Omusaale Waffe
Esuula 3—Okwenenya
OMUNTU ayinza atya okubeera n’obutukirivu eri Katonda? Omwonoonyi ayinza atya kuweebwa obutukirivu? Mu Kristo mwokka mwe tufunira obutukirivu ne tutabagana ne Katonda; naye tuyinza tutya okugenda eri Kristo? Abantu bangi ababuuza ekibuuzo kino era ebibiina ebyali ku lunaku lwa Pentekote kye byabuuza bwe baamala okulumwa olw’ekibi kyabwe, baayogerera waggulu nti “Tunakola tutya?” Ekigambo Petero kye yasooka okuddamu kye kino nti “Mwenenye.” Bik. 2:38. Ate omulundi omulala nga wayiseewo ennaku ntonotono yagamba nti “Mwenenye, mukyuke, ebibi byamwe bisangulibwe.” Bik. 3:19. OW 23.1
Okwenenya kugattamu okunakuwala olw’ekibi, n’okukireka. Tetuyinza kuleka kibi wabula nga tutegedde obubi bwakyo; Tewayinza kubaawo bukyufu bwenyini mu bulamu bwaffe, okutuusa emitima gyaffe lwe giviira ddala mu kibi. OW 23.2
Waliwo abantu bangi abatamanyi engeri y’okwenenya okw’amazima nga bw’eri. Bangi banakuwala olw’ekyonoono kye bakoze, era oluusi bagezaako n’okulongosa empisa zaabwe ez’okungulu ezirabika, olw’okutya nti ekisobyo ekyo kiyinza okubaleetako akabi. Naye okwenenya okw’engeri nga eno, si kwe kwenenya Baibuli kw’eyigiriza. Bakaaba lwa kutya kibonerezo oba okulumwa okunaava mu kibi, so si lwa kutya kibi kyenyini (Mu njogera endala, ekibi kyo, baba bakyakyagala, singa si kacwano akanabaviiramu). Okunakuwala okw’engeri eyo, Esau kwe yanakuwala, bwe yalaba nga obukulu bumuviriddeko ddala. Balamu yatya malayika eyali ayimiridde mu kkubo lye nga alina ekitala ekisowole, yakkiriza ekibi kye aleme okufiirwa obulamu bwe; naye teyalina kwenenya kwa mazima, teyalina kirowoozo kukyuka wadde okukyawa ekibi kye. Yuda Isukalioti, bwe yamala okulyamu Mukama we olukwe, yayatula nti “Nayonona okulyama olukwe omusayi ogutalina kabi.” Mat. 27:4. OW 23.3
Okwatula kuno kwawalirizibwa buwalirizibwa olw’okutegeera mu mutima gwe nga bw’asingiddwa omusango ogw’entisa, era nga bw’alindiridde n’obuti okusalirwa omusango. Ebyali bigenda okumujjira ebyo bye byamujjuza entisa, naye mu mwoyo gwe teyalina kwenenya okuva mu mutima ogumenyese, olw’okulowooza nga bwe yalyamu olukwe Omwana wa Katonda atalina kabi, ne yegaana Omutukuvu wa Isiraeri. Falao, bwe yali ng’alumwa olw’ebibonyobonyo Katonda bye yamutekako, yakkiriza ekibi kye aleme okutekebwako ebibonyobonyo ebirala, naye akabi bwe kaamalanga okumuggyibwako, ate amangu ago yakyukanga ne yeeyongera okujeemera Katonda. Abo bonna baalumwanga lw’ebyo ebinaava mu kibi so si kunakuwala lwa kibi kyenyini. OW 24.1
