Essuubi Eritaggwaawo
19 — Omusana Wakatimu Kjzikiza
Omulimu gwa Katonda ku nsi guzze gweyoleka mu ngeri yeemu eyeewunyisa okuyita mu mirembe egy’enjawoilo buli Iwe wazze wabeerawo okudda obuggya okwamaanyi. Enkolagana ya Katonda n’omuntu emirundi gyonna ezze ng’efaanana. Enkyukakyuka ezizze zibeerawo mu biseera bino zirina bwe zizze zifaananamu n’ezo ezasooka, era n’ebyo ekkanisa eyasooka bye yayitamu mulimu ebyokuyiga ntoko eri eno eya leero. EE 220.2
Tewali mazima gonna agayigirizibwa obulungi mu Bayibuli okusinga ago Katonda gayigiriza okuyita mu Mwoyo we Omutukuvu bwaluŋŋamya abaddu be abali ku nsi okuteekawo enkyukakyuka ez’amaanyi nga bakola omulimu gw’okutuusa obulokozi ku balala. Abantu bye bikozesebwa mu mukono gwa Katonda, by’akozesa okutuukiriza ebigendererwa bye eby’ekisa n’okusaassira. Buli omu alina ekitundu kyavunaanyizibwa okutuukiriza; era buli omu alina ekigera ky&pos;omusana, nga gutuukana n’obwetaavu bw’ekiseera kye, era ogumala okumusobozesa okukola omulimu Katonda gwamuwadde okukola. Kyokka era, tewali muntu n’omu, newakubadde ng&pos;ayagwalwa nnyo Eggulu, eyali afunye okutegeera kwonna okw’enteekateeka yonna ey&pos;obulokozi, oba okufuna okusiimibwa okutuukiridde olw’ebigendererwa bya Katonda mu kukola omulimu mu kiseera kye. Abantu tebategeerera ddala Katonda byasuubira kutuukako olw&pos;emirimu gy’abawadde okukola; tebamannyira ddala bubaka bweboogera mu linnya lye gye bugenda kukoma. EE 220.3
“Oyinza okulaba Katonda olw’okunoonya? Oyinza okulaba Omuyinza w’ebintu byonna n’omumalayo?’’ “Kubanga ebirowoozo byange si birowoozo byammwe, so n’amakubo gammwe si makubo gange,” bw’ayogera Mukama. Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.” “Kubanga nze Katonda so tewali anfaanana, alanga enkomerero okuva ku lubereberye, n’ebigambo ebitannakolebwa okuva mu biro eby’edda.” Yobu 11:7; Isaaya 55: 8,9; 46: 9, 10. EE 220.4
Newakubadde bannabbi abaafuna omusana ogw’enjawulo nga bamulisibwa Omwoyo, tebaamanyiranga ddala makulu gali mu kubikkulirwa kwe baafunanga. EE 220.5
Amakulu gaagendanga geebikkula mpola mpola okuyita mu mirembe egy’enjawulo, ng’okwetaaga kw’abantu ba Katonda bwe kwabanga. EE 221.1
Peetero bwe yawandiika ku by’obulokozi ebyakajja bitegeerwe okuyita mu njiri, yagamba: Eby’obulokozi obwo, “bannabbi abaalagulanga eby’ekisa ekyali kigenda okujja baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga: nga banoonya ebiro oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga ng’asooka okutegeeza ebibonoobono bya Kristo, n’ekitiibwa ekibigoberera. Nabo baabikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku lwammwe.” 1 Peetero 1: 10-12. EE 221.2
Newakubadde nga tebyaweebwa bannabbi ku bitegeera mu bujjuvu ebyo ebyababikkulirwanga, naye baafubanga nnyo okunoonya omusana gwonna nga Katonