Essuubi Eritaggwaawo
41 — Ensi Esigala Matongo
“Kubanga ebibi bye bituuse mu ggulu, era Katonda aju’ukidde ebyonoono bye... mu kikompe kye yatabula mumutabulire emirundi ebiri. Nga bwe yeegulumiza n’akabawala, mumuwe bwemutyo okubonaabona n’okunakuwala; kubanga ayogera mu mutima gwe nti: Ntudde nga kabaka, so siri nnamwandu, so ssiriraba nnaku n’akatono. Kye biriva bijja mu lunaku lumu ebibonyobonyo bye, okufa n’ennaku n’enjala; era alyokerwa ddala omuliro; kubanga Mukama Katonda wamaanyi eyamusalira omusango. Era bakabaka b’ensi abayenda ne bakabawala naye, balikaaba balikuba ebiwoobe ku lulwe, bwe baliraba omukka ogw’okwokebwa kwe,... nga boogera nti zikisanze, zikisanze ekibuga ekinene Babulooni, ekibuga ekyamaanyi, kubanga mu ssaawa emu omusango gwo gutuuse.” Kubikkulirwa 18:5-10. EE 419.4
“N’abatunzi ab’omu nsi,” “abagaggawala olw’amaanyi g’obukaba bwe,” “baliyimirira wala olw’entiisa y’okubonaabona kwe nga bakaaba banakuwala; nga EE 419.5
boogera nti Zikisanze, zikisanze, ekibuga ekinene, ekyayambazibwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu n’olumyufu, era ne kiyonjebwa ne zaabu n’amayinja ag’omuwendo ne luulu! Kubanga mu ssaawa emu obugagga buno buzikiridde.” Kubikkulirwa 18:11,3,15-17. EE 420.1
Ebyo bye bibonyobonyo eby’okutuuka ku Babulooni ku lunaku lwe kirifukibwako ekiruyi kya Katonda. Babulooni ajjuzza ekikompe kye n’obubi bwe; kaakano ekiseera kye kituuse; kye kiseera kizikirizibwe. EE 420.2
Walibaawo okuwawamuka okwamwanyi eri abo abalifiirwa ebyabwe mu lutalo luno olw’obulamu Katonda bw’aliggyawo obusibe bw’abantu be. Setaani yaziba amaaso gaabwe olw’obulimba bwe, bwe baali bakyaweereddwa ekiseera eky’ekisa ne bakitwala ng’abatalina musango. Abagagga beenyumiririzanga mu bugagga bwabwe nga bakudaalira abatalina, so nga baafuna obugagga lwa kulinnyirira mateeka ga Katonda. Baalagajjalira okuliisanga abanaku, okwambaza abali obwereere, okukolanga eby’ensonga, n’okwagala ekisa. Baasalawo okwegulumiza n’okufuulanga bantu bannaabwe ng’abaddu. Kaakano baggiddwaako byonna ebyabafuulanga abanene kati tebakyalina kantu era bakateyamba. Batunuulira balaba wakati mu ntiisa ebibumbe nga bizikirira bye baasukkulumyanga ku Mutonzi waabwe. Baatunda emyoyo gyabwe okufunamu obugagga bw’ensi n’amasanyu gaayo ne batayagala babeere abagagga eri Katonda. N’ekivuddemu kye kino: tebasobodde kuwangula; amasanyu gaabwe kaakano gabafuukidde omususa; obugagga bwabwe buvunda. Bye baakolerera okumalako obulamu bwabwe bwonna bisaaniddewo mu kaseera katono ddala. Abagagga bakungubagira okuzikirira kw’amawanika gaabwe, zaabu ne feeza byabwe ebisasaanye. Naye olw’okutya nti nabo bayinza okuzikirira awamu n’ebibumbe byabwe ne bakoma okukungubaga. EE 420.3
Ababi ne batandika okwejjusa, so si Iwakubanga bategedde obwonoonefu bwabwe eri Katonda n’eri bantu bannaabwe, naye Iwakubanga Katonda awangudde. Bakungubagira ebyo ebivuddemu; naye tebakungubaga Iwa bwonoonefu bwabwe. Tebandireseewo kantu singa kyasoboka. EE 420.4
