseera ekigere, ate nga kiri eyo mumaaso, olw’okusalirako omusango gw’ensi yonna. EE 353.1

Ne Yuda ayogera ku kiseera kye kimu nti: “Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne balekawo ebifo byabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez’ennaku zonno wansi w’ekizikiza olw’omusango ogw’oku lunaku olukulu.” Era anokolayo n’ebigambo bya Enoki nti: “Laba Mukama yajja n’abatukuvu be kakumi, okuleeta omusango ku bonna.” Yokaana agamba nti: yalaba “abafu, abakulu n’abato, nga bayimiridde mu maaso g’entebe; ebitabo ne bibikkulwa.... Abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo.” Kubikkulirwa 20:12. EE 353.2

Abafu bwe baba nga kaakano bali mu kusanyukira mu bulamu obw’okwesiima eyo mu ggulu oba nga bali mu kwenyoolera mu ggeyeena, olwo ekiseera eky’okusala omusango kyetaagisa ki? Enjigiriza ey’ekigambo kya Katonda ku nsonga zino enkulu, si nzibu kutegeera wadde okuba nga ekubagana empawa, nti oboolyawo tetegeerebwa bantu baabulijjo. Naye muntu ki omwesigwa alaba amagezi wadde obwenkanya mu njigiriza eno? Abatukuvu nga bamaze okunoonyerezebwako n’okusalirwa omusango, balyoke baanirizibwe nga bwe beebazibwa nti: “Weebale oli muddu mulungi mwesigwa... yingira mu ssanyu lya Mukama wo:” baligambibwa ebigambo ebyo ng’ate baamala dda okuyingira, kumpi nga bamazeeyo byeya na bisiibo? Olwo ababi baliyitibwa kuva mu ggeyeena balyoke baweebwe empeera yaabwe nti: “Muveewo we ndi, mmwe abaakolimirwa, mugende mu muliro ogutaggwaawo?” Matayo 25:21,41. Kya nnaku nnyo! baswadde nnyo abavunaana amagezi n’obutuukirivu bwa Katonda! EE 353.3

Enjigiriza y’emyoyo egitafa yeemu ku njigiriza ez’obulimba Luumi ze yayingiza mu ddiini z’Obukristaayo ng’azijja mu bukafiiri. Martin Luther ye yaziyita “enfumo ez’obulabe ezikola entuumo y’ebisasiro by’enjigiriza ze.” - E. Petavel, The Problem of Immortality, p. 255. Bwe yali ayogera ku bigambo bya Sulemaani ebiri mu kitabo ky’Omubuulizi, nti abafu tebaliiko kye bamanyi, Luther agamba nti: “Wano nawo wakakasa nga, abafu... tebalina kye bawulira. Emagombe teri kikolebwayo, teri kulowooza, teri magezi, teri kumanya. Sulemaani akakasa nga abafu baba beebase, nga tebalina kye bawulira n’akatono. Abafu nga beebase mu magombe, tebabala nnaku wadde emyaka, naye bwe balizuukusibwa, baliwulira ng’abebakidde akatikitiki akamu.” - Martin Luther, Exposition of Solomon’s Booke Called Ecclesiastes, p. 152. EE 353.4

Ebyawandiikibwa Ebitukuvu tebirina we byogerera nti abatuukirivu baakugenderawo okuweebwa empeera yaabwe nga bafudde newakubadde ababi. Bajjajyaffe ne bannabbi tebaalina we baakyogererako. Kristo n’abatume tebalina EE 353.5

we bakikoneddeko. Bayibuli eyogera Iwatu nti abafu tebagenderawo mu ggulu. Boogerwako nga abeebase okutuusa olunaku lw’okuzuukira. lAbasessaloniika 4:14; Yobu 14:10-12. Ku lunaku omuguwa ogwa flfeeza nga tegunnasumulukuka, n’ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka (Omubuulizi 12:6), ebirowoozo by’omuntu Iwe bibula. Abakka mu magombe bakka mu kusirika. Baba tebalina kye bamanyi ku bikolebwa wansi w’enjuba. Yobu 14:21. EE 354.1

Balina omukisa abeebaka nga batuukirivu! Ekiseera, si nsonga kiwanvu kyenkana ki oba kimpi, kiriba nga kutemya kikowe. Beebaka; kyokka baakuzuukusibwa akagombe ka Katonda okuweebwa omubiri ogw’ekitiibwa ogutavunda. “Kubanga akagombe kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda.... Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n’ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu magombe.,, lAbakkolinso 15:52-54. Bwe baliba nga bayitiddwaayo okuva mu tulo otungi twe balibaamu, olwonno lwe balitandika okulowooza gye babadde bawummulidde. Obulumi bwe baasembayo okuwulira bw’ebwo obw’okufa; by’ebirowoozo ebyasembayo nga bakyafugibwa amaanyi g’emagombe. Essanyu eririsooka okubajjira bwe balizuukira okuva mu ntaana zaabwe, bye bigambo eby’obuwanguzi ebyayogerwa nti: “Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? Olunnyir 55. EE 354.2