Omusaale Waffe
Esuula 7—Ekipimo ky’Obuyigirizwa
OMUNTU yenna bw’aba mu Kristo ky’ava abeera ekitonde ekiggya: eby’edda nga biweddewo; laba, nga bifuuse biggya.” 2 Kol. 5:17. OW 61.1
Omuntu ayinza okuba nga tasobola kutegeeza kiseera kyennyini we yakyukirira Katonda okuva mu bibi bye, ayinza okuba nga tayinza kulaga kifo ki ddala mwe yakyukira; ayinza okulemwa okwogera oba okunnyonnyola ebyamubaako byonna mu kukyuka kwe; naye ekyo si kye kiraga nti simukyufu. Kristo yagamba Nikodemo nti “Empewo ekuntira gy’eyagala, n’owulira okuwuuma kwayo naye tomanyi gy’eva, newakubadde gy’egenda: bwatyo bw’abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.” Yok. 3:8. OW 61.2
Bino bitulaga nti omulimu ogukolebwa Omwoyo wa Katonda mu mutima gw’omuntu, gufaanana nga ogw’empewo; yo yennyini terabika, naye okukola kwayo kuwulirwa era kulabika. Amaanyi ago agatonda abuggya, agatalabika na maaso gaffe ag’obuntu, gazaala obulamu obuggya mu muntu, gatonda mu muntu ekitonde ekiggya ekitondebwa mu kifaananyi kya Katonda. Newakubadde ng’omulimu gw’Omwoyo Omutukuvu agukola kasirise, era nga tegulabika na maaso gaffe, naye ebibala byagwo byeraga. Omutima gw’omuntu bwe gumala okufuulibwa omuggya olw’omwoyo wa Katonda, obulamu bwe bulaga ekintu ekyo. Newakubadde nga tetuliiko kye tuyinza kukola emitima gyaffe, oba okwetabaganya ne Katonda; newankubadde nga tekitusaanira n’akatono okwesiga obulungi bwaffe, oba wadde ebikolwa byaffe ebirungi, naye obulamu bwaffe buyinza okwoleka mu ffe nga mulimu ekisa kya Katonda. Obukyufu buyinza okulabikira mu bikolwa, mu mpisa, ne mu birowoozo. Enjawulo erabika mangu mu kugerageranya obulamu bw’omuntu oyo obw’edda nrobwo bw’alimu. Kino kyeragira mangu mu mpisa ze, si mu bintu by’akola olusi n’oluusi ebibi oba ebirungi, wabula mu mwoyo gw’alaga mu njogera ne mu bikolwa bye ebya bulijjo. OW 61.3
Kya mazima wayinza okubawo omuntu agezako okulongosa empisa ze awatali kukola kwa maanyi ga Kristo. Olusi okwagala okusiimibwa n’okuyitibwa omuntu mulamu kukubiriza omuntu okulongosa obulamu bwe. Obutayagala kwenyomesa kuyinza okutwewazisa ebintu ebibi. Omuntu eyeeyagala yekka ayinza okukola ebikolwa ebirungi. Kale tutegeerera ku ki oluuyi lwe tuliko? OW 62.1
Omutima guli ku ani? Ebirowoozo byaffe biri ku ani? Tusinga kwagala kunyumya ku ani, Okwegomba kwaffe kwonna n’amaanyi gaffe biri ku ani; Obanga tuli ba Kristo, ebirowoozo byaffe bibeera ku ye, omutima gwaffe gwonna guba kw’oyo. Tweweerayo ddala gy’ali ne byonna bye tulina. Twettanira nnyo okutwala ekifaananyi kye, okufuna Omwoyo gwe, okukola by’ayagala, n’okumusanyusa mu byonna. OW 62.2
Abo abafuuka ekitonde ekiggya mu Kristo babala ebibala by’Omwoyo: “Okwagala, okusanyuka, emirembe, okugumikiriza, ekisa, obulungi okukkiriza, obuwombefu, okwegendereza.” Bag. 5:22, 23. OW 63.1
Baba nga tebakyefaananya nga okwegomba okw’oluberyeberye, naye olw’okukkiriza Omwana wa Katonda, bagoberera ebigere bye, balaga empisa ze, era beetukuza era nga ye bw’ali omutukuvu. Ebintu edda bye baakyawanga, nga bye baagala; ate bye baayagalanga, nga bye bakyawa. Omuntu eyalina amalala n’okwenyumiriza, ng’afuuse omuwombefu era omutefu. Abadde omwewulize, ng’afuuse omwetoowaze. Eyali lujuuju, leero nga takyayagala gumuwunyire; aw’empisa embi, ng’alongose. Kristo tanoonya buyonjo “bwa kungulu ” wabula “omuntu ow’omwoyo atalabika, mu (kyambalo) ekitayononeka, gwe mwoyo omuwembefu omuteefu.” 1 Pet. 3:3,4. OW 63.2
