Essuubi Eritaggwaawo

22/43

21 — Okuiabuia Kunyoomebwa

Mu kubuulira abantu obubaka bw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, WiMiam Miller awamu ne banne kye baagoberera kwe kuzuukusa abantu beeteekereteekere ekiseera eky’okusala omusango. Baayagala bazuukuse abayivu mu ddiini baddeyo balabe essuubi ly’ekkanisa, n’okubalaga obwetaavu bwe balina obw’okubeera Abakristaayo ab’amazima, era n’okusisimula abatali bakyufu beenenye era bakyuke okudda eri Katonda amangu ddala. “Tebaayagala kukyusa bantu bakolewo kabinja oba eddiini eyekutudde. Yensonga Iwaki bagendanga mu buli nzikiriza awatali kubayingirira mu nteekateeka zaabwe oba mu nneeyisa.” EE 241.3

“Mu kufuba kwange kwonna,” Miller agamba nti, “saalina kwegomba kwonna wadde ekirowoozo ky’okutandikawo ebyo ebyange okuva ku ebyo ebyasangibwawo mu nzikiriza, wadde okuganyulwamu ng’ebirala bifa. Nnayagala bonna baganyulwemu. Nga nsuubira nti Abakristaayo bonna baakusanyuka mu kulindirira Kristo ng’akomawo, era nga n’abo abataatwalibwe ndowooza eri era nga nange si baakwagala ebyo wabula okwaniiriza ekibayigiriziddwa, nga sikiraba nti kya nsonga okubeera n’enkuŋŋaana ezeyawudde. Ekigendererwa kyange kyokka kye nnayagala kwe kukyusa emyoyo gyonna gidde eri Katonda, okutegeeza ensi nti ekiseera eky’omusango kijja, n’okwagazisa bantu bannange bateeketeeke emitima basobole okusisinkana Katonda waabwe mu mirembe. Bangi ku bakyufu olw’okufuba kwange beegattanga ku makanisa agaasangwawo.” - Bliss, p. 328. EE 241.4

Olw’okubanga omulimu gwe yakolanga gw’azimbanga ekkanisa, gwasooka ne gusanyukirwa. Naye abasumba ne bannaddiini bwe baawakanya enjigiriza y’okukomawo era ne baagala n’okuzikiza buli ajoogerako, tebaakoma mu kugiwakanya kyokka nga babuulira ku bituuti, naye era baaziyizanga n’abantu baabwe okwefunira omukisa okubeerayo mu nkuŋŋaana nga babuulira obubaka bw’okukomawo omulundi ogwookubiri, wadde okwogera ku ssuubi lyabwe nga bali mu nkuŋŋaana z’ekkanisa. Bwebatyo abakkiriza bwe beesanga nga bali mu kugezesebwa okw’amaanyi n’okusoberwa. Baayagalanga nnyo ekkanisa zaabwe era nga tebaagala kuzeeyawulako; kyokka gye baakomanga okulaba ng’ekigambo kya EE 241.5

Katonda kiziyizibwa era nga bakugirwa okunoonyereza ku bunnabbi, ne bawulira nga obuwulize eri Katonda tebubakkirizisa kugonda. Baalaba ng’abo abaayagala okusirisa obujulirwa obw’ekigambo kya Katonda tebali mu kkanisa ya Kristo, “empagi era omusingi ogw’amazima.” Bwebatyo ne balaba nga kya nsonga okubeekutulako. Era mu gatonya w&pos;omwaka 1844 abantu abawera ng’emitwalo etaano ne bava mu makanisa ago. EE 242.1

Mu kiseera kino ng’oyinza okulaba enjawulo nnene wonna mu makanisa agaali mu Amerika yonna. Waaliwo obulombolombo n’enneeyisa ebyefaanaanyiriza n&pos;ensi ebyali byeyongeranga okuyingira mu kkanisa okumala emyaka mingi, ne bigobererwa okudda ennyuma mu bulamu obw’omwoyo; kyokka mu mwaka ogwo ng’olaba obujulizi obulaga nga bwe wagenda wabaawo enkyukakyuka kumpi mu makanisa gonna. Newakubadde nga tewaaliwo eyayinza kwogera nsonga eyavaako kino, naye nga kirabibwa wonna era n&pos;okusiimibwa bannamawulire awamu ne bannaddiini. EE 242.2

Mu lukuŋŋaana Iw’Abapresibeta olwali e Firaderufiya, Omwami amanyiddwa nga Barnes eyawandiika ebitabo ebinnyonnyola (Commentary) ebikyasinze okukozesebwa era nga musumba mu kkanisa ezimu ez’amaanyi mu kibuga ekyo, “yagamba nti abadde mu buweereza okumala emyaka abiri, nti tekibangawo, okutuusa wano ku mbaga ya Mukama waffe eyasembayo Iwe yaweereza kyokka nga omuwendo gw&pos;egwo tegulinyangako wadde okukka wansi mu kkanisa. Anti nga tewali kuzuukusibwa, tewali bakyuka, nga tewakyali kukula mu kisa kulabikako mu bakkiriza, era nga tewali n’omu ajja gy’ali banoonye bwe banaalokola emyoyo egyo. Abantu nga beemalidde mu byabusuubuzi wakati mu byamaguzi n’amakolero ebyeyongera okukula. Bwekityo bwe kiri mu ddiini zonna.” - Congregational Joumal, May 23, 1844. EE 242.3

Mu mwezi ogwookubiri omwaka gwe gumu, Pulofeesa Finney ow’e Obalini College yagamba nti: “Tukyerabiddeko n&pos;amaaso gaffe nga okutwalizawamu, amakanisa g&pos;Obupulotestanti ag&pos;omu nsi yaffe gabadde ng’agataffaayo oba agatalumirwa ku kuzza buggya empisa z’abantu b’omu mulembe guno. Olaba buwandagirize, kyokka tebumala okubaako ne kye bukolawo okutereeza wonna. So era tulina n’ensonga endala eyongera okukikakasa: g’emakanisa wonna mu nsi okubulwa agazaamu obulamu. Obutaffaayo ku by’omwoyo kumpi kubunye wonna, kweralikiriza kubanga kukkidde ddala; n’amawulire wonna mu nsi yaffe gakikakasa.... Ab’ekkanisa beemalidde nnyo mu misono buli yonna, - bagasse emikono n’abatatya Katonda mu masanyu, amazina ne mu binyumu.... Kyokka tetwetaaga kugaziya nsonga eno kubanga erumya. Wabula mumanye nga bigenda byeyongera era nga bijja ku ffe okutulaga nti ekkanisa zeyongera okwonooneka wonna. Zeeyongeddeyo okuva ku Mukama, naye azaabulidde.” EE 242.4

Omuwandiisi omulala ow’olupapula Religiuos Telescope yakikakasa nti: “Tetulabanga kuddirira mu ddiini nga kuno kwetulaba leero. Mazima, ekkanisa kigigwanira okuzuukuka, enoonye erabe awavudde ekibonoobono kino; ekibonoobono ekirabibwa buli yenna ayagala Sayuuni. Bwe twebuuza abatTe ‘beenkana ki era bameka’ abakyukidde ddala wakati awo, bw’ogerageranya n’abatalina mpisa era abakakanyavu, fTena tuyinza okuwalirizibwa okwogerera wamu nti, ‘Katonda takyalina kisa? Oba oluggi Iw’ekisa Iwaggalwawo?”‘ EE 242.5

Embeera eno teyinza kubaawo awatali kigireesewo mu kkanisa. Ekizikiza ky’omwoyo ekibuutikira amawanga, amakanisa n’abantu kinoomu, kijja si lwakubanga Katonda amaze gajjawo okubeerwa okw’ekisa kye, naye lwakubanga abantu bagayaaliridde oba bagaanye omusana gwa Katonda gw’abawadde. Eky’okulabirako ekyoleka amazima gano kirabikira mu byafaayo by’Abayudaaya abaaliwo mu kiseera Kristo we yabeererawo. Bwe beemalira mu kwagala ensi era ne beerabira Katonda awamu n’ekigambo kye, amagezi gaabwe gaabikkibwako ekizikiza, ng’emitima gyabwe gisanyukira by’ansi. Bwebatyo bwe baali mu butamanya olw’okujja kwa Masiya, era ne bagaana Omununuzi wakati mu malala gaabwe n’obutakkiriza. Kyokka Katonda teyasalako ggwanga ly’Abayudaaya obutamanya oba okwenyigira mu mikisa gy’obulokozi. Wabula abo abaagaana amazima baggwaamu akaagala ekirabo ky’eggulu. Baawaanyisa ne “bateeka ekizikiza awali omusana, n’omusana awali ekizikiza,” okutuusa omusana gwe baalina lwe gwafuuka ekizikiza; ekizikiza nga kyali kinene! EE 243.1

Kituukana n’enkola ya Setaani abantu okusigaza ekifaananyi obufaananyi eky’eddiini ne bwe babeera nga tebaliimu mpisa ya kutya Katonda. 01uvannyuma nga bamaze okugaana enjiri, Abayudaaya beeyongera okunyweza empisa n&pos;obulombolombo eby’edda, ne baguggubira mu kunyweza ebyawula eggwanga lyabwe ng’eno bo bennyini bwe batayinza wabula okukkiriza nti Katonda takyali wakati mu bo. Obunnabbi bwa Danieri bwasonganga ku kiseera Masiya waalijjira, era ne bulanga okufa kwe, ekyenakku, baagaana okubuyiga n’ekyasembayo ba labbi kwe kulangirira ekikolimo ku buli yenna aneetantala okubalirira ekiseera. Wakati mu buzibe bw’amaaso n’obuteenenya okumala ebyasa by’emyaka egigenze gyetoloola, abantu b’eggwanga lya Isiraeri bawangaalidde mu butaffaayo eri ekisa kya Katonda ekiweebwa olw’okulokolebwa, nga tebalowooza ku mikisa gya njiri, wadde okutya akabi akali mu kunyooma omusana oguva mu ggulu. EE 243.2

Buli lwe wabeerawo ekibaawo, ng’omanya waliwo ekiddawo. Oyo akakanyanyaza emmeeme ye mu bugenderevu obutawuliriza kulumirizibwa okuli mu yo mbu olw’okubanga kutataaganya by’ayagala, alimala n’aggwamu amaanyi agawula wakati w’amazima n&pos;obukyamu. Okutegeera kubuutikirwa ekizikiza, nga takyalumwa, omutima gukakanyala, omwoyo ne guva ku Katonda. Ekkanisa egaana obubaka obw’amazima obuva eri Katonda yakuzingibwako ekizikiza; okukkiriza n’okwagala biwola, obukyayi n’okulwanagana ne biyingirawo. Ab’ekkanisa bateeka okwagala kwabwe n’amaanyi gaabwe mu kunoonya eby’ensi n’abonoonyi ne bakakanyalira mu buteenenya. EE 243.3

Obubaka bwa malayika ow’olubereberye mu Kubikkulirwa 14 obulangirira ekiseera eky’okusala omusango gwa Katonda era nga bukowoola abantu bonna batye Katonda era bamusinze, bwagenderera okwawula abantu ba Katonda bave ku by&pos;ensi ebyonoona era bazuukusibwe beerabe nga bwe bafaanana mu kwagala ensi n’okudda ennyuma. Katonda yaweereza obubaka buno obulabula eri ekkanisa, nga singa bwayanirizibwa, bwanditerezezza ebibi ebyali bibaawula naye. Singa bakkiriza obubaka okuva mu ggulu ne bakakkanya emitima gyabwe mu maaso ga Katonda ne banoonya okweteekateeka okusaana bayinze okuyimirira mu maaso ge, Omwoyo n’amaanyi ga Katonda byandyeyolekedde mu bo. Ekkanisa yandizeemu okutuuka ku mukisa ogwo ogw’okubeera n&pos;obumu, okukkiriza n’okwagala ebyaliwo mu biseera EE 243.4

by’abatume, abakkiriza bwe “baalina omutima gumu n’emmeeme emu,” era “ne boogera ekigambo kya Katonda n’obuyumu,” “Katonda n&pos;aboongerangako bulijjo abaalokokanga.” Ebikolwa 4: 32, 31; 2: 47. EE 244.1

Singa abantu ba Katonda baayaniriza omusana nga bwe gwabaakira okuva mu kigambo kye, baandituuse mu kubeera obumu Kristo bweyasabira, omutume bwannyonnyola, nga “obumu obw’Omwoyo mu kusibibwa n&pos;emirembe.” Agamba nti: “Omubiri guli gumu, n’Omwoyo omu, era nga nammwe bwe mwayitibwa mu kusuubira okumu okw’okuyitibwa kwammwe; Mukama wafife omu, okukkiriza kumu, okubatiza kumu.” Abaefeso 4: 3-5. EE 244.2

Egyo gye gimu ku mikisa abakkiriza obubaka bw’okukomawo kwa Kristo gye beeyagaliramu. Baava mu nzikiriza ez’enjawulo, era enjawukana zaabwe ne bazissa ku ttaka; enjigiriza ezikontana ne bazikutulakutula; essuubi eritalina Byawandiikibwa ery’okubeera ku nsi kuno okumala emyaka olukumi ne balivaako, enjigiriza enkyamu ku kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri ne bazitereeza, amalala n&pos;okwagala ensi ne biggwaawo; ne batereeza ensobi zaabwe; emitima ne giyungibwa mu kutabagana okunyunyuutuvu, era okwagala n&pos;essanyu ne bifuga wonna. Enjigiriza eno bw&pos;eba nga yasobola okukola kino eri abo abatono abaagyaniriza, yandikoze n’okusingawo singa bonna baagyaniriza. EE 244.3

Naye ekkanisa okutwaliza awamu tezakkiriza kuwuliriza kulabula. Abasumba baazo abaali abakuumi “eri ennyumba ya Isiraeri,” abandisoose okulaba obubonero bw’okujja kwa Kristo, baalemererwa okuyiga amazima nga bayita mu bujulirwa obwa bannabbi oba okwetegereza obubonero bu ‘ebiseera. Gye baakoma okuteeka essuubi lyabwe mu bintu by’ensi n’emitima gyabwe okuluvuwala, gye baakoma okuwola mu kwagala kwe baalina eri Katonda awamu n’okukkiriza mu kigambo kye; kati olwo obubaka bw’okukomawo kwa Kristo bwe bwayogerwanga, obukyayi ne busituka awamu n’obutakkiriza. Olw’okubanga obubaka bwasinga kubuulirwa bantu babulijjo, nakyo kyaboongera okubuwakanya. Era nga ne mu nnaku ziri, baabuuzanga ku bujulirwa bw’ekigambo kya Katonda nti: “Waliwo omukulu oba omufalisaayo akkirizza?” Bwe baazuula nga kizibu okuwakanya engeri obunnabbi gye bwogera ku biseera, bangi ne bamalamu banaabwe amaanyi okuyiga obunnabbi, nga babayigiriza nti ebitabo by’obunnabbi byateekebwako envumbo era tebitegerekeka. Enkuyanja y’abantu olw’obwesige bwe baalina mu basumba baabwe, ne bagaana okuwuliriza okulabula kuno; era n’abalala, newakubadde nga baatuuka okulaba amazima, tebayaŋŋanga kugaatula si kulwa nga “bagobwa mu makuŋŋaaniro.” Bwebutyo obubaka Katonda bwe yaweereza ng’agezesa n’okulongoosa ekkanisa ne bukiraga lwatu nga omuwendo gwali munene ogw’abo abaateeka ebirowoozo byabwe ku nsi okusinga eri Kristo. Ebisiba ebyabasibira ku nsi nga byamaanyi okusinga ebisikiriza eby’eggulu. Baasalawo okuwuliriza eddoboozi ly’amagezi g’ensi, ne bakyusa okutu kwabwe obutawuliriza bubaka obwamazima obukebera emitima. EE 244.4

Bwe baagaana okuwuliriza obubaka bwa malayika ow’olubereberye, olwo baagaana enkola eyateekebwawo eggulu olw’okuzzibwa kwabwe obuggya. Baasindikiriza omubaka ow’ekisa eyanditerezezza ebibi ebyali bibaawula ne Katonda ne banoonya okukola omukwano n’ensi. Awo we wasibuka embeera eyo ey’entiisa ey’okwagala ensi, okudda ennyuma n’okufa mu mwoyo ebyali mu kkanisa mu 1844. EE 244.5

Mu Kubikkulirwa 14 malayika ow’olubereberye addirirwa ow’okubiri eyayogera nti: “Kigudde kigudde Babulooni ekinene ekyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw&pos;obwenzi bwakyo.” Kubikkulirwa 14: 8. Ekigambo “Babulooni” kiva mu kigambo “Baberi,” ekitegeeza okutabukatabuka. Kikozesebwa mu Byawandiikibwa okutegeeza engeri ez’enjawulo ez’eddiini ey’obulimba oba eyava ku mazima. Mu Kubikkulirwa 17 Babulooni ayimiriddewo mu kifaananyi ky’omukazi ekifaananyi ekikozesebwa mu Bayibuli ng’akabonero k’ekkanisa, omukazi omulongoofu ye kkanisa entukuvu, omukazi omwenzi ye kkanisa eyagwa. EE 245.1

Mu Bayibuli enkolagana entukuvu era ey’olubeerera wakati wa Kristo n’ekkanisa ye eragibwa mu kifaananyi eky’obufumbo. Mukama yeegatta n’abantu be okuyita mu ndagaano ng’asuubiza okubeera Katonda waabwe, nabo ne beeyama okubeera abantu be, nga babe yekka. Ategeeza nti: “Era ndikwogereza ennaku zonna; wewaawo ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne kisa ne mu kusaasira.” Koseya 2: 19. Era nate agamba nti: “Nze bbammwe.” Yeremiya 3: 14. Ne Pawulo akozesa ekifaananyi kye kimu mu Ndagaano Empya bwe yagamba nti: “Kubanga nabafumbiza bbammwe omu ndyoke mbaleete eri Kristo ng’omuwala omulongoofu.” 2Abakkolinso 11:2. EE 245.2

Ekkanisa obutaba nneesigwa eri Kristo ng’ekkiriza okumujjamu obwesige, n&pos;ekkiriza emmeeme okujjuzibwa n’okwagala ebintu by’ensi, kifaananyirizibwa n’okumenya endagaano y’obufumbo. Ekibi kya lsraeri bwe yava ku Mukama kiragibwa mu kifaananyi kino; era n&pos;okwagala kwa Katonda okwekitalo kwe baanyooma ne kulagibwa mu kifaananyi kino ekisaaliza nti: “Wewaawo ne nkulayirira, ne ndagaana naawe endagaano, bwayogera Mukama Katonda, n’ofuuka wange.” “N’oba mulungi nnyo nnyini, n’olaba omukisa okutuusa mu bukulu obw’obwakabaka. Ettutumu lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw’obulungi bwo: kubanga bwali butuukiridde olw&pos;obukulu bwange bwe nnali nkutaddeko.... Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwenzi olw’ettutumu lyo.” “Mazima omukazi nga bw&pos;ava ku bba ng’asala olukwe, bwemutyo nammwe bwe munsalidde enkwe, mmwe ennyumba ya Israeri, bwayogera Mukama;” “Omukazi alina bba ayenda so! Akkiriza abagenyi mu kifo kya bbaawe so!” Ezekyeri 16: 8, 13-15, 32; Yeremiya 3: 20. EE 245.3

Bayibuli ckozesa ebigambo bye bimu mu Ndagaano Empya ng’eyogera ku Bakristaayo abanoonya okukola omukwano n&pos;ensi mu kifo ky’okunoonya ekisa mu maaso ga Katonda. Omutume Yakobo agamba: “Mmwe abasajja n&pos;abakazi abenzi temumanyi ng’omukwano gw’ensi bwe bulabe eri Katonda? Kale, omuntu yenna bw’ayagala okubeera mukwano gw’ensi yeefuula mulabe wa Katonda.” Yakobo 4:4. EE 245.4

Omukazi (Babuloonoi) ali mu Kubikkulirwa 17 ayogerwako “nga ayambadde olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era n’ayonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu, ng’alina mu mukono gwe ekikompe ekya zaabu ekijjudde emizizo... ne ku kyenyi kye erinnya eriwandiikiddwa nti: Ekyama, Babulooni ekinene nnyina w’abenzi era ow’emizizo gy’ensi.” Nnabbi agamba nti: “Ne ndaba omukazi oyo ng’atamidde omusaayi gw’abatukuvu n&pos;omusaayi gw’abajulirwa ba Yesu.” Babulooni ayongera okwogerwako nga “ekibuga ekinene, ekirina obwakabaka ku bwakabaka bw’cnsi.” Okubikkulirwa 17: 4-6, 18. Obuyinza obuzze nga bufuŋŋama ku mawanga gonna ag’Obukristaayo okumala ebyasa by’emyaka ye Luumi. Olugoye olw’effulungu era olumyufu, amayinja aga zaabu EE 245.5

n’omuwendo omungi ne luulu, biraga ekifaananyi kyennyini ekirina ekitiibwa ekisukka eky’obwakabaka ebyalabikira ennyo ku kitebe kya Luumi ey’esukkulumya. Tewali buyinza bulala bwonna buyinza kwogerwako “ng’obwatamiira omusaayi gw’abatukuvu” ng’ekkanisa eyo eyayigganya eby’ekitalo abagoberezi ba Kristo. Babulooni era avunaanibwa n’ekibi eky’okutabagana ne “bakabaka b’ensi.” Ekkanisa y’Abayudaaya yayenda bwe yava ku Mukama n’ekola omukago n’abamawanga; ne Luumi bwe yeyonoonesa mu ngeri yeemu ng’enoonya obuwagizi okuva mu b’obuyinza ab’ensi n’ekolimirwa. EE 246.1

Babulooni ayogerwako nga “maama w’abenzi.” Bawala be bateekwa okuba nga ky’ekifaananyi ky’ekkanisa ezikyanywezezza enjigiriza n’obulombolombo, era nga zigoberera eky’okulabirako kye okulekawo amazima n&pos;okusiimibwa Katonda olw’okwagala okutta omukago n’ensi. Obubaka bwa Kubikkulirwa 14 obulangirira okugwa kwa Babulooni buteekwa okuba nga bwogera ku bibiina by’eddiini bino ebyasooka okuba nga bituukiridde naye ne byonooneka. Olw’okubanga obubaka buno bwe buddirira okulabula ku kiseera eky’okusala omusango, buteekwa okuweebwa mu nnaku ez’oluvannyuma, n’olwekyo tebwogera ku kkanisa y’e Luumi yokka, kubanga ekkanisa eyo emaze ebyasa by’emyaka bingi nga yagwa dda. Ekirala, mu ssuula ya Kubikkulirwa ey’ekkumi n’omunaana, abantu ba Katonda bayitibwa okufuluma mu kibuga Babulooni. Okusinziira ku kyawandiikibwa kino, abantu ba Katonda bangi abakyali mu Babulooni. Kaakano ddiini ki esinga okubaamu abagoberezi ba Kristo abasinga obungi? Awatali kubuusabuusa, bali mu makanisa ag’enjawulo agaatula enzikiriza y’Obupulotestanti. Mu kiseera we gaasitukira amakanisa gano gaayimirirawo ku Iwa Katonda era n’amazima, era ne baweebwa emikisa gye. Newakubadde abakaafiri nabo baawalirizibwa okusiima emiganyulo egyava mu kukkiriza enjiri. Bye bigambo bya nnabbi eri Israeri nti: “Ettutumu lyo ne lyatiikirira mu mawanga olw’obulungi bwo: kubanga bwali butuukiridde olw’obukulu bwange bwe nnali nkutaddeko, bwayogera Mukama Katonda.” Naye nabo baagwa olw’okwegomba mu ngeri yeemu eyasuula n’okuzikiriza Israeri - kwe kwegomba yeefaananyirize empisa awamu n’okukwana abatatya Katonda. “Naye ggwe ne weesiga obulungi bwo, ne weefuula omwenzi olw’ettutumu lyo.” Ezeekyeri 16: 14, 15. EE 246.2

