Essuubi Eritaggwaawo

16/43

15 —Bayibuli N&pos;enkyukakyuka Za Bufalansa

Enkyukakyuka ezaaliwo mu kyasa ky’ekkumi n’omukaaga, ezaaleetera abantu okwesomera Bayibuli, zaali ziyayaanirwa kumpi mu buli nsi za Bulaaya zonna. Amawanga agamu gaazaaniriza n’essanyu lingi, ng’omubaka okuva mu ggulu. Ate mu bitundu ebirala obwapapa ne buwangulanga byakitalo mu kugiziyiza obutayingira; bwegutyo omusana ogw’okumanya Bayibuli awamu n’amaanyi gaayo ne gugalirwa gwonna ebweru. Mu nsi ezimu, newakubadde nga omusana gwayingiranga, tegwayinzanga kutegeerwa olw’ekizikiza ekingi. Amazima ne galwanagananga n’obulimba okumala ebyasa by’emyaka okufunako anawangula. Omubi n’awangula ku nkomerero ya byonna, amazima g’eggulu ne gasindiikirizibwa eri. “Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala ekizikiza okukira omusana.” Yokaana 3:19. Amawanga ne galekerwa okukungula bye galondawo okusiga. Omwoyo wa Katonda akwatirira n’aggibwa ku bantu abaasalawo okunyooma ekirabo eky’ekisa kya Katonda. Ekibi ne kikula. Ensi yonna n’eraba ebibala ebiva mu kugenderera okugaana omusana. EE 169.2

Olutalo olw’okulwanyisa Bayibuli olwali lukulungudde ebyasa by’emyaka mu Bufalansa lwatuuka ku ntikko yaalwo mu ebyo ebyali mu Nkukakyuka. Obusambattuko obwo bwasibuka ku Luumi olw’okuziyiza ebyawandiikibwa. Bwayoleka eri ensi enkola z’obwapapa mu kifaananyi ekitegerekeka obulungi - nga z’enjigiriza z’ekkanisa y’e Luumi z’ezze ng’eyigiriza. EE 169.3

Ebyawandiikibwa okuyizibwa mu kiseera obwapapa we bwafugira kwali kwalagulwako bannabbi; era ng’Omubikkuzi yamala dda okusonga ku katyabaga akalituuka naddala ku Bufalansa olw’okukkiriza okufugibwa “omuntu w’okwonoona.” EE 169.4

Malayika wa Mukama agamba: “N’ekibuga ekitukuvu balikirinnyirira emyezi amakumi ana mu ebiri. Nange ndibawa abajulirwa bange babiri, era baliragulira EE 169.5

ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu.... Era bwe baliba nga bamaze okutegeeza kwabwe, ensolo eva mu bunnya erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta. N’omulambo gwabwe guli mu luguudo lw’ekibuga ekinene ekiyitibwa, mu mwoyo Sodomu ne Misiri era Mukama waabwe mwe yakomererwa.... N’abo abatuula ku nsi balisanyuka ku lwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi. O1uvannyuma lw’ennaku ziri essatu n’ekitundu, Omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo, ne bayimirira ku bigere byabwe, okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.” Kubikkulirwa 11:2- 11. EE 170.1

Ekiseera ekyogerwako wano ekya “emyezi amakumi ana mu ebiri,” ne “ennaku olukumi mu bibiri mu nkaaga - kye kimu, era byombi bitegeeza ekiseera ekkanisa ya Kristo w’eribonyabonyezebwa Luumi. Emyaka 1260 egy’okufuga kw’obwapapa gy’atandika mu A.D. 538, era nga gyakukoma mu 1798. Era mu kiseera ekyo kyennyini amaggye ga Bufalansa gaalumba Luumi ne gawamba papa, era n’afiira mu buwaŋŋanguse. Newakubadde nga oluvannyuma papa omulala yalondebwa n’amusikira, obwapapa tebwaddamu kufuna maanyi ago ge bwalina mu kusooka. EE 170.2

Okuyigganyizibwa kw’ekkanisa tekwaliwo mu myaka gyonna 1260. Katonda mu kisa kye eri abantu be yasalako ennaku ezo ez’okugezesebwa. Yesu bwe yali alagula ku “kibonyoobonyo ekinene” eky’okutuuka ku kkanisa, Omulokozi yagamba nti: “Ennaku ezo singa tezaasalibwako, tewandirokose buli alina omubiri: naye olw’abalonde ennaku ezo zirisalibwako.” Matayo 24: 22. Era okuyiggannyizibwa ne kutuuka ku nkomerero yaakwo omwaka 1798 nga gunaatera okutuuka olw’enkyukakyuka ezaaliwo. EE 170.3

Nnabbi ayongera okutegeeza ku bajulirwa ababiri ng’agamba nti: “Abo gye mizeyituuni ebiri n’ettabaaza ebbiri eziyimirira mu maaso ga Mukama w’ensi.” “Ekigambo kyo,” omuwandiisi wa zabbuli agamba, “ye ttabaaza eri ebigere byange, n’omusana eri ekkubo lyange.” Kubikkulirwa 11:4; Zabbuli 119: 105. Abajulirwa ababiri bayimirirawo ku Iw’Endagaano Empya n’Enkadde. Zombi nkulu nnyo era ze zijulira entandikwa n’okubeerera kw’amateeka ga Katonda. Era ze zijulira entekateeka y’obulokozi. Ebifaananyi by’ebyo ebyalingawo mu Ndagaano Enkadde, saddaaka n’obunnabbi bwonna nga bisonga ku Mulokozi eyali ow’okujja. Ate Enjiri n’Ebbaluwa z’Abatume mu Ndagaano Empya, zo zoogera ku Mulokozi amaze okujja mu kifaananyi kyennyini nga bwekyogerwako mu bifaananyi n’obunnabbi. EE 170.4

“Era baliragulira ennaku lukumi mu bibiri mu nkaaga, nga bambadde ebibukutu.” Abajulirwa ba Katonda bano baamala emyaka egisinga obungi ku kiseena ekyo nga balagulira mu nkukutu. Obwapapa bwafuba nnyo okukweka ekigambo eky’amazima okuva ku bantu, ne buteekawo obujulirwa obw’obulimba okuwakanya obujulirwa obw’amazima. Bayibuli bwe yawerebwa obuyinza bw’ekkanisa y’e Luumi awamu n’abafuzi; Ebyawandiikibwa bwe byawanyisibwa, era Setaani n’omuntu bwe baagunjaawo byonna ebisoboka okuwubisa ebirowoozo by’abantu; era bonna abayaŋŋanganga okwogera ku mazima amatukuvu agagirimu bwe baayiggibwanga, ne balibwangamu enkwe, ne babonyabonyezebwanga, ne basibibwanga mu makomera ag’omu ttaka, ne battibwanga olw’okukkiriza kwabwe oba ne bawalirizibwa okuddukiranga ku nsozi awali obuddukiro, awamu ne mu mpuku ne mu bunnya - awo abajulirwa bano balaguliranga mu bibukutu. Kyokka baalagula EE 170.5

okumalako ekiseera kyonna eky’emyaka 1260. Waalingawo abantu abeesigwa abaayagala ennyo ekigambo kya Katonda era ne bakikwatirwanga obuggya olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. Abaddu bano ne baweebwanga amagezi, amaanyi n’obuyinza okutegeezanga amazima ge okuyita mu kiseera kino kyonna. EE 171.1

“Era omuntu yenna bw’ayagala okubakola obubi, omuliro guva mu kamwa kaabwe, ne gwokya abalabe baabwe: era omuntu yenna bw’ayagala okubakola obubi, bwe kityo kigwana ye okuttibwa” Kubikkulirwa 11:5. Abantu tebayinza kumala gatyoboola kigambo kya Katonda. Era amakulu ag’okulabula kuno okwentiisa galabikira mu ssuula esembayo ey’ekitabo kya Kubikkulirwa nga agamba nti: “Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby’obunnabbi obw’ekitabo kino nti ‘Omuntu yenna bw’ayongerangako ku byo, Katonda alyongerangako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino: era omuntu yenna bw’aggyangamu mu bigambo eby’ekitabo eky’obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Kubikkulirwa 22: 18, 19. EE 171.2

Okwo kwe kulabula Katonda kw’azze ng’awa abantu beekuume obutamala gawanyisa ebyo bye yayogera era bye yalagira. Era okulabula kuno kukwata ne ku abo bonna ababuzabuza abantu balyoke balengezze amateeka ga Katonda. Era kulina okulabula abo bonna abakiraba nga si kigambo kinene oba nga kibagwanira okuwulira amateeka ga Katonda oba nedda wakati mu kutya n’okukankana. Abo bonna abagulumiza endowooza zaabwe okusinga ekigambo kya Katonda, abo abawanyisa amakulu g’ebyawandiikibwa okutuukana ne bye beeyagaliza, oba olw’okwefaanaanyiriza n’ensi, beeyambika obuvunaanyizibwa bwe batayinza kwetikka. Ekigambo kya Katonda ekiwandiike, awamu n’amateeka ga Katonda, bye birigera buli muntu era bisalize bonna omusango abalisangibwa nga tebatuuka mu kigezo kino. EE 171.3

