Essuubi Eritaggwaawo
16 — Abalamazi Era Abatambuze
Abazza b’ekkanisa Abangereza, bwe baalekeraawo okukkiririza mu njigiriza za Luumi, beesigaliza engeri nnyingi ezimu ku zo. Bwekityo, newakubadde nga obuyinza n’enjigiriza ya Luumi baali babigaanye, obuwangwa n’ensinza si bitono ku bye baayingiza mu kusinza kw’Ekkanisa y’Ebungereza. Baagambanga nti ebyo si bye bikulu; era nti newakubadde nga tebiragirwa mu Byawandiikibwa, era nga n’olwekyo si bikulu, so ng’ate tebigaanibwa, bwekityo tebiriimu kabi. Mu ndaba yaabwe baali bafunzizza omuwaatwa ogwali gwawula ekkanisa ezazzibbwa obuggya okuva ku kkanisa y’e Luumi, era nga bwe balumiriza nti Abaluumi awo we banaayila okukkiriza eddiini y’Obupulotestanti. EE 185.1
Mu balowooleza mu ngeri enkadde n’abo abekkiriranya, endowooza eyo baagiraba ng’emala. Naye waaliwo abalala abataakikkiriza batyo. Olw’okubanga enkola z’Abaluumi zaali ziwomoggodde agatuli wakati w’Abaluumi n’Abazza b’ekkanisa Obuggya” (Martyn, omuzingo 5, p. 22), awo we baasinziira balyoke baziwakanye obutazisigaza. Baazirabanga ng’obubonero bw’obuddu mwe baanunulwa era nga tebalaba nsonga Iwaki babefaananyiriza. Nga bagamba nti Katonda yateekawo enkola egobererwa mu kumusinza eri mu kigambo kye, era nga abantu si be beesalirawo okwongerako wadde okutoolako ku yo. Entandikwa y’okugwa okunene yava mu kwongera ku buyinza bwa Katonda nga bwongerwako obw’ekkanisa. Luumi yatandikira mu kuwaliriza ebyo Katonda by’ataalagira, n’anamiriza ng’awakanya bye yalagira era ebitegerekeka obulungi. EE 185.2
Bangi ne baagala baddeyo ku butukuvu n’engeri ennyangu ebyali mu kkanisa eyasooka. Nga balaba engeri y’okusinza nnyingi eyali mu Kkanisa y’Ebungereza ng’ebijjukizo by’obusamize, nga tebayinza kwegatta nabo mu kusinza. Naye olw’okubanga ekkanisa, yawanirirwanga buyinza obufuga, nga teyinza kukkiriza kugiwakanya mu ebyo by’ekola. Abantu okwetaba mu kusinza nga kuwalirizibwa buwalirizibwa, era n’enkuŋŋaana ezitakkirizibbwa ne ziwerebwa, nga bwe gukusinga osibibwa, oba okutwalibwa mu buwaŋŋanguse oba okuttibwa. EE 185.3
Ku ntandikwa y’ekyasa ky’ekkumi n’omusanvu kabaka eyali yaakalya eŋŋoma y’obwakabaka bwa Bungereza, yamalirira okuwaliriza Abapulotestanti ba Puritans “bafaanane, oba ... bafuumulwe okuva mu nsi, oba bwe bagaana nga bibi.” George Bancroft, History of the United States of America, pt. 1, ch. 12, par 6. Bwe baayiggibwa, ne bayigganyizibwa, era ne basibwa mu makomera, ne balengera mu maaso nga tebalabayo ssuubi, bangi ne bakkiriza okusinziira ku kulumirizibwa kwe baalina nga bwe baba ab’okuweereza Katonda nga bwe bawulira, “Bungereza yali ekomye okuba ekifo omw’okubeera.” - J. G. Palfrey, History of New England, ch. 3, par. 43. Abamu ne banoonya obubudamo e Holland. Baasanga ebizibu, okufiirwa, awamu n’okusibibwa mu makomera. Era baalemesebwa okutuuka ku kye baali baagala bwe baalibwangamu enkwe nga baweebwayo mu mikono gy’abalabe baabwe. Kyokka oluvannyuma baawangula wakati mu bugumiikiriza bwe baafuna obubudamo ku mbalama z’eggwanga lya Budaaki. EE 185.4