Amakanisa mangi ag’Obupulotestanti gatambulira mu bigere bya Luumi mu kibi ky’okwetaba ne “bakabaka b’ensi” - eddiini y’eggwanga nga ekwanaganyizibwa n’obufuzi obw’ensi; era n’enzikiriza endala okwagala okukwatirwa ekisa abafuzi b’ensi. Era n’ekigambo “Babulooni” ekitegeeza okutabukatabuka - kiyinza okutuukana n’eddiini zino, ezigamba nti bye zikkiriza bisibuka mu Bayibuli, so nga zeekutuddekutuddemu obubiinabiina omuli enzikiriza n’endowooza ezikontana. EE 246.3

Ng’ogyeeko ekibi ky’okwetaba n’ensi, ekkanisa ezeyawula ku Luumi zitulaga n’ekifaananyi ekirala ku bwezeeyisa. Omukozi omu mu Kkanisa Katolika ey’e Luumi agamba nti “Ekkanisa y’e Luumi bw’eba erina omusango gw’okusinza ebifaananyi eby’abatukuvu, muwala waayo, ye Kkanisa y’e Bungereza, nayo evunaanibwa mu ngeri yeemu, kubanga erina ekkanisa ezisukka mu kkumi nga zonna zaawongebwa eri Maliya ate emu eri Kristo.” - Richard Challoner, The Catholic Christian Instructed, Preface, page 21,22. EE 246.4

Ne Dr. Hopkins mu kitabo kye “A Treatise on the Millenium,” agamba nti: “Tewali nsonga okulowooza nti omwoyo gw’okulwanyisa Obukristaayo guli mu kkanisa kaakano emanyiddwa nga Ekkanisa y’e Luumi. Ekkanisa z’Obupulotestanti zirimu abalabe ba Kristo bangi, era zonna tezikyukanga okuva ... mu kwonooneka n’obubi.” - Samuel Hopkins, Works, vol. 2, p. 328. EE 247.1

Bwe yali ayogera ku kwawukana kw’ekkanisa ya Presibeta okuva ku kkanisa y’e Luumi, Dr. Guthrie yawandiika nti: “Ekkanisa yaffe yafuluma okuva mu miryango gya Luumi ng’ekute beendera eriko Bayibuli embikkule era n’enjogera egamba nti, ‘Noonya mu Byawandiikibwa,’ kaakano emyaka bisatu egiyise.” Kwe kubuuza ekibuuzo eky’enkizo: “Baafuluma balongoofu okuva mu Babulooni?” - Thomas Guthrie, The Gospel in Ezekiel, page 237. EE 247.2

“Ekkanisa y’e Bungereza,” Spurgion agamba, “eringa eyaliibwa yonna amasakalamentu mu nda ne kungulu nti mweyita okuweebwa obulokozi n’ekisa kya Katonda; so ng’ ebigyawuula birabika bigenda byonoonebwa n’obufirosoofo. Ebyo bye twalowoozanga nti bye bisaana mu misingi egy’okukkiriza bigenda bivaawo kimu ku kimu. Nzikiriza nga mpola mpola, omutima gwa Bungereza gwakuliibwa gusaanewo n&pos;ekikolimo ky’obutali bwesigwa.” EE 247.3

Ensibuko y’okugwa kuno okunene eriruddawa? Ekkanisa yasooka etya okuva ku mazima ag’enjiri agategerekeka obulungi? Bwe yakkiriza okwefanaanyiriza empisa n’obukafiiri, n’ekkiriza abamawanga okuyambako ku Bukristaayo. Omutume Pawulo yagamba, newakubadde ne mu biseera we yabererawo nti, “Kubanga ne kaakano ekyama ky&pos;obujeemu weekiri kikola.” 2Abasessaloniika 2: 7. Mu biseera abatume we baabererawo bw&pos;ogerageranya ekkanisa yali etuukiridde. Naye okutuuka awo nga ku nkomerero y’ekyasa eky’okubiri, amakanisa gonna gayingizaawo engeri endala; ebyalabikanga ng&pos;ebyangu ne bisaanawo, era nga tebamanyiridde, abayigirizwa ab’edda bwe baawummula ne bagalamizibwa mu ntaana zaabwe, abaana baabwe awamu n’abakyufu abaggya,... ne bayingizaawo enkola empya mu bigendererwa.” - Robert Robinson, Ecclesiastical Researches, ch. 6, par. 17, p. 51. Olw’okwagala okufuna abakyufu, omutindo gw’Obukristaayo gwassibwa wansi, era n’ekyavaamu, gwe “muyoolerero gw’abakafiiri okweyiwa mu kkanisa, ne bayingizaawo obulombolombo, emize awamu n’okusinza ebifaananyi.” - Gazawi, Lectures, page 278. Obukristaayo bwe bwalaba ekisa mu bakulu n’okuwagirwa abafuzi ab’ensi, abantu bangi ne bakyuka olw&pos;erinnya; nga newakubadde balabika Bakristaayo, bangi “baasigala bakafiiri ddala, naddala okusinza ebifaananyi mu bubba.” - Ibid., page 278. EE 247.4

