Essuubi Eritaggwaawo

23/43

22 — Obunnabbi Butuukirira

Ekiseera bwe kyayitawo abantu mwe baasooka okusuubirira Mukama wafTe okujyira - ye gatonnya wa 1844, - abo abaali balindirira okulabika kwe baafuna okubuusabuusa awamu n’okusoberwa okumala ekiseera. Newakubadde nga ensi yabatunuulira nga abawanguddwa era nga bwe babadde bagoberera empewo, baagumizibwa n’ekigambo kya Katonda. Bangi beeyongera okunoonya mu Byawandiikibwa, nga bwe beetegereza obujulirwa obuggya obuli mu kukkiriza kwabwe awamu n’okuyiga obulungi obunnabbi okufuna omusana omulala. Obujulirwa bwa Bayibuli obwali bubasemba ku ekyo kye baali bategedde nga bulabika butegerekeka bulungi awatali kwongerwako. Obubonero obutabuusibwabuusibwa nga busonga ku kukomawo kwa Kristo nti kusembedde. Emikisa gya Katonda egy’enjawulo egyalabikiranga mu bonoonyi abakyukanga n’okudda obuggya mu bulamu obw’omwoyo wakati mu Bakristaayo, nga byonna bikakasa nti obubaka buva mu ggulu. Era newakubadde nga abakkiriza tebaayinza kunnyonnyola Iwaki waaliwo okusaalirwa, bakkiriza nga Mukama yaabadde abakulembera mu ebyo bye bayiseemu. EE 251.2

Mu bunnabbi bwe baalabanga nga obwogera ku kiseera ky’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, mwe mwali n’Ebyawandiikibwa bye baalina okugoberera naddala mu mbeera ey’okubuusabuusa n&pos;okutya mwe baali batuuse, nga bibagumya balindirire n&pos;okugumiikiriza wakati mu kukkiriza nga ekyo kye balaba nga ekikutte era kye batategeera kyakutegeerebwa mu kiseera si kiwanvu. EE 252.1

Mu bunnabi buno mwe mwali Kaabakuuku 2: 1-4: “Ndiyimirira we nkuumira ne nneeteka ku kigo, ne nnengera okulaba by&pos;anaayogera nange, era bye mba nziramu eby’okwemulugunya kwange. Awo Mukama n&pos;anziramu n&pos;ayogera nti Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku kipande, akusoma adduke mbiro. Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo. Laba emmeeme ye yeegulumizizza, si ngolokofu mu ye: naye omutuukirivu aliba mulamu Iwa kukkiriza kwe.” EE 252.2

Charles Fitch yalowooza nga kirungi okuwandiika ekipande ckiriko obunnabbi kinnyonnyole okwolesebwa okuli mu kitabo kya Danieri ne Kubikkulirwa olw’Ekyawandiikibwa kino nti: “Wandiika okwolesebwa okwo, okwole bulungi ku kipandc, akusoma adduke mbiro,” eyo ku ntandikwa ya 1842. Bwe baafulumya ekipande kino ne balowooza nti olwo batuukirizza ekiragiro nga bwekiri mu Kaabakuuku. Wewaawo, tewali n&pos;omu yassaayo nnyo mwoyo ku kulwawo okwogerwako mu kutuukiriza okwolesebwa nti nakwo kwayogerwa mu bunnabbi bwe bumu. Oluvannyuma lw&pos;okusaalirwa, Ekyawandiikibwa kino Iwe kyakola amakulu nti: “Kubanga okwolesebwa okwo kukyali kwa ntuuko zaakwo ezaalagirwa, era kwanguwa okutuusa enkomerero, so tekulirimba: newakubadde nga kulwawo, kulindirirenga kubanga tekulirema kujja, tekulirwawo.... Naye omutuukirivu aliba mulamu Iwa kukkiriza kwe.” EE 252.3

Ekitundu ku bunnabbi bwa Ezekieri nakyo kyayongera okugumya n’okubudaabuda abakkiriza: “Ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti Omwana w&pos;omuntu, lugero ki luno Iwe mulina mu nsi ya Israeri nga mwogera nti ennaku ziyitirira, era buli kwolesebwa kubula? Kale bagambe nti bw’ati bw&pos;ayogera Mukama Katonda nti.... Ennaku zinaatera okutuuka n’okutuukiriza buli kwolesebwa... ndyogera n’ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa; tekirirwisibwa nate.” “Ab’omu nnyumba ya Israeri boogcra nti Okwolesebwa kwalaba kwa mu nnaku nnyingi ezitannajja, era alagula eby’ebiro ebikyali ewala. Kale bagambe nti bw’ati bw ‘ayogera Mukama Katonda nti Tewaliba ku bigambo byange ebirirwisibwa nate, naye ekigambo kye ndyogera kirituukirizibwa.” Ezekieri 12: 21-25, 27,28. EE 252.4

Abalindiriza bano baasanyuka nga bategedde nti Oyo amanyi enkomerero okuva ku lubereberye, yatunula era n’alaba okusaalirwa okulibeerawo, n&pos;abateekerateekera ebigambo ebigumya era eby’essuubi. Singa tebyali Byawandiikibwa ng’ebyo, ebyababuulirira balindirire n’okugumiikiriza era banyweze obugumu bwabwe bwe balina mu kigambo kya Katonda, bandigudde okuva mu kukkiriza wakati mu kiseera ekyo ekyokugezesebwa. EE 252.5

Olugero Iw’abawala ekkumi oluli mu Matayo 25 nalwo lulaga ekifaananyi eky&pos;abalindirizi bano. Mu Matayo 24, Yesu bwe yali ayanukula ekibuuzo ky&pos;abayigirizwa be ekikwata ku bubonero bw&pos;okujja kwe n’enkomerero y’ensi bw’eriba, Kristo yanokolayo ko ku zimu ku nsonga enkulu eziriba mu byafaayo EE 252.6

by&pos;ensi era n’eri ekkanisa okuviira ddala mu kujja kwe okwasooka era n’okw’okubiri; nga muno mulimu, okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi, ekkanisa okuyita mu kiseera eky’okugezesebwa ng’eyigganyizibwa abakafiiri awamu n&pos;obwapapa, omwezi n’enjuba okufuuka ekizikiza, era n’okugwa kw’emmunnyeenye. 01uvannyuma Iwa bino, n&pos;ayogera ku kujja kwe mu bwakabaka bwe, ng’agerageranya olugero n’ebibiina bibiri eby&pos;abaddu abaali balindirira okulabika kwe. Essuula 25 etandika n’ebigambo bino: “Mu biro ebyo obwakabaka obw’omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi.” Wano tulagibwa ekkanisa nga bwerifaanana mu kiseera eky’enkomerero, ng’era bwe kiri mu ku nkomerero y’essuula 24. Mu lugero luno alaga ekiribeerawo ng&pos;akozesa ekifaananyi ky’embaga ez’omu Buvanjuba. EE 253.1