Naye omutima bwe gujeemulukukira Omwoyo wa Katonda, ebirowoozo bizuukusibwa, omwonoonyi n’alabira ddala obutukuvu bw’amateeka ga Katonda, omusingi gw’enfuga ye mu ggulu ne ku nsi. Omusana ogwo “ogw’amazima ogwakira buli muntu, nga gujja munsi,” ne gumulisa ebyama byonna ebiri mu mutima gwe munda, byonna ebibadde bikwekeddwa mu kizikiza ne birabisibwa. Omutima gwe ne gweralikirira olw’ebibi bye. N’ategeerera ddala obutukuvu bwa Katonda, n’akwatibwa nnyo entisa okulabika mu maaso g’Oyoakebera emitima ng’akyalina omusango gw’ekibi. Awo n’alaba okwagala kwa Katonda, n’obulungi bw’obutukuvu, n’essanyu eriri mu bulongofu; ne yetaaga ennyo okulongosebwa, n’okutabagana ne Katonda. OW 25.1
Okusaba Daudi kwe yasaba ng’amaze okwonona kulaga engeri y’okunakuwalira ekibi okw’amazima nga bw’eri. Okwenenya kwe kwaviira ddala mu mutima gwe munda, era nga kwa mazima ddala. Teyagezako n’akatono kuwolereza kibi kye; so tekwali kwa kwewonya bwewonya kibonerezo ekinaamujjira. Naye Daudi yalaba obubi bw’ekikolwa kye ky’akoze; n’ategeerera ddala obulamu bwe nga bwe bwononekedde ddala; n’atamwa ekibikye. Teyasaba kusonyiyibwa busonyiyibwa kwokka, naye era yasaba n’okulongosebwa omutima gwe. Yeegomba nnyo essanyu ery’obutukuvu, kwe gutabagana ne Katonda. Kuno kwe kusaba kwe yasaba: OW 25.2
Okwenenya okuli nga okwo, tekutuukikako lwa buyinza bwaffe; wabula kuva eri Kristo, Oyo eyalinya waggulu, n’awa abantu ebirabo. OW 26.1
Wano bangi ke balemerwa, era kye bava basubwa obuyambi Kristo bwe yetaaga okubawa. Balowooza nti tebayinza kugenda eri Kristo wabula nga bamaze okwenenya, era nti okwenenya kwe kubatekateka balyoke basonyiyibwe ebibi byabwe. Wewaawo kya mazima, okwenenya kwe kukulembera okusonyiyibwa ebibi; kubanga ow’omutima ogumenyese era oguboneredde yekka ye yetaaga Omulokozi. Naye omwonoonyi kimugwanira alindirire amale okwenenya alyoke agende eri Yesu? Okwenenya kirungi kufuulibwe ng’e nkonge eyimiridde wakati w’omwonoonyi n’Omulokozi? OW 26.2
Baibuli teyigiriza nti omwonoonyi ateekwa amale kwenenya alyoke agondere eddoboozi lya Kristo erimuyita nti “Mujje gyendi, mwe mmwena abakoye era abazitowereddwa, nange nabawummuza.” Mat. 11:28. Amaanyi agava mu Kristo ge gatuusa omuntu ku kwenenya kw’amazima. Ekigambo kino Petero yakilaga bulungi, bwe yagamba Abayisiraeri nti “Oyo Katonda yamulinyisa ku mukono gwe ogwaddyo okubeera omukulu era omulokozi, okuwayo eri Isiraeri okwenenya n’okuggyibwako ebibi.” Bik. 5:31. Nga bwe tutayinza kusonyiyibwa awatali Kristo, era bwe kitvo tetuyinza kwenenya awatali Mwoyo wa Kristo kuzukusa mitima gyaffe. OW 26.3
Kristo ye nsibuko ya buli kirowoozo ekirungi. Ye yekka y’ayinza okusiga mu mitima gyaffe obulabe obw’okukyawa ekibi. Buli kirowoozo ekyetaaga obulongofu era n’amazima, buli lwe twetegeera obubi bwaffe obwo bwe bubeera obukakafu obutegeza nga Omwoyo wa Kristo akola mu mitima gyaffe. OW 26.4
Yesu yagamba nti “Nange bwendiwanikibwa ku nsi, ndiwalulira gyendi bona.” Yok. 12:32. Omulokozi kimusanira alagibwe eri omwonoonyi ng’afa olw’ebibi by’ensi zonna; kale bwe tulaba Omwana gw’endiga wa Katonda ng’ali ku musaalaba e Gologosa, ekyama ky’obununuzi ne kitandika okubikkuka mu mitima gyaffe, awo obulungi bwa Katonda ne bututuusa ku kwenenya. Kristo bwe yafa ku lw’aboonoonyi, yalaga okwagala okutategeerekeka; kale omwonoonyi bw’alaba okwagala kuno okw’ekitalo, kugonza omutima gwe, ne kukola nnyo mu mutima gwe, ne kuguleetera okumenyeka. OW 27.1
Wewaawo kya mazima, oluusi n’oluusi abantu bakwatibwa ensonyi olw’ebibi bye bakola, n’okuleka ne baleka ezimu ku mpisa zaabwe embi, nga tebannaba na kulowooza nti Kristo ye abawalula, okugenda gy’ali. Naye buli lwe bagezako okulongoosa empisa zaabwe, nga balina omutima ogw’amazima ogwagala okukola ekituufu, maanyi ga Yesu ge gaba gabawalula. Amaanyi gebatalowoozako na kulowooza, ago ge gaba gakola mu bulamu bwabwe, ebirowoozo byabwe ne bizukusibwa, ebikolwa eby’okungulu ne birongosebwa. Kale Yesu bw’abawalula okumutunulira ng’ali ku musalaba, bwe bamulaba oyo ebibi byabwe gwe byafumita, amateeka ga Katonda ne gagulumizibwa mu birowoozo byabwe. Obwononefu bw’obulamu bwabwe n’ekibi ekyekweka obw’edda mu mutima, ne bibikkulibwa. Ne batandika okwetegereza obutuukirivu bwa Kristo, ne beewuunya nti “Ekibi kye ki ekyawesaayo saddaka eyenkana awo okutununula? Okwagala kuno kwonna, n’okulumwa okw’ekitalo kuti, n’okwetoowaza okwenkana wano; byonna bye byali byetaagibwa nneme okubula, naye mbeere n’obulamu obutaggwawo?” OW 27.2
Wewaawo, oluusi omwonoonyi ayinza okuziyiza okwagala kuno, ne kutakola mu mutima gwe n’atatuusibwa eri Kristo; naye bw’aba nga takuziyizza buziyiza, wakutuusibwa eri Yesu; bwe yetegereza ekyo Katonda kye yatekateka olw’okulokola omuntu, talema kutuusibwa wansi w’omusalaba ne yeenenya ebibi bye, ebyabonyabonya Omwana wa Katonda omwagalwa. OW 28.1
Ekirowoozo ekyo kyennyini era ekikolera mu bintu eby’obuwangwa, era kye kyogerera mu mitima gy’abantu, ne kibaleetera ekintu ekyo bo kye batalina. Omwoyo wa Katonda abakubiriza okunoonya ebintu ebyo eby’enjawulo, ebiyinza okuleetera omuntu emirembe n’okuwummula, ebintu ebyo kye kisa kya Kristo n’essanyu ery’obutukuvu. Bulijjo Omulokozi waffe akola ng’ayita mu maanyi ago agalabika n’agatalabika ng’awalula emyoyo gy’abantu okuva mu ssanyu ly’ensi eritaliiko kye ligasa bafune emikisa egitaggwawo gy’ayagala okubawa. Eri abo abateganira obwereere nga banywa mu bidiba eby’ensi ebirimu ebitosi, Katonda abayita nti “Alina ennyota ajje: ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.” Kub. 22:17. OW 28.2
Kalenno ggwe eyetaaga mu mutima gwo ekintu ekirungi ensi eno ky’etayinza kukuwa; okwetaaga okwo kw’owulira mu mutima gwo kutegeere nga lye ddobozi lya Katonda erikuyita. Musabe okukuwa okwenenya, akubikkulire Yesu mu kwagala kwe okutaggwawo, mu bulungi bwe obutukiridde. Omulokozi yalagira ddala mu bulamu bwe emisingi gy’amateeka ga Katonda, kwe kwagala Katonda n’abantu. Mu bulamu bwe yalina omutima omulungi ogujjudde okwagala okuteerowozako. Bwe tumutunulira, omusana oguva gy’ali ne gutwakira, awo ne tulaba obwononefu bw’emitima gyaffe. OW 29.1
Tuyinza okwenyumiriza nga Nikodemo, nti obulamu bwaffe bulungi, nti empisa zaffe ntuufu, nti tetwetaaga kwewombeka mu maaso ga Katonda nga aboonoonyi: naye omusana oguva eri Kristo bwe gwaka mu mitima gyaffe, tetulema kweraba nga bwe tuli aboonoonefu: tutegeera mu mitima gyaffe nga bwe twerowoozako fekka, nga bwe tuli abalabe ba Katonda: era obulamu bwaffe bwonna nga bwe bwonoonese olw’ebyo. Awo nno tetulema kutegeera nga obutukirivu bwaffe ddala buli nga enziina ezikongedde, era nga omusayi gwa Kristo gwokka gwe guyinza okutunaazaako empitambi y’ekibi, n’okulongosa emitima gyaffe ne gifanana nga ogugwe. OW 29.2
Okumasamasa kw’ekitibwa kya Katonda n’okwaka kw’obulungi bwa Kristo, bwe biyingira mu bulamu bw’omuntu, buli bbala lyonna ery’ekibi liruma nnyo, na buli bwonoonefu bw’empisa ze bwonna ne bweraga gy’ali. Byolesa okwegomba okubi okuli mu mutima gw’omuntu, obutakkiriza bw’omutima gwe n’obutali bulongofu bw’emimwa gye. Obujeemu bw’omwonoonyi olw’okunyoma amateeka ga Katonda ne bumulagibwa, awo omwoyo gwe ne gweralikirira nnyo ne gutya Katonda akebera ebyama eby’omu mutima. Bwalaba obulongofu bwa Kristo obutuukiridde ne yetamwa. OW 29.3
Nabbi Danieri bwe yalaba ekitibwa ekyali kyetoolodde omubaka ow’omu ggulu eyatumibwa gy’ali yerabira ddala nga bw’ali omunafu era omubi kayingo. Mu kunnyonyola eby’ekitalo ebyaliwo ku kiseera kino, agamba nti “Nemutasigala mu nze maanyi gonna: kubanga obulungi bwange nebufuuka obuvundu mu nze, ne siba na maanyi nate.” Dan. 10:8. Bw’atyo omuntu yenna bw’ayakirwa omutima gwe gukyawa okweyagala, byonna byeyayagalanga n’abitamwa, n’asaba mu linnya lya Yesu aweebwe omutima omulongofu ogugondera amateeka ga Katonda nga ogwa Yesu bwe guli. OW 30.1
Paulo agamba nti “Mu butukirivu obuli mu mateeka,” kwe kugamba nti mu bikolwa byonna ebyokungulu, yalabikanga nga taliko “kya kunenyezebwa.” Naye bwe yategeera amakulu g’amateeka genyini ag’omwoyo, ne yeraba nga mwonoonyi. Mu nnukuta ezamateeka, ng’abantu bwe bagalowooza ku bikolwa ebyokungulu ebirabika, Paulo teyaliko kibi; naye bwe yalowooza ku makulu g’ebiragiro gennyini agomunda, ne yeeraba nga Katonda bwamulaba, n’avunama n’obuwombefu, n’ayatula ebibi. Agamba nti “Nabanga mulamu awatali mateeka: naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi nekizukira, nange ne nfa.” Bal. 7:9. Bwe yeetegereza engeri y’amateeka yennyini ey’omwoyo. ekibi ne kyeragira ddala gyali nga bwe kiri ekibi ennyo, n’okwegulumiza kwe kwonna ne kuggwawo. OW 30.2
Wewaawo nga bwe kiri mu kulowooza kw’abantu, ne Katonda bw’atyo talowooza bibi byonna okwenkanankana, birina amadaala; naye ekibi ne bwe kiba kitono kitya mu maaso g’abantu, naye eri Katonda ekibi tekiba kitono. Okulaba kw’omuntu si kutuufu, naye Katonda alabira ddala ebintu byonna. Okugeza, abantu balaba mangu ekibi nga eky’obutamiivu, n’okugamba ne bagamba omuntu nti “Ekibi ekyo kigenda kukuzikiriza,” songa emirundi mingi ow’amalala, omukodo, n’omwegombi tebatera kunenyezebwa. Naye ebibi eby’engeri nga eyo bye bisingira ddala obubi mu maaso ga Katonda; kubanga tebitabagana na mpisa ze ennungi ez’ekisa, newakubadde omwoyo ogw’okwagala oguterowoozako oguli mu bamalayika, ab’omu ggulu. Omuntu bw’agwa mu bibi ebinene nga ebyo ayinza okukwatibwa ensonyi, ne yeetaaga okuweebwa ekisa kya Yesu; ow’amalala tawulira kwetaaga okwo, bwe gatyo amalala bwe gaggalira Kristo ebweru w’omutima gw’omuntu, ne gamusubya n’emikisa gyonna egy’omwoyo Kristo gy’agaba. OW 31.1
Omuwooza yasaba nti “Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi.” Luk. 18:13, sempala yerowooza nga mwonoonyi nnyo, era n’abalala nga bwe bamubala; naye yawulira okwetaaga kwe, bw’atyo n’ajja n’omugugu gwe ogwo mu maaso ga Katonda ng’akwatiddwa n’ensonyi, n’asaba okusaasirwa. Mu ngeri eno, yaggulirawo Omwoyo wa Katonda omutima gwe akolemu omulimu gwe, ogwekisa, amusumulule mu buyinza bw’ekibi. Omufalisayo olw’okusaba n’amalala, era nga yeesiga obutukirivu bwe yaggalirawo Omwoyo Omutukuvu omutima gwe. Olw’obutasemberera Katonda, teyasobola kwegerageranya na butukuvu bwe, alyoke yerabe ye nga bw’ali omubi ennyo, Teyalina kye yeetaaga, era taliko kye yaweebwa. OW 31.2
Obanga owulira mu mwoyo gwo nga oli mwonoonyi, tolindirira nti kamale okwerongosa. Bameka abalowooza nti tebasaana kugenda eri Kristo kubanga si balungi? Olowooza nga oyinza okufuuka omulungi mu maanyi go ggwe? “Omuwesiyopya ayinza okuwanyisa omubiri gwe, oba ngo amabala gaayo? Kale nammwe muyinza okukola obulungi abamanyira okukola obubi.” Yer. 13:23. Okubeerwa kwaffe kuli mu Katonda mwokka. Tekitusaanira kulindirira okukubirizibwa okw’amaanyi, oba okufuna ekiseera eky’eddembe, wadde ebirowoozo ebitukuvu. Nedda, naye tuteekwa tugende eri Kristo nga bwe tuli. OW 32.1
Naye waleme okubaawo omuntu yenna eyeerimba, ng’alowooza nti Katonda olw’ekisa kye n’okusaasira kwe okungi, abantu abagaana ekisa kye nabo alibalokola. Ekibi kibi nnyo ddala, obubi bwakyo bwonna bulabikira ku musalaba. Omuntu yenna agamba nti Katonda wa kisa nnyo tagenda kuzikiriza mwonoonyi, atunulire ku musalaba e Gologosa. Kristo yeetikka omusango gw’obujeemu, n’afa mu kifo ky’omwonoonyi, lwa kubanga tewaaliwo kkubo ddala lyonna omuntu mw’ayinza okulokokera, kubanga awatali saddaka eno, kyali nga tekiyinzika olulyo lw’omuntu okuva mu maanyi g’ekibi n’okuddayo okuba omutukuvu nga bamalayika, mu bulamu obw’omwoyo. Okwagala kw’omwana wa Katonda, n’okubonabona kwe, n’okufa kwe, byonna bitegeeza obubi bw’ekibi nga bwa ntisa; era biraga nga tewali buwonero bulala bwonna, tewali ssubi lyonna lya kulongoka kwa bulamu bwaffe, wabula kyokka nga tubuwaddeyo eri Kristo. OW 32.2
Oluusi omuntu atayagala kwenenya yeewolereza, ng’ayogera ku bantu abalala abayitibwa Abakristayo nti “Nange ndi mulungi nga gundi. Naye mu mpisa ze teyeegendereza nnyo, so tansinga kweganyisa. Naye ayagala okwesanyusa n’ensi nga nze.” Bw’atyo afuula ensobi z’omuntu omulala okuba eky’okwewolereza kye olw’obutakola ky’alagirwa. Naye ensobi n’ebibi by’abantu abalala, tebigenda kuwonya muntu yenna: Kubanga Katonda tatulagiranga kulabira ku muntu yenna (abantu boonoonyi) Omwana wa Katonda ataliko bbala yatuweebwa nga kye ky’okulabirako kyaffe, kale abo abeemulugunya olw’ebikolwa ebibi eby’Abakristayo abalala, abo be basaanidde okulaga eky’okulabirako ekirungi mu bulamu bwabwe, okusinga bali be boogerako. Bwe baba nga bategedde eddaala ly’empisa z ', Omukristayo nga bwe lisanidde okuba erya waggulu, kale ekibi kyabwe si kye kisinga obunene? Kubanga bamanya ekituufu, naye ne bagaana okukikola. OW 33.1
Weekume oleme okulagalaganya, tolwawo okuleka ebibi byo n’okunoonya Yesu okulongosa omutima gwo. Wano abantu enkumi n’enkumi we basobeza, ne kibaviiramu kwe kuzikirira okw’emirembe n’emirembe. Wano siweeyo kiseera okunnyonnyola obulamu bwaffe nga bwe butategeerekeka, era nga bwe buli obw’akaseera obuseera; naye waliwo akabi ak’entisa (akabi akatategerwa bulungi) akava mu kugayalirira eddoboozi ly’okwegayirira kw’Omwoyo Omutukuvu olw’omuntu okwagala okubeera mu kibi kye; kubanga ddala okugayaala okw’engeri eyo bwe kuli. Ekibi ne bwe kiriwoozebwa nga ekitono ennyo, tekirema kuvaamu kabi kanene ddala ak’entisa. Ekibi kye tutawangula, kyo kirituwangula, era kirituviiramu okuzikirira. OW 33.2
Adamu ne Kawa baalowoza nti akantu akatono katyo, ak’okulya ku kibala okyabagaanibwa, tekayinza kuvaamu kintu kya ntisa kityo nga Katonda bwe yayogera. Naye akantu akatono ako, kwe kwali okumenya amateeka ga Katonda amatukuvu agataggwawo, era kaayawukanya omuntu ne Katonda, ne kaleeta ennaku n’okufa ebibunye ensi eno yonna. Okuva mu mirembe gyonna. egyakayise okutuusa kakati, ensi yonna bw’efa yenkana ejjudde kukaaba na kukungubaga okutamala, era ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu nga bye byava mu butawulira bw’omuntu. Newakubadde mu ggulu mwenyini, era ebyava mu bujeemu buno omuntu bwe yajeemera Katonda byatuukayo, Gologosa kiyimiridde nga kye kijjukizo kya saddaka ey’ekitalo eyateekwa okuweebwayo olw’okusobya amateeka ga Katonda. Leka tulemenga okulowooza ekibi ng’akantu akatono. OW 34.1
Buli lw’okola ekikolwa oky’obujemu, na buli lw’ogaana ekisa kya Kristo, tekirema kukukyukirako; kyonoona ebirowoozo byo, kifafaganya amagezi go, tekikoma ku kugaana kuwulira ddoboozi lya Mwoyo wa Katonda kyokka, naye era kikuziyiza n’okuligondera. OW 34.2
Bangi abasirisa ekirowoozo kyabwe ekiba kyeralikirira; nga balowooza nti balyenenya we balyagalira wonna; balawooza nti bayinza okunyomerera okuyita kwa Katonda okw’ekisa, naye ne baba nga bakyawulira okulumirizibwa okwo mu mitima gyabwe. Balowooza nti bayinza okunyoma omwoyo ow’ekisa, ne bawaayo emitima gyabwe eri Setani, ate mu kiseera eky’entisa ne bakyusa empisa zaabwe. Naye ekyo si kyangu. Ebintu omuntu by’aba ayiseemu, oba ebiva mu kuyiga kwe, ebintu bye yemanyiza mu bulamu bwe bigenda ne binywera nnyo mu mpisa ze, era mu ngeri eno ababa bakyetaaga okufaanana Yesu batono. OW 35.1
Wadde empisa ennyonoonefu emu bw’eti, oba okwegomba okubi, by’okyenywerezaako, bigenda bimalawo mpola mpola amaanyi g’enjiri. Buli lw’ojeemulukukira ekibi. Omwoyo gwo gweyongera okujeemera Katonda. Omuntu yenna ajeemera Katonda, oba agaanira ddala amazima ge, omuntu oyo aba ng’akungula bukunguzi bye yamala okusiga mu mutima gwe. Mu kulabula kwonna okuli mu Baibuli ku nsonga y’okuzannya n’ekibi, tewali kusinga okwo okwawandiikibwa Sulemani okugamba nti “Omubi. . . . alisibibwa n’emigwa egy’okwonona kwe.” Ng. 5:22. OW 35.2
Kristo yetesetese okutusumulula mu buddu bw’ekibi, naye tayinza kutuwaliriza buwaliriza; kale olw’okwonona obutamala emitima gyaffe bwe ginywerera ddala mu kibi, ne tuba nga tetukyetaaga kusumululwa, bwe tuba nga tetukyayagala kisa kye, kale olwo ng’akyayinza kukola ki nate? Olwo tuba nga twezikiriza fekka olw’okumalirira okugaana okwagala kwe. “Laba, kakano bye biro eby’okukkirizibwamu; laba, kakano lwe lunaku olw’obulokozi.” 2 Kol. 6:2. Leero bwemunawulira eddoboozi rye, temukakanyaza mitima gyammwe.” Beb. 3:7, 8. OW 35.3
“Abantu batunulira okufaanana okwokungulu, naye Mukama atunulira mutima.” I Sam. 16:7. Omutima gw’omuntu, omuli okulwanagana kw’essanyu n’ennaku, omutima ogutaataagana nga gugenda wano ne wali, omuli obulimba n’obubi obungi. Katonda yekka y’amanyi okuteesa kwagwo n’okufumitiriza kwagwo. Genda gy’ali n’obulamu bwo obwonoonefu, ggwa awo mu maaso ge, omubikulire omutima gwo Oyo alaba byonna, omugambe ng’omuwandiisi wa Zabuli nti “Onkebere, ayi Katonda, omanye omutima gwange: onkeme, omanye ebirowoozo byange: olabe ng’ekkubo lyonna ery’obubi liri mu nze, era onnung’amyanga mu kkubo eritakoma.” Zab. 139:23, 24. OW 36.1
Bangi bakkiriza eddiini ey’omu mutima, ekifaananyi obufaananyi eky’okutya Katonda, songa omutima tegunnalongosebwa. Leka kuno kubeerenga okusaba kwo nti “Ontondemu omutima omulongoofu, ayi Katonda; onzizemu omwoyo omulungi munda yange.” Zab. 51:10. Beera wa mazima mu bulamu bwo. Nyikira nnyo nga bwe wandinyikidde ng’obulamu bwo buno obw’omukiseera kino buli mu kabi. Ekigambo kino kikulu nnyo, era tewali muntu yenna ayinza kukikuyambako; wabula kiri wakati wa Katonda n’obulamu bwo ggwe, kale engeri yonna gye kimalirwamu tewali — ba kujjulula! Essuubi obusuubi lyokka ly’olina mu mutima eryo lya kukuzikiriza. OW 36.2
Soma Ekigambo kya Katonda nga bw’osaba. Ekigambo ekyo kikulaga emisingi emikulu egy’obutukuvu, nga bwe girabikira mu mateeka ga Katonda ne mu bulamu bwa Kristo; kubanga “awatali obwo siwali aliraba Mukama.” Era Ekigambo ekyo kikulumiriza ekibi; era kikubikkulirira ddala ekkubo ery’obulokozi. Kiseengako nnyo omwoyo, ng’otegeera nawe mu mutima gwo. OW 37.1
Bwe kikubikkulira obubi bw’ekibi, bwe kikulaga nga bw’oli ddala omwonoonyi, toke’ngentererwa. Aboonoonyi Kristo be yajja okulokola. Tetuli bakuwalula Katonda okumutabaganya naffe, wabula Katonda “atabaganya Ensi naye yekka.” 2 Kol. 5:19, mu Kristo. O, okwagala okw’ekitalo! Emitima gy’abaana be abasobya, agiwalula n’okwagala kwe. Tewali muzadde ku nsi ayinza okugumikiriza ensobi z’abaana be, nga Kitaffe ow’omu ggulu bw’akola eri ffe olw’okwagala okutulokola. Tewali n’omu eyandiyinzizza okwegayirira omwonoonyi n’ekisa ekingi bwe kityo. Tewali kamwa ka muntu akaali kegayiridde omuntu omukyamu nga Katonda waffe bw’akola. Okusuubiza kwe kwonna, n’okulabula kwe byonna biraga okwagala okutayogerekeka. OW 37.2
Setani bw’ajja okukugamba nti oli mwonoonyi nnyo, yimusa amaaso go alabe Omununzi wo, oyogere ku bulungi bwe. Ekinakuyamba kwe kutunuulira omusana gwe. Kkiriza ebibi byo, naye omulabe mugambe nti “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi,” 1 Tim. 1:15, era nti olw’okwagala kwe okutagerwa oyinza okulokoka. Yesu yabuuza Simoni ekibuuzo ku nsonga y’ababanjibwa ababiri. Omu mukama we yali amubanja omuwendo mutono, omulala ng’amubanja omuwendo munene nnyo; naye bombi n’abasonyiwa, kale Kristo yabuuza Simoni kw’abo bombi alisinga okwagala mukama we, Simoni yaddamu nti “Oyo gweyasinga okusonyiwra.” Luk. 7:43. Bwe kityo naffe tuli boonoonyi nnyo, naye Kristo yafa ffe tulyoke tusonyibwe. Saddaka ye emalira ddala okutusasulira ebbanja lyaffe eri Kitaffe. Abo be yasinga okusonyiwa era be balisinga okumwagala, era banayimiriranga kumpi ddala n’entebe ye, nga bamutendereza olw’okwagala kwe okunene era n‘olwa saddaka ye ey’ekitalo gye yabaweerayo. Bwe twetegerereza ddala okwagala kwa Katonda lwe tusinga okutegeera obubi bw’ekibi. Bwetulaba obuwanvu bw’olujegere olwassibwa okuva mu ggulu ku lwaffe, bwe tutegeera saddaka ey’ekitalo Kristo bye yawaayo ku lwaffe, emitima gyaffe tegirema kusaanuuka ne gimugondera. OW 37.3