Eyo si y’ebadde engeri yeemu ez’eddiŋŋanibwamu kumpi mu buli kkanisa eyeeyita ey’AbapuIotestanti? Abatandisi, abo abaali balina omwoyo gwennyini ogw’okuzza obuggya okukkiriza, bwe bavaawo basikirwa abaana n&pos;abazzukulu, abo ne “bayingizaawo enkola empya mu bigendererwa.” Newakubadde nga balemera ku njigiriza ya bakitaabwe mu ngeri y’obuzibe bw’amaaso era nga tebakkiriza kwaniriza amazima gonna olw’ebyo bye bazudde, abaana bano balekawo eky’okulabirako ky’obwetoowaze, okwegaanyisa n’okwegaana ensi ebyali mu bakitaabwe. Bwekityo, “ebyali ebyangu ne bisaanawo.” Omuyoolerero ne gweyiwa mu kkanisa nga “gukwataganye n’obulombolombo, emize n’okusinza ebifaananyi.” EE 247.5

Nga omukwano gw’ensi gugenze wala nnyo mu bagoberezi ba Kristo ensanji zino ate nga “bwe bulabe eri Katonda!” Nga amakanisa mangi leero okwetoloola wonna EE 247.6

mu nsi z&pos;Obukristaayo agavudde ku mutindo gwa Bayibuli ogw&pos;obwetoowaze, okwegaanyisa, okweyisa mu ngeri ennyangu n’okutya Katonda! John Wesley yagamba ng’ayogera ku nkozesa ennungi ey’ensimbi nti: “Temwonoona sente yonna olw&pos;okwagalanga okukkusa okwegomba kw ‘amaaso, nga mugula ebyambalo ebisukkiridde oba eby’omuwendo oinungi oba okwewunda okutagasa, kubanga yamuwendo mungi. Temugyonoona nga mwegomba okuwundanga ennyumba zammwe; nga mugula ebibajje ebisukkiridde oba eby’omuwendo omungi; mu kugulanga ebifaananyi ebitimbwa.... Temukolanga kintu kyonna olw&pos;amalala, abantu okubeewuunya oba okubatendereza.... Kasita obeera nga kikugasa, ‘abantu baakukwogerako bulungi.’ Kasita obeera nga ‘oyambadde olw’elfulungu ng&pos;olabika bulungi buli lunaku,’ tewali kubuusabuusa bangi baakusanyukira ennyambalayo esikiriza. Naye essanyu lyabwe lireme kukuyinula. Wabula mumatire n’ekitiibwa ekiva eri Katonda.” - Wesley, Works, Sermon 50, The Use of Money. Naye enjigiriza eyo eragajjaliddwa mu makanisa mangi leero. EE 248.1

Abantu baagadde nnyo eddiini ey’okungulu mu biseera bino. Abafuzi, bannabyabufuzi, bannamateeka, abasawo, n’abasuubuzi beegatta ku kkanisa olw’okwagala okusiimibwa abantu n’okussibwamu ekitiibwa, nga bwe bakulembezza okwegomba kwabwe bo. Bwebatyo ne banoonya okubikka ku bibi byabwe olw&pos;okweyita Abakristaayo. Amakanisa ag’enjawulo ne gagejjanga olw&pos;obugagga n&pos;ettutumu ly’ababatize bano abakyali mu nsi, nga bwe ganoonya obuganzi n&pos;okulabirirwa. Amakanisa ag’ekitiibwa nga gawundiddwa mu ngeri ey’ebbeeyi, ne gazimbibwa ku nguudo emmanyifu. Abasinza ne beenaanika ebyambalo eby’ebbeeyi era eby’omulembe. Olwo ne bawa omusaala omusava omusumba alina ekirabo eky&pos;okwogera obulungi asanyuse era asikirize abantu. Obubaka bwe nga tebuteekwa kwogwera ku bibi ebisinga okukolebwa abantu, naye nga buwoomerera era obusanyusa amatu okuwulira. Bwebatyo abonoonyi abali ku mulembe ne bewandiisa mu bitabo by’ekkanisa, n’ebibi ebiri ku mulembe ne bikwekebwa mu kifaananyi eky’okutya Katonda. EE 248.2

Olumu ku lupapula Iw&pos;amawulire olumanyifu, bwe Iwali Iwogera ku ndowooza y’Abakristaayo ku kye balowooza eri ensi, lugamba nti: “Ekkanisa mu butamanya ejeemulukukidde omwoyo ow’omulembe guno, era n’eyingiza engeri z’ensi nga bw’esinza olw ‘okwagala okumatiza okwetaaga kwayo okuliwo.” “Mazima, ebintu byonna ebiyamba mu kwagazisa abantu eddiini leero, ekkanisa ebitwala nga bikulu.” Era n’omuwandiisi mu lupapula lwa New York oluyitibwa Independent agamba ng’ayogera ku ddiini y’Abamethodist nga bweri leero nti: “Olukoloboze olwawula wakati w&pos;abatya Katonda n&pos;abatalina ddiini lugenda lusanguka mpola okutuuka okusaanawo, era n&pos;abantu abanyiikivu ku buli luuyi bakola kyonna ekisoboka okumalirawo ddala enjawoilo zonna eziri mu bye bakola era n’ebibasanyusa.” “Ettutumu eriri mu ddiini lyagazizza abantu bangi abaagala okusanyukira emigaso egirimu naye nga si baakutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe eri eddiini.” EE 248.3

