Omusaale Waffe
Esuula 6—Okukkiriza n’Okukkirizibwa
OMWOYO Omutukuvu bw’amala okuzuukusa omutima gwo, oba ng’otegedde obubi bw’ekibi, n’amaanyi gaakyo, n’omusango gwakyo; era oba ng’otegedde nga bwe kireeta ennaku n’obuyinike; era oba ng’okikyaye era okitamiddwa nnyo. Omanya nga ekibi kye kikwawukanya okukuggya ku Katonda, era nga kikufudde omusibe waakyo. Gy’okoma okulwana nakyo, gy’okoma okuwulira nga tolina maanyi era toyinza kweyamba. Ebirowoozo byo byonna byononefu; omutima gwo si mulongofu. Olaba ng’omutima gwo gujjudde ekibi n’okweyagala. Kye wettanira kwe kusonyiyibwa, n’okulongosebwa, n’okuweebwa eddembe. Otabagane ne Katonda, azzibwe mu kifaananyi kye. Kale oyinza kukola ki okukifuna? Ekikulu kye wetaaga mu bulamu bwo ly’e ddembe: okusonyiyibwa, n’emirembe, n’okwagala ebiva eri Katonda. Toyinza kubigula na nsimbi newakubadde nga olina nnyingi zitya, amagezi tegayinza kubikutuusaako, tebifunibwa lwa bukalabakalaba; tosubira nti ogenda okubitukako olw’okufuba kwo ggwe; n’akatono. Naye Katonda abikuwa nga kirabo bulabo, awatali muwendo. Is. 55:1. Bibyo abikuwadde, bw’onoogolola kyokka obugolozi omukono gwo n’obikwata. Mukama agamba nti “Ebibi byamwe newebiba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira; newabitwakaala ng’ebendera, binaaba ng’ebyoya by’endiga.” Is. 1:18. “Era ndibawa omutima omugya, nenteeka omwoyo omugya munda yamwe.” Ez. 36:26. OW 53.1
Omaze okwatula ebibi byo, n’okubisiibula mu mutima gwo. Omaliridde okwewaayo eri Katonda? Kaleno genda gy’ali omusabe okukunaazako ebibi byo n’okukuwa omutima omuggya. Kale kkiririza ddala nti ebyo by’omusabye abikoze Kubanga Yasuubiza. Kino kye kintu Yesu kye yayigiriza bwe yali ng’akyali ku nsi kuno, nti ekirabo Katonda kyatusuubiza, tuteekwa okukkiriza nti tukifunye, era olukkiriza nga tukifuna. Yesu yawonyanga abantu endwadde zaabwe kasita bakkirizanga obuvinza bwe; yabayambiranga mu bintu bye bayinza okulaba, alyoke ayimuse emitima gyabwe okumwesiga mu bintu byebatalaba, ng’abayamba bakkirize obuyinza bwe bw’alina okusonyiwa ebibi. Kino yakyogerera ddala lwatu bwe yawonya omusajja akozimbye: “Naye mutegeere nga Omwana w’omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi” (n’agamba oyo akozimbye nti) Imirira ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nyumba yo.” Mat. 9:6. Bw’atyo Yokana omuwandiisi w’enjiri ng’ayogera ku bubonero Yesu bwe yakola agamba nti “Buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwemukkiriza mube n’obulamu mu linya lye.” Yok. 20:31. OW 54.1
