Essuubi Eritaggwaawo

24/43

23 — “Ekifo Ekitukuvu” Kltegeeza Kl?

Ekyawandiikibwa ekyasukuluma mu byonna okwazimbirwa era ne kikola ng’empagi okwayimirizibwa enzikiriza y’okukomawo kwa Kristo nga kigamba nti: “Birituusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Danieri 8:14. Bino ebigambo nga bimanyiddwa buli mukkiriza ali mu kulindirira okukomawo kwa Kristo. Byayogerwanga lunye abantu nkumi na nkumi, anti nga bifuuse ŋŋombo mu kukkiriza. Bonna nga bawulira nti essuubi lwabwe n’okwesunga kwabwe kwonna byesigamye ku nsonga enkulu eziri mu lunyiriri olwo ezalangibwa okubaawo. Ennaku zino ez’obunnabbi zaabalirirwa okukoma wakati w’omwezi ogwoomwenda n’ogwekkumi omwaka 1844. Olwo nga kye bafaananya n’Abakristaayo abalala mu nsi, Abadiventi nga bakkiriza nti ensi eno oba ekitundu ku yo we wali ekifo ekitukuvu. Nga bamanyi nti okulongoosa awatukuvu kitegeeza kutukuza nsi eno ng’eyokebwa n’omuliro ku lunaku olukulu olw’enkomerero, era nga Iwakubaawo Kristo nga akomawo. Yensonga Iwaki bakkiriza nti Kristo waakukomawo ku nsi mu 1844. EE 263.2

Kyokka ekiseera kye baasuubira kyayitawo nga talabiseeko. Abakkiriza nga bakimanyi nti Ebyawandiikibwa tebiyinza kulema kutuukirira; wabula ennyinnyola yaabwe ey’obunnabbi y’eteekwa okubaamu ensobi; naye wa awali ensobi? Bangi ne basala eggoye nga bagamba nti ennaku 2300 teziggwaako mu 1844. Nga tewali nsonga ze bawa wabula nti Kristo takomyewo mu kiseera we babadde bamusuubirira. Nga bagamba nti singa ennaku zaggwaako mu 1844, Kristo yandikomyewo okulongoosa awatukuvu ng&pos;atukuza ensi n’omuliro; era olw&pos;okubanga takomyewo, ennaku tezinaggwaako. EE 263.3

Nga bw’okkiriza endowooza eyo oba weegaanye embalirira y’ebiseera nga bwe yali mu kusooka. Ennaku 2300 zaalabibwa nga zaatandika olw’ekiragiro kya Alutagizerugizi okuzaawo n’okuzimba Yerusaalemi ekyateekebwa mu nkola wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ekkumi omwaka 457 B.C. Bw’otwala ekiseera kino okuba nga yentandikwa ya byonna, n’oteeka mu nkola byonna ebyalangibwa okubaawo nga bwe biragibwa mu nnyinnyonnyola y’ebiseera eri mu Danieri 9: 25-27, biba biruŋŋama bulungi. Essabbiiti nkaaga mu bbiri, ze nnaku oba emyaka 483 egisooka ku myaka 2300, egyo nga gituuka ku Masiya, afukibwako amafuta; ne ku kubatizibwa kwa Kristo awamu n’okufukibwako Omwoyo Omutukuvu, EE 263.4

mu A.D. 27, ebyo byaliwo ddala mu biseera ebituufu. Mu kitundu kya ssabbiiti ey’ensanvu, Masiya yali wa kuttibwa. Nga wayise emyaka esatu n’ekjtundu okuva Iwe yabatizibwa, Kristo yakomererwa ku musaalaba wakati w’omwezi ogw’okusatu n’ogw’okuna mu A.D. 31. Essabbiiti ensanvu oba emyaka 490, giriwo naddala ku lw’Abayudaaya. Era ku nkomerero y’emyaka gino eggwanga lyabwe lyateeka envumbo ku bujeemi bwabwe eri Kristo bwe baayigganya abayigirizwa be, era abatume ne bakyukira abamawanga mu A.D. 34. Emyaka 490 egiva ku myaka 2300 bwe giggwaako, osigaza emyaka 1810. Olwo malayika agamba nti: “Awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Obunnabbi obwasooka bwatuukiririra mu biseera nga bwe byayogerwa awatali kusobyamu. EE 264.1

Bwe baakozesa embalirira y’ebiseera eyo, byonna byali bitegerekeka era nga bikwatagana bulungi, okujjako nga kizibu okutegeera nti okulongoosa awatukuvu okwogerwako nti ddala kwaliwo mu1844. Nga bwe batakkiriza nti ennaku zaggv\aako mu kiseera ekyo nga kivaamu okutabukatabuka, era batuuke n’okulekayo okukkiriza kwabwe kwe baatuukako so ng’obunnabbi buzze butuukirira awatali kubulako. EE 264.2

