Omusaale Waffe

12/14

Esuula 11—Omukisa gw’Okusaba

KATONDA ayogera naffe ng’ayita mu bitonde, mu Kigambo kye, mu bintu ebitubaako, ne mu Mwoyo we Omutukuvu. Naye ebyo tebimala; naye naffe twetaaga okufuka omutima gwaffe mu maaso ge. Kitusaanira okubeera n’okubagana okutuufu ne Kitaffe ow’omu ggulu, tulyoke tufune obulamu era n’amaanyi ag’omwoyo. Kitusaanira okuwaayo omutima gwaffe gy’ali, okulowooza ku mirimu gye, nakwo kusaana, ku kisa kye, ne ku mikisa gy’atuwa; naye mu butuufu ddala, okwo si kwe kwogera naye. Okwogera ne Katonda, tuteekwa naffe okubaako kye tumutegeeza ekifa ku bulamu bwaffe bwennyini. OW 103.1

Okusaba kwe kubikkulira Katonda omutima gwaffe nga bwe twandigubikkudde eri mukwano gwaffe. Kino si kwe kugamba nti tuba tutegeeza Katonda nga bwe tuli, wabula kyo kituyinzisa ffe okumusembeza mu mitima gyaffe. Okusaba si kwe kuleeta Katonda gyetuli, wabula kusitula ffe okututwala gy’ali. OW 103.2

Yesu bwe yali ku nsi kuno yayigiriza abayigirizwa be okusaba. Yabayigiriza buli lunaku okutwalanga okwetaaga kwabwe eri Katonda, n’okuteekanga ku ye okweralikilira kwabwe kwonna. Era okusuubiza kwe yasuubiza nti okusaba kwabwe kunawulirwanga, obwo bwe bwesige bwaffe. OW 103.3

Yesu yennyini ng’akyali wano, yanyikiranga nnyo mu kusaba. Omulokozi waffe yeegattira ddala naffe mu kwetaaga kwaffe ne mu bunafu bwaffe, n’olw’ensonga eyo yanyikiranga nnyo okusaba n’okwegayirira, ng’anoonya amaanyi agava eri Kitaawe aganamusoboza okwolekera ebikemo n’omulimu gwe agwamuleeta. Ye kye ky’okulabirako kyaffe mu byonna. Ye muganda waffe mu bunafu bwraffe bwonna, “eyakemebwa mu byonna nga ffe;” kyokka obulamu bwe tebwalimu kibi, era yakyebalamira ddala. Olw’okuba nga yali mu mubiri gw’omuntu, obuntu bwe bwamwetaazanga okusaba era nga kumusanyusa nnyo. Yafunanga essanyu n’amaanyi olw’okwogeranga ne Kitaawe. Kale obanga Omulokozi Omwana wa Katonda, yeetaaganga bw’atyo okusaba, naye ffe abanafu, aboonoonyi era abafa, tukwetaaga kyenkana wa? OW 104.1

Kitaffe ow’omu ggulu alindiridde okutuwa emikisa gye gyonna. Bwe kityo emikisa egyo giteekeddwa mu maaso gaffe, okunywa ku nsulo eyo ey’okwagala kwa Katonda okutaggwaw ', o. Naye laba eky’ekitalo, era ekisaanidde okwewunyizibwa ennyo, nti tusaba katono nnyo! Ye Katonda mweteefuteefu era ayagala nnyo okuwulira okusaba okw’amazima okuva mu kamwa ka buli mwana we, newakubadde asingira ddala obunaku, naye laba ku luuyi lwaffe bwe tweraga nga tetwagala kutwalira Katonda kwetaaga kwaffe. Abaffe, bamalayika batulowoozaako batya, ffe basempala abatayinza kweyamba, abawangulibwa bulijjo ebikemo, bwe balaba nga Katonda mu kwagala kwe okwekitalo yetesetese okutuwa okusinga bwe tusaba oba bye tulowooza, naye ate nga ffe okusaba kwaffe kutono, n’okukkiriza kwaffe mpa we kuzira? Bamalayika baagala nnyo okuvuunama mu maaso ga Katonda, bettanira nnyo okubeera okumpi naye. Okwogera ne Katonda bakubala nga lye ssanyu lyabwe erisingira ddala; naye laba ffe abaana b’enfuufu, abatayinza kweyamba wabula Katonda yekka nga y’ atuyambye, ne tulabika nga tusanyuka nnyini okutambulira awo awatali kulu‘ngamya kwa Mwoyo Mutukuvu, Omukulembeze ava gy’ali. OW 104.2

Ekizikiza ky’omubi kibikka kw’abo abalagajjalira okusaba. Ebikemo omulabe by’ayogerera mu mitima gyabwe akaama ne bibatwala mu kwonoona, ekyo lwa nsonga, kubanga ebiseera byabwe tebabikozesa mu kusaba nga Katonda bwe yateesa okubikosesanga. Naye lwaki abaana ba Katonda tebaagala kusaba, songa okusaba kye kisumuluzo mu mikono egy’okukkiriza ekisumulula amawanika ag’omu ggulu, omuli emikisa n’amaanyi ebiva eri Oyo ayinza byonna? Bwe tuteekuuma nnyo n’okunyikira mu kusaba, tuli mu kabi ak’okufuuka abagayaavu n’okukyamizibwa omubi okutuggya mu kkubo etterevu. Omulabe waffe ye ky’afubirira kwe kutuzibira ekkubo elituuka eri entebe ey’okusaasira (kwe kusaba n’okukkiriza) awo alyoke atufirize emikisa n’amaanyi bye twandifunye okuwangula ebikemo bye. OW 105.1

Waliwo engeri Katonda mw’awulirira okusaba kwaffe n’okutuddamu. Ku ngeri ezo, esooka ye eno; kwe kuwulira mu mutima gwaffe nga twetaaga obuyambi obuva gy’ali. Okusuubiza kwe kugamba nti “Ndifuka amazzi kwoyo alumiddwa enyonta n’emigga ku ttaka ekkalu.” Is. 44:3. Abo abalumwa enjala n’enyonta olw’obutuukirivu, abayaayanira ennyo Katonda bategeerere ddala nti tebalirema kukkusibwa. Omuntu kimusaanira okuggulirawo omwoyo omutukuvu omutima gwe, bwe kitaba bwe kityo tayinza kufuna mikisa gya Katonda. OW 105.2

Katonda bw’alaba okwetaaga okunene mu mitima gyaffe, atukwatirwa ekisa ekitayogerekeka. Naye era ayagala tumusabe alyoke atuwe ebyo bye twetaaga. Yagamba nti “Musabe, muliweebwa.” Mat. 7:7. “Ataagana Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffena, era talitugabira bintu byonna wamu naye?” Bal. 8:32. OW 106.1

Ensonga ey’okubiri: singa tulowooza obutali butuukirivu mu mutima gwaffe, singa tuguguba n’ekibi nga tukimanyi, Mukama tasaayo mwoyo eri okusaba kwaffe; naye bulijjo akkiriza okusaba kw’omuntu eyeenenya, era alina omutima oguboneredde. Bwe tuggyawo buli kibi kyonna kye tumanyi, kale tukkiriza nti Katonda ajja kudda mu kusaba kwaffe. Ffe tetulina bulungi obutusiimisa mu maaso ga Katonda; wabula bulungi bwa Yesu bwe bw’okutulokola, omusayi gwe gwokka gwe gututukuza; naye naffe yatuwa kye tuteekwa okukola, kwe kutuukiriza engeri oba ensonga ezo ezogeddwako. OW 106.2

Engeri endala eyeetaagibwa mu kusaba kwe kukkiriza. “Kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” Beb. 11:6. Yesu yagamba abayigirizwa be nti “Ebigambo byonna byemusaba n’okwegayirira, mukkirize nga mubiwereddwa, era mulibifuna.” Mak. 11:24. Kale tukkiriza Katonda ng’ekigambo kye bwe kiri? OW 106.3