Bwe badduka, baaleka amayumba gaabwe, obugagga n’ebibalabirira mu bulamu. Baali mpuunzi mu nsi eŋŋennyi, mu bantu aboogera obulala n’obuwangwa obwenjawulo. Baawalirizibwa okukola emirimu gye batamanyi basobole okufuna ekyokulya. Abantu abakuze mu myaka nga bamanyi kulima, kaakano nga balina okuyiga okukozesa ebyuma. Bakkiriza embeera eno mu ssanyu awatali kumala budde nga boolesa bunafu wadde okwemulugunya. Newakubadde ng’obwavu bwabanyigirizanga, beebazanga Katonda olw’emikisa gye yabawanga ne bafuna essanyu olw’obutatataganyizibwa mu kusinza kwabwe. “Baakimanya nga baali batambuze era nga n’amaaso gaabwe tegatunuulidde ku bintu ebyo, wabula nga bayimusizza amaaso gaabwe eri eggulu, eri ensi gye baagala ennyo, emyoyo gyabwe ne gikakkana.”- Bancroft, pt. l,ch. 12, par. 15. EE 186.1
Okwagala n’okukkiriza kwabwe byeyongera okukula nga bali mu buwaŋŋanguse wakati mu buzibu. Beesigaanga ebisuubizo bya Mukama, era naye ataabalekereranga mu kiseera eky’obwetaavu. Era omukono gwa Katonda bwe gwabasongeranga emitala w’ennyanja, eri ettaka mwe bayinza okwefunira ensi ya bo era bagirekere abaana ng’ekyobusika eky’omuwendo omuli eddembe ly’okusinza, ne bagendanga, awatali kutya wamu n’omukono gwa Katonda. EE 186.2
Katonda yakkiriza abantu be bayite mu bigezo bino olw’okubateekateeka batuukirize ekigendererwa kye eky’obwaKatonda. Ekkanisa yali essiddwa nnyo wansi, ng’olwo yetaaga okusitulibwa. Katonda ng’anaatera okwolesa amaanyi ge, ategeeze nate eri ensi nti tayinza kwerabira abo bonna abamwesiga. Yafugira mu byaliwo ng’akozesa ekiruyi kya Setaani n’enkwe z’ababi ayimuse ekitiibwa kye era atwale abantu be mu kifo eky’emirembe. Okuyigannyizibwa n’okuwaŋŋangusibwa bye byabaggulira ekkubo eribatuusa mu mirembe. EE 186.3
Bwe baasooka okuwalirizibwa beeyawule okuva ku Kkanisa y’Abangereza, Abapuritan baakola endagaano ebagatta awamu, ng’abantu ba Mukama ab’eddembe, nga “baakutambulira wamu mu makubo ge agamanyiddwa oba agalibamanyisibwa.” - J. Brown, The Pilgrim Fathers, p. 74. Mu bano nga mw’osanga omwoyo gw’okudda obuggya ogw’amazima, etteeka ekkulu ery’Obupulotestanti. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kyabwe balyoke bave e Holland banoonye amaka Munsi Empya. John Robinson eyali omusumba waabwe, ataayinza kugenda nabo olw&pos;okusiima kwa Katonda, bwe yali asiibula abalamazi bano yabagamba nti: EE 186.4
“Abooluganda, mu kiseera si kiwanvu tugenda kwawukana, era Katonda yekka yaamanyi oba nga ndiddamu okubalabako. Naye oba nga Katonda alisiima oba nedda, mbakuutira mu maaso ga Katonda ne mu maaso ga bamalayika, muleme okugobereranga nze kubanga nange mbadde ngoberera Kristo. Naye Katonda bw&pos;alibabikkulira ensonga yonna ye nga bw’aba asiimye, mugikkirize okugyaniriza nga bwe mwandyanirizza obuweereza obw’amazima okuva gyendi. Kubanga nkakasa nga Mukama akyalina bingi eby’amazima era n’omusana omulala gw’akyabikkula okuyita mu kigambo kye.” - Martyn, vol. 5, p. 70. EE 186.5
“Nze kulwange, siyinza kwemulugunya kimala olw’embeera ekkanisa zino ezizzibbwa obuggya gye ziyitamu, etuuse mu kiseera kino ku ddiini, leero ezimera enkya ne zigenda n’abazireeta. Abagoberezi ba Luther tebaayinza kugenda walako okusinga Luther kye yalaba;... n’Abacalvini, balemedde ku ekyo omusajja wa EE 186.6
