Omusaale Waffe

5/14

Esuula 4—Okwatula

ABIKKA ku kusoobya kwe taliraba mukisa: naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” OW 39.1

Engeri ez’okufuniramu ekisa kya Katonda nnyangu, za mazima era ntuufu. Katonda tatulagira kukola kintu ekizibu nti alyoke atusonyiwe ebibi byaffe. Tetuli ba kutambula ‘ngendo ez’ebiramago ebikooyesa, wadde okukola ebibonerezo ebizibu, olw’okukkirizisa Katonda obulamu bwaffe, n’okuliwa oba nga engassi olw’okwonoona kwaffe: naye buli ayatula ebibi bye n’abireka alifuna okusaasirwa. OW 39.2

Omutume agamba nti “Mwatuliraganenga ebibi byamwe mwekka na mwekka, musabiraganenga, mulyoke muwone.” Yak. 5:16 (Baibuli ey’olungereza Authorized V. egamba nti “Mwatuliraganenga ensobi.”) Ebibi byo byatulire Katonda, kubanga ye yekka y’ayinza okubisonyiwa, ate ebisobyo, ebyo by’oyinza okwatulira muntu munno. Bw’oba ng’oliko ky’osobezza ku munno yenna, oteekwa okumwatulira okusobya kwo okwo, era naye gwe mulimu gwe okukusonyiwa. Ate era kikugwanira okusaba Katonda okukusonyiwa, ku- Katonda, kale bw’omunakuwaza oba ng’onakuwaza Omutonzi era Omununuzi we. Omusango ogwo guletebwa mu maaso g’Omuwolereza oyo ow’amazima, Kabona waffe Asinga obukulu, oyo “eyakemebwa mu byonna bumu nga ffe, “awatali kibi,” era ayinza “okulumirwa awamu (naffe) mu bunafu bwaffe,” Beb. 4:15, oyo ayinza okulongoosa buli bbala lyonna ery’obutali butuukirivu. OW 39.3

Abo abatewombeka mu maaso ga Katonda mu kwatula ebibi byabwe, tebannatuukiriza ddaala erisookerwako omuntu okukkirizibwa mu maaso ga Katonda. Obanga tetunnafuna kwenenya okwo okutejjusibwa, nga tetunnaba kwatula bibi byaffe n’omutima ogw’amazima omuwombefu oguboneredde, nga tukyayidde ddala ebibi byaffe, tetunnaba kunoonya kusonyiyibwa bibi byaffe; kale obanga tetunnanoonya, era tetunnafuna ddembe eri Katonda. Ensonga eri emu yokka etugaanyi okusonyiyibwa ebibi byaffe eby’edda, ye eno: tetwagala kutoowaza mitima gyaffe mu mpenda zonna ezitulagibwa mu kigambo kya Katonda eky’amazima. Ku kigambo kino tuyigirizibwa ddala bulungi nti ekibi obanga kikwata ku muntu omu, oba kibiina, oba kiri mu kyama, era okwatula kusaana kuviira ddala mu mitima, era ekibi kyatulirwe ddala bulungi kyonna. Omwonoonyi si wa kuwalirizibwa buwalirizibwa okwatula ekibi kye. Okwatula tekusaana kuba mu ngeri ya kusaagasaaga, wabula omuntu ategedde obubi bw’ekibi kye era ng’akikyayidde ddala, era nga kimulumya n’omutima gwe. Okwatula kwe kufukira ddala byonna ebiri mu mutima gwo mu maaso ga Katonda. Owa Zabuli agamba nti “Mukama ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese. Era awonya abalina omwoyo ogubonerede.” Zab. 34:18. OW 40.1

Okwatula okw’amazima, kwo kuba kwa njawulo, kulaga ekibi kyennyini. Kiyinza okuba eky’engeri ey’okutegeeza Katonda yekka; kiyinza okuba nga kya ngeri ey’ensobi esaana okwatulira omuntu gundi eyasunguwazibwa oba eyalumizibwa olw’ensobi eyo; oba kiyinza okuba nga kyakola ku bantu bangi, era bwekityo kiteekwa okwatulirwa mu maaso g’abo bonna abaakolebwako. Naye okwatula kwonna kuteekwa kubeera okutuukira ddala ku nsonga yennyini, ng’otuukira ku kibi kyennyini kye wakola, so si kukyeyisaako wadde okukyogera mu lugero. OW 41.1

Mu biro bya Samuwiri, Abaisiraeri baava ku Katonda. Ne babonyabonyezebwa olw’ekibi kyabwe ekyo; kubanga baali baweddemu okukkiriza, n’olw’ekyo ne beerabira Katonda bw’alina obuyinza n’amagezi okufuga amawanga, nga tebakyesiga buyinza bwa Katonda obukuuma era obulwanirira abantu be. Baava ku Mufuzi omukulu ow’eggulu n’ensi, ne beegomba okufugibwa ng’amawanga amalala agabeetoolodde. Okwatula kwe baayatula bafune emirembe kwe kuno nti: “Twongedde ku bibi byaffe byonna n’ekibi (kino), okwesabira kabaka.” 1 Sam. 12:19. Baateekwa okwatula ekibi kyennyini kye baali bakoze. Obuteebaza bwabwe bwabaleetako okubonabona, era ne kubaggya ku Katonda. OW 41.2