Okusuubiza kwe okwo kugazi, era kwa bantu bonna, era oyo eyasuubiza mwesigwa. Bwe tutaweebwa kintu kyennyini kye tusabye, oba okukiweerwa mu kiseera kyennyini kye tukyetaagiramu, era tuba tukyamwesiga Kitaffe nti atuwulidde, era nti ajja kuddamu mu kusaba kwaffe. Emirundi mingi ffe tusobya olw’okubanga ebirowoozo byaffe biraba kumpi kye tuva tusaba ebitayinza kutugasa, era Kitaffe ow’omu ggulu olw’okwagala kwe n’atuwa ebisingira ddala obulungi. era naffe bennyini bye twandyegombye singa nga Katonda abadde atubikkulidde ebintu ebyo ne twetegereza enkomerero yaabyo nga bw’eri, oba ekinaavaamu. Bwe kirabika ng’okusaba kwaffe kuli ng’okutaddiddwamu era tuli bakunywerera ku kusuubiza kwe; kubanga ekiseera kye bwe kituuka talema kutuddamu, n’atuwa omukisa ogusingira ddala obulungi. Naye okulowooza nti okusaba kwaffe kwa kuddirwamu ddala mu ngeri yennyini oba nti tuli bakuweebwa ekintu kyennyini kye twetaaga, ekyo kiba kya kwerimba. Katonda wamagezi nnyo tayinza kusobya, era mulungi bulala tayinza kumma kintu kirungi eri abo abatambulira mu bulongofu. Kale totya naye mwesige, newakubadde nga takuzzeemu mangu ago nga ggwe bw’obadde oyagala. Gwe weesige okusuubiza kwe kwe yasuubiza nti “Musabe, muliweebwa” Mat.7:7. OW 107.1

Mu bigambo byonna ebitukalubirira oba ebitubusisabuusisa, singa tugezaako okubyemalira ffeka n’emitima gyaffe gino egibusabuusa era egitalina kukkiriza obuzibu bwaffe bugendakweyongera bweyongezi. Naye singa tugenda eri Katonda, nga tutegeera bwe tuli abanafu era abataliiko kye tuyinza kwekolera, ne tumutegeza okulemwa era n’okwetaaga kwaffe. Oyo alina amagezi gonna, era ategeera byonna okuva ku luberyeberye, era afuga ebintu byonna n’ekigambo kye ng’okwagala kwe bwe kuli, ayinza okuwulira okukaaba kwaffe era akussaako nnyo omwoyo, n’atuwa omusana gwe mu mitima gyaffe, ne gutulaga ebyo byonna ebibadde bitubusisabuusisa. Okusaba okwo okw’amazima kufuuka ng’essimu etugatta ne Katonda. Tuyinza obutaba na kabonero konna akalabika mu kaseera ako akatutegeeza ng’amaaso g’Omulokozi waffe gatutunulidde n’okwagala era n’okusaasira okutayogerekeka; naye ddala bwe kiri. Tuyinza obutalaba bw’atukwatako, naye kya mazima omukono gwe guba ku ffe n’okusaasira okusukkirivu. OW 108.1

Bwe tugenda eri Katonda okumusaba emikisa era n’okutusaasira, era naffe kitusaanira tube nga tulina mu mitima gyaffe okwagala era n’okusonyiwa. Kale tuyinza tutya okusaba nti “Otusonyiwe amabanja gaffe, nga ffe bwe tusonyiwa abatwewolako,” Mat. 6:12. ate nga tukyagugubye n’omwoyo ogutasonyiwa mu mitima gyaffe? Obanga twagala Katonda okuwulira okusaba kwaffe, tuteekwa buteekwa okusonyiwa abalala mu ngeri yennyini nga ffe gye twetaaga okusonyiyibwamu, era emirundi gye nnyini nga ffe gye twetaaga okusonyiyibwa. OW 108.2

Katonda yatulagira okunyikira okusaba tulyoke tuweebwe. Kale obanga twagala Obukristayo bwaffe n’okukkiriza kwaffe okukula, kitugwanira okusabanga bulijjo. Tuli “bakunyikiranga mu kusaba. ” Bal. 12:12, era nate tulabulwa nti “Munyikirenga mu kusaba, nga mutunulanga mu kusaba mu kwebazanga.” Bak. 4:2. Petero atukubiriza nti “Mwegenderezenga mutamirukukenga olw’okusaba.” I Pet. 4:7. Paulo atuyigiriza nti “Mu kigambo kyonna mu kusabanga n’okwegayiriranga awamu n’okwebazanga byemwagala bitegezebwenga eri Katonda.” Baf. 4:6. Yuda agamba nti “Abagalwa .... nga musaba mu Mwoyo omutukuvu, mwekumenga mu kwagala kwa Katonda. Yud. 20, 21. Omuntu asaba buli kaseera ye wuuyo eyegatta ne Katonda buli kaseera, bwe butyo obulamu obuva mu Katonda ne bukka mu bulamu bwe; kale obulamu bwe ne bulabika mu maaso ga Katonda nga bulongofu era nga butukuvu. OW 109.1

