Essuubi Eritaggwaawo

41/43

40 — Katonda Anunula Abantu Be

Amateeka agakugira abantu nga gamaze okugibwawo eri abakuumi b’amateeka ga Katonda, wagenda kusitukawo endowooza y’okwagala okubazikiriza mu bitundu ebimu mu eby’ensi. Ekiseera ekyo ekyogerwako mu kiragiro nga kinaatera okutuuka, abantu bagenda kusala enkwe babattire mu kiro kimu babasaanyewo, bamalewo empaka n’ekivume ku bantu. EE 407.3

Abantu ba Katonda - ng’abamu basibiddwa mu makomera, abalala beekwese mu malungu ne mu bibira awamu ne ku nsozi - nga bakyegayirira obukuumi EE 407.4

bwa Katonda, eno amaggye nga gali mu bubinja obwenjawulo buli wamu, gakukubirizibwa bamalayika ababi geeteeketeeke batuukirize omulimu gwabwe ogw’okutta. Ekiseera kino kiriba kya bulabe nnyo, nga Katonda wa Isiraeri yekka ye alina okuyingirawo alokole abalonde be. Mukama agamba; “Muliba n’oluyimba ng’ekiro Iwe bakwata embaga entukuvu; n’essanyu ery’omu mutima ng’omuntu bw’agenda... ku lusozi Iwa Mukama, eri olwazi Iwa Isiraeri. Era Mukama aliwuliza eddoboozi lye ery’ekitiibwa, era aliraga okukka kw’omukono gwe, n’okunyiiga kw’obusungu bwe, n’olulimi lw’omuliro ogwokya n’okubwatuka ne kibuyaga n’omuzira.” Isaaya 30:29,30. EE 408.1

Abantu ababi nga bakugŋaanye boogerera waggulu ennyimba ez’obuwanguzi, okuduula n’okubalumiriza banaatera okubagwako, laba, ekizikiza ekikwafti, ekikutte okusinga enzikiza ey’ekiro, ne kigwa ku nsi. Awo, musoke nga yenna atemagana n’ekitiibwa okuva ku ntebe ya Katonda, n’asala obwengula bwonna ng’aliŋŋanga agenda yeebulungulula buli awali akabinja akali mu kusaba. Agabinja agasunguwavu ne gawambibwa. Okuduula ne kukoma. Ne beerabira ne bye babadde bagenda okukola. Bonna nga batidde beeraliikirira ekigenda okuddako, kwe kusamaalirira nga batunuulira akabonero k’endagaano ya Katonda ke batayinza na kusemberera olw’okumasamasa okungi. EE 408.2

Abantu ba Katonda ne bawulira eddoboozi, nga liringa amaloboozi amangi nga ligamba nti: “Tunule waggulu,” era bwe bayimusa amaaso gaabwe eri eggulu, ne balaba ebisuubizo bya Katonda. Ebire ebiddugavu ebibadde ebisunguwavu nga bibisse obwengula ne bitandika okusasaana, era nabo okufaanana Suteefano ne bakaliriza amaaso gaabwe mu ggulu era ne balaba ekitiibwa kya Katonda era n’Omwana w’omuntu ng’atudde ku ntebe. Newakubadde nga yali mu kifaananyi eky’obwakatonda, baayinza okumulaba nga bwali omuwombeefu; era ne bamuwulira ng’asaba eri Kitaawe ne bamalayika abatukuvu nti: “Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange.” Yokaana 17:24. Era nate ne bawulira eddoboozi nga liringa oluyimba olw’obuwanguzi nga ligamba nti: “Bajje! Bajje! abatukuvu, abatalina kabi, abatalina kko. Kubanga beekuuma ekigambo eky’okugumiikiriza kwange; balitambulira wamu ne bamalayika;” bonna ababadde abasiiwuufu, nga n’emimwa gyabwe gitoobera baatula okukkiriza kwabwe ne boogerera waggulu eddoboozi ery’obuwanguzi. EE 408.3

Katonda agenda kwolesa obuyinza bwe ng’anunula abantu be wakati mu ttumbi. Enjuba erabike, ng’eyaka mu kitiibwa kyayo kyonna. Obubonero n’ebyamagero bigende nga biddiriŋŋana. Entiisa ebuutikire ababi nga beewuunya olw’ebyo bye batunuulira, so ng’abatukuvu bajjudde essanyu ettukuvu okulaba obubonero bw’okununulibwa kwabwe. Buli kintu eky’obutonde nga kumpi kikyuse. Emigga ne girekerawo okukulukuta. Ebire ebikwafu ne bijja nga bwe bigenda bitomeregana. Wakati mu bwengula obujjudde obusungu ne walabika ebbanga erijjudde ekitiibwa ekitayogerekeka, omwava eddoboozi lya Katonda nga liringa ery’amazzi amangi, ne ligamba: “Kikoleddwa.” Kubikkulirwa 16:17. EE 408.4

Eddoboozi eryo lyakukankanya eggulu n’ensi. Ne ‘Svabaawo ekikankano ekinene nga tekibangawo kasookedde abantu baba ku nsi, ekikankano ekinene, ekikulu bwe kityo.” Olunny. 18. Obwengula ne bulabika ng’obweggula ate nga bwe bweggala. Ekitiibwa okuva mu ntebe ya Katonda ne kirabika ng’ekimyansa okufuluma. EE 408.5

Ensozi ne ziyuuguuma okufaanana emmuli eziyuuzibwa empewo, n’enjazi ezeyasizzayasizza ne sisasaana ku buli luuyi. Ne wabaawo okubwatuka ng’omuyaga ogulimu kibuyaga nga gujja. Ennyanja n’esaanawo. Ne wawulirwa eddoboozi ng’empewo y’akazimu nga liwuluguma ng’emizimu egigenda okuzikiriza. Ensi yonna ne yeesukunda nga bwe bimba ng’omuyaga ku nnyanja. N’etandika okujjamu enjatika. Emisingi gyayo ne girabika ng’egitendewereddwa. Ensozi empanvu ne zisaanawo. Obuzinga okuli abantu ne busaanawo. Emyalo egyafuuka nga Sodoma olw’obubi bwagyo obungi ne gimiribwa amazzi agakambuwadde. Babbulooni ekinene ne “kijjukirwa mu maaso ga Katonda, okukiwa ekikompe eky’obukambwe bw’obusungu bwe.” N’omuzira omunene, “buli mpeke ng’obuzito bwa ttalanta,” ne bikola omulimu gwa byo ogw’okuzikiriza. ennyir. 19,21. Ebibuga by’ensi ebijjudde amalala ne bisuulibwa ku ttaka. Embiri za bakabaka, abantu abanene ab’oku nsi ze bamaliddeko obugagga bwabwe bwonna olw’okwagala okwegulumiza, ne zisaanawo nga balaba. Ebisenge by’amakomera ne bimenyekamemyeka, n’abantu ba Katonda abaasibirwa okukkiriza kwabwe ne bateebwa. EE 409.1