Ensi n’eraba abantu bennyini be baasekereranga ne baduliranga, era be baayagalanga okusanyaawo, nga bayise mu ndwadde embi, mu miyaga, ne mu bikankano by’ensi nga tebakoseddwa. Oyo omuliro ogwokya eri abamenyi b’amateeka, kye kigo eky’emirembe eri abantu be. EE 420.5
Omusumba eyasalawo okutunda amazima abantu balyoke bamusiime kaakano ng’alaba ekifaananyi ekituufu eky’ebyo bye yayigirizanga n’obubi obubivuddemu. Kirabika nga Omuyinzawabyonna yali amugobereza eriiso lye ne bwe yayimiriranga ku kituuti, ng’atambula ku nguudo z’ekibuga, bwe yalinga n’abantu nga bakola ebintu ebitali bimu. Buli kufumiitiriza kw’omu mwoyo gwe, buli kyeyawandiikanga, buli kigambo kye yayogeranga, buli kikolwa ekyaleetera abantu ne bafiira mu bulimba, yalinga asiga nsigo; kaakano, ng’alaba amakungula g’emyoyo egiri mu nnaku egibuze nga gimwetooloodde. EE 420.6
Mukama agamba: “Era bawonyezza ekiwundu ky’omuwala w’abantu bange kungulu kwokka nga boogera nti Mirembe, mirembe; so ng’emirembe tewali.” “Kubanga muwuubazizza n’eby’obulimba omutima gw’omutuukirivu nze gwe siwuubaazanga, ne munyweza emikono gy’omubi, aleme okudda okuva mu kkubo lye ebbi n&pos;awona nga mulamu.” Ezeekyeri 8:11; 13:22. EE 420.7
“Zibasanze abasumba abazikiriza abasaasaanya endiga ez’omu ddundiro lyangeL.. laba ndireeta ku mmwe obubi obw’ebikolwa byammwe.” “Muwowoggane mmwe abasumba, mukaabe, mwekulukuunye mu wu mmwe abakulu ab’ekisibo: kubanga ennaku z’okuttibwa kwammwe zituukidde ddala.... N’abasumba tebaliba na kkubo lyakudukiramu, newakubadde abakulu ab’omu kisibo ery’okuwonenamu.” Yeremiya 23:1,2; 25:34,35. EE 421.1
Abasumba awamu n’abantu ne balaba nga tebaanyweza nkolagana yaabwe ne Katonda. Baakiraba nga baajeemera Omuteesi w’amateeka amatukuvu era amalungi. Bwe baateeka wansi amateeka ga Katonda, olwo enkumi n’enkumi z’ebibi omuli: obutakkanya, obukyayi, n’obwonoonefu ne bisituka okutuusa ensi yonna Iwe yafuuka eddwaniiro eryetongodde, ekidiba ekijjudde obugwenyufu. Kaakano kino kye kifaananyi abaagaana amazima ne balondawo obulimba kye balaba. Tewali bigambo biyinza kukozesebwa ne binnyonnyola bulungi okuyayaana abajeemu n’abatali bawulize kwe bawulira mu mitima gyabwe olw’ebyo bye bafiiriddwa emirembe gyonna - bwe bulamu obutaggwaawo. Abantu ensi be yasinzanga olw’ebirabo byabwe n’okwogeraokulungi kaakano ng’ebintu babirabira ddala nga bwe bifaanana. Bategeera bye bafiiriddwa olw’okwonoona, olwo ne bagwa ku bigere by’abo be baanyoomanga era be baajereganga olw’okukkiriza kwabwe, ne baatula nti ddala Katonda yabaagala. EE 421.2