Ddala obunyikivu mu kusaba bwetagibwa nnyo, toganyanga kintu kyonna kukuziyiza butasaba. Kino kisseko nnyo omwoyo mu bulamu bwo, ekkubo lyo erikugatta ne Kristo bulijjo libeerenga liggule, toganyanga kantu konna konna kuliyimiriramu. Funanga akaseera konna nga bw’oyinza obutasubwa buli luku’ngana lwa kusaba. Awo bonna abeetaaga ennyo okutabagana ne Katonda, balabikira ku mpisa ya butabula ku buli luku’ngaana lwa kusaba, babeera besigwa ku buli mulimu gwe baweebwa, era basanyuka nyo okugukola, mu buli kuku’ngana tebabeerawo bubeezi, naye bassayo nnyo omwoyo era beeweerayo ddala okufuna buli mugaso gwonna gwe bayinza okufuna, oba mu kuwulira oba mu kusaba. Era baba beetefutefu okufuna buli mukisa gwonna Katonda gw’anaagaba mu kuku’ngana okwo. OW 109.2

Tuteekwa okusaba mu kusaba okw’omu maka gaffe okwa bulijjo; naye okusinga ennyo tekitusaanira kugayaalira kusaba okw’ekyama (buli muntu ng’ali yekka); kubanga kino bwe bulamu obw’omwoyo. Tekiyinzika obulamu obw’omwoyo okukula n’okufuna amaanyi okusaba bwe kugayaalirirwa. Okusaba okw’omu maka oba okw’omu kibiina kwokka tekumala. Beera mu kyama wekka, obikkulire omutima gwo gwonna mu maaso ga Katonda akebera byonna. Okusaba kuno okw’ekyama, kwa kuwulirwa Katonda yekka awulira okusaba. Okwegayirira okufaanana bwe kuti tekusaana kuwulirwa kutu kwa muntu yenna. Mu kusaba okw’ekyama nga kuno omuntu yeeyawulira ddala ku bintu byonna ebiyinza okumutabula oba okukyusa ebirowoozo bye. Abeera yekka nga yeewombeese mu maaso ga Katonda n’afuka mu maaso ge obuzibu bwe bwonna. Omuntu asaba mu ngeri eno talema kuweebwa essanyu n’amaanyi amangi nga gava eri oyo alaba mu kyama, era alina amatu ageetesetese okuwulira okusaba nga kuva mu mutima ogw’amazima. Mu ngeri eno ey’okwewombeeka mu maaso ga Katonda, omuntu mw’atabaganira ne Katonda era n’ayogera naye, era olw’okukkiriza ne yeeku’nganyiza buli musana gwonna oguva eri Katonda, okumuwa amaanyi n’obugumu mu lutalo lw’alwana ne Setani. Katonda kye kigo omuli amaanyi gaffe. OW 110.1

Sabanga nga weyawudde wekka bw’omu mu kusaba okw’engeri eno okw’ekyama; era bw’obeeranga ku mirimu gyo egya bulijjo, fubanga okuyimusa omutima gwo eri Katonda. Eno ye ngeri Enoka gye yatambuliramu ne Katonda. Okusaba okwo okw’ekyama kulinnya ng’obubani obulungi okutuuka mu maaso g’entebe ey’ekisa. Omutima gw’omuntu bwe gubeera ne Katonda bwe gutyo Setani tayinza kumuwangula. OW 111.1

Tewali kifo oba ekiseera ekitali kituufu kuwerayo kusaba kwaffe eri Katonda. Tewali kintu kyonna ekiyinza okutuziyiza okuyimusa emitima gyaffe eri Katonda mu kusaba okw’amazima. Bwe tuba mu nguudo mu bibiina by’abantu, bwe tuba ku mirimu gyaffe tuyinza okuwaayo okusaba kwaffe eri Katonda, nga tumusaba okutulu’ngamya, nga Nekemiya bwe yakola bwe yali ng’asaba kabaka Alutagizerugizi okumukkiriza agende e Yerusalemi. Ekisenge eky’okwogereramu ne Katonda kiyinza okusangibwa buli we tuba tuli wonna. Si kisenge busenge kya nju kyokka kye kigambibwa. Kitusaanira buli kaseera konna okuggulawo oluggi lw’omutima gwaffe, ne tusaba Yesu ajje abeere mu mwoyo gwaffe ng’omugenyi waffe omwagalwa. OW 111.2