Entaana n zibikkuka, era “bangi ku abo abeebaka mu nfuufu ey’okunsi balizuukuka, abamu eri obulamu obutaggwaawo, n’abamu eri ensonyi n’okunyoomebwa okutaggwaawo.” Danieri 12:2. Abo bonna abaafa nga bakkiririza mu bubaka bwa malayika owookusatu ne bava mu ntaana zaabwe nga bambaziddwa ekitiibwa bawulire endagaano ya Katonda ey’emirembe gye yakola n&pos;abo abaakwata amateeka ge. “N’abo abaamufumita,” (Kubikkulirwa 1:7), abo abaamuduulira ne basekerera Kristo ng’ali mu bulumi afa, n’abo ba kalibujoozi abaajolonga amazima ge era n’abantu, nabo bagenda kuzuukizibwa bamulabe ng’ajjira mu kitiibwa kye era bale ku kitiibwa ekiriweebwa abaana abalungi era abawulize. EE 409.2

Ebire ebikwafu nga bikyabisse obwengula; kyokka ng’enjuba egira n’evaayo nga bw’eddayo, ng’erabika ng’eriiso lya Yakuwa erijjudde ekiruyi. Okumyansa nga kubunye eggulu lyonna, ne kuzingiramu ensi ng’eringa yonna ekutte okumiro. Emabega w’okubwatuka, nga waliyo amaloboozi, ageewuunyisa era agatiisa nga galangirira okuzikirira ku babi. Ebigambo bye googera nga tewali n’omu abitegeera; wabula nga bitegeerebwa bayigiriza ab’obulimba. Baasooka ne bateefnrayo, nga beenyumiriza, era abatawulira, ne bajaganyanga olw’okukola obukambwe ku bantu ba Katonda abakuuma amateeka ge, era kaakano nga babuutikiddwa entiisa n’okutya ku maaso gaabwe. Okukaaba kwabwe ne kusaanikira ebintu byonna. Badayimooni ne basinza Kristo nga Katonda era ne bakankana olw’obuyinza bwe, eno ng’abantu bwe basaba okuweebwa okusaasira era nga beegayirira olw’entiisa ennyingi. EE 409.3

Bannabbi ab’edda baagamba, bwe baatunuuliranga mu kwolesebwa okutukuvu ne balaba olunaku Iwa Katonda nti: “Muwowoggane; kubanga olunaku Iwa Mukama luli kumpi; lulijja ng’okuzikirira okuva eri Omuyinzawebintubyonna.” Isaaya 13:6. “Yingira mu Iwazi, weekweke mu nfiiufu, mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe. Okukulumbala kw’abantu kuliwanulibwa, n’amalala g’abantu galikutamizibwa, era Mukama yekka ye aligulumizibwa ku lunaku olwo. Kubanga walibaawo olunaku lwa Mukama ow’eggye eri ebyo byonna ebyekuza ebirina amalala, n’eri byonna ebigulumizibwa; era biriwanulibwa.” “Ku lunaku olwo omuntu alisuulira ddala ebifaananyi bye eby’effeeza n’ebifaananyi bye eby’ezaabu bye baamukolera okusinzanga, eri emmese n’eri ebinyira; bagende EE 409.4

mu mpuku ez’amayinja ne mu nkonko ez’amayinja amaatifu, okuva mu maaso g’entiisa ya Mukama, ne mu maaso g’ekitiibwa ky’obukulu bwe, bw’aligolokoka okukankanya ensi n’amaanyi.” Isaaya 2:10-12,20,21. EE 410.1

Wakati mu bire ne walabika emmunyeenye eyali eyaka ennyo kyokka ne yeyongeza emirundi ena okumulisa mu kizikiza. Ng’ereeta ssuubi na kusanyuka eri abeesigwa, naye ng’ereeta bukambwe na kiruyi eri abamenyi b’amateeka ga Katonda. Abo abaawaayo byonna ku lwa Kristo kaakano nga bagumu, nga beekwese mu nnyumba ya Mukama mwakwekera. Bayise mu kugezebwa era ne booleka obwesigwa bwabwe eri oyo eyabafiirira, era n’eri ensi ko n’abo abaanyooma amazima. Abo abaanyweza obwesige bwabwe wakati mu ntiisa y’okufa kaakano bafunye enkyukakyuka eyeewuunyisa ku byenyi byabwe. Banunuddwa okuva mu kizikiza ne mu bantu abakambwe ababadde bafuuse zi dayimooni. Amaaso gaabwe agabadde amasiiwuufu, agatidde era agakooye, kaakano nga gaakayakana olw’okwewuunya, gajyudde essuubi, n’okwagala. Amaloboozi gaabwe nga gasitukira wamu mu nnyimba ez’obuwanguzi: “Katonda kye kiddukiro n’amaanyi gaffe, omubeezi ddala atabula mu kulaba ennaku. Kyetunaavanga tulema okutya, ensi ne bw’enekyukanga, n’ensozi ne bwe zinaasigukanga mu buziba obw’ennyanja; amazzi gaayo ne bwe ganaayiranga ne bwe ganeekulumululanga, n’ensozi ne bwe zinaakankananga n’okwetabula kwayo.” Zabbuli 46:1-3. EE 410.2

Ebigambo bino eby’obwesige nga birinnya mu ggulu eri Katonda, ebire bitandika okweyera, obwengula bw’eggulu ne bulabika, nga lya kitiibwa ekitayogerekeka bw’ogerageranya n’eggulu eribadde likutte ekizikiza era nga lisunguwavu okukamala. Ekitiibwa eky’ekibuga ekitukuvu ne kitandika okufuluma mu mulyango gw’eggulu. O1uvannyuma Iw’ekyo, ne walabika omukono mu bwengula nga gukutte ebipande ebibiri eby’amayinja nga bizingiddwa wamu. Nnabbi agamba, nti: “N’eggulu liribuulira obutuukirivu bwe: kubanga Katonda ye mulamuzi yennyini.” Zabbuli 50:6. Amateeka ago amatukuvu, obutuukirivu bwa Katonda, gaayogerebwa wakati mu kubwatuka ne mu muliro ku lusozi Sinaayi nga ge galuŋŋamya omuntu, kaakano ne galagibwa eri abantu nga gegagenda okusalirwako omusango. Omukono ne gubikkula ebipande, ebiragiro eby’amateeka ekkumi ne birabika, nga biringa ebyawandiikibwako n’ekkalaamu ey’omuliro. Ebigambo nga bitegerekeka bulungi eri yenna asobola okubisoma. Ebirowoozo ne bizuukusibwa, ekizikiza ky’obusamize n’obukaafiiri byonna ne biggwaawo, olwo ebigambo bya Katonda ekkumi, ebiri mu bufunze, ebitegerekeka, era ebijjudde obuyinza ne biragibwa eri abantu bonna abali ku nsi. EE 410.3