Okuva mu ngeri eyo ennyangu etulagibwa mu Baibuli nga Yesu Yawonyanga abantu endwadde zaabwe, tuyinza okuyiga okumukkiriza olw’okusonyiyibwa ebibi. Nate katubikkule mu Yokana essuula ey’okutano, ku bigambo by’omulwadde eyali yakamaze emyaka amakumi asatu mu omunana ng’agongobadde; oli eyali ku kidiba ekiyitibwa Besesuda. Sempala yali awo ng’alumwa takyayinza kweyamba; emyaka egyo gyonna asatu mu omunana nga takozesa bitundu bya mubiri gwe. Naye laba Yesu bw’amugamba nti “Golokoka, wettikke ekitanda kyo otambule.” Yok. 9:8. Omulwadde oyo yandiyinzizza okugamba nti “Mukama wange, bw’onomponya, naagondera ekigakyombo kyo.” Naye si bwe yakola, yakkiriza ekigambo kya Yesu, yakkiriza nti awonyezebbwa, amangu ago n’agezako; Yayagala okutambula, era yatambula. Yakolera ku kigambo kya Kristo, awo nno Katonda n’alyoka aleeta amaanyi. Bw’atyo n’awonyezebwa. OW 54.2
Era mu ngeri y’emu, ggwe oli mwonoonyi. Toyinza kutangirira bibi byo eby’edda, toyinza kukyusa mutima gwo, okwefuula omutukuvu. Naye mu Yesu Katonda asuubiza okukukolera bino byonna. Ggwe Kkiriza okusuubiza okwo. Yatula ebibi bvo, weweeyo eri Katonda. Ggwe Yagala okumusinza. Ddala olukola bw’otyo, amangu ago ye ajja kutuukiriza ekigambo kye eri ggwe. Kasita okkiriza okusuubiza kwe, n’okkiriza nti osonyiyiddwa, era olongosebbwa, ye Katonda ng’atuukiriza; owonyezebwa, mu ngeri y’emu nga Kristo bwe yawa omulwadde omugongobavu amaanyi okutambula kasita omusajja yakkiriza nti awonye. Era bwe Kiri bwe kityo kasita okkiriza. OW 55.1
Tolindirira kumala Kuwulira ng’owonyezebbwa, naye gamba nti “Nzikirizza, bwe Kiri ddala, si lwa kubanga nkuwulira, naye kubanga Katonda (atayinza kulimba) yakusuubiza.” Yesu yagamba nti “Ebigambo byonna byonna bye munasabanga n’okwegayirira, mukkirize nga mubiwereddwa, era mulibifuna.” Ate okusuubiza kuno kuliko engeri mwe kutuweerwa, y’eno nti tusaba ekintu nga Katonda bw’ayagala. Naye Katonda ayagala nnyo okutulongosa okutuggya mu kibi, n’okutufula abaana be, n’okutuyinzisa okuba n’obulamu obutukuvu. Bwe tutyo tuyinza okusaba Katonda emikisa egyo, n’okukkiriza nti tugifunye, era n’okwebaza Katonda Olw’okugituwa. Tulina eddembe okugenda eri Yesu okunaazibwa, n’okuyimirira nga tetulina nsonyi newakubadde okutya eri amateeka. “Kale kakano tebaliko musango abali mu Kristo Yesu, abatatambula kugoberera mubiri, wabula Omwoyo.” Bal. 8:1. OW 56.1
Kale okuva olwo nga tokyali ku bubwo ggwe; oguliddwa na muwendo. “Temwanunulibwa na bintu ebiggwawo, feza oba zabu, .... wabula n’omusayi ogw’omuwendo omungi, ng’ogw’omwana gw’endiga ogutaliiko bulema newakubadde ebbala, ye Kristo.” 1 Pet. 1:8. Omwoyo Omutukuvu azaala mu mutima gwo obulamu obuggya, ng’ayita mu kikolwa ekyo ekyangu eky’okukkiriza Katonda. Kakano ng’oli mwana azaaliddwa mu lulyo lwa Katonda, era ng’akwaagala nga bw’ayagala omwana we. OW 56.2