Okwenenya okw’amazima tekulema kuleeta bulamu buggya. Omwonoonyi bw’azza omusingo n’akomyawo ekyo kye yanyaga, n’ayatula ebibi bye, n’ayagala Katonda ne bantu banne, awo nno ategeerere ddala ng’avudde mu kufa okutuuka OW 63.3
Ffe abonoonyi era abagwa bulijjo, kasita tugemu bulamu. OW 63.4
nda eri Kristo, ne tuweebwa ekisa kye ekisonyiwa; awo okwagala ne kusituka mu mitima gyaffe. Buli mugugu ne gwanguwa; kubanga ekikoligo Kristo ky’atussako si kizito. Omulimu gufuuka ssanyu, okweganyisa ne kufuuka okwesiima. Ekkubo eryalabikanga ng’eryetoloddwa ekizikiza, ne limasamasa olw’omusana oguva ku Njuba ey’Obutuukirivu. OW 63.5
Obulungi bw’empisa za Kristo bwa kulabika mu bagoberezi be. Essanyu lye lyali okukola Katonda by’ayagala. Okwagala Katonda n’okunyikirira buli ekigulumiza erinnya lye, obwo bwe bwali obuyinza obwafuganga obulamu bw’Omulokozi waffe. Okwagala kwalongosa ebikolwa bye byonna era ne kubiwoomya. Okwagala kuva eri Katonda. Tekuyinza kusinziira oba okusibuka mu mutima ogutaweereddwayo eri ye omutima ogufugibwa Kristo gwokka mwe kubeera. “Fe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala ffe.” I Yok. 4:19. Mu mutima ogumaze okufuulibwa omuggya olw’ekisa kya Katonda, okwagala y’ebeera ensibuko y’ebikolwa. Kukyusa empisa, kufuga okufumitiriza, kulung’amya ebirowoozo, kuggyawo obulabe, era kulongosa omutima. Okwagala kuno bwe kubeera mu mutima gw’omuntu, kulongosa obulamu bwe era kuwa eky’okulabirako ekirungi eri abamwetoolodde bonna. OW 64.1
Waliwo ensobi bbiri abaana ba Katonda ze bagwanira okwekuuma ennyo; n’okusingira ddala abo abakajja batandike okwesiga ekisa kya Katonda. Eky’oluberyeberye, ky’ekyo kye tumaze okwogerako, eky’okwesiga ebikolwa byabwe, nga batunuulira ekyo kye bayinza okukola nti kiyinza okubatabaganya ne Katonda. Oyo agezaako okufuka omutukuvu olw’ebikolwa bye eby’okukuuma amateeka, oyo aba ng’agezaako ekitayinzika. Ekintu kyonna omuntu ky’akola, awatali Kristo, kifafaagana olw’okwerowozako era n’ekibi. Olw’okukkiriza, ekisa kya Kristo kyokka kye kiyinza okutufuula abatukuvu. OW 64.2
Ate eky’okubiri ekyolekana na kiri, so era nakyo nga kya kabi nnyo, kye kino: omuntu okulowooza nti okukkiriza Kristo kuggyako omuntu okukuuma amateeka ga Katonda; (ekitayinzika). Bagamba nti olw’okubanga tuweebwa ekisa kya Kristo lwa kukkiriza kwokka, ebikolwa byaffe tebirina kafo konna ku bulokozi bwaffe. OW 65.1
Naye weetegereze kino nti obuwulize si bye bikolwa obukolwa eby’okungulu eby’okukwata amateeka, wabula kwe kuweereza okw’okwagala. Amateeka ga Katonda ge gattegeeza obuzaliranwa bwe bwennyini; mwe muli emisingi emikulu egy’okwagala, era kyegabeeredde emisingi gy’obufuzi bwe mu ggulu ne mu nsi. Emitima gyaffe bwe gizzibwa mu kifaananyi kya Katonda, okwagala kwa Katonda bwe kusigibwa mu mitima gyaffe, amateeka ga Katonda tegalema kweragira mu bulamu bwaffe. Emisingi egyo egy’okwagala bwe gisigibwa mu mutima, omuntu ng’azzibwa mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, okusuubiza kw’endagaano empya kutuukirizibwa, Katonda kwe yasuubiza nti “Nditeeka amateeka gange ku mutima gwabwe, era ne ku magezi gaabwe ndigawandiika.” Beb. 10:16. Kale amateeka bwe gamala okuwandiikibwa ku mutima tegakola mu bulamu bwonna? Obuwulize (kwe kuwereza okw’okwagala) ke kabonero k’obuyigirizwa ak’amazima. Era n’Ekyawandiikibwa bwe kityo bwe kigamba nti “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” “Ayogera nti Mutegedde, natakwata biragiro bye, ye mulimba, n’amazima tegali mwoyo.” I Yok. 5:3;2:4. Okukkiriza okwo okutuweesa ekisa kya Kristo, mu kifo ky’okutuggya mu kugondera Katonda, kututuusa butuusa ku kumugondera; era kwe kwokka okutuyinzisa okugondera Katonda. Atakkiriza tayinza kumugondera. OW 65.2
Naye obuwulize bwaffe obwo, si gwe mulimu gwe tukola ng’okupakasa tulyoke tuweebwe obulokozi, nedda, ekirowoozo ekyo kiddire eri; obulokozi kirabo bulabo Katonda olw’ekisa kye kyatuwa obuwa era ekirabo ekyo kifunibwa lwa kukkiriza. Naye obuwulize kye kibala ky’okukkiriza “Mumanyi ng’oyo yalabisibwa era aggyewo ebibi; ne muye temuli kibi. Buli muntu yenna abeera muye takola kibi: buli muntu yenna akola ekibi nga tamulabangako, so tamutegeera.” I Yok. 3:5, 6. Wano we wali ekipimo eky’amazima. Obanga tuli mu Kristo, obanga okwagala kwa Katonda kutuula mu ffe, kale okutegeera kwaffe, n’okulowooza, n’okukola, tebirema kutabagana na kwagala kwa Katonda nga bwe kulagibwa mu biragiro bye ebitukuvu. “Abaana abato, omuntu yenna tabakyamyanga; akola obutukirivu ye mutukirivu nga ye bwali omutuukirivu.” I Yok. 3:7. Obutuukirivu bulagibwa mu mateeka ga Katonda amatukuvu ekkumi agaaweerwa ku Sinai. OW 66.1
Ekyo ekiyitibwa okukkiriza Kristo, naye nga kiggyako abantu okugondera Katonda; ekyo si kwe kukkiriza, wabula kwe kwegamba obwegambi. “Mwalokoka lwa kisa lwa kukkiriza.” Naye “okukkiriza bwekutabako bikolwa, kwokka nga kufudde.” Bef. 2:8; Yak. 2:17. Yesu bwe yali tanaba kujja ku nsi kuno yeeyogerako nti “Nsanyuka okukola by’oyagala, ayi Katonda wange; wewaawo, amateeka go gali mu mutima gwange munda.” Zab. 40:8. Era ng’ali kumpi ddala n’okuddayo mu ggulu, yagamba nti “Nakwata ebiragiro bya kitange, nembera mu kwagala kwe.” Yok. 15:10. Era Ekyawandiikibwa kigamba nti “Ku kino kwetutegeerera nga tumutegedde, kubanga tukwata ebiragiro bye. Ayogera nti ‘Mutegedde, natakwata biragiro bye, ye mulimba, n’amazima tegali mwoyo; naye buli akwata ekigambo kye, mazima okwagala kwa Katonda nga kumaze okutukirira mwoyo. . . . Ayogera ng’abera mu ye kimugwanira naye yennyini okutambulanga era ng’oyo bwe yatambula.” Yok. 2:3-6. “Kubanga era Kristo yabonyabonyezebwa kulwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako, mulyoke mugobererenga ebigere bye.” I Pet. 2:21. OW 66.2