Kizibu okunnyonnyola entiisa n’okunyiikala ebyali ku abo abaalinnyiriranga ebiragiro bya Katonda ebitukuvu. Mukama yabawa amateeka ge; bandiyinzizza okugagerageranya n’empisa zaabwe ne balaba we bakyamye nga bakyalina omukisa okwenenya n’okukyuka; naye olw’okwagala okusanyusa ensi, baalekawo ebiragiro era ne bayigiriza n’abalala okubimenya. Baafuba nga bwe basobola okuwalirizanga abantu ba Katonda boonoone Ssabbiiti ye. Kaakano etteeka eryo lye baanyoomanga lye libasaliza omusango. Balabira ddala nga tebakyalina kya kuwoza. Baalondawo gwe banaaweerezanga era gwe banasinzanga. “Awo Iwe mulidda ne mwawula omutuukirwu n’omubi, oyo aweereza Katonda n’oyo atamuweereza.” Malaki 3:18. EE 410.4

Abalabe b’amateea ga Katonda, okuviira ddala ku musumba okutuuka ku muto asembayo mu bo, ne bafuna endowooza empya ku mazima ne bye balina okukola. Ne bakitegeera nti Ssabbiiti ey’etteeka eryookuna ke kabonero ka Katonda omulamu naye ng’obudde buyise nnyo. Olwo ne bazuula ebigendererwa ebituufu ebya ssabbiiti yaabwe ey’obulimba era ne bwe babadde bazimba ku musingi ogw’omusenyu kyokka nga buyise nnyo. Olwo lwe bakizuula nga babadde balwana ne Katonda. Abayigiriza b’eddiini baawabya emyoyo mingi mu kubula nga bwe beetegeeza nga bwe babatwala mu miryango gy’olusuku Iwa Katonda. Okutuusa ng’ebitabo byonna bibikkuddwa ku lunaku olw’enkomerero lwe kiritegeerebwa nti obuvunaanyizibwa bw’abantu abali mu buweereza obutukuvu bunene era nga n’obutali bwesigwa bwabwe bwa bulabe nnyo bw’olabira ku ebyo ebivaamu. Okutuusa nga tutuuse mu bulamu obutaggwaawo lwe tuliyinza okuteebereza okufiirwa kw’omwoyo ogumu guti kye kitegeeza. Eriba ntiisa nnyo eri oyo Katonda gw’aligamba nti: Vva we ndi ggwe omuddu omubi. EE 411.1

Eddoboozi ne liwulirwa nga liva mu ggulu, nga lirangirira olunaku n’essaawa y’oku[ja kwa Kristo n’okununula abantu be ab&pos;endagaano eteriggwaawo. Okufaanana n’ekidde ekibwatuka ennyo, n’ebigambo bye byakuwulirwa okwetoloola ensi yonna. AbaYisiraeri ba Katonda ne bayimirira nga bawuliririza, nga n’amaaso gaabwe bagatadde ku ggulu. Amaaso gaabwe nga gajjudde ekitiibwa era nga gaakayakana ng’aga Musa bwe yava ku lusozi Sinaayi. Ababi nga tebakyayinza kubatunulako. Era n’omukisa bwe gwalangirirwa eri abo abassaamu Katonda ekitiibwa nga bakwata Ssabbiiti ye entukuvu, ne wabaawo okwogerera waggulu ennyo ebigambo by’obuwanguzi. EE 411.2

Mangu nnyo ne walabika ebuvanjuba akale akaddugavu, nga kenkana n’ekitundu ky’omukono gw’omuntu. Ke kale aketoloodde Omulokozi era akaalabika ng’akakutte enzikiza mpozi olw’okubeera ewala. Abantu ba Katonda ne bakimanya nga kano ke kabonero k’Omwana w’omuntu. Bonna nga basiriikiridde ne bakatunuulira nga bwe kajja kasemberera ensi, nga kagenda keyongera okutukula ne mu kitiibwa, okutuusa kyonna Iwe kyafuukira ddala ekire ekinene nga kyeru, wakati waakyo nga kiringa omuliro oguzikiriza, era ne waggulu waakyo nga kuliko musoke ow’endagaano. Yesu n’ajja ng’avuga ng’omuwanguzi nnamige. Kaakano si nga “Omuntu ow’ennaku,” agenda okunywa ku kikompe eky’okuswazibwa n’okulaba ennaku, wabula ajja ng’omuwanguzi mu ggulu ne ku nsi, okulamula abalamu n’abafu. “Mwesigwa era Wa mazima,” “ne mu butuukirivu asala emisango era alwana.” “N’eggye ery’omu ggulu ne limugoberera.” Kubikkulirwa 19:11,14. Bamalayika abangi abatayinza kubalika ne bajja nga bamuwerekera nga bwe bayimba ennyimba ez’omu ggulu mu maloboozi amalungi ddala. Obwengula ne bugenda nga bweyongera okutemagana mu ngeri ezenjawulo, anti olwa bamalayika, “obukumi emirundi obukumi, mu enkumi emirundi enkumi.” Tewali kkalaamu ya muntu eyinza kusiiga ekifaananyi ekyo; kubanga tewali magezi ga muntu gayinza kukiteebereza. “Ekitiibwa kye kyabikka ku ggulu, ensi n’ejjula ettendo lye. N’okumasamasa kwe kwali ng’omusana.” Kaabakuuku 3:3,4. Ekire bwe kyajja kisembera, buli liiso ne liraba Omulangira w’obulamu. Kaakano nga tayambadde ngule ey’amaggwa okumufumita omutwe gwe omutukuvu, wabula ng’atikiddwa engule ey’ekitiibwa ku kyenyi kye ekitukuvu. Amaaso ge nga gaakayakana okusinga okwaka kw’enjuba mu ttuntu. “Ne kukyambalo kye ne ku kisambi kye erinnya eriwandiikiddwa nti Kabaka wa bakabaka, era Mukama w’abaami.” Kubikkulirwa 19:16. EE 411.3

