Essuubi Eritaggwaawo
14 —Abazza B’ekkanisa Abangereza Abooluvannyuma 157
Luther bwe yali abikkulira abantu be Bugirimaani Bayibuli eyali ebaggaliddwa, ne Tyndale yali alumirizibwa Omwoyo wa Katonda okukola ekintu kye kimu eri ab’Ebungereza. Wabula Bayibuli ya Wycliffe eyali ekyusiddwa okuva mu Lulatini, yalimu ensobi nnyingi. Yali tekubibwanga mu kyapa, era nga n’okwefunirako ekitabo ekimu nga kya buseere, bwekityo abagagga awamu n&pos;abalangira nga beebokka abayinza okugyefunira; n’ekirala, olw’okubanga yavumirirwanga ekkanisa y’e Luumi, teyasasaana kinene nnyo. Mu mwaka 1516 ng’ebula omwaka gumu Luther atimbe ensonga ze ku luggi Iw’ekleziya, Erasmus yali afulumizza Endagaano Empya mu Luyonaani n’Olulatini gye yawunuula. Era ku mulundi ogwo abantu ne beefunira ekigambo kya Katonda mu lulimi Iwabwe nga kikubiddwa mu kyapa omulundi ogusooka. Ensobi nnyingi ezaali mu kikyuse ekyasooka ne zitereezebwa, era nga n’amakulu gavaayo bulungi. Yayamba nnyo abayivu okutegeera obulungi amazima, era n’eyongera n’amaanyi mu mulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa. Kyokka ng’abantu baabulijjo bangi abalemeseddwa okwefunira ekigambo kya Katonda. Tyndale yeyali ow’okutuukiriza omulimu ogwatandikibwa Wycliffe ogw’okutuusa Bayibuli ku bannansi. EE 156.2
Yali muyizi assaayo omwoyo era anoonya okumanya amazima g’enjiri, ge yazuula okuva mu Ndagaano Empya ey’Oluyonaani eyakyusibwa Erasmus. Yawulira nga taliimu nkeka okutegeeza ku balala ky’awulira, nga bw’ategeeza nti ebyawandiikibwa bye byokka ebikema buli njigiriza. Ng’ayogera ku bwapapa obukaayana nti bebakwasibwa Bayibuli bokka era nga bebalina n’obuyinza okuginnyonnyola, Tyndale yabaddamu nti: “Mumanyi eyayigiriza empungu okuyigga omunyago gw’ayo? Bwekityo ne Katonda ayigiriza abaana be abalumwa enjala okwenoonyeza Kitaabwe mu Kigambo kye. Yatuwa dda Ebyawandiikibwa, mmwe mubizibidde; mmwe mwokya omuliro ababiyigiriza, era singa mubadde muyinza mwandibyokezza n’okubyokya.” D’Aubigne, History of the Reformation of the Sixteenth Century, b. 18, ch. 4. EE 156.3
Okubuulira kwa Tyndale kwasikiriza nnyo abantu bangi; era bangi ne bakkiriza amazima. Kyokka ng’abasasedooti bali bulindaala, anti aba tannabaako ne weyatuuse, EE 156.4
nabo ne bajja nga batisatiisa abantu n’okubalimbalimba olw’okwagala okuzikiriza omulimu. Emirundi mingi ne bawangulanga. “Awo tukole ki?” bwe yeebuuza. “Mba maze okusiga, omulabe n’ajja n’ayonoona gye nvudde. Ate siyinza kubeera buli wantu. O! singa Abakristaayo babadde n’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu mu lulimi lwabwe, bandibadde bavumu ekimala okuziyiza abakujukuj bano. Era awatali byawandiikibwa tekiyinzika kunyweza bantu ba bulijjo mu mazima.” - Ibid., b. 18, ch. 4. EE 157.1
Yafuna ekirowoozo ekirala. “Lwali lulimi Lwebulaniya abantu mwe batendererezanga Yakuwa nga bali mu yeekaalu; olwo enjiri tekigigwanidde kwogererwa mu lulimi lw’Ebungereza wakati mu ffe?.... Ekkanisa teyeetaaga ekitangaala kitono obudde nga bwa ttuntu okusinga enjuba ng’egoloobye? Abakristaayo bagwanira okusoma Endagaano Empya eya Bayibuli mu lulimi lwabwe oluzaaliranwa.” Abayivu n’abayigiriza mu kkanisa ne batakkaanya bokka na bokka. Ng’okugyako Bayibuli, abantu lwe bayinza okutuuka ku mazima. “Omuyivu ono ayogera kino, omulala agamba kiri.... Nga bonna bakubagana empawa. Olwo tunayawula tutya oyo ayogera ekituufu okuva ku oyo ayogera ekikyamu? .... Tutya?.... Mazima kuyita mu kigambo kya Katonda.” - Ibid., b. 18, ch. 4. EE 157.2
Tewayita bbanga ddene omuyivu omu mu ddiini y’Ekikatoliki bwe baali bakaayana amale agambe nti: “Kyandisinzeeko nnyo okubeerawo nga tetulina mateeka ga Katonda wabula aga papa.” Tyndale yamwanukula nti: “Papa munyooma awamu n’amateeka ge; era singa Katonda aba wakumpa bulamu, nandiyigirizza omuvubuka asindika ekigaali, mu myaka si mingi naamanya Ebyawandiikibwa okukusinga.” - Anderson, Annals of the English Bible, omuko 19. EE 157.3
Ekirowoozo ekyajja mu mutima gwe eky’okufunira abantu Endagaano Empya eya Bayibuli mu lulimi lwabwe, kaakano ne kyeyongera okunywera, kwe kutandikirawo okukola omulimu. Yaddukira e London oluvannyuma Iw’okuyigganyizibwa, n’abeera eyo okumala akaseera nga bw’akola omulimu gwe awatali kutawanyizibwa. Naye era n’eno n’awalirizibwa okuddukayo olw’ejoogo ly’obwapapa. Bungereza ng’erabika takyalinayo butuuliro, kwe kunoonya obubudamo e Bugirimaani. Eno gye yafulumiza mu kyapa Endagaano Empya mu Lungereza. Omulimu gwayimirizibwa enfunda bbiri; naye buli Iwe yayimirizibwanga mu kibuga ekimu ng’addukira mu kirala. Kwe kuddukira ddala n’agenda e Worms, eyo Luther gye yalwaniririra amazima ng’ali mu lukiiko Iw’eggwanga emyaka si mingi egyali giyise. Mu kibuga ekyo eky’edda, Abazza b’ekkanisa Obuggya awamu ne Tyndale gye baakoleranga emirimu gyabwe awatali miziziko mirala gyonna. Ebitabo enkumi satu ne bimalirizibwa mangu nnyo, era ne bafulumya n’ebirala mu mwaka ogwo gwennyini. EE 157.4
Ne yeyongeranga okukola omulimu n&pos;amaanyi wakati mu bugumiikiriza obungi. Naye newakubadde ng’aboobuyinza mu Bungereza baakuumanga butiribiri emyalo gyabwe, ekigambo kya Katonda kyayingizibwanga mukyama okutuuka e London gye baasinziiranga okukisasaanya okutuuka mu nsi yonna. Obwapapa bwafuba nnyo okuzikiza omulimu, naye ne bulemwa. Olumu omulabirizi w’e Darham yagula ku muntu atunda ebitabo eyali mukwano gwa Tyndale Bayibuli zonna ze yalina, n’ekigendererwa eky’okwagala okuzizikiriza, ng’alowooza nti oba oli awo omulimu teguyinze kugenda mu maaso. Naye si bwe kyali, wabula ensimbi zeyasasula zaagulamu ebikozesebwa ebirala ate ebisingako obulungi, ekitandisobose awatali EE 157.5