“Mu biro ebyo obwakabaka obw’omu ggulu bulifaananyizibwa abawala ekkumi, abaatwala ettabaaza zaabwe, ne bagenda okusisinkana anaawasa omugole. Naye bannaabwe abataano baali basirusiru, n’abataano be baalina amagezi. Kubanga abasirusiru bwe baatwala ettabaaza zaabwe, ne batetwalira mafuta: naye abalina ainagezi ne batwala amatuta mu macupa gaabwe wamu n&pos;ettabaaza zaabwe. Naye anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne becbaka. Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyoogaano nti Laba, anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana. ” EE 253.2

Okujja kwa Kristo nga bwe kwategeezebwa mu bubaka bwa malayika ow’olubereberye, kwamanyibwa nga okujja kw’omugole omusajja. Okudda obuggya okwaliwo era ne kusasaana wonna abantu bwe baategeezebwa nti Yesu ajja, kwafaananyizibwa ng’abawala abaagenda okusisinkana anaawasa omugole. Mu lugero luno so era n’olwa Matayo 24 lutulaga ebibiina bibiri. Bonna baatwala ettabaaza zaabwe, Bayibuli, nga bakozesa ekitangaala okuva mu yo ne bafuluma okusisinkana anaawasa omugole. Naye bali “abaali abasirusiru baatwala ettabaaza zaabwe ne batetwalira mafuta mu macupa,” “naye abalina amagezi ne batwala amafuta mu macupa gaabwe wamu n&pos;ettabaaza zaabwe.” Abasembyeyo, baawebwa ekisa kya Katonda, ne badda buggya, ne baweebwa amaanyi ag’Omwoyo Omutukuvu oyo ayamba ekigambo kye ne kiba ettabaaza eri ebigere. Baayiga Ebyawandiikibwa bategeere amazima olw’okutya Mukama, era ne beegayirira bafune omutima omulongoofu n’obulamu obuggya. Bano ne bafuna enkolagana ey’omukwano, okukkiriza mu Katonda awamu n’ekigambo kye ebitaayinza kuwangulibwa olw’okusaalirwa wadde okulwawo. Abalala “baatwala ettabaaza zaabwe, naye ne batetwalira mafuta mu macupa.” Baagoberera bugoberezi. Baafuna okutya bwe baawulira obubaka, naye ng’okukkiriza kwabwe kwesigamiziddwa mu baaluganda, nga bamativu n’okumyansa olw’okucamuukirira kwe baafunanga naye nga tebategcredde ddala mazima oba okukola kwa Katonda mu mutima. Ne bano baagenda okusisinkana Mukama walfe, nga basuubira okuweebwa empeera ey&pos;amangu; kyokka nga si beeteefuteefu kulwawo wadde okufuna okusaalirwa. Okugezesebwa bwe kwajja, okukkiriza ne kuwola, ettabaaza zaabwe ne zizikira. EE 253.3

“Omugole bwe yalwayo, ne babongoota ne beebaka.” Omugole okulwayo kitegeeza ebiseera okuyitawo nga Mukama waffe takomyewo, okusaalirwa awamu n’okulabika ng’aludde. Mu kiseera kino ekijjudde okubuusabuusa, okukkiriza kw&pos;abanafu, era abeekibuguumirize kwatandika okuyuuga, ne baggwamu amaanyi; naye abo abaali basimbye okukkiriza kwabwe mu kwetegeerera Bayibuli bo, EE 253.4

nga balina olwazi wansi w’ebigere byabwe olutayinza kutwalibwa muyaga gwa kusaalirwa. “Bonna ne babongoota ne beebaka;” abamu nga tebafTaayo era nga balagajualidde okukkiriza kwabwe, ng’ekibiina ekirala bwe kirindirira wakati mu kugumiikiriza okutuusa Iwe baliweebwa omusana ogusingako. Kyokka era nabo baalabika ng&pos;abaggwamu okukkiriza kwabwe wakati mu kiro eky&pos;okugezesebwa. Abeekibuguumirize nga tebakyayinza kwesigamya kukkiriza kwabwe ku baaluganda. Anti buli omu kimugwanira okuyimirirawo oba okugwa ku lulwe. EE 254.1

Mu kiseera kino waalabikawo abantu abakajanja. Abamu ku bantu abaali balabika ng’abanywevu era abategedde obubaka, baagaana ekigambo kya Katonda okuba nga kye kyokka ekiruŋŋamya era ekitawaba, era ne batugibwa endowooza zaabwe, okufumiitiriza awamu n’okuteebereza nga bwe bagamba nti bakulemberwa Mwoyo. Waaliwo n’abalala abaayolesa obukamwe obw&pos;ekizibi ky’amaaso, okuvumirira buli yenna atakkirize bye bagamba. Ebirowoozo byabwe ebyo tebyasanyukirwa b’Adiventi banaabwe; wabula byavumisa n&pos;okuswaza omulimugw&pos;enjiri. EE 254.2

Setaani kye yali anoonya kwe kuwakanya n’okuzikiriza omulimu gwa Katonda. Abantu baali basituddwa olw’omugendo gw’Abadiventi, abonoonyi bangi nga bakyusiddwa, n’abantu abeesigwa nga beewaayo eri omulimu gw’okutegeeza amazima newakubadde ne mu kiseera kino eky&pos;okulwa. Anti ng’omulangira w’ekizikiza abagoberezi be bamuvaako; naye bwe yayagala okuvumisa omulimu gwa Katonda, kwe kusalawo alimbe abamu ku bakkiriza batuuke mu kusukkiriza. Olwo ababaka be ne balyoka baaniriza buli bulimba, n’okulemwa kwonna, buli bikolwa ebitajja nsa, ne babisitulira waggulu nga bwe babisusuuta, balage Abadiventi nti okukkiriza kwabwe kusiga obukyayi. Gye yakoma okukuŋŋaanya omuwendo omunene ng’ateekawo enzikiriza ekkiririza mu kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri so nga yaafuga emitima gyabwe, gye yakoma okulaba omukisa mu kubalowozesa nti bo be bakiikiridde omubiri gw’abakkiriza bonna. EE 254.3

Setaani ye “aloopa baganda baffe,” era omwoyo we yaaleetera abantu okutunuulira enkaliriza balabe ensobi n’okulemwa kw’abantu ba Katonda, n’okubalaga nga ebikolwa byabwe ebirungi bye bakola bwe bitalowoozebwako. Akola buli kiseera eno nga ne Katonda bwali ku mulimu kw&pos;okulokola abantu. Abaana ba Katonda bwe bajja okweraga mu maaso ge, ne Setaani ajjiramu. Aleeta buli muntu ataneetukuza mu mutima n&pos;abatali bateefu mu buli nkuŋŋaana ez’okudda obuggya. Bano bwe bategeerako ekitundu ku mazima, era ne bafuna omwagaanya mu bakkiriza, olwo ng’akolera mu bo okuleeta enjigiriza eziwabya abatanekakasa. Tewali muntu n&pos;omu gw’oyinza okukakasa nga Omukristaayo omutuufu olw ‘okubanga nti ali mu kibiina ky&pos;abaana ba Katonda, newakubadde mu nnyumba ey’okusinza wadde okwetoloola ku mmeeza ya Mukama. Setaani waali ebbanga lyonna mu kifaananyi ky’abo baayinza okukozesa ng’ababaka be wadde ne mu kusinza. EE 254.4

Omulangira w’obubi alwanirira buli katundu k’ettaka abaana ba Katonda ke batuukako mu lugendo Iwabwe olugenda mu kibuga eky’omu ggulu. Okuyita mu byafaayo by’ekkanisa byonna, tewabangawo nteekateeka ya kuzza buggya kkanisa ne watabaawo kusisinkana miziziko gyamaanyi. Bwekityo bwe kyali ne mu biro bya Pawulo. Buli wantu omutume gye yasitulanga ekkanisa, waabangawo abaagambanga nti bakkiriza enjiri, naye ne bayingizaawo enjigiriza ez’obulimba, nga singa zikkirizibwa, zandigobedde bangi ebweru w’amazima. Ne Luther bwe yatawaana EE 254.5

ennyo n’abantu bano abajjula akajanja nga bagamba nti Katonda mwene yayogera okuyita mu bo, ate oluvannyuma ne bayingizaawo endowooza zaabwe eziwakanya obujulirwa bw’Ebyawandiikibwa. Bangi abaali abato mu kukkiriza, kyokka nga balinako kye bategedde, naye nga beegomba okuwulirayo n’okutegeezaako ku balala ekipya kye bategedde, ne babuzaabuzibwa bakyefuula bano, ne beegatta ku babaka ba Setaani abali ku mulimu gw’okumenyamenya Katonda ky’azimba okuyita mu Luther. Ne ba Wesley awamu n’abalala abaali omukisa eri ensi eno olw’okukkiriza kwabwe, baasisinkananga enkwe za Setaani ku buli mutendera gw’abasukkiriza bano. EE 255.1

William Miller teyakwatirwa kisa bantu bano. Yagambanga era nga ne Luther nti, buli mwoyo gukemebwe n’ekigambo kya Katonda. Yagamba, “Omulabe alina obuyinza bungi ku birowoozo by’abamu ku bali wano leero. Olwo tunaategeera tutya omwoyo ayogerera ku bo? Bayibuli egamba nti: ‘Mulibalabira ku bibala byabwe.’... Waliwo emyoyo mingi egitayaaya mu nsi; era tulagirwa okukema buli mwoyo. Omwoyo atatutebenkeza mu kutegeera, tubeere abatuukiridde era abatya Katonda mu nsi eno eya kaakano, oyo si Mwoyo wa Kristo. Ndi mukakafu nga Setaani alina omukono mu bigenda mu maaso leero.... Abamu ku ffe abeegamba nti baatukuzibwa, bali mu kugoberera nfumo za bantu, era balabika nga tebalina kye bamanyi ku mazima okufaanana n’abalala abatayogera batyo.” - Bliss, p. 236, 237. “Omwoyo w’okutya waakutukulembera ng’atujja ku mazima; so Omwoyo wa Katonda waakutukomyawo ku mazima. Naye mwogera nti, omuntu ayinza okuba mu nsobi, n’alowooza nti alina amazima. Olwo ate kitya? Tugamba nti, “Omwoyo n’ekigambo bassa kimu. Omuntu bwagerageranya endowooza ye ku kigambo, olwo ayinza okugamba nti alina amazima; naye omwoyo amukulembera bwe batakaanya n’ekigambo kyonna eky’amateeka ga Katonda oba ne Bayibuli, olwo kimugwanira okutambula nga yegendereza, si kulwa nga agwa mu mutego gw’omubi.” - The Advent Herald and Signs of the Times Reporter, vol. 8, No. 23. (Jan. 15, 1845). “Ndabye ku balina eddiini eyamazima mu mutima, nga bakulukusa amaziga ne balemwa n’okwogera, abasinga amaloboozi gonna mu nsi z’Obukristaayo.” - Bliss p. 282. ” EE 255.2

Nga abalabe b’okuzza obuggya ekkanisa mu biro ebyo bwe baalumirizanga nti ababawakanyanga be bavirako abantu okufuna akajanja, era bwekityo bwe kyali ne mu abo abawakanyanga ekisinde ky’okulindirira Kristo. Mpozi olw’obutamatira n’abantu okugenda nga balimbanga awamu n’okususuutanga ensobi zaabwe, baasasaanya ebigambo ebyonoona era ebitaliiko bujulizi. Abantu bano nga bakikola Iwa fTubitizi na bukyayi. Nga beeralikirira olw’okuwulira nti Kristo ali ku luggi akomawo. Baatya si kulwa nga kituufu, newakubadde nga tebakikkiriza, era kino ne bakikozesa ng’ekyokulwanyisa Abadiventi awamu n’okukkiriza kwabwe. EE 255.3

Newakubadde nga abamu ku bacamuukirira bano baayingira omugendo gw’Abadiventi, eyo si ye nsonga ekulowoozesa nti omugendo guno tegwalimu mukono gwa Katonda, era nga ne bwe baalinga mu kkanisa mu biro bya Pawulo era ne Luther oleme okunenya omulimu gwabwe. Abantu ba Katonda bazuukuke bave mu tulo bakole omulimu nga beenenya n’okudda obuggya; banoonye mu Byawandiikibwa bayige amazima nga bwe gali mu Kristo; beetukuze mu maaso ga Katonda, baakulaba nga Setaani waali akola era atunula. Waakukozesa obulimba EE 255.4

bwonna okulaga amaanyi ge, nga bwakowoola bamalayika be abaagwa abali mu bwakabaka bwe bamuyambe. EE 256.1

Abantu okufuna akajanja n’okwekutulakutulamu tebyajja Iwakuba nti baabuulira obubaka bw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri. Bano bajja mu gatonya wa 1844, Abadiventi bwe baali mu kusoberwa n’okubuusabuusa ku kibatuuseeko. Okubuulira obubaka bwa malayika ow’olubereberye awamu n’obubaka bwa “oluyogaano mu ttumbi” bye byaleetera abantu okucamuukirira n’okwekutulakutulamu. Abo abaali beetabye mu kuteekateeka abantu okugenda mu ggulu bo nga bali bumu; emitima gyabwe nga gijjudde okwagala buli muntu eri munne era n’eri Yesu, gwe baali basuubira okulabako amangu ddala. Nga basituliddwa mu kukkiriza kumu, n’essuubi ery&pos;omukisa ebisukka amaanyi gonna ag’obuntu, era ne bibakuumanga eri obusaale bwa Setaani. EE 256.2

“Anaawasa omugole bwe yalwayo, bonna ne babongoota ne beebaka. Naye ekiro mu ttumbi ne waba oluyogaano nti, Laba anaawasa omugole ajja! Mufulume okumusisinkana. Abawala bali bonna ne balyoka bagolokoka, ne balongoosa ettabaaza zaabwe.” Matayo 25: 5-7. Mu gatonya wa 1844 nga baakayita mu kusaalirwa okwasooka we baalowooleza nti ennaku 2300 wezaalina okukoma ne wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ekkumi ogw’omwaka gwe gumu, oluvannyuma we baalowooleza nti wezikoma, ne babuulira obubaka mu bigambo byennyini nga bwe biri mu Kyawandiikibwa nti: “Laba anaawasa omugole ajja!” EE 256.3

Ekyaleeta kino kwe kuba nti baazuula nga ekiragiro kya kabaka Alutagizerugizi ekyalagira okuzaawo n’okuzimba Yerusaalemi, awaatandikirwa okubala ekiseera eky’ennaku 2300, nga kyateekebwa mu nkola awo nga wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ekkumi ogw’omwaka 457 B.C., wabula si ku ntandikwa ya mwaka ogwo nga bwe baasooka okukitwala. Awo bwobala okuva mu mwezi ogwo ogw’omwaka 457, ennaku 2300 ziggwako mu mwezi gwe gumu omwaka 1844. EE 256.4

Ebyawandiikibwa ebirala ebyogera ku bifaananyi “eby’okulongoosa awatukuvu” ebyagibwa mu Ndagaano Enkadde nga nabyo bisonga ku kiseera kye kimu kino okubeerawo. Nga bino bitegerekeka bulungi bwe weetegereza engeri gye byogera ku kujja kwa Kristo okwasooka bwe kwatuukiriramu. EE 256.5

Okutta omwana gw’endiga olw’Okuyitako kyali kisiikirize eky’okufa kwa Kristo. Pawulo agamba nti: “Kubanga era n’Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo ” lAbakkolinso 5: 7. Ekinywa eky’ebibereberye eky’ebikungulwa ekyawuubibwanga mu maaso ga Mukama ku lunaku olw’Okuyitako kyali kifaananyi eky’okuzuukira kwa Kristo. Pawulo agamba, bwe yali ayogera ku kuzuukira kwa Mukama wafTe era awamu n’okw’abantu bonna nti: “Kristo gwe mwaka omubereberye; n’oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe.” 1 Abakkolinso 15: 23. Okufaanana n’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa ekyalinga eky’ebikungulwa ebibereberye ebyakuŋŋaanyizibwanga mu makungula, ne Kristo bwali ku bibala ebibereberye ebikungulibwa obutavunda eby’abanunule abalikuŋŋaanyizibwa mu nnimiro ya Katonda mu kuzuukira okujja. EE 256.6

Ebifaananyi bino byatuukirizibwa, si ku ekyo kyokka ekyaliwo, naye era byatuukirizibwa mu kiseera kyennyini. Olumu ku lunaku olw’ekkumi-n&pos;ennya olw’omwezi ogusooka ogw’Abayudaaya, ku lunaku Iwennyini olw’omwezi kwe battiranga Okuyitako okumala ebyasa by’emyaka, Kristo bwe yamala EE 256.7

okulya Okuyitako awamu n’abayigirizwa be, ye yatandikawo embaga eno eyali ey’okujjukiranga okufa kwe nga “Omwana gw’endiga owa ICatonda aggyawo ebibi by’ensi.” Mu kiro ekyo kyennyini yakwatibwa ababi ne bamukomerera era nattibwa. Era nga Kristo bwali ekinywa ekibereberye ekyawuubibwanga, yazuukizibwa okuva mu bafu ku lunaku olw’okusatu, “omwaka omubereberye ogw’abo abeebaka,” ekyokulabirako eky’abatuukirivu bonna abalizuukizibwa, aliwanyisa “omubiri gw’okutoowazibwa kwaffe okufaananyizibwa ng’omubiri ogw’ekitiibwa kye.” Oluny. 20; Abafiripi 3:21. EE 257.1

Mu ngeri yeemu n’ebifaananyi ebiraga okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri bwe kibigwanira okutuukiriramu mu kiseera nga bwekiragibwa okuyita mu kuweereza okw’obubonero. Mu kusinza okwedda okwa Musa okulongoosa awatukuvu oba olunaku olw’okutangirirako, kwabangawo ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi ogw’omusanvu ogw’Abayudaaya (Ekyabaleevi 16: 29-34), kabona asinga obukulu bwe yamalanga okutangirira ekibiina kyonna ekya Isiraeri, era bwatyo najjawo ebibi byabwe okuva mu watukuvu, yafulumanga okuwa abantu omukisa. Bwekityo bwe kyategeerebwanga nti Kristo Kabona waffe Asinga obukulu, alirabika okulongoosa ensi azikirize ebibi awamu n’abonoonyi, era awe omukisa abantu be abamulindirira bafune obulamu obutafa. Olunaku olw’ekkumi olw&pos;omwezi ogw’omusanvu, olunaku olukulu olw’okutangirirako, ekiseera we baalongosezanga awatukuvu, olwatuukirira ku lunaku olwa nga 22 Ogwekkumi 1844, lwe lwalowoozebwa nti kye kiseera Kristo waalikomerawo. Kino nga kikwataganira ddala bulungi n’obukakafu obwalagiddwa edda nti ennaku 2300 zaakuggwako wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ekkumi, era nga kizibu okujjawo amazima ago. EE 257.2

