Essuubi Eritaggwaawo

4/43

3 — Ebiro Eby&pos;ekizikiza

Mu bbaluwa ya Pawulo eyookubiri gye yawandiikira Abasessaloniika yalagula ku kukyama okuleka amazima okulibaawo olw’okuwaņņamya amaanyi g’Obwapaapa. Yagamba nti olunaku lwa Mukama waffe si Iwakutuuka “wabula ng’okwawukana kuli kulimala kubaawo, era ng’omuntu oli ow’okwonoona nga alimala okubikkulibwa, omwana w’okuzikirira; era eyegulumiza okusinga buli kintu kyona ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa n’okutuula n’atuula mu yeekaalu ya Katonda nga ye Katonda.” Omutume yeyongera okulabula abooluganda nti “ne kaakano EE 31.4

ekyama ky’obujeemu kikola.” 2Abasessaloniika 3:4,7. Newakubadde mu kiseera ekyo kyennyini yasobola okulaba obukyamu obwali buteekateeka ekkubo ly’okukula kw’Obwapaapa. EE 32.1

Ekyama ky’obujeemu kyasooka kukola mu kyama mpola mpola, amaanyi g’akyo bwe geeyongera ne kikola mu Iwatu, okutuusa Iwe kyatuukiriza obulimba bwakyo obw’obuwoozi. Empisa z’obukafiiri zayingizibwa mpola mpola mu kkanisa y’Abakristaayo. Omwoyo gw’okutabagana n’obunywevu gwali nga guziyizibwa okumala ekiseera olw’okuyigganya okw’obukambwe obukafiiri kwe bwayigganyamu ekkanisa. Naye okuyigganya bwe kwakoma, Obukristaayo ne butuuka mu bifo omusalirwa emisango, mu mbiri za bakabaka, awo we bwasuulira obuwombeefu bwa Kristo n’abatume, mu kifo kyabwo ne buteekamu ekitiibwa n’amalala ga bakabaka abakafiiri n’abafuzi; ne mu kifo ky’ebyo Katonda by’ayagala abantu be okukola ne bateekamu njigiriza na bulombolombo eby’abantu. Okukyuka kwa kabaka Konsitantino okufuuka Omukristaayo mu linnya kyokka kwaleeta essanyu ddenne mu kyasa ky&pos;emyaka ekyookuna, ensi neeyingira mu kkanisa ng’eyambadde ekyambalo eky’obutuukirivu. Okwonooneka ne kweyongera mangu nnyo. Obukafiiri obwali bulabika ng’obugenda okuwangulwa ne buwangula. Omwoyo gwabwo ne gufuga ekkanisa. Enjigiriza yabwo, n&pos;okusinza, n’obulombolombo ne biyingizibwa mu bagoberezi ba Kristo. EE 32.2

Okwegatta okwo nga Obukristaayo buleka ebimu nga n’obukafiiri buleka ebimu kwe kwavaamu okukulakulana “kw’omuntu oyo ow’okwonoona” eyalagulwako mu bunnabbi aziyiza era eyegulumiza okusinga Katonda. Mu kukulakulana kw’eddiini ey’obulimba, Setaani mwe yayita okukozesa obuyinza bwe okuteekawo ekijjukizo ky’okufuba kwe okwetuuza yekka ku ntebe ey’obwakabaka afuge ensi yonna nga bwayagala. EE 32.3

Setaani yali yafubako dda okwagala okuleetera Kristo endowooza y’okwekkiriranya. Yajja eri Omwana wa Katonda ng’ali mu ddungu okumukema, n’amulaga obwakabaka bwonna obw’ensi n’ekitiibwa kyabwo, n&pos;asuubiza bwonna okubumuwa singa amukkiriza nga ye mulangira era omufuzi w’omukizikiza. Kristo yanenya kalibujoozi oyo era n’amuwaliriza okumusegulira. Bwatyo Setaani ayanguyirwa nnyo bw’akema omuntu mu ngeri yeemu. Mu kufuna amagoba g’ensi n’ekitiibwa, ekkanisa yakulemberwa okunoonya okuyambibwa abantu abakulu ab’ensi, era olw’okugaana Kristo, yakulemberwa okugonderanga omubaka wa Setaani - omulabirizi w’e Luumi. EE 32.4

Emu ku njigiriza y’e Luumi y’eno: nti Paapa gwe mutwe gw’ekkanisa ya Kristo mu nsi yonna, eyaweebwa obuyinza ku balabirizi n’abasumba bonna mu bitundu byonna eby’ensi. Okwo nga kw’otadde obukulu bw’Obwakatonda bw’atalinaako buyinza. Ayitibwa “Mukama Katonda Paapa,” era yalangirirwa nga atasobya. Ayagala ye y’aba asinzibwa abantu bonna. Ekyo Setaani kye yali akayanira bwe yali mu ddungu ng’akema Yesu era n’ekkanisa y’e Luumi ky’ekayanira era enkuyanja y’abantu yeteseteese okumusinza. EE 32.5

Naye omulabe oyo bw’aleeta okusaba kwe okw’obukujuukujju, abatya Mukama bamuddamu nga Kristo bwe yamuddamu nti: “Osinzanga Mukama Katonda wo, gw’owerezanga yekka.” Lukka 4:8. Katonda talina we yali ayogereddeko mu Kigambo kye wonna nga yalondayo omuntu yenna okuba omukulembeze w’ekkanisa. EE 32.6

Era enjigiriza y’Obwapaapa eno ekontanira ddala n’enjigiriza y’ebyawandiikibwa. Papa tayinza kuba na buyinza ku kkanisa ya Kristo okujjako okubuwamba obuwambi. EE 33.1

Ekkanisa y’e Luumi ekirumiriza nti Abapolestanti be baawaba okuva ku mazima era ne beyawula okuva ku kkanisa ey’amazima. Naye ekyo si kituufu yo yennyini ye yawaba era n’esuula ebendera ya Kristo n’eva ku “kukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.” Yuda 3. EE 33.2

Setaani amanyi bulungi Ebyawandiikiba Ebitukuvu bwe biyinza okulaga abantu obulimba bwe n’okuziyiza obulimba bwe. Newakubadde Kristo yakozesa Kigambo okuziyiza obulimba bwe. Mu buli kulumba kwe yamulumbanga Kristo yakozesanga amazima agataggwaawo nti “Kyawandiikibwa.” Buli kigambo omulabe kye yaleetanga Kristo yakirwanyisanga na magezi era na maanyi ga Kigambo. Setaani okusobola okukuumira abantu mu buyinza bwe n’okunyweza obuyinza bwa Paapa, kyamusaanira kubakuumira mu butamanya Byawandiikibwa. Bayibuli egulumiza Katonda, omuntu n’emuteeka mu kifo kye ekimusaanira; olw’ensonga eyo amazima gassibwa wansi ne gakwekebwa. Kino kye kikolwa ekkanisa ya Luumi kye yakola. Abantu baamala emyaka bikumi na bikumi nga bagaaniddwa okubeera ne Bayibuli. Baagaanibwa okugisoma, newakubadde okubeera nayo mu mayumba gaabwe; abasosodooti abayawulanga ekituufu n’ekitali kituufu be bagisomanga, bo bokka balyoke bakakase ebyo by’eyogerako. Mu ngeri eyo Paapa n’ategeerwa nga musigire wa Katonda, kumpi ku nsi yonna, ne yeewa obuyinza ku kkanisa ne ku gavumenti. EE 33.3

Ekitabo ekiraga ensobi bwe kyamala okuggyibwawo, ne Setaani n’akola nga bw’ayagala. Obunnabbi bwategeeza nti Paapa “alirowooza okuwanyisa ebiseera n’amateeka.” Danieri 7:25. Omulimu guno tegwali mwangu mu kugezaako. Olw’okufuna abakyufu okuva mu bukafiiri n’okunyweza okukkiriza kwabwe okw’erinnya kyokka, okusinza ebifaananyi n’ebintu ebyasigalawo eby’abafu ne kuyingizibwa mpola mpola mu kkanisa y’Abakristaayo. O1uvannyuma olukiiko olunene lwakkiriza okusinzanga ebifaananyi nga Paapa bwe yalagira. Mu kutuukiriza omulimu gw’okwonoona Luumi yaggirawo ddala etteeka eryookubiri mu mateeka ga Katonda eriziyiza okusinzanga ebifaananyi, olw’okwagala okuweza omuwendo gwe gumu ogw’amateeka ekkumi ne baawulamu etteeka eryeekkumi ne muvaamu amateeka abiri. EE 33.4

Omwoyo gw’okwagala okwegatta ku bukafiiri gwaggulawo ekkubo ery’okwongera okubatwala ewala obutassaako mwoyo ku buyinza bwa Katonda. Setaani yakwata ne ku tteeka eryookuna n’aggyawo Ssabbiiti ey’edda, olunaku Katonda lwe yatukuza n’aluwa omukisa, mu kifo kyalwo ne muteekebwamu olunaku olwakuumibwanga abakafiiri, “olunaku olussibwamu ekitiibwa olw’enjuba.” Okujjulula okwo tekwasooka kugezesebwa mu Iwatu. Mu kyasa ky’emyaka ekyasooka, Ssabbiiti ya Katonda ye yali ekuumibwa Abakristaayo bonna. Baakwatirwanga nnyo obuggya obutassaamu Katonda kitiibwa, bo bakkirizanga nti amateeka ga Katonda tegajjulukuka, era ne bakuumanga obutukuvu bw’amateeka ago. Naye Setaani yakola n’amagezi ng’ayita mu babaka be n’atuukiriza ky’agenderera. Ebirowoozo by’abantu ne bikyamizibwa okudda ku Sande, olunaku olwalondebwa okujjukirirako okuzuukira kwa Kristo. Enkuŋŋaana z’eddiini ne zissibwawo ku lunaku olwo; nga lutwalibwa nga Iwe lunaku olw’okuwummula naye nga Ssabbiiti ya Katonda ng’ekyakuumibwa mu butukuvu bwayo. EE 33.5

Setaani ng’ateekateeka ekkubo ery’okutuukiriza omulimu gwe, yakulembera Abayudaaya Yesu nga tannajja omulundi gwe ogwasooka ne bateeka obukwakkulizo ku lunaku Iwa Ssabbiiti ne lufuuka omugugu mu kulukuuma nga lutukuvu. Kaakano ng’asinziira ku musana omukyamu abantu mwe baali balabira Ssabiiti, ne bagikyawa nga bagirowooza okuba ey’Abayudaaya. Ng’Abakristaayo beeyongera okukuuma olunaku lwa Sande ng’olunaku olw’emikolo egy’essannyu, bwatyo n’abakyayisa eddiini y&pos;ekiyudaaya ng’abalaga Ssabbiiti ng&pos;olunaku olw’okusiiba, olw’ennaku era olw’okunyiikaala. EE 34.1

Kabaka Konsintantini yayisa etteeka mu kyasa ekyookuna erifuula Sande okuba olunaku olw’okuwummula mu bwakabaka bwa Bulaaya bwonna. Sande ng’ekuumibwa abakafiiri abamukiririzaamu awamu n’Abakristaayo; era ng’eyo yali nkola ye okutabaganya obukafiiri n&pos;Obukristaayo obwali bulwanagana. Abalabirizi b’ekkanisa be baamuwaliriza nga bamusuubiza okumunywereza mu buyinza nga bakiraga nti Abakristaayo n’abakafiiri bwe bakuuma olunaku Iwe lumu, kijja kwanguyira abakafiiri okukkiriza obukkiriza Obukristaayo ekkanisa eryoke ekule mu kitiibwa ne mu maanyi. Naye newakubadde ng’Abagoberezi ba Kristo era abatya Katonda bangi baali basendebwasendebwa okujjukira Sande ng’olunaku olutukuvu,baasigala bakuuma Ssabiiti ng’olunaku Iwa Mukama olutukuvu nga bwekiri mu tteeka eryookuna. EE 34.2

Omulimba omukulu yali nga tannatuukiriza mulimu gwe. Yali ng’amaliridde okukuņijaanyiza Abakristaayo bonna wansi w’ebendera ye, n’akozesa obuyinza bwe ng’ayita mu musigire we, Paapa eyeeyita omusigire wa Kristo. Yayita mu balabirizi abaali tebakyukidde ddala bulungi okuleeta obukafiiri n’abantu abaagala ensi, n’atuukiriza ekigendererwa kye. Ne watekebwawo enkiiko ennene buli kiseera, abantu abakulu mu nsi yonna ne bayitibwa okukuņņaana. Mu buli lukiiko, Ssabbiiti ya Katonda n’egenda ng’eggyibwako ekitiibwa kyayo, Sande n’egenda nga yeyongera okugulumizibwa. Mu ngeri eyo, olunaku Iw’abakafiiri gye Iwawerwamu ekitiibwa Ssabbiiti ya Katonda n’eyitibwa ey’Abayudaaya n’okugikuuma ne kuyitibwa ekikolimo. EE 34.3