Wabula Katonda yakulembera abantu be mu kisinde kino; era amaanyi ge awamu n’ekitiibwa kye byaweesa omulimu ekitiibwa, era nga tayinza kukkiriza mulimu gwe gusaanirewo mu buswavu ng’obwo, nga gusekererwa nti okwo kwali kucamuukirira kwa bantu. Teyakkiriza kigambo kye kisigale nga tekitegeerekeka ko n’okubuusibwabuusibwa. Wadde nga bangi baava ku mbalirira y’ebiseera eyasooka bwebatyo ne bawakanya n’obutuufu bw’Abadiventi, abalala baagaana okulekayo ensonga enkulu ez’okukkiriza kwabwe n’ebyo bye bakkiriza ebinywezebwa n’Ebyawandiikibwa era ne bikakasibwa n&pos;Omwoyo wa Katonda. Nga bakkiriza nti baagoberera enkola entuufu ey’okutaputamu Ebyawandiikibwa nga bayiga obunnabbi, olwo nga bawulira nti obwo bwe buvunaanyizibwa bwabwe okunyweza ekyo kye batuuseeko n’okusigala nga bayisa mu ngeri yeemu ey’okunoonya mu Bayibuli. Baddamu okwetegereza okunoonyereza kwabwe n’okuyiga Ebyawandiikibwa wakati mu kusaba ennyo bazuule ensobi yaabwe. Bwe bataalaba nsobi mu mbalirira y’ebiseera by’obunnabbi, ne basalawo banoonyereze ku kifo ekitukuvu. EE 264.3

Mu bye baanoonyerezaako baakizuula nga tewali bujulizi bwa Byawandiikibwa bwonna buwagira ndowooza eyaliwo nti ensi kye kifo ekitukuvu; wabula baazuula okunnyonnyola okugazi okwogera ku kifo ekitukuvu, bwe kyakula, gye kiri kaakano, era n’okuweereza okw’omu kifo ekyo; obujulirwa obw’omuwandiisi nga butegerekeka bulungi nnyo okusobola okumalawo ebibuuzo byonna. Omutume Pawulo mu bbaluwa gye yawandiika eri Abaebbulaniya, agamba: “Era n’endagaano ey’olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez’okusinzanga Katonda, n’ekifo ekitukuvu eky’omu nsi. Kubanga eweema eyakolwa, ey’olubereberye yalimu ekikondo ky’ettabaaza n’emmeeza n’emigaati egy’okulaga; awaayitibwa Awatukuvu. Era ennyuma w’eggigi ery’okubiri yaliyo eweema eyitibwa entukuvu ennyo; eyalimu ekyoterezo ekya zaabu n’essanduuko ey’endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n’omuggo gwa Alooni ogwaloka, n’ebipande eby’endagaano; ne kungulu ku yo bakerubi ab’ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey’okusaasira.” Abaebbulaniya 9: 1 -5. EE 264.4

Awatukuvu Pawulo waayogerako kye kifo eky’okusisinkanirangamu ekyazimbibwa Musa olw’ekiragiro kya Katonda okuba ekifo ky’Oyo Ali waggulu ennyo eky’oku nsi mwanaabeera. “Era bankolere Awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe” (Okuva 25: 8), ekyo kye kiragiro ekyaweebwa Musa bwe yali ku lusozi awamu ne Katonda. Abaana ba Israeri baali mu lugendo nga batambula bayita mu ddungu, ne balagirwa okuzimba eweema esobola okutambuzibwanga; kyokka yali yakitiibwa nnyo nnyini. Ebisenge byayo ebyalinga eby’embaawo nga byabikkibwako ne zaabu ennungi ne binywezebwa n’ebyuma ebya ffeeza, so nga akasolya kaakolebwa mu ntimbe ez’engeri ezenjawulo ezagendanga zibikkibwa ku zzinaazo, olusooka nga Iwakolebwa mu maliba, ate olw&pos;omunda nga lwa bafuta ennungi eyawundibwamu ebifaananyi bya bakerubi. Ng&pos;ojeeko oluggya olw’ebweru omwali ekyoto okwayokerwanga saddaaka, eweema yalinanga ebisenge bibiri ebiyitibwa awatukuvu n’awatukuvu ennyo nga byawulwamu n’olutimbe oluyitibwa eggigi olw’omuwendo omungi ennyo, era olwalinga ne kumulyango oguyingira mu watukuvu. EE 265.1

Mu watukuvu waalingayo ekikondo eky&pos;ettabaaza ku luuyi olw’obukiikaddyo nga kuliko emitwe musanvu okumulisa mu watukuvu emisana n’ekiro; ku luuyi olw&pos;obukiikakkono nga waliyo emmeeza ey’emigaati egy’okulaga; era awo nga ku ggigi eryawula awatukuvu okuva ku wasinga obutukuvu we waalinga ekyoto eky’okwoterezangako obubaane ekya zaabu, okwasitukanga ekire ekyakaloosa, awamu n’okusaba kwa Israeri buli lunaku nga kulinnya eri Katonda. EE 265.2

Mu kifo ekisinga obutukuvu waalingayo essanduuko ey’endagaano eyakolebwa mu muti ogw’omuwendo omungi ng&pos;eyaliiliddwako ne zaabu, omwakuumirwanga ebipande bibiri eby’amayinja Katonda bye yawoolako amateeka ekkumi. Waggulu ku sanduuko, we waalinga entebe ey’okusaasira eyabikkanga ku sanduuko, nga yakolebwa n’obukugu era n’eteekebwako bakerubbi omu ku luuyi olumu n’omulala eruuyi, bonna nga baakolebwa mu zaabu. Ekitiibwa kya Mukama eno gye kyalabikiranga wakati mu kire kya bakerubi abeekitiibwa. EE 265.3

Oluvannyuma nga abaana ba Israeri bamaze okukkalira mu Kanani, eweema yagibwawo ne bakola yeekaalu mu kifo kya yo eyazimbibwa Sulemaani, era nga newakubadde yakolebwa nga yalubeerera era nga ngazi, baagoberera ebipimo bye bimu, era n’ewundibwa mu ngeri yeemu. Ekifo ekitukuvu kyabeerawo bwekityo okumala ekiseera ng’ogyeko Iwe kyalekebwa ne kizika mu biseera bya Danieri, okutuusa Iwe kyazikirizibwa Abaluumi mu A.D. 70. EE 265.4

Kino kye kifo ekitukuvu kyokka ekyali kibadde ku nsi, era Bayibuli kyeyogerako. Era kino Pawulo kyayogerako nga ekifo ekitukuvu eky’omu ndagaano ey’olubereberye. Naye endagaano empya terina kifo kitukuvu? EE 265.5

Bwe baddayo mu kitabo ky’Abaebbulaniya, abaali banoonya amazima baakizuula nga ekjfo ekitukuvu eky’omu ndagaano ey’okubiri oba endagaano einpya kyali mu bigambo bya Pawulo ebyogeddwako waggulu nti: “Era n’endagaano ey’olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez’okusinzanga Katonda, n’ekifo ekitukuvu eky’omu nsi.” EE 265.6

Ekigambo ne kitegeeza nti Pawulo mu kusooka ayogeddeko ku kifo ekitukuvu kino. Bwe baddako emabega mu ssuula ey’omunaana, ne basoma nti: “Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: Tulina kabona waffe asinga obukulu, afaanana bwatyo eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ey’Obukulu obw’omu ggulu, omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’amazima, Mukama gye yasimba so si muntu.” Abaebbulaniya 8: 1,2. EE 265.7

Wano we tusanga Ekyawandiikibwa ekyogera ku awatukuvu aw’endagaano empya. Ekifo ekitukuvu eky’omu ndagaano ey’olubereberye kyasimbibwa muntu. Era bakabona ab’okunsi mwe baaweererezanga; naye mu kino, Kristo Sabakabona yaweererezaamu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. Ekifo ekitukuvu ekimu kyali ku nsi, so ekirala kiri mu ggulu. EE 266.1

Ekirala, eweema eyasimbibwa Musa yakolebwa mu ngeri nga bwe yamulagibwa ku lusozi. Mukama yalagira nti: “Nga byonna bye nkulaga, engeri ey’eweema, n’engeri ey’ebintu byayo byonna bwe mutyo bwe mukola.” Era naayongera okumukuutira nti: “Weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.” Okuva 25: 9,40. Era Pawulo agamba nti eweema ey’olubereberye, “kye kifaananyi olw’ebiro ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne ssaddaaka ebiweebwayo;” era nga ebifo byakyo ebitukuvu bye “bifaananyi by&pos;ebyo eby’omu ggulu;” nga bakabona abaaweererezangamu okusinziira ku mateeka “baaweerezanga eby’ekifaananyi n’ekisiikirize eky’ebyo eby’omu ggulu,” era nga Kristo “teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n&pos;emikono ekyafaanana ng&pos;ekyo eky’amazima; naye mu ggulu mwennyini okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku Iwaffe ” EE 266.2

Ekifo ekitukuvu eky&pos;omu ggulu, Kristo mwaweerereza ku Iwaffe kyekyo eky’amazima, Musa kwe yajja ekifaananyi okuzimba ekifo ekitukuvu eky&pos;oku nsi. Mukama yateeka Omwoyo we ku bazimbi abazimba ekifo ekitukuvu eky&pos;oku nsi. Obukugu obwayolesebwa mu kukizimba bwalaga amagezi ga Katonda. Ebisenge byakyo nga byakaayakana nga zaabu olw’ettabaaza omusanvu ezamulisangako. Emmeeza ey’emigaali egy&pos;okulaga n&pos;ekyoto okwanyokezebwanga obubaane nga bimasasa okukira zaabu empewuleko. Entimbe ezakozesebwa okubikka akasolya mu nda, nga zisiigiddwamu ebifaananyi bya bamalayika mu langi eza bbululu, kakobe awamu ne myukirivu, ebyayongera okulungiya ekifo. Ate mu kisenge eky’okubiri emabega w’eggigi, we waali entebe ya Katonda, ekitiibwa kye gye kyeyolesezanga, etaagendebwanga muntu mulala yenna n’aba mulamu okujjako kabona asinga obukulu. EE 266.3