Engeri ey’okufuna obulamu obutaggwawo, ne kakano eri nga bwe yali okuva oluberyeberye (nga bwe yali mu Addeni bajajja baffe nga tebannayonoona), kwe kugondera ekiragiro kya Katonda mu butuufu, obutuukirivu obujjulidde ddala. Singa obulamu obutagwawo nga bwa kutuweebwa mu ngeri ndala, awatali kufaayo ku kino eky’okugondera amateeka ga Katonda, kwe kugamba nti obwakabaka bwa Katonda bwandibadde bwa kabi. Ekkubo lyandibadde ligguddwawo ekibi okuyingiramu, awamu n’ennaku n’okulumwa kwayingiramu, awamu n’ennaku n’okulumwa kwakyo okutagambika, bibeere omwo emirembe n‘emirembe. Adamu bwe yali tanaba kwonoona, kyali kiyinzika gy’ali okwemanyiza empisa ez’obutuukirivu olw’okugondera amateeka ga Katonda. Naye yalemwa, kale olw’ekibi kye ekyo, kakano obuzaaliranwa bwaffe bwafuuka obunafu, tetusobola kwefuula batuukirivu ku bwaffe ffeka. Olw’okuba nga tuli bonoonyi era ababi ddala, tetuyinza kukuuma mateeka matukuvu nga bwe kyetaagibwa. Ffe ku bwaffe tetulina butukurivu ng’amateeka ga Katonda bwe geetaaga. Naye Kristo yatukubira ekkubo ery’okuwoneramu. Yabeera mu nsi eno ejjudde ebikemo n’obuzibu nga ffe bennyini bwe tuli. Naye mu bulamu bwe teyakola kabi konna. Yafa ku lwaffe, kakano ye saddaka olw’ebibi byaffe, era atuwa obutuukirivu bwe. Bwe weewaayo gy’ali, n’omukkiriza nga ye Mulokozi wo, kale newakubadde nga oli mwonoonyi kayingo, naye olw’erinnya lye ojja kukkirizibwa ng’oli mutuukirivu. Empisa za Kristo zinaabeera mu kifo ky’empisa zo, olyoke okirizibwe mu maaso ga Katonda ng’atayonoonangako n’akatono! OW 67.1
Kristo taggyawo bibi byaffe kyokka, era naye akyusa n’emitima gyaffe. Atuula mu mutima gwo olw’okukkiriza. Okwegatta ne Kristo kuno oli wa kukufuna lwa kukkiriza n’okumujemululira okwagala kwo buli kaseera; gwe bw’oba ng’okola bw’otyo, ye ajja kukolera mu ggwe okwagala n’okukola ng’okusiima kwe okulungi bwe kuli. Awo w’oyinziza okwogera nti “Obulamu bwe nina kakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yewaayo ku lwange.” Bag. 2:20. Bw’atyo Kristo bwe yagamba abayigirizwa be nti “Si mmwe mwogera, wabula Omvvoyo gwa Kitammwe y’ayogerera mu mmwe.” Mat. 10:20. Kale Kristo ng’ali mu ggwe, oli wakulaga Omwoyo gwe gumu nga ogugwe n’ebikolwa byo birifaanana nga ebibye, eby’obutukirivu, obuwulize. OW 68.1
Bwe kityo mu ffe temuli kitwenyumilizisa. Tetulina kintu kye tuyimako kwegulumiza. Ekintu omuli essuubi lyaffe kiri kimu kyokka, kwe kubalirwa obutukirivu bwa Kristo, era n’ebyo Omwoyo we by’akolera mu ffe. OW 69.1
Nga twogera okukkiriza, waliwo ekintu ekisaanidde okulowoozebwako. Waliwo engeri ey’enzikiriza (oba ekintu ekiyitibwa enzikiriza) eyo ya njawulo ddala n’okukkiriza okwogerwako mu Kigambo kya Katonda. Okubeerawo kwa Katonda era n’obuyinza bwe, amazima g’ekigambo kye, ebyo bye bintu newakubadde Setani n’eggye lye bye batayinza kwegaana mu mitima n’akatono. Baibuli egamba nti “Basetani bakkiriza ne bakankana.” Yak. 2:19, naye kuno si kwe kukiriza. Okukkiriza, si kwe kukkiriza obukkiriza Ekigambo kya Katonda, naye kwe kumujeemululira ddala omutima gwonna; era omutima bwe gumala okuweebwayo gy’ali gwonna, n’okwagala kwo kwonna kubeera ku ye; okwo kwe kukkiriza, okukkiriza okukola olw’okwagala, (Laba Bag. 5:6; I Kol. 7:19) era okutukuza obulamu bw’omuntu. Okukiriza okw’engeri nga eno, omutima mwe guyita okuzzibwa obuggya mu kifaananyi kya Katonda. Era omutima mu ngeri yaagwo nga tegunnaba kuzzibwa bugya, ogwali tegufugibwa mateeka ga Katonda, era nga n’okuyinza tegugayinza, kakano nga gugasanyukira, nga guyinza okwogerera wamu n’Omuwandiisi wa Zabuli nti “Amateeka go nga ngaagala! Ago ge nfumitiriza okuzibya obudde.” Zab. 119:97. Kale obutukirivu bw’amateeka ne butuukirizibwa mu ffe, abatatambula kugoberera mubiri, wabula Omwoyo.” Bal. 8:4’. OW 69.2