Bwatyo Setaani n’afuna omukisa mu kwegulumiza kwe “okusinga buli kintu kyonna ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa.” 2Abasessaloniika 2:4. Yayaņņanga okukyusa etteeka lya Katonda erimu lyokka eriraga omuntu ku Katonda ow’amazima era omulamu. Etteeka eryookuna lye liraga Katonda bwali Omutonzi w’eggulu n’ensi, era lye limwawula ku bakatonda bonna ab’obulimba. Olunaku olw’omusanvu Iwatukuzibwa omuntu awummulirengako era ajjuukirirengako omulimu gw’obutonzi. Lwateekebwawo Katonda omulamu okusinzibwa. Setaani olw’okungenderera okwononyesa abantu obuwulize bwabwe eri Katonda n&pos;okubajeemesa obutagondera mateeka ge: yassa amaanyi ku tteeka eryookuna eriraga Katonda nga ye Mutonzi. EE 34.4

Abapolostanti ennaku zino bagamba nti okuzuukira kwa Kristo ku lunaku olwa Sande nti kye kirufuula Ssabbiiti y’Abakristaayo. Naye ekyo tekiriiko bukakafu bwa Byawandiikibwa n’akatono. Kristo n’abatume tebawanga kitiibwa lunaku olwo. Sande mu Bukristaayo etandikira ku “kyama ky’obujeemu” ekyatandika okukola mu nnaku za Pawulo. 2Abasessaloniika 2:7. Mukama yetwalira ddi omwana ono Paapa era wa? Bukakafu ki obuyinza okuweebwa ku kujjulula obutaliiko buyinza bwa Byawandiikibwa? EE 34.5

Mu kyasa ky’emyaka ekyoomukaaga, Obwapaapa bwali nga bumaze okunywezebwa. Obuyinza bwe bwali nga bumaze okunywezebwa mu kibuga ky’obwakabaka n’omulabirizi w’e Luumi ng’alangiriddwa nti gwe mutwe gw’ekkanisa mu nsi yonna. Obukafiiri bwe bwateekateeka ekifo ky’Obwapaapa. Omusota gwe gwawa ensolo “amaanyi gaayo n’entebe ey’obwakabaka, n’obuyinza obungi.” Kubikkulirwa 13:2. Wano emyaka gy&pos;okuyigganya kw’Obwapaapa 1260 egyalagulwako mu bunnabbi bwa Danieri ne Kubikkulirwa ne giryoka gitandika. (Danieri 7:25; Kubikkulirwa 13:5-7). Abakristaayo ne balagirwa okulondawo okusinza ng’ebiragiro bya Paapa bwe biragira, oba okuteekebwa mu makomera amabi ennyo n’okubonyaabonyezebwa ennyo n’okuttibwanga nga bookebwa omuliro oba okutemwako emitwe. Ebigambo bya Yesu ne bituukirira nti: “Naye muliwebwayo abakadde bammwe, n’abooluganda, n’ekika, n’aboomukwano; n’abamu ku mmwe balibassa. Nammwe mulikyayibwa amawanga gonna olw’elinnya lyange.” Lukka 21:16,17. Okuyigganya abeesigwa kweyongera nnyo obubi okusinga ekiseera ekyali kiyise, ensi yonna yafuuka eddwaniro eddene. Ekkanisa ya Kristo n’emala emyaka bikumi na bikumi nga yekwese mu bifo eby’ekyama. Ekyo kye kyalagulwako mu bunnabbi nti, “N’omukazi n’adduka n’atuuka mu ddungu, gyeyalina ekifo ekyateekebwateekebwa Katonda, balyoke bamulisizenga eyo okumala ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga.” Kubikkulirwa 12:6. EE 35.1

