Essuubi Eritaggwaawo

25/43

24 — Mu Watukuyu Wawatukuyu

Okyokuyiga eky’ekifo ekitukuvu kye baayiga kye kyali ekisumuluzo ekyaggulawo ekyama ekyali mu kusaarirwa okwa 1844. Kyaggulawo oluggi ne balaba amazima gonna mu bulamba bwago, nga gakwatagana era nga geegasse wamu mu kulaga nti omukono gwa Katonda gwe gwakulembera mu kubuulira obubaka bw’okukomawo kwa Kristo era n’okubikkulira abantu be obuvunaanyizibwa bwabwe obwa leero oluvannyuma lw’okubalaga we bayimiridde. Nga abayigirizwa ba Yesu oluvannyuma lw’okunakuwala ennyo era n’okusaarirwa kwe baayitamu mu kiro kiri bwe “baasanyuka bwe baalaba ku Mukama waabwe,” era bwekityo bwe kyali ne ku bano bwe baasanyuka bwe baali bamulindira okukomawo omulundi ogwookubiri okuyita mu kukkiriza. Baamusuubira okulabika mu kitiibwa asasule empeera ye eri abaddu be. Essuubi lyabwe bweritaatuukirira, bamuggyako amaaso, ne bakaabira wamu ne Maliyamu bwe yali ku ntaana nti: “Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.” Naye nga kaakano bayinza okumulaba nate mu kisenge ekyookubiri ekya awatukuvu, oyo ssabakabona omusaasizi, anaatera okulabika nga Kabaka waabwe era Omulokozi. Omusana ogwayaka nga guva mu kifo ekitukuvu gwabamulisiza ne balaba eby’emabega, ebiriwo, era n’ebirijja. Baakimanya nga Katonda yabakulembera olw’ekisa kye ekitawubwa. Newakubadde nabo okufaanana nga n’abayigirizwa abaasooka bwe baalemererwa okutegeera obubaka bwe baabuuliranga, obubaka bwali bwa mazima bwonna. Mu kububuulira baali batuukiriza ebigendererwa bya Katonda, era n’okufliba kwabwe tekwali kwa EE 272.3

bwereere mu Mukama waffe. Essanyu lyabwe lyadda buggya ne “bajaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa.” EE 273.1

Obunnabbi bwa Danieri 8:14, “Birituusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa,” n’obubaka bwa malayika ow’olubereberye, “Mutye Katonda mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse,” bwombi bwasonganga ku buweereza bwa Kristo ng’ali mu kifo ekitukuvu ennyo, mu kunoonyereza okw’okusala omusango, so si ku kujja kwa Kristo okujja okununula abantu era n’okuzikiriza ababi. Ensobi teyari mu kubala nnaku ezoogerwako mu bunnabbi, naye ku ekyo ekyali eky’okubaawo ku nkomerero y’ennaku 2300. Ensobi eno yeyaleetera abakkiriza okufuna okusaalirwa, so ng’ate byonna ebyalagulwa mu bunnabbi, era ne byonna bye baalinako obukakafu bw’ebyawandiikibwa nti byakubaawo, byatuukirira. Mu kiseera ekyo kyennyini mwe baali bakungubagira olw’obutatuuka ku ssuubi lyabwe, obunnabbi bwatuukirira ku ekyo obubaka kye bwayogerangako, era ekyali eky’okutuukirira Mukama waffe nga tannakomawo okusasula abaddu be empeera ye. EE 273.2

Kristo yali akomyewo, so si ku nsi, nga bwe baasuubiranga, naye, nga bwe kyalangibwanga okuyita mu kuweereza okw’amazima, eri mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu. Nnabbi Danieri amwogerako mu kiseera kino nga eyali agenda ewomukadde eyakamala ennaku ennyingi nti: “Ne nda mu ebyo bye nnayolesebwa ekiro, era, laba, ne wajya omu eyafaanana nga omwana w&pos;omuntu n’ebire eby&pos;omu ggulu, n’ajjira ddala” - so si ku nsi, wabula - “eri omukadde eyakamala ennaku ennyingi, ne bamusembeza mu maaso ge.” Danieri 7:13. EE 273.3

Okujja kuno kwogerwako ne nnabbi Malaki nti: “Mukama gwe munoonya alijja mu yeekaalu ye nga tebamanyiridde; n’omubaka w’endagaano gwe musanyukira, laba, ajja, bw&pos;ayogera Mukama w’eggye.” Malaki 3:1. Okujja kwa Mukama mu yeekaalu ye kwabatuukako nga tebamanyiridde. Anti nga tebamusuubira kubeera eyo. Baamusuubira kujja ku nsi “mu muliro ogwaka, ng’awalana eggwanga ku batamanyi Katonda n&pos;abo abatagondera njiri ya Mukama waffe.” 2Abasessaloniika 1: 8. EE 273.4

Kyokka abantu tebaali beeteefuteefu kusisinkana Mukama waabwe. Waali wakyaliwo omulimu ogwetaaga okukolebwa bateekebweteekebwe. Omusana nga gulina okumulisibwa, batunuze ebirowoozo byabwe mu yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu; era nga bwe bagobereza amaaso gaabwe eri Kabona waabwe asinga obukulu ali mu kuweerereza eyo, babikkulirwe obuvunaanyibwa obuggya. Obubaka obulala obw’okulabula n’okuyigiriza nga bulina okutegeezebwa eri ekkanisa. EE 273.5

Nnabbi agamba, “Naye ani ayinza okugumiikiriza olunaku olw’okujja kwe? Era ani aliyimirira ye bw’alirabika? Kubanga aliŋŋanga omuliro gw’oyo alongoosa effeeza, era nga ssabbuuni w’aboozi: era alituula ng’oyo alongoosa effeeza n’agimalamu amasengere, era alirongoosa batabani ba Leevi, era alibasengejja ng’ezzaabu n’effeeza; awo baliwaayo eri Mukama ebiweebwayo mu butuukirivu.” Malaki 3: 2,3. Abo abalibeera abalamu ku nsi nga okuweereza kwa Kristo mu kifo ekitukuvu eky’omu ggulu gyali nga omuwolereza kuweddeko, baakuyimirirawo ku bwabwe awatali mutabaganya mu maaso ga Katonda omutukuvu. Ebyambalo byabwe biteekwa kuba nga tebiriimu bbala, empisa zaabwe nga ziggiddwamu ekibi olw’omusaayi ogumansirwako. Bateekwa okuba abawanguzi mu lutalo luno olw’ekibi okuyita EE 273.6

mu kisa kya Katonda awamu n’okufuba kwabwe. Okunoonyereza mu kiseera eky’okusala omusango nga bwe kugenda mu maaso eri mu ggulu, eno nga n’ebibi by’abakkiriza abeenenya bwe biggibwa okuva mu yeekaalu, wateekwa okubaawo omulimu gw’okwerongoosa, n’okwejjako ebibi mu bantu ba Katonda abali ku nsi. Omulimu guno gulabikira bulungi nnyo mu bubaka bwa Kubikkulirwa 14. EE 274.1

Omulimu guno bwe gulimala okutuukirizibwa, olwo, abagoberezi ba Kristo lwe balibeera nga beeteeseteese okumusisinkana lw’alirabika. “Awo ekiweebwayo kya Yuda ne Yerusaalemi ne kiryoka kisanyusa Mukama nga mu nnaku ezedda era nga mu myaka egyedda.” Malaki 3: 4. Olwo ekkanisa Mukama waffe gy’alyetwalira ng’azze ebeere “ekkanisa ey’ekitiibwa, nga terina bbala newakubadde olufunyiro newakubadde kyonna kyonna ekifaanana nga bino.” Abaefeso 5: 27. Olwo Iw’eryogebwako nti: “Ani oyo atunula ng’emmambya, omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba, ow’entiisa ng’eggye eririna ebendera?” Oluyimba 6: 10. EE 274.2

Ng’ojjeeko okujja kwa Mukama mu yeekaalu ye, era Malaki alagula ne ku kujja kwe omulundi ogwookubiri mu bigambo bino, ng’ajja okusala omusango nti: “Era ndibasemberera okusala omusango; era ndiba mujulirwa mwangu eri abalogo n’eri abenzi n’eri abalayira eby’obulimba; n’eri abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye, nnamwandu n’atalina kitaawe, era abagoba munnaggwanga obutamuwa bibye, so tebantya, bw’ayogera Mukama w’eggye.” Malaki 3:5. Yuda ayogera ku kiribaawo mu ngeri yeemu nti: “Laba Mukama yajja n’abatukuvu be kakumi, okuleeta omusango ku bonna, n’okusinza omusango ku bonna abatatya Katonda, n’olw’ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.” Yuda 14, 15. Okujja kuno awamu n’okujja kwa Mukama mu yeekaalu ye, bya njawulo ddala era byeyawudde. EE 274.3

Okujja kwa Mukama nga kabona waffe asinga obukulu ng’ayingira mu kifo ekitukuvu ennyo olw’okulongoosa awatukuvu nga bwe kiragibwa mu Danieri 8: 14; okujja kw’omwana w’omuntu eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi mu Danieri 7: 13; n’okujja kwa Mukama mu yeekaalu ye, okwalagulwako Malaki, byonna binnyonnyola ensonga emu ey’okubaawo; era kino kiragibwa ne mu lugero lwa Kristo olw’abawala ekkumi mu Matayo 25. EE 274.4

Obubaka obulangirira nti, “Laba, anaawasa omugole ajja,” bwabuulirwa mu kitundu ekisooka eky’omwaka 1844 era n’ekyasembayo. Olwo ne walabika ebibiina ebibiri ebyogerwako nga, ekimu eky’abasirusiru era n’eky’abalina amagezi - ekimu nga kirindirira n’essanyu okwaniriza okulabika kwa Mukama, era nga babadde beeteekerateekera okumusisinkana; ate ekibiina ekirala, bo bakkiriza amazima olw’okutya n’olw’okucamuukirira naye nga banaku mu kisa kya Katonda. Olugero lugamba, nti, “anaawasa omugole bwe yajja,” “abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole.” Oku[ja kw’anaawasa omugole okwogerwako wano, kwakubaawo ng’embaga ey’obugole tennabaawo. Embaga ey’obugole etegeeza okwanirizibwa Kristo mu bwakabaka bwe. Ekibuga ekitukuvu, Yerusaalemi ekiggya, ekibuga ekikulu eky’obwakabaka, kye kiyitibwa “omugole, omukazi ow’omwana gw’endiga.” “N’antwala mu mwoyo,” nnabbi bw’agamba, “n’andaga ekibuga ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda.” Kubikkulirwa 21: 9,10. N’olwekyo kitegerekeka bulungi, nga, omugole omukazi kye kibuga ekitukuvu, n’abawala abaagenda okusisinka anaawasa omugole ye kkanisa. Mu Kubikkulirwa, EE 274.5

abantu ba Katonda b’ebo abaayitibwa ku mbaga ey’obugole bw’Omwana gw’endiga. Kubikkulirwa 19:9. Bwe baba nga baayitibwa tebayinza kuba nga beebagole. Kriso, nga bwekyogeddwa nnabbi Danieri nti, aliweebwa okuva ew’omukadde eyakamala ennaku ennyingi “okufuga, n’ekitiibwa, n’obwakabaka;” aliweebwa Yerusaalemi ekiggya, era ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwe, “nga kitegekeddwa ng’omugole ayonjeddwa bba.” Danieri 7: 14; Kubikkulirwa 21: 2. Bw’alimala okuweebwa obwakabaka, alijjira mu kitiibwa kye nga Kabaka wa bakabaka era Mukama w’abaami, okujja okununula abantu be, abalituula wamu ne Ibulayimu Isaaka ne Yakobo, ku mmeeza ye mu bwakabaka bwe obw’omu ggulu (Matayo 8: 11; Lukka 22: 30), baliire wamu naye embaga ey’obugole bw’omwana gw’endiga. EE 275.1