“Era bwe baliba nga bamaze [nga bamaliriza] okutegeeza kwabwe.” Ekiseera abajulirwa ababiri kye baalina okulaguliramu nga bambadde ebibukutu, kyakoma mu mwaka 1798. Era bwe baali basemberera enkomerero y’omulimu gwabwe nga balagulira mu nkukutu, ne wasitukawo olutalo okuva mu buyinza obwogerwako wano nga “ensolo eva mu bunnya obutakoma.” Obuyinza obwafuganga mu kkanisa era ne munsi nnyingi eza Bulaaya, nga bukolera wansi wa Setaani okuyita mu bwapapa. Naye kaakano wano nga bulabikira mu ngeri ey’enjawulo okuyita mu maanyi ga Setaani. EE 171.4

Yali nkola ya Luumi ng’erowoozesa abantu nti essaamu Bayibuli ekitiibwa n’egikuuma ng’esibiddwa mu lulimi olutamanyiddwa era n’ekwekebwa okuva ku bantu. Era abajulirwa ne “balaguliranga mu bibukutu” olw’obufuzi bwa Luumi. Naye obuyinza obulala - ensolo eyava mu bunnya obutakoma - nga bulina okusitukawo, nga bumaliridde okulwanyisa ekigambo kya Katonda mu lwatu. EE 171.5

“Ekibuga ekinene” omwattirwa abajulizi era omuli emirambo gyabwe nga gigudde ku nguudo, kye kiyitibwa “Misiri” mu mwoyo. Mu mawanga gonna agali ku nsi, Misiri yasituka mu Iwatu n’egaana okubeerawo kwa Katonda omulamu, era n’ejeemera ebiragiro bye. Tewali bwakabaka bwali buvuddeyo mu lwatu ne buwakanya era ne bulwana n’obuyinza bw’eggulu okusinga kabaka w’e Misiri. Musa bwe yamuleetera obubaka mu linnya lya Mukama, Falaawo yamwanukula nga yenna EE 171.6

ajjudde amalala nti: “Yakuwa ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Yisiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Yisiraeri.” Kuva 5: 2. Buno bwe bukaafiri bwennyini, era n’eggwanga eriyimiriddewo mu kifaananyi kya Misiri lyakwogera mu ddoboozi lye limu mu kujeemera Katonda era lirabikiremu omwoyo gw’obutakkiriza n’obunyoomi. Era “ekibuga ekinene” kigerageranyizibwa, mu “mwoyo,” ne Sodoma. Obwonoonefu bwa Sodoma mu kumenya amateeka ga Katonda, bwalabikira mu bugwenyufu obwali mu kyo. Era n’ekibi kino nakyo nga kya kweyolekera nnyo mu ggwanga lino eryali ery’okutuukiriza ebyogerwa mu kyawandiikibwa kino. EE 172.1

Kaakano, okusinziira ku bigambo bya nnabbi, kitegeeza nti ng’omwaka 1798 gunaatera okutuuka, waali wakusitukawo amaanyi n’obuyinza bwa Setaani obw’okulwanyisa Bayibuli. Era nga ne mu nsi abajulirwa ba Katonda ababiri ab’okuwa obujulirwa mwe baali ab’okugaanirwa okwogera, obukaafiiri ng’obwa Falaawo mwe bwalina okweyolekera awamu n’obugwenyufu bwa Sodoma. EE 172.2

Obunnabbi buno bwatuukirira mu ngeri eyewuunyisa okuyita mu byafaayo bya Bufalansa. Okuyita mu Nkyukakyuka ezaaliwo mu 1798, “ensi yawuniikirira bwe yawulira omulundi gw’ayo ogusooka ng’olukiiko lw’eggwanga omuli abantu abazaalibwa ne bayigirizibwa ku mulembe omugunjufu, era nga baaweebwa obuyinza okukulembera erimu ku ggwanga erisinga mu mawanga ga Bulaaya, ne boogera n’eddoboozi limu okugaana amazima ag’omuwendo agaaweebwa omuntu, bonna ne bagaanira wamu awatali kwekutulamu okukkiriza n’okusinza Katonda.” Sir Walter Scott, Life of Napoleon, vol. I, ch. 17. “Bufalansa lye ggwanga lyokka mu nsi erikyalina ebyafaayo ebikakasibwa, nga lyagolola omukono gwalyo okulwanyisa Omutandisi era Omutonzi w’ensi. Waliwo abantu bangi abawoozi, abakaafiiri bangi, babaddewo era bakyayongera okubaawo, mu Bungereza, mu Bugirimaani, mu Sipeyini n’awalala wangi; naye Bufalansa tewannabaawo amwenkana okuyita mu byafaayo by’ensi yonna, nga lye ggwanga lyokka eryalagira okuyita mu Lukiiko Olukulu olw’eggwanga, ne lirangirira nti Katonda taliiyo, era nga n’abantu bonna abali mu bibuga era n’abalala bangi mu bitundu ebirala, omuli abakyala era n’abaami, ne bazina nga bwe bayimba wakati mu ssanyu nga baaniriza ekirangiriro.” - Blackwood’s Magazine, November, 1870. EE 172.3

Mu Bufalansa mwalabikiramu n’engeri endala eyenjawulo era eyali ne mu Sodoma. Mu kiseera enkyukakyuka we zaabeererawo, ensi yali yaggwamu empisa nga n’obwonoonefu bulinnye ng’obwo obwazikirizisa ebibuga ebyali mu lusenyi. Tusoma ku muwandiisi w’ebyafaayo era n’atulaga obukaafiiri awamu n’obugwenyufu ebyali mu Bufalansa ddala nga bwe byogerwa mu bunnabbi: “Amateeka ge baakola naye nga gakosa Obukristaayo, mwe mwali n’ago agatyoboola ekitiibwa ky’obufumbo - obufumbo obwatukuzibwa nga buweebwa omuntu, era nga bwe bunyweza olulyo lw’omuntu - ne bufuulibwa obw’okukuuma obukuumi endaaano ezaateekebwa abafuzi eziggwaawo amangu, ababiri ze bayinza okuteekako emikono naye ne baziyuzaamu we baagalidde.... Oba nga ababi bayinza okugunja n’okuteeka amateeka agayinza okuzikiriza buli kyonna ekiweebwa ekitiibwa, ekisanyusa amaaso, oba okuzikiriza obufumbo obubaddewo ebbanga lyonna nga bakimanyidde ddala nti bwe bwonoonebwa, kubanga ekyo kye baali baagala amateeka ago gagende nga gasikirwa buli mulembe oguddawo, babeera tebakomye mu kugunjaawo ntekateeka esingako mu kutyobooola bufumbo kyokka.... Sophie Amoult kazanyirizi EE 172.4

w’ebigambo kyava abwogerako nga ‘essakalamentu y’obwenzi.’” - Scott, vol. 1, ch.17. EE 173.1

“Era Mukama waabwe mwe yakomererwa.” Era n’obunnabbi buno Bufalansa yabutuukiriza. Teri nsi ndala yonna omwali mweyolekedde omwoyo gw’obukyayi eri Kristo okwenkana Bufalansa. Teri nsi yonna amazima gye gaasinga kuwakanyizibwa mu ngeri ey’obukambwe okufaanana Bufalansa. Mazima Bufalansa yakomerera Kristo okuyita mu bayigiriizwa be bwe yayigganya buli yenna ayatula amazima g’enjiri. EE 173.2

Omusaayi gw’abatukuvu ne guyiikanga mu buli kyasa kya myaka. Abagoberezi ba Waldensi ng’eno bwe bagenda battibwa eyo waggulu ku nsozi ze Piedmont “olw’ekigambo kya Katonda era n’okutegeeza kwa Yesu Kristo,” ne baganda baabwe abalala abamanyiddwa nga Albigenses okuva e Bufalansa ne battibwanga olw’amazima. Abayigirizwa ba Albigenses battibwanga mu bukambwe obutayogerekeka mu biseera Bufalansa we yabeerera mu Nkyukakyuka z’ebyobufuzi. Kabaka n’abakungu, abalangira n’abambejja, abagabe ne babinojjo mu ggwanga, ne basanyusanga amaaso gaabwe nga balaba abajulirwa ba Kristo battibwa nga babonaabona. Mu abo abattibwa ennyo mwe mwali n’abazira ba Huguenots abaalwana entalo enzibu ddala olw’okulwanirira eddembe lyabwe ery’obuntu erisinga okwetaagibwa omuntu yenna. Abapulotestanti ne batwalibwanga ng’abamenyi b’amateeka, era ne bateekebwako omuwendo buli anaaleetanga omutwe gwabwe, awo ne balyoka bayiggibwanga ng’ensolo z’omunsiko. EE 173.3