Ekkanisa y’e Luumi okufuna obuyinza obwo ye yali entandikwa y’Ebiro Ebyekizikiza. Obuyinza bwayo bwe bweyongera, n’ekizikiza ne kyeyongera. Okukkiriza ne kukyuka okuva ku Kristo ne kudda ku Paapa w’e Luumi. Mu kifo ky’okwesiga Omwana wa Katonda okusonyiwa ebibi n’olw’obulokozi obw’emirembe n’emirembe, abantu badda mu kutunuulira Paapa na bakulembeze abalala beyawa obuyinza. Ne bayigirizibwa nti ye muwolereza waabwe, nti tewali ayinza kusemberera Katonda wabula ng’ayise mu Paapa ayimiriddewo gye bali mu kifo kya Katonda era nti oyo basaana okumugondera. Abaagaananga okukkiriza ebiragiro bye ne babonerezebwa n’ebibonerezo ebikambwe ennyo. Bwebityo, ebirowoozo by’abantu bwe byakyamizibwa okuva ku Katonda ne biraga ku bantu obuntu abakambwe, wewaawo okusingira ddala ku mulangira ow’ekizikiza eyakozesanga obuyinza bwe ng’ayita mu bo. Ekibi ne kyambazibwa ekyambalo eky’obutuukirivu. Ebyawandiikibwa bwe bikakkanyizibwa, omuntu ne yeegulumiza yekka, lulina kutunuulira bulimba kyokka n’obubi obuzikiriza. Okugulumiza amateeka g’abantu bulijjo kuvaamu obubi n’okukyawa amateeka ga Katonda. EE 35.2

Ekiseera ekyo kyali kya kabi eri ekkanisa ya Kristo. Abasituzi b’ebendera baali batono ddala abeesigwa. Newakubadde ng’amazima tegalekebwawo awatali bajulirwa, emirundi mingi obubi bwalabikanga ng’obugenda okuwangula, eddiini ey’amazima esangulibwewo ku nsi. Eddiini ey’amazima yali nga tekyalabika wabula mpisa buyisa nga ze zeyongedde obungi, abantu nga bazitoowereddwa ebikolwa ebikambwe. Tebayigirizibwa kutunuulira ku Paapa nga ye mukulembeze waabwe kyokka, naye bayigirizibwa n’okwesiga ebikolwa byabwe okutangirira omusango gw’ekibi. Okutambulanga eŋŋendo empanvu, ebikolwa eby’okwenenya ebyakolebwanga, ebijjukizo ebyaggibwanga ku bafu ng’amagumba g’abalukuvu n’ebirala olw’okuzimba ekkanisa, okukola obusanduuko omukuumirwa amagumba EE 35.3

g’abatukuvu, okuzimba ebifo ebiyitibwa ebitukuvu, n’okusasulanga emiwendo eminene egy’ensimbi eri ekkanisa, ebikolwa ebyo n’ebirala bingi ne bitwalibwa nga bye biyinza okukakkanya obusungu bwa Katonda abasanyukire; nga Katonda afanaanyizibwa ng’abantu abanakuwalira ebintu ebitaliimu nti obusungu bukakkanyizibwa olw’ebirabo oba ebikolwa eby’okwebonereza! EE 36.1

Newakubadde ng’obulimba obwo bwali bumaamidde ensi, bweyongera okusimba amakanda ne mu bakulembeze b’ekkanisa y&pos;e Luumi. Mu kyasa ky’emyaka ekyomunaana nga kinaatera okuggwaako, obwapaapa bwayingizaawo endowooza nti abalabirizi b’ekkanisa y’e Luumi baalina obuyinza obw’omwoyo bwe bumu nga n’obwo ekkanisa bwe yali erina mu kyasa ky’emyaka ekyasooka. Bwekityo, okusobola okunyweza obulimba obwo, kitaawe w’obulimba n’ayiyaawo enkola ey’okubunyweza. Abasasedooti ne bakyusakyusa ebiwandiiko ebyaliwo eby’edda. Enkiiko ezitaawulirwako mu byafaayo ne zigunjibwawo nga ziraga obufuzi bw’Obwapaapa okuva mu biseera ebyasooka. Era ekkanisa eyali ejeemedde okukkiriza amazima n’eyaniriza obulimba. EE 36.2