Abantu ne bategeera nti mazima baabuzaabuzibwa. Olwo ne batandika buli omu okunenya munne nti yaamutuusizza mu kuzikirira; kyokka bonna ne beegattira wamu okulaga obusungu bwabwe eri abasumba. Abasumba abataali beesigwa baabalaguliranga ebyo ebiweweevu ebibanyumira; ababawuliriza ne batuuka n’okujeemera amateeka ga Katonda era n’okuyigganya abo abagassangamu ekitiibwa nga matukuvu. Kaakano, abasomesa bano ne baatula eri ensi nga bwe baalinga babalimba. Abantu ne bajjula obusungu. Ne batandika okwogerera waggulu nti: “Tuzikiridde, ate mmwe muvudde okuzikirira kwaffe;” olwo ne bakyukira abasumba aboobulimba. Abo abaasingira ddala okubeegomba be balisinga okubakyawa n’okubakolimira. Emikono egyabatikkiranga engule ez’akaseera obuseera, gye girigololwa okubazikiriza. Amafumu agaali ag’okuttanga abantu ba Katonda kaakano nga ge gakozesebwa okuzikiriza abalabe baabwe. Buli wamu nga wajjudde musaayi na kulwana. EE 421.3
“Eddoboozi lirijja lirituuka ne ku nkomerero y’ensi; kubanga Mukama alina empaka n’amawanga, aliwoza ne bonna abalina omubiri; ababi alibawaayo eri ekitala.” Yeremiya 25:31. Olutalo olunene lukulungudde kaakano emyaka kakaaga; Omwana wa Katonda awamu n’ababaka b’eggulu bazze nga balwana n’omubi, balabula, ne bayigiriza ko n’okulokola abaana b’abantu. Kaakano bonna bamaze okusalawo; ababi banywezezza emikono gyabwe ne Setaani mu kulwanyisa Katonda. Ekiseera kituuse Katonda aggye ekivume ku mateeka ge agalinnyiriddwa. Kaakano talwanyisa Setaani yekka, wabula n’abantu. “Mukama alina empaka n’amawanga;” “ababi alibawaayo eri ekitala ” EE 421.4
Akabonero ak’okulokolebwa kamaze okuteekebwa ku byenyi “by’abo abanakuwadde era abakaabira emizizo gyonna egikolebwa mu kyo.” Abantu abali mu kifaananyi kya malayika w’okufa ali mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri nga balina ebyokulwanyisa ebizikiriza ne bafuluma nga baweereddwa ekiragiro nti: EE 421.5
“Muttire ddala omukadde n’omulenzi n’omuwala n’abaana abato n’abakazi: so temusemberera muntu yenna aliko akabonero; era musookere ku watukuvu wange.” Nnabbi agamba, nti: “Ne basookera ku bakadde abaali mu maaso g’ennyumba.” Ezeekyeri 9:1-6. Omulimu gw’okuzikiriza gutandikira wakati mu abo abagamba nti be balur)i]amya abantu. Abakuumi aboobulimba be balisooka okuttibwa. Tewali n’omu alikwatirwa ekisa oba alisonyiyibwa. Abasajja, abakazi, abawala n’abaana abato bonna baakuzikirizibwa wamu. EE 422.1
“Kubanga, laba, Mukama ajja ng’afuluma mu kifo kye okubonereza abatuula mu nsi olw’obutali butuukirwu bwabwe: n’ettaka nalyo liribikkula ku musaayi gwalyo, so teriryeyongera kubikka ku baalyo abattibwa.” Isaaya 26:21. “Na kino kye kibonerezo Mukama ky’alirwaza amawanga agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga gukyayimiridde ku bigere byabwe, n’amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n’ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe. Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne.” Zekkaliya 14:12,13. Ababi baakuggwerawo wamu kumpi bonna nga bagudde eddalu olw’obusungu obungi, awamu n’ekiruyi kya Katonda kyalibafukira nga tekitabuddwamu mazzi - bakabona, abafuzi, n’abantu, abagagga n’abaavu, abakulu n’abato. “N’abo Mukama baalitta baliva ku nkomerero y’ensi balituuka ku nkomerero yaayo: tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba busa mu maaso g’ensi.” Yeremiya 25:33. EE 422.2
Ababi baakusangulwa ku maaso g’ensi Kristo ng’akomawo nate balimalibwawo n’omukka gw’omu kamwa ke era bazikirire olw’okumasamasa kw’ekitiibwa kye. Kristo atwale abantu be mu Kibuga kya Katonda, n’ensi esigale njereere nga temuli bantu. “Laba, Mukama ensi agimalamu byonna, era agizisa era agivuunika, era asasaanyiza ddala abagituulamu.” “Ensi erimalibwamu ddala byonna, era erinyagirwa ddala: kubanga Mukama ayogedde ekigambo ekyo.” “Kubanga basobezza amateeka gange, ne bawaanyisa ekiragiro, ne bamenya endagaano eteriggwaawo. Ekikolimo kye kyava kirya ensi, n’abo abagituulamu balabise nga gubasinze: abatuula mu nsi kyebava bookebwa, abantu ne basigala batono.” Isaaya 24:1,3,5,6. EE 422.3
Ensi yonna erabika ng’efuuse matongo. Ebibuga ebigudde n’ebyalo ebisanyiziddwaawo ebikankano by’ensi, emiti egigudde, enjazi eziwanduse okuva mu nnyanja oba ezivudde wansi mu ttaka, nga bisasaanye mu maaso gaayo, ensozi ne zijjamu emiwaatwa nga gyoleka nga bwe zeeyasizza okuviira ddala ku ntobo yaazo. EE 422.4
Kaakano ekyo ekyajja kiragulwangako ku nkomerero y’okuweereza okutukuvu ku lunaku Iw’okutangirira ne kituukirira. Okuweereza kw’omu kifo ekisinga obutukuvu bwe kwaggwanga, n’ebibi bya Isiraeri nga bimaze okugibwawo okuva mu yeekaalu olw’omusaayi gwa ssaddaaka ey’ekibi, olwo embuuzi ya Azazeri n’eryoka ereetebwa mu maaso ga Mukama nga nnamu; olwo kabona asinga obukulu n’ayatulira ku yo mu maaso g’ekibiina “obutali butuukirivu bwonna obw’abaana ba Isiraeri, n’ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n’abiteeka ku mbuzi.” Ebyabaleevi 16:21. Mu ngeri yeemu, okuweereza okw’omu yeekaalu ey’omu ggulu bwe kulituuka ku nkomerero yaakwo, olwo ebibi by’abantu ba Katonda byakuteekebwa ku Setaani ng’ali mu maaso ga Katonda n’eggye lyonna ery’omu ggulu ne mu maaso g’abanunule; alisingisibwa emisango gyonna egya buli kibi kye yabakozesanga. Era ng’embuzi bwe yasindiikirizibwanga mu nsi etaabangamu bantu, ne Setaani waakusuulibwa mu nsi esigadde amatongo, omutali bantu, mu ddungu ekkalu. EE 422.5
Yokaana Omubikkuzi alanga ku kugobebwa kwa Setaani okutabukatabuka n’amatongo agalibeera ku nsi, n’agamba nti embeera eyo yaakumala emyaka lukumi. Bw’amala okulaga ebiribeerawo ku kujja kwa Kristo omulundi ogwookubiri, n’ababi nga bamaze okuzikirizibwa, obunnabi bugamba: “Ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina ekisumuluzo ky’obunnya obutakoma n’olujegere olunene mu mukono gwe. N’akwata ogusota, omusota ogw’edda, ye mulyolyomi era Setaani, n’agusibira emyaka lukumi, n’agusuula mu bunnya obutakoma, n’aggalawo n’ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka olukumi Iwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.” Kubikkulirwa 20:1-3. EE 423.1
