Omusaale Waffe

6/14

Esuula 5—Okwewaayo

OKUSUUBIZA kwa Katonda kugamba nti “Era mulinnonya ne mundaba, bwemulinkeneenya n’omutima gwamwe gwonna.” Yer. 29:13. OW 45.1

Omutima gwonna guteekwa guweebweyo eri Katonda, awo nno obukyufu bulyoke bukolebwe mu ffe obw’okutuddiza ddala mu kifaananyi kye. Mu buzaaliranwa tuli balabe ba Katonda. Omwoyo Omutukuvu ategeeza engeri yaffe mu bigambo bino: “Mufiiridde mu byonono n’ebibi byamwe.” Bef. 2:1 “omutwe gwonna gulwade, n’omutima gw onna guzirise. Okuva munda w’ekigere okutuuka ku mutwe tewali bulamu.” Is. 1:5,6. Setani yatusiba dda mu kyambika kye; Naye Katonda yeetaaga okutuwonya, atufuule ba ddembe. Naye olw’okubanga kino kyetaaga kukyusiza ddala buzaaliranwa bwaffe bwonna, bufuuke buggya era obw’engeri endala, tuteekwa kwewerayo ddala gy ‘ali fenna abalamba obuteesigaliza kantu. OW 45.2

Olutalo olw’okulwana n’obuntu oba obuzaaliranwa bwaffe luzibu nnyo okusinga entalo zonna ezaali zirwaniddwa. Omuntu okwewangula ye yennyini. n’ajeemulula obuzaaliranwa bwe okugondera buli Katonda ky’ayagala, kyetaaga okulwana kunene; naye obulamu bwonna buteekwa bujeemulukukire Katonda, bwewereyo ddala gy’ali; bulyoke butukuzibwe buzzibwe buggya. OW 45.3

Obufuzi bwa Katonda, tebuli nga Setani bw’abulaga eri abantu, nti bwakuwuliza muntu ng’omuzibe w’amaaso, awatali ye yennyini kuteegeera nsonga n’okusiima yekka okugondera Katonda. Naye bwe bufuzi obusingirira ddala mu kusiima era n’okulonda kw’omutima gw’omuntu yekka ku bubwe. Okuyita kwa Katonda eri abantu be yabubwe’. Okuyita kwa Katonda eri abantu be yatonda kugamba nti “Mujje nno, tuteese ffembi.” Katonda tawaliriza kwagala kwa bantu be. Tayinza kukkiriza kusinza okutavudde mu mutima ogw’okweyagalira. Obuwulize obuwalirizibwa obuwaliriza buziyiza okweyongera n’okukula kw’empisa z’omuntu, yandibadde nga ekyuma ekyogera; kubanga tekitegeera wadde okulowooza ebigambo bye kyogera; so tebikikolako, wabula okubyogeranga obwogezi olw’okukola kwa nannyini kyo. Okusinza okw’engeri eyo Omutonzi si kwe yayagala mu bantu be. Yayagala omuntu nga bw’ali ekintu ekisingira ddala obukulu mu mulimu gwe ogw’obutonzi, agende nga yeeyongerayongera okukula, atuuke ku ddaala erisingira ddala okuba erya waggulu. Yatuteekerawo emikisa egya waggulu, gy’ayagala okututuusaako olw’ekisa kye. Atuyita tweweeyo gy’ali, alyoke akole mu ffe ekyo ky’atwagaliza. Kiri gye tuli okulonda, obanga twagala okusumululwa mu buddu bw’ekibi, tugabane ku ddembe ery’ekitibwa ky’Omwana wa Katonda. OW 46.1

Mu kwewaayo eri Katonda, tuteekwa buteekwa okusuulira ddala buli kantu konna akatwawula naye. Olw’ensonga eyo Omulokozi ky’ava atugamba nti “Buli muntu yenna kummwe ataagaanenga byonna byali na byo, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.” Luk. 14:33. Buli kantu konna akayinza okugya omutima gwaffe ku Katonda kateekwa kasuulirwe ddala wala. Mamona kye kifaananyi bangi kye basinga okusinza. Okwagala ensimbi, okwagala abugagga, lwe lujegere olwa zaabu olubasibye ku Setani. Okwatikirira n’ekitibwa ky’ensi na byo kifaananyi abalala kye basinba. Ate ekifaananyi abalala kye basinza, kwe kwagala obulamu obw’eddembe n’okwagala obutabaako kye bavunanyizibwa kukola. Naye enjegere zino ezitusiba mu budu ziteekwa zikutulwe. Tetuyinza kuba baKatonda ekitundu ate ekitundu nga tuli ba nsi. Waliwo abantu abeegamba nti baweereza Katonda songa bakyagezako okufuba mu maanyi gaabwe bo, okukwata amateeka ga Katonda, mbu bakole ebikolwa ebirungi, balyoke abafune obulokozi. Nga tebannategeera ddala kwagala kwa Kristo, na bo bennyini okuyiga okumwagala, naye banoonya okukola ebikolwa ebirungi eby’Obukristayo ebisimibwa Katonda mbu balyoke batuuke mu ggulu. Eddiini ey’engeri eyo teriiko ky’egasa. Kristo bw’atuula mu mutima gw’omuntu, obulamu bw’omuntu oyo bujjula okwagala kwe, olw’essanyu ery’okunyumyanga naye, bwegattira ddala naye; kale olw’okukowoozanga ku ye yekka, omuntu oyo yeerabira ye yennyini okwessaako omwoyo. Okwagala Kristo yeebera ensulo omuva buli kikolwa kyonna ky’akola. Abo abakozesebwa okwagala kwa Katonda, ebyo bye baleka nga bagoberera Katonda tebabissaako mwoyo; tebaagala ddaala lya wansi, naye beeweerayo ddala okutuusa lwe balaba nga batuuse awo Omununuzi waabwe w’abaagaliza. Beeweerayo ddala n’essanvu, omutima gwabwe gwonna nga guli kw’ekyo kye banoonya. Okwogera obwogezi ku Kristo, awatali kwagala kuno, olwo luba lugambo, bugambo oba ng’ombo bugombo, na mugugu muzito. OW 46.2

