Omusaale Waffe

11/14

Esuula 10—Okutegeera Katonda

KATONDA alina empenda nnyingi z’ayagala okweragiramu gye tuli n’okututuusa mu kutabagana naye. Ebitonde bye byonna byogera naff e obutamala (Laba Zab. 19:1,4; Bal. 1:20). Omuntu bw’aggulawo omutima gwe ayinza okutegeera okwagala kwa Katonda n’ekitibwa kye nga bwe bibikkulirwa mu mirimu gy’engalo ze. Omuntu bw’atega amatu ge ag’omwoyo ayinza okuwulira n’okutegeera ebigambo bya Katonda ng’ayogerera mu bitonde bye. Essubi, emiti, ebimuli, ebire, enkuba, emigga, eby’ekitibwa byonna ebiri mu ggulu, ebyo byonna byogera naffe, era bituyita tutegeere Katonda Omutonzi waffe, era eyatonda ebyo byonna. Okuyigiriza kw’Omulokozi waffe yakuleeteranga mu bitundu eby’obuwangwa. OW 93.1

Yakozesanga ebintu ebya bulijjo ng’emiti, enyonyi, ebimuli, ensozi, ennyanja, eggulu, era n’ebintu ebirala ebibaawo mu bulamu bwaffe obwa buli lunaku, ebyo byonna yabikozesanga ng’ayigiriza ebigambo eby’amazima; kubanga yayagala abantu bayinzenga okujjukira ebigambo bye bulijjo, newakubadde nga babadde bali mu bulamu obw’okweralikirira n’okutegana. OW 93.2

Katonda ayagala ffe abaana be tusanyukire emirimu gye, era tusiime ebintu ebyo ebitonotono bye yateeka mu maka gaffe wano mu nsi okugawoomya. Kitaffe oyo ayagala nnyo ebintu ebirongofu, ate okusingira ddala ayagala nnyo nnyini obulongofu obw’omu mutima ze mpisa ennongofu entukuvu. Ayagala tukulire mu bulongofu n’amazima, ng’ekimuli ekirungi, newakubadde tekigamba muntu nti “Ndi mulungi,” oba “Laba bwe ndi omulungi,” naye buli ayitawo ayinza okulaba era n’okusanyukira obulungi bwakyo. OW 94.1

Singa tussizzayo omwoyo eri ebitonde kye bigamba byandiyigiriza eby’okuyiga eby’ekitalo ku buwulize n’okwesiga. Okuva ku mmunyenye ezitambulira mu bbanga awatali kkubo ddime oba eddambe, naye ne zitawaba emirembe n’emirembe, okutuuka ku kantu akasirikitu ennyo; ebitonde byonna bigondera Omutonzi by’ayagala. Era Katonda akuuma buli kitonde kye kyonna era akijjanjaba. Oyo akuuma era awanirira eby’omu ggulu n’eby’omu nsi byonna, era n’enkazaluggya emu teyeerabirwa mu maaso ge. Abantu bwe baba ku mirimu gy’abwe egya bulijjo, oba bwe baba nga basaba; bwe baba nga beebase, oba bwe bazuukuka mu makya; omugagga bw’aba ng’alya emmere ye mu nju ye ey’ekitibwa, oba akasajja akanaku bwekaku”nganyiza abaana baako ku kamere kaako, bonna Kitaffe ow’omu ggulu abatunuulira n’ekisa. Tewali zziga eritonnya Katonda ly’atalaba. Tewali kumwenya kw’ateetegereza. Singa tukkiriza ddala ekintu kino, okweralikirira kwonna okutaliimu tekwandibadde na kafo mu mitima gyaffe. Tewandibadde na kusaalirwa mu bulamu bwaffe nga bwe kiri kakano; kubanga buli kintu kyonna, oba kinene oba kitono, kyandirekeddwa mu mikono gya Katonda, atayinza kulemwa wadde okuzitowererwa ebintu ebiri ng’ebyo newakubadde nga bingi bitya oba bizibu bitya. Twandifunye mu bulamu bwaffe okuwummula abalala kwe batalina. OW 94.2

Bw’olabanga ebintu ebirungi eby’ensi eno ebyegombebwa oba ekikusanyusa lowoozanga ku nsi egenda okujja, omutagenda kuba bbala lyonna ery’ekibi, omutali kufa; omutagenda kuba kintu kyonna ekiriko akabonero k’ekikolimo. Lowooza ku maka Katonda g’atekeddetekedde abaana be, tegeera galiba ga kitibwa wala, wala nnyo okusinga bw’oyinza okulowooza. Akatundu k’ekitibwa kya Katonda ke tulabira mu birabo bino by’atuwa mu nsi eno, tulaba akatundu akasingira ddala obutono, akasirikitu ddala, akataliiko na we kenkana. Ekyawandiikibwa kitutegeeza nti “Eriiso byeritalabangako, n’okutu byekutawuliranga, n’ebitayingiranga mu mutima gwa muntu, byonna Katonda bye yategekera abamwagala.” I Kol. 2:9. OW 95.1

Bannaffe bakagezi munnyo balina bingi nnyo bye bayinza okututegeeza ku bitonde, naye Omukristayo ye asinga okusanyukira ennyo obulungi bw’ensi, anti yeetegererezamu omulimu gwa Kitaawe, n’alabira okwagala kwe mu bimuli, mu middo, ne mu miti. Tewali muntu asanyukira ennyo ensozi n’ebiwonvu, emigga n’ennyanja, wabula oyo abitunuulira ng’ategeerera ddala nti bye bitegeeza okwagala kwa Katonda eri omuntu. OW 95.2

Katonda ayogerera naffe mu ebyo by’atukolera, ne mu Mwoyo we Omutukuvu ng’ayogerera mu mitima gyaffe. Mu bintu ebitubaako n’ebyo ebitwetolodde, mu bukyufu obubaawo bulijjo ku bintu ebitwetolodde, ebyo byonna bituwa eby’okuyiga ebirungi ennyo; singa tussayo emitima gyaffe okubyetegereza. Owa Zabuli bwe yali ng’annyonnyola ku mirimu gya Katonda yagamba nti “Ensi ejjudde ekisa kya Mukama.” Zab. 33:5. “Buli alina amagezi analowoozanga ebyo, era banafumitirizanga okusaasira kwa Mukama.” Zab. 107:43. OW 96.1

Katonda ayogerera naffe mu Kigambo kye. Muno mwe tulabira empisa ze nga zitubikkulirwa obulungi ddala, nga bw’akolagana n’omuntu, omulimu gwe omukulu ogw’okununula omuntu. Muno ebyafaayo bya bajajja ab’edda ne banabbi era n’abantu abatukuvu mwe tubyetegerereza. Abo bonna baali bantu “abaakwatibwa byonna nga ffe.” Yak. 5:17. (Era laba Bik. 14:15). Tulaba mu lutalo lwabwe nga bwe bayitanga mu bintu bingi ebibake’ngentereza era nga ffe, nga bwe bagwanga mu bikemo nga ffe bwe tugwa, ate ne baddamu amaanyi buggya ne bawangula olw’ekisa kya Katonda: kale bwe tutunuulira abo naffe tuddamu amaanyi mu lutalo lwaffe lwetulwana n’omubi. Bwe tusoma ebintu byonna ebirungi Katonda bye yabayisamu, okukulembera okulungi kwe yabakulembera, okwagala kwe okw’ekitalo bye yabakozesa olw’obulungi bwe, omwoyo ogwali mu bo gukuma mu mitima gyaffe omuliro ogwegomba okubafaanana, oguyaayanira okugoberera empisa zaabwe, ez’okutambulira awamu ne Katonda. OW 96.2

Yesu yayogera ku Byawandiikibwa eby’omu Ndagaano Enkadde (era kisinga nnyo okutuuka ne ku Mpya) nti “Bye bitegeza ebyange.” Yok. 5:39. Bitegeeza ku Mununuzi waffe, oyo omuli essuubi lyaffe lyonna ery’obulamu obutaggwawo. Wewawo ddala, Baibuli yonna eyogera ku Kristo. Okuva ku kigambo ekyogera ku butonzi, (kubanga “awatali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa,” Yok. 1:3) okutuuka ku kusuubiza okufundikira, kugamba nti “Laba, njija mangu,” tusoma ku bikolwa bye era tuwulira eddobozi lye. Obanga oyagala okutegerera ddala Omulokozi, somanga Baibuli n’obwegendereza. OW 97.1

Omutima gwo gwonna gujjuze ebigambo bya Katonda. Ebyo ge mazzi ag’obulamu, agayinza okuwonya enyonta yo ey’omwoyo. Era ye mmere ennamu eva mu ggulu. Yesu agamba nti “Bwemutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne munywa omusayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.” Awo n’alyoka yennyonnyolako nti “Ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.” Yok. 6:53,63. Omubiri gwaffe guzimbibwa okuva mw’ebyo bye tulya ne bye tunywa; era nga bwe kiri mu by’omubiri ne mu by’omwoyo bwe kiri: bye tufumiitirizako bulijjo, bye bireta obulamu n’amaanyi mu bulamu bwaffe obw’omwoyo, oba bye bibwonoona. OW 97.2

Ekigambo ky’okununulibwa kw’omuntu kye kintu bamalayika kye begomba okutunulira; era kye kinaabeeranga eky’okuyiga era oluyimba eri abanunule emirembe gyonna. Kale tekisaanidde okukirowoozako ennyo n’obwegendereza mu mirembe gya kakano? Okwagala kwa Yesu n ekisa kye ekitakoma, saddaka gye yatuweerayo, ebyo byonna byetaaga okufumiitirizanga ko ennyo n’obwegendereza. Tuteekwa okufumiitirizanga buli kaseera konna ku mpisa z’Omununuzi era Omuwolereza waffe. Tuteekwa okufumiitirizanga ku mulimu gw’oyo eyajja okulokola abantu be mu bibi byabwe. Olw’okuteeka emitima gyaffe gyonna ku bintu ebyo eby’omu ggulu, okukkiriza kwaffe n’okwagala kwaffe biryeyongera okukula, n’okusaba kwaffe kulyeyongerayongera okusiimibwa eri Katonda, kubanga kuneeyongerayongeranga okutabulwamu okukkiriza n’okwagala. Era olw’okwetaaga kwe tulina mu mitima gyaffe tunasabanga n’omutima gwaffe gwonna n’okutegeera kwaffe kwonna. Era tuneeyongeranga okwesigira ddala Yesu mu buli kantu konna mu bulamu bwaffe obwa bulijjo, era naye buli lunaku anaalagiranga mu bulamu bwaffe amaanyi ge ag’ekitalo agalokolera ddala bonna abajja eri Katonda ku bubwe. OW 97.3

Emitima gyaffe gyonna bwe gibeerera ddala ku bulongofu n’obutuukirivu bw’Omulokozi, tetulema kwetaaga okukyusibwa ddala ffenna n’okuzibwa obuggya mu kifaananyi ky’obulongofu bwe. Emitima gyaffe giryettanira nnyo nnyini okufaanana oyo omwagalwa waffe. Gye tukoma okuteeka ebirowoozo byaffe ku Kristo, era gye tukoma okumwogerako eri abalala, n’okumulaga eri ensi. OW 98.1

Baibuli teyawandiikirwa bagezi oba bayigirize bokka; mu butufu ddala, yawandiikirwa bantu aba bulijjo. Amazima amakulu ageetaagibwa olw’obulokozi, gaateekerwa ddala mu musana; omuntu yenna w’atayinziza kuwubwa obutagategeera wadde okubulwa ekkubo, wabula abo bokka abagoberera ebirowoozo byabwe bo mu kifo ky’okugoberera Katonda by’ayagala ebyabikkulibwa. OW 98.2

Tekitusaanira kugoberera kutegeeza kwa bantu okutulaga Ebyawandiikibwa kye bituyigiriza, naye kitusaanira okwesomera ffekka ebigambo bya Katonda. Bwe tukkiriza abalala okutulowooleza, amaanyi gaffe era n’amagezi gaffe eri Ekigambo kya Katonda gagenda kukendeera era gakyame. Ebirowoozo byaffe ebirungi bigenda kunafuwa olw’obutabirowoozesa bintu ebyo ebikulu ebibisaanidde okufumitirizaako ennyo, n’okuyinza bibeere nga tebikyayinza kutegeera makulu ga bigambo bya Katonda. Ebirowoozo by’omuntu biyinza okugaziwa singa nga biweebwayo okufumitiriza ku bigambo bya Baibuli, ng’agerageranya ekyawandiikibwa n’ekyawandiikibwa, eby’omwoyo n’eby’omwoyo. OW 99.1

Mu bintu byonna ebibalibwa okukuza ebirowoozo, tewali kyenkana kuyiga Byawandiikibwa Ebitukuvu. Tewali kitabo kilala kyonna ekirina amaanyi agasitula ebirowoozo, n’okubireetera amaanyi ng’amazima ga Baibuli bwe gakola. Singa Ekigambo kya Katonda kisomeddwa nnyo n’obwegendereza, era kinyikirirwa nga bwe kyetaagibwa, abantu bandibadde n’ebirowoozo ebigazi era eby’amaanyi, empisa zaabwe zandibadde nnungi nnyo, okusinga ezirabika mu bantu abaliwo mu biro bino. OW 99.2