nsimbi ezo. Ate Tyndale bwe yakwatibwa n’asibwa mu kkomera, yasuubizibwa okuteebwa singa ategeeza amannya g’abantu abamuyamba mu kusasulira omuwendo gw’okufulumya Bayibuli ze. Yabaddamu nti omulabirizi w’e Darham akoze kinene nnyo okusinga abalala bonna; bwe yasasula omuwendo omunene ku bitabo ebyali bisigaddewo, yamuyamba okwongera okukola omulimu n’amaanyi. EE 158.1
Tyndale banne baamulyamu olukwe naakwatibwa, era olumu yabonabonera mu kkomera okumala emyezi mingi. Era oluvannyuma yattibwa ng’omujulizi; kyokka ebyokulwanyisa bye yaleka emabega byayambya era biyambye abaserikale ba Yesu abalaba abazze balwana olutalo okuyita mu mirembe egy’enjawulo okutuusa leero. EE 158.2
Ate ye Latimer n’ategeezanga lunye okuyita ku kituuti nga kigwanira okusoma Bayibuli mu lulimi lw’abantu. Nnannyini Byawandiikibwa Ebitukuvu, Latimer agamba, “ye Katonda Mwene;” era Ebyawandiikibwa bye bitegeeza ku Katonda ow’Obuyinza era ataggwaawo. “Teriiyo kabaka, omulangira, abagabe wadde abafuga... okugyako nga nabo bagondedde .... Ekigambo kye.” “Katuleme kwezimbako bigo, naye Ekigamo kya Katonda ka kitukulembere. Katuleme okutambula nga tugoberera... bakitaffe abatusooka, wadde okukola bo bye baakola okujjako okukola bye bandigwanidde okukola.” - Hugh Latimer. EE 158.3
Bames ne Frith mikwano gya Tyndale abeesigwa, nabo ne basituka okulwanirira amazima. Ridleys ne Kulanema ne bagoberera. Abakulembeze bano mu Kuzza Obuggya ekkanisa e Bungereza, baali bayigirize ddala era nga bangi ku bo bassibwamu ekitiibwa olw’omwoyo w’okuweereza awamu n’obwesigwa bye baalina mu kkanisa y’e Luumi. Awaava entabwe okuwakanya obwapapa kwe kumanya ku nsobi ezikolebwa ku “Kitebe ky’Obwapapa” ate bwe baamanayako ku byama bya Babulooni ne beeyongera amaanyi okumuwakanya. EE 158.4
“Kaakano njagala okubuuza ekibuuzo,” Latimer agamba. “Mulabirizi ki oba omubaka wa papa asinga okukola mu Bungereza? .... Mbalaba nga muteze amatu mwagala okuwulira erinnya lye.... Njagala mubategeeze: ye Setaani.... Tavangako mu bulabirizi bwe; bw’oba oyagala munoonyeko, ojja kumusangayo ewuwe; ... akute enkumbi alima.... Tolimusanga nga talina ky’akola, mbakakasa.... Omulabe w’ali,... tolisangayo bitabo; wabula emisubbaawa; tolirabayo Bayibuli, wabula sappule; teri musana gwa njiri, wabula emisubbaawa emikoleeze, wewaawo ne mu ttuntu; teyetaaga musalaba gwa Kristo, wabula okukuŋŋaanya sekiriba-kya- ttaka; taliyambaza ali obwereere, omunaku wadde ateeyinza; mubuulire kuzimbira bifaananyi mayumba n’okubibikka amayinja ag’omuwendo; adda ku bulombolombo bw’abantu n’amateeka ge, n’anyooma obulombolombo bwa Katonda n’ekigambo kye ekitukuvu ennyo.... O singa n’abalabirizi baffe bafuba obwenkanidde awo okusiga ensigo ey’enjigiriza ennungi, nga ne Setaani bw’asiga eŋŋaano ey’omu nsiko mu ŋŋaano enuungi.”- Ibid., Sermon of the Plough.” EE 158.5
Etteeka ekkulu lye beekuumanga bonna Abazza b’ekkanisa, omuli abagoberezi ba Waldensi, Wycliffe, John Huss, Luther, Zwingili ne bonna abegattanga nabo lye ly’obuyinza bw’ebyawandiikibwa ebitukuvu okuba nga bye bitawaba byokka era nga bye bifuga okukkiriza ne nneyisa. Tebakkiriza ndowooza zaabwe zifugibwe biragiro bya papa, enkiiko, abasasedooti wadde bakabaka kavuna ebeera nsonga ya ddiini. Bayibuli ye yabalamulanga era ne bakemanga enjigiriza zonna nga basinziira ku byeyigiriza. Okukkiriza kwe baalina mu Katonda awamu n’ekigambo kye ne EE 158.6
bigumyanga abatukuvu bano okutuuka okuwaayo n’obulamu bwabwe okwokebwa. “Mugume,” Latimer bwe yagamba munne eyali anaatera okugwera mu muliro, “leero ettabaaza egenda kukoleezebwa mu Bungereza, olw’ekisa kya Katonda, nkakasa nga terizikizibwa— Works of Hugh Latimer, vol. 1, p. xiii. EE 159.1
Ensigo eza mazima ezasigibwa omwami Columba ne banne mu nsi eya Scotland, tezagwerawo ddala zonna. O1uvannyuma lw’emyaka egyayitawo ng’ekkanisa z’e Bungereza zimaze okwewaayo okufugibwa Luumi, zo ez’e Scotland zaasigala mu ddembe. Wewaawo mu kyasa eky’ekkumi n’ebibiri, obwapapa bwamala ne bugendayo, kyokka tewaaliyo nsi yonna gye bwaddamu kutwala buyinza bwa nkomeredde. Era ekizikiza tekyaddamu kubuutikira nnyo bantu. Mpola mpola omusana gwajjanga ne gwabuluzangamu ekizikiza, abantu ne bafuna essuubi ery’olunaku olujja. Abagoberezi ba Wycliffe abamanyidwa nga ba Lollards ne bava e Bungereza nga balina Bayibuli n’ebiwandiiko bya Wycliffe, ne bakola nnyo mu kunyweza amazima g’enjiri, kyokka mu buli kyasa ky’emyaka ekyayitangawo, mwabangamu abattibwanga olw’okujulira amazima. EE 159.2
Omugundu gw’Okuzza ekkanisa Obuggya we gwatandikira, gwagobererwa n’ebiwandiiko bya Luther, era n’Endagaano Empya eya Bayibuli eya Tyndale. Ababaka bano abakasirise abatategeerebwa ba buyinza, ne batambulanga mu nsozi ne mu biwonvu, nga bagenda bakoleeza emimuli egy’obulamu obuggya obw’amazima kumpi obwali bumaliddwawo mu Scotland, era n’okutereeza omulimu ogwayononebwa Luumi okumala emyaka ebikumi bina egy’okunyigirizibwa. EE 159.3
Omulimu gweyongeramu amaanyi olw’omusaayi gw’abajulizi ogwayiika. Anti obwapapa bwe bwalaba nga akabi kaboolekedde, ne basalawo okwokya omuliro abamu ku balangira n’abakungu mu nsi ya Scotland. Baziimba ebituuti kwe baasinziiranga okwogerera ebigambo by’abajulizi bano abattibwa okwetoloola ensi yonna, abantu ne basanyuka okuwulira ebigendererwa byabwe eby’okwejjako ekikoligo kya Luumi ebitafa. EE 159.4
Hamilitoni ne Wisharti abaali abalangira mu mpisa ne mu buzaale, awamu n’olukalala Iw’abayigirizwa, ne bewaayo bookebwe omuliro. Naye waliwo eyajja awo ne we baayokera Wisharti oyo ataayinza kusirisibwa na muliro, oyo eyakozesebwa Katonda era eyali ow&pos;okubika okufa kw’obwapapa mu Scotland. EE 159.5
John Knox yali akyuse okuva mu busamize n’obulombolombo bw’ekkanisa y’e Luumi, n’adda mu kwerira ekigambo kya Katonda eky’obulamu; so n’enjigiriza ya Wisharti yamwongerako obumalirivu okwawukanira ddala ku Luumi, bwatyo, n&pos;akkiriza okwegatta ku Bazza b’ekkanisa abayigganyizibwa. EE 159.6
Yeegayirirwa mikwano gye akkirize okubeera omubuulizi, kyokka ne yeetya bwe yalowooza ku buvunaanyizibwa obwo, naye oluvannyuma Iw’okweyawula okuva ku banne okumala ennaku awamu n’olutalo olw’amaanyi olwali mu mutima gwe, nakkiriza. Naye bwe yamala okukkiriza obuvunanyizibwa obwo, n’agenda mu maaso n’okuweereza awatali kutya wadde okudda emabega bwe yali ng’akyali mulamu. Omuzza w’ekkanisa ono nga tatya muntu yenna. Omuliro ogwayokyanga abajulizi gwe yalabanga buli wantu, ne gumwongeramu bwongezi maanyi. Yanywera ku magulu ge, nga mumalirivu okusanyawo okusinza ebifaananyi, newakubadde ng’embazi y’omutemu yali emugaluliddwa ku mutwe gwe. EE 159.7
Ng’atuusiddwa mu maaso ga nnabakyala wa Scotland, oyo eyajeemululanga abakulembeze b’Obupulotestanti, John Knox yategeeza amazima awatali kuyuzibwayuzibwa. Teyakkiriza kuwangula olw’okumuwanawana; ate era teyakankana mbu olw’okumutiisatiisa. Nnabakyala yamuvunaana olw’okuyigiriza eby’obulimba. Yali ayigiriza abantu okukkiriza eddiini eyawerebwa mu ggwanga, na bwekityo aba amenye etteeka lya Katonda mu kuwaliriza abagoberezi be okugondera omulangira waabwe. Knox yamuddamu nga munywevu nti: EE 160.1
“Olw’okubanga eddiini ey’amazima teyatandikira wadde okufuna obuyinza okuva mu balangira ab’ensi, wabula okuva eri Katonda yekka, n’olwekyo tebayinza kwesigamya kukkiriza kwabwe ku ebyo abalangira baabwe bye baagala. Kubanga ate, emirundi mingi abalangira be batamanyi ddiini ya Katonda ey’amazima okusinga abantu bonna.... Kubanga singa abazzukulu ba Ibulayimu bonna baatwala eddiini ya Falaawo, anti baali baddu mu nsi ye okumala ekiseera, nsaba ombuulire maama, wandibaddewo ddiini ya ngeri ki mu nsi? Oba singa abantu bonna abaaliwo mu nnaku z’abatume baatwala eddiii ya bakabaka ba Luumi, twandibadde na ddiini efaanana etya mu maaso g’ensi? N’olwekyo maama, oyinza okukiraba ng’abaddu tebatngibwa ddiini ya bakama baabwe, newakubadde nga balagirwa okubawulira.” EE 160.2
Nnabakyala kwe kubuuza nti: “Ggwe onnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri ndala, nabo (abayigiriza mu kkanisa y’e Luumi) babinnyonnyola mu ngeri yaabwe; olwo nzikirize by’ani, era ani anatulamula?” “Kikugwanira okukkiriza Katonda ayogerera mu kigambo kye,” John bwe yamuddamu; “n’ekirala, ekigambo kye kiba kikuyigiriza, olwo obuwulize bwo tebuube mu ono oba oli. Ekigambo kya Katonda kitegerekeka bulungi; era bwe wabaawo ekitategeerekeka bulungi, Omwoyo Omutukuvu ateewakanya, akuluŋŋamya ng’osomye mu kitundu ekirala ku nsonga eyo, oleme okusigalamu okubusabuusa okusinga okuguggubira mu butamanya.” - David Laing, The Collected Works of John Knox, vol. 2, pp. 281,284. EE 160.3
Ebyo byebimu ku bigambo Omuzza w’ekkanisa atatya bye yayogerera mu matu ga nnabakyala nga tafuddeeyo ku bulamu bwe. Naasigalanga nga mugumu awatali kutya mu kutuukiriza ekigendererwa kye, wakati mu kusaba n’okulwana entalo za Mukama, okutuusa Scotland Iwe yanunulwa okuva mu bufuge bw’obwapapa. EE 160.4
Ate yo e Bungereza, ekirowoozo ky’okunyweza Obupulotestanti okuba eddiini enkulu mu ggwanga kyagenda kigwamu amaanyi, kyokka okuyigganyizibwa tekwaggwerawo ddala. Newakubadde nga enjigiriza z’ekkanisa y’e Luumi nyingi baaziwakanya, naye baasigala basinza mu ngeri yeemu. Baagana papa okuba nga gwe mutwe gw’ekkanisa, ate mu kifo kye ne bazzaawo kabaka wa Bungereza. So nga mu kusinza, baali baava dda ku njiri ey’amazima era entukuvu. Ng’etteeka ekkulu ery’eddembe ly’okusinza tebanalitegeerera ddala bulungi. Newakubadde nga okutulugunya Luumi kwe yatulugunyangamu abayigiriza aboobulimba, kaakano nga kukolebwa abakulembeze mu Bupulotestanti wewaawo nga si mu maanyi, lyo eddembe ly’okusinza Katonda buli omu nga bw’awulira, nga tebakukkiriza. Bonna nga baagalibwa bakkirize enjigiriza zonna nga bweziri awamu n’okugoberera okusinza nga bwe kulagirwa ekkanisa eyatandikibwawo. Ababa tebakkaanyiza nabo ne bayigganyizibwanga oluusi mu maanyi okumala emyaka egiri mu bikumi. EE 160.5
Mu kyasa ky’ekkumi n’omusanvu abasumba bangi baagobwa mu buweereza. Abantu baaganibwa okwetaba ku mikolo oba enkuŋŋaanazonna z’eddiini olw’engassi, okusibwa mu kkomera, oba okugobwa wabula nga zikkiriziddwa EE 160.6
ekkanisa. Eri abo abeesigwa abaawuliranga nga tebayinza kukyebeera kukuŋŋaana basinze Katonda waabwe, ne bawalirizibwa okukuŋŋaanira mu bufo obufunda emabega w’ebizimbe oba ku nju waggulu, n’emirundi egimu mu bibira obudde obw’ekiro. Abaana ba Katonda abayigganyizibwa era abasasaanye, ne bakuŋŋaaniranga mu bibira nga bafuka okusaba n’okutendereza kw’emeeme zaabwe eri Mukama. Naye newakubadde nga beekuumanga, bangi baabonabona olw’okukkiriza kwabwe. Amakomera ne gajjula. Amaka ne gaabulukukamu. Bangi ne bagobebwanga okuddukira mu bitundu by’ensi ebirala. Kyokka wonna nga Katonda ali wamu n’abantu be, era okuyigganyizibwa tekwayinza kubasirisa. Bangi ne badduka ne basomoka agayanja okutuuka mu Amerika era eno gye baasima omusingi ogw’eddembe ly’obuntu awamu n’okusinza ebibadde bbuggwe ow’amaanyi era ekitiibwa ky’ensi eno. EE 161.1
Era okufaanana nga ne mu nnaku z’abatume, okuyigganya abakkiriza, kw’asasaanya njiri. John Bunyan olumu yalega ku kitiibwa ky’eggulu, bwe yasibwa mu kkomera ezzibu ddala eryali lijuuddemu abatemu; eyo gye yasinziira n’awandiika olugero olukwata ku lugendo lw’omutambuze ng’ava mu nsi ey’okuzikirira agenda mu kibuga eky’omu ggulu. Era eddoboozi eryo okuva mu kkomera ly’e Bedford lyogedde mu ddoboozi erisonsomola eri emitima gy’abantu okumala emyaka egisukka mu bikumi ebibiri. Olugero lwa Bunyan olw’Olugendo Lw’omutambuze n’Ekisa kya Katonda Ekitakoma eri Omwonoonyi Lukulwe lukulembedde bangi okutuuka mu kkubo ery’obulamu. EE 161.2
Baxter, Flavel, Allein, n’abalala bangi abaalina ebirabo ebingi, omuli obuyivu, awamu n’Obukristaayo obwa nnamaddala ne bayimirirawo mu buvumu obwekitalo okulwanirira okukkiriza okwasooka okuweebwa abatukuvu. Omulimu ogwakolebwa abantu bano, nga bwe bawerebwa abafuga ensi eno n’okuyitibwa abamenyi b’amateeka, teguliyinza kusaanawo. Ate oluyimba lwa Flavel: Ensulo Ey’obulamu n’ekisa kya Katonda, luyigirizza bangi engeri gye bayinza okuwaayo emyoyo gyabwe eri Kristo agikuuma. Ye Baxter n’ekikwate ky’Omusumba Azze Obuggya kireetedde bangi abaagala omulimu gwa Katonda okudda obuggya emikisa, nga kw’otadde Ekiwummulo Ky’abatukuvu Ekitaggwaawo kikoze omulimu gw’okutuusa emyoyo mu “kiwummulo” ekisigaddeyo eri abaana ba Katonda. EE 161.3
Whitefield ne ba Wesley nabo baalabika nga basitudde omumuli gwa Katonda wakati mu kizikiza ekyabuutikira emyoyo gy’abantu oluvannyuma Iw’emyaka kikumi. Ekanisa eyatandikibwawo bwe yali nga yeefuga, abantu b’e Bungereza baawola okutuusa eddiini nga tokyayinza kugyawula ku bukaafiri. Eddiini y’obutonde ng’abasumba gye bettanira okuyigiriza era nga nabo gye bayigako. Ng’okuba Omukistaayo omulungi abayivu bakuŋŋoola, era nga beenyumiririza mu butaba bo kye baayitanga akajanja. Ate ng’abantu baabulijjo bo balekeddwa mu butamanya obuyitirivu n’okukola agayisa agavundu, so nga n’ekkanisa tekyalina maanyi ago oba okukkiriza esobole okuwanirira omulimu gw’ayo ogugudde. EE 161.4
Omusingi omukulu ogukwata ku butuukirivu olw’okukkiriza, ogwayigirzibwanga Luther, nga kumpi tegukyayigirizibwa: wabula enjigiriza ya Luumi eteekesa essira ku bulukozi nga wesigama ku bikolwa ebirungi. Kyokka nga Whitefield ne ba Wesley abaali mu kkanisa eno eyatandikibwawo, bawulira nga banoonya okusaasira kwa Katonda mu mazima, so nga ekyo kye bayigirizibwa okukola ebikolwa ebirungi n’okukwata amateeka g’eddiini. EE 161.5
Olumu Charles Wesley bwe yalwala, era ng’asuubira nti ayinza n’okufa, yabuuzibwa essuubi lye ery’obulamu obutaggwaawo mwalitadde. Eky’okuddamu kye kyali nti: “Nfubye nnyo okuweereza Katonda.” Kyokka mukwano gwe eyamubuuza bwe yamulaba ng’atamatidde, Wesley kwe kufumiitiriza: Kiki! Okufuba kwange siyinza kukwesigamyako ssuubi lyange? Anaayinza okuntwalako bye nkoleredde? Ate sirinaayo kirala kye nninamu ssuubi.” John Whitehead, Life of the Rev. Charles Wesley, p. 102. Ekyo kye kizikiza ky’obutamanya nga bwe kyali kituuse mu kkanisa, ng’abantu tebakyayinza kulaba saddaaka ya Kristo, ng’ekitiibwa kya Kristo kimunyagiddwako, era nga bakyusiddwa ebirowoozo byabwe obutalaba ssuubi lyabwe lyokka ery’obulokozi - omusaayi gw’Omuunuzi eyakomererwa. EE 162.1
Wesley awamu ne banne, baakizuula nga eddiini ey’amazima eri mu mutima, era ng’amateeka ga Katonda gatuukira ddala mu kufumiitiriza kw’omuntu mu bikolwa era ne mu bigambo. Baanoonya okufuna obulamu obuggya olw’okwagala okubeera abatukuvu mu mutima n’okweyisa obulungi. Awamu n’okusaba okw’amaanyi, baakutula enjegere z’omubi ezaali zisibye omutima. Baayiga okwegaanyisa, okugaba ko n’okwetoowaza, baayiga okwerumya n’okutuukiriza byonna bye baalaba nga bibayamba okutuuka ku kye baagala - bwe butukuvu obuyinza okusiimibwa Katonda. Naye tebaasobola kutuuka ku kigendererwa kyabwe. Okufuba kwabwe nga tekuyinza kubasumulula okuva mu kulumirizibwa kw’ekibi wadde okukutula amaanyi gaakwo. Olwo lwe lutalo lwe lumu Luther lwe yalwananga nalwo mu kisenge gye yasulanga e Erfurt. Ekyo kye kibuuzo ekyakulungutanyanga emeeme ye. “Naye omuntu ayinza atya okuba n&pos;obutuukirivu eri Katonda?” Yobu 9:2. EE 162.2
Omuliro ogwa mazima ga Katonda kumpi ogwali kuzikiriridde ku bituuti by’Obupulotestanti, nga gugenda kuddamu okukoleezebwa n’omuliro ogwabakwasibwa Abakristaayo b’e Bohemiya mu mirembe egyayita. Obupulotestanti mu Bohemiya bwali busambiriddwa Luumi. Nga bonna abajeema okwegaana amazima baawalirizibwa okudduka. Abamu ne bafuna obubudamo e Bungereza gye baasigala nga banywevu mu kukkiriza kwabwe okwo. Abaana b’Abakristaayo bano be baakwasa omumuli Wesley ne banne. EE 162.3
John ne Charles Wesley nga bamaze okwawulwa ng’abaweereza baawerezebwa mu Amerika ng’abaminsani. Era bonna abaali ku lyato nga Bakristaayo abeegattira awamu mu kibiina kya Moravia. Wabula Wesley yatya nnyo bwe yalaba nga anaatera okufa olw’amayengo amangi ge baasisinkana ku nnyanja nga bagenda, anti ng’alowooza nti tannafuna mirembe awamu ne Katonda. Ate ng’Abagirimaani bwe bali mu lyato mwe yali ng’omugwira bo nga bakakkamu byakitalo. EE 162.4
“Nzize nga mbetegereza mu nneyisa yaabwe,” bw’agamba. “Bagumiikiriza ekyenkanidde awo, olw’okwagala okuweereza abalala mu mirimu gino egy’obuddu so nga teri Mungereza ayinza kugikola; emirimu gyebakola n’okwagala awatali mpeera, nga bwe bagamba nti kye kisinga okubasanyusa kubanga n’Omulokozi waabwe owookwagala yabakolera kinene okusinga n’ekyo. Ne bakoleranga mu bwetoowaze awatali kuggwerera buli lunaku. Oba kukubwa, oba kusindikibwa eri, wadde ensonga yonna, nga basituka busitusi ne bakuviira; so mu kamwa kaabwe temwalabikangamu kwemulugunya kwonna. Kaakano nga batuuse mu kiseera eky’okugezesebwa oba nga ddala baanunulibwa okuva mu mwoyo w’okutya, EE 162.5
amalala, obusungu n’ekiruyi. Ennyanja yatabuka mu ngeri eyentiisa wakati mu luyimba lwe baali bayimba, ejjeengo ne likuba eryato okusigala mu bitundutundu, eryato ne libulira wakati mu mayengo, amazzi ne gayiika munda mu lyato, nga kiringa oba oli awo ababbidde mu buziba bw’ennyanja. Abangereza ne bakuba enduulu. Abagirimaani nga bwe bagenda mu maaso n’okuyimba. Oluvannyuma nnabuuza omu ku bo nti, ‘Tewatidde?’ Yanziramu nti, ‘Nnebaza Katonda saatidde.’ Era ne mubuuza, ‘Ate bakyala bammwe awamu n’abaana?1 Yanziramu nga mukakkamu nti, ‘Nedda; bakyala baffe awamu n’abaana tebatya kufa.”‘ Whitefield, Life of the Rev. John Wesley, page 10. EE 163.1
Wesley yasalawo abeereko n’Abakristaayo ba Moravia nga batuuse e Savanna okumala akaseera, era n’akwatibwako nnyo olw’Obukristaayo bwabwe. Yawandiika ku buweereza bwabwe ng’Abakristaayo bwe yagerageranya ku bw’Ekkanisa y’e Bungereza obw’okutuukiriza obutuukiriza omukolo, n’agamba nti: “Okusinza kwabwe kwonna kulaga obwetoowaze ko n’obwegendereza, era banneerabiza n’emyaka olukumi mu olusanvu egyayitawo wakati, ne nneeraba nga ndi mu zimu ku nkuŋŋaana ziri ezitaabeeranga byabufuzi wadde okubeera ekifaananyi obufaananyi; wabula Pawulo omukozi w’eweema, oba Peetero omuvubi w’abantu mwe baawererezanga; kyokka mu Mwoyo era ne mu maanyi.” - Ibid., p. 11, 12. EE 163.2
Bwe yakomawo e Bungereza, Wesley yannyonnyoka bulungi amazima ga Bayibuli ge yayigirizibwa omubuulizi w’enzikiriza ya Moravia. Yakimanya nga kimugwanira okulekayo okwesigama ku bikolwa bye olw’okuweebwa obulokozi wabula yeesige “Omwana gw’endiga owa Katonda, ajjawo ebibi by’ensi.” Abamoravia bwe baakuŋŋaanira e London, baasomerwa ekiwandiiko kya Luther nga kinnyonnyola engeri Omwoyo wa Katonda bw’akolera mu mutima gw’omukkiriza. Wesley bwe yali awuliriza, yawulira ng’akutte omuliro mu mwoyo gwe. “Nnawulira nga omutima gwange gubugumye mu ngeri etali yabulijjo,” bw’agamba. “Nnalowoozanga nti mazima nzikiriza Kristo, Kristo yekka, olw’obulokozi bwange: muli ne mpuliranga n’obukakafu nti yajjawo ebibi byange, ebibi byange ddala, era nga yandokola okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.” - Ibid., p. 52. EE 163.3
Wesley yali anoonya Katonda mu ngeri ye okuyita mu kwebonereza, okwegaanyisa n’okwerumya okumala emyaka mingi, mbu olwo Iw’anayagalibwa Katonda. Naye kaakano yali amuzudde; era n’akizuula nga ekisa kya Katonda kye yakolereranga okuyita mu kusaba n’okusiiba, okuyita mu bikolwa eby’okugaba awamu n’okwerumya, kituweebwa nga kirabo, awatali kukisasulira muwendo gwonna.” EE 163.4
Okukkiriza kwe bwe kwamala okunywezebwa mu Kristo, omwoyo gwe ne gukwata omuliro gw’okwagala okubunyisa wonna amazima g’enjiri ey’ekitiibwa ey’ekisa kya Katonda eky’obuwa. Yagamba nti: “Okusinziira mu buli kitundu kya nsi we ndi, ensi yonna ng’angiraba nga amatwale gange mwe nnina okuweerereza, nga kinkakatako olw’obuvunanyizibwa bwange okutegeeza amawulire amalungi ag’obulokozi buli yenna akkiriza okuwuliriza. Ibid., p.74. EE 163.5
Yeeyongera okubeera omwegendereza nga bwe yali naye kaakano si ng’ekisinziirwako, wabula ng’ekikolwa ekiva mu kukkiriza; si Iwakubanga nti gwe mulandira, naye ng’ekibala eky’esuubi ly’Omukristaayo, era nga ekisa ekyo kirabikira mu buwulize. Obulamu bwa Wesley yabumalira mu kubuulira amazima amakulu ge yafuna okuyita mu kulokolebwa olw’okukkiriza omusaayi gwa Kristo EE 163.6
ogujjawo ekibi, ne mu maanyi ag’Omwoyo Omutukuvu agakolera mu mutima okuleeta ebibala mu bulamu obwesigama ku kyokulabirako kya Kristo. EE 164.1
Whitefield ne Wesley baatekebwateekebwa okukola omulimu okuyita mu ebyo ebyabatuukako ne bategeera embeera mwe baali bagwiridde; bwebatyo bayinze okuyimirirawo mu biseera ebizibu nga abaserikale abalungi aba Kristo, kubanga baanyomebwa ne basekererwa awamu n’okuyigganyizibwa bwe baali ku settendekero era ne bwe baali bayingira obuweereza. Baasekererwanga bayizi bannaabwe abatatya Katonda abo awamu ne bannaabwe abaabalumirwangako ne bapaatiikibwako n’erinnya ery’Abamethodisti - erinnya kaakano erissibwamu ekitiibwa ng’emu ku ddiini enkulu mu Bungereza ne mu Amerika. EE 164.2
Wabula Mukama yabakyusa okuyita mu kigambo kye eky’omuwendo omungi, okuva mu Kkanisa y’Ebungereza mwe baanywezebwa obulungi mu ngeri zaayo ez’okusinza. Omwoyo Omutukuvu n’abalumirizanga babuulirenga Kristo eyakomererwa. Era ne babeeiwanga mu mirimu gyabwe okuyita mu maanyi ag’Oyo ali waggulu. Abantu nkumi na nkumi ne bakyusibwanga era nga bakyukidde ddala. Ne kizuulibwa nga kikulu okukuuma endiga zino okuva ku misege egisikula. Wabula Wesley nga tanafuna ndowooza ya kuteekawo ddiini ndala empya, kyokka yabateekerateekera mu linnya ery’amanyibwa nga Methodisti Connection. EE 164.3
Kyokka ababuulizi bano baafuna okuwakanyizibwa kungi okuva mu kkanisa eyasangibwawo; naye Katonda mu magezi ge, naafugira mu bukulembeze bw’ekkanisa enkyukakyuka ne zitandikira mu nda mu yo. Singa zaatandikira bweru w’ayo, tezandiyinzizza kutuuka we zaasinga kwetaagibwa. Naye olw’okubanga ababuulizi bano abaateekawo okudda obuggya mu kkanisa baali ba mu kkanisa, era nga baaweererezanga mu matwale g’ayo buli lwe baafunanga omukisa, amazima gaayanguyirwa okuyingira mu bifo gye gandiziyiziddwa okutuuka. Abalabirizi abaali beebase ne bazuukusibwa okuva mu tulo ne bafuuka ababuulizi abamaanyi mu matwale gaabwe. Amakanisa agaali gagguggubidde mu kusinza okwemikolo ne gaddamu obulamu. EE 164.4
Mu biro bya Wesley, abantu baakolanga emirimu gyabwe okuyita mu birabo byabwe ebyenjawulo, okufaananako ne bwe gwalinga mu kusooka kw’ekkanisa. Nga tebafaananya njigiriza wabula bonna ne bakwatibwangako Omwoyo wa Katonda, nga bonna bamaliddwawo ekigendererwa kimu: kwe kuwangulira Kristo emyoyo. Era olumu enjawukana ezaaliwo wakati wa Wesley ne Wtiitefield kata ziteekewo obukyayi; naye olw’okubanga baayigirizibwa obuwombeefu mu gunjuliro lya Kristo, baatabaganyizibwa n’okwagala awamu n’okuzibiikiriziganya. Tebayinza kuddamu kuyombagana, newakubadde nga ensobi n’obubi byagenda byeyongeranga buli wantu, era nga n’ababi bwe beeyongera mu kuzikirira. EE 164.5
Abaddu ba Katonda ne bayitanga mu buzibu obutayogerekeka. Eno abantu abamaanyi era n’abayivu nga bwe babalwanyisa. Ate abalabirizi nabo ne basitula obukyayi bwabwe nate oluvannyuma lw’ekiseera, bwetyo enjiri etuukiridde n’eggalirwa ebweru w’ekkanisa awamu n’abagibuuliranga. Abalabirizi bwe baagaana ababuulizi okulinnya ku bituuti by’ekkanisa, abantu ne baddayo ennyuma mu butamanya ko n’obugwenyufu. Era enfunda nnyingi John Wesley naawoneranga watono okuttibwa olw’ekisa kya Katonda. Lwali olwo baawerera ekibinja ky’abantu okumukola obubi, kyokka nga talina waayinza kuwonera, ne waalabika malayika mu EE 164.6
kifaananyi ky’omuntu eyayimirira waali, abantu abo ne bagwa eri, omuddu wa Kristo n’ayitawo mirembe. EE 165.1
Olumu Wesley bwe yali ayogera ku ngeri bwe yalokolebwamu okuva mu gubinja gw’abantu abaali baswakiidde, yagamba nti: “Bangi baayagala nnyo okuntega ngwe wansi bwe twalinga tutambula tukkirira okugenda mu kibuga ekkubo nga liseerera; nga muli balowooza nti bwe ngwa wansi siyinze kusitukawo nate. Naye saayinza kwesittala wadde naakatono, wadde okuseerera okutuusa nga mbeyawuliddeko ddala.... Era newakubadde nga bangi baafubanga bakwate engoye zange bansike ngwe wansi, tebayinzanga kuzinyweza: wabula omu yekka ye yanyweza omusipi gwe nnali nnesibye mu kiwato naye ne gwesumulula ne gusigala mu mikono gye.... Omusajja omu owamaanyi eyandi ennyuma, yasawukanga omuggo gw’omupeera emirundi egiwerako; nga singa gwankwasaako omulundi gumu gwokka ku mutwe, teyandibonyebonye nnyo. Naye ku buli mulundi, yakubanga bbanga, naye nange saamanya; kubanga saayinza kukyukira ku mukono gwa kkono wadde ogwa ddyo.... Omulala n’ajja nga yenyiga wakati mu bantu, nga bwawanise omukono gwe mu bbanga okunkuba, kyokka nagussa mangu nnyo, n’akuba ku mutwe gwange, nga bwagamba nti: ‘Ng’alina enviiri ezigonda!’.... Wabula abasajja bali abasooka abaakwatibwako ku mitima gyabwe, be bamu ku bazira b‘omu kibuga abaakulemberanga abantu abaakolanga effujjo mu kibuga, era omu ku bo yaweebwa n’ekirabo eky’okulwana n’eddubu.... EE 165.2
“Naye Katonda ng’atufuula bangu ffe okutuukiriza by’ayagala! Emyaka ebiri emabega, ettoffaali lyakolobola ekibegabega kyange. Ne wayita omwaka gumu ne nkasuukirirwa ejjinja ery’ankuba mu kyenyi. Omwezi ogwayita nakubibwa ekikonde, ate n’enkubwa emirundi ebiri akawungeezi ka leero, omulundi ogwasoose bwe twabadde tetunajja mu kibuga, ate n’omulala nga tufulumye ebweru w’ekibuga; naye wonna ne sirumwa; kubanga newakubadde nga omuntu omu yankuba ekikonde ku bbeere n’amaanyi ge gonna, ate omulala n’ankuba mu maanyi amayitirivu ku mimwa ne nfuuwa n’omusaayi, sirumiddwa wadde naakatono ku mirundi gyombi okusinga Iwe bandimpise ekitagasa.” - John Wesley, Works, vol. 3, pp. 297,298. EE 165.3
Abamethodisti ab’omu kiseera ekyo - omuli abantu babulijjo awamu n’ababuulizi - baagumira okuŋŋoolebwa n’okuyigganyizibwa, omuli abantu b’ekkanisa era n’abatali bannaddiini nga beefuula kye batali. Baasimbibwanga mu mbuga z’amateeka - lwa kutuusa mukolo, kubanga tewaaliwo bwenkanya mu mbuga z’amateeka mu biseera ebyo. Era emirundi mingi ne bakubibwanga ababayigganyanga. Abantu abasiwuufu b’empisa ne bavanga nnyumba ku nnyumba nga bwe bagenda bonoona ebibajje n’ebintu eby’omuwendo, nga bwe banyaga byonna bye basanze, eno nga bwe bakola ebikolobero ku basajja abakazi awamu n’abaana. Ate emirundi egimu, ne batimbanga ebiwandiiko ebiyita abantu abandyagadde okuyambako mu kumenya amadirisa n’okunyaga ennyumba z’Abamethodisti, bakuŋŋaanire awantu mu kiseera ekigere. Abantu ne bamenyanga amateeka ga Katonda awamu n’ag’ensi mu Iwatu awatali akuba ku mukono. Ne bayigganyanga abantu nga babavunaana Iwa kwagala kukyusa bigere bya mwonoonyi ave mu kkubo erimutwala mu kuzikirira adde mu kkubo ery’obutuukirwu. EE 165.4
John Wesley agamba bwe yali ayogera ku lwe baamuvunaana ye awamu ne banne nti: “Abamu babityebekanga nti enjigiriza z’abantu bano za bulimba, ziwabya era EE 165.5
zicamuukiriza bucamuukiriza; era nga mpya nnyo ezitawulirwangako okutuusa wano jjo lyabalamu; era nga balimu enjigiriza n’akajanja k’Abaquaka, era ba papa. Obunnanfuusi buno bumaze okumalibwawo, olw’okubanga bulabikira ne mu Byawandiikibwa nga bwe binnyonnyolwa ekkanisa yafFe eno. N’olwekyo ekkanisa yaffe teyinza kuba nti yawaba oba nti yagwa kavuna Ebyawandiikibwa biba nga by’amazima.” “Ate abalala ne babityebeka nti, ‘Enjigiriza yaabwe nzibu ddala; era bafuula ekkubo erigenda mu ggulu okuba effunda ennyo.’.... Naye bayinza okufuula ekkubo erigenda mu ggulu okuba effunda ennyo okusinga Mukama waffe awamu n’abayigirizwa kye baakola? Enjigiriza yaabwe eyinza okuba ey’okukuuma obutiribiri ennyo okusinga Bayibuli nga bw’eyigiriza? Lowooza ku Byawandiikibwa bino ebyangu: ‘ Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’amagezi go gonna, n’emmeeme yo yonna, n’obulamu bwo bwonna.’ ‘Kubanga buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw’omusango.’ ‘Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.’ EE 166.1
“Enjigiriza yaabwe bw’eba nga nkalubo okusinga awo, bebavunanyizibwa, naye mukimanyidde ddala mu magezi gammwe nga sikituufu. Era ani ayinza obutamenya wadde akatonyeze akamu mu mateeka n’atayonoona kigambo kya Katonda? Kiyinzika omuwanika w’ebyama bya Katonda okuba omwesigwa bw’awanyisaamu ebimu ku by’obugagga ebitukuvu? Mbagamba nti si bwekiri. Tayinza kukendezaako n’ekimu, wadde okuddiriza ku kiragiro; wabula kimukakatako okukitegeeza abantu bonna nti, ‘nnyinza obutakkakkanya ddaala lya Byawandiikibwa kutuuka ku kyemwagala. Naye mmwe mulina okutuuka ku mutindo, bwekitaba kityo, muli baakuzikirira.’ Eno y’emu ku nsonga eyagalibwa abangi ekwata ku bikolwa by’abasajja bano abataaliimu mpisa yakwagala kuyamba.’ Kubanga baabuuzanga nti, tebaliimu mpisa ya kwagala kuyamba? Olwo batya? Baliisa abayala era ne bambaza abali obwereere? ‘Nti nedda; eyo si yensonga: mu ekyo tebalina kye babulamu naye beerowozaako nnyo! Balowooza nti tewali ayinza kulokolebwa wabula abo bokka abali mu nzikiriza yaabwe.’” - Ibid., voI. 3, pp. 152, 153. EE 166.2
Okuddirira mu by’omwoyo okwaliwo mu Bungereza ebbanga si ddene Wesley olyoke ajje, kwali kunene ddala kubanga kwavaamu n’enjigiriza ya antinomian eyigiriza nti Omukristaayo bw’aba n’okukkiriza mu Kristo aba wa ddembe era takakatibwako kuba muwulize eri amateeka ag’empisa nga bwe gali mu Ndagaano Enkadde. Nga bagamba nti Kristo yajjawo amateeeka ag’empisa nabwekityo Abakristaayo tegakyabafuga; nti omukkiriza yasumululwa okuva mu “busibe bw’ebikolwa ebirungi.” Abalala nga newakubadde bakkiriza amateeka ga Katonda okuba nga galubeerera, nga bagamba nti kyali tekyetaagisa basumba kubuulirira bantu nti bawulire ebiragiro ebiri mu mateeka, olw’okubanga abo Katonda be yalokola “bawalirizibwa olw’ekisa kya Katonda okuyisa empisa ennungi,” ate abo abalindiridde okuzikirira okw’emirembe n’emirembe “tebalina maanyi ga bafuula bawulize eri amateeka ga Katonda.” EE 166.3
Abalala nabo nga bategeeza nti “abalonde tebayinza kugwa okuva mu kisa kya Katonda wadde nti Katonda ayinza okubajjako okusaasirwa,” ne bafuna nate enjigiriza embi ddala nti “ebikolwa ebyobugwagwa bye bakola si bibi ddala wadde okutwalibwa mu ttuluba ly’okujeemera amateeka ga Katonda, era nti, n’olwekyo, EE 166.4
tebayinza kwatula nti boonoonye olw’okumenya amateeka basobole okwenenya.” — McClintock and Strong, Cyclopedia, art. “Antinomians.” N’olwekyo nti, newakubadde ekibi ekisembayo okuba ekibi, ekirowoozebwa abantu bonna nti kuba kumenya mateeka ga Katonda, si kibi mu maaso ga Katonda,” kavuna abeera nga akikoze y’omu ku balonde ba Katonda, kubanga eyo y’emu ku mpisa ezaawula abalonde nga tebayinza kukola kintu kyonna ekinyiiza Katonda wadde amateeka kye gagaana.” EE 167.1
Enjigiriza ezo ezitiisa okuwulirwa, mwe musibuka n’enjigiriza ezisanyukirwa abayigiriza ab’ensangi zino n&pos;abayivu mu ddiini nti tewaliiwo tteeka lya Katonda ttuufu litakyuka, wabula etteeka ettuufu ery’empisa lirabikira mu bantu bennyini, era nga lisobola okukyuka. Naye endowooza zino zonna zigunjibwa mu mwoyo gwe gumu ogwa ssabalimba eyali mu ggulu eteri kibi naayingiza mu batuulayo omwoyo gw’okumenya amateeka ga Katonda amatukuvu. EE 167.2
Enjigiriza eyigiriza nti Katonda awa buwi biragiro, era takkiriza bantu kwerowooleza, ereetedde bangi okukyawa amateeka ga Katonda. Ebyo ab’enjigiriza ya antinomian bye baayigirizanga Wesley bye yawakanyiza ddala, nga bw’abategeeza nti enjigiriza ezo zikontana n’Ebyawandiikibwa. “Kubanga ekisa kya Katonda kirabise nga kireetera abantu bonna obulokozi.” “Ekyo kye kirungi, ekikkirizibwa mu maaso g’Omulokozi waffe Katonda, ayagala abantu bonna okulokoka, era okutuuka mu kutegeerera ddala amazima. Kubanga waliwo Katonda omu, omuntu Kristo Yesu, eyeewaayo abe omutango olwa bonna.” Tito 2: 11; lTimoseewo 2: 3-6. Omwoyo wa Katonda atuweebwa buwa olw’okusobozesa buli muntu okwefunira obulokozi. Bwatyo Kristo, “Omusana ogwamazima” ky’ava abeera “omusana ogwakira buli muntu, nga gujya mu nsi ” Yokaana 1: 9. Bwekityo abantu balemcrerwa bulemererwa okwefunira obulokozi ekirabo ekyobulamu Iwa kwagala kwabwe. EE 167.3
Bwe yali ayanukula ebyali byogerwa nti amateeka ekkumi awamu n’amateeka ag’emikolo gaggibwawo Kriso bwe yafa ku musaalaba, Wesley yagamba nti, empisa eziri mu mateeka ekkumi agaawandiikibwa, era ne gakuumibwa bannabbi, teyagaggyaawo. Eyo si y’ensonga eyamuleeta okuggyawo newakubadde ekitundu ekimu ku go. Amateeka ago tegayinza kuggibwawo, ‘gayimirirawo ng’omujulizi ow’amazima mu ggulu’.... ‘Gawaandiikibwa si mu nnukuta ez’oku bipande eby’amayinja’ naye mu mitima egy’abaana b’abantu nga baakamala okuggibwa mu mikono gy’Omutonzi okuva ku lubereberye lw’ensi. Ekyennaku, ennukuta olumu ezawandiikibwa n’engalo ya Katonda, kaakano zoonooneddwa ekibi mu ngeri embi ennyo, naye era teziyinza kusangulibwawo zonna, abantu bwe baba bakyayinza okwawula obulungi n’obubi. Olulyo lw’omuntu lukyavunaanyizibwa okuwulira buli kitundu ku mateeka ago, era okuyita mu mirembe gyonna; nga tegayinza kukyusibwa olw’okubanga gayiseeko ekiseera, oba nti ga mu kitundu kirala wadde oba ensonga yonna, naye olw’ekyo Katonda kyali, ne ku lw’obutonde bw’omuntu, n’engeri gye gakwanaganamu etekyuka. EE 167.4
“‘Sajja kudibya wabula okutuukiriza,’ Awatali kubuusabuusa, kyategeeza wano EE 167.5
kye kino, (mpozzi okufaananako n’ebyo ebyayita oba ebirijja) nti, Najja kunyweza n’okugatuukiriza mu bujjuwu, si nsonga abantu bagonoonye kyenkana wa: Najja abantu basobole okulaba obulungi ekyo ekyali kibakwekeddwa mu kizikiza: Najja okutegeeza mu bujjuwu amazima gonna agali mu go; okulaga obuwanvu era EE 167.6
n’obugazi, obugulumivu awamu n’obunene obwa buli kiragiro ekiri mu go, okulaga obutukuvu obutakkirizika awamu ne bwegaluŋŋamyamu obulamu obw’omwoyo.” - Wesley, sermon 25. EE 168.1
Wesley yategeeza amateeka nga bwe gatabagana awamu n’enjiri. “N’olwekyo, mu go tulabamu okukkaanya wakati w’amateeka n’enjiri. Ku luuyi olumu, amateeka ge gatulaga ekkubo era n’okutusongera ku njiri; ate ku luuyi olulala, enjiri n’etuzzaayo mu ngeri entuufu ey’okutuukirizamu amateeka. Ekyokulabirako, amateeka gatulagira okwagalanga Katonda, okwagalanga muliranwa waffe, okuba abeetoowaze, abakkakkamu, oba abatukuvu. Mubutuufu, muli ekyo naffe tuwulira nga tetuyinza kukituukiriza ku bwaffe; mazima ‘ekyo mu buntu tekiyinzika;’ naye tulaba nga mu bisuubizo bya Katonda ng’atusuubiza okutuwa okwagala okwo, atufuule abawombeefu, abateefu era abatukuvu: tuwambaatira amawulire amalungi ago; ne tugamba nti kitukoleddwa ng’okukkiriza kwaffe bwe kuli; ‘obutuukirivu obuli mu mateekanebutuukirizibwamu ffe,’okuyitamu kukkirizaokuli muKristo Yesu.... EE 168.2
“Abalabe abasingayo okuba abawaggulu eri enjiri ya Kristo,” Wesley agamba, “b’ebo abawakanya era ne “bavumirira amateeka’ mu Iwatu, abayigiriza abantu okumenya amateeka (bagasaanyewo, babe ba ddembe, beesumululeko obuvunaanyizibwa) si Iwa tteeka limu lyokka, erisingayo obunene oba erisingayo obutono, naye olw’amateeka gonna. Kyokka eky’ennaku ennyo, b’ebo abagwa mu bulimba buno abagamba nti basaamu Kristo ekitiibwa nga bajjawo amateeka ge, mbu nti basasaanya buweereza bwe nga bwe bamenya by’ayigiriza! Mazima, bamusaamu ekitiibwa kya ku mimwa nga Yuda bwe yakola amale agambe nti ‘Labbi n’amunywegera.’ Era ne Kristo ayinza okutegeeza buli omu nti, Omwana w’omuntu omulyamu olukwe ng’omunywegera?’ Tekirinamu makulu okumulyamu olukwe ng’omunywegera, n’oyogera ku musaayi gwe, ate n’omuijako engule ye; okulengezza amateeka ge, nga weerowozesa nti oli mu kusasaanya njiri ye. Era tewali n’omu ayinza kuwona musango ng’ayigiriza abantu okuba n’okukkiriza naye eno nga bw’ajjawo obuwulize bwonna mu mateeka mu bugenderevu oba si mu bugenderevu: n’ayigiriza Kristo nga bw’awakanya oba okunafiiya etteeka erisingayo okuba ettono mu mateeka ga Katonda mu buli ngeri yonna.” Ibid., EE 168.3
Ate era Wesley yayanukula n’abo abagamba nti, “okubuulira enjiri kwanukulira amateeka gonna” bwe yagamba nti: “Kino si kituufu n’akatono. Tekwanukulira newakubadde etteeka erimu bweriti, okugeza, okulumiriza abantu ekibi, wadde okuzuukusa abali ku njegoyego ya geyeena nga beebase.” Omutume Pawulo agamba nti “Ssanditegedde kibi wabula mu mateeka;” “era okutuusa ng’omuntu alumiriziddwa ekibi, lw’ayinza okuwulira obwetaavu bw’omusaayi gwa Kristo.... ‘Abalamu,’ ng’Omulokozi waffe yennyini bwe yagamba, ‘tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.’ N’olwekyo, tekiba kya magezi omuntu omulamu okumuleetera musawo, newakubadde okwerowoozesa nti oli mulwadde. Okusooka olina okubakakasa nti balwadde; bwekitaba kityo, tebayinza kukwebaza olw’okufuba kwo. Era bwekityo tekiba kya magezi abantu okubaleetera Kristo ng’emitima gyabwe tegimwetaaga oba nga teginamenyeka.” Ibid., sermon 35. EE 168.4
Bwatyo Wesley bwe yali abuulira ku kisa kya Katonda, yayagala “okuzimbulukusa amateeka” ga Katonda okufaanana ne Mukama we, galyoke gassibwemu ekitiibwa.” Yatuukiriza omulimu ogwamukwasibwa Katonda mu bwesigwa, era n’asanyizibwa EE 168.5
okulaba ku bibala eby’ekitiibwa ebyava mu kukola kwe. Kunkomerero y’obulamu bwe obwaweza emyaka ekinaana - kumpi emyaka makumi ataano yagimala mu buweereza ng’atambula - era yaflina abagoberezi abassukka mu mitwalo ataano. Naye omuwendo ogwasitulibwa okuyita mu kufuba kwe okugibwa mu bunnya era n’amatongo g’ekibi okutuusibwa mu bulamu obusingako era obutukuvu, ng’okuyita mu kuyigiriza kwe, batuuka mu kutegeera Katonda obulungi, teguliyinza kumanyika okutuusa abaana ba Katonda bonna abaanunulibwa Iwe balikuŋŋaanyizibwa mu bwakabaka bwa Katonda. Obulamu bwe butulaga ekyokuyiga ekitagererwa muwendo eri buli Mukristaayo yenna. Okukkiriza okw’engeri eyo n’obukkakkamu, okufuba awatali kukoowa, okwewaayo awamu n’okwagala ebyali mu muddu wa Kristo ono, biyinza okulabikira ne mu makanisa olwaleero! EE 169.1