Newakubadde nga mu nsi mwe tuli twetoloddwa ebintu ebibi, naye tetubisaako mwoyo; tuyinza okuyimusa emitima gyaffe ne tugissa ku birungi biri ebiri mu ggulu. Olw’okuyimusa emitima gyaffe ne tugitwala mu maaso ga Katonda, mu kusaba, tuyinza okuziyiza buli kufumitiriza kwonna okubi n’ebirowoozo ebitasaana. Abo bonna abaggulawo emitima gyabwe okufuna emikisa egiva eri Katonda, banajjuzanga emitima gyabwe ebintu ebitukuvu ennyo okusinga eby’omu nsi muno, era buli kaseera banatabagananga ne Katonda. OW 111.3

Twetaagira ddala okulaba Yesu mu ngeri ey’enjawulo, n’okutegeerera ddala mu mitima gyaffe obulungi bw’ebintu byonna by’atuterekedde. Obulungi bw’obutukuvu busaanidde bujjuze emitima gy’abaana ba Katonda; naye okufuna ekintu kino, kitusaanira okusaba Katonda atubikkulire ebintu ebyo eby’omu ggulu. OW 112.1

Emitima leka tugiyimusenga buli kaseera eri Katonda, alyoke agijjuze ebirungi eby’omu ggulu. Ka twemanyizenga okubeera awamu ne Katonda, kale mu bikemo ebinaatujjiranga nga tetumanyiridde, emitima gyaffe gibeere nga gyamanyira dda okukyukira eri Katonda ng’ekimuli bwe kikyukira eri enjuba. OW 112.2

Okwetaaga kwo kwonna, essanyu lyo, ennaku zo, okweralikirira kwo, era n’okutya kwo, byonna biweeyo eri Katonda. Toyinza kumuzitoowerera; so toyinza kumukooyesa. Oyo abala enviiri ez’oku mutwe gwo, tanyoma kwetaaga kwa baana be. “Mukama wakisa kingi n’okusaasira.” Yak. 5:11. Olw’okwagala kwe alumwa nnyo bwe tuba mu nnaku, oba bwe tuzoogerako mu kusaba. Mutwalire buli kintu kyonna ekikulema. Tewali kimuzitoowerera, anti awanirira ensi zonna, y’afuga eby’omu ggulu n’eby’omu nsi byonna. Tewali kintu kyonna ekituleetera eddembe eddungi ky’atassako nnyo mwoyo. Ebitubaako byonna tewali kimukisibwa; tewali buzibu bwonna bw’atasobola kulongosa. Tewali kabi akagwa ku mwana we yenna, oba kweralikirira, oba ssanyu; tewali kusaba okw’amazima okuva mu kamwa k’omu ku baana be. Kitaffe ow’omu ggulu kw’agayalirira. “Awonya abalina emitima egimenyese, era asiba ebiwundu byabwe.” Zab. 147:3. Katonda assaako nnyo omwoyo buli omu ku baana be, nga kifaanana nga oyo yekka gwe yaweerayo Omwana we omwagalwa Yesu. OW 112.3

Yesu yagamba nti “Mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange; kubanga Kitange ye nyini abagala.” Yok. 16:26,27. “Nze nabalonda mmwe, . . . kyonna kyemunasabanga Kitange mu linya lyange, akibawenga.” Yok. 15: 16. Naye okusaba mu linya lya Yesu, si kwogera obwogezi ku linya lye ku ntandikwa ne ku nkomerero y’okusaba kwaffe. Naye kwe kusaba ng’ebirowoozo byo n’omwoyo gwo biri nga ebya Yesu ng’okkiriza okusuubiza kwe, nga weesiga ekisa kye, era nga weetaaga nnyo okukola nga bwe yakolanga. OW 113.1