Ekiseera eky’okulindirira n’okubongoota mu lugero Iwa Matayo 25 kigobererwa okujja kw’anaawasa omugole. Ne kino nga kikkaanya bulungi nnyo n’ebyogeddwa omuli obunnabbi awamu n’ebyalinga ebifaananyi. Byonna nga bikakasa amazima aganamaddala; bwekityo abakkiriza ne basasaanya obubaka bwa “oluyogaano mu ttumbi,” okwetoloola wonna. EE 257.3

Obubaka bwabuna wonna mangu mbiro okufaanana n’embuyaga ey’ekyanda. Bwatuuka okuva mu kibuga ekimu okudda mu kirala, kyalo ku kyalo, n’okutuuka eyo mu masoso g’ebyalo okutuusa abantu bonna abaali mu kulindirira lwe baazuukusibwa. Akajanja kaggwa mu bantu okufaanana ne suulwe bwasaanawo ng’enjuba evuddeyo. Abakkiriza baggwamu okubusabuusa n’okusoberwa, ne bafuna essuubi awamu n’obuvumu mu mitima gyabwe. Nga tokyawulira basukkiriza abatera okubaawo buli Iwe wabaawo okucamuukirira mu bantu nga tebakugiddwa maanyi ag’Omwoyo wa Katonda era n’ekigambo kye. Embeera ng’efaanana n’abantu bwe beetowazanga nga bakyuka okudda eri Mukama mu Isiraeri owedda bwe baabulirwanga obubaka obw’okwenenya okuva eri baddu be. Ng’olaba omukono gwa Katonda ng&pos;era bwazze akola ku buli mulembe. Tewaaliwo nnyo ssanyu lya kucamuukirira, wabula okwekebera mu mutima, okwatula ebibi n’okukyawa ensi. Omugugu gwe baalina ogwalumyanga n’okuzitoyereza emitima gyabwe kwe kweteekateeka okusaana basisinkane Mukama. Baasabanga wakati mu kugumiikiriza n’okwetukuza mu maaso ga Mukama. EE 257.4

Miller agamba bwe yali ayogera ku mulimu ogwo nti: “Tewali woyinza kulagira ssanyu lisinga: kwe kugamba, nga bwe lyandibadde, nti olizibiikirize olw’ebyo EE 257.5

eby&pos;omumaaso, ab’omu ggulu n’ab’omu nsi Iwe balisanyuka mu kitiibwa n’essanyu eritayogerekeka. Tewali kwogerera waggulu nti kuterekeddwa olw’okwogererwa mu ggulu. Abayimbi basirike nti bali mu kulindirira okwegattibwako eggye lya bamalayika abayimbi okuva mu ggulu.... Bonna nga balina omutima gumu n’emmeeme emu.” - Bliss, pp. 270,271. EE 258.1

N’omulala eyali mu kulindirira akakasa kino nti: “Okukomawo kwa Mukama kwaleetera abantu okwekebera mu mutima n’okukakkanya emmeeme zaabwe mu maaso ga Katonda ali waggulu mu ggulu. Kwabaleetera okukyawa ebintu byonna ebisikiriza eby’ensi, ne baggwaamu entalo n&pos;obukyayi, ne baatuliragana ensobi zaabwe, ne bamenyeka mu maaso ga Katonda^ era nga bwe bejjusa n&pos;okwegayirira mu mutima ogumenyese oyo abasonyiwe era abakkirize. Bekakkanya wansi ne bavuunama mu mwoyo ekitalabwangako. Nga Katonda bwe yayogerera mu nnabbi Yoweeri, olunaku olukulu olwa Mukama olw’entiisa ennyo nnyini, bwe luliba nga lusembedde, bayuze emitima gyabwe so si byambalo byabwe era bakungubage. Era nga Katonda bweyayogerera mu Zekkaliya, omwoyo ogw’ekisa n&pos;ogw’okwegayirira ne gufiikibwa ku baana be; ne batunuulira oyo gwe baafumita, ne bakuba ebiwoobe mu nsi yonna... n&pos;abo abaali banoonya Mukama bwe baalumwa emmeeme zaabwe ku lulwe.”- Bliss, in Advent Sbield and Review, vol. I, p. 271 (January, 1845). EE 258.2

Mu buli kudda obuggya mu ddiini okuzze kubeerawo okuviira ddala mu biro by&pos;abatume, tewabaddewo kudda buggya kwonna kutabaddemu nsobi zikolebwa bantu oba emitego gya Setaani ng’era ne kuno bwe kwali okwaliwo mu mutungo wa 1844. Newakubadde ne kaakano oluvannyuma Iw&pos;emyaka mingi egiyiseewo, bonna abaaliwo era ne beetaba mu kisinde ekyo era ne basigala nga banywevu mu kukkiriza bakyawulira amaanyi ag&pos;obwakatonda agaali mu mulimu ogwo ogw&pos;omukisa era nga bakakasa nti gwali mulimu gwa Katonda. EE 258.3

Mu kuyita nti, “Laba, anaawasa omugole ajja; mufulume okumusisinkana,” abalindirizi “baasituka ne balongoosa ettabaaza zaabwe;” ne bayiga ekigambo kya Katonda mu kwagala okwamaanyi okutalabwanganako. Bamalayika baaweerezebwa okuva mu ggulu bazuukuse abo abeebase era abweddemu amaanyi bateekebweteekebwe okwaniriza obubaka. Omulimu tegwayimirizibwawo magezi wadde okutegeera kw’obuntu, wabula mu maanyi ga Katonda. Anti nga si be bayivu wabula abantu abawansi era abewaddeyo abaasooka okuwulira n&pos;okugondera okuyita kuno. Abalimi baava mu nnimiro zaabwe nga tezikunguddwa, bamakanika ne balekawo ebyuma byabwe ebikozesebwa, ne bagenda wakati mu ssanyu n’amaziga okutegeeza okulabula kuno eri ensi. Abo abaasooka okukulembera mu kukola omulimu guno ate be baasembayo okwetaba mu kisinde. Amakanisa okuhvaliza awamu baagaana okuwuliriza obubaka buno, era ebibiina omuli abantu abangi ne bil&pos;uluma ekkanisa ezo. Omulimu gwafiina amaanyi olw’okusaasira kwa Katonda nga kwotadde n’obubaka bwa malayika ow’okubiri. EE 258.4