Ate ye Howard Crosby agamba: “Kiruma bwe tusanga ekkanisa ya Kristo ng’etuukiriza kitono ku ebyo Mukama waayo bye yagiragira. Nga Abayudaaya ab&pos;edda bwe bakkiriza okutabagana n&pos;amawanga ag’abasinza ebifaananyi ne babanyagako omutima gwabwe okuva ku Katonda,... n’ekkanisa ya Kristo bweri leero, bwe yakola omukwano n&pos;abatakkiriza ab’ensi, n’erekawo amakubo ga Katonda EE 248.4

omuli obulamu, n’ejeemulukukira ebibi binnamutta ebisangibwa mu bantu abatalina Kristo, newakubadde nga birabika ng’ebituufu, era n’etuuka okukkaanya nabo ng’ekozesa ebigambo ebitali mu kigambo kya Katonda, era ebirwanyisa okukula mu kisa.” - The I lealthy Christian: An Appeal to the Church, page 141, 142. EE 249.1

Okwerumya n’okwefiiriza ku Iwa Kristo byongedde okubula mu bantu olw&pos;embeera y’okutwalibwa omuyaga gw&pos;okunoonya amasanyu n’okwagala ensi. “Abamu ku basaj^a n’abakazi abali mu kkanisa yafife kaakano nga bali mu myaka emikozi, baayigirizibwa bwe baali nga bakyali bato bayinze okwefiiriza olw’okuddiza n&pos;okuweereza Kristo.” Naye bwe wabaawo “obwetaavu bw’ensimbi tekitugwanira kubaako n’omu gwe tukowoola olw’okugaba. Aah nedda! Okukola akatale, okuteekateeka ekyeggulo okubaako ne kye balya nti tusanyuse abantu.” EE 249.2

Mu bubaka bw’Owessaza Waslibum okuva e Wiskonsini obumalako omwaka bwe yayogera nga 9 ogw’Olubereberye, 1873 yagamba nti: “Kyetaagisa okubagawo amateeka okulwanyisa abakubi ba zaala gye bayigirizibwa. Amasomero gano gali buli wantu. Newakubadde ekkanisa (mu butamanya) yeesanze ng’oluusi ekola omulimu gw’omubi. Emikolo gy’ebirabo, ebiwulu n’okukuba obululu ng’oluusi bikolebwa olw’okuyamba ekkanisa oba okugula ebintu eby’okugaba obugabi, kyokka ng’ebigendererwa si bya mugaso nnyo, awamu n’ebirala bingi ebikolebwa, byonna z’engeri ezikolebwa olw’okufuna ensimbi awatali kuzikolerera. Teri kintu kimalamu maanyi, oba okwonoona omuntu, naddala eri abaana, ng’okufuna ensimbi oba ekyobugagga awatali kukikolerera. Abantu ab’obuvunaanyizibwa abeenyigidde mu kukuba zaala, era ne banafuya endowooza zaabwe nga balaba nga nti esente zigenda ku bintu ebirungi, tekyewunyisa okulaba nga n’abavubuka b’eggwanga bayingira mu mize gino egibaleetera okucamuukirira ne bagwa mu kabi.” EE 249.3

Omwoyo gw’okwagala okukopperera guzinze amakanisa okwetoloola ensi zonna ez’Obukristaayo. Robert Atkins mu bubaka bweyabuulira e London, asiiga ekifaananyi eky’abantu abaddiridde mu mwoyo e Bungereza nga bwe bali: “Abantu abeegendereza bawedde ku nsi, so tewali muntu n’omu akitaddeko mwoyo. Bannaddiini ab’omulebe guno mu buli kkanisa, baagazi ba masanyu, abafaanana ensi, abanoonya okusanyusibwa n’ensi era abasuubira okuweebwa ebitiibwa. Baayitibwa okubonaabonera wamu ne Kristo, wabula, batya okunenyezebwako.... Ekigambo kimu, wagwa, wagwa, wagwa kye kiwandiikibwa ku wankaaki za buli kkanisa; kale singa bakimanyi era ne bawuliriza amakulu gaakyo, wandibaddewo essuubi; naye ekyennaku bagamba nti: “Tuli bagagga era tulina bingi, tetulina kye twetaaga,”‘ - Second Advent Library, tract No. 39. EE 249.4

Ekibi ekisinga obukulu ekivunaanibwa Babulooni kye kino nti, “yanywesa amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwakyo.” Ekikompe kino ekijjudde omwenge kyawadde amawanga okunywa kitegeeza njigiriza ez’obulimba ze yasikira okuva mu butali bwesigwa obw’okwetaba n’abantu abanene ab’omu nsi. Omukwano gwe yakola n’ensi gwayonoona okukkiriza kwe, era naye n’awaliriza empisa ze ezivunze ku nsi mu kuyigiriza enjigiriza ezaawukanira ddala n’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. EE 249.5

Luumi yajja abantu ku Bayibuli bwe yabawaliriza batwale enjigiriza ze mu kifo kya Bayibuli. Okuzza Obuggya ekkanisa kwe kwakomyawo abantu okusoma ekigambo kya Katonda; naye si kituufu nga ne mu mulembe guno abantu EE 249.6

bayigirizibwa okuteeka okukkiriza kwabwe ku njigiriza z’ekkanisa okusinga okukuteeka ku Byawandiikibwa? Charles Beecher yagamba ng’ayogera ku kkanisa z’Abapulotestanti nti: “Batya okuwulira ekigambo kyonna ekivumirira enjigiriza z’ekkanisa okufaanana nga ne bakitaabwe ab’edda bwe baanditidde ekigambo kyonna ekivumirira okusinza abatukuvu era n’abajulizi be baawembejueranga.... Ekkanisa z’Abapulotestanti zeenywezezza era ne zikwatagana mu mikono nga tewali muntu n’omu ayinza okubeera omubuulizi nga tasoose kufuna kitabo kirala ng’ojjeeko Bayibuli.... N’olwekyo tekyewunyisa okulaba nga amaanyi g’enjigiriza z’ekkanisa gatandise okuziyiza Bayibuli nga n&pos;Abaluumi bwe baakola newakubadde mu ngeri eyamagezi.” - Sermon on “The Bible a Sufficient Creed, ” delivered at Fort Wyne, Indiana, Feb. 22, 1846. EE 250.1