Ekifo ekitukuvu eky’okunsi ekyalina ekitiibwa ekitenkanika, kyayolesanga eri abantu ne balaba ekitiibwa ekya yeekaalu ey’omu ggulu Kristo omukulembeze waffe gyaweerereza ku lwaffe mu maaso g’entebe ya Katonda. Ky’ekifo Kabaka wa bakabaka mwatuula, enkumi n’enkumi za bamalayika gye bamuweerereza, n’obukumi emirundi akakumi nga bayimiridde mu maaso ge (Danieri 7: 10); eyo ye yeekaalu eyajjulanga ekitiibwa eky’entebe ya Katonda ey’olubeerera, ekifo ekyali kikoleddwa n’emikono gy’abantu ne kiba eky’ekitiibwa, basseraafi abayima baakyo gye babikkira ku maaso gaabwe nga basinza, naye nga kibikkulako katono ku bugazi ne ku kitiibwa eky’eky’omu ggulu. Kyokka omwo mwe mwayigirizibwa amazima amakulu agakwata ku kununulibwa kw&pos;omuntu n&pos;emikolo egyakolerwangayo nga bwe biri mu yeekaalu ey&pos;omu ggulu. EE 266.4

Ebifo ebibiri ebitukuvu ebya yeekaalu eri ku nsi kifaananyi ku bifo ebibiri ebitukuvu ebya yeekaalu eri mu ggulu. Nga omutume Yokaana bwe yafuna omukisa naalaba yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu ng’ali mu kwolesebwa, mu yo yalabayo “ettabaaza omusanvu ez’omuliro nga zaaka mu maaso g’entebe.” Kubikkulirwa 4:5. Yalaba malayika “ng&pos;alina ekyoto ekya zaabu, n’aweebwa obubaane bungi, EE 266.5

alyoke abuteeke mu kusaba kw’abatukuvu bonna ku kyoto ekya zaabu ekyali mu maaso g’entebe.” Kubikkulirwa 8:3. Wano nnabbi yali afunye omukisa okulaba ekifo ekitukuvu ekisooka eky’omu ggulu; era yalabayo “ekikondo ky&pos;ettabaaza omusanvu ez’omuliro” “n’ekyoto ekya zaabu,” ebirabikira mu kifaananyi ky’ettabaaza eya zaabu n’ekyoto ekyoterezebwako obubaane ebyali mu yeekaalu ey’oku nsi. Era, “ne yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu n&pos;ebikkulwa” (Kubikkulirwa 11:19), n&pos;alaba awatukuvu ennyo emabega w&pos;eggigi ery’omunda. Wano yalaba “essanduuke ey’endagaano ye,” erabikira mu kifaananyi eky’essanduuko Musa gye yakola omwakuumirwanga amateeka ga Katonda. EE 267.1

Bwebatyo bwe baazuula amazima okuyita mu kuyiga ku kifo ekilukuvu nti awatali kubuusabuusa mu ggulu eriyo yeekaalu. Musa yakola yeekaalu ey&pos;oku nsi nga bwe yamulagibwa mu kifaananyi. Era Pawulo agamba nti ekifaananyi kye yalaba kye kya yeekaalu ey’amazima eri mu ggulu. Ne Yokaana akakasa nga ddala yagiraba mu ggulu. EE 267.2

Mu yeekaalu ey’omu ggulu, ekifo Katonda mwabeera, mwe muli entebe ye gyeyanyweza mu butuukirivu ne mu musango. Mu watukuvu ennyo eyo y’eri amateeka ge, obuyinza kw’akufugira n&pos;okuluŋŋamya olulyo lw’omunlu. Essanduuke omuli amateeka ebikkiddwako n’entebe ey’okusaasira, awo Kristo waali ng’awolereza omwonoonyi olw&pos;omusaayi gwe. Bwekilyo ekifaananyi ky’obwenkanya n&pos;okusaasira bwe kirabikira mu nteekateeka y&pos;okununulibwa kw&pos;omuntu. Obweggaltu obwo buyinza kuteekebwawo oyo yekka alina okumanya kwonna era ne butuukirizibwa oyo alina obuyinza bwonna; bwe bweggaffu obuleetera eggulu lyonna okwewuunya ne bavuunama okusinza. Bakerubi ab’omu yeekaalu ey&pos;oku nsi, abalunuzza amaaso gaabwe ku ntebe ey’okusaasira, balaga obwagazi abatukuvu ab&pos;omu ggulu bwe balina nga beewuunya omulimu gw&pos;obununuzi. Kino kye kyama bamalayika kye beegomba okulaba Katonda nga bwakwatira ekisa omwonoonyi - nga bwayinza okuba omwenkanya ng&pos;asonyiwa omwonoonyi eyeenenya n&pos;azzaawo buggya enkolagana ye n&pos;olulyo olwagwa; era nga Kristo bwe yayinza okukkakkana wansi asitule enkuyanja y’abantu abaali bagenda okuzikiririra mu bunnya abambaze n’ekyambalo eky’obutuukirivu bwe ekitaliiko bbala bagattibwe ne bamalayika abataagwa babeere mu maaso ga Katonda emirembe gyonna. EE 267.3