Ekigambo “Obunnya obutakoma” ekiraga ensi etabusetabuse era eri mu kizikiza, kisangibwa ne mu Byawandiikibwa ebirala. Bayibuli ng’eyogera ku mbeera y’ensi bweyali ku ntandikwa yayo, egamba nti: “Ku ntandikwa, ensi yali mu mbeera eyeetabuddetabudde. Ekizikiza kyali kibuutikidde oguyanja.” Lubereberye 1:1,2. Obunnabbi butuyigiriza nti ekitundu ku embeera eyo kyakukomezebwawo. Bwe yali atunuulira olunaku Iwa Katonda olukulu, nnabbi Yeremiya agamba nti: ‘TMalaba ensi, era, laba, nga njereere nga yeetabuddetabudde; n’eggulu nga temuli musana. Nalaba ensozi, era, laba, nga zikankana, obusozi bwonna ne buyuuguuma eruuyi n’eruuyi. Natunula, era, laba, nga tewali muntu, n’ennyonyi zonna ez’omu bbanga nga zidduse. Natunula era, laba, ennimiro eŋŋimu nga zonna zifuuse nkoola, n’ebibuga byamu byonna nga bimenyesemenyese olw’okujja kwa Mukama ne mu maaso g’ekiruyi kye ” Yeremiya 4:23-26. EE 423.2
Gano ge maka Setaani ne bamalayika be ge bagenda okubeeramu okumala emyaka lukumi. Agenda kusibirwa ku nsi eno yokka nga tasobola kutuuka ku nsi ndala ayinze okuzikema oba okunyiiza abo abatagwanga. Agenda kusibwa mu ngeri eno: nga tewali muntu yenna asigadde gwayinza kulagirako maanyi ge. Agiddwako omukisa gwonna ogw’okulimba n’okuzikiriza, ebintu by’abadde ayayaanira ennyo okumala ebyasa by’emyaka. EE 423.3
Nnabbi Isaaya atunuulira ekiseera Setaani lw’aliwangulibwa, yagamba nti: “Ng”ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunnyeenye ey’enkya, omwana w’enkya! Ng’otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga! N’oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za katond;.... Ndifaanana oyo ali waggulu ennyo. Naye olissibwa emagombe, ku njuyi ez’enkomerero ez’obunnya. Abo abanaakulabanga banaakukeberanga, banakulowoozanga, nga boogera nti Ye wuuno eyakankanyanga ensi, eyanyeenyanga obwakabaka: eyazisanga ensi yonna, n’asuula ebibuga byamu; ataatanga basibe okudda ewaabwe?” Isaaya 14:12-17. EE 423.4
Obujeemu bwa Setaani “bukankanyizza amawanga” okumala emyaka kakaaga. Ensi nagifuula “eddungu, n’asuulanga ebibuga byamu.” “Ye oyo ataatanga basibe okudda ewaabwe.” Asibidde mu kkomera lye abantu ba Katonda okumala emyaka kakaaga, era nga yandibasibidde ddala emirembe gyonna; kyokka Kristo yakutula enjegere ze n’awa abasibe eddembe lyabwe. EE 423.5
N’ababi bagiddwa mu buyinza bwa Setaani, kaakano asigadde ne bamalayika be ababi bategeere obubi bw’ekikolimo ky’ekibi kye yaleeta. “Bakabaka bonna ab’amawanga, bonna bwe benkana, beebakira mu kitiibwa, buli muntu mu nnyumba ye ye. Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi erikyayibwa.... Toligattibwa nabo mu kuziikibwa, kubanga wazikiriza ensi yo, n’otta abantu bo.” Isaaya 14:18-20. EE 424.1
Setaani agenda kubulubuuta okumala emyaka lukumi ng’ali ku nsi eno efuuse amatongo asobole okulaba ebyo ebyava mu bujeemu bwe ng’ajeemera amateeka ga Katonda. Agenda kubonaabona ebitagambika mu kiseera kino. Yali yaggwamu akalowooza okuva olunaku Iwe yagwa; kaakano agiddwako obuyinza bwe bwonna, asigalidde kufuumiitiriza ku ebyo byazze akola okuva lwe yasooka okujeemera gavumenti y’eggulu, era atunule mu maaso ategeere obubi obw’entiisa bw’agenda okubonaabona ku Iw’obubi bwonna bw’akoze era abonerezebwe ku lw’ebibi by’aletedde ensi okukola. EE 424.2