Kale nno bw’omala okwewaayo bw’otyo eri Kristo, todda nnyuma, teweggya mu mikono gye, naye buli kaseera gambanga nti “Ndi wa Kristo; namala okwewayo gy’ali;” era musabe okukuwa Omwoyo we, n’okukuuma n’ekisa kye. Nga bw’ofuka omwana wa Katonda olw’okwewaayo gy’ali era n’okumukkiriza, era bw’otyo oteekwa okubeera mu ye buli kaseera mu ngeri eyo ey’okukkiriza n’okwewayo. Omutume atugamba nti “Kale nga bwemwawebwa Kristo Yesu Mukama (wafe), mutambulirenga bwemutyo muye.” Bak. 2:6. OW 56.3
Abamu balowooza nti bwe bamala okukkiriza Kristo, Katonda yeetaaga okugira ng’akyabakebera okulaba obanga batandise okutambulira mu bulamu obulungi, awo nno balyoke bayinze okusaba emikisa Katonda gye yasuubiza abaana be. Naye si bwe kiri; emikisa gya Katonda bayinza okugisabira ne mu kiseera eky’okukkiriza kwabwe nga bakasooka. Kibasaanira okufuna ekisa, era n’Omwoyo wa Kristo okubabeera mu bunafu bwabwe; kuba bwe kitaba bwe kityo tebayinza kuziyiza Setani. Yesu ayagala tugende gy’ali nga bwe tuli, n’ebibi byaffe, n’obunafu bwaffe, nga twesiga ye yekka. Tuyinza okugenda n’obunafu bwaffe, n’ebibi byaffe, ne tuvuunama awali ebigere bye nga tuboneredde nnyo. Kye kitibwa kye okutuwambatira mu kifuba kye n’okwagala, n’atusiba ebiwundu byaffe, n’atunaazaako ebibi byonna. OW 57.1
Wano abantu enkumi n’enkumi we balemerwa: ye muntu obutakkiriza Katonda amusonyiyidde ddala. Tebakkiriza Katonda ng’ekigambo kye bwe kiri. Gwe mukisa gwa buli muntu yenna atukiriza amadaala ago agoogeddwako, okwetegerera ddala nti asonyiyiddwa buli kibi kyonna kye yakola. Gya mu mutima gwo ekirowoozo ekyo ekigamba nti Katonda bye yasuubiza tebikwata ku ggwe. Bya buli mwonoonyi yenna eyeenenya. Amaanyi era n’ekisa byatekebwatekebwa olwa buli muntu yenna akkiriza, bya kumuleeterwa malayika omuwereza nga biyita mu Kristo. Tewali mwonoonyi kayingo n’omu, atayinza kufuna maanyi, na bulongofu, na butukuvu mu Yesu eyamufiira. Alindiridde buli mwonoonyi yenna okumuggyako ekyambalo kye ekivulubanye era ekyonoonese n’ekibi, n’okumwambaza ekyambalo ekyeru eky’obutuukirivu; amulagira abeere omulamu, aleme okufa. OW 57.2
Katonda tatukola ng’abantu obuntu bwe bakola bantu bannaabwe. Ebirowoozo bye bye birowoozo eby’ekisa, n’okwagala, n’okusaasira okusukkirivu. OW 58.1
N’olw’ekyo kyava atugamba nti “Omubi aleke ekkubo lye, n’omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye: era akomewo eri Mukama, naye anamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anasonyiyira ddala nnyo.” Is. 55:7. “Nsangudde ebyonono byo ng’ekire ekiziivu, nebibibyo ng’ekire.” Is. 44:22. “Sirina ssanyu lye nsanyukira okufa kw’oyo afa, bwayogera Mukama Katonda: kale mwekyuse mube abalamu” Ez. 18:32. Setani yetesetese okutubbako okusuubiza kwa Katonda kuno okulungi. Kye yetaaga kwe kuggyawo buli ssuubi n’omusana oguli mu myoyo gyaffe; naye ggwe tomukkiriza. Tomutegera matu, sso tossayo mwoyo eri ebikemo byo: naye gamba nti “Yesu yafa nze ndyoke mbeere omulamu. Anjagala, era