Omulimu gwa Kristo nga omutabaganya w’omuntu gulagibwa bulungi mu bunnabbi bwa Zekkaliya ku oyo “erinnya lye Ettabi.” Nnabbi agamba nti: “Oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye [eya kitaawe] alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n’okuteesa okw&pos;emireinircmbe kulibeera wakati waabwe bombi.” Zekkaliya 6: 12,13. EE 267.4

“Oyo y’alizimba yeekaalu ya Mukama.” Kristo gwe musingi, era ye, ye muzimbi w’ekkanisa ya Katonda olwa saddaaka ye gye yawaayo era n’olw&pos;okuba omutabaganya. Omutume Pawulo amwogerako nga “ejjinja eddene eryookunsonda; mu oyo ennyumba yonna, bw’egattibwa obulungi, ekula okubecra yeekaalu entukuvu mu Mukama waft&pos;e: mu oyo era nammwe,” agamba, “muzimbibwa wamu okubeera ckisulo kya Katonda mu mwoyo.” Abaefeso 2: 20-22. EE 267.5

“Era oyo ye alilwala ekitiibwa.” Kristo ye aweebwa ekitiibwa olw’obununuzi bwe yateekawo cri olulyo Iw’omuntu olwagwa. Era oluyimba Iw’abanunule Iwe EE 267.6

baliyimba okuyita mu mirembe gyonna ne lulyoka lubeera nti: “Atwagala era eyatusumulula mu bibi byaffe olw’omusaayi gwe... ekitiibwa n&pos;obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe.” Okubikkulirwa 1:5,6. EE 268.1

“Alituula ku ntebe ye, alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye.” Si “wakutuula ku ntebe ye ey’ekitiibwa kaakano,” kubanga obwakabaka bwe obwekitiibwa tebunnatuuka. Wabula okutuusa nga, omulimu gwe gw’akola nga omutabaganya gutuuse ku nkomerero yaagwo, olwo, Katonda Iw’alimuwa “okutuula ku ntebe ya Dawudi jjajjaawe,” “so obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” Lukka 1: 32,33. Kristo nga kabona kaakano atudde wamu ne kitaawe ku ntebe ye ey’obwakabaka. Kubikkulirwa 3:21. Leero atudde ku ntebe wamu n’oyo abeerawo era eyeebeezaawo yekka emirembe gyonna oyo eyeetikka obuyinike bwaffe, n’asitula ennaku zaffe,” oyo “eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, so nga teyalina kibi,” “ayinze okuyamba abo abakemebwa ” “Era omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina omuwolereza eri Kitaffe.” Isaaya 53:4; Abaebbulaniya 4: 15; 2: 18; 1 Yokaana 2:1 EE 268.2

Mu kuwolereza, kyamuviiramu okufumitibwa omubiri gwe awamu n’okubetentebwa so nga teyalina bbala. Enniinga ezafumitibwa mu bibatu by’engalo ze, okufumitibwa mu mbiriizi ze, era n’ebigere bye ebyayonoonebwa, nga byonna byegayirira ku lw’omuntu eyagulibwa n’omuwendo omunene ogwenkanidde awo olw’okumununula. EE 268.3

kCN’okuteesa okw’emiremirembe kulibeera wakati waabwe bombi.” Okwagala kwa Kitaffe, okwenkananka n&pos;okw’omwana, ye nsulo ey’obulokozi eri olulyo olwagwa. Yesu yagamba bwe yali tanagenda nti: “Ndibasabira eri Kitange, kubanga Kitange yennyini abaagala.” Yokaana 16: 26,27. Anti “Katonda yali mu Kristo ng’atabaganya ensi naye yennyini.” 2Abakkolinso 5: 19. Era mu kuweereza kwe nga Kabona mu yeekaalu ey’omu ggulu, “okuteesa okw’emiremirembe kulibeera wakati waabwe bombi.” “Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” Yokaana 3:16. EE 268.4

Ekibuuzo ekibuuzibwa nti Awatukuvu kye ki? nga kirabika kiddiddwamu bulungi okuyita mu Byawandiikibwa. Ekigambo “awatukuvu,” okusinziira nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, okusooka kitegeeza, eweema eyasimbibwa Musa nga bwe yalagibwa eyo ey’omu ggulu; n’ekyookubiri, kitegeeza “eweema eyamazima” y’ey’omu ggulu, eyasongebwangako weema ey’oku nsi. Kristo bwe yafa okuweereza okw’omu kifo kino ne kukomezebwa. Olwo, “eweema eyamazima” eyo eri mu ggulu, n’esigala nga we watukuvu aw’endagaano empya. Kati, ng’obunnabbi bwa Danieri 8: 14 bwe bumaze okutuukirizibwa mu kuweereza kuno, awatukuvu awoogerwako wateekwa okuba nga we watukuvu aw’endagaano empya. Ennaku 2300 we zaggweerako mu 1844, nga tewakyaliwo kifo kitukuvu kyonna ku nsi okumala ebyasa by’emyaka bingi. Bwekityo, obunnabbi obugamba nti: “Birituusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa,” awatali kubuusabuusa busonga ku kifo ekitukuvu eky’omu ggulu. EE 268.5