“Ekkanisa mu ddungu,” b’ebo abaawonawo nga babulubuutira mu Bufalansa, nga bwe bagenda bekweka mu nsozi z’omu bukiika ddyo eyo mu kyasa ky’ekkumi n’omunaana naye nga bakyanywezezza okukkiriza kwa bakitaabwe. Bwe bagezangako basisinkane okuyita mu budde obw’ekiro oba eyo ku ttale mu malungu ne bakwatibwanga abaserikale abaabatwalanga mu buddu obw’olubeerera okugolomolanga ebyombo. Abantu abagezi, era abayivu mu Bufalansa ne basibwanga mu njegere, ne babonyabonyezebwanga byakitalo, wakati mu banyazi n’abatemu. (Laba Wylie, b. 22, ch. 6.) Abalala ne babakwatirwanga ekisa bwe baabattanga nga batugiddwa, naye nga bo tebalina kyakulwanyisa kyonna wadde okusobola okweyamba, wabula okufukamira ku maviivi gaabwe ne basaba. Emirambo gy’abantu abakuze mu myaka, abakyala awamu n’abaana abatalina musango bikumi na bikumi ne gisigalanga mu bifo we battiddwa eyo gye baakuŋŋaaniranga. Bwe wabanga otambula eyo ku nsozi oba mu bibira, gye baakuŋŋaaniranga ng’empisa yaabwe bwe yali, nga tekikwewunyisa okusanga “emirambo egibikkiddwa ebisubi kumpi mu bikifo ebina ekifo kimu, oba okusanga emirambo egirengejja waggulu ku miti.” Ensi yattisa abantu n’ekitala, embazzi, oba okubookya n’omuliro, era “ensi yonna n’efuuka amatongo ageetadde.” Ebikolobero bino byakkirizibwa mu mateeka... naye si mu kiseera eky’ekizikiza, wabula mu mulembe omututumufu ogwa kabaka Louis XIV. Amagezi ag’ekikugu nga gamaze okuvumbulwa, okuwandiika nga kubunye wonna, abantu nga bayize amateeka agafuga era agaweebwa ekitiibwa.” - Ibid., b. 22, ch. 7. EE 173.4

Naye ekikolobero ekyasinga okuba nga kye kisinga mu byonna ebyali bikoleddwa omulabe mu nsi ezikyasinze okuba embi, lwe lwo Iwe baatugumbula St. Bartholomew. Ensi ekyajjukira entiisa ennene eyaliwo mu kikolwa eky’obukabwe EE 173.5

ennyo ekyakolebwa so nga kyali kyabunafu ddala. Abalabirizi b’ekkanisa y’e Luumi baasaakiriza Kabaka wa Bufalansa akkirize mu butongole ekittabantu, ekikolwa naye kye yakkiriza. Era okuvuga kw’ekide ku ssaawa mukaaga ogw’ekiro, ke kaali akabonero ak’essaawa endagaane. Abapulotestanti nkumi na nkumi bambi abaali beebase mu mayumba gaabwe mu budde obw’ekiro, nga beesigulidde ku kabaka waabwe eyalayira okubakuuma, ne bakwatibwa awatali kubalabula nga bwe babatugumbula. EE 174.1

Nga Kristo bwe yali omukulembeze w’abantu be atalabika na maaso nga bava mu bunyage e Misiri, ne Setaani bwe yali eri abantu be nga bakola omulimu guno omukambwe ennyo ogw’ekittabantu. Ekittabantu kyakulungula ennaku musanvu mu kibuga Paris, naye ennaku essatu ezasooka nga tekikkirizika. Ekiragiro kya kabaka nga tekikoma mu kibuga kyokka, wabula nga kituuka ne mu byalo awamu ne mu bubuga obutonotono kavuna wabeerayo Abapulotestanti. Nga tebataliza myaka wadde ekikula. Nga ssi mwana muwere oba omukadde alina envi awonawo. Abakungu n’abawejjere, abakulu n’abato, ba maama wamu n’abaana, bonna ne battirwanga wamu. Obutemu ne bukulungula emyezi ebiri wonna mu Bufalansa. Abantu abawera emitwalo musanvu, abantu ab’obuvunaanyiibwa ne bazikirira. EE 174.2

“Amawulire ag’ekitta bantu nga gatuuse e Luumi, abalabirizi ne basanyuka byakitalo. Kaliddinaali w’e Loraine n’ayozayoza omubaka eyaleeta amawulire bwe yamutikkira engule lukumi lulamba; ate ye kanoni w’e St. Angelo n&pos;amwebaza nnyo nnyini; ebide ne bivuga wonna; obudde obwali obw’enzikiza ne bwakayakana olw’ebyoto ebyakumwa nga bajaguza; ne kabaka Gregory XIII, nga yeetolooddwa ba kaliddinaali awamu n’abakungu b’ekeleziya, ne basimba ennyiriri okugenda mu ekeleziya ya St. Louis, kaliddinaali w’e Lorraine n’atendereza nga bw’ayimba Te Deum Ne bateekawo omudaali okujjukiranga ekittabantu ekyo, era ne mu kibuga Vatican oyinza okulaba ebifaananyi ebisiige bisatu ebyasiigibwa Vasari, nga biraga abalumbaganyi, kabaka ng’atudde mu lukiiko batekateeka ekittabantu n’ekittabantu kyennyini. Kabaka Gregory yaweereza munne Charles ebimuli ebya zaabu; era nga wayise emyezi ena oluwannyuma lw’ekittabantu,... n’atuula okuwuliriza obubaka ng’omusasedooti Omufalansa abuulira,... ng’ayogera ku ‘olunaku olwo nga bwe Iwali olw’essanyu ennyo, kitaffe omutukuvu ennyo bwe yafuna obubaka obwamusanyusa era ne yeebaza Katonda awamu ne Louis omutuukirwu.’” - Henry White, The Masacre of St Bartholomew, ch. 14, par. 34. EE 174.3

Mu mwoyo ogwagobererwa mu kittabantu ekya St. Bartholomew, era mwasitukamu n’endowooza z’okuteekawo enkyukakyuka. Yesu Kristo yayogerwako nga eyeeyita kyatali, so nga n’abakafiiri Abafalansa baawoggananga nti, “Musambirire abanaku abo,” amakulu nti Kristo. Okuwoola Katonda awamu n’obugwenyufu anti bitambulira wamu, nga kwotadde n’agayisa agavundu, ebikolwa eby’obukambwe, byonna ebyo nga bye bisinga okusanyukirwa. Era mu bino byonna, ng’abantu bagulumiza Setaani; ate nga Kristo amanyiddwa ng’ow’amazima, omutukuvu era ateerowoozaako ng&pos;akomererwa. EE 174.4

“Ensolo eva mu bunnya obutakoma erirwana nabo, era eribawangula, era eribatta.” Obuyinza obw’obukafiiri obwafuganga mu Bufalansa mu biseera by’enkyukakyuka n’Obufuzi Obwentiisa, bwatanula olutalo eri Katonda n’ekigambo kye ekitukuvu ensi Iweterabangako. Olukiiko lw’Eggwanga lwawera okuddamu okusinza EE 174.5

Katonda. Bayibuli ne zikuŋŋaanyizibwa era ne zookebwa mu Iwatu nga kwotadde n’okuzijerega. Amateeka ga Katonda ne galinnyirirwa. Amasomero agayigiriza Bayibuli ne gawerebwa. Olunaku olw’okusinza mu nnaku omusanvu ne luggibwawo, mu kifo kyalwo ne bazzaawo olunaku olw’ekkumi okuba olunaku Iw’okuwoolerako. Ne bawera Okubatiza n’Okusembera ku mmeeza ya Mukama waflfe. Ne batimbanga ebiwandiiko ku ntaana z’abafu ebisikiriza okusoma nga bitegeeza nti okufa kwebaka emirembe gyonna. EE 175.1

Okutya Mukama okwayogerwanga nti ye nsibuko y’amagezi, kaakano ye yali ensibuko y’obutamanya. Okusinza Katonda okw’engeri yonna kwawerebwa ng’ogyeko omuntu okweyisa nga bw’alaba n’okusinza ensi ye. “Omulabirizi amanyiddwa ow’ekibuga Paris ye yakulemberamu mu katemba ono ow’okuvumirira ng’akolebwa wakati mu bakiise b’eggwanga.... Yajja nga yenna ali mu byambalo bye eby’obulabirizi, ategeeze Olukiiko mu lujjudde nti eddiini bulijjo gy’abadde ayigiriza okumala emyaka, yali katemba mwereere atalinaako musingi gwonna mu byafaayo oba mu mazima agassibwamu ekitiibwa. Yasambajja mu bigambo ebitegerekeka obulungi okubeerawo kwa Katonda gwe yayawulirwa akulembere abantu okumusinza, bwatyo n’asalawo asigale ng’asinza nga bw’ayagala, ng’afaayo ku balala, okukola obulungi n’okweyisa obulungi. Kyeyava yeyambulamu ebyambalo bye ebyobulabirizi n’abiteeka ku mmeeza, n’ayanirizibwa mu kitiibwa Omukulu w’olukiiko, kaakano nga bwe bassa ckimu. N’abasasedooti abalala bangi abaagwa ne bagoberera nga bakola ekintu kye kimu”-Scott, vol. 1,ch. 17. EE 175.2

ktN’abo abatuula ku nsi balisanyuka ku Iwabwe, ne bajaguza; era baliweerezagana ebirabo; kubanga bannabbi abo ababiri baabonyaabonya abatuula ku nsi.” Bufalansa enkafiiri yakoma ku ddoboozi ly’abajulirwa ba Katonda eribuulirira. Ekigambo eky’amazima nga kiri mu nguudo z’ekibuga kifudde, era n’abo bonna abakyawa amateeka ga Katonda olw’ebyo bye gawaliriza okukola n’okuziyiza ne basanyuka byakitalo. Abantu ne bajeemera Kabaka ow’eggulu mu lujjudde. Ne bafaanana n’abonoonyi ab&pos;edda, “aboogera nti Katonda amanya alya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?” Zabbuli 73: II. EE 175.3

Omusasedooti omu ow’endowooza eno kaakano empya yayogera obuwoozo obw’ekika ekyawaggulu obutayinza kukkirizika bwe yagamba nti: “Ddala Katonda bw’oba gy’oli, walana eggwanga ku boonoonye erinnya lyo. Nze nkuwakanya! Osirise; Ogaanyi okuwulikika mu ddoboozi eribwatuka. Olwo ani anaakukkiririzaamu?” - Lacretelle, History, vol. 11, p. 309; ne mu kitabo kya Sir Archibald Alison, History of Europe, vol. 1, ch. 10. Ebigambo nga bifaananira ddala n’ebya Falaawo bwe yagamba nti: “Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye?” “Simanyi nze Mukama!” EE 175.4

“Omusirusiru ayogedde mu mutima gwe nti siwali Katonda.” Zabbuli 14: 1. Era Mukama ayogera ku bakyamya amazima nti: “Obusirusiru bwabwe bulitegeererwa ddala abantu bonna. 2Timoseewo 3: 9. Bufalansa bwe yajjawo okusinza Katonda omulamu, “atuula waggulu ennyo era abeerera emirembe gyonna,” yali abuzaayo akaseera katono ddala okugwa mu nnyanga y’obusamize, nga basinza Katonda ow’Okulowooza mu kifaananyi ky’omukazi atalina mpisa. Era nga kino kyalabikira mu lukiiko Iw’eggwanga olukulu ne mu buyinza obwa waggulu obufuga era obukola amateeka! Munnabyafaayo agamba nti: “Emu ku ngeri obwonoonefu buno gye EE 175.5

bweyolesaamu mu kiseera ekyo, bwe bugwenyufu nga bwetabudde wamu n’ebikolwa eby’obutassaamu Katonda kitiibwa. Amakanisa gaafuuka ebifo omukubirwa endongo, ne kugobererwa abakulembeze b’ekibuga nga bayingira mu bifo ebyo nga beewoombese nga bwe bayimba ennyimba ezitendereza eddembe lyabwe, era ne bagobererwa ekifaananyi ky’omukazi nga kibikkiddwako, kye baayita Katonda w’Okulowooza. Nga kiyingiziddwa mu nda, ne bakola omukolo ogw’okukibikkula mu kitiibwa, nga kituuziddwa ku mukono ogwa ddyo ogw’omukulembeze w’eggwanga, era ne kisibwamu ekitiibwa ng’omuwala akulembedde amazina.... Olukiiko olukulu olw’eggwanga lya Bufalansa, ne lussa ekitiibwa mu kifaananyi kino ekisinzibwa nti kyekisaanidde okubakiikirira mu kulowooza. EE 176.1

“Obuwoozi n’obusirusiru buno bwakolebwa mu ngeri eyamagezi; era okutuuzibwa kwa Katonda w’Okulowooza ne kuzibwa buggya wonna mu ggwanga nga bagoberera enkola emu eri abo bonna abaayagala okweraga nga basiima enkyukakyuka.”- Scott, vol. l,ch. 17. EE 176.2

Omwogezi eyavumbula ensinza y’Okulowooza yagamba nti: “Bassebo abakozi b’amateeka! Akajanja kamazeewo okulowooza. Ekifu ekikutte ku maaso g’akwo tegakayinsiza kulaba newakubadde mu budde obw’ettuntu. Leero enkuyanja y’abantu esibiddwa mu butamanya, mu kusooka bwe twalowooza nti mu bwo mulimu amazima. Kaakano Abafalansa bayinza okujaganya mu kusinza okwamazima, - okusinza nga bwe baagala, era nga bwe balowooza. Mu kwo tutaddemu ebiyinza okuleetera eggwanga obugagga. Era tujjeemu ebireetera abantu okwebaka, nga tuteekamu ekifaananyi ekiramu, ekifaananyi ky’obutonde.” - M. A. Thiers, History of the French Revolution, vol. 2, pp. 370,371. EE 176.3

Ekibumbe kya Katonda omukazi nga kituusiddwa mu Lukiiko, omwogezi n’akikwata ku mukono n’akikyusa okutunuulira abakiise n’agamba nti: “Bantu bannange, mulekeraawo okukankanira amaanyi ga Katonda omutali agayingidde mu mitima gyammwe. Era okuva na leero temubanga na baKatonda balala wabula Katonda w’Okulowooza. Mbasingira ekifaananyi ekisibwamu ennyo ekitiibwa. Era oba nga mulina saddaaka okuwaayo muziweeyo eri kino.... Muvuunamire Olukiiko Olukulu ku lw’Eddembe, Ayi Amagezi!” EE 176.4

“O1uvannyuma ng’omukulembeze w’eggwanga amaze okunywegera Katonda omukazi, ne balinnyisa ekibumbe ku mmotoka entimbe, ne bakivuga, wakati mu nnamungi w’omuntu, okukituusa mu lutikko y’e Notre Dame, kisikire Katonda ow’omu ggulu. Kyalinnyisibwa ku kituuti ekiwanvu ddala, abantu bonna abaliwo bakisinze.” Alison, vol. 1, ch. 10. EE 176.5

Kino kyaddirirwa okwokya Bayibuli mu kikungo, nga tewannayita na banga ddene. Olumu omuntu omu ow’ekibiina ekiyitibwa Popular Society of Museum, yayingira mu kisenge omuteesezebwa nga bw’ayogerera waggulu nti, Vive la Raison! Nga bw’asibye ku lumuli oluwanvu ebitundutundu by’ebitabo ebyokeddwako omuliro omwali ebitabo by’okusaba n’ennyimba awamu ne Bayibuli Endagaano Enkadde n’Empya, “ebyagendera mu muliro omungi,” omukulembeze n’ayogera nti, “Mulabe ebikolwa ebitaliimu bye bakozesezza abantu.” - Joumal of Paris, 1793. No. 318. Quoted in Buchez-Roux, Collection of Parliamentary History, vol. 30, pp. 200, 201. EE 176.6

Obwapapa bwe bwatandika omulimu kaakano ogumalirizibwa obukaafiiri. Era enkola za Luumi ze zaaleetera abantu okweyisa mu ngeri y’ensolo mu by’obufuzi EE 176.7

awamu ne mu ddiini, ebyali bitwala Bufalansa mu kuzikirira okwamangu. Abawandiisi nga boogera ku ntiisa ezaali mu Nkyukakyuka, bagamba nti obwakabaka awamu n’ekkanisa y’e Luumi be bavunaanyizibwa ku buzibu buno. Naye ate okusinga bonna ekkanisa y’evunaanyizibwa. Obwapapa bwe bwawugula bakabaka okuva mu ntekateeka y’okuzza obuggya ekkanisa, nga bagamba nti entekateeka eyo yabulabe eri obwakabaka, era ereetera abantu obutakkaanya obuyinza okutabulatabula emirembe gy’eggwanga. Baali bakagezimunnyu ba Luumi abaakozesa enkola eyo ey’entiisa n&pos;obukambwe era ennyigiriza okuyita mu bwakabaka. EE 177.1

Omwoyo gw’okusinza omuntu nga bw&pos;ayagala nga gwagazisizza abantu Bayibuli. Nga buli enjiri w’etuuka abantu bagyaniiriza n’essanyu, cbirowoozo byabwe ne bizuukusibwa. Ne batandika n&pos;okweyambula ebikoligo ebyali bibasibidde mu buddu bw’obutamanya ne mu gayisa agavundu awamu n’obusamize. Ne batandika okwerowooleza n&pos;okweyisa ng&pos;abantu. Obwakabaka ne butandika okutya olw&pos;enkozesa embi ey&pos;obuyinza bwabwo. EE 177.2