tayagala nzikirire ow’omu ggulu ow’ekisa; newakubadde nga nanyoma okwagala kwe, ne nnyonoona n’emikisa gye yampa, nagolokoka ne ng’enda eri kitange, ne mugamba nti “Kitange, nyonoonye eri eggulu ne mu maaso go; sikyasaana kuyitibwa mwanawo; nfuula ng’omu ku baweereza bo ab’empeera.” Olugero olwo lwe tusoma mu Luka essuula ey’ekkumi n’etano lukutegeeza omwonoonyi nga bw’anasembezebwa; “Yali ngakyali wala, kitaawe n’amulengera, n’amusaasira n’adduka mbiro, namugwa mu kifuba, n’amunywegera nnyo.” Luka 15:18-20. OW 58.2
Naye newakubadde ng’ebigambo by’olugero luno birungi era bisanyusa omutima, naye tebimala okunnyonnyolera ddala okusaasira kwa Kitaffe ow’omu ggulu okw’ekitalo. Mukama ayogera mu nabbi we nti “Nkwagadde n’okwagala okutaliggawo: kyenvudde nkuwalula n’ekisa.” Yer. 31:3. Omubi bw’aba ng’akyali wala n’ennyumba ya Kitaawe, ng’ayonoonera eyo ebintu bye mu nsi endala, era omutima gwa Kitaawe guba gukyamuyaayanira; era buli lw’owulira omutima gwo nga gulina ekirowoozo ekyagala okudda eri Katonda, Omwoyo we y’aba akwegayirira ng’akusendasenda, era ng’akuwalula okudda eri Kitaawo ow’okwagala. OW 59.1
Abaffe, nga bw’olina okusuubiza kwa Kitaawo owo mu ggulu kwe yakuwa okuli mu Kigambo kye Ekitukuvu, era okubusabuusa kukyayinza okufuna ekifo mu mutima gwo? Okyayinza okukkiriza nti omwonoonyi bw’aba ng’ayagala okuleka ebibi bye n’okudda eri Katonda, Mukama ayinza okumugoba oyo azze gy’ali mu kwenenya? Kikafuuwe! Tewali kireeta kabi ku bulamu bwo ng’okukkiriza ekirowoozo ekyo ku kitaffe ow’omu ggulu. Wewaawo Katonda akyawa ekibi, naye ayagala omwonoonyi, era yeewerayo mu Kristo, buli mwonoonyi yenna ayagala, alokolebwe, era afune emikisa egitaggwawo mu bwakabaka obw’ekitibwa. Kale bigambo ki ebirungi era eby’ekisa bye yandiyinzizza okukozesa okutulaga okwagala kwe kw’alina gye tuli, okusinga ebyo bye yalonda? Kubanga agamba nti “Omukazi ayinza okwerabira omwana we ayonka, obutasaasira mwana wa nda ye? wewawo, abo bayinza okwerabira, era sikwerabirenga ggwe.” Is. 49:15. OW 59.2
Kale ggwe abusabuusa, akankana, tunula waggulu; kubanga Yesu gyali mulamu, era atuwolereza. Webaze Katonda olw’ekirabo ekyo eky’Omwana we omwagalwa, era saba okufa kwe kuleme okuba okw’obwerere eri ggwe. Omwoyo Omutukuvu akuyita kakati. Jjira ddala n’omutima gwo gwonna eri Yesu, era saba emikisa gye yakusuubiza. OW 60.1
Buli lw’osoma okusuubiza kwa Kitaawo kwe yakuweera mu Baibuli, jjukira nti kuviira ddala ku mutima ogujudde okwagala n’okusaasira okutayogerekeka Omutima gw’oyo ajjudde okwagala ffe.” Bef. 1:7. Wewaawo, ggwe kkiriza bukkiriza nti Katonda ye mubeezi wo. Ye ky’ayagala kwe kuzza ekifaananyi ky’empisa ze mu muntu. Kasita onomusemberera nga wenenya ng’oyatula ebibi byo, naye ajja kukusemberera n’ekisa n’okusonyiwa. OW 60.2