Naye ekibuuzo ekikulu ddala kisigala nga kibuuzibwa nti: Okulongoosa awatukuvu kitegeezaki? Olw’okubanga mu kifo ekitukuvu eky’oku nsi mwalimu okuweereza, okweereza okwo kulagibwa bulungi okuyita mu Byawandiikibwa eby’Endagaano Enkadde. Naye wayinza okubaawo ekintu kyonna ekyetaaga okulongoosebwa mu EE 268.6

ggulu? Tuyigirizibwa okuyita mu kitabo kya Abaebbulaniya 9 ku kulongoosebwa kw’ebifo byombi - awatukuvu aw’oku nsi n’awatukuvu aw’omu ggulu. “Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa. Kale ebifaananyi by’ebyo eby’omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n’ebyo, naye eby’omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo” (Abaebbulaniya 9: 22,23), gwe musaayi ogw’omuwendo omungi, ye Kristo. EE 269.1

Okulongoosebwa kw’ebifo byombi mu kiri ekyebifaananyi ne mu kuweereza okwamazima, kuteekwa kutuukirizibwa na kuyiwa musaayi: mu kw’olubereberye, okuyita mu musaayi gw’ensolo, ate mu kw’oluvannyuma, n’omusaayi gwa Kristo. Pawulo annyonnyola Iwaki okulongoosebwa kuno kwetaagisa na kuyiwa musaayi, kubanga awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa. Okusonyiyibwa oba okuggibwako ekibi gwe mulimu ogukyasigaddeyo okutuukirizibwa. Naye ekibi kyegatta kitya n’awatukuvu, oba mu yeekaalu ey’omu ggulu oba mu y’oku nsi? Kino kiyinza okutegerekeka nga tutunuulira okuweereza okw’ebifaananyi; kubanga kabona eyaweerezanga mu y&pos;oku nsi, yaweerezanga “eby’ekifaananyi n’ekisiikirize eky’ebyo eby’omu ggulu.” Abaebbulaniya 8: 5. EE 269.2

Okuweereza okw’omu watukuvu aw’oku nsi, kwalimu ebitundu bibiri: bakabona abaaweerezanga mu kifo ekitukuvu buli lunaku, ate ne kabona asinga obukulu eyayingiranga mu watukuvu ennyo omulundi gumu mu mwaka, ng’akola omulimu gw’okutabaganya, olw’okulongoosa awatukuvu. Omwonoonyi eyeenenya yajjanga n’essaddaaka ye mu maaso ga weema buli lunaku, n’ateeka emikono gye ku mutwe gw’ensolo etalina musango, ng’agyatulirako ebibi bye, mu kifaananyi eky’okwe[jako ebibi bye bidde ku ssaddaaka. Olwo, ensolo n’ettibwa. “Kubanga awataba kuyiwa musaayi,” omutume Pawulo agamba, “tewabaawo kusonyiyibwa.” “Kubanga obulamu bw’ennyama buba mu musaayi.” Ebyabaleevi 17: II. Omwonoonyi eyazzaanga omusango ku mateeka ga Katonda, amateeka nga gasaba obulamu bwe. Omusaayi gw’ensolo oguliwo ku lw’obulamu bw’omwonoonyi, kaakano aggiddwako ebibi bye ne bidda ku ssaddaaka ne gutwalibwa kabona mu kifo ekitukuvu, n’agumansira ku ggigi, ennyuma waalyo ye waakuumirwanga essanduuko omuli amateeka omwonoonyi g’amenye. Okuyita mu kuweereza kuno, ekibi ne kiyingizibwanga mu watukuvu mu kifaananyi eky’omusaayi. Emikolo gyombi gyalinga akabonero ak’okuyingiza ekibi okuva ku mwonoonyi eyeenenya okudda mu watukuvu. EE 269.3

Ogwo gwegwalinga okulimu ogwakolebwanga buli lunaku okumalako omwaka. Era bw’ebityo n’ebibi bya Isiraeri bwe byayingizibwanga mu watukuvu, era nga, kyetaagisanga okubiggyamu. Katonda yalagira nti wabeewo okutangirira ebifo byombi eby’awatukuvu. “Era anaatangiriranga awatukuvu, olw’obutali bulongoofu bw’abaana ba Isiraeri, n’olw’ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bwatyo bw’anaakolanga eweema ey’okusisinkanirangamu ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.” Era n’ekyoto kyetaagisanga okukitangirira, “n’akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw’abaana ba Isiraeri.” Abaleevi 16: 16,19. EE 269.4

Ku lunaku olukulu olw’okutangirirako olwabeerangawo omulundi gumu mu mwaka, kabona yayingiranga mu watukuvu ennyo olw’okulongoosanga awatukuvu. Era omulimu gwe yakolerangayo ne gufundikiranga okuweereza okw’omwaka. Ku EE 269.5

lunaku lw’okutangirira, baaleetanga abaana b’embuzi babiri mu maaso g’omulyango oguyingira mu weema ne zikubwako akalulu, “akalulu akamu ka Mukama, n’akalulu akookubiri ka Azazeri.” Oluny. 8. Akalulu ak&pos;embuzi ya Mukama, eyo yattibwanga nga ekiweebwayo olw’ekibi ku Iw’abantu. Awo kabona n’aleeta omusaayi gw&pos;ayo emabega w’eggigi n’agumansira ku ntebe ey’okusaasira ne mu maaso g’entebe ey’okusaasira. Era omusaayi nga gumansirwa ne ku kyoto kwe baanyookerezanga obubaane ekyalinga mu maaso g’eggigi. EE 270.1

“Awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi ennamu, n&pos;ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw&pos;abaana ba Isiraeri, n’ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n&pos;abiteeka ku mutwe gw’embuzi, n&pos;agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw&pos;omuntu eyeteeseteese: era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n’ebutwala mu nsi eteriimu bantu.” Enyir. 21, 22. Embuzi ya Azazeri teyaddanga mu lusiisira Iw’abaana ba Isiraeri nate, era n’omuntu eyagisindiikirizanga kyamugwaniranga okunaaba n&pos;okwozanga ebyambalo bye mu mazzi alyoke akomewo mu lusiisira. EE 270.2

Omukolo gwonna gwateekebwateekebwanga okulaga n’okunyweza obutukuvu bwa Katonda eri abaana ba Isiraeri era ne bwakyawamu ekibi; so era n’okubalaga nti singa beesembereza ekibi, ekibi kyakubonoona. Buli muntu nga kimugwanira okubonerezanga emmeeme ye okutangirira nga bwe kugenda mu maaso. Emirimu gyonna nga giwummuzibwa, era n’ekibiina kyonna eky&pos;abaana ba lsiraeri olunaku balumala mu kwewombeeka mu maaso ga Katonda, nga basaba, n&pos;okusiibanga, n&pos;okwekebera mu mutima. EE 270.3

Amazima amakulu agakwata ku kutangirira gayigirizibwanga okuyita mu kuweereza okw’ebifaananyi. Ssaddaaka eyaweebwangayo mukifo ky’omwonoonyi yakkirizibwanga; kyokka ekibi tekyaggibwangawo olw’omusaayi gw’ensolo. Olwo ekibi nga kiyingiziddwa mu watukuvu. Omusaayi bwe gwawebwangayo nga ssaddaka, omwonoonyi yategeeranga obuyinza bw’amateeka, n’ayatulanga ebibi bye olw’okumenya amateeka, era n’asaba okusonyiyibwa okuyita mu kukkiriza Omununuzi agenda okujja; wabula nga tannaggibwako musango ogw’okumenya amateeka. Ku lunaku olw’okutangiririrako, kabona asinga obukulu bwe yamalanga okuwaayo ssaddaka ku Iw’ekibiina, yayingiranga n’omusaayi gwa ssaddaaka eno mu watukuvu ennyo, n’agumansira ku ntebe ey&pos;okusaasira, waggulu w’amateeka, olw’okutuukiriza kye gasaba. Olwo, mu kifaananyi kye nga omutabaganya, yeettikkanga ebibi by’abanlu n’abijja mu watukuvu. Yateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw’embuzi eya Azazeri, n’agyatulirako ebibi byonna, mu ngeri eyo, n&pos;abyeggyako ne bidda ku mbuzi. Embuzi olwo n’ebyettikka okubitwala, era ne kitwalibwa nti abantu baawuddwa ku bibi ebyo emirembe gyonna. EE 270.4

Okwo kwe kuweereza kwe baakolanga “abaaweerezanga eby’ekifaananyi n’ekisiikirize eky&pos;ebyo eby’omu ggulu.” Era ebyo eby’ekifaananyi ebyakolebwanga mu kuweereza okw’omu watukuvu aw’oku nsi bikolebwa ne mu kuweereza okwamazima mu watukuvu aw’omu ggulu. Omulokozi waft&pos;e bwe yalinnya mu ggulu, yatandika okuweereza nga kabona waft&pos;e asinga obukulu. Pawulo agamba: “Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekyafaanana ng’ekyo ekyamazima; naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku Iwaffe.” Abaebbulaniya 9: 24. EE 270.5

Okuweereza kwa kabona okuyita mu mwaka ng’ali mu kifo ekitukuvu ekisooka eky’awatukuvu, “wakati w’eggigi” eryalinga ku mulyango era eryayawulanga ekifo ekitukuvu okuva ku luggya olw’ebweru, kulaga omulimu gwa Kristo gwe yatandika okukola mu kuweereza nga kabona okuva Iwe yalinnya mu ggulu. Kubanga gwalinga mulimu gwa kabona okuweerezanga buli lunaku ng’aleeta mu maaso ga Katonda omusaayi gw’ekiweebwayo ku lw’ekibi, era n&pos;okunyookezanga obubaane obwalinnyanga mu ggulu awamu n&pos;okusaba kwa Isiraeri. Ne Kristo bwatyo bwe yeegayirira olw’omusaayi gwe mu maaso ga Kitaawe ku lw’abonoonyi, era ng’amuleetera akaloosa ak’omuwendo oinungi ak&pos;obutuukirivu bwe wamu n’okusaba kw’abakkiriza abeenenyezza. Okwo kwe kwali okuweereza okw’ekifo ekitukuvu ekisooka mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu. EE 271.1