Luumi yali teyeebase okujwetekawo okutya kwe yalina. Papa yagamba omukuza w&pos;obwakabaka bwa Bufalansa mu 1525 nti: “Obupulotestanti tebugenda mu kukoma kwonoona bwonoonyi awamu n&pos;okuzikiriza eddiini, naye era bwakuzikiriza n’abafuzi, abakungu, amateeka, n’obuluŋŋamu.” - G. de Felice, History of thc Protestants of France, b. 1, ch. 2, par. 8. Oluwannyuma nga wayiseewo emyaka si mingi, omubaka wa papa n’alabula kabaka nti: “Ayi kabaka, tolimbibwanga. Obupulotestanti bwakusaanyawo obukulembeze bwonna awamu n&pos;obw’eddiini.... Nnamulondo cri mu katyabaga awamu n&pos;ekkanisa.... Eddiini empya okutandikawo kitegeeza kuteekawo bufuzi bulala.” - D&pos;Aubigne, History of the Reformation in Europe in thc Time of Calvin, b. 2, ch. 36. Bannaddiini baaweerera abantu okukyawa enjigiriza y&pos;Obupulotestanti bagambe nti, “ejja abantu ku ddiini emanyiddwa okubatwala mu butalowooza; kabaka emujjako abantu be ababadde bamukkiririzaamu era esanyaawo ekkanisa awamu n&pos;eggwanga.” Bwetyo Luumi bweyatwala omwoyo gwa Bufalansa balwanyise okuzza obuggya ekkanisa. ‘‘Kwali kunyweza nnamulondo, abakungu obutasagasagana n&pos;okukuuma amateeka, olwo ekitala ky’okuyigganya ne kiggibwayo mu kiraato kyakyo omulundi ogwasooka mu Bufalansa.” - Wylie, b. 13, ch. 4. EE 177.3

Abakulembeze tebaayinza kutegeererawo biki ebiyinza okuva mu nkola zino ez’obulabe. Enjigiriza ya Bayibuli ye yokka eyandiyinzizza okunyweza mu birowoozo ne mu mitima gy&pos;abantu amateeka ag’obwenkanya, obwegendereza, amazima, n&pos;okulumirwagana, enkulakulana y&pos;eggwanga kw’esobola okuzimbirua. “Obutuukirivu bugulumiza eggwanga.” Nabwekityo “bwe bunyweza entebe.” Engero 14: 34; 16: 12. “Omulimu gw&pos;obutuukirivu guliba mirembe;” n&pos;ebivaamu “kwe kutereera n’okwesiganga ennaku zonna.” Isaaya 32: 17. Omuntu yenna agondera amateeka ga Katonda, mazima ateekwa okuwulira n’amateeka agafuga ensi ye. Era omuntu atya Katonda asaamu ne kabaka ekitiibwa bw’akozesa obuyinza bwe mu ngeri esaana era ey’amazima. Naye ekyennaku Bufalansa yawera Bayibuli era n’eyigganya abayigirizwa baayo. Abantu abeesimbu era ab&pos;amazima, abaayinza okuyimirirawo ku Iw’okukkiriza kwabwe awamu n&pos;amazima, abantu abayivu, ab&pos;empisa era abategeera, ne babonabonanga byakitalo ng&pos;abaddu ku byombo, EE 177.4

abalala ne bookebwa oba okuvundira mu makomera ag’omu ttaka okumala ebyasa by’emyaka. Nkumi na nkumi ne bawona Iwa kudduka; era ne kiba bwekityo okumala emyaka ebikumi bibiri mu ataano oluvannyuma Iw’ekkanisa Okuzzibwa Obuggya. EE 178.1

“Tewaaliwo mulembe gwa bufuzi mu Bufalansa ogutaalimu bayigirizwa ba njiri kudduka okuva mu kiruyi ky’abayigganya, ne bagendanga n’amagezi gaabwe, obukugu, n’amaanyi mu ebyo bye baasinganga okukola obulungi, ne bagaggawazanga ensi mwe baafunanga obubudamo. Era olw’oku[juzanga ensi mwe baddukiranga n’ebirabo bino ebirungi, ensi yaabwe baagirekanga njereere. Kale singa abo bonna abaagobwa okuva mu Bufalansa baasigalayo; kale singa obukugu buno bwonna obw’abadduse, bwasigala nga bukuza ensi yaabwe mu myaka gino ebikumi ebisatu; kale singa amagezi gano gaakozesebwa mu kukulakulanya amakolero mu myaka ebikumi ebisatu; era singa emyaka gino ebikumi ebisatu, gyakozesebwa mu buvumbuzi n’okulowooza nga bakulakulanya obuwangwa bwabwe n’amagezi ag’obukugu; era singa amagezi gaabwe gaakozesebwa mu kulurjŋamya enkiiko, mu kuwa amagezi nga balwana entalo zaabwe, nga bakola amateeka ag’obwenkanya, nga ne Bayibuli bw’enyweza okumanya kwabwe n’okuluŋŋamya amagezi g’abantu, Bufalansa nga yandibadde etuuse mu kitiibwa ekitagambika! Nga yandibadde ggwanga eriri ku ntikko era eggwanga erisanyusa - ekyokulabirako eri amawanga amalala! EE 178.2

“Naye obutalowooza n’obuzibe bw’amaaso bwamugobesa buli muyigiriza yenna ow’empisa ezisaana, abazira ab&pos;engeri ezitali zimu, abaandirwaniridde nnamulondo ne bava ku ttaka lye; yategeeza abandireetedde ensi yaabwe ‘okumanyika n’ekitiibwa’ mu nsi nti Balondewo kye banaagenda nakyo, okwokebwa oba okuddukira mu buwaŋŋanguse. Bwetyo Bufalansa n’esigala mu matongo; nga tewakyali n’omu gwe bakyayinza kuwera; nga tewakyali munnaddiini atwalibwa okwokebwa omuliro ku muti; nga tewakyali muntu ayagala nsi ye ayinza okugoberwa ebweru.” - Wylie, b. 13, ch. 20. Era n’ekyavaamu, z’enkyukakyuka ez’omuggundu ezaagobererwa entiisa ey’ekitalo. EE 178.3

Abapulotestanti abamanyiddwa nga ba Huguenots bwe badduka, Bufalansa n’egenda ng’efeeba. Ebibuga ebyalimu amakolero agakulakulana ne bizika; amasaza agalimu ettaka egimu ne gafuuka amatongo. Obubuyabuya n’empisa okuggwa mu bantu bye byaddirira. Bufalansa yenna n’efuuka kateyamba, era kiteeberezebwa nti, ekiseera Ekyukakyuka ez’omuggundu we zaatandikira, Bufalansa yalimu ba lucoolo nga balabirirwa kabaka emitwalo amakumi abiri. Ng’abajesuists be bajjudde mu ggwanga lino erivunda, nga bafugisa mukono gwa kyuuma amasomero awamu n’amakanisa, amakomera era n’ebyombo ku nnyanja.” EE 178.4

Enjiri ye yandiyinzizza okuleetera Bufalansa eky’okuddamu eri okusoomoozebwa kw’ebyobufuzi awamu n’endolooto mu bantu, ebyakaluubirira bannaddiini, kabaka awamu n’abateesi b’amateeka, abaasuula eggwanga mu ddubi ly’obufuzi obutaliimu mateeka awamu n’okuzikirira. Naye abantu baggwamu eby’okuyiga eby’omukisa Omulokozi bye yayigirizanga ebikwata ku kwewaayo n’obuteeyagaliza olw’obufuzi bwa Luumi. Baggibwa ku mpisa y’obuteerowoozaako ku Iw’obulungi bw’abalala. Abagagga nga tebanenyezebwako olw’okunyigirizanga abaavu, abanaku nabo nga tebayambibwa olw’okukozesebwa ng’abaddu n’okutyoboolebwa. Abagagga okwerowozaako n’amaanyi gaabwe ne byeyongera mu kunyigirizanga abalala. EE 178.5

Era okumala ebyasa by’emyaka, omululu awamu n’okudibuuda kw’abakungu ne kunyigirizisanga abanaku n’abawejjere. Abagagga ne basobyanga abaavu, n’abaavu ne bakyawa abagagga. EE 179.1