Obubaka obulangirira nti, “Laba, anaawasa omugole ajja,” obwabuulirwa mu kitundu ekisooka eky’omwaka 1844, bw’aleetera bangi okusuubira nti Kristo anaatera okujja. Kyokka mu ntuuko y’ekiseera, anaawasa omugole yajja, so si ku nsi, nga bwe baamusuubira, naye eri omukadde eyaakamala ennaku ennyingi ku mbaga ey’obugole, gye yayanirizibwa mu bwakabaka bwe. “Abo abaali beeteeseteese ne bayingira wamu naye ku mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo.” Tebaali bakubeerayo ku mbaga mu buntu; kubanga embaga yali mu ggulu, ate nga bo bali ku nsi. Abagoberezi ba Kristo balina “okulindirira Mukama waabwe, w’aliddira ng’ava ku mbaga ey’obugole.” Lukka 12: 36. Naye kibagwanira okumanya omulimu gw’akola n’okumugoberera okuyita mu kukkiriza ng’agenda mu maaso ga Katonda. Eno yensonga lwaki bategeezebwa okugenda wamu naye ku mbaga ey’obugole. EE 275.2

Mu lugero, tutegeezebwa nti abo abaalina amafuta mu macupa gaabwe wamu ne ttabaaza be baagenda ku mbaga ey’obugole. Kitegeeza nti b’ebo abalina okumanya okw’amazima okuva mu Byawandiikibwa, era nga baalina n’Omwoyo wa Katonda awamu n’ekisa kye, era nga mu kiseera kiri ekyali eky’okugezesebwa okungi, baalindirira wakati mu kugumiikiriza, nga banoonya mu Byawandiikibwa okufuna omusana ogusingako - abo ne balaba amazima agakwata ku kifo ekitukuvu eky’omu ggulu era n’okukyuka kw’obuweereza bw’Omulokozi, era okuyita mu kukkiriza ne bamugoberera mu kuweereza okw’omu kifo ekisinga obutukuvu eky’omu ggulu. Era n’abo abakkiriza amazima ago, olw’obujulirwa obw’ebyawandiikibwa, ne bagoberera Kristo okuyita mu kukkiriza ng’agenda mu maaso ga Katonda okutuukiriza obuweereza bwe obusembayo obw’okutabaganya, era ku nkomerero ya byonna baanirize obwakabaka bwe - ne bano b’ebo abaagenda ku mbaga ey’obugole. EE 275.3

Olugero Iwa Matayo 22 lulaga ekifaananyi kye kimu eky’embaga ey’obugole, era n’okukebera ebitabo mu kusala omusango kulagibwa nga kwe kusookerwako embaga ey’obugole okubaawo. Mu kusooka, kabaka yayingira okulaba abagenyi oba nga bambadde ekyambalo ky’obugole, ekyambalo eky’empisa ezaanaazibwa ne zitukuzibwa mu musaayi gw’omwana gw&pos;endiga. Matayo 22: 11; Kubikkulirwa 7: 14. Oyo eyasangibwa nga tatuukiridde, asuulibwa ebweru, naye abo bonna abaakeberebwa ne basangibwa nga bambadde ekyambalo ky’obugole bakkirizibwa Katonda era ne babalibwa nga basaanidde okusikira obwakabaka bwe era batuule wamu naye ku ntebe ye ey’obwakabaka. Okunoonyereza mu kusala omusango kwe kukebera ebitabo oba okukebera empisa, okusalawo ani eyeteekeddeteekedde obwakabaka bwa Katonda, era gwe mulimu ogulikomekkereza obuweereza bwa Kristo mu yeekaalu ey’omu ggulu. EE 275.4