Katonda kye yabalekera, so nga nabo tebaabikkulirwa byonna. Ekyo kye kisinga okunnennyamiza; kubanga newakubadde nga baali baakayakana mu kiseera kyabwe, kyokka tebaasensera kutuuka ku kuteesa kwa Katonda kwonna, era olwaleero singa balainu, bandibadde bangu mu kwaniriza omusana ogusingako nga bwe baayaniriza ogwsooka.” - D. Neal, History of the Puritans, voI. 1, p. 269. EE 187.1
“Mujjukire endagaano y’ekkanisa yammwe gye mwalagaana okutambuliranga mu makubo ga Mukama ge mwamanyisibwa oba ge mulimanyisibwa gonna. Mujjukire ebisuubizo byammwe n’endagaano wakati wammwe ne Katonda era wakati wammwe mwekka na mwekka, okwanirizanga omusana n’amazima gonna agalibamanyisibwa okuva mu kigambo kya Katonda; wabula muwulire kino, mbegayirira, mugerageranyenga amazima ge mufunye n’ebyawandiikibwa ebirala ebirimu amazima nga temunnagakkiriza; kubanga tekiba kyangu Obukristaayo obuludde butyo mu kizikiza ekikutte eky&pos;abalabe b’Obukristaayo, okutuuka okutegeera byonna omulundi ogumu.” Martyn, vol. 5 pp. 70, 71. EE 187.2
Ensonga eyavaako abalamazi bano okusiyagguka eggeendo empanvu lityo omuli okusomoka agayanja n’ekkubo eririmu ebizibu ebiyitirivu, ly’eddembe ly’okusinza; ne bagumira obulabe n’amalungu, era awamu n’omukono gwa Katonda, ne batuuka ku lukalu Iwa Amerika, gye baasima omusingi ogw’eggwanga ery’amaanyi. Wewaawo, newakubadde nga baali bamazima era abatya Katonda, abatambuze bano baali tebannategeerera ddala tteeka lino ekkulu ery’eddembe ly’okusinza. Eddembe lye baalwanirira batyo okutuuka n’okuwaayo obulamu bwabwe, nga si beteefuteefu kuliwa ku bannaabwe mu kyenkanyi. “Batono nnyo newakubadde bewandiyise abalowooza ennyo oba bano abakwasisa empisa, abaaliwo mu kyasa ky’ekkumi n’omusanvu, nga tebategeererako ddala nsibuko ya tteeka lino ekkulu, eryavaamu Endagaano Empya, ekkiriza Katonda okuba nga ye mulamuzi yekka ow’okukkiriza kw’omuntu.” - Ibid., vol. 5, p. 297. Enjigiriza egamba nti Katonda yawa obuyinza ekkanisa okufuga endowooza y’omuntu, era nti yennyonnyola n&pos;okubonereza abendowooza ekontana n&pos;ey’ekkanisa, esibukira ddala ku nsobi z’obwapapa. Abazza b’ekkanisa bwe baava mu nzikiriza ya Luumi, tebaggweramu ddala mwoyo gwa busosoze. Anti ekizikiza ekikutte eky’obufuzi bw’obwapapa mwe baafugirwa okumala ekiseera ekiwanvu, ng’obwapapa buzinzeeko ensi zonna ez’Obukristaayo, kyali tekibaggwerangamu ddala kyonna. Omusumba omu owamaanyi okuva mu matwale g’e Masakyusetisi, yagamba nti: “Kwali kukkiriza buli kirowoozo ensi eryoke ekyawe Kristo; ekkanisa nayo ne tebonereza batakkaanya nayo.” - Ibid., vol. 5, p. 335. Etteeka ne likkirizibwa abafuzi b’amatwale nga abekkanisa bokka be balina okuwulirwa mu byobufuzi bw’abantu. Engeri y’eggwanga erifugirwa mu kkanisa ne lyetondawo, ng’abantu bonna bavunaanyizibwa okulabirira abasumba, era nga n’abafuzi be balina obutakkiriza wa njigiriza ndala yonna. Bwebutyo obuyinza bw&pos;ensi nga buli mu mikono gya kkanisa. Era tewayita na bbanga ddene amateeka gano ne gabatuusa mu kye bataayinza kwewala - kwe kuyigganya bannaabwe. EE 187.3
Nga wayise emyaka kkumi na gumu oluvannyuma lw’okutandikawo ettwale eryasooka, wajja omwami ayitibwa Roger Williams mu Nsi eno Empya. Yajja mu ngeri yeemu ng’abalamazi abasooka, anti naye yali ayagala kusanyukira mu ddembe ly’okusinza; wabula, obutafaanana banne, ye ng’alabawo eky&pos;enjawulo - ly’eddembe lya buli muntu eritayinza kumugibwako, si songa ne bw’eba nzikiriza ye. EE 187.4
Yali mwagazi nnyo ow’amazima, ye ne Robinson abaagambanga nti ensi tennafuna musana gwonna okuva mu kigambo kya Katonda. Williams “ye muntu eyasooka okuteekawo obuftizi bw’abantu nga bussaamu ekitiibwa eddembe ly’okusinza, abantu okuba n’ebirowoozo ebyenkanankana mu mateeka mu nsi z’Obukristaayo ez’omu mirembe gino.” - Bancroft, pt. 1, ch. 15, par. 16. Ng’akyogera lunye nti omulimu gw’abafuzi guli mu kumalawo bumenyi bw’amateeka, naye si mu nsonga za kusinza. Agamba nti: “Abafuzi bayinza okusalirawo abantu n’abantu ku kye bagwanira okukola; naye bwe bagezaako okuteekawo amateeka agalaga obuvunaanyizibwa bw’omuntu eri Katonda, baba bayingiridde ensonga ezitabakwatako, era eyo teri mirembe; kubanga kitegerekeka bulungi nti abafuzi balina obuyinza, leero ateekawo amateeka gano ate enkeera n’aleeta amalala; nga bwekibadde kikolebwa mu Bungereza bakabaka ab’enjawulo, ne ba papa abatali bamu ko n’enkiiko z’ekkanisa y’e Luumi; olwo eddiini n’etabukatabuka.” - Martyn, vol. 5, p. 340. EE 188.1
Okwetaba mu kusinza mu kkanisa zino ezaatandikibwawo nga kwa tteeka okuli ekibonerezo eky’okuwa engassi oba okusibibwa. “Williams yavumirira nnyo etteeka eryo; n’etteeka eryasinga okuba ebbi ly’eryo eryali mu mateeka ga Bungereza eryali liwaliriza abantu okusinzizanga mu kkanisa z’omu kitundu. Bw’owaliriza omuntu okw&pos;etaba mu kusinza ne bwe batakkiriza mu ngeri yeemu, agamba nti, oba olinnyiridde eddembe lyabwe ery’obuzaaliranwa; okuwaliriza abantu abataliimu ddiini n’abatayagala, okugenda mu kusinza oba nga awaliriza obunnanfusi.... ‘Tewali n’omu yandigwanidde kusindiikirizibwa mu kusinza, oba, okusinza mu ngeri gyatayagala,’ bw’agamba. ‘Tekisoboka!’ abamuwakanya bwe baayogera, nga beewuunya ky’akkiriza, ‘omukozi tagwanira mpeera ye?’ ‘Kituufu,’ bwe yabaddamu, ‘naye okuva eri oyo amukozesa.’” EE 188.2
Roger Williams yali musumba omwesigwa assibwamu ekitiibwa era ayagalibwa abangi, ng’alina ebirabo ebitasangikasanika, atekkiriranya era ow’ekisa; kyokka nga tayinza kukkiriza bafuzi abeensi bafuge ekkanisa wadde okulinnyirira eddembe ly’okusinza. Wabula ng’okuteeka mu nkola enjigiriza eno empya, nga bagamba nti, kiyinza “okujjawo emisingi okufugirwa obukulembeze bw’eggwanga.” - Ibid., pt. 1, ch. 15, par. 10. Baasalawo agobwe okuva mu matwale gaabwe, era n’ekisembayo, okwewala okumusiba, ne bamuwaliriza okuddukira mu kibira ekikutte, wakati mu biseera eby’empewo n’obunnyogovu. EE 188.3
Agamba nti: “Namala ennaku ezisoba mu kyenda nga simanyi kiyitibwa mmere wadde obuliri.” Naye “nga bannamuŋŋoona be bandiisa wakati eyo mu malungu,” era nga emiti emiziyivu mwe mbudama. - Martyn, vol. 5, pp. 349, 350. Bwatyo bwe yaddukiranga mu bulumi okuyita mu muzira ne mu bibira omutali makubo, okutuusa lwe yafuna obubudamo ew’Omuyindi gye yayagalibwa ennyo n’okumwesiga olw’okubabuuliranga ku mazima ag’eniri. EE 188.4
Bwe yali atambula ng’anoonya oluvannyuma Iw’emyezi egiwerako, yatuuka ku mwalo gwe Narragansetti, era eno gye yasima omusingi ogw’eggwanga eryasooka mu biseera bino okussa ekitiibwa mu ddembe ly’okusinza. Etteeka ekkulu eryafugirwangako ettwale Iya Roger Williams nga ligamba nti “buli muntu alina eddembe okusinza Katonda okusinziira ku ye nga bwategeera.” - Ibid., vol. 5 p. 354. Ettwale lino kaakano erimanyiddwa nga Rhode Island ne libeera ekiddukiro ky’abayigganyizibwa, ne ligejja era ne lyeyongera okukulakulana okutuusa etteeka EE 188.5
okwasimirwa omusingi gwa lyo - ery’eddembe ly’okusinza - Iwe lyafuuka ejjinja ery’okunsonda ery’eggwanga lyonna erya Amerika. EE 189.1
Mu tteeka lino ekkulu ennyo bajjajjaffe lye baayita ery’eddembe ly’obuntu - bwe baali bafuna obwetwaze - baalirangirira bati: “Tukkiriza amazima gano okuba nga gategerekeka bulungi, ng’abantu bonna baatondebwa benkanankana; era nga baaweebwa Omutonzi waabwe buli muntu eddembe eritayinza kumugibwako; era nga muno mulimu, obulamu, eddcmbe ly’obuntu, n’okusanyuka.” Era ne ssemateeka anyweza mu bigambo ebitegerekeka obulungi obutazzannyira ku ddembe ly’obuntu: “Tewajja kubangawo kumala kugezcsebwa kwa byaddiini omuntu okusaanyizibwa okuweereza mu bifo byonna eby’olukale mu ggwanga lyonna erya Amerika.” Olukiiko Iw’eggwanga teruuteekenga tteeka okukkiriza okutandikawo eddiini yonna, wadde okuwera engeri gy’esinzaamu.” EE 189.2
“Abawandiisi ba ssemateeka baamanya etteeka eritaggwaawo eriraga enkolagana y’omuntu ne Katonda nti eri waggulu w’amateeka gonna agakolebwa omuntu, era nga n’eddembe ery’obuntu teriyinza kumugibwako. Amazima gano nga tegeetaagisa kuteekebwawo magezi; tugamanyidde ddala mu nda yaffe. Era olw’ekyo ekiri mu nda, abantu bwe baajeemera amateeka g’abantu, bangi ne battibwa ng’abajulizi awamu n’okwokebwa mu muliro. Bakiwuliranga mu nda yaabwe nga obuvunaanyizibwa bwabwe eri Katonda busukkuluma ku mateeka g&pos;abantu, era nga tewali muntu n’omu alina buyinza ku kutegeera kwabwe. Eryo tteeka lya buzaaliranwa eritayinza kusangulibwawo.” - Congressional documents (A.S.A.), serial No. 200, document No. 271. EE 189.3
Amawulire amalungi ago bwe gaasasaana okutuuka ne mu nsi za Bulaaya, nti waliyo ensi buli muntu gy’ayinza okusanyukira ebibala by’entuuyo ze, cra gy’ayinza n’okugondera okulumiriza kw’omutima gwe, abantu nkuini na nkumi ne bayiika ku lukalu Iw’Ensi Empya. Amatwale ne geyongerangako. Ate e “Masakyusetisi, ne bayisa etteeka ery’enjawulo, eryaniriza buli omu awamu n’okuyambibwangako n’ensimbi z’eggwanga, eri Omukristaayo ow’eggwanga lyonna ayinza okusomoka eriyanja Atlantiki ‘ng’adduka ekibambulira ky’entalo n’enjala oba olw’okuyigganyizibwa abamuyigganya.’ Bwebatyo abaddusi n’abalinnyirirwa ne baanirizibwa ng’abagenyi okusisinkana ne bwe bakkaanya.” - Marlyn, vol. 5, p. 417. Mu bbanga lya myaka amakumi abiri okuva ku muntu eyasooka okulinnya ku ttaka lya Amerika e Plymouth, abalamazi nkumi na nkumi baali bamaze okutebenkera mu New England. EE 189.4
Bwe baayagala okutuuka ku kigendererwa kyabwe, nga balina okugumiikiriza okubeerawo ku katono akababeezaawo awatali kudiibuuda n’okukola ennyo. Nga kye basaba okuva mu ttaka, ly’ettaka okubala ebibala ebisaana olw’entuyo zaabwe. Nga tcbayinza kulimbibwa bitaliimu.... Kyokka nga bamativu olw’enkulakulana eyakasoobo naye nga nywevu mu byobufuzi. Baagumiikiriza olw’amalungu obutabeeramu bikozesebwa bimala, era ne bafukirira omuti ogw’eddembe n’amaziga gaabwe, awamu n’entuyo z’omu maaso gaabwe, okutuusa Iwe gwasimba emirandira mu ttaka.” EE 189.5
Bayibuli yatwalibwanga nga gwe musingi gw’okukkiriza, ensibuko y’amagezi era ssemateeka omukulu ow’cddembe lyabwe. Emisingi gy’ayo emikulu nga gye giyigirizibwa mu maka, mu masomero era ne mu kkamisa, n’ekyavaamu EE 189.6
be bantu obutamala gasasaanya, nga bategeevu, abatukuvu, era abeegendereza. Ng’omuntu omu ayinza okubeera mu nkambi y’Abapulotestanti ba Puritani, naye “n’atasiŋŋaanamu wadde n’omu omutamiivu, oba okuwulira alayirira obwereere oba okulabamu masikiini.” - Bancroft, pt. 1, ch. 19, par. 25. Kyeraga lwatu nga emisingi gya Bayibuli gye giwaniridde enkulakulana y’eggwanga ennywevu. Amatwale agaali amanafu era ageesudde ne gakula okufuuka eggwanga ery’amaanyi eryeggattidde awamu, era ensi ne yewuunya emirembe n’enkulakulana ebiri mu “kkanisa eterina papa, era n’eggwanga omutali kabaka.” EE 190.1
Wabula omuwendo gw’abantu bangi gwasikirizibwanga okujja ku lukalu Iwa Amerika, naye nga beeyisa mu ngeri ndala okuva ku eyo ey’abalamazi abasooka. Newakubadde nga okukkiriza kwabwe kwali kukyali kuto naye nga kuleeseewo amaanyi ag’enjawulo, kyokka kwagenda kuddirira olw’omuwendo gw’abantu bangi abagendanga beeyongera okujja naye nga banoonya bigendererwa bya nsi. EE 190.2
Etteeka eryakkirizibwa abaasooka okuteekawo amatwale, nga liganyaako bakkanisa bokka okukuba akalulu n’okuweebwa ebifo by’olukale ne mu bukulembeze bw’eggwanga, ate lyayongera kuzaala bizibu. Ekigendererwa kyalo kyali kya kukuuma butukuvu bwa ggwanga, naye enkomerero yabyonna ekkanisa n’eyingirwamu obulyake. Eddiini ey’okungulu olw’okubanga ye yasinziirwangako okukkirizibwa okukuba akalulu awamu n’okuweereza mu bifo by’olukale, so nga abalala beenoonyeza byabwe, bangi beegatta ku kkanisa nga tebakyuse mu mutima. Bwetyo ekkanisa n’ejjuzza abatali bakyufu bangi; era ne mu buweereza nga mulimu abatakoma mu kuyigiriza njigiriza nkyamu kyokka, naye era nga n’okumanya tebamanyi maanyi ga Mwoyo Mutukuvu azza abantu obuggya. Era n’omwoyo gw’omubi ne guddamu okulabika, ogwalabikiranga ennyo mu byafaayo by’ekkanisa mu biro bya Konsitantini n’okutuusa leero, ogw’okugezaako okuzimba ekkanisa n’obuyambi bw’eggwanga, okunoonya obuyambi okuva mu bafuzi b’ensi mu kuwagira enjiri y’oyo eyayogera nti: “Obwakabaka bwangwe si bwa mu nsi muno.” Yokaana 18: 36. Okwegatta kw’ekkanisa awamu n’ensi, ka kireme kutwalibwa nti kintu kitono, newakubadde nga kirabika ng’abasembeza ensi okumpi n’ekkanisa, ekyamazima, ate ekkanisa y’esemberera ensi. EE 190.3