Abantu ba Katonda okukwatibwa kwa Setaani kubaleetera ssanyu n’akujaguza. Nnabbi agamba: “Ekiseera kirituuka Mukama n’abawa mmwe okuwummula mu kubonaabona ne mu kutegana ne mu mirimu emikakali gye mwawalirizibwanga okukola. Mulikudaalira kabaka w’e Babulooni [wano ategeeza Setaani] nti: Omufuzi kalibukambwe akomye? N’obukambwe bwe kati lufumo? Mukama akomezza obufuzi bw’ab’efTuggabbi, amenye omuggo gw’obwakabaka bwabwe abaatulugunyanga n’obukambwe amawanga olutata, abaafuganga n’ekiruyi amawanga nga bafuuse bannantagambwako?” Ennyir. 3-6. EE 424.3
Okusala omusango gw’ababi kwa kubeerawo mu myaka olukumi egiribeerawo wakati w’okuzuukira okw’olubereberye n’okw’okubiri. Omutume Pawulo asonga ku kusala omusango kuno nga kwe kuddirira okujja kwa Kristo omulundi ogwookubiri. “Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinatuuka, okutuusa Mukama waffe lw’alijja, alimulisa ebikwekebwa eby’omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw’omu mutima.” l Abakkolinso 4:5. Danieri agamba nti Omukadde eyakaala ennaku ennyingi bwe yajja, “Omusango ne gubasalirwa abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo.” Danieri 7:22. Mu kiseera kino abatukuvu baakufuga nga bakabaka era bakabona eri Katonda. Yokaana mu Kubikkulirwa agamba nti: “Ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango.” “Naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.” Kubikkulirwa 20:4,6. Kino kye kiseera, Pawulo kye yayogerako nti, “abatukuvu be balisalira ensi omusango.” 1 Abakkolinso 6:2. Baakusalira ababi omusango nga bali wamu ne Kristo, nga bagerageranya ebikolwa byabwe n’obuwandiike obuli mu kitabo, Bayibuli, nga balamula buli nsonga okusinziira ku bikolwa bye baakolanga mu mubiri. Kati olwo ebyo ababi bye baakola nga kibagwanira okusasulwa nga biteekebwako ebibonerezo byabwe okusinziira ku bikolwa byabwe era nga biwandiikibwa ku mannya gaabwe mu kitabo ky’okufa. EE 424.4
Kristo n’abantu be ne basalira ne Setaani awamu ne bamalayika be omusango. Pawulo agamba: “Temumanyi nga tulisalira bamalayika omusango?” Oluny. 3. Ne Yuda agamba nti, “Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne balekawo ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez’ennaku zonna wansi w’ekizikiza olw’omusango ogw’okulunaku olukulu.” Yuda 6. EE 424.5
Awo ku nkomerero y’emyaka olukumi okuzuukira okwookubiri ne kulyoka kubaawo. Olwo ababi ne balyoka bazuukizibwa okuva mu kufa ne balabika mu maaso ga Katonda ne basalirwa “omusango ogwawandiikibwa.” Bwatyo Omubikkuzi, ng’amaze okulaga okuzuukira kw’abatukuvu, kwe kugamba nti: “Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa.” Kubikkulirwa 20:5. Ne Isaaya agamba, ng’ayogera ku babi nti: “Era balikugŋaanyizibwa wamu ng’abasibe bwe bakuŋŋaanyizibwa mu bunnya, era balisibirwa mu kkomera, era ennaku nnyingi nga ziyiseewo balijjirwa.” Isaaya 24:22. EE 425.1