Katonda bw’atugamba okwawukana n’ensi tatugamba kusulanga mu mpuku oba mu malungu ng’abamonaki, nedda, naye ky’agamba kye kino: ayagala obulamu bwaffe bufanane ng’obwa Yesu. Ku nsozi ne mu bibiina by’abantu; obulamu obubeera mu bantu, naye obwebalama empisa zaabwe. Oyo ataliiko ky’akola wabula okusaba kwokka, alwa ddaaki n’akoowa ne yeerekerayo, oluusi okusaba kwe kufuuka ‘ngombo bugombo. Abantu bwe beeyawula, ne bava ku mulimu ogw’Omukristayo n’okwetikka omusalaba, bwe baleka okukolera Mukama waabwe n’obwesigwa, oyo eyabakolera n’obwesigwa, baba basudde ekintu ekikulu mu kusaba, nga tebakyalina nsonga ebasindika kwewaayo eri Katonda. Awo nga okusaba kwabwe kufuuse kwa kweyagala na kukola ku bo bokka. Okusaba kwabwe tebasaba lwa kwetaaga kwa lulyo lw’omuntu lwonna, so tebasaba olw’okugaziya obwakabaka bwa Kristo tebasaba Katonda kubawa maanyi ag’okukozesa olw’omulimu gwe. OW 113.2

Bwe tulagajjalira omukisa ogw’okwegatta awamu okuzimbagana n’okuyambagana olw’omulimu gwa Mukama waffe. Amazima g’Ekigambo kye gaba gaweddemu amaanyi gaago, era nga tegaliiko kye gakoze mu mitima gyaffe. Olwo emitima gyaffe ne gikwatibwako ekizikiza n’omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu ne gugwamu, amaanyi ga ffe ag’omwoyo ne gakendeera. Mu nku’ngaana zaffe ez’Obukristayo, tufiirwa bingi nnyo olw’obutatabagana. Oyo eyeerowoozaako yekka aba nga tajjuzizza kifo kye Katonda kye yamuteekerawo mu nsi. Bwe twemanyiza empisa ennungi mu bantu, ekyo kituleetera okutabagana nabo, era kituleetera okukula n’okuba ab’amaanyi mu mulimu gwa Katonda. OW 114.1

Singa nga abakristayo baagala okubeera awamu, nga boogeragana ku kwagala kwa Katonda, ku mazima amalungi ennyo ag’okununulwa kwaffe, emitima gyabwe gyandizzeemu nnyo amaanyi, era buli omu yandizzizzamu munne amaanyi. Buli lunaku tuyinza okuba nga tweyongera okuyiga ku Kitaffe ow’omu ggulu, nga tweyongerayongeranga okuweebwa ekisa kye; kale tuneegombanga nnyo okwogera ku kwagala kwe; bwe tukola bwe tutyo, emitima gyaffe gisanyuka ne giddamu amaanyi. Singa tulowoozezza nnyo ku Yesu era nga gwe tunyumyako, ffe ne twerowoozaako katono ddala, yandyeyongedde nnyo okubeera naffe. OW 114.2

Singa tulowooza ku Katonda buli kaseera, era nga bwe tulina ddala obubonero obutulaga nga bw’atukuuma, twandibadde naye mu birowoozo byaffe era twandisanyusenga okumwogerako n’okumutendereza. Twogera ku bintu eby’ensi ebiggwawo kubanga bitusanyusa. OW 115.1

Tunyumya ku mikwano gyaffe kubanga tubaagala; essanyu lyaffe n’ennaku zaffe biri nabo. Naye ddala, tulina ensonga enkulu etusaanyiza okwagala Katonda okusinga mikwano gyaffe ab’omu nsi; era kye kyandibadde ekituufu okumufuula ow’oluberyeberye mu birowoozo byaffe okusinga ebintu byonna ebiri mu nsi, okwogera ku bulungi bwe n’okutegeeza ku buyinza bwe. Ebirabo ebirungi byonna bye yatuwa teyatuwa bya kutwala birowoozo byaffe na mitima gyaffe kugiggya ku Katonda, n’okubula ne tubulako ke tumuddiza; ye kye yagenderera, bibeerenga bya kutujjukiza bulijjo, era n’okutugatta n’Omugabi waffe n’ekisiba eky’okwagala n’okwebaza. Tukka nnyo wansi mu by’ensi eno. Ka tuyimuse amaaso gaffe mu yekaalu ey’omu ggulu, tulabe oluggi oluggule, omusana ogw’ekitibwa kya Katonda nga gumasamasa mu bwenyi bwa Yesu, “Ayinza okulokolera ddala abajja eri Katonda ku bubwe.” Beb. 7:25. OW 115.2