Abakungu nga be balina ennimiro ezisinga obungi mu masaza gonna, era nga n’abakozi baabwe be bapangisa; era nga bakama baabwe be babakwatirwa ekisa awamu n’okubawaliriza okukola bye baagala. Kaakano omugugu gw’okulabirira eggwanga awamu n’ekkanisa ne gusigaliranga abawejjere, abaasalirwanga okuwa emisolo eminene mu ggwanga era ne mu kkanisa. “Okunyigiriza kw’abakungu, nga kutwalibwa ng’etteeka ery’enkomeredde; abalimi awamu n’abawejjere nga bayinza okufa enjala, kubanga tebalina afaayo.... Abanaku nga bawalirizibwa okusooka okwebuzanga ku buyinza bwa bakama baabwe okumanya kye baagala. Abaakolanga mu nnimiro nga tebawummula wadde okukyusibwa; nga bwe beemulugunya, bavunaanibwa gwa bunyoomi n&pos;obutassaamu bakama baabwe kitiibwa. Abagagga nga be bawulirizibwa okusinga abaavu, era nga n’enguzi emanyiddwa wonna mu balamuzi; era ng’abakungu bwe bafuna endowooza yonna, nga lifuukamu tteeka, olw’enkola eyali eyonoonese wonna. N’emisolo egyakamulibwanga mu banaku ku luuyi olumu mu bafuzi ate ne mu kkanisa, mu ggwanika waatukangayo kitundu butundu; endala ne zinyagibwa okugenda okwekkusa. Ate nga n’abantu abassanga bannaabwe obunaku bo nga baasonyiyibwa emisolo, era nga be bakkirizibwa bokka mu mateeka oba ne mu nnono okwetabanga ku mikolo gy’eggwanga. Bannaggwedda bano nga bali emitwalo kkumi n’etaano gyokka, era ng&pos;olw’okubabeezaawo obukadde bw’abantu balekebwa mu bulamu obutalina ssuubi awamu n’okutyoboolebwa.” EE 179.2

Ekkooti ezitaawulula obuttakkaanya nga ziri mu kwejalabya na kwekkussa. Nga tewakyali bwesige wakati w’abantu n&pos;abakulembeze. Buli muntu okwekengera munne nga kulinga okwateekebwa mu mateeka g’eggwanga. Kabaka Louis yatuula ku nnamulondo okumala emyaka egisukka mu kitundu ky’ekyasa Enkyukakyuka nga tezinabaawo, era yamanyibwa nga kabaka omunafu lugoojamye atanywerera ku nsonga era ow’endowooza enfunda newakubadde mu biseera ebyo ebizibu ddala. Olw’okubanga eggwanga lyafugibwanga abantu abatono ddala kyokka nga baayonoonebwa n’obukenuzi, awamu n’enkuyanja y’abantu aboomutindo ogwa wansi ate nga tebalina kye bamanyi, eggwanga lyagwa mu buswavu bw&pos;ebyensimbi, abantu ne banyiizibwa, nga tekyetaagisa liiso lya nnabbi okusobola okulagula akatyabaga akabindabinda. Buli Iwe yalabulibwanga abawi b’amagezi, kabaka yabaddangamu nga bwe yakolanga nti: “Mukole kyonna ekisoboka ebintu bitambule bulungi nga nkyali mulamu; nze nga nfudde binaasigala nga bwe byagala.” Ne bakola kyonna ekisoboka okuteekawo enkyukakyuka naye nga buteerere. Yalabanga obubi obwakolebwanga, naye nga talina buvumu wadde amaanyi okubutereeza. Bufalansa yalabanga okuzikirira okugirindiridde naye nga bakulabira mu bunafu bwa kabaka n’engeri gye yabaanukulanga ey’okwerowoozaako. “Nze nga nvuddewo, galiba mataba!” EE 179.3

Luumi bwe yakolanga kyonna ekisoboka okuteeka obukyayi mu bakabaka awamu n’abafuzi eri abantu, yakimanya nga abafuzi baakukuumira abantu mu buddu, eggwanga linafuyizibwe, ng’ekigendererwa kwekunywereza abafuzi n’abantu mu bufuge bwe. Yalowooza mpozzi olw’obutalengerera wala nti bw’okuumira abantu EE 179.4

mu buddu bwennyini, emyoyo gyabwe gye girina okusibibwa mu bikoligo; era nga n’engeri esingako okubaziyiza obutava mu busibe, kwe kubamma eddembe lyabwe. Ekibi ekisingira ddala newakubadde okulumya omubiri ekyava mu nkola ze, abantu kwe kuggwaamu empisa. Bammibwa okwesomera Bayibuli, ne bateekebwa mu njigiriza ezisiga obukyayi n’okwerowozaako, abantu ne bazingibwako obutamanya n’obusamize, ko n’agayisa agavundu, nga tebakyayinza na kwefuga. EE 180.1

Naye ebyava mu bino byonna byali birala ddala okuva ku ebyo Luumi bye yasuubira. Mukifo ky’okunywereza abantu mu njigiriza ze ez’obuzibe bw’amaaso nga bazigondera, bye yakola byafuula bantu bakafiiri na bakyetwala. Enjigiriza y’Abaluumi nga bagiraba nga bulimba bw’abasasedooti. Nga balaba bannaddiini nga abegasse ku babanyigiriza. Nga ne Katonda yekka gwe bamanyi ye Katonda w’Abaluumi; ne byayigiriza, ye ddiini yaabwe yokka. Baalaba obuluvu n’obukambwe bwe nga bye byokka Bayibuli by’eyigiriza, era nga tebalina n’ekimu ku byo kye betaaga. EE 180.2

Luumi yayonoona ekifaananyi kya Katonda era n’akyamya ne byeyetaaga okuva eri omuntu, olwo abantu ne bajeemera Bayibuli n’omuwandiisi waayo omukulu. Yayagala abantu babe n&pos;okukkiriza okw’obuzibe bw’amaaso mu ebyo bye yayigirizanga, olw’okwerowoozesa nti ye yaweebwa obuyinza ku Byawandiikibwa. Mukumuwakanya, omwami ayitibwa Voltaire ne banne ne basambajjira ddala ekigambo kya Katonda, ne basasaanya enjiri ey’obutwa bw&pos;obukafiiri. Luumi yali esambiridde abantu n’ebigere bye eby’ekyuma; kaakano n’abantu olw’okutyoboolebwa n’okukolebwako ebikolwa eby’obukambwe, mu kwagala okwetakuluzaako ekikoligo, ne bakasuka eri ebibasibye. Anli abantu baanyiizibwa olw&pos;obulimba bwa Luumi bwe yabasibiramu okumala ekiseera ekiwanvu nga bamuvuunamira, bwe batyo ne bakyawa amazima awamu n’obulimba; era bwe baawubisibwa n&pos;okuweebwa eddembe, abaddu b’agayisa agavundu bano ne bajaganya nga basuubira nti kaakano balina eddembe. EE 180.3

Enkyukakyuka nga zitandika okubaawo, newakubadde nga kabaka yali tazaagala, abantu baabulijo baaweebwa abakiise abasinga obungi ku bakungu ne bannaddiini ng’obagasse. Nabwekityo obuyinza nga buli mu mikono gyabwe; naye nga si beetefuteefu kubukozesa mu ngeri ya magezi n&pos;obwegendereza. Olw’okuwulira nga baagala nnyo okutereeza byonna ebibadde bibanyigiriza, ne basalawo okuddamu okuzimba buggya eggwanga. Abantu bonna nga bajjudde obukyayi n’ekiruyi era nga banyiivu byakitalo, ne basalawo bateekewo enkyukakyuka eziyinza okubamalako obunaku obutakyayinza kugumiikirizika, n&pos;okuwoolera eggwanga eri abo bonna be baalaba nga bebatandisi b’okubonaabona kwabwe. Abanyigirizibwanga ne bakozesa engeri ze baayiga nga banyigirizibwa, ne bazinyigirizisaababanyigirizanga. EE 180.4

Bufalansa bambi n’ekungula omusaayi gwe yasiga. Yakungula biwoobe olw&pos;okugondera obuyinza bwa Luumi. Bufaalansa we yateeka akalabba kaayo akasooka, bwe yali ng&pos;ekyali wansi wa Luumi mu kuyigganya abazza b’ekkanisa, n’abaaleeta enkyukakyuka we baasimba akaabwe. Era mu kifo wennyini we baayokera abajulizi abaasooka mu kukkiriza kw’Obupulotestanti mu kyasa ky’ekkumi n&pos;omukaaga, ne bano abaasooka we baatugirwa mu kyasa ky&pos;ekkumi n’omunaana. Bwe baasindiikiririza eri enjjiri eyandibaleetedde okuwonya, Bufalansa yali eggudde oluggi Iw’obukafiiri n&pos;okuzikirira. Era bwe bassa amateeka EE 180.5

ga Katonda ku bbali, Iwe baategeera nga amateeka g’abantu tegayinza kunyweza mayengo ga kwegomba kwa muntu; ensi bwetyo n’emalibwawo obwediimo n’obwa kyetwala. Olutalo lw’okulwanyisa Bayibuli Iwaggulawo mu butongole omulembe ogumanyiddwa mu byafaayo by’ensi ng’Obufuzi Obwentiisa. Emirembe n’essannyu nga biwedde mu maka ne mu mitima gy’abantu. Nga buli muntu teyekakasa. Olwaleero abeera omuwanguzi, enkeera ng’ayinza okuteeberezebwa, n’asalirwa omusango era n’attibwa. Obutabanguko n’okuwamba abakazi ne bibuna wonna. EE 181.1

