Omusaale Waffe

14/14

Esuula 13—Okusanyukira mu Mukama Waffe

ABAANA ba Katonda bayitibwa babaka ba Kristo, nga balaga obulungi bwa Mukama waffe n’ekisa kye. Nga Yesu bwe yatubikkulira mu mazima empisa za Kitaawe, naffe bwe tutyo tuli ba kulaga Kristo eri ensi etamanyi kisa kye na kwagala kwe. Yesu yagamba Kitaawe nti “Nga bwewantuma mu nsi, nange bwembatuma mu nsi.” “Nze mu bo, naawe mu nze,.... ensi etegeere nga gwe wantuma.” Yok. 17:18, 23. Paulo omutume agamba abayigirizwa ba Yesu nti “Mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo.” “abantu bonna gye bategeera gye basoma.” 2 Kol. 3:2,3. Yesu aweereza ebbaluwa eri ensi ng’agiyisa mu buli mwana we. Obanga oli mugoberezi wa Kristo, aweereza mu ggwe ebbaluwa, era amaka mw’obeera, ekyalo, ne mu kkubo mw’oyita. Yesu ng’alimu ggwe ayagala eddoboozi lye liwulirwe emitima gy’abo bonna abatamanyi. Gamba tebamanyi kusoma oba tebasoma Baibuli, mpozzi tebalina mukisa okuwulira ago ababuulira ebigambo byamu; si na kindi tebaweereddwa kulaba kwagala kwa Katonda nga bwe kweragira mu mirimu gye. Naye oba nga gwe oli mubaka wa Kristo mu mazima, oba oli awo bayinza okutegeerera mu ggwe obulungi bwe era nabo beegomba okumuweereza. OW 130.1

Abakristayo baatekebwawo nga be b’okumulisa ekkubo erigenda mu ggulu. Omusana gwa Kristo ogwakira mu bo bakugulaga eri ensi. Obulamu bwabwe n’ebikolwa byabwe bisaana bituuse abalala ku kutegeera Yesu, n’okumuweereza. OW 131.1

Obanga tulaga Kristo kitusaanira okulaga nga okumuweereza kwa ssanyu, so era bwe kuli ddala. Abakristayo bakizinzibadde abeetippa abatasalikako musale, abatuula mu kwemulugunya n’okwerumaluma, abo balaga abantu ekifaananyi ekitali kya mazima ku Katonda ne ku bulamu bw’Obukristayo. Baleetera abalala okulowooza nti Katonda tasiima baana be kuba na ssanyu, era ne mu kino bawa obujulirwa obw’obulimba ku Kitaffe ow’omu ggulu. OW 131.2

Setani asanyuka nnyo bw’alaba ng’atuusizza abaana ba Katonda ku ke’ngentererwa n’obutakkiriza. Yesiima bw’alaba nga tetwesiga Katonda era nga tubusabuusa obuyinza bwe okutulokola. Ayagala nnyo tulowooze nti Katonda mu ebyo by’atukolera ayagala kutuleetako kabi. Ye Setani omulimu gwe kwe kutulaga nti Katonda talina kusaasira. Akyamyakyamya amazima agaba googera ku Katonda. Atulowoozesa ku Katonda ebikyamu; awo naffe mu kifo eky’okunywereza emitima gyaffe ku mazima agatutegeeza Kitaffe ow’omu ggulu, emirundi mingi tubeera ku bulimba obwo Setani bw’aba aleese mu mitima gy’affe, n’ekivaamu kwe kunyoma Katonda olw’obutamwesiga era n’okumwemulugunyiza. Setani kyafubirira kwe kulabisa obulamu gw’Obukristayo ng’obwennaku. Ayagala tubulabe nga bulamu obuzibu era obw’okutegana; kale n’Omukristayo obulamu bwe buletera abantu ebirowoozo ebifaanana nga bino, era naye, mu butakkiriza bwe aba ng’akola omulimu gwe gumu ne Setani, ogw’obulimba. OW 131.3

Bangi mu kutambula kwabwe okw’obulamu buno bateeka emitima ku nsobi zaabwe n’okulemwa n’okusaalirwa, kwabwe, n’ekivaamu, emitima gyabwe gijjula ennaku n’okuke’ngentererwa. Bwe ‘nali mu Bulaya, omu ku bannyinaffe eyakolanga ebiri nga bino, era eyali mu nnaku ennyingi n’ampandiikira ebbaluwa, ng’ansaba akagambo ak’okumuzzaamu amaanyi. Bwe nnamala okusoma ebbaluwa ye, ekiro ekyaddirira ne ndoota nga ndi mu nnimiro, era omuntu eyafaanana nga nannyini nnimiro eyo yali ng’ankulembedde ng’ampisa mu bukubo obuyita mu nnimiro omwo. Ne ‘ngenda nga bwe nnoga ebimuli era nga binsanyusa olw’akawoowo kaabyo, awo mwannyinaffe oli, yali atambulira ku mabbali gange, n’a’ngamba ntunulire amaggwa agaali mu kkubo lye, ng’ali awo anakuwadde era ng’akaaba. Yali nga tagoberera mukulembeze okuyita mu bukubo buli, naye ng’atambulira mu maggwa amerere. N’agamba nti “O, si kya kusaalirwa ennimiro ennungi bw’eti okwonoonebwa amaggwa?” Omukulembeze n’amugamba nti “Amaggwa galeke, anti gajja kukuleetako ebiwundu byerere. Gwe noga bimuli ebyo byokka.” OW 132.1

Mu bintu byonna ebyakubaddeko mu bulamu bwo temubangamu kirungi n’ekimu? Tewabangawo kiseera kyonna omwoyo gwo lwe gwali gusanyuse olw’okukola kw’Omwoyo gwa Katonda? Bw’otunula emabega mu bulamu bwo bwonna tolabayo kintu kyonna ekisanyusa? Okusuubiza kwa Katonda tekukusanyusa ng’ebimuli eby’akawoowo ebiri eruyi n’eruyi mu kkubo ly’oyitamu mu bulamu bwo? Essanyu lyakwo teriyinza kujjuza mutima gwo? OW 133.1

Amaggwa n’amatovu gakukufumita na kukulumya bulumya; singa oku’ngaanya ebintu ebyo byokka n’obiwa abalala; ng’oggyeko okwonoona obulungi bwa Katonda mu mwoyo gwo gwe, naye tolaba nti oziyiza abantu abalala okutambulira mu kkubo ery’obulamu? OW 133.2

Si kya magezi okukunganya enkuyanja y’ebintu ebibi ebyali mu bulamu bwaffe ebw’emabega, (obutali butukirivu n’obuzibu bwonna bwe twalina), akubinyumyako n’okutunakuwaza okutuusa lwe tuke’ngentererwa ne tuggwamu ddala n’amaanyi. Omuntu bw’ake’ngentererwa ajjula ekizikiza, omusana gwa Katonda agugoba mu bulamu bwe, era asuula ekisiikirize mu kkubo ly’abalala. OW 133.3

Katonda yebale olw’ebifaananyi ebirungi bye yatuwa. Leka tuku’ngaanye ebintu ebirungi ebikakasa okwagala kwe gye tuli, tutunuulirenga kw’ebyo buli kaseera. Omwana wa Katonda ng’aleka nnamulondo ya Kitaawe, ng’obwakatonda bwe abwambaza obuntu, alyoke alokole omuntu okuva mu buyinza bwa Setani; okuwangula kwe yawangula ku lwaffe, okuggulirawo omuntu eggulu, n’amubikkulira ekisenge omuli entebe ya Katonda n’amulaga ekitibwa kye; omwonoonyi ng’ayimusibwa okuva mu kinnya ky’okufa, ekibi kye kyamusuulamu, ng’atabaganyizibwa ne Katonda, era ng’amaze okuyita mu kigezo kya Katonda olw’okukkiriza Omununuzi, alyoke ayambazibwe obutuukirivu bwa Kristo, atuule wamu naye ku ntebe ye ey’obwakabaka. Ebyo bye bintu Katonda by’ayagala abaana be balowoozengako. OW 133.4

Bwe tuba nga tubusabuusa okwagala kwa Katonda, n’okusuubiza kwe ne tutakwesiga, mu ngeri eno tuba tetumussamu kitibwa, era tunakuwaza omwoyo we. Kale omuzadde yandirowoozezza atya singa ng’abaana be bamwemulugunyiza olutata, nti tabayisa bulungi, songa obulamu bwe bwonna abuwaayo okubakolera abasanyuse era babeere mirembe? Gamba singa babusabuusa okwagala kwe; ekyo tekyandiremye kumenya mutima gwe. Muzadde ki eyandyagadde abaana be okumuyisa bwe batyo? Kale Kitaffe ow’omu ggulu atulowooza atya bw’alaba nga tetwesiga kwagala kwe, okwamuweesayo Omwana we eyazalibwa omu yekka ffe tulyoke tubeere n’obulamu? Omutume yatuwandiikira ng’atubuuza nti “Ataagana Mwana we ye, naye n’amuwayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?” Bal. 8:32. Naye laba weebali bangi, newakubadde nga teboogera na lulimi, naye mu bikolwa byabwe bagamba nti “Okusuubiza Mukama kwe yasuubiza abaana be nze teyanteekamu. Mpozzi ayagala balala, naye nze tanjagala.” OW 134.1

Ebyo byonna birumya obulamu bwo ggwe; kubanga buli lw’oyogera ekigambo (oba lw’okuuma mu mutima gwo ekirowoozo) eky’okubusabuusa weeyitira bikemo bya Setani; kinyweza mu ggwe omutima ogw’okubusabuusa, era kikugobako ba malayika abakuyamba. Setani ne bw’akuleetera ebikemo ebingi bitya, tokkiriza kwogera kagambo (wadde okuyingiza mu mutima gwo akalowoozo) konna ak’okubusabuusa oba ak’ekkiriza. Kasita okkiriza okugulirawo ebigambo bye oluggi olw’omutima gwo, omutima gwo gwonna ajja kugujjuzamu ebirowoozo ebijeemu eby’okubuusabuusa. Singa oyogera ebikuli mu mutima, buli kigambo eky’okubusabuusa ky’oyogera tekyonoona ggwe wekka, naye era kuffuka ensigo z’osiga ne zibala ebibala mu bulamu bw’abalala, era olusi tekiyinzika kulongosa ekyo ekyayonooneka olw’ebigambo byo. Gwe wennyini oyinza okuwona akabi ako, naye abalala be wasuula mu mutego ogwo olw’ebi-gambo byo, bayinza obuteeyambula kyambika ekyo eky’obutakkiriza kye wabasuulamu. Kigambo kikulu nnyo ddala, tuteekwa kwogera ebyo byokka ebiyinza okuleetera obulamu obw’omwoyo amaanyi. OW 135.1

Bamalayika bawuliriza ebigambo by’oyogera eri ensi ku Mukama wo ow’omu ggulu. Leka emboozi zammwe zibeerenga kw’oyo abeera omulamu okubawolerezanga mu maaso ga Kitaffe. Bw’okwata mukwano gwo mu ngalo, leka omutima gwo n’akamwa ko bijjule okugulumiza Katonda. Ebyo tebirema kusembeza mutima gwe okulowooza ku Yesu. OW 135.2

Bonna balina obuzibu; okugumikiriza ennaku, okuziyiza ebikemo. Obucwano bwo leka kubutwalira muntu munno, naye munafu, naye buli kintu kyonna kitwale eri Katonda mu kusaba. Kino kifuule tteeka, mu bulamu bwo bwonna, obutayogeranga kigambo kya kuke’ngentererwa wadde eky’okubusabuusa. Oyinza okwakira obulamu bw’abantu abalala n’okubuzzaamu ennyo amaanyi, singa oyogeranga ebigambo ebirungi ebisanyusa, era ebireeta essuubi. OW 136.1

Waliwo abantu bangi abazira, naye nga bakemebwa nnyo kitalo, era nga mu lutalo lwe balwana n’omubiri n’amaanyi g’omubi babulako katono okuzirika. Leka kunafuya muntu ali mu kabi nga ako. Musanyuse busanyusa n’ebigambo ebireeta amaanyi n’essuubi ebinamwongera okutambula n’amaanyi. Omusana gwa Kristo gulyoke gwakire mu ggwe bwe gutyo. “Kubanga tewali muntu muffe eyeberera omulamu ku bubwe yekka.” Bal. 14:7. Olw’ebyo bye tukola oba twogera tuyinza okuzzamu bangi amaanyi nga tetugenderedde, oba tuyinza okubanafuya ne tubagoba ku Kristo, ne baviira ddala mu mazima. OW 136.2

Waliwo bangi abalowooza obubi ku bulamu bwa Yesu n’empisa ze. Balowooza nti teyayagalanga kusanyuka, nti yabeeranga awo omusajja omukakanyavu, omukambwe, era ow’eggume. Obulamu obukristayo bangi babulowooza bwe batyo. OW 136.3

Emirundi mingi kigambibwa nti Yesu yakaaba, naye nga ky’atamanyi kwe kumwenyako. Kya mazima, Omulokozi waffe yali muntu ow’ennaku, era eyamanyira obuyinike, kubanga yakkiriza ennaku newakubadde ng’obulamu bwe bwali bwa kwegaanyisa, obuliko ekisiikirize eky’obulumi n’okweralikirira, omwoyo gwe tegwazirika. Amaaso ge tegaalaga kifaananyi kyonna kya kunakuwala, naye gaalinga mateefu era ag’eddembe. Omutima gwe gwali nsulo ya bulamu; buli we yagendanga wonna, yatwaliranga abantu emirembe n’okuwummula, essanyu n’okujaguza. OW 136.4

Omulokozi waffe teyamalanga gayogera bigambo eby’okusaagasaaga ebitalina nsonga; naye tewali mulundi gwonna lwe yaliko busungu oba ekkabyo. Era n’abo abaagala okumufaanana basaana kubeera ba mazima mu byonna; nga bategeerera ddala obuvunaanyi nga bwe buli. okusaagasaaga ebitasaana kwa kugyibwawo; bakwewala ebiduula oba embekulo, n’obuseko obutalimu, okuduula; naye eddiini ya Yesu enebaleeteranga eddembe lingi nga emigga. Teggyawo ssanyu; tewera muntu kusanyuka, so tegaana muntu kuba na maaso gaseka ag’essanyu. Kristo teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza; era okwagala kwe bwe kufuga emitima gyaffe, tetulema kugoberera kyakulabirako kye. OW 137.1

Singa tuteeka mu mitima gyaffe ebintu ebibi abalala bye batukola, tujja kwesanga nga tukalubirirwa nnyo okubaagala nga Yesu bwe yatwagala; naye singa emitima gyaffe gibeera ku kwagala okw’ekitalo n’okusaasira Kristo kwe yatusaasira, era omwoyo ogwo naffe gwe tugenda okulaga eri abalala. Kitugwanira okwagalana n’okussa’nganamu ekitibwa, newankubadde nga tunalabanga ensobi n’ebintu ebitali bituufu, anti tetuyinza kukyebeera. Tusaana okwemanyiza obuwombeefu n’obutessaako nnyo mwoyo era tugumiikirizenga n’ekisa ensobi z’abalala. Kino kiritumalamu okweyagala fekka kwonna, era kirituwa omutima ogw’ekisa ekitalimu bukuusa. OW 137.2

Owa Zabuli agamba nti “Wesigenga Mukama, okolenga obulungi; beranga munsi, ogobererenga obwesigwa.” Zab. 37:3 (Baibuli ey’Olungereza yo egamba nti “Wesigenga Mukama, era okolenga obulungi; bw’otyo onobeeranga mu nsi, era mazima onooliisibwanga.” “King James Authorized Version”). “Weesigenga Mukama.’’ Buli lunaku lulina emigugu gyalwo, obuzibu era n’okweralikirira kwalwo; era bwe tusisinkana ne bannaffe, tusinga kwogera ku buzibu n’ebikemo byaffe. Awo obucwano obwa munno ne buyingira mu gwe, naye natwala obubwo, okutya okuva mu mutima gwa munno nakwo ne kukola bwe kutyo, n’okukwo kutyo, ne tutuula okwogera ku kweralikirira ne kutuzitoowereza bwe kutyo, omuntu n’okulowooza n’atulowooza ng’abatalina Mulokozi alina ekisa n’okusaasira, eyetesetese okuwulira okusaba kwaffe kwonna n’okubeera gye tuli nga ye Mubeezi ddala atabula mu buli kiseera eky’okwetaaga. OW 138.1