Obubaka obugamba nti, “Laba, anaawasa omugole ajja!” si bwe bwavaako empaka, newakubadde nga Ebyawandiikibwa bitegerekeka bulungi era byemalirira. Mu byo mwalimu amaanyi agawaliriza n’okukwata ku buli mutima. Nga mu byo temuli kubuusabuusa, wadde okubaako ne kyotomatidde. Kristo bwe yali asemberera ekibuga Yerusaalemi wakati mu buwanguzi, ebibiina by’abantu abaava mu bitundu bingi eby’ensi abajja okukwata embaga y’Okuyitako abaali ku lusozi EE 258.5

Iw’emizeyituuni, beegattira wamu n’ebibiina ebyajja bimugoberera mu luyimba olwali luyimbibwa ne basaakaanya nti: “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama!” Matayo 21: 9. Mu ngeri yeemu n’abatakkiriza bwe bajjanga mu nkuŋŋaana z’abalindirizi - abamu nga bali mu kwewuunya, so abalala nga bazze kusunga n’okwerolera ku maanyi agaali mu bubaka obugamba nti: “Labaanaawasa omugole ajja!” EE 259.1

Okusaba mu kiseera ekyo nga kuddibwamu olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe baalina: okukkiriza okusaana okwebazibwa n’empeera. Okufaanana n’enkuba etonnya ku ttaka ekkalu, n’Omwoyo wa Katonda bwe yakkanga ku abo abaali bamunoonya. Essanyu nga libula okutta bonna abasuubira nti ekiseera kyonna balabagana amaaso n’amaaso wamu n&pos;Omununuzi waabwe. Amaanyi ag&pos;Omwoyo Omutukukuvu agagonza era agamenyamenya omutima gaasaanuula emitima gyabwe nga abakkiriza era abeesigwa bwe bafukibwako omukisa mu butagera. EE 259.2

Ekiseera kyatuuka we baali basuubirira okusisinkana Omulokozi waabwe bonna nga bakkakkamu era nga bawombeefu. Nga bakitwala nti kikulu okusooka okwekakasa buli nnkya nti bakkiriziddwa mu maaso ga Katonda. Emitima gyabwe nga giri bumu era nga basaba nnyo buli muntu era n’eri munne. Baateranga okusisinkana mu kyama eyo mu bifo ebyesudde okunyumyamu ne Katonda, essaala ez’okwegayirira ne zirinyanga mu ggulu okuva mu nnimiro ne mu bibira. Nga kibasingira okusooka okwekakasa mu maaso g&pos;Omulokozi okusinga okulya emmere yaabwe eya buli lunaku; nga bwe wabaawo kye batategeera bulungi, olwo nga tebawummula okutuusa nga kigonjoddwa. Bwe baawuliranga muli okubeerawo kw’ekisa kya Katonda ekisonyiwa, ne beegomba okumulabako oyo emmeeme zaabwe gwe zaayaayaaniranga. EE 259.3

Kyokka era nga balindiriddwa okuddamu okusaalirwa. Ekiseera mwe baasuubirira ne kiyila, Omulokozi teyalabikako. Baamulindirira wakati mu buvumu obw’ekitalo, naye nga kaakano bawulira nga Maliyamu bwe yagenda ku ntaana ya Yesu n’agisiŋŋaana nga njereere n’akaaba nga bw’agamba nti” “Baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.” Yokaana 20:13. EE 259.4

Entiisa eyaliwo awamu n’okutya nti obubaka bwandiba obwamazima byasooka ne bikwatirira ku batakkiriza okumala akaseera. Era embeera eyo teyaggwawo lumu newakubadde oluvannyuma Iw’ekiseera okuyitawo nga Yesu takomyewo; baasooka ne batya okuduulira abakkiriza olw’okusaalirwa kwe baafuna; wabula bwe bataalaba kabonero konna ak’ekiruyi kya Katonda, ne bava mu kutya kwabwe olwo ne babaduulira n’okubasekerera. Ekibiina kinene eky’abakkiriza abakkiririzanga mu kukomawo kwa Kristo, ne bava mu mazima. Abaasinga okukosebwa mwe mwali abaali abamativu ddala era ne baagala n’okudduka okuva ku nsi eno. Beemulugunya eri Katonda okufaanana nga ne Yona nti waakiri okufa okusinga okubeera abalamu. Ate abo abaali batadde okukkiriza kwabwe ku bannaabwe, so si ku kigambo kya Katonda, nga bamalirivu okukyusa endowooza zaabwe nate. Abanafu n’abatyi ne bawangulwanga byakitalo olw’abasekerezi, era bonna ne boogerera wamu nti tekitugwanira kutya wadde okubaako ne kye tusuubira okubaawo nate. Ekiseera kiyise, Mukama waffe tazze, ensi yaakusigala mu mbeera yeemu eno okumala emyaka lukumi. EE 259.5

Abakkiriza abeesigwa era abamazima olwo nga baawaayo byonna eri Kristo, era nga bakyawulira okubeerawo kwe mu bulamu bwabwe nga bulijjo. Baategeeza ensi okulabula okusembayo era nga bwe bakkiriza; era olwokubanga basuubira nti ebbanga lyonna baanirizibwa mu ggulu eri Omuyigiriza waabwe omukulu n’eggye lyonna erya bamalayika, beeyawula okuva ku bantu abaagaana okukkiriza obubaka. Baasabanga mu maanyi amayitirivu nti: “Jjangu, Mukama wafTe Yesu, jjangu mangu.” Ekyennaku teyajua. Kaakano ng’okuddayo mu bulamu bw’ensi nate omuli okutegana n’okusoberwa, wakati mu kusekererwa n’okuŋŋoolebwa, nga kigezo kya maanyi mu kukkiriza era kizibu okubigumiikiriza. EE 260.1