“Amaaso gonna gafuuka ebbala lyago” mu maaso ge; ate n’abo bonna abaagaana ekisa kya Katonda bagenda kubuutikirwa entiisa emirembe gyonna. “Tewali aguma omwoyo, amaviivi gakubagana... era abantu batukulatukula mu maaso olw’entiisa.” Yeremiya 30:6; Nakkumu 2:10. Abatukuvu ne bakankana nga bakaaba nti: “Ani ayinza okuyimirirawo?” Bamalayika ne basala ku ddoboozi ly’oluyimba lwabwe, era ne wabaawo akasirise okumala ekiseera. 01uvannyuma lw’ebyo, eddoboozi lya Yesu ne liwulirwa ng’ayogera nti: “Ekisa kyange kikumala ” Amaaso g’abatukuvu ne gaddako enseko, n’emitima gyabwe ne gijjula essanyu. Ne bamalayika ne bayimbira waggulu nate eno nga bwe beeyongera okusemberera ensi. EE 412.1

Kabaka wa bakabaka n&pos;ajja ng’akkira ku bire eby’eggulu, nga yetooloddwa omuliro ogubumbujja. Eggulu ne lizingibwako ng’omuzingo gw’ekitabo, ensi n’ekankana mu maaso ge, na buli lusozi n’ebizinga ne biva mu bifo byabyo. “Katonda waffe alijja, so talisirika; omuliro gulirya mu maaso ge, omuyaga omungi gulimwetoloola. Alikowoola eggulu waggulu, n’ensi, alyoke asalire abantu be omusango.” Zabbuli 50:3,4. EE 412.2

“Ne bakabaka b’ensi, n’abalangira, n’abagagga, n’ab’amaanyi, na buli muddu n’ow&pos;eddembe ne beekweka mu mpuku ne ku mayinja ag’oku nsozi; ne bagamba ensozi n&pos;amayinja nti Mutugweko mutukise mu maaso g’oyo atudde ku ntebe, ne mu busungu bw’Omwana gw’endiga: kubanga olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?” Kubikkulirwa 6:15-17. EE 412.3

Okuduula n’okujerega ne bikoma. Emimwa egirimba ne gibunira. Oluyoogaano Iw’okwagala okulwana, “n’eby’okulwanyisa byonna eby’oyo alina ebyokulwanyisa... n’ebyambalo ebikulukunyizibbwa mu musaayi” ne bikakkana. Isaaya 9:5. Nga tewakyali ddoboozi lyonna liwulirwa wabula okusaba n’amaloboozi g’abakaaba n’okukungubaga. Ababadde baduula ne batanula okukaaba nate nti: “Olunaku olukulu olw’obusungu bwabwe lutuuse; era ani ayinza okuyimirirawo?” Ababi nga basaba ensozi n’amayinja bibaziike okusiga lwe banaatunula ku maaso g’oyo gwe baanyooma era ne bagaana. EE 412.4

Bamanyi eddoboozi eryo eriyinza okuwuliza n’abafu. Kyokka emirundi emeka ng’eddoboozi eryo ery’ekisa eriwulikika obulungi nga libayita! Emirundi emeka Iwe bawulirizza okuyita okw’owomukwano, muganda waabwe, era Omununuzi waabwe. Tewali ddoboozi ddala lyandiyinzizza kulumiriza mitima gyabwe, nga lijjuddemu okubuulirira eri abo abaagaana ekisa kye ng’eddoboozi eryo erizze nga lyegayirira nti: “Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi; kubanga mwagaliraki okufa?” Ezeekyeri 33:11. Oba, baaliwulira ng’eddoboozi ly’omulabe! Yesu agamba: “Kubanga mpise, mmwe ne mugaana; ngolodde omukono gwange so tewali muntu assizzaayo mwoyo; naye mujjuludde okuteesa kwange kwonna, so temwagadde kunenya kwange n’akatono.” Engero 1:24,25. Eddoboozi eryo erisisimula ebirowoozo, lye bandiyaayaanidde ne balizibiikiriza - ne banyooma okulabula, ne bagaana okuyita kwe, emikisa gyabwe ne batagissaako mwoyo. EE 412.5

Waliwo n’abo abaasekerera Kristo mu kiseera eky’obonaabona kwe. Bajjukira ebigambo bye ebisonsomola ng’abonaabona bakabona abakulu bwe baamulayiza, naye n’addamu n’eggonjebwa nti: “Okusooka leero muliraba Omwana w’omuntu ng’atudde ku mukono ogwaddyo ogw’amaanyi, ng’ajjira ku bire eby’eggulu.” EE 412.6

Matayo 26:64. Kaakano nga bamulaba mu kitiibwa kye, era nga banaatera okumulaba ng’atudde ku mukono ogwaddyo ogw’amaanyi. EE 413.1

Abo abaamusekereranga bwe yagambanga nti Mwana wa Katonda ebigambo ne bibaggwaako. Mu abo mwe mwali ne Kerode eyeegulumiza ng’amukudaalira olw’okweyita Kabaka era eyagamba n’abaserikale be bamutikkire engule nga kabaka . Abasajja ab’emikono egijjudde obubi abamwambaza olugoye olweffulungu, era ne bateeka n’engule ey’amaggwa ku mutwe gwe omutukuvu, eno nga bwe bwamuyeyereza nga bamukwasa n’omuggo gw’obwakabaka kyokka n’atagaana, ne bavuunama mu maaso ge nga bamuwoola nti bamusinza. Abantu abaamukuba era ne bawandira amalusu Omulangira w’obulamu kaakano ne bakyuka nga batya okutunula ku maaso ge agafumita era nga baagala okudduka ekitiibwa kye ekibasukkiriddeko obungi. Abo abaakomerera emisumaali mu bibatu bye ne ku bigere bye, abaserikale abaamufumita mu mbiriizi ze, ne bibabuutikirwa okutya n’ensonyi nga balaba enkovu ezo. EE 413.2

Bakabona n’abawandiisi b’amateeka ne bajjukira bulungi obuswavu bwonna obwaliwo ku musaalaba. Ne bajjukira engeri gye baanyeenyaamu emitwe gyabwe, wabula nga bonna bakankana, Setaani n’ajaganya, bwe bayogera nti: “Yalokola balala; tayinza kwerokola yekka. Ye Kabaka wa Isiraeri; ave kaakano ku musaalaba, naffe tunaamukkiriza. Yeesiga Katonda, amulokole oba amwagala: kubanga yagamba nti Ndi Mwana wa Katonda” Matayo 27:42,43. EE 413.3