N’abazimbi abatono abasigalawo nga bazimba ku musingi ogw’amazima (lAbakkolinso 3:10,11) ne bamalibwamu amaanyi era ne beewunya kasasiro ono ow’enjigiriza ey’obulimba bw’aziyizaamu omulimu. Okufaanana n’abazimbi ba bbugwe wa Yerusaalemi mu nnaku za Nekemiya bwe baayogera nti “Amaanyi g’abo abeetikka emigugu gaweddewo, era waliwo ebisasiro bingi; nokiyinza ne tutayinza kuzimba bbugwe.” Nek. 4:10. Bangi abazimbi abaali abeesigwa nga bakoyesebbwa n’entalo ezitata ez’okuyigganyizibwa, obubbi, obwonoonefu bw’empisa na buli muziziko Setaani gwe yayinza okuteekawo okulemesa okufuba kwabwe, ne baggwamu omwoyo; era olw’okwagala okuwonya obulamu bwabwe n’okutaasa ebintu byabwe, ne bava ku musingi ogw’amazima. Abalala nga tebatidde balabe baabwe ne boogera mu buvumu nti: “Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow’entiisa.” Oluny. 14; ne bakola omulimu buli muntu ekitala kye nga kisibiddwa mu kiwato kye. Abaefeso 6:17. EE 36.3

Omwoyo gwe gumu ogw’obukyayi n’okuwakanya amazima gwe guzze gukozesa abalabe ba Katonda mu buli mulembe, era n’abaddu ba Katonda bwe kibagwanira okubeera nga batunula era nga beesigwa. Ebigambo bya Kristo we bituukirira wano eri abagoberezi be mu kiseera ekikomererayo nti: “Era kye mbagamba mmwe mbagamba bonna nti Mutunule.” Makko 13:37. EE 36.4

Ekizikiza kyeyongera okukwata. Okusinza ebifaananyi ne kweyongera okubuna wonna. Emisubbaawa ne gikoleezebwa ku bibumbe ne batandika okubisabira n’okubisinza. Obusamize obw’edda ne busituka buggya. Okulowooza kw’abantu ne kumalibwawo olw’obusamize nga tebakyalina na kuteesa. Nga kyangu okuteebereza obuvundu abantu bwe baali batuusemu abaanoonyanga okuluņņamizzibwa olw’obutamanya n’obwonoonefu bw’empisa okuva mu basasedooti n’abalabirizi abasanyukiranga amasanyu n’okwekkussa. EE 36.5

Obwapaapa bwayongera okwolesa obubi bwabwo mu kyasa ekyekkumi n’ekimu, Paapa Gregory VII bwe yalangirira nti ekkanisa y’e Luumi tewubwa. Mu byeyagamba mwe mwali ne kino nti ekkanisa y’e Luumi tewubwangako era teriwubwa okusinziira ku Byawandiikibwa. Naye ebigambo bye ebyo tebirina buwagizi bwa Byawandiikibwa. Omukulu w’eddiini ono ayongera okugamba nti EE 36.6

alina obuyinza okumaamulako bakabaka era n’alangirira nti tewali alina obuyinza okyusa ekiragiro kye, so ng’ate alina obuyinza okujjulula okuteesa kw’abala bonna. EE 37.1

Ekikolwa eky’obukambwe ekyasinga okukakasa obutawubwa bwe kyalabikira ku kabaka w’e Bugirimaani Henry IV. Olw’okusuubira nti ayinza okunyooma n’okujeemera ekiragiro kya Paapa, yagobwa mu kkanisa era n’ajjibwa ne ku bwakabaka. Yasalawo okunoonya okutabaganyizibwa ne Luumi, yenna ng’atidde olw’okugobwa kwe era n’abalangira awamu n&pos;abakungu okumukangakanga nga bawagirwa Obwapaapa. Yawerekerwako mukaziwe n&pos;abaddu be abeesigwa ne balinnya ensozi ze Alpsi mu biseera eby’empewo, asobole okwekakkanya mu maaso ga Paapa. Ng’atuuse mu lubiri Paapa mwe yali awummulidde olw’obutiti, n’alagirwa okuyingira mu luggya olw’ebweru nga tali na bakuumi be, ng’ali awo mu mpewo n’obutiti era nga talina ky’abisse ku mutwe wadde okwambaza ebigere mu bugoye obwangungu, n’alindirira ekiragiro kya Paapa okuyingizibwa mu nda. Papa yamusonyiwa nga wayiseewo ennaku satu oluvannyuma lw’okusaba n’okusiiba nga kw’ogasse n&pos;okwenenya. Naye era, yasonyiyirwa ku kakwakkulizo ng’alina okulindirira okutuusa nga Paapa amukkiriza okuddamu okuweereza nga kabaka. Bwatyo Gregory bwe yesukkulumya, ne yeetwala ng’alina obuyinza okujeemulura amalala ga bakabaka. EE 37.2