Ggwe okiraba kigambo kinene okuleka byonna kulwa Kristo? Kale sooka weebuuze ekibuuzo kino nti “Kristo yawaayo ki kulwange?” Omwana wa Katonda yawaayo byonna (obulamu, n’okwagala, n’okubonabona) olw’obulamu bwo alyoke akununule. Kale ffe abatasaanidde kwagala okunene okwenkanide awo, kiyinzika okumumma envitima gyaffe? Buli kaseera konna ak’obulamu bwaffe tugabana ku mikisa egy’ekisa kye, olw’ensonga eyo yennyini tetuyinza kutegeerera ddala obuziba bw’obutamanya n’ennaku bye yatuggyamu. Tuyinza okumutunuulira oyo ebibi byaffe gwe byafumisa era ne tuba nga tukyayagala okunyoma okwagala kwe ne saddaka ye eyo ey’ekitalo? Bwe tulowooza Mukama ow’ekitibwa nga bwe yeetowaza mu ngeri eyo ey’ekitalo, tuyinza okuba nga mu bulamu lwa kwetoowaza n’okulwana n’obuzaaliranwa bwaffe? OW 48.1

Bangi abalina emitima egy’amalala, babuuza nti “Naye lwaki neefuubaana mu kwenenya n’okwetowaza songa sinnaba kutegeera ddala nga Katonda ansiima? Abo abalina omutima ogw’engeri eyo mbasaba mutunulire Kristo. Teyalina kabi konna, ate okusinga byonna ye Mulangira ow’omu ggulu; naye yafuuka ekibi ku lw’olulyo lw’omuntu. “Nabalirwa wamu n’abasobya: naye yetika ekibi ky’abangi, era yawolereza abasobya.” Is. 53:12. Kale lowooza eky’ekitalo ekyo, ate naawe weetunulire nga weegerageranya naye! OW 48.2

Naye bwe tuwaayo byonna eri Yesu, kiki kye tuba tuwaddeyo? Tuwa Yesu omutima oguvulubanye n’ebibi ye agulongoose, agunaaze n’omusayi gwe ye, era olw’okwagala kwe okutagerwa agulokole. Okwo kwe kufiirwa oba okutegana kwe tutegana? N’okuswala nswala okuwulira nga bakyogera, era kinkwasa n’esonyi okukiwandiika. Katonda tatulagira kusuula kintu kyonna ky’alaba nga bwe tuba nakyo kitukola bulungi. Buli kintu kyonna ky’akola, akikola ng’alowooza ku baana be babeere bulungi. Singa nno abo bonna abagaanyi Kristo beetegerezza bw’alina ekintu ekirungi ky’ayagala okubawa, ekisingira ddala ennyo ebyo bo bye beenoonyeza bokka. Omuntu bw’alowooza era bw’akola ebyo ebiwakanagana n’okwagala kwa Katonda aba ng’akola ku bulamu bwe ye ebitasaana, era ebiyinza okumuletako akabi. Kale Kitaffe ow’omu ggulu bw’amaanyi ekisingira ddala obulungi eri abaana be, bw’abateeseza ebirungi; bwe kityo tewali ssanyu lya mazima erisangibwa mu kkubo ye lye yagaana abana be. Ekkubo ery’obulye yagaana abana be. Ekkubo ery’obujeemu lye kkubo ery’ennaku n’okuzikirira. OW 49.1