Twetaaga nnyo okutendereza Katonda olw’obulungi bwe, n’olw’ebyamagero bye eri abaana babantu.” Zab. 107:8. Ekiseera kyaffe kyonna kye tuwaayo eri Katonda leka kiremenga okuba oky’okusaba n’okuwebwa kwokka. Leka tulemenga bulijjo okulowooza ku kwetaaga kwaffe kwokka, ne twerabira ebyo bye tuweebwa. Si kugamba nti tuyitiriza nnyo okusaba, naye era twerabira nnyo okwebaza. Emikisa gya Katonda tugiweebwa butamala, naye okwebaza, tekujjukirwa, n’okutendereza kwe tumutendereza olw’ebirungi by’atukolera kwa bbalirirwe. OW 116.1

Edda Mukama yagamba Abaisiraeri, ku bye’enku’ngaana zaabwe ez’okumusinza nti “Munaliranga eyo mu maaso ga Mukama wammwe, era munasanyukiranga ebyo byonna byemunassangako emikono gyammwe, mmwe n’abomunyumba zammwe, Mukama Katonda wo mweyakuweera omukisa.” Ma.l2:7. Ekintu kyonna ekikolebwa olw’ekitibwa kya Katonda kisaana kikolebwe n’essanyu, n’ennyimba ez’okutendereza n’okwebaza, si na nnaku wadde okwennyamira. OW 116.2

Katonda waffe ye Katonda ow’ekisa, Kitaffe ajjudde okusaasira. Kale okumuweereza tekugwana kulabikanga nga okw’ennaku oba okw’obuyinike. Kyandibadde kintu kya ssanyu okusinza Katonda oba okufuna akatundu ku mulimu gwe. Katonda teyandyagadde, abaana be be yawa obulokozi obukulu bwe butyo, bayise ng’abamulowooza nti mufuzi mukakanyavu era omukambwe. Ye Mukwano gwabwe asingira ddala; ne mu kumusinza asuubira okubeera nabo, okubasanyusa n’okubawa omukisa, ajjuze emitima gyabwe essanyu n’okwagala. Mukama yeetaaga abaana be bafune essanyu mu kumusinza n’okumuweereza kubasanyusenga so si kubakaluubiriranga. Yeetaaga abo abaku’ngana okumusinza baddeyo nga baweereddwa ebirowoozo ebirungi eby’okukuuma n’okwagala kwe, eby’okubasanyusanga mu bulamu bwabwe obwa buli lunaku, balyoke bafune ekisa kya Katonda ekinabayinzisanga okukola n’obwesigwa mu bitundu byonna bye bakola. OW 116.3

Kitusaanira okulowooza ennyo ku musalaba. Kristo era oyo eyakomererwa abeerenga ekintu ekikulu mu birowoozo byaffe, ne mu mboozi zaffe, era essanyu erisinga ennyo. Buli kintu kyonna Katonda ky’atuwa tulemenga okukyerabira, bwe tutegeera okwagala kwe okw’ekitalo, naffe kujja kutuleetera okumalirira okuteeka byonna mu mikono egyo egyakomererwa ku lwaffe. OW 117.1

Obulamu bwaffe buyinza okusembera okumpi n’eggulu, nga bugendera ku biwaawatiro eby’okutendereza. Eri mu ggulu Katonda bamusinza n’ennyimba, n’ennanga, kale naffe bwe tuba tumwebaza mu ngeri eyo, tuba tugoberera okusinza okw’eggye ery’omu ggulu. “Buli awaayo saddaka ey’okwebaza agulumiza Katonda.” Zab. 50:23. Leka tujjenga mu maaso g’Omutonzi waffe n’essanyu n’obuwombefu, “n’okwebaza, neddobozi ery’okuyimba.” Is. 51:3. OW 117.2

Ggwe omunafu azitowereddwa, Tegeeza Yesu, tegeza Yesu,
Gw’omunaku sanyuka kakano Yesu akwagala nnyo.
OW 118.1

Tegeeza Yesu, tegeeza Yesu, ye Mukwano gwo ddala
Tewali mulala amusinga, Genda eri Yesu kakano, totya.
OW 118.2

Anasangula amazima go, Genda eri Yesu, genda eri Yesu,
Ebibi byo byonna bitwale gy’ali, Genda eri Yesu mangu.
OW 118.3

Toyinza kulaba olw’ekikome, Genda eri Yesu, genda eri
Weralikiridde olw’okujja kwe, Genda kakano gy’ali
OW 118.4

Obanga oyagala emirembe, Genda eri Yesu, genda eri Yesu
Olyoke osanyuke lw’alijja, Genda kakano tolwa
OW 118.5