Nga waliwo enjawulo nnene nnyo wakati w’omu nnaddiini ono ajjudde amalala ne Kristo omuteefu era omuwombeefu, oyo eyegayirira nti ayimiridde ku luggi Iw’omutima akkirizibwe okuyingira, asobole okusonyiwa n’okuleeta emirembe, era eyayigiriza abayigirizwa nti “Nabuli ayagala okuba omukulu mu mmwe, anaabanga muddu wammwe.” Matayo 20:27. EE 37.3

Ensobi zeeyongera okugenda nga zizuuka mu njigiriza z’ekkanisa y’e Luumi okuyita mu byasa by’emyaka eggyaddirira. Newakubadde nga n’Obwapaapa nga tebunnaba kusituka, enjigiriza z’abamawanga zaali zitandise okutuna omwagaanya mu kkanisa. Era bangi abeyita abakyufu abaali bakyaguggubidde ku bulombolombo bw’abukafiiri, nga tebabukkiririzaamu kyokka, naye era nga babuyigiriza n’abalala mu kwagala okugaziya obwakabaka bwabwe. Ensobi ennene ddala ne ziyingizibwa mu kukkiriza. Nga muno mwe muli n’enjigiriza ey’omuntu obutafa n’asigala ng’ategeera mu magombe. Enjigiriza eno yeyatekawo omusingi ekkanisa y’e Luumi kwe yazimbira okwegayirira abatukuvu n’okusinza Biikira Mariya. Era muno mwasibukamu obulimba bwa geyeena okwokya abatenenya emirembe n’emirembe eyayingizibwa mu kukkiriza kw’ekeleziya. EE 37.4

Ekkubo eddala lyali nga litekeddwatekeddwa okuyingiza enjigiriza endala nate ey’obukaafiiri ekkanisa y’e Luumi gye yatuuma puligatoli, enjigiriza ekozesebwa okutiisa abantu bangi abatamanyi. Enjigiriza eyo enkyamu yayigiriza nga bwe waliwo ekifo eky’okubonyabonyerezaamu emyoyo gy’abantu abatanatuuka kufuna bulamu obutaggwaawo mwe bayita nga babonerezebwa olw’ebibi byabwe, mwe bava nga bamaze okulongoosebwa balyoke bakkirizibwe okuyingira mu ggulu. EE 37.5

Obulimba obulala bwali nga bukyetaagibwa okuyinzisa ekkanisa y’e Luumi okufuna amagoba mu kutya kw’abantu baayo ne mu bibi byabwe. Enjigiriza y’okusonyiwa ebibi n’eyigirizibwa. Okusonyiwa ebibi eby’ekiseera ekyayita, eby’ekiseera ekiriwo, n’ekiseera ekikyali mu maaso, omuntu okuwona obulumi n’okubonerezebwa, ebyandimutuuseeko ne bisuubizibwa bonna abanewandiisa EE 37.6

okulwanirira Paapa okugaziya obufuzi bwe, n’okubonereza abalabe be, n’okubonereza bonna abagaana okugondera obuyinza bwe mu bintu eby’omwoyo. Abantu ne bayigirizibwa nti bwe banasasula ensimbi mu kkanisa kinabaggyako ebibi byabwe era nti kinaalokolanga obulamu bwa mikwano gyabwe abafudde abali mu muliro nga babonaabona. Mu ngeri eyo ekkanisa y’e Luumi mwe yajjuliza amawanika gaayo, era mwe yanywereza ekitiibwa n’ekibi eby’abo ebegamba okuba abasigire b’Oyo atalina wa kussa mutwe gwe. EE 38.1