Bw’okkiriza mu mutima gwo okubaamu ekirowoozo nti Katonda bw’alaba abaana be nga balumwa asanyuka, oba toli mutuufu n’akatono. Omuntu bw’aba ng’ali bulungi eggulu lyonna lisanyuka. Kitaffe ow’omu ggulu tazibira muntu we yenna makubo ga ssanyu. Ye Katonda ky’atulagira kwe kugobera ddala mu ffe buli kwegomba kwonna okuyinza okutuleteera obulumi obw’engeri yonna, n’okutuggalira amakubo omwandiyise essanyu eriva mu ggulu. Omununuzi w’ensi zonna akkiriza buli muntu yenna okugenda gy’ali nga bw’ali, n’okwetaaga kwabwe, n’obutali butuukirivu, n’obunafu bwabwe bwonna; era tamunaazeeko bibi bye na kumununula olw’omusayi gwe kyokka, naye era anaamalawo okwetaaga kwonna okw’omu mutima eri buli muntu yenna akkiriza okwetikka ekikoligo kye n’omugugu gwe. Kye yettanira ennyo, kwe kuwa eddembe n’okuwummula eri buli muntu yenna agenda gy’ali ng’ayagala emmere ey’obulamu. Kyokka eri ffe ayagala ekintu kimu kyokka, kwe kukkiriza okutambulira mu makubo g’atuwa aganatutuusa ku mikisa egyo waggulu abajeemu gye batayinza kutuukako. Essanyu ery’amazima mu bulamu bwaffe, kwe kubeera ne Kristo essuubi ery’okutibwa ng’abumbiddwa ddala mu mitima gyaffe mwennyini. OW 49.2

Bangi abeebuuza nti “Nnyinza ntya okweweerayo ddala eri Katonda?” Weetaaga okwewaayo gy’ali, naye mu mpisa z’obuzaaliranwa bwo oli munafu, obulamu obw’ekibi bukyakufuga, era n’olw’ekyo olina okubusabuusa. Okumalirira kwo n’okusuubiza kw’osuubiza biri nga omugwa ogw’ebyayi omuvundu. Toyinza kufuga birowoozo byo, wadde okuziyiza okwagala kwo. Bw’ojjukira bwe wakamenye okusuubiza emirundi n’emirundi n’obweyamo bw’otaatukiriza, ne binafuya omutima gwo, n’okuyinza n’otayinza kwerowooza nga oli mwesigwa; ekyo ne kikuleetera okulowooza nti Katonda takyayinza kukukkiriza; naye leka kuggwamu maanyi. Kye weetaaga okutegeera ge maanyi g’okwagala gennyini. Amaanyi ago bwe buyinza obufugira ddala mu buzaliranwa bw’omuntu, obuyinza obw’okumalirira, oba obw’okulonda. Kale okwagala okwo bw’okukozesa obutuufu, buli kintu kyonna kigenda bulungi. Obuyinza obwo obw’okulonda, Katonda yabuwa omuntu; gwe mulimu gwe okubukozesa. Toyinza kukyusa mutima gwo, toyinza kuwaayo kwagala kwo gwe eri Katonda ku bubwo wekka; naye oyinza Okulonda okumuweereza. Oyinza okumuwa okwagala kwo; awo nno n’alyoka akola mu ggwe okwagala n’okukola nga okusiima kwe okulungi bwe kuli. Bwe butyo obuzaaliranwa bwo bwonna buleetebwa wansi w’okufuga kw’Omwoyo wa Kristo; okwagala kwo na kubeera mu ye, ebirowoozo byo ne bitabagana naye. OW 50.1

Okwetaaga obutukuvu n’obulungi kirungi ddala mu ngeri eyo; naye bw’okoma awo wokka, na kvo tekiriiko kye kikuyamba. Bangi abalizikirira songa beegomba era basuubira okuba Abakristayo. Nga tebatuuse ku kuweerayo ddala kwagala kwabwe eri Katonda. Nga TEBALONZE mu kiseera ekyo okuba Abakristayo. OW 51.1

Olw’okumanyiza okwagala kwo mu ngeri entuufu, obulamu bwo bwonna buyinza okukyusibwa. Olw’okuwaayo okwagala kwo eri Kristo, wegetta ku buyinza obusinga amasaza n’obwami bwonna. Ojja kufuna amaanyi agava mu ggulu gakuwanirire era gakunyweze, era olw’okujeemulukukira Katonda buli kaseera, ojja kuweebwa amaanyi aganakuyinzisa okuba n’obulamu obuggya, bwe bulamu obujjudde okukkiriza. OW 51.2

Tulina Mukwano gwaffe    Tulina Mukwano gwaffe
Yasooka okutwagala    Yaf(a) okutulokola
Yatuwalula n’ekisa    Olw’okufa kwe ku lwaffe
Er(a) okwagala kwe okwo    Ye yenna waffe ddala
N’olw’ekyo tumwagala    Naffe tetuli ku bwaffe
Tekugenda kuggwawo    Ffe tuli babe yekka
Ffe babe era naye waffe    Tuwaddeyo emyoyo gyaffe
Mirembe n’emirembe    Ffe babe ennaku zonna

Tulina Mukwano gwaffe
Yaweebwa amaanyi gonna
Ganatukulemberanga
Gatutuuse mu ggulu
By’alituwa eby’omu ggulu
Bituzzaamu amaanyi
Katulwane nnyo masajja
Tuliwummula gy’ali
OW 52.1