Ne bajjukira bulungi nnyo olugero Omulokozi Iwe yayogera olw’abasajja abalimi abaagaana okuwa mukama waabwe ebibala by’omulusuku, ne bakuba abaddu be, era ne batta n’omwana we. Era ne bajjukira n’ebigambo bo bennyini bye baamuddamu nti: Mukama w’olusuku “Ababi abo alibazikiririza ddala.” Bakabona n’abakadde ne balaba nga bwe basingibwa omusango mu kifaananyi ky’abasajja bali abataali beesigwa abaayonoona era nga beetaaga kubonereza. Kaakano ne batandika okuwulira amaloboozi ag’abantu nga boogerera waggulu. Nga boogerera waggulu okusinga ne lwe baayogera nti “Akomererwe, akomererwe,” okwetoloola enguudo z’omu kibuga Yerusaalemi, nti: “Ono ye Mwana wa Katonda! Ono ye Masiya yennyini!” Ne baagala okudduka okuva mu maaso ga Kabaka wa bakabaka. Ne baagala okwekeka wansi mu mpuku, naye nga nazo zaabise yabise olw’okutabuka kw’ebintu. EE 413.4

Mu bantu bonna abaagaana amazima, waliwo ekiseera Iwe kituuka ne baddamu okutegeera, ebirowoozo nga bijjukira bwe beeyisa nga bannanfuusi, olwo omwoyo ne gutandika okwejjusa naye nga tekiyamba. Naye kino kiriba kitya ku lunaku olwo olw’entiisa, “entiisa bw’erijja ng’omuyaga, akabi ne kabetooloola ng’embuyaga ey’akazimu!” Engero 1:27. Abo abaazikiriza Kristo awamu n’abantu be abeesigwa ne kaakano ne balaba ekitiibwa ekibeetooloodde. Bonna nga bajjudde okutya ne bawulira amaloboozi g’abatukuvu nga babugaanye essanyu batendereza nga bwe bagamba nti: “Laba, ono ye Katonda waffe; twamulindiriranga, era alitulokola.” Isaaya 25:9. EE 413.5

Ensi nga bw’eri mu kutagatta ng’omutamiivu, okumyansa okubunye wonna, n’okubwatuka kw’eggulu, ne bawulira eddoboozi ly’Omwana wa Katonda nga liyita abatukuvu abeebase mu nfuufu y’ensi. Kristo n’akyusa amaaso ge n’agatunuuliza entaana z’abatukuvu, olwo, n’asitula emikono gye eri eggulu, n’ayita nti: “Musituke, EE 413.6

musisimuke, mmwe abeebase mu nfuufu y’ensi, muzuukuke!” Eddoboozi eryo ne liwulirwa abafu bonna okwetooloola ensi yonna, era bonna abaliriwulira balibeera balamu. Ensi yonna n’ereeta abantu abayitirivu ne basambirira wonna okusinga eggye eddene nga bava mu buli ggwanga, n’ebika n’abantu n’ennimi. Amakomera ne galeeta abafu, nga bambaziddwa omubiri ogw’ekitiibwa ogutavunda, ne batanula okwogera nti: “Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa?” lAbakkolinso 15:55. Era n’abatukuvu abalibeera abalamu, n’abafu abalizuukira ne basaakaanyiza wamu amaloboozi ag’obuwanguzi. EE 414.1

Bonna ne bava mu ntaana zaabwe nga bafaananira ddala mu kikula nga lwe baaziikibwamu. Adamu, omu ku abo abaazuukira, nga muwanvu wakitiibwa, kyokka nga teyenkana Mwana wa Katonda mu kikula kye. Yalabika nga wanjawulo okusinga ku bantu ab’emirembe egyaddako; era mu oyo abantu kwe baalabira ekibi bwe kyayonoonamu olulyo lw’omuntu. Kyokka bonna ne baazuukirira mu maanyi ag’ekivubuka obw’obulamu obwemirembe n’emirembe. Ku ntandikwa, omuntu yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, naye si mu mpisa mwokka, wabula era ne mu nfaanana ko ne mu ebyo ebitwawula. Ekibi kye kyayonoona kumpi okumalirawo ddala ekifaananyi kya Katonda; kyokka Kristo yajja okuzzaawo ekifaananyi ekyo ekyali kibuze. Agenda kuwanyisa emibiri gyaffe eminafu era egivunda agifuule ng’ogugwe ogw’ekitiibwa. Omubiri guno ogufa, oguvunda, ogutaliimu kalungi konna, ogwayonoonebwa n’ekibi, aligufuula ogutuukiridde, omulungi era ogutafa. Enkovu zonna n’obulema obutali bwa ngeri zimu byakusigala mu ntaana. Abanunule bagenda kuzzibwayo mu lusuku Adeni balye ku muti ogw’obulamu olwonno balyoke “bakule” (Malaki 4:2) okutuuka okuba olulyo olukuze mu kitiibwa kiri ekyasooka. Obuntuntu obuliba bukyasigalidde olw’ekikolimo ky’ekibi bwakugibwawo, olwo “obulungi bwa Mukama Katonda waffe” bubeerenga ku beesigwa ba Kristo, mu magezi gaabwe, mu mwoyo, ne mu mubiri nga bwolesa ekifaananyi kya Mukama waffe ekituukiridde. Nga bununuzi bukulu! buludde ebbanga nga bwogerwako, nga busuubirwa, nga bufumiitirizibwa era nga bwesungibwa, kyokka nga butegeerebwako kitundu. EE 414.2

Abatukuvu abalibeera abalamu bafuusibwe “mangu ago, ng’okutyemya n’okuzibula.” Ne bambazibwa omubiri ogw’ekitiibwa olw’ekigambo kya Katonda; kaakano nga bambaziddwa obutafa olwo ne beegattira wamu n’abatukuvu abazuukizibbwa okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Bamalayika ne “bakuŋŋaanya abalonde be mu mpewo ennya, okuva ku nkomerero y’eggulu n’okutuusa ku nkomerero y’eggulu.” Abaana abato ne basitulibwa bamalayika batwalibwa eri bannyaabwe. Abeemikwano abamaze ebbanga eddene okufa nga kubawukanyizza ne baddamu ne batabagana, obutaddamu kwawukana nate, nga bwe bayimba ennyimba ez’essanyu ng’amaloboozi galinnya gagenda mu kibuga kya Katonda. EE 414.3

Ku buli luuyi olw’ekigaali ekyetoolooddwa ekire nga kuliko ebiwaawaatiro, nga ne wansi waabyo nnamuziga ezirina obulamu; bannamuziga ne bagenda nga boogera, “Mutukuvu,” ekigaali nga bwe kitambula, nga n’ebiwaawaatiro bwe biddamu “Mutukuvu,” ne bamalayika nga bwe bayimba, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda omuyinzawabyonna.” N’abanunule ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, Aleruuya!” EE 414.4