Omulimu gw’okunoonyereza mu kusala omusango bwe gulikomekerezebwa, ng&pos;amannya ga buli muntu eyakkiriza okugoberera Kristo okuyita mu mirembe gyonna gamaze okwetegerezebwa, olwo, so si kiseera kirala, wabula okutuusa ku olwo, ekiseera eky’ekisa kirikoma, n’oluggi olw’ekisa luliggalwawo. Bwekityo nga bwekyogerwa nti, “Abo abaali beeteeseteese ne bayingira naye mu mbaga ey’obugole: oluggi ne luggalwawo.” Bwekityo, tutwalibwa ddala okuyita mu kuweereza kw’Omulokozi okusembayo, okutuuka mu kiseera omulimu omukulu ogw’okulokola omuntu lwe gulikomekkerezebwa. EE 276.1

Mu kuweereza okw’ekifo ekitukuvu eky’oku nsi, okwali okw’ekisiikirize eky’eri mu ggulu nga bwe tulabye, kabona asinga obukulu bwe yayingiranga mu kifo ekisinga obutukuvu ku lunaku olw’okutangirirako, obuweereza bwe obw’omu kisenge ekisooka nga bukoma. Katonda yalagira nti: “So temubanga muntu mu weema ey’okusisinkanirangamu, bw’anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw’anaafulumanga.” Abaleevi 16: 17. Bwekityo, ne Kristo bwe yayingira mu kifo ekisinga obutukuvu okutuukiriza obuweereza bwe obukomekkereza omulimu gw’okutangirira, obuweereza bwe mu kifo ekitukuvu ekisooka bwakoma. Naye obuweereza obw’omu kifo ekitukuvu ekisooka bwe bwakomanga, obuweereza obw’omu kifo ekisinga obutukuvu nga butandika. Mu kuweereza okwa kabona asinga obukulu ow’oku nsi bwe yafulumanga mu watukuvu ku lunaku olw’okutangirirako, yagendanga eri Katonda okumwanjulira omusaayi gwa ssaddaaka olw’ekibi ku Iwa Isiraeri yenna eri abo abeenenyerezza ddala ebibi byabwe. N’olwekyo Kristo yali atuukirizaako ekitundu kimu ku mulimu gwe nga omuwolereza walfe, olwo alyoke ayingirire ekitundu ekirala eky’okuweereza, era nga yeegayirira mu maaso ga Kitaffe ku lw’abonoonyi olw’omusaayi gwe. EE 276.2

Ekyokuyiga kino Abadiventi baali tebanakitegeera mu 1844. Ekiseera bwe kyayitawo kye baasuubiriramu Omulokozi okujja, baasigala bakyamusuubira okuba nti ajja mangu nnyo; nga balaba batuuse mu kiseera ekizibu, era nti n’omulimu gwa Kristo nga omutabaganya wa Katonda eri omuntu gulabika gukomye. Nga kirabika nga kye baayiga okuva mu Bayibuli nti ekiseera eky’ekisa eri omuntu kiggwaako ng’ebula akaseera katono okutuuka ku kujja kwa Mukama ng’ajjira ku bire eby’eggulu. Kino nga kirabika nga ekisembebwa n’ebyawandiikibwa ebirengeza abantu ku kiseera lwe balinoonya, ne bakonkona era ne bakaabira ku luggi olw’ekisa, naye ne bataggulirwawo. Era beebuuzanga oba nga kino ekiseera we babade balindirira okujja kwa Kristo, si kulwa, nga kye kitandise Kristo alyoke akomewo amangu ddala. Baalowooza nti nga bwe bamaze okulabula ensi ku kiseera eky’omusango, olwo, omulimu gwabwe eri ensi guwedde, era ne bassa wansi okuzitoowerera kw’emmeeme zaabwe olw’okulokolebwa kw’aboonoonyi, okwo nga kwotadde abasekerezi n’abawoozi ababajereganga olutatadde, ne bakirowooza nti kano kabonero akalaga nti Omwoyo Omutukuvu aggiddwa ku bajeemedde okuyita okw’ekisa. Bino byonna nga binyweza endowooza yaabwe nti ekiseera eky’ekisa kiweddeko, oba nga bwe baakyogeranga nti, “oluggi olw’ekisa luggaddwaawo.” EE 276.3