Kyokka okusaalirwa kuno nga tekwenkana buzito ng’okwo abayigirizwa ba Kristo kwe baayitamu mu kujja kwe okwasooka. Kristo bwe yeebagala omwana gw’endogoyi wakati mu buwanguzi okugenda e Yerusaalemi, abagoberezi be baasuubira nti agenda kutuula ku ntebe ya Dawudi anunule Israeri okuva mu mikono gy’abaginyigiriza. Baavuganya nga balaga ekitiibwa eri Kabaka waabwe wakati mu kusuubira n’okumulaga essanyu essuffu. Bangi ne baaliira engoye zaabwe wakati mu luguudo, oba ne basaasaanya amatabi g’enkindu buli weyali agenda okuyita. Beetaba mu kutendereza bonna nga basanyufu byakitalo nti: “Ozaana eri Omwana wa Dawudi!” Abafalisaayo bwe baatabulwa era ne banyiiga olw’okuwowogana kw’abantu abali mu ssanyu, ne basaba Yesu akome ku bayigirizwa be, yabaddamu nti: “Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.” Lukka 19:40. Obunnabi kyabugwanira okutuukirizibwa. Anti abayigirizwa baali batuukiriza bigendererwa bya Katonda; so nga baali boolekedde okusaalirwa okwamaanyi. Ennaku si nnyingi ezayitawo, ne balaba Mukama waabwe ng’attibwa wakati mu bulumi obwekitalo era n’agalamizibwa mu ntaana. Essuubi lyabwe tebaalituukako n’omulundi n’omugu, era essuubi lyabwe lyafiira wamu ne Kristo. Okutuusa nga Kristo amaze okuzuukira wakati mu buwanguzi okuva mu ntaana ye, lwe baayinza okukitegeera nti byonna byali byalagulwako dda okuyita mu bunnabbi nti: “Kristo kyamugwanira okubonyabonyezebwa n’okuzuukira mu bafu.” Ebikolwa By’abatume 17:3. EE 260.2

Mukama waffe yayogerera mu nnabbi Zekkaliya ng’ekyabula emyaka ebikumi bitaano nti: “Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba Kabaka wo ajja gy’oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era yeebagadde endogoyi.” Zekkaliya 9:9. Abayigirizwa singa baakimanya nti Kristo agenda kusalirwa omusango era attibwe, tebandituukirizza bunnabbi buno. EE 260.3

Mu ngeri yeemu Miller awamu ne banne baatuukiriza obunnabbi era ne bategeeza n’obubaka oyo Omuluŋŋamya bwe yalagula nti bulina okutegeezebwa eri ensi, kyokka nga tebandibutegezezza singa baabutegeera bulungi nti busonga ku kusaalirwa kwe baalina okuyitamu, okujako okubuulira obubaka obw’engeri endala eri ensi zonna Kristo alyoke akomewo. Obubaka bwa malayika ow’olubereberye era n’ow’okubiri bwabuulirwa mu kiseera ekifuutu era ne butuukiriza omulimu Katonda gwe yateesa butuukirize. EE 260.4

Ensi yali erindiridde ng’esuubira nti singa ekiseera kiyitawo nga Kristo talabiseeko, abantu bonna abaali mu kulindirira baakwabulira eddiini eyo. Kyokka newakubadde nga waaliwo bangi abaggwaamu amaanyi okuyita mu kukemebwa okungi, waaliwo abaasigala nga banywevu. Ebibala ebyava mu kisinde ky’abadiventi, omuli EE 260.5

obuwombeefu n’okwekebera mu mutima, okukyawa ensi n’okudda obuggya mu bulamu, ebyali mu kuweereza okwo, byonna nga bikakasa nti kwalimu omukono gwa Katonda. Tebaayinza kukiwakanya nti amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu gaaliwo mu kubuulira obubaka bw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, so ng’era tebaayinza kulaba nsobi yonna mu kubala ebiseera nga bwe biri mu bunnabbi. Abalabe baabwe abayivu tebaayinza kusambajja nzivunuula ya bunnabbi buno. Anti nga tebayinza kukkiriza awatali bujulizi bwa Byawandiikibwa bakyuse okukkiriza kwabwe kwe baatuukako okuyita mu kusaba okwamaanyi nga bayiga Ebyawandiikibwa, awamu n’ebirowoozo byabwe okuluŋŋamizibwa n’Omwoyo wa Katonda ko n’emitima nga gyaka olw’omuliro ogw’amaanyi ge; bave ku kukkiriza okuyise mu kugezesebwa okungi n’okuwakanyizibwa abayigiriza b’eddiini n’abagezi ab’omu nsi, era okuzze kuyimirirawo wakati mu kwekobaana kw’abayivu n&pos;aboogezi abamaanyi, era nga bavumibwa n’okujeregebwa abantu abeebitiibwa awamu n’abakopi. EE 261.1

Kyamazima, baalemwa okutuuka ku kye baasuubira okubaawo, naye era ne kino tekyanyeenya kukkiriza kwabwe mu kigambo kya Katonda. Yona bwe yabuulira mu nguudo z’ekibuga Nineeve nti ekibuga kya kugwa mu nnaku makumi ana, Mukama yawulira okwetoowaza kw’abantu baakyo n’aboongera ekiseera eky’ekisa; kyokka obubaka bwa Yona bwaweerezebwa Katonda, ne Nineeve kyagezesebwa nga bwe yasiima. Abadiventi bakkiriza mu ngeri yeemu nti Katonda yabakulembera mu kutegeeza okulabula kuno eri ensi. Baagamba nti, “Kwakema emitima gy’abo bonna ababuwulira, ne buzuukusa abantu basanyukire okulabika kwa Mukama, si nakindi, kwasitula obukyayi eri okudda kwa Yesu naye nga butegeerwa Katonda yekka. Bwateekawo enjawulo... nga abo abaneekebera mu mitima gyabwe baakumanya oluuyi kwe bandibadde singa Kristo yakomawo mu kiseera ekyo - oba nga bandigambye nti, ‘Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola;’ oba bandiyise ensozi n’amayinja bibagweko bibakise mu maaso g’oyo atudde ku ntebe ne mu busungu bw’Omwana gw’endiga. Tukkiriza nga Katonda agezezza abantu be, akemye okukkiriza kwabwe, abeekakasizza, n’alaba oba nga baandimutiiriridde ne bava ku ekyo ky’alaba ekibasaanira mu kiseera eky’okugezesebwa; era oba nga bandyefiirizza ensi eno ne beesigama ku kigambo kya Katonda kyokka.” - The Adventist Herald and the Signs of the Times Reporter, vol. 8, No. 14 (Nov. !3, 1844). EE 261.2