Kabaka, bannaddiini n’abakungu ne bawalirizibwa bakkirize nti be bavunaanyizibwa ku bikolobero kaakano ebikolebwa mu ngeri y’ekigwi ky’eddalu. Era ne bawulira nga tebayinza na kukigumiikiriza okutuusa nga kabaka waabwe attiddwa; era n’abo abaawa ekiragiro ky’okumutta nabo ne bamugoberera ku kalabba. Ekittabantu ne kirangirirwa eri buli yenna ateeberezebwa okuba nga takkiririza mu kuteekawo Nkyukakyuka. Amakomera ne gakubako, era olumu gajjuza abasibe abasukka mu mitwalo amakumi abiri. Ebibuga omuli embiri z’obwakabaka ne bijjula entiisa. Ekibiina ekimu kubirwanirira okuteekawo enkyukakyuka, ne kirwanagananga n’ekirala, Bufalansa n’afuuka eddwaniro olw’abali mu mpaka, abamaliddwaawo n’ekiruyi ky’okwegomba kwabwe. “Obugugumuko ne bubuna ekibuga Paris, era n’abantu nga bakutuddwakutuddwamu n’obubinja obw’endowooza ezitali zimu, obwalina ebigendererwa nga si birala wabula okwekobaana bazikirize byonna.” Ekyennaku ennyo, ng’eggwanga liri mu kulwanagana mu ntalo ez’obulabe ezitakoma n’amawanga ag’amaanyi mu Bulaaya. “Eggwanga katono lifuuke lucoolo, ng’amaggye gakayaanira mpeera y’ago etennasasulwa, bannakibuga nga bafa enjala, ebyalo nga byonooneddwa n&pos;obuyeekera, nga n’obugunjufu butuuse okusaanawo olw’obutabaawo mateeka n&pos;eddembe ery’obutekomako.” EE 181.2

Mazima abantu baayiga ebyokuyiga okuva mu bikolwa eby’okulumya n’okubonyaabonya Luumi by’ezze ng’eyigiriza. Olunaku olwokuwoolerako eggwanga kaakano nga lutuuse. Leero, nga si bayigirizwa ba Yesu abakasukibwa mu makomera ag’omu ttaka, oba okwokebwa n’omuliro nga basibiddwa ku miti. Bano baali baafa dda n’abalala nga bali mu buwaŋŋanguse. Luumi atalina kisa, kaakano naye naalega ku buyinza obw’amaanyi g’okufa obw’abo be yatendeka basanyukire mu bikolwa eby’okuyiwa omusaayi. “Ekyokulabirako ky’okuyigganya abannaddiini b’e Bufalansa kye baalaga okumala emyaka mingi egyali giyise, kaakano nga kikolwa ku bo bennyini naye mu bukambwe obusingako. Obulabba ne bumyuka olw’omusaayi gw’abasasedooti. Ebyombo ebyakolebwangamu Abahuguenot era ne bajjuzanga n’amakomera, kaakano nga mujjudde abaabayigganyanga. Abasasedooti Abakatoliki b’e Luumi ne babonabonanga olw’okukubanga enkasi nga bwe basibiddwa ku butebe bw’ebyombo, ekkanisa y’e Luumi bye yakozesanga okulumyanga abatakkaanyanga nayo mu bukakkamu.” EE 181.3

“Ate ne wajja ebiseera eby’okulaba ennaku ennyingi ensi bwe yeerolera ebikolwa ebya bakanywamusaayi; nga teri muntu abuuza ku muliraanwa we wadde okusaba ko naye... nga tazzizza musango gwa nnaggomola; nga bambega bali ku buli muguukiriro; ng’obulabba bukola nnyo buli lunaku; amakomera nga gajjuziddwa okwenkana ekyombo ekijjuddeko abaddu; omusaayi nga gukulukuta mu mifuleje okutuuka mu mugga Seine.... Ng’ebigaali ebikubyeko abagenda okuttibwa biyita mu kibuga Paris buli lunaku, ng’abafuzi abaalondebwa olukiiko olw’oku ntikko EE 181.4

bafuge amasaza, bakozesa obukambwe obusukkiridde obutakkirizika ne mu kibuga. Ekyuma ekyakozesebwanga okutta ne kiggwaako obwogi olw’omulimu omunene ogw’okutta.... Lyone ne kifuuka ddungu. Ate yo mu Arras, abasibe baagaana okuttibwa mu bwangu butyo anti ng’olwo ababatta mbu babakwatirwa kisa. Ensega, zi nnamuŋŋona ko ne zi kamunye ne zituula ku kijjulo ky’emirambo egitiisa okutunulako egiri obukunya nga gisibiddwa ebiri ebiri okuviira ddala e Loire okugenda e Saumur okutuuka ku nnyanja. Nga tebakwatirwa kisa si nsonga oba mukyala oba mwami wadde omuwere. Omuwendo gw’abavubuka aboobulenzi n’aboobuwala abali mu myaka gyabwe ekkumi n’omusanvu egy’obukulu abattibwa obukulembeze obwo obwali obubi ennyo, gibalirwa eyo mu bikumi. Abaana abawere abaali mu matwale g’Abajacobins battibwanga baayuzibwayuzibwa. Mu bbanga lya myaka kkumi gyokka, enkuyanja y’abantu yali emaze okuzikirira. EE 182.1

Nga bino byonna bikolebwa olw’okusiima kwa Setaani. Era kino kye yali aluubirira ebbanga lyonna. Era enkola ye kwe kulimba okuva ku muntu asooka okutuuka ku asembayo, nga ky’ayagala abantu bakube ebiwoobe n’okukungubaga, abatamye omulimu gwa Katonda ogw’obutonzi, era ayonoone obulungi bwa Katonda n’okwagala kwe, bwerityo n’eggulu linakuwale. Era aziba okulowooza kw’abantu ng’ayita mu bulimba bwe, balyoke banenye Katonda mukifo ky’okunenya Setaani nga gy’oba nti eno ye ntekateeka y’Omutonzi. Era mu ngeri yeemu, n’abo bonna abaanyigirizibwanga ne batyoboolebwabwanga okuyita mu bukambwe bwe, bwe baaweebwa eddembe, n’abakulembera okukola ebikolobero ku bannaabwe. Olwo obutekomako buno nga busiimibwa bannakyemalira bano ng’akabonero akalaga nti bafunye eddembe. EE 182.2

Setaani bwe yalabanga ng’obulimba bwe obw’engeri emu butegeereddwa, n’abwambazanga mu ngeri endala, era enkuyanja y’abantu etere ebwaniirize nga mukusooka. Abantu bwe baazuula ng’eddiini y’Abaluumi ya buliimba, era nga takyayinza kubamenyesa mateeka ga Katonda kuyita mu ngeri eyo, yabakyayisa eddiini yonna okuba obuliimba, ne Bayibuli okuba nti nfumo; era, bwe baasuula eri ebiragiro bya Katonda, ne beesumulula okukola obubi obusingira ddala. EE 182.3

Ensobi eyavaako abatuuze b’e Bufalansa okubonaabona n’okukuba ebiwoobe, kwe kulagajjalira amazima gano gokka amakulu: nti eddembe ery’amazima liri mu kugondera mateeka ga Katonda. “Singa wawulira amateeka gange! Kale emirembe gyo gyandibadde ng’omugga, n’obutuukirwu bwo ng’amyengo g’ennyanja.” “Tewali mirembe eri ababi, bw’ayogera Mukama.” “Era buli anaawuliranga nze anaabeeranga mirembe, era anaatereeranga nga tewali kutya kabi.” Isaaya 48: 18,22; Engero 1: 33. EE 182.4

Abatakkiriza Katonda ow’omu ggulu, abakaafiri n’abaava mu mazima, bawakanya era tebakkiriza mateeka ga Katonda; naye ebivamu biraga nga emirembe gy’omuntu gisibuka ku buwulize bwe eri ebiragiro bya Katonda. Era abo bonna abatayagala kuyiga kino okuva mu kitabo kya Katonda, basabibwa bakisome okuva mu byafaayo by’amawanga. EE 182.5

Setaani yabuzaabuza ebigendererwa bye bwe yaleetera abantu okuva mu buwulize eri amateeka ga Katonda ng’akozesa ekkanisa y’e Luumi, ne batayinza kulaba nga ebikolobero n’ebiwoobe ebyaliwo byava mu bumenyi bw’amateeka. Wabula okukola kwe kuno kwakomebwako Omwoyo Omutukuvu bwe yaziyiza ebigendererwa bye obuteeyongera. Ekyennaku abantu tebaayinza kunoonyereza bazuule ensibuko EE 182.6

eyavaako okunakuwala kuno. Naye mu Nkyukakyuka ezaaliwo, Olukiiko Olufiizi olw’eggwanga Iwaggyawo amateeka ga Katonda mu lwatu. Era abantu bonna baayinza okwerabira n’amaaso gaabwe ebyava mu kukola kuno mu mulembe gw’Obufuzi Obw’entiisa ogwaddako. EE 183.1