Bwe baali tebanayingizibwa mu kibuga kya Katonda, Omulokozi n’awa abagoberezi be obubonero bw’obuwanguzi era n’abambaza buli omu akabonero k’obwakabaka bw’omu ggulu. Obubonero obwali butemagana obulungi nga buwooleddwamu ekifaananyi kya Kabaka waabwe, oyo eyasukulumizibwa ku kitiibwa okusinga abatukuvu ne bamalayika, oyo alina amaaso agajjudde ekisa, nga bwakayakana ku bo. Eggye ly’abanunule eritayinza kubalika, bonna nga bamwolese amaaso, era nga buli liiso lyetegereza ekitiibwa ky’amaaso ge “agoonooneddwa okusinga ag’omulala yenna bwe gaali gonooneddwa, ng’afuuse muntu atakyafaananika.” Yesu n’atikkira abawangudde n’omukono gwe ogwa ddyo engule ey’ekitiibwa. Kubanga buli omu aliweebwa engule ng’ewandiikiddwako “erinnya eriggya” (Kubikkulirwa 2:17), n’akapande akooleddwako ebigambo bino nti: “Aweereddwayo eri Mukama.” Nga bakwasibbwa amatabi g’enkindu akabonero ak’obuwanguzi, n’ennanga eza zaabu atemagana obulungi. Awo, bamalayika abakulembera nga batandise okukuba ennanga, buli mukono ne gukuba ennanga mu bukugu obwekitalo, ne muva amaloboozi amalungi okuwulira. Essanyu eitayogerekeka ne lijjula emitima gyabwe, na buli ddoboozi ne litandika okutendereza nga lyebaza nti: “Atwagala, era eyatusumulula mu bibi byaffe olw’omusaayi gwe; n&pos;atufuula obwakabaka, bakabona eri Katonda Kitaawe; ekitiibwa n’ettendo bibeerenga eri oyo emirembe n&pos;emirembe. Amiina.” Kubikkulirwa 1:5,6. EE 415.1

Abaagulibwa n’omutango nga tebanayingira mu Kibuga Ekitukuvu, Yesu n’aggula enzigi za luulu, eggwanga ettukuvu erikwata amazima ne liyingira. Ne balaba ekifo kya Katonda eky’okwesiima, agaali amaka ga Adamu nga tanayonoona. Awo, eddoboozi eryo erisinga amaloboozi g’ennanga amatu g’omuntu lye gaali gawuliddeko, ne liwulirwa, nga ligamba nti: “Olutalo Iwo luwedde.” “Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.” EE 415.2

Kaakano essaala y’Omulokozi gye yasabira abayigirizwa be n’etuukirira nti: “Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange.” “Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n’okubayimiriza mu maaso g’ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza.” (Yuda 24), Kristo n’alagayo eri Kitaawe abo be yagula n’omusaayi gwe, nga bwagamba nti: “Laba, nze n’abaana Katonda be wampa.” “Be nnali nabo nnabakuumanga.” Nga kwagala kukulu okwo! essaawa eyo ey’essanyu nga Kitaffe ataggwaawo, atunuula ku banunule, bw’aliraba ku kifaananyi kye, ekibi be kyayonoona ne bawaŋŋanguka, kaakano nga bagiddwako obwonoonefu, era ng’olulyo lw’omuntu luzzeemu okutabagana ne Katonda! EE 415.3

Yesu n’ayaniriza abeesigwa be bayingire mu ssanyu Iya Mukama waabwe wakati mu kwagala okutayogerekeka. Essanyu ly’Omulokozi liri mu kulaba ng’emyoyo egirokoleddwa okuyita mu bulumi bweyayitamu n’okuswazibwa giyingira mu bwakabaka bwe obw’ekitiibwa. Era n’abanunule bajja kugabana ku ssanyu lye nga balaba mu abo abaaweebwa omukisa, abo abaawangulwa ku lwa Kristo okuyita mu kusaba kwabwe, mu kukola kwabwe, ne mu bikolwa byabwe eby’okwagala. Essanyu ne lijula okubatta bonna nga bakuŋŋaanidde awali entebe enjeru ey’obwakabaka bwa Katonda, nga balaba ku abo be baawangula eri Kristo, omu nga yafunayo abalala, era ne bano ne baleeta abalala mu kisibo awali obuwummuliro, nga bwe bateeka n’engule zaabwe ku bigere bya Yesu ne bamutenderezanga okutuusa emirembe gyonna. EE 415.4

Abanunule nga bamaze okwanirizibwa mu Kibuga kya Katonda, ne wabaawo oluyoogaano olw’amaanyi olw’abali mu ku kusinza. Ba Adamu bombi nga banaatera okusisinkana. Omwana wa Katonda n’ayimirira ng’agolodde emikono gye okwaniriza kitaawe w’olulyo lwaffe - ekitonde kye yatonda, oyo eyayonoona eri Omutonzi we, era ng’olw’okwonoona kwe Omulokozi kye yava afuna enkovu ez’omusaalaba ku mubiri gwe. Adamu bw’alaba ku nkovu z’emisumaali, teyayinza kugwa mu kifuba kya Mukama we, wabula yeesuula ku bigere bye wakati mu kwetoowaza, n’agamba nti: “Asaanidde, asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa!” Wakati mu kwagala Omulokozi n’amuyimusa nga bw’amugamba atunule nate alabe Adeni amaka ge mwe yali agobeddwa okumala ebbanga eddene. EE 416.1

Obulamu bwa Adamu bwajjula okunakuwala oluvannyuma ng’amaze okugobebwa okuva mu Adeni. Buli kikoola eky’omuti ekyagwanga wansi, buli ssaddaaka yonna eyaweebwangayo, obulwadde bwonna obwakosanga ebitonde, buli bbala lyonna eryalabikiranga ku bulungi bw’omuntu, nga byonna bimujjukiza ekibi kye. Yawuliranga okulumirizibwa okungi buli lweyalabanga obubi nga bweyongera, era, nga bwe yalabulibwa, n’anenyezebwanga olw’okubanga nti ye yavaako obubi buno. N’agumiikirizanga wakati mu nsonyi ekibonerezo ky’okwonoona, kumpi okumala emyaka lukumi. Kyokka yeenenyeza ddala ekibi kye era n’ateeka obwesige mu bulungi bw’Omulokozi eyasuubizibwa, era n’afiira mu ssuubi ery’okuzuukira. Omwana wa Katonda yanunula okulemwa kw’omuntu era awamu n’okugwa kwe; era ne kaakano, okuyita mu ssaddaaka ye, Adamu n’azzibwayo mu bukulu bwe obwasooka. EE 416.2