Endowooza y’abantu bano abaali bakyakkiriza nti Katonda ye yabakulembera okuyita mu ekyo kye baayitamu erabikira ne mu bigambo bya William Miller. Bagamba nti: “Singa mbadde wakubaawo omulundi omulala, ne mpita mu mbeera yeemu ng’eyo gye nnalimu, amazima gali nti, nandikoze nga bwe nakola.” “Ndowooza nga nnongoosezza ebyambalo byange okubiggyako omusaayi gw’emyoyo egyo. Era nsuubira nti, okusinziira ku ekyo kye nnali nsobola okukola, sikyalina musango mu kunenyezebwa kwabwe.” “Newakubadde nga nfunye okusaalirwa kwa mirundi ebiri,” omusajja wa Katonda agamba, “Sinasuulibwa wansi wadde okuggwaamu amaanyi.... Essuubi lyange mu kukomawo kwa Kristo likyali linywevu ng’obwedda. Nkoze ekyo kyokka kye ndowooza nga bwe bubadde obuvunaanyizibwa bwange. Bwemba nga nawaba, nawabira mu kuyamba, olw’okwagala kwe nalina eri bantu bannange, n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa EE 261.3

bwange eri Katonda.” “Ekintu kimu kyokka kye mmanyi, saabuulira kirala kyonna wabula kye nzikiriza; ne Katonda abadde wamu nange; amaanyi ge gabadde galabikira mu kuweereza kuno, era bingi ebirungi ebituukiddwako.” “Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, abantu nkumi na nkumi bakkidde Ebyawandiikibwa okubiyiga Iwa kubuulira bubaka obukwata ku biseera; era olw’ekyo, ne batabaganyizibwa awamu ne Katonda olw’omusaayi gwa Yesu okuyita mu kukkiriza.” - Bliss, Pages, 256,255, 277, 280, 281. “Sakiriza kwesembereza bumwenyumwenyu bw’abamalala wadde okwekkiriranya olw’okutiisibwa kw’ensi. Era ne kaakano sigenda kubakwatirwa kisa, so sijja kuva ku mulamwa nti nsiga bukyayi. Sigenda kunoonyeza bulamu bwange mu mikono gyabwe, wadde okutya okubufiirwa bwe kiba nga kwe kusiima kwa Katonda ” - J. White, Life of Wm, Miller, page 315. EE 262.1

Katonda teyeerabira bantu be; Omwoyo we yasigala akyali mu abo abataamala gagaana musana gwe baaweebwa wadde okuva mu kisinde ky’abadiventi. Mu bbaluwa eyawandiikibwa eri Abaebbulaniya mulimu ebigambo ebigumya era ebirabula eri abalindirizi abayise mu kugezesebwa nga kuno nti: “Kale temusuulanga bugumu bwammwe obuliko empeera ennene. Kubanga mwetaaga okugumiikiriza, bwe mulimala okukukola Katonda by’ayagala mulyoke muweebwe ekyasuubizibwa. Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka so talirwa. Naye omutuukirivu wange aliba mulamu Iwa kukkiriza: era bw’addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira. Naye ffe tetuli ba kudda nnyuma mu kuzikirira, nayetuli ba kukkirizaolw’okulokola obulamu.” Abaebbulaniya 10: 35-39. EE 262.2

Okubuulirira kuno okuwandiikiddwa eri ekkanisa ey’okubaawo mu nnaku ez’oluvannyuma bukakafu bwennyini olw’ebigambo ebiraga nti Mukama wafle anaatera okujja: “Kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono nnyo, Ajja alituuka so talirwa.” Era kuyinza okutegeeza nti wakyayinza okulabika nga Mukama waffe aludde. Kyokka okulabula kuno kwatuukanira ddala n’embeera y’abadiventi mwe baali mu kiseera ekyo. Abantu wano aboogerwako baali mu kabi ak’okukkiriza nga kusaanawo wakati mu nnyanja. Baatuukiriza Katonda by’ayagala nga bagoberera okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo we awamu n’ekigambo kye; kyokka tebaayinza kumanya bigendererwa bye mu ekyo ekyabatuukako, wadde okumanya ekkubo mwe bagwanidde okutambulira, ne batuuka n&pos;okukemebwa oba nga ddala Katonda yabadde abakulembedde. Ebigambo ne bituukirirako nti: “Omutuukirivu wange anaabanga mulamu Iwa kukkiriza.” Era ng’omusana bwe gwabaakira wakati mu “luyoogaano mu ttumbi” nga gumulisa ekkubo mwe bagwanidde okutambulira, era ne balaba obunnabbi nga bugiddwako envumbo awamu n’okutuukirira kw’obubonero obulaga nti Kristo ali kumpi okudda, ne batambula nga bagoberera ekyo kye balaba. Naye kaakano, bonna nga bakubiddwa entiisa y’okusaalirwa, nga bayinza kuyimirirawo Iwa kukkiriza kwokka okuli mu Katonda era ne mu kigambo kye. Abasekerezi nga babagamba nti: “Mwalimbibwa. Muve mu nzikiriza eyo, era mugambe nti eddiini eyo ya Setaani.” Naye ekigambo kya Katonda kyagamba nti: “Era bw’addayo ennyuma, emmeeme yange temusanyukira.” Okwegaana eddiini kaakano, n’okuwakanya amaanyi g’Omwoyo Omutukuvu agaalinga mu bubaka bwe baabuuliranga, kuba kuddayo mu geyeena. Baagumizibwanga n’ebigambo bya Pawulo banywere obutasuula “bugumu bwabwe obuliko empeera ennene;” “kubanga mwetaaga okugumiikiriza,” “kubanga wakyasigaddeyo akaseera katono, ajja alituuka, EE 262.3

so talirwa.” Ng’ekkubo lyokka lye balina okukwata lye ly’okusanyukira omusana gwe baafuna okuva eri Katonda, banywerere ku bisuubizo bye n’okweyongera okunoonya mu Byawandiikibwa, nga bwe balinda beetegereze omusana omulala nate. EE 263.1