Bufalansa bwe yagaana Katonda era n’eggyawo ne Bayibuli, ababi n’emyoyo egy’omukizikiza ne bajaganya olw’okutuuka ku kigendererwa kye baayagala edda - bwe bwakabaka obutafugibwa mateeka ga Katonda. Era olw’okubanga ababi tebaasalirwanga misango mu bwangu olw’ebibi bye bakola, “omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.” Omubuulizi 8: 11. Kyokka toyinza kwewala kunakuwala wadde okukuba ebiwoobe singa omenya etteeka lya Katonda etuukirivu. Era newakubadde nga Katonda ababi teyabalamulirangawo, kyokka bwo obubi bw’abaana b’abantu bw’asigalanga bubatwala mu kuzikirira. Olw’abantu okuvanga ku Mukama mu buli kyasa kye myaka ekyayitangawo n’okukolanga agabi agasukkiridde, baalinga beeterekera lunaku lwa kiruyi, era ekikompe eky’obubi bwabwe bwe kyajjula, abanaku ba Katonda bano lwe baategeera naye nga buyise nti kya ntiisa obutassaayo mwoyo eri obugumiikiriza bwa Katonda. Omwoyo wa Katonda akwatirira ku bukambwe bwa Setaani, yaggibwawo mu kigera ekinene, era nabuli yenna anyumirwa abantu okukubanga ebiwoobe, naakolanga ng’obuyinza bwe bwebuli. Abaasalangawo okejeema ne balekerwa bakungule ebiva mu bujeemi okutuusa ensi Iwe yajjula agakolobero agatayinza kumalibwayo na kkalaamu. Okukaaba ne kuwulirwa okuva mu byalo ebifuuse amatongo n’okutuusa mu bibuga ebyasigala ebifunvu - okukaaba okw’okunakuwala. Bufalansa n&pos;enyeenya okukira akubiddwa musisi. Eddiini, enfuga ey’amateeka, abantu, amaka, eggwanga n’ekkanisa okutwaliza awamu - ne bifaafagana olw’obukaafiiri obwasitulibwa ne bajjawo amateeka ga Katonda. Omusajja omugezigezi yayogera mazima bwe yagamba nti: “Omubi aligwa olw’obubi bwe.” “Alina ebibi newakubadde ng’akola obubi emirundi kikumi n’awangaala nnyo, era naye mazima mmanyi ng’abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge: naye omubi taabenga bulungi.” Engero 11:5; Omubuulizi 8: 12, 13. “Kubanga baakyawanga okumanya, so tebeerobozanga kutya Mukama. Kye baliva balya ku bibala eby’ekkubo lyabwe bo, ne bakkuta enkwe zaabwe bo.” Engero 1: 29,31. EE 183.2

Abajulirwa ba Katonda abeesigwa, abattibwa obuyinza obuwoola erinnya lya Katonda nga “buva mu bunnya obutakoma,” tebaali ba kusigala mu kasirise. Anti “01uvannyuma lw’ennaku ziri essatu n’ekitundu, omwoyo gw’obulamu oguva eri Katonda ne guyingira mu bo, ne bayimirira ku bigere byabwe, okutya kungi ne kugwa ku bo abaabalaba.” Okubikkulirwa 11: 11. Mu mwaka 1793, olukiiko lwa Bufalansa olukulu mwe lwayisiza ekiragiro ekiggyawo eddiini y’Obukristaayo awamu ne Bayibuli. Nga wayiseewo emyaka esatu n’ekitundu, ekiteeso ekisazaamu ekiragiro ekyasooka, nga kikkiriza Ebyawandiikibwa, ne kiyisibwa olukiiko lwe lumu. Ensi yatya nnyo bwe yalumirizibwanga olw’ebyo ebyava mu kujeemera Ebiragiro Ebitukuvu ebya Katonda, abantu ne bategeera obukulu bw’okumanya Katonda n’ekigambo kye nti gwe musingi gw’empisa awamu n’obulungi. Mukama agamba: “Ani gw’ovumye gw’owodde? Era ani gw’oyimusirizzaako eddoboozi lyo, n’olalama amaaso go waggulu? Ku Mutuukirivu wa lsiraeri.” Isaaya 37: 23. “Kale, EE 183.3

laba, Ndibamanyisa, omulundi guno gwokka, ndibamanyisa omukono gwange n’amaanyi gange; era balimanya ng’erinnya lyange Yakuwa.” Yeremiya 16: 21. EE 184.1

Era bweyali ayongera okwogera ku bajulirwa ababiri nnabbi yagamba nti: “Ne bawulira eddoboozi ddene eriva mu ggulu, nga ligamba nti Mulinnye okutuuka wano. Ne balinnya mu ggulu mu kire; n’abalabe baabwe ne babalaba.” Okubikkulirwa 11:12. Okuva Bufalansa Iwe yatanula olutalo ku bajulirwa ba Katonda ababiri, baayongera okusibwamu ekitiibwa ekitabangawo. Ekibiina ekimanyiddwa nga The British and Foreign Bible Society, kyateekebwateekebwa mu mwaka 1804. Era kyagobererwa ebibiina ebirala bingi ebikifaanana nga birina n’amatabi okwetoloola Bulaaya yenna. Ate mu 1816, ekirala ekiyitibwa American Bible Society ne kitandikibwawo. Kiri ekyasooka bwe kyatandikibwawo, Bayibuli yali ewuunuddwa mu nnimi amakumi ataano nga kwotadde okugikubisa mu kyapa n’okugisasaanya. Eyongedde okuwuunulwa mu nnimi endala nnyingi okuva olwo. EE 184.2

Emyaka makumi ataano emabega, kwekugamba mu 1792, tewaaliwo nnyo buminsani butadde sira ku mawanga malala. Era tewaaliwo kutandika bibiina biggya, n’amakanisa gaaliwo naye nga si mangi agaagala okusasaanya Obukristaayo butuuke mu bamawanga. Naye awo nga ku nkomerero y’ekyasa kye kkumi n’omunaana, ne wabaawo enkyukakyuka nnene. Abantu beeyongera obuteesiga ndowooza zaabwe, era ne balaba n’obukulu bw’ekigambo kya Katonda awamu n’Obukristaayo obuyise mu kugezesebwa. Era okuva olwo obuminsani ne bweyongera okukula ebitagambika. EE 184.3

Ennongoosereza ezizze zikolebwa mu kukuba ebitabo mu kyapa, nazo zoongedde nnyo amaanyi mu kusasaanya Bayibuli. Empuliziganya wakati w’amawanga, okuteekawo ekkomo ku kusosola mu mawanga n’okwesukkulumya, ko n’omulabirizi w’e Luumi okugibwako obuyinza bw’ebyobufuzi, byongedde okuggula oluggi, ekigambo kya Katonda okuyingira. Bayibuli ebadde egulibwa mu kibuga Luumi awatali miziziko okumala emyaka, era kaakano etuuse kumpi mu buli kitundu kya nsi omuli abantu. EE 184.4

Omukaafiiri Voltaire olumu eyayogera nga yenna ajjudde amalala nti: “Nkoye okuwulira abantu abagenda baddiŋŋana nga bagamba nti abasajja kkumi nababiri be baatandika eddiini y’Obukristaayo. Njagala mbakakase nti omusajya omu yekka amala okugiwangula ” Kaakano wayiseewo emirembe mingi bukyanga afa. Bukadde na bukadde abeeggasse ku lutalo luno okulwanyisa Bayibuli. Naye tennawangulwa, era awaali ba Voltaire ekikumi mu kiseera kye, leero waliwo nkumi, kyokka ne Bayibuli za Katonda ziri mu mitwalo. Mu bigambo by’Omuzza w’ekkanisa ng’ayogera ku Bukristaayo tusoma nti: “Bayibuli nnyondo ya muweesi ejeemulula ebyuma.” Mukama agamba: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga.” Isaaya 54: 17. EE 184.5

“Ekigambo kya Katonda waffe kinaanywereranga ennaku zonna.” “Ebiragiro bye byonna binywerera. Biteekebwawo emirembe n’emirembe. Bikolebwa mu mazima n’obutuukirivu.” Isaaya 40: 8; Zabbuli 111:7, 8. Byonna ebyazimbibwa olw’obuyinza bw’omuntu birimenyeka; naye byonna ebyasimbibwa ku musingi ogw’olwazi olw’ekigambo kya Katonda ekitakyukakyuka birinywerera emirembe n’emirembe. EE 184.6