Wakati mu ssanyu, n’atambuzibwa okwetooloola olusuku nga bw’alaba emiti gye yasanyukiranga - emiti gye yalyangako ebibala byagyo bwe yali tannayonoona era nga musanyufu. Yalaba emizabbibu gye yalandizanga, ebimuli bye yayagalanga era ng’abirabirira. Ebirowoozo bye ne bijjukirira ddala ekifo ekyo nga bwe kyali; n’akakasiza ddala nga ono ye Adeni azziddwa obuggya, kaakano ng’asanyusa okusingako ne bwe yali nga tanagobebwamu. Omulokozi n’amutwala ku muti ogw’obulamu n’anogako ekibala eky’ekitiibwa n’amuwa n’amugamba nti lya. Bwe yatunula okwetoolooza amaaso, n’alaba ekibiina ekinene eky’abantu abaava mu ye nga balokoleddwa, era nga bayimiridde mu kifo kya Katonda eky’okwesiima. Awo kwe kusuula engule ye etemagana ku bigere bya Yesu, olwo, n’agwa mu kifuba kye, n’anywegera Omulokozi. N’akwata ennanga eya zaabu, amaloboozi amalungi ne gava mu busolya bw’eggulu nga gayimba ennyimba ez’obuwanguzi nti: “Asaanidde, asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa era omulamu nate!” N’abaana ba Adamu ne bakwata ennanga zaabwe era ne basuula n’engule zaabwe ku bigere bya Yesu ne bavuunama nga bamusinza. EE 416.3

Okutabagana kuno kulabibwa ne bamalayika abaakaaba nga baalaba Adamu ayonoona era ne basanyuka Yesu bwe yamala okuzuukira n’alinnya mu ggulu, oluvannyuma lw’okuggula enzigi z’emagombe buli yenna akkiriza erinnya lye afulume. Kaakano ne balaba ng’omulimu gw’obununuzi gutuukiriziddwa, awo ne bagatta amaloboozi gaabwe mu nnyimba ez’okutendereza. EE 416.4

Ne ku nnyanja efaanana ejjinja eritangalijja mu maaso g’entebe, ye nnyanja ey’endabirwamu eyali etabudwamu omuliro, - emasamasa olw’ekitiibwa kya Katonda, nga kuliko abakuŋŋaaniddeko, abantu “abaava eri ensolo n’ekifaananyi EE 416.5

kyayo n’omuwendo gw’erinnya lyayo.” Ne bayimirira n’Omwana gw’endiga ku lusozi Saayuni nga, “balina ennanga za Katonda,” omuwendo gwabwe emitwalo kkumi n’ena mu enkumi nnya abaagulibwa okuva mu nsi; era eddoboozi ne liwulirwa nga liringa eddoboozi ly’amazzi amangi, era ng’eddoboozi ly’okubwatuka okunene, n’eddoboozi eryawulirwa lye lyo “ng’eryabakubi b’ennanga nga bakuba ennanga zaabwe.” Ne bayimba “oluyimba oluggya” mu maaso g’entebe, oluyimba omuntu yenna Iw’atayinza kuyiga wabula emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi nnya. Lwe luyimba lwa Musa n’Omwana gw’endiga - oluyimba Iw’obununuzi. Tewali n’omu okujjako emitwalo ekkumi n’ena mu enkumi nnya abaayinza okuyiga oluyimba olwo; kubanga lwe luyimba olukwata ku ebyo ebyabatuukako - ebyo ebitatuukanga ku muntu yenna omulala. “Abo be baagobereranga Omwana gw’endiga buli gy’agenda.” Bano bwe baamala okutwalibwa ne bagibwa mu nsi, okuva mu balamu buno, ne babalibwa “okuba ebibala ebibereberye eri Katonda n’eri Omwana gw’endiga.” Kubikkulirwa 15:2,3; 14:1-5. “Bano be baava mu kubonaabona kuli okungi;” baayita mu kiseera eky’okunakuwaliramu ekitabangawo kasookedde wabaawo eggwanga; baagumira obulumi nga mu kiseera Yakobo mwe yalabira ennaku; baayinza okuyimirirawo nga tebalina muwolereza mu kiseera Katonda we yafukira ebibonyobonyo bye ebisembayo ku nsi. Naye kaakano balokoleddwa, kubanga “baayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.” “Era mu kamwa kaabwe temwalabika bulimba: tebaliiko bulema” mu maaso ga Katonda. “Kyebavudde babeera mu maaso g’entebe ya Katonda; nga bamuweerezanga emisana n’ekiro mu yeekaalu ye: n’oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo.” Baalaba ensi ng’eyonooneddwa enjala n’endwadde, enjuba nga yaweebwa obuyinza okwokya abantu n’omuliro, era nabo ne bagumira okubonaabona okungi, omuli enjala, n’ennyonta. Kyokka “”tebalirumwa njala nate, so omusana tegulibookya newakubadde okwokya kwonna. Kubanga Omwana gw’ediga ali wakati w’entebe y’anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez’amazzi ag’obulamu, era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” Kubikkulirwa 7:14-17. EE 417.1

Abalonde b’Omulokozi bazze nga bayigirizibwa era nga bagunjulibwa okuyita mu ssomero ly’okugezebwa. Batambulidde mu makubo amafunda ag’ensi; ne balongoosebwa mu muliro gw’okubonaabona. Ne bagumira okuwakanyizibwa, okukyayibwa n’okuwaayirizibwa ku lwa Yesu. Ne bamugobereranga mu ntalo ezzizze zibaawo; ne bagumira okwerumya era ne bayita ne mu kusaalirwa okutali kumu. Baayigiranga ku ebyo ebyabatukangako ne bamanya obubi bw’ekibi, amaanyi gaakyo, engeri gye kirumirizaamu, bwe kikubizza abantu ebiwoobe, olwo ne bakikyayira ddala. Buli lwe bafumiitiriza ku ssaddaaka eteggwaawo emalawo ekibi, ne bawulira ensonyi mu maaso gaabwe, olwo emitima gyabwe ne gijjula okusiima n’okutendereza, abo abataagwa kye batayinza kutegeera. Balina okwagala kungi kubanga baasonyiyibwa nnyo. Olw’okubanga baagabanira wamu ku kuboonabona kwa Kristo, n’olwekyo baasanidde okugabanira awamu naye ku kitiibwa kye. EE 417.2