Embaga ya Mukama waffe eri mu Byawandiikibwa yaggibwawo, mu kifo kyayo ne muteekebwamu okusinza ekitiibwa obutiibwa - “mass.” Abasasedooti ne bagamba nti ebigambo byabwe bye boogera bye bikyusa omugaati okugufuulira ddala omubiri gwa Kristo era nti bifuula envinyo okuba omusaayi gwa Kristo yennyini. Mu bigambo byabwe ebyo eby’obuwoozi mwe boogerera olwatu nga bwe balina obuyinza “okutonda Omutonzi waabwe.” Abakristaayo bawalirizibwanga lwa mpaka ng’okufa kubalindiridde singa bagaana; bawalirizibwanga bakkirize mu lwatu obukyamu obwo obuwoola Omutonzi. Abagaananga bayokebwanga n’omuliro. EE 38.2

Obwapaapa bwayingizawo enkola ey’obulabe eyali ekyasinze okuba embi ennyo ey’okwekebejja omuntu ‘inquisition” mu kyasa ky’emyaka ekyekkumi ne ssatu. Omulangira w’ekizikiza yamaamira endowooza y’abakulembeze b’obwapaapa. Nga batudde mu nkiiko zaabwe ez’ekyama, Setaani awamu ne bamalayika be baayingira ne bafuga ebirowoozo by’abantu ababi, bo nga tebalaba kubeerawo kwa malayika wa Katonda eyali awandiika buli kuteesa kwabwe bwe baali bayisa amateeka ag’obukambwe obwali bugenda okutuusibwa ku bantu okutalabwangako. “Babulooni ekinene kyali kitamidde olw’omusaayi gw’abatukuvu.” Obukadde n’obukadde bw’abantu abattibwa omusaayi gwabwe ne gutuuka eri Katonda okuwoolera eggwanga eri obuyinza obwo obwabula. EE 38.3

Obwapaapa nga bufuuse kikoligo eri ensi. Bakabaka b’ensi nga bafukaamirira amateeka g’omulabirizi w’e Luumi. Nga yasalawo abantu gye balibeera obulamu bwabwe bwonna. Enjigiriza za Luumi ne zisaasanyizibwa era ne zikakatibwa ku bantu bonna okumala ebikumi n&pos;ebikumi by’emyaka, omuli obulombolombo n’emikolo egy’enjawulo. Abasasedooti nga bassibwamu nnyo ekitiibwa era nga balabirirwa okukira kabaka. Ekkanisa y’e Luumi tefunangako kitiibwa wadde obuyinza nga bwe yali mu kiseera ekyo. EE 38.4

Naye ettuntu eri obwapaapa, eri ensi yonna kyali kizikiza eky’ettumbi. Ebyawandiikibwa ebitukuvu byali kumpi obutamanyibwa, si bantu bokka naye n’Abasasedooti. Baakyawa omusana ogubikkula ebibi ng’abafalisaayo ab’edda bwe baakola. Amateeka ga Katonda eddaala ly’obutuukirivu bwe gaggyibwawo ne bakozesa obuyinza obusukkiridde n’okukola obubi nga tewali abakuba ku mukono. Obulimba, omululu gw’okufuna ebintu n’obukaba byali bingi. Abantu ne bakozesanga engeri embi ez’okufuniramu obugagga n’ebifo eby’ekitiibwa. Embiri za Paapa n’abakulembeze abalala mu kkanisa eyo byali bifo omwakolerwanga obubi obusingira ddala. Abamu ku balabirizi abo baajeemeranga abafuzi b’ensi abafubanga okuziyiza abalabirizi ababi nga tebasaana kuba balabirizi. Okumala emyaka bikumi na bikumi tewaali kweyongera mu kuyigirizibwa n’amagezi. Empisa n’amagezi mu bukristaayo byali nga binafuyizibbwa. EE 38.5

Embeera y’ensi wansi w’obufuge bwa Luumi ng’etuukiriza ebigambo bya nnabbi Koseya mu ngeri etiisa: “Abantu bange bazikiridde olw’okubulwa okumanya: . . . . .kubanga ogaanye okumanya, nange ndikugaana ggwe kubanga werabidde amateeka ga Katonda wo, nange ndyerabira abaana bo.” “Kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi. Tewali kintu wabula okulayira n’okumenya endagaano n’okutta n’okubba n’okwenda; bawaguza, n’omusaayi gukoma ku musaayi.” Koseya 4:6; 1,2. Ebyo bye byava mu kusuula Ekigambo kya Katonda. EE 39.1