Emirundi mingi abamu batya, nga beeretako obucwano obutannabatuukako. Buli lunaku balaba buli wantu obubonero bw’okwagala kwa Katonda; bulijjo Katonda abawa ebirabo bye; naye emikisa egyo gyonna tebagitunuulira. Buli kaseera emitima gyabwe giba ku bintu ebibi bye batya obuti nti oba oli awo ne bibatuukako; oba nti oba oli awo obuzibu obw’engeri gundi ne bubajjira, newankubadde ng’ebintu ebyo bye batya si binene nnyo, naye biziba amaaso gaabwe eri ebintu ebingi bye bandisaanye okwebaza Katonda. Obuzibu bwe basisinkana, mu kifo ky’obutwala eri Katonda, ayinza yekka okubayamba, ate bubagoba bugobi ku Katonda, olw’okubanga bubaleetedde ennaku n’okweralikirira. OW 138.2

Kale tukola bulungi obutaba na kukkiriza? Lwaki tufuuka abateebaza era abateesiga Katonda? Yesu ye mukwano gwaffe; Eggulu lyonna litussaako nnyo omwoyo. Tetusaana kukkiriza bintu ebyo ebitujjira buli lunaku mu bulamu bwaffe okutweralikiriza, n’okutuzimbya ebisige. Kasita tunaakola bwe tutyo, bulijjo tugendanga kuba n’ebintu bingi ebitunakuwaza n’ebimenya emitima gyaffe. Tekitusaanira kwesembereza bintu ng’ebyo ebitaliiko kye bituyamba mu lutalo lwaffe, wabula okutulumya obulumya n’okumenya emitima gyaffe. OW 139.1

Mu mulimu gwo muyinza okubaamu ebikweralikiriza; ebintu biyinza okuba nga byeyongera kukugendera bubi, oyinza okulaba ng’ofiirwa; naye toggwamu maanyi; okweralikirira kwo kutwale eri Katonda, ggwe beera muteefu era omusanyufu. Saba Mukama okukuwa amagezi ag’okukwata ebintu byo n’obwegendereza, oleme okufuna akabi k’okufiirwa. Ggwe ku luyi lwo kola kyonna ky’oyinza okuziyiza okufiirwa okwo. Yesu yasuubiza okuyamba abantu be naye bo teyabagamba kutuula butuuzi. Ggwe bw ', omala okukola ky’oyinza kyonna, wesige omubeezi waffe era ebinaavamu byonna bikkirize n’essanyu. OW 139.2

Katonda tayagala bantu be kubeera awo nga bazitowererwa n’okweralikirira kw’obulamu buno. Naye era tatuseemyaseemya. Tatugamba nti “Temutya; mu kkubo lyammwe hemuli kabi.” Amanyi nga mulimu obubi era n’ebikemo, era naye ebyo abitutegeeza butereevu. Tagamba nti abantu be baleme okutuula mu nsi eno omuli ekibi n’ennaku, naye abagala eri ekiddukiro eky’amaanyi. Ng’asabira abayigirizwa be, yagamba nti “Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakumenga mu bubi.” Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.” Yok. 17:15; 16:33. OW 139.3

Kristo mu kubuulira kwe okw’oku lusozi, yawa abayigirizwa be eby’okuyiga ebirungi ennyo, ebitegeeza okwesiga Katonda nga bwe kwetaagibwa ennyo, Ebigambo ebyatekebwatekebwa olw’okugumya abaana ba Katonda mu biro byonna; era mu biro byaffe bino, ebigambo ebyo birina okuyigiriza n’okugumya kungi. Omulokozi yalaga abagoberezi be ennyonyi ez’omu bbanga, nga ziri ku nnyimba zaazo ez’okutendereza; tezifaayo, tezirina kirowoozo kya kweralikirira; anti ‘tezisiga, so tezikungula.” Naye Kitaffe omukulu aziwa bye zeetaaga byonna. Awo omulokozi n’alyoka atubuuza nti “Mmwe temusinga nnyo ezo? Mat. 6:26. Omugabi oyo omukulu, agabira omuntu n’ensolo, ayanjuluza engalo ze n’awa buli kitonde kye bye kyetaaga. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga azitunulira. Wewaawo tayasamya bumwa bwazo n’ateekamu mmere, naye aziteekerateekera bye zeetaaga. Zo ziteekwa okuku’nganya empeke ezo z’agenze azisaasanyiza. Ziteekwa okweretera obuntu era n’okuzimba ebisu byazo. Ziteekwa okulisa obwana bwazo. Zikola emirimu gyazo n’essanyu nga bwe ziyimba, kubanga “Kitammwe ali mu ggulu aziriisa.” Kale “mmwe temusinga ezo?” Mmwe abalina okutegeera, era abasinza nga mutegeera mu myoyo gyammwe kye mukola, temuli ba muwendo okusinga ennyonyi ez’omu bbanga? Oyo eyabateekawo akuuma obulamu bwammwe, oyo eyatutondera mu kifaananyi kye ye, talituwa byonna bye twetaaga, singa tumwesiga? OW 140.1

Ate Kristo, abayigirizwa be yabalaga ebimuli eby’omu ttale, nga bikula mu bisaaganda byabyo ebirungi biti, mu bulungi bwabyo obwo Kitaffe ow’omu ggulu bwe yabiwa, olw’okutegeeza omuntu okwagala kwe. N’agamba nti “Mutunulire amalanga ago mu ttale, bwe gamera.” (Baibuli ey’Olungereza egamba nti “Mulowooze,”‘ mu kifo kya “Mutunulire.” Leka tutwale ebigambo bino byombi: bwe tutunulira “amalanga” bwegakula” (ng’ey’Olungereza bw’ekiwa). Obulungi bw’ebimuli n’obutakyukakyuka bwabyo, businga wala ekitibwa kya Sulemani. Ekyambalo ekisingira ddala obulungi ekyakolebwa omukozi ow’amagezi, tekiyinza kwenkana n’obulungi oba obunyirivu Katonda bwe yawa ekimuli. Awo Yesu w’abuuliza nti Katonda bw’ayambaza atyo omuddo ogw’omu ttale, oguliwo leero, ne jjo bagusuula mu kyoto, talisinga nnyo (okwambaza) mmwe, abalina okukkiriza okutono?” Mat. 6:28,30. Omuddo oguggwawo mu lunaku olumu, obanga Katonda mu magezi ge aguwa ekyambalo ekinekaneka ekirimu erangi ezitali zimu, talisinga nnyo okulowooza abantu, be yeetondera ye yennyini, be yatonda mu kifaananyi kye? Ebigambo bya Kristo ebyo binenya abantu abalina emitima egyeralikirira, egibusabuusa, era egitalina kukkiriza. OW 141.1

Katonda ayagala abaana be babeere basanyufu, nga balina emirembe, era nga bawulize. Yesu agamba nti “Emirembe gyange ngibawa: si ng’ensi bw’ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweralikiriranga so tegutyanga.” “Ebyo mbibagambye, essanyu lyange liberanga mu mmwe, era essanyu lyammwe litukirire.” Yok. 14:27; 15:11. OW 142.1

Essanyu erinoonyezebwa olw’okugoberera okweyagala wekka, eritayita mu kukola, eryo si ttuufu, so teriterera; liggwawo, omwoyo ne gusigala mu kiwubaalo ne mu nnaku; naye essanyu liri mu kuweereza Katonda; Omukristayo talekebwa kutambulira mu kkubo ly’atategeera; talekebwa mu kunakuwala n’okusaalirwa. Bwe tutaba na ssanyu ery’omu bulamu buno, era tuba nga tukyasanyuka olw’okusuubira liri eriri mu buli obugenda oku-jja. OW 142.2