Eyo abayigirizwa ba Kristo gye baamugobereza n’amaaso ag’okukkiriza bwe yalinnya okubava ku maaso. Eno ye waali essuubi lyabwe, “essuubi lye tulina,” Pawulo bw’agamba, “ng’essika ery’obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w’eggigi; Yesu gye yayingira omukulembeze waffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna.” “So si Iwa musaayi gwa mbuzi n’ennyana, naye Iwa musaayi gwe ye, n’ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuuka okununula okutaggwaawo ku lwaft&pos;e.” Abaebbulaniya 6: 19,20; 9: 12. EE 271.2

Obuweereza buno bwakolebwanga okumala ebyasa by’emyaka kkuminamunaana awo mu kifo ekitukuvu ekisooka eky’awatukuvu. N’omusaayi gwa Kristo guzze guyimirirawo ku Iw&pos;abakkiriza abeenenya, ne basonyiyibwa era ne bakkirizibwa mu maaso ga Kitaffe, kyokka ebibi byabwe nga bikyali mu bitabo. Nga mu kuweereza okw’ebifaananyi bwe kyagwaniranga okutangirira awatukuvu ku nkomerero y’omwaka, ne bwekityo, omulimu gwa Kristo ogw&pos;okununula omuntu nga tegunakomekerezebwa, kigwanira okutangirira awatukuvu olw’okuggyamu ekibi. Guno gwe mulimu ogwatandika okukolebwa ku nkomerero y’ennaku 2300. Mu kiseera ekyo, kabona waft&pos;e asinga obukulu yayingira mu watukuvu ennyo nga nnabbi Danieri bwe yalagula, okutuukiriza ekitundu ekisembayo mu kuweereza kwe - kwe kulongoosa awatukuvu. EE 271.3

Nga mu kuweereza okwedda ebibi by&pos;abantu bwe byettikkibwanga ssaddaaka ey’ekibi okuyita mu kukkiriza, era ne biyingizibwa mu kifo ekitukuvu okuyita mu kifaananyi eky’omusaayi, era ne mu ndagaano empya ebibi by’abonoonyi abeenenya bwe byettikkibwa Kristo, ekyamazima, ne biyingizibwa mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu. Era nga n’okulongoosa ekifo ekitukuvu eky’oku nsi bwe kyatuukirizibwanga n’okuggyamu ebibi ebyakyonoonanga, era bwekityo ne mu kulongoosa eky’omu ggulu bwe kigwanira okutuukirizibwa nga kiggibwamu oba okusangulamu ebibi ebyawandiikibwayo. Naye kino nga tekinnatuukiririzibwa, ebitabo kibigwanira okwetegerezebwa okulaba oyo alina okukkiriza mu Kristo era eyeenyezza oba nga asaanira okweyagalira mu mutango gwe. N’olwekyo, okulongoosa awatukuvu kigattako omulimu gw’okukebera ebitabo - kwe kusala omusango. Omulimu guno gulina okukolebwa Kristo nga tannakomawo okujja okununula abantu be; kubanga bw’alijja, alijja n’empeera ye okusasula buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri. Kubikkulirwa 22: 12. EE 271.4

Bwebatyo abaagobereranga omusana ogw’obunnabbi bw’ekigambo bwe baalaba nga, mukifo ky’okukomawo ku nsi ku nkomerero y’ennaku 2300 mu 1844, Kristo yayingira mu watukuvu ennyo aw’ekifo ekitukuvu eky’omu ggulu atuukirize omulimu gwe ogufundikira okutangirira era oguteekateeka okukomawo kwe. EE 272.1

Era kyazuulibwa nti, nga ssaddaka ey’ekibi bwe yasonganga ku Kristo nga ssaddaka, ne kabona asinga obukulu nti yayimirirangawo ku lwa Kristo nga omutabaganya, embuzi ya Azazeri kifaananyi kya Setaani, omutandisi w’ekibi, alyettikka ebibi by’abeenenya mu mazima ku nkomerero ya byonna. Kabona asinga obukulu nga bwe yayinzanga okulongoosa awatukuvu n’aggyawo ebibi olw’omusaayi gwa ssaddaaka ey’ekibi, yabittikkanga embuzi ya Azazeri. Ne Kristo olw’omusaayi gwe, bw’aggyawo ebibi by’abantu be okuva mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu, abiteeke ku Setaani ku nkomerero y’okuweereza kwe, oyo mu kusala omusango alyettikka ekibonerezo ekisembayo. Embuzi ya Azazeri yasindiikirizibwanga mu nsi eteriimu bantu, obutadda nate mu lusiisira Iwa Isiraeri. Ne Setaani bwatyo bw’aligobebwa okuva mu maaso ga Katonda era n&pos;abantu be emirembe gyonna, era asangulibwewo obutaddamu kubeera mulamu nate ekibi bwe kiriba kizikirizibwa awamu n’abonoonyi. EE 272.2