Omusaale Waffe

3/14

Esuula 2—Omwonoonyi Nga Bwe Yetaaga Kristo

OLUBERYEBERYE omuntu yali ng’aweereddwa amaanyi mangi era n’ebirowoozo ebitereevu. Ng’atuukiridde era ng’atabagana ne Katonda. Ebirowoozo bye nga birongofu, n’okuteesa kwe nga kutukuvu. Naye olw’emputtu ze, amaanyi ge gaayonoonebwa, okwerowoozako ne kutwala ekifo ky’ekisa. Olw’okwonoona, obuzaaliranwa bwe ne bufuuka bunafu ddala n’okuyinza n’aba nga mu maanyi ge ye tayinza kuziyiza maanyi ga mubi. Yafuuka muddu wa Setani, era yandibadde muddu we emirembe gyonna singa Katonda teyayamba mu ngeri ey’enjawulo. Ye omukemi kye yali agenderedde kwe kumalirawo ddala Katonda kye yagenderera mu kutonda omuntu, alyoke ajjuze ensi okubonabona, agizikirize. Alyoke agambe nti “Obubi buno bwonna Katonda ye yabuleeta, olw’okutonda omuntu.” OW 16.1

Omuntu bwe yali nga tannaba kwonoona, yasanyukanga okunyumya n’oyo “omuli obugagga bwonna obw’amagezi n’obwokutegeera nga bukwekeddwa.” Bak. 2:3. Naye bwe yamala okwonoona, nga takyalaba ssanyu eri obutukuvu, yanoonya kwekweka ave mu maaso ga Katonda. Era na buli kati eyo ye ngeri y’omutima gw’omuntu yenna atanaba kufuulibwa mugya. Olw’obutatabagana na Katonda, tayinza kusanyuka kunyumya naye. Omwonoonyi tayinza kusanyukira mu maaso ga Katonda; ayagala kwekweka bwekwesi ave mu maaso g’oyo Omutukuvu. Singa wakukkirizibwa okugenda mu ggulu, teryandibadde lya ssanyu gy’ali n’akatono. Omwoyo ogw’obuteerowoozaako ogufuga eyo, (Kubanga buli mutima gw’abo abaliyo gutabagana n’omutima gw’oyo ow’okwagala okutaggwawo), tegwanditabaganye na bulamu bwe. Ebirowoozo bye, n’okwagala kwe, n’okuteesa kwe kwonna byandibadde bya njawulo n’ebyo ebikolera mu bitonde biri ebitalina kibi. Teyanditabaganye n’ab’omu ggulu. Eggulu lyandibadde kifo kya kubonabona; yandyegombye okwekweka mu maaso g’Oyo awa omusana, era n’essanyu. Ababi, Katonda tabagaana buganyi okugenda mu ggulu: naye beggalirawo bokka olw’okuba nga tebayinza kutabagana na mpisa zaayo. Eri bo, ekitibwa kya Katonda kyandibadde muliro ogwokya. Bandyegombye okuzikirira balyoke bakwekebwe okuva mu maaso g’oyo eyafa okubanunula. OW 16.2

Tekiyinzika ku lwaffe okuva mu kinnya ky’ekibi kye twagwamu. Emitima gyaffe mibi, so tetuyinza kugikyusa. “Ani ayinza okuggya ekintu ekirongoofu mu kitali kirongoofu? Tewali n’omu.” Yob. 14:4. “Okulowooza kw’omubiri bwe bulabe eri Katonda; kubanga tekufugibwa mateeka ga Ka-tonda, kubanga n’okuyinza tegakuyinza.” Bal. 8:7. Obuyigirize, empisa ennungi, okwagala kw’omuntu, okufuba kwe, ebyo byonna birina ekifo kyabyo ekituufu, naye wano tebirina maanyi. Biyinza okulongosa empisa ezookungulu, naye tebiyinza kukyusa mutima, tebiyinza kulongosa nsulo za bulamu. Kyetaagibwa nnyo okubaawo obuyinza obukola nga businziira mu mutima munda, obulamu obuggya obuva mu ggulu, awo nno omuntu alyoke okyusibwe okuva mu kibi okudda mu butukuvu. Obuyinza obwo ye Kristo. Ekisa kye kyokka kye kiyinza okuzza obuggya obulamu bw’omuntu, ne kibwagaza Katonda, n’obutukuvu. Omulokozi yagamba nti “Omuntu bwatazalibwa mulundi gwakubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Yok. 3:3. Bwe kityo, omuntu bwataweebwa mutima muggya, okwetaaga kuggya, okuteesa kuggya okufuula obulamu bwe okuba obuggya “tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.” Ekirowoozo ekigamba nti “Ekyetaagibwa kyokka kwe kulongosa ebirungi ebiri mu muntu eby’obuzaaliranwa, ekyo bwe bulimba obukulu ddala. “Omuntu ow’omukka obukka takkiriza bya Mwoyo gwa Katonda: kubanga bya busirusiru gy’ali; era tayinza kubitegeera, kubanga bikeberwa na mwoyo.” 1 Kol. 2:14. Tewewunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzalibwa omulundi ogwokubiri.” Yok. 3:7. Kyawandiikibwa ku Kristo nti “Obulamu bwali muye; obulamu nebuba omusana gw’abantu,” Yok 1:4 erinya lya Yesu lye lyokka “wansi w’eggulu eryawebwa abantu eritugwanira okutulokola.” Bik. 4:12. OW 17.1

Tekimala okutegeera obutegeezi okwagala kwa Katonda okunene, n’okumanya obulungi bwe, n’ekisa kye eky’ekitalo eri abaana be. So tekimala okwetegereza obwetegereza amateeka ge nga bwe gaakolebwa mu mazima n’obutukirivu, okutegeera nga bwe gaanywezebwa ku musingi ogw’okwagala okutaggwawo. Omutume Paulo bino byonna yabyetegereza, n’okugamba nti “Nzikiriza amateeka nga malungi.” “Amateeka matukuvu, n’ekiragiro kitukuvu, kitukirivu, kirungi.” OW 19.1

Naye ate yayogera nga alina ennaku n’okweralikirira mu mutima nti ” Nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi.” Bal. 7:16,12,14, Yegomba obulongofu, obutukuvu, bw’ataalinako buyinza kwetuusako ku bubwe yekka, n’akaaba nti “Nze nga ndi muntu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno?” Okukaaba okuli nga okwo kwe kuwuliddwa mu biro byonna, nga kuva mu mitima gy’abantu abazitoowereddwa, abali mu nsi zonna. Eri abantu bonna, okuddamu kuli kumu, kwe kuno nti “Laba, Omwana gw’endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by’ensi!” OW 19.2

Waliwo eby’okulabirako bingi Omwoyo wa Katonda bye yakozesa ng’ategeeza amazima gano, era n’okugannyonnyolera ddala omuntu yenna aba ayaayaanira okuggyibwako omugugu gw’ebibi. Yakobo bwe yamala okukola ekibi eky’okulimba muganda we, yadduka okuva mu maka ga kitaawe, yali nga azitoowereddwa era nga yeerarikirira nnyo olw’ekibi ekyo. Ng’ali awo bw’omu; naye ekigambo ekyasinga okuluma ennyo mu mutima gwe, kwe kutya nti ekibi kye kimwawukanyiza ne Katonda, nti Katonda amwabulidde, n’agalamira awo ku ttaka ejjereere ng’alina ennaku, mu ddungu omutali bantu, nga nsozi zokka ze zimwetoolodde, ne mu ggulu ng’alaba mmunyenye. Bwe ya-li ali awo nga yeebase, omusana ogw’ekitalo ne gumujjira mu kwolesebwa; n’alaba amadaala amawanvu nga gasimbiddwa okuva ku ttaka awo weyali, n’entikko nga etuuse ku miryango gy’eggulu kwennyini, nga bamalayika ba Katonda bayita ku madaala ago nga bwe bakka ate nga bwe baambuka; ate eri waggulu awaali okumasamasa okutenkanika, n’eva eddoboozi lya Katonda mu bigambo eby’essanyu ebireeta essuubi. Omwoyo gwa Yakobo kye gwali gwetaaga, (ye Mulokozi) bwekityo bwe kyamutegeezebwa, bw’atyo n’asanyuka era ne yebaza, olw’okulaba nga ekkubo limubikkuliddwa, ye omwonoonyi mw’ayinza okuyita okudda eri Katonda. Amadaala ag’ekitalo ge yaloota gaali gategeeza Yesu, omutabaganya yekka wakati wa Katonda n’omuntu. OW 19.3

Ekifaananyi kino era Yesu kye yakozesa bwe ya-li ng’anyumya ne Nasanaeri, bwe yagamba nti “Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinya era nga bakkira ku Mwana w’omuntu.” Yok. 1:51. Olw’okugwa kwa Ada-mu, omuntu yayawukana ne Katonda; Wakati wa Katonda n’omuntu ne wabaawo olukonko olunene olutayinza kubuukika. Naye mu Kristo, ensi yagattibwa n’eggulu. Kristo olw’obulungi bwe, yatinda olukonko olwo ekibi lwe kyasima, bwe kityo, kakano mu ye bamalayika ba Katonda bayinza okutumibwa okuyamba abantu. Kakati omuntu eyagwa mu kibi, omunafu era atayinza kweyamba, Kristo amugatta ne Katonda omuli amaanyi agataggwawo. OW 20.1

Naye omuntu bw’anyoma Yesu omuva essuubi ly’omwonoonyi, era omuyambi w’abalina ebibi yekka, alowooleza bwerere okweyimusa yekka, era n’okufuba kwe kwonna okw’obuntu kuba kwa bwerere; talina ky’ayinza kweyongerako n’akatono kokka. Kubanga “buli kirabo kirungi na buli kitone kitukirivu” kiva eri Katonda. Yok. 1:17. Bwe kityo awatali Kristo tewali mpisa nnungi za mazima. Kristo lye kkubo lyokka erituuka eri Katonda. Agamba nti “Nze kkubo, n’amazima, n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ngayita mu nze.” Yok. 14:6. OW 21.1

Omutima gwa Katonda guyaayaanira abaana be ab’omu nsi nga gujjudde okwagala okusinga okufa amaanyi. Mu kirabo ekimu ekyo kyokka, (ye Mwana we Yesu gwe yatuwa), mwe yatuweera eggulu lyonna. Obulamu bw’Omulokozi, n’okufa kwe, n’okuwolereza kwe; okukola kwa bamalayika n’okw’Omwoyo Omutukuvu, mw’ebyo byonna Kitaffe mw’akolera n’okwagala okutakoma, byonna byateekebwawo olw’okununulibwa kw’omuntu. OW 21.2

O! Ka tulowoozenga ku saddaka ey’ekitalo eyaweebwayo ku lwaffe! Leka tugezeko okwebazanga ennyo Katonda olw’okukola kwe n’okufuba kwe yafuba alyoke atukomyewo gy’ali ffe abaali babulidde mu bibi. Tewali kintu kyonna Katonda kye yandikoze okutuwalulira gy’ali okusinga saddaka gye yawayo ku lwaffe ye Mwana we Yesu Kristo; lowooza empeera ennene Katonda gye yasubiza abamwagala, essanyu ery’omu ggulu, okutuulanga awamu ne bamalayika, okutabagana ne Katonda era n’Omwana we, okuweebwa amaanyi agataggwawo; ebyo byonna tebiyinza kuwalula mitima gyaffe okwagala era n’okuweereza Omununuzi waffe? OW 21.3

Ate ku luyi olulala, Katonda atulaga mu Kigambo kye, omusango bwe guli omunene ogugenda okusalirwa ababi, n’ekibonerezo eky’ekitalo, kwe kuzikirizibwa ku lunaku olw’enkomerero. Bino byonna abitulaga atulabule tulemenga okuweereza Setani. OW 22.1

Tunanyoma ekisa kya Katonda ekyo? Yandiyinzizza kukola ki ky’ataakola? Ka tufube nnyo okumwagala n’okumusanyusa Oyo eyatwagala okwagala okw’ekitalo. Leka tukkirize n’okwebaza ekirabo kye yatuwa (ye Mwana we) alyoke aggyewo obuzaliranwa bwaffe atufuule okufaanana nga ye, atutabaganye ne bamalayika, tubeere bumu ne Kitaffe n’Omwana we. OW 22.2