Waliwo abo abaamala okutegeera ekisa kya Kristo ekisonyiwa, nga betaagira ddala okufuuka abaana ba Katonda naye nga bwe batunuulira empisa zaabwe balaba nga si nongoofu, ng’obulamu bwabwe bujjudde ensobi, abo baba bangu okubusabuusa emitima gyabwe, obanga Omwoyo Omutukuvu yagirongoosa nantiki. Abali ng’abo mbagamba nti temudda nnyuma essuubi likyaliwo. Bulijjo tuli bakufukamiranga ku bigere bya Yesu olw’okulemwa kwaffe n’olw’ensobi zaffe; naye tetuli bakuggwamu maanyi. Gamba oluusi ne bwe tunaawangulwanga omulabe, tetuli bakugoberwa ddala mu maaso ga Katonda, si wa kutuleka wadde okutugoba. N’akatono. Kristo akyali ku mukono ogwaddyo ogwa Katonda, ng’akyali Muwolereza waffe. Omwagalwa Yokana yagamba nti “Mbawandiikidde ebyo mulemenga okukola ekibi. Era omuntu yenna bw’akola ekibi, tulina Omuwolereza eri Kitaffe, Yesu Kristo omutukirivu.” I Yok. 2:1. Temwerabira bigambo bva Yesu bye yatugamba nti “Kitange yenyini abaagala.” Yok. 16:27. Yegomba okubazza gy’ali, okulaba obulungi bwe n’obutukuvu bwe ye nga bulabikira mu mmwe. Kasita onoomujeemulukukira obujeemulukusi kyokka, oyo eyatandika omulimu omulungi mu ggwe ajja kugenda ng’agwongerayongera okutuusa ku lunaku lwa Yesu Kristo. Sabanga obutakowa; weeyongere okumwesigiranga ddala. Bwe tulaba nga tetulina maanyi mu ffe ge twesiga, ka twesige amaanyi g’Omununuzi waffe, era tulimutendereza oyo obulamu bw’amaaso gaffe. OW 70.1
Gy’okoma okusemberera Yesu, era gy’okoma okweraba mu maaso go ggwe nga oli mwonoonyi nnyo; kubanga olwo omutima gwo gweyongera okulaba obulungi, era olw’okulaba obulungi bwe, obutali butukirivu bwo ggwe ne bweyongera okulabika ennyo. Buno bwe bukakafu obulaga nti ekizikiza kya Setani kikubikkuseko; era nti omusana gw’omwoyo wa Katonda gwaka mu mutima gwo okukuzukusa. OW 71.1
Omutima gw’omuntu yenna bwe gujjula okwagala Yesu, omuntu oyo talema kweraba nga mwonoonefu nnyo. Obulamu bw’omuntu bwe bumala okukyusibwa olw’ekisa kya Kristo, omuntu oyo talema kwetegereza mpisa za Kristo, entukuvu; naye bwe tulema okwetegeera obwonoonefu bw’empisa zaffe, ekyo kye kiragira ddala nti tetunaba kulaba n’akatono obutukuvu n’obulungi bw’empisa za Kristo obw’ekitalo. OW 71.2
Gye tukoma okweraba nga tetulimu ka buntu, era gye tukoma okwenyumiriza mu bulungi obw’ekitalo n’okwagala kw’Omulokozi waffe. Okutegeera obubi bwaffe kwe kutusindika eri Oyo ayinza okusonyiwa; kale omuntu bw’agenda eri Kristo, ng’alumwa era nga yeetaaga okuyambibwa, ne Yesu bw’atyo amwebikkulira mu buyinza bwe obulokola. Okwetaaga kwaffe gye kukoma okututwala gy’ali n’eri Ekigambo kye, era gye tukoma okwetegerereza ddala empisa ze, gye tukoma n’okulagira ddala ekifaananyi kye mu bulamu bwaffe. OW 71.3
Ayi Mukam(a) asanyusa ememe yange
Ambeera mu kabi konna
Ansanyusa emisana n’ekiro
Ggwe Yesu obulamu bwange
Ayi Yesu(e) ddoboozi lyo nga ndyagala nnyo
Ne bwe mba mu buyinike
Emiti gikussaamu ekitibwa
Ggwe osanyusa ebbanga lyonna
Emimwa gyo ze nsulo ez’obutuukirivu
Emikisa gyo mwe giva
Bwe bulokozi eri ensi zonna
Essanyu mu mawanga gonna
Bamalayika basanyukira amaaso go
Bonna bakulindirira
Ebigambo byo bya mirembe gyonna
Bonna balikutendereza
OW 72.1