Naye omusana gweyongera okujja wakati mu kunoonyereza kwabwe ku kibuuzo eky’ekifo ekitukuvu. Kaakano nga bategedde nti baali batuufu mu kukkiriza nti ennaku 2300 zaggwaako mu 1844 era nga kye kiseera eky’enkyukakyuka ezaali ez’okubaawo amangu ddala. Naye newakubadde nga oluggi olw’essuubi era EE 276.4

olw’ekisa abantu mwe baayitanga okutuuka eri Katonda okumala emyaka nga 1800 lwali luggaddwaawo, oluggi olulala Iwali lugguddwaawo, era nga abantu basonyiyibwa ebibi byabwe okuyita mu Kristo omuwolereza ali mu kifo ekisinga obutukuvu. Obuweereza bwe obusooka bwali bukomye, obulala bulyoke butandike. Waali wakyaliwo “oluggi oluggule” oluyingira mu yeekaalu ey’omu ggulu, eyo Kristo gy’ali ng’aweereza ku Iw’omwonoonyi. EE 277.1

Kaakano ne balaba ebigambo bya Kristo ebiri mu kitabo kya Kubikkulirwa nga biwandiikirwa eri ekkanisa mu kiseera kino kyennyini nti: “Bw’ati bw’ayogera oyo Omutukuvu, ow’amazima, alina ekisumuluzo kya Dawudi, aggulawo so tewali muntu aliggalawo, aggalawo so tewali muntu aggulawo, nti mmanyi ebikolwa byo: laba, nnateeka mu maaso go oluggi olugguddwaawo, omuntu yenna lw’atayinza kuggalawo.” Kubikkulirwa 3: 7,8. EE 277.2

Abo abagoberera Yesu okuyita mu kukkiriza ng’ali ku muliinu omukulu ogw’okutangirira be banaaganyulwa emikisa gye egy’okubatabaganya ne Katonda, so ng’ate abagaanye okukkiriza omusana ogubamulisiza okulaba omulimu gwa Kristo gw’akola kulwabwe si baakuguganyulwamu. Abayudaaya abagaana okukkiriza omusana ogwabaweebwa mu kujja kwa Kristo okwasooka, era ne bagaana n’okumukkiriza nga Omulokozi w’ensi, tebaayinza kufuna kisonyiwo okuyita mu ye. Yesu bwe yalinnya mu ggulu n’ayingira mu kifo ekitukuvu olw’omusaayi gwe ye, awe abayigirizwa be emikisa gye egy’okutabaganya, Abayudaaya baasigala mu kizikiza nga bagenda mu maaso n’okuwangayo ssaddaaka awamu n’ebiweebwayo ebitaliimu. Okuweereza okw’omu bifaananyi awamu n’ebisiikirize kwali kukomye. Oluggi abantu mwe baayitanga okutuuka eri Katonda nga terukyali luggule. Abayudaaya baali bagaanye okumunoonyeza mu ngeri emu yokka mwe yali ayinza okufunibwa, kwe kuweereza okw’omu yeekaalu ey’omu ggulu. N’olwekyo nga tebalina we batabaganira ne Katonda. Eri abo, oluggi lwali lubaggaliddwawo. Tebaalina kye bamanyi ku Kristo nga ssaddaaka ey’amazima era omutabaganya mu maaso ga Katonda; yensonga Iwaki tebaayinza kuganyulwa mu mikisa gye egy’okutabaganya. EE 277.3

