Omusaale Waffe

13/14

Esuula 12—Okumalawo Okubuusabuusa

BANGI olusi bateganyizibwa n’ebigambo by’abatakkiriza, okusingira ddala abo abakyali abato mu bulamu bw’Obukristayo. Mu Baibuli mulimu ebintu bingi byebatasobola kunnyonnyola, era bye batamanyi, awo Setani n’akozesa ebigambo ebyo ekunyenya okukkiriza kwe bakkiriza Baibuli okuba Ekigambo kya Katonda. Ne batandika okwebuuza nti “Nnaategeera ntya ekkubo ettufu? Obanga ddala Baibuli Kigambo kya Katonda, nnyinza ntya okugyibwa mu buzibu bw’okubusabuusa kuno? OW 119.1

Katonda tatulagira kukkiriza kintu kyonna nga tatuwadde bukakafu ku kyo, kwe tunaanywereza okukkiriza kwaffe. Okubeerawo kwe, empisa ze amazima g’Ekigambo kye, ebyo byonna birina obukakafu obubinyweza mu mitima gyaffe, era obukakafu obwo bwa ngeri nnyingi. Naye ebintu ebibusisabuusisa Katonda teyabigyawo. Okukkiriza kwaffe kuteekwa kunywerera ku bukakafu so si ku kunnyolannyola. Abo abaagala okubusabuusa ebbanga weriri; naye eri abo abagala okutegeera amazima, balina obukakafu bungi obuyinza okunyweza okukkiriza kwabwe. OW 119.2

Mu birowoozo byaffe bino ebimpi, tekiyinzika kutegeerera ddala mpisa za Katonda oba ebikolwa bye byonna. Eri omuntu asingira ddala amagezi, oba omuyigirize ennyo kayingo, era ebya Katonda biri mu kyama wala gy’atasobola kubituukako. “Oyinza okulaba Katonda olw’okunoonya? OW 120.1

Omutume Paulo yewunya, nti “Obuziba bw’obugagga obwamagezi n’obwokumanya kwa Katonda (tomanyi) bwe buli! Newankubadde nga “ebire n’ekizikiza bimwetolola,” naye “obutuukivu n’omusango bye binyweza entebe ye.” Zab. 97:2. Bwe tutyo tuyinza okutegeera enkolagana ye naffe, n’ebirowoozo by’alina eri ffe, tulyoke tuyinze okutegeerera ddala okwagala n’okusaasira okw’ekitalo by’alina wamu n’obuyinza bwe. Era tulina ekitundu kye yatuwa okutegerako ku kuteesa kwe nga bwe yalaba ekitusaanira; kale okuggyako ekyo, ebirala kitusaanira okwesiga omukono gw’oyo ayinza byonna, alina amutima ogujjudde okwagala. OW 120.2

Ekigambo kya Katonda, era kiri ng’empisa ze bwe ziri, kirimu ebintu eby’ekyama omuntu obuntu by’atayinza kutegeerera ddala. Ekibi nga bwe kyayingira mu nsi, Kristo okufuuka omuntu, okuzaalibwa omulundi ogw’okubiri, okuzuukira, era n’ebigambo ebirala bingi ebiragibwa mu Baibuli, bya buziba nnyo, omuntu tayinza kubinnyonnyola wadde okubitegeera obulungi. Naye newakubadde nga tetuyinza kutegeera byama bya Katonda n’okuteesa kwe kwonna, tewali nsonga etugaana kukkiriza kigambo kye. Mu nsi muno mujjudde ebintu eby’ekyama bye tutayinza kutegeera. Akawuka akatono ennyo akatalowoozebwako na kulowoozebwa, naye mu bulamu bwako mulimu ebintu ebizibu ddala omuyizi kayingo by’atasobola kunnyonnyola. Kale awo tuyinza okwewunya bwe tulaba bye tutayinza kutegeera? Ensonga okuva obuzibu obwo ye eno: ebirowoozo byaffe bitono nnyo era binafu ddala, ng’ogerera ku bya Katonda. Mu byawandiikibwa, Katonda yatuwa obukakafu obumala okututegeeza nga byava eri ye era tekitusaanira kubusabuusa Kigambo kye olw’okubanga tetuyinza kutegeera byama bye byonna n’okuteesa kwe ebiri omwo. OW 120.3

Omutume Petero agamba nti mu Byawandiikibwa mulimu “ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n’abatali banywevu bye banyola, . . . . olw’okuzikirira kwabwe bo.” 2 Pet. 3:16. Abatakkiriza batwala obuzibu bw’Ebyawandiikibwa nga babweyambisa okuwakanya Baibuli obutaba Kigambo kya Katonda. Singa Baibuli terimu bigambo ng’ebyo ebitegeerwa Katonda yekka, naye nga ebigambo byayo bitegeerekeka mangu; singa obukulu bwa Katonda n’ekitibwa kye nga biyinza okutegeerwa ebirowoozo by’omuntu, awo Baibuli yandibadde nga terina kabonero konna akagiraga nga yava eri Katonda. Ebigambo ebyo byennyini ebikulu eby’ekyama ebiri mu yo, bisaana biyimuse mu ffe omwoyo ogw’okukkiriza nga kye kigambo kya Katonda. Baibuli ebikkula amazima mu ngeri ddala ennungi era ennyangu Katonda bye yatekateka olw’okwetaaga kw’omutima gw’omuntu, era engeri eyo yeewuunyisa omuntu omuyigirize ennyo era egimwagaza, ate mu kiseera kye kimu, esoboza omuntu yenna atayigangako okulaba ekkubo ery’obulokozi. Naye amazima ago agalagibwa Baibuli mu ngeri eyo ennyangu ddala, mwe muli ebigambo ebya waggulu ennyo, ebigendera ddala ewala, era ebisukkira ddala okutegeera kw’omuntu, ne tubikkiriza bukkiriza olw’okwesiga nga Katonda y’abyogedde. Enteekateka y’okununulibwa kwaffe bw’etulagibwa bw’etyo, buli muntu yenna alyoke ayinze okulaba ekkubo ly’anakwata okwenenya okudda eri Katonda, n’okukkiriza Mukama waffe Yesu Kristo, alyoke atuuke ku bulokozi ng’ayita mu kkubo Katonda lye yateekawo; naye mu mazima ago agategeerekeka amangu gatyo, omwo mwe muli eby’ekyama ebyakwekebwa ebiraga ekitibwa kye, eby’ekyama ebisukka okutegeera kw’omuntu kwonna we kukoma, naye eri oyo anoonya n’omutima ogw’amazima ng’ayagala okumanya ekituufu, bimuletera okukkiriza n’okussamu Katonda ekitibwa. Gy’akoma okwekenneenya mu Baibuli, omutima gwe gye gukoma okugikkiriza nga kye Kigambo kya Katonda omulamu, amagezi g’obuntu ne gakkakanyizibwa mu maaso g’Ekigambo kya Katonda. OW 121.1

Bwe tukkiriza nti tetuyinza kutegeerera ddala amazima ago ag’ekitibwa agali mu Baibuli, okwo kwe kukakasa nti okulowooza kw’omuntu tekuyinza kutegeera bya Katonda; kwe kugamba nti omuntu, mu kutegeera kwe okwo okutono okw’obuntu, tayinza kutegeerera ddala kuteesa kw’oyo nannyini magezi gonna. OW 122.1

Abatakkiriza n’abakafiiri olw’okubanga tebayinza kutegeera byama bya Katonda byonna ebiri mu Baibuli, tebagikkiriza nga Kigambo kya Katonda; so era n’abamu ku abo abeegamba okukkiriza Baibuli bakwasibwa mu kyambika kino. Olw’ensonga eyo, omutume ky’ava atulabula nti “Mwekume, aboluganda, wozi omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga okuba mu muntu yenna ku mmwe, olw’okuva ku Katonda amulamu.” Beb. 3:12. Kituufu ddala okukebera n’obwegendereza okuyiga ebyo Baibuli by’etuyigiriza, n’okwekenenya ennyo ebintu ebyo “ebitategeerekeka ebya Katonda,” I Kol. 2:10, bwe biba nga bitulagibwa mu Byawandiikibwa. Naye “ebyekyama biba bya Mukama Katonda.” “ebibikulibwa biba byaffe.” Ma. 29:29. Naye Setani ky’afubirira ennyo, kwe kuziyiza ebirowoozo byaffe, tuleme okutegeera Ekigambo kya Katonda. Ky’ava ateeka amalala mu mitima gyaffe nga tuyiga Ekigambo kya Katonda, abantu n’okuyinza netutayinza kugumiikiriza singa tusanze ekitundu mu Baibuli kye tutayinza kunnyonnyola bulungi nga bwe tusiima, era tukiraba nga eky’obuswavu. Kirabika nga kyansonyi okukkiriza nti tebategera bigambo ebyo Omwoyo wa Mukama bye yawandiisa. Tcbaagala kugumiikiriza okulindirira okutuusa Katonda lw’alaba nga ekitundu ekyo kituuse okubabikkulirwa. (Laba Is. 28:10). Balowooza ng’amagezi gaabwe gokka gabasoboza okutegeera Ekyawandiikibwa, kale bwe balaba nga balemeddwa, ne baganira ddala oyo eyakiwandiisa. Kya mazima ddala enjigiriza nnyingi abantu ze basanyukira, n’okulowooza nti zaava mu Baibuli songa tezirina musingi mu njigiriza yaayo, era ziwakanaganira ddala n’omusingi gw’Ebyawandiikibwa gwonna. Ebintu ebyo bye bireeta obuzibu n’okubuusabuusa mu mitima gy’abangi. Anti ebyo tebikwata ku Kigambo kya Katonda naye bivunaanibwa muntu oyo eyanyola Ekigambo kya Katonda. OW 122.2

Singa omuntu ekitonde obutonde nga yayinza okutuuka ku kutegeerera ddala Katonda n’ebikolwa bye, kale bwe yandituuse ku ddaala lino, tewandibadde mazima malala ge yeeyongera kuvumbula, tewandibadde kukula kwa kutegeera kwe, ebirowoozo n’omutima gwe tebyandyeyongedde kukula. Katonda nga takyali wa kitibwa; era omuntu bwe yandibaddenga amazeyo amagezi ago bw’atyo; yandikomye bukomi, nga takyaliko we yeeyongera. Leka twebaze Katonda olw’obutaba bwe kityo. Katonda wa waggulu nnyo mu kitibwa kye tetuyinza na kumanya we kikoma; mu ye mwe “muli obugagga bwonna obw’amagezi n’obwokutegeera.” Bak. 2:3. Era okutuusa emirembe gyonna abantu bakuyiga, era n’okukenneenyanga amagezi ge, n’obuyinza bwe, n’obulungi bwe; naye tebagenda kubikomekkereza. OW 124.1

Era ne mu bulamu buno Katonda yayagala abantu be bagende nga beeyongerayongera okubikkulirwa amazima ge. Okutegeera kuno kufunirwa mu ngeri emu yokka. Ekigambo kya Katonda tukitegeera lwa kulu’ngamya kwa Mwoyo Mutukuvu yekka Eyakiwandiisa. “Ebya Katonda siwali abitegeera wabula Omwoyo gwa Katonda;” “kubanga Omwoyo anoonya byonna era nebitategerekeka ebya Katonda.” I Kol. 2:11,10. Era Omulokozi yasuubiza abagoberezi be nti “Bw’alijja oyo Omwoyo ow’amazima, anabalung’amyanga mu mazima gonna. . . kubanga anatolanga ku byange nabulira mmwe.” Yok. 16,13,14. OW 124.2

Katonda yeetaaga abaana be bakozese ebirowoozo byabwe; era okuyiga Baibuli kvva kukuza ebirowoozo byabwe n’okubigaziya, okusinga eky’okuyiga ekirala kyonna. Naye tuteekwa okwegendereza ennyo, ebirowoozo byaffe ebinafu eby’obuntu tuleme okubifuula Katonda. Obanga twagala Ebyawandiikibwa biremenga okutukalubirira ennyo, n’okulemwa okutegeeranga n’amazima agatali ga buziba nnyo, tuteekwa okubeera n’okukkiriza okutaliimu bunanfuusi, okufaanana ng’okw’omwana omuto, nga twetesetese okuyiga ekinatubikkulirwa kyonna, era nga twegayirira Omwoyo Omutukuvu okutubeera. Bwe tutegeera nga Katonda alina obuyinza n’amagezi gonna, era nga tutegeera nga ffe tuli banafu abatasobola kutegeera bukulu bwe, kitusaanira okwewombeeka, era nga tubikkula Ekigambo kye, katubeera ng’ababikkudde oluggi olugenda mu kisenge ye yennyini mw’atudde, nga tujjudde obuwombefu olw’okumussaamu ekitibwa. Bwe tutuuka mu Baibuli, okutegeera kwaffe kwonna kuteekwa kukkirize oyo ow’obuyinza obusukkirira ennyo, emitima gyaffe n’amagezi gaffe bisaana bivuname mu maaso g’ekitibwa kya NDI. OW 125.1

Eri abo bonna abasemberera Ekigambo kya Katonda mu mwoyo ogw’engeri eno, nga banoonya okutegeera amazima, Katonda ajja kubabikkulira ebintu bingi ebirabika ng’ebizibu ebibalema okutegeera. Naye awatali kukulemberwa Mwoyo Mutukuvu tetulema kunyola Byawandiikibwa oba okubikyamya. Waliwo bangi abanyikira ennyo okusoma Ebyawandiikibwa, naye ne batabaako kaganyulo ke bafunamu, wabula okwerumya obwerumya. Ekigambo kya Katonda bwe kibikkulwa awatali buwombefu na kusaba; omuntu okwagala kwe n’ebirowoozo bye bwe bitanywerera ku Katonda, oba bwe bitatabagana na kwagala kwa Katonda, omutima gwe bwe guba nga gujjudde okubusabuusa; mu kusoma okwo kwenyini kw’asoma Baibuli mwe muva okunywerera mu butakkiriza Omulabe agenda n’afuga ebirowoozo bye, n’amunnyonnyola amakulu agatali matuufu. Abantu bwe baba nga tebanoonya kutabagana ne Katonda mu bikolwa ne mu bigambo byabwe, olwo ne bwe baba bayizi batya, tebalema kukyama mu kuteegera Ebyawandiikibwa, era tekiba kirungi okwesiga okunnyonnyola kwabwe. Abo abakebera mu Baibuli nga bagenderera kuginoonyamu nsobi, obulamu bwabwe tebunnayakirwa. Olw’ebirowoozo byabwe ebyo ebikyamu tebalema kusangamu bingi ebibabusisabuusisa n’okubatuusiza ddala ku kuwakanya ebintu ebyangu era eby’olwatu ddala. OW 125.2

Obutakkiriza newakubadde nga buyita mu makubo agatali gamu, naye ekikolo kyabwo ddala businga kuva mu kwagala kibi. Obuyinza bw’Ekigambo kya Katonda n’enjigiriza zaako, tezaanirizibwa mutima gwa malala ogwagala ekibi, era abo abatayagala kugondera bye kiyigiriza, bulijjo baba betefuteefu okuwakanya obuyinza bwakyo. Obanga twagala okutuuka ku mazima, tuteekwa okuba n’omutima ogwetaagira ddala amazima,era ogwagala okugagondera. Era abo bonna abasoma Baibuli n’omutima ogufaanana bwe guti, bavumbula ebintu bingi ebibawa okukkiririza ddala nga Baibuli Kigambo kya Katonda, era baweebwa amagezi ag’okuteegera amazima agalimu agayinza okubageziwaza mu kutuuka ku bulokozi. OW 126.1

Kristo yagamba nti “Omuntu bw’ayagala okukola oli by’ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno.” Yok. 7:17. Mu kifo ky’okuwakanya ekigambo ky’otategeera oba okukizanyisa, gondera kiri ky’omaze okutegeera, era olibikkulirwa n’ebirala ebisingawo. Olw’ekisa kya Kristo tuukiriza buli kintu kyonna ky’omaze okuweebwa n’okutegeera nti Katonda akikwagaliza, era oliweebwa amaanyi okutegeera n’okutuukiriza ebirala by’obadde tonategeera bulungi. OW 127.1

Waliwo obukakafu obubikkulirwa abantu bonna, (omuyigirize owa waggulu n’oyo ataliiko k’amanyi), obukakafu obw’ebyo ebiba mu bulamu bwaffe obwa buli lunaku. Katonda atukowoola okwekemera ffe bennyini amazima g’Ekigambo kye, amazima g’okusuubiza kwe. OW 127.2

Atulagira nti “Mulege mutegeere Mukama nga mulungi.” Zab. 34:8. Mu kifo ky’okwesiga ekigambo ky’omuntu omulala, tugambibwa twetegeere ffekka. Agamba nti “Musabe, muliwebwa.” Yok. 16:24. Okusuubiza kwe okwo kwakutuukirira. Tekuyinza butatuukirira. Era bwe tusemberera Yesu, ne tusanyukira mu bungi bw’okwagala kwe, ekizikiza kyaffe kyonna n’okubusabuusa biggwawo olw’omusana gwe. OW 127.3

Omutume Paulo agamba nti “Yatulokola mu buyinza obw’ekizikiza, n’atutwala mu bwakabaka obw’omwana we omwagalwa.” Bak.l: 13. Era bu-li muntu yenna amaze okuva mu kufa okutuuka mu bulamu ayinza okutekako “akabonero ke nti Katonda wa mazima.” Yok. 3:33. Ayinza n’okutegeeza nti “Nali netaaga obuyambi, ne mbufuna mu Yesu. Era yamponya buli kwetaaga kwonna, nali nnumwa enjala mu mwoyo eyo nayo yaggwawo; era kakano Baibuli yanfuukira okubikkulirwa kwa Yesu Kristo. Oyagala okutegeera kye nva nzikiriza Yesu? Kubanga oyo ye Katonda Omulokozi wange. Era oyagala okumanya ensonga enzikkirizisa Baibuli? Kubanga netegereza nga Baibuli eyo lye ddoboozi lya Katonda eri obulamu bwange.” Obujulirwa obwo buyinza okulabikira mu bulamu bwaffe nga bulaga nti Baibuli ya mazima, era nti Kristo Mwana wa Katonda ddala ddala. Tumanyi nga tetwagoberera ngero ezagunjibwa n’amagezi g’abantu. OW 128.1

Petero alabula baganda be nti “Mukulire mu kisa ne mu kutegeera Mukama waffe era Omulokozi waffe Yesu Kristo.” 2Pet.3:18. Abantu ba Katonda bwe baba nga bakulira mu kisa, baba nga beeyongerayongera bulijjo okubikkulirwa Ekigambo kye. Beeyongera okuweebwa omusana omuggya, era n’okulaba obulungi bw’amazima gaakyo amatukuvu. Ebiro byonna kino kirabise nga kyamazima mu byafaayo by’ekkanisa ya Katonda, era kya kubeera bwe kityo okutuusa enkomerero. OW 128.2

“Ekkubo ly’abatukirivu liri ng’anga omusana ogwakayakana, ogweyongerayongera okwaka okutuusa obudde lwe bulitukirira.” Nge. 4:18. OW 128.3

Olw’okukkiriza tuyinza okulengera ebiri mu maaso, n’okunywerera ku kusuubiza Katonda kwe yatusuubiza nti okutegeera kwaffe kunagendanga kweyongerayongera okukula, ebitundu by’omuntu bwe byegatta ne Katonda, era obulamu bwe bwonna bwe butabaganira ddala n’oyo omuva amagezi gonna. Tuyinza okusanyuka kubanga ebintu bya Katonda ebyatulemanga leero olwo nga tubiragibwa; ebyali ebizibu nga bitutegeezebwa; ebintu ebyatutabulatabulanga olw’ebirowoozo byaffe okuba ebitono, leero nga tubitegeera obuterevu. “Kakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n’amaaso; kakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala nga bwenategeererwa ddala.” I Kol. 13:12. OW 129.1

Wansi w’emikono gye; we neekweka
Mu bikemo ne mu nnaku
Era nneesiganga okukuuma kwe
Yannunula era ndi mwana we.

   Wansi w’emikono gye
   Ani alimunzigyako?
   Mu mikono gye mwe nnaabeeranga
   N’eddembe emirembe gyonna

Bwe mbera mu nnaku gye nzirukira
Omutima gwange gumwetaaga
Mu nsi bwe mbulwa anansanyusanga
Mu Yesu mwokka mwe nsanyukira
OW 129.2