Abasika ba Katonda baava mu biseguusi, mu mpompogoma ng’emisota, mu makomera ag’omuttaka, ku bulabba, ku nsozi, mu malungu, mu bunnya, ne mu mpuku eziri eyo ku nnyanja. Baali “tebalina kantu, nga babonyabonyezebwa, era ne bayisibwa bubi.” Obukadde n’obukadde ne baaziikibwa mu ntaana EE 417.3

nga batekeddwako emisango egya nnaggomola, lwansonga, baagaanira ddala okukkiriza obulimba bwa Setaani. Abalamuzi b’abantu ne babasingisanga emisango ng’abamenyi b&pos;amateeka. Wabula nga kaakano, “Katonda ye mulamuzi yennyini.” Zabbuli 50:6. Kaakano ng’okusalawo ensi kwe yasalangamu emisango kukubye enkyukiira. “Ekivume eky’abantu be alikiggya ku nsi yonna.” Isaaya 25:8. “Balibayita nti Bantu batukuvu, Banunule ba Mukama.” Yasiima “okubawa engule mu kifo ky’ewu, amafuta ag’okusanyuka mu kifo ky’okunakuwala, ekyambalo eky’okutendereza, mu kifo ky’omwoyo gw’okukungubaga.” lasaaya 62:12; 63:3. Tebakyali banafu, abanyigirizibwa, era abasaasaanye. Banaabeeranga ne Mukama okuva leero n’okweyongeayo. Bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka bwa Katonda nga baambadde engoye enjeru, ekyambalo eky’ekitiibwa abatuula mu nsi kye batayambalangako. Ne battikkirwa n&pos;engule ez’ekitiibwa ezisinga n’ezo ezaali ziteekeddwa ku mitwe gya bakabaka b’ensi. Ennaku ez’okulumwa n’okukaaba nga zikomye emirembe gyonna. Kabaka ow’ekitiibwa ng’abasangudde amaziga mu maaso gaabwe; nabuli nsibuko y’okulumya ng’egiddwaawo. Ne bayimba ennyimba ez’amaloboozi amalungi nga batendereza eno nga bwe bawuuba amatabi g’enkindu; buli omu n’akuba ennanga ye, okutuusa amaloboozi g’oluyimba lwe gaagenda gaggweekerera waggulu eyo mu bisenge by’eggulu nti: “Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga.” Era bonna abali mu ggulu ne baddamu nga bamuwa ekitiibwa nti: “Amiina: Omukisa n&pos;ekitiibwa n’amagezi n’okwebaza n’ettendo n’obuyinza n’amaanyi bibeenga eri Katonda waffe emirembe n’emirembe. Amiina.” Kubikkulirwa 7:10,12. EE 418.1

Tuyinza okugezaako okutegeerera omulamwa gw’obununuzi obwewuunyisa mu bulamu buno. Tuyinza okufuumitiriza mu kutegeera kwaffe okufunda ku musaalaba ogwo ogw’ensonyi era ogw’ekitiibwa, ku bulamu n’okufa, ku bwenkanya bwa Katonda awamu n’okusaasira kwe nga bwe bisisinkanira ku ggwo; kyokka wadde nga tugaziyizza okutegeera kwaffe kwonna tuyinza okulemererwa okutegeera obukulu bwagwo mu bujjuvu. Tutegeerako kitundu ku buwanvu n’obugazi, okukka wansi n’okugenda waggulu ku kwagala kwa Katonda okw’obununuzi. Enteekateeka y’obulokozi, teriyinza kumanyibwa yonna mu bujjuvu, wadde nga n’abanunule bagiraba nga bweri era ne bagimanya nga bweri; naye amazima amaggya gajja kugenda nga geebikkula eri emitima egijjudde okwagala era eginoonya okumanya okuyita mu mirembe gyonna. Wadde nga amaziga n’okulumwa awamu n’ebikemo nga bwe biri ku nsi biriba bikomye era nga n’ensibuko yaabyo eweddewo, abantu ba Katonda bajja kuba nga basobola okutegeera omuwendo ogwaweebwayo olw’obulokozi bwabwe. EE 418.2

Omusaalaba gwa Kristo gujja kuba ekyokuyiga era oluyimba Iw’abanunule gwe banafumiitirizangako emirembe gyonna. Era mu Kristo eyagulumizibwa mwe banalabiranga Kristo eyakomererwa. Tebaliyinza kukyerabira nti oyo eyatonda olw’obuyinza bwe era n’awanirira ensi ezitabalika muwendo mu bwengula obutakoma, Omwana wa Katonda omwagalwa, Nnanyinibuyinza mu ggulu, oyo bakerubi ne baserafi abamasamasa gwe basanyukira okusinza - yakkakkana wansi okusitula omuntu eyagwa; nti yeetikka ensonyi n’omusango gw’ekibi, era Kitaawe gwe yakweka amaaso, okutuusa omutima gwe Iwe gwayabika era ne gubetentebwa ku musaalaba olw’ebikangabwa ebyatuuka ku nsi eyagwa. Nti oyo eyatonda ensi EE 418.3

zonna, omutabaganya wa buli kintu yayinza okulekawo ekitiibwa kye ne yeetoowaza olw’okwagala kw’alina eri omuntu ensi zonna ne zisamaalirira nga zeewuunya. Abanunule okuva mu mawanga gonna amaaso nga bagatadde ku Mununuzi waabwe ne balaba ekitiibwa kya Kitaawe eky’emirembe gyonna nga kimasamasiza mu maaso ge; nga balaba entebe ye ey’obwakabaka ebeerawo emirembe n’emirembe, era nga n’obwakabaka bwe tebukoma, olwo ne batanula okuyimba oluyimba olw’essanyu nti: “Asaanidde, asaanidde Omwana gw’endiga eyattibwa, era n’atugula eri Katonda olw’omusaayi gwe ogw’omuwendo!” EE 419.1

Ekyama ky’omusaalaba kinnyonnyola ebyama byonna. Bwe tutunuulira omusana ogwakira ku musaalaba,tulaba obulungi bwa Katonda bwe twasooka okulabira mu kutya n’okweralikirira kaakano nga bulungi era nga busikiriza. Okusaasira kwe, obugonvu bwe, n’okwagala kwe okw’obuzadde birabika nga bikwatagana bulungi n’obutukuvu bwe, obwenkanya bwe n’obuyinza bwe. Bwe tutunuulira ekitiibwa ky’entebe ye eyagulumira n’esukkulumizibwa waggulu ennyo, tulaba empisa ze nga zibikkuliddwa olw’ekisa kye, era ne tutegeera, okusingako ne mu kusooka, amakulu agali mu linnya eriwangula byonna erya “Kitaffe.” EE 419.2

Kiritegeerwa wonna nga oyo alina okumanya kwonna teyayinza kuzuula nteekateeka ndala yonna ey’obulokozi bwaffe wabula okuwaayo Omwana we. Omutango gwa ssaddaaka eno lye ssanyu erivaako okujjuza ensi n&pos;ebitonde ebyanunulibwa, nga bitukuvu, bisanyufu, era nga tebifa. Ebyava mu lutalo Iw’Omulokozi ng’alwana n’amaanyi g’ekizikiza ekyavaako ekitiibwa kya Katonda okukosebwa emirembe n’emirembe lye ssanyu ly’abanunule. Era guno gwe muwendo ogwasusula omwoyo Kitaffe n’asanyuka olw’omuwendo ogwaweebwayo; ne Kristo bw’alaba ku bibala ebyava mu ssaddaaka ye enkulu, n&pos;asanyuka. EE 419.3