Naye omugaso mutono ddala nnyo ogufunibwa mu kumala gasoma Baibuli ng’oyanguyiriza. Omuntu ayinza okusoma Baibuli yonna n’agimalako, naye n’atayinza kulaba bintu ebirungi eby’ekitalo ebiramu oba okutegeera amakulu gaayo amakweke ag’ebuziba. Bw’osoma ekitundu ekitono n’okiddi’ngana okutuusa lw’otegeera ddala amakulu gaakyo bwe gali, era n’omanya ne kyekitegeeza ku nteekateka Katonda gye yatekateka okutulokola; ekyo okifunamu omugaso munene nnyo ddala okusinga oli amala gasoma essuula enkumu awatali kintu kyonna kikulu ky’agenderedde mu kusoma kwe okwo, so era tabeera na kintu kyonna kikulu ky’ayigamu. Beera ne Baibuli yo. Buli lw’olaba akaseera gisome; fumiitiriza nnyo ekyawandiikibwa ekyo ky’osomye okutuusa lwe kinanywerera mu mutima gwo, ng’oyinza n’okuddamu mu mutwe ensonga ze kyogedde. Ne bw’oba ng’otambula mu luguudo ng’omwo, oyinza okusomayo akanyiriri, n’okalowoozako nnyo; mu ngeri eno ne kanywerera ddala mu birowoozo byo, na ko n’okatereka mu nsawo yo ey’obujjukizi, awamuteka y’obulokozi. OW 100.1

Tetuyinza kufuna magezi gonna okuva mu Baibuli singa tugisoma olukwakwayo, wabula nga tugitaddeko nnyo omutima gwaffe gwonna, ng’omuntu aliko ky’anoonya, era nga tusaba nnyo Omwoyo Omutukuvu okugitubikkulira (Laba I Kol. 2:11; Zab. 119:18). Ebitundu ebimu mu Baibuli byangu ddala era bitegeerekeka; naye waliwo ebirala ebirina amakulu ag’omunda agatavumbulikika mangu ago. Kikugwanira kugerageranya ekyawandiikibwa n’ekyawandiikibwa. (I Kol. 2: 17). Kikusaanira okunoonya n’obwegendereza era nga bw’osaba Katonda okukuyamba. Kale bw’osoma Baibuli mu ngeri eyo Mukama talema kukuwa by’onoonya. Ng’omusimi w’eby’obugagga bw’avumbula amayinja ag’omuwendo omungi agaakwekebwa eyo mu ttaka ewala ennyo, bw’atyo n’omuntu anyikira ennyo okunoonya Ekigambo kya Katonda nga bwe yandinoonyezza eky’obugagga ekyakisibwa, bw’alivumbula amazima ag’omuwendo omungi, abasoma n’obugayaavu ge batayinza kulaba. Ebigambo ebyo Omwoyo Omutukuvu bye yawaandiisa bw’obitereka mu mutima gwo, n’obirowoozangako, biriba ng’emigga egy’amazzi egikulukuta nga giva mu nsulo ey’obulamu. OW 100.2

Tosomanga Baibuli nga tosose kusaba. Ng’ogenda okubikkula sooka osabe Omwoyo Omutukuvu okukubikkulira amakulu g’ebyo by’onoosoma, era oliweebwa. Nasanaeri bwe yatuuka awali Yesu, Omulokozi yagamba nti “Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa.” Nasanaeri yagamba nti “Wantegerera wa?” Yesu n’addamu nti “Firipo bw’abadde tanakuyita, bw’obadde mu mutini, ne nkulaba.” Yok. 1:47, 48. Era naffe Yesu wakutulaba nga tusaba mu bifo eby’ekyama, nga tumunoonya okutumulisiza Ekigambo kye, tutegeere eky’amazima nga bwe kiri. Bamalayika abomusana banabanga wamu n’abo abanoonya okulu’ngamya kwa Katonda n’omutima omuwombefu. OW 101.1

Omwoyo Omutukuvu agulumiza Omulokozi. Omulimu gwe kwe kulaga Kristo eri abantu, obulungi bw’obutukirivu bwe, n’obulokozi obw’ekita-lo bwe tulina mu ye. Yesu agamba nti “Anatolanga ku byange nabulira mmwe.” Yok. 15:14. Omwoyo Owamazima ye Muyigiriza w’amazima ga Katonda omutuufu. O, Katonda nga yayagala nnyo olulyo lw’omuntu, yawaayo Omwana we okufa ku lw’omuntu, n’alagira Omwoyo we okubeeranga Omuyigiriza era omulu’ngamya we! OW 101.2