Naye era ne mu bulamu buno Abakristayo balina essanyu olw’okutabagana ne Kristo; bayinza okufuna omusana ogw’okwagala kwe, essanyu ery’olubeerera eriva mu ye. Buli kigere kye tutambula mu bulamu buno, kigwana kitusembeze ku Yesu, kitwongerenga okutegeera ennyo okwagala kwe, era kitwongere okutusembeza eri amaka gali ag’emirembe emyerere. Kale leka tulemenga okusuula obwesige bwaffe, naye tunywere nnyo, tunywerere ddala okusinga edda. “Okutuusa kakano Mukama atubede.” I Sam. 7:12, era wakutubeera okutuusa ku nkomerero. Leka tutunuulirenga ku birabo bye ng’empagi ez’ekijjukizo, ezitujjukiza Mukama kye yatukolera okutusanyusa n’okutulokola okuva mu mikono gy’omuzikiriza. Leka tujjukire buggya ekisa kyonna Katonda kye yatulaga, amaziga ge yatusangula, okulumwa kwe yaggyawo, okweralikirira kwe yakomya entisa gye yagoba, okwetaaga kwe yamalawo, n’emikisa enkumu gy’atuwa; bwe tutyo tuddemu amaanyi aganatuyisa mu kitundu ekisigaddeyo eky’olugendo lwaffe. OW 142.3

Tetuyinza kutunuulira buzibu obuggya obuli mu lutalo olukyali mu maaso, naye tuyinza okulengera buli obuli emabega mu kiseera ekyayita ate n’obw’omu maaso; ne tugamba nti “Okutuusa kakano Mukama atubedde.” “Ng’ennaku zo, amaanyi go bwe ganabanga bwe gatyo.” Ma. 33:25. Ebikemo tebigenda kusinga maanyi ge tuliweebwa okubiyitamu. Kale leka tukwate omulimu gwaffe, wonna we tuba tugusanze, nga tukkiriza nti kale ekijja kijje, kasita tugenda kuweebwa amaanyi ag’okukiwangula. OW 143.1

Ekiseera si kinene enzigi ez’omu ggulu zigenda kuggulwawo, abaana ba Katonda bayingizibwe, bawulire eddoboozi eggwomerevu ennyo nga liva mu kamwa ka Kabaka ow’ekitibwa nga libagamba nti “Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.’ Mat. 25:34. OW 143.2

Awo abanunule ne bayanirizibwa mu maka ga-li Yesu g’abateekerateekera. Eyo baliranwa baabwe tebagenda kuba bantu babi ab’ensi eno, abalimba, abasinza ebifaananyi, abagwagwa, abatakkiriza; naye banabeeranga n’abo abaawangula Setani, era abaafuna empisa ez’obutuukirivu olw’ekisa kya Katonda. Buli kirowoozo ekibi, buli butali butuukirivu bwonna, obubabonyabonyeza wano, nga buggyiddwawo olw’omusayi gwa Kristo, obulungi obwakayakana obw’ekitibwa kya Yesu, obusinga ennyo okwakayakana kw’enjuba, nobutuukirivu bw’empisa ze, ne bumasamasa ku bo, mu kitibwa ekisinga ekitibwa kyonna ekirabika. Nga tebaliiko musango mu maaso g’entebe ey’obwakabaka ennene enjeru, nga bagabana ku kitibwa ne ku ddembe lya bamalayika. OW 143.3

Kale bw’olowooza obusika obwo obw’ekitibwa ekitenkanika, “omuntu aliwaayo ki okununula obulamu bwe?” Mat. 16:26. Ayinza okuba nga mwavu, naye nga mu bulamu bwe alina obugagga n’ekitibwa, ensi ky’etayinza kugaba. Omuntu anunuliddwa era alongoosebbwa okuva mu kibi, n’aweereza Katonda mu maanyi ag’Omwoyo Omutukuvu, wa muwendo mungi nnyo nnyini mu maaso ga Katonda; era liba ssanyu mu ggulu, eri Katonda era n’eri bamalayika abatukuvu, olw’omuntu omu anunuliddwa, n’okuyimba bamalayika ne bayimba ennyimba entukuvu ez’okuwangula. OW 144.1

Omulokozi ndimulaba, Ssanyu liriba litya
Bwendirabagana n’oyo, Yesu eyanfirira.

Ndimulaba, ndimulaba, Bw’alijjira ku bire.
Ndimulaba mu kitibwa, Alirabika mangu.

Siyinza kumulaba nnyo Olw’enzikiza y’ensi;
Naye olunaku lujja, Lw’alirabika ennyo.
OW 144.2