Abayigiriza abeesigwa bwe bamenyamenya ekigambo kya Katonda, olwo nga wasitukawo abayivu, ababuulizi abagamba nti bategeera Ebyawandiikibwa, ne basambirira enjigiriza entuufu nga bagiyita ey’obulimba, bwebatyo ne baziyiza abanoonya amazima. Singa ensi yali tetamiiziddwa n’ebissassalala by’omwenge gwa Babulooni, bangi bandikwatiddwako era ne bakyusibwa n’amazima agategeerekeka obulungi ag’ekigambo kya Katonda. Wabula eddiini n’erabika nga etabulatabula era etekwatagana abantu ne balemwa okutegeera kye balina okukkiriza nga amazima. Ekibi ky&pos;ensi eky&pos;obutenenya kiri wakati mu miryango gy’ekkanisa. EE 250.2

Obubaka bwa malayika ow’okubiri obwa Kubikkulirwa 14 bwasooka kubuulirwa mu gatonya w’omwaka 1844, gye bwatuukiranira ddala obulungi n’ekkanisa z&pos;omu Amerika awaasinga okubuulirwa obubaka obulabula obw’okusala omusango ate era gye bwasinga okunyoomebwa, so n’amakanisa gye gaasinga okugwa okuva mu kukkiriza. Kyokka obubaka bwa malayika ow’okubiri tebwaggwayo mu kutuukirira okwaliwo mu 1844. Ekkanisa ku olwo zaalega bulezi ku kugwa mu mpisa olw’okugaana okukkiriza omusana ogw&pos;obubaka bw&pos;okukomawo kwa Kristo; naye okugwa okwo kwali kwa kitundu. Gye bakomye okweyongera okugaana amazima ag’enjawulo ag’omu kiseera kino gye bakomye okweyongera okukka wansi. Wabula tetuyinza kugamba nti tukomye okwogera nti “Kigudde, kigudde Babulooni,... kubanga kyanywesa amawanga gonna ku mwenge gw’obusungu bw’obwenzi bwakyo.” Babulooni tanatuukiriza mulimu gwe guno eri amawanga gonna. Omwoyo gw’okwefaananyiriza n’ensi n’obutaffaayo eri amazima ag’ekiseera kyaffe gukyafuga era gugenda gweyongera okulya amakanisa g’Obupulotestanti okwetoloola ensi zonna ez’Obukristaayo; era nga n’amakanisa gano googerwako mu kulabula kw&pos;obubaka bwa malayika ow’okubiri. Kyokka okugwa kwennyini tekunatuuka ku ntikko yaakwo. EE 250.3

Bayibuli egamba Mukama waffe nga tanakomawo nti, “okujja kw&pos;oyo kuli mu kukola kwa Setaani n’amaanyi gonna n’obubonero n’ebyamagero eby’obulimba, n’okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu... kubanga tebakkiriza kwagala mazima balyoke balokoke. Katonda kyava abasindikira okukyamya okukola, bakkirize eby’obulimba.” 2Abasessaloniika 2: 9-11. Okutuusa nga embeera eno etuukiddwako, n’ekkanisa nga zeegasse bulungi awamu n’ensi mu nsi zonna ez’Obukristaayo, olwo okugwa kwa Babulooni Iwe kunaaba nga kutuukiridde. Ekyukakyuka yakugenda yeyongera mpola, Ekyawandiikibwa ekiri mu Kubikkulirwa 14: 8 kiryoke kituukirire bulungi eyo mu maaso. EE 250.4

Si nsonga newakubadde nga kaakano wakyaliwo ekizikiza eky’omwoyo awamu n&pos;okwawukana okuva ku Katonda mu makanisa agali mu Babulooni, omubiri gw’abagoberezi ba Kristo abamazima gwakusiŋŋaanibwa nga gussa kimu. Wakyaliwo bangi mu abo abatawulirangako ku mazima ag’ekiseera kino. So era si batono abatali bamativu n&pos;embeera eriwo mu Babulooni era nga banoonya omusana ogusingako. Bannonya ekifaananyi kya Kristo mu makanisa mwe bali naye tebakiraba. Era amakanisa gano bwe ganeeyongerayo okuva ku mazima, ne geegattira ddala n’ensi, enjawulo yaakweraga bulungi wakati w’ebibiina ebibiri n’ekinavaamu kwe kwawukana. Ekiseera kya kutuuka abo abasukkulumya Katonda lwe baliba nga tebakyayinza kwegatta n’abo “abaagala amasanyu okusinga okwagala Katonda; nga balina ekifaananyi eky’okutya Katonda naye nga beegaana amaanyi gaakwo.” Kubikkulirwa 18 wasonga ku kiseera ekkanisa lw’erituuka mu bujjuvu ku mbeera eyalangibwa malayika ow’okubiri olw’okugaana obubaka bwa bamalayika abasatu obuli mu Kubikkulirwa 14: 6-12, era n’abantu ba Katonda abakyali mu Babulooni Iwe baliyitibwa okukifulumamu. Buno bwe bubaka obulisembayo okuweebwa eri ensi era obulikomekkereza omulimu. Abo “abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu” (2Abasessaloniika 2: 12), basindikirwe okukyamya okukola, olwo omusana ogw’amazima gulyoke gwakire abo bonna abalina emitima emyanjulukufu okwaniriza amazima, era abaana ba Katonda bonna abakyali mu Babulooni balyoke bawulire eddoboozi nti: “Mukifulumemu, abantu bange” (Kubikkulirwa 18:4). EE 251.1