Embeera y’Abayudaaya abaagaana okukkiriza Yesu mwe baali batuuse eraga embeera y’abatakkiriza mu Bakristaayo abeesuuliddeyo ogwanaggamba, abasalawo okulagajjalira omulimu Kabona waffe asinga obukulu era ow’okusaasira gw’akola. Mu kuweereza okw’ekifo ekitukuvu eky’okunsi, kabona asinga obukulu bwe yayingiranga mu kifo ekisinga obutukuvu, olusiisira Iwonna olwa Isiraeri Iwakuŋŋaaniranga okwetoloola eweema ne beewombeeka wakati mu kusaba mu maaso ga Katonda, bayinze okuweebwa okusonyiyibwa ebibi byabwe baleme okusalibwako ku kibiina. Olwo tulowooza tutya ku bukulu obw’olunaku olw’okutangirirako olw’amazima, n’omulimu gwa Kabona waffe asinga obukulu gw’akola, awamu n’obuvunaanyizibwa bwafife? EE 277.4

Abantu tebayinza kumala gasonyiyibwa nga bajeemedde okulabula Katonda kw’azze ng’abaweereza olw’ekisa kye. Obubaka okuva mu ggulu bwaweerezebwa eri ensi mu biro bya Nuuwa, era n’okulokolebwa kw’abantu abo kwesigama nnyo ku ngeri gye baayanirizaamu obubaka obwo. Olw’okubanga baajeemera okulabula, n’Omwoyo wa Katonda yabaggibwako era ne bazikiririra mu mataba. Mu biro bya Ibulayimu, ekisa kya Katonda kyakoma okwegayirira ku lw’abantu abazzi b’emisango EE 277.5

mu kibuga Sodoma, era bonna ne bazikirira mu muliro ogwava mu ggulu okujyako Lutti ne mukazi we n’abaana baabwe aboobuwala babiri. Ere bwekityo bwe kyali ne mu biro bya Kristo. Omwana wa Katonda yategeeza Abayudaaya aboomulembe ogwo abaagaana okumukkiriza nti: “Ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.” Matayo 23: 38. Obuyinza bwa Katonda obutakoma bwe bwatunula mu biro ebyoluvannyuma ne butegeeza abo “ababula, kubanga tebakkiriza kwagala mazima balyoke balokoke” nti, “Katonda ky’ava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba: bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.” 2Abasessaloniika 2:10-12. Bwe bagaana okukkiriza enjigiriza ey’ekigambo kye, Katonda wakubaggyako Omwoyo we Omutukuvu olwo basigalire okukkiriza eby’obulimba bye baagala. EE 278.1

Eky’omukisa omulungi Kristo akyegayirira ku lw’omuntu, era n’omusana gwe gwakwakira abo bonna abagunoonya. Newakubadde nga kino tekyasooka kutegeerebwa b’Adiventi, oluvannyuma kyagenda kitegerekeka okuyita mu Byawandiikibwa ebyayongeranga okunnyonnyola kye baali bategedde. EE 278.2

Okusaalirwa okwa 1844 kwaddirirwa ekiseera eky’okugezesebwa okwamaanyi eri abo abaali bakyakkiririza mu kukomawo kwa Kristo. Ekyabagumyanga kyokka, gwe musana gwe baafuna ne gubakulembera okubatuusa mu yeekaalu ey’omu ggulu. Abamu baasuulawo okukkiriza kwabwe, okukkiriza Omwoyo Omutukuvu kwe yatandikawo era kwe baalina mu ngeri gye baabalangamu ennaku ezoogerwako mu bunnabbi, ne batwala endowooza z’abantu oba Setaani. Ekibiina ekirala ne kinywera nga kikkiriza nti Mukama ye yabakulembera okuyita mu mbeera eyo; era wakati mu kugumiikiriza n’okutunula awamu n’okusaba, baayinza okutegeera okuteesa kwa Katonda, ne balaba Kabona waabwe asinga obukulu nga yayingira mu weema ey’omu ggulu okutandika obuweereza obulala, era, bwe baamugoberera okuyita mu kukkiriza ne balaba n’obuvunaanyizibwa bw’ekkanisa obulifiindikira omulimu. Baategeera bulungi obubaka bwa malayika owoolubereberye era n’owookubiri, bwebatyo ne beeteekateeka okwaniriza n’okutegeeza ensi okulabula okuli mu bubaka bwa malayika owookusatu ali mu Kubikkulirwa 14. EE 278.3