Etteeka ekkulu eryatenderezebwa ennyo Robinson ne Roger Williams, nti amazima gakula, nti Abakristaayo kibagwanira okweteekateeka baanirize omusana gwonna ogunabaakiranga okuva mu kigambo kya Katonda, bazzukkulu baabwe baalyerabira. Ekkanisa z’Obupulotestanti okuva mu Amerika, era ne mu Bulaaya, ezaasooka okwaniriza emikisa gy’Okuzza Obuggya ekkanisa, zaalemererwa okweyongerayo mu kw’ezza obuggya. Newakubadde nga batono ku bantu abeesigwa baasitukanga wano ne wali, mu biseera ebitali bimu, okutegeezanga omusana omuggya n’okuvumirira ensobi ezaasiŋŋanga okukolebwa, bangi ku bo, baalinga bamativu okusigala mu nzikiriza za bakitaabwe n’okweyisa nga bwe beeyisanga okufaananako n’Abayudaaya mu biseera bya Kristo, oba ng’abagoberezi ba papa mu biro bya Luther. Bwetyo eddiini n&pos;egenda ng’efeeba okutuuka mu kuba ekifaananyi obufaananyi; era n’ensobi awamu n’obusamise obwandyewaliddwa singa ekkanisa yeeyongera okutambulira mu musana ogw’ekigambo kya Katonda, ne bisigala mu yo ate nga bisanyukirwa. Bwegutyo omwoyo ogwaluŋŋamya Okuzza Obuggya ekkanisa ne gufiira ddala, okutuusa Iwe walabikira ddala obwetaavu obunene obw’okuzza obuggya ekkanisa EE 190.4
z’obupulotestanti nga bwe gwali ne mu kkanisa y’e Luumi mu biseera bya Luther. Ekkanisa yali eyingiddwamu embeera y’ensi, n’okubongoota mu mwoyo, abantu obutassaamu birowoozo bya bannaabwe kitiibwa, n’okuwanyisa ekigambo kya Katonda n’enjigiriza z’abantu. EE 191.1
Okusasaana kwa Bayibuli okutuuka wonna, mu kitundu ky’ekyasa ky’ekkumi n’omwenda ekyasooka, ng’ogerageranyizza n’omusana ogwamulisibwa eri ensi nga tebikwatagana ne ku mulundi ogwasooka mu kumanya amazima agaabikkulwa. Setaani nga tayinza kumma bantu kigambo kya Katonda nga mu mirembe egyasooka; kubanga kyali kituusiddwa kumpi ku buli muntu; naye era olw’okwagala okutuukiriza ebigendererwa bye, yabaleetera okukitwala nga kya bulijjo. Abantu ne balagajjalira okunoonya mu Byawandiikibwa, bwebatyo ne beeyongera okutwala ennyinnyonnyola enkyamu, n’okuyayaanira enjigiriza ezitalina musingi mu Bayibuli. EE 191.2
Setaani bwe yalaba ng’alemereddwa okusaanyawo amazima ng’ayita mu kuyigganya ekkanisa, yakyukira nate enteekateeka endala ey’okwekkiriranya eyavaako okugwa okunene n’okwebangawo kw’ekkanisa y’e Luumi. Yaleetera Abakristaayo okwekobaana, ku mulundi guno si na bakaafiiri, naye wamu n’abo, abaali beeraze bokka nga basinza bifaananyi byennyini, ng’abaali basinza ebifaananyi ebyole. N’ebyava mu bwegaffu buno tebyali birungi era nga bwe kyali ne kululi; amalala n’okudiibuuda ne bikulira mu kifaananyi ky’eddiini, ekkanisa ne zoononeka n’obulyake. Setaani yeeyongera okunyoola enjigiriza ya Bayibuli, n’g’olwo obusamize obwali obw’okuzikiriza obukadde n’obukadde bw’abantu busimba mirandira. Ekkanisa ng’ewagira n’okulwanirira obusamize buno, mukifo ky’okutegeeza “okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.” Bw’egityo emisingi egyalwanirirwa era Abazza b’ekkanisa gye baabonaabonera ne gifafaagana gityo. EE 191.3