Katonda tasiima kwatula awatali kwenenya kwa mazima n’okudda obuggya. Obulamu buteekwa okulaga oba okubamu obukyufu obw’amazima; buli kintu kyonna Katonda ky’atasiima kigyibwewo. Kino nno kiva mu kunakuwalira ekibi okw’amazima. Ku luggyi lwaffe, omulimu gwe tuteekwa okukola gutulagibwa lwatu, Mukama atugamba nti “Munaabe, mwerongose; muggyewo obubi bwebikolwa byamwe bive mu maaso gange; mulekenga okukola obubi: muyige okukolanga obulungi, mugobererenga eby’ensonga; muddukirirenga ajoogebwa, musalenga omusango gwatalina kitaawe, muwolererezenga namwandu.” Is. 1:16,17. “Omubi bwanazzangayo omusingo, n’akomyawo ekyo kye yanyaga, natambulira mu mateeka ag’obulamu, nga taliko butali butukirivu bw’akola; talirema kuba mulamu, talifa” Ez. 33:15. Paulo ng’ayogera ku mulimu gw’okwenenya, agamba nti “Okunakuwala okwo eri Katonda nga kwabaletera okufuba okungi, era n’okuwoza ensonga (yamwe), era n’okusunguwala, era n’okutya, era n’okwegomba, era n’okunyikira, era n’okuwalana eggwanga! Mu byonna mweteegeza nga muli balongoofu mu kigambo ekyo.” 2 Kol. 7:11. OW 41.3

Ekibi bwe kimala okutta okutegeera kw’omuntu, awonno ne bw’akola ekibi takimanya bubi bwakyo, era bw’atagondera maanyi ga mwoyo Omutukuvu agamulumiriza mu mutima gwe ekibi ky’aba akoze, kale abeera awo mu buzibe bw’amaaso obw’omwoyo eri ekibi kye. Okwatula kwe tekuba kwa mazima. Buli lwakkiriza ekibi kye, era ayongera ebigambo eby’okwewolereza, ng’agamba nti singa tewaabaddewo kintu kino oba kiri, teyandikoze kibi kino ekimunenyezebwa. OW 42.1

Adamu ne Kawa bwe baalya ku kibala ky’omuti ogw’agaanibwa, bajjula ensonyi n’entisa. Kye baasooka okukola kwe kulowooza nga bwe baneewolereza, balyoke bawone omusango ogw’entisa ogw’okufa. Kale Mukama bwe yabuuza, Adamu yaddamu ng’ateeka omusango ogwo ekitundu ku Katonda n’ekitundu ku munne: “Omukazi, gwe wampa okubeeranga nange, ye yampadde ku muti, nendya.” Ate omukazi omusango yagussa ku musota, ng’agamba nti “Omusota gunsenzesenze, ne ndya.” Lub. 3:12,13. Mu njogera endala omukazi yagamba Katonda nti “Lwaki wakola omusota? Lwaki wagukkiriza okujja mu Adeni? Ebyo bye byali mu bigambo omukazi bye yayogera nga yeewolereza olw’ekibi kye, bw’atyo ng’ateeka omusango gw’okwonoona kwabwe ku Katonda. Omwoyo ogwo ogw’okwewa obutuukirivu gwatandikira mu kitaawe w’obulimba (Setani), era okuva olwo gulabikira mu baana b’Adamu. Okwatula okuli nga okwo tekuleetebwa Mwoyo wa Katonda, era n’olw’ensonga eyo tekusiimibwa mu maaso ge. Okwenenya okw’amazima kuletera omuntu okwetikka omusango gwe ye, n’okukkiriza awatali bulimba newakubadde bunnanfuusi. Abeera nga omuwooza oli gwe tusomako mu Luka essuula ey’ekkumi n’omunaana, ssempala ataayagala na kuyimusa maaso ge mu ggulu; bw’atyo naye talema kukaaba nti “Ai Katonda, onsaasire nze alina ebibi.” Kale abo abakkiriza ebyonoono byabwe baliwebwa obutukirivu; kubanga Kristo wakuwolereza olw’omusayi gwe buli muntu yenna eyenenya. OW 43.1

Ku nsonga y’obuwombefu n’okwenenya okw’amazima, eby’okulabirako ebiri mu kigambo kya Katonda bitubikkulira omwoyo ogw’okwatula okutalimu kuwolereza kibi, wadde okugezaako okwewa obutukirivu. Paulo teyagezaako okwebikkako; naye ekibi kye akiragira ddala mu ngeri yakyo esingira ddala obubi, nga tagezaako kukendeeza musango gwe. Agamba nti “Nze ne nsibanga mu makomera abatukuvu abamu bangi, bwe nawebwa obuyinza eri bakabona abakulu, era bwe battibwa ne nzikiriza okubatta. Era bwe battibwa era bwe nababonerezanga emirundi emingi mu maku’nganiro gonna ne mbawalirizanga okuvvoola; ne mbasunguwaliranga nnyo ne mbayigganyanga okutuuka mu bibuga eby’ebweru.” Bik. 26:10,11. Ayogera kaati nti “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w’oluberyeberye.” 1 Tim. 1:15. OW 44.1

Omutima omugonvu ogumenyese, mu kwenenya okw’amazima, gusiima okwagala kwa Katonda n’omuwendo ogwasasulirwa e Gologosa; era ng’omwana bw’ayatula mu maaso ga Kitaawe amwagala, n’omuntu eyeenenya mu mazima bw’atyo bw’oleeta ebibi bye byonna mu maaso ga Katonda. Era kyawandiikibwa nti “Bwetwatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n’okutunaazako byonna ebitali bya butuukirivu.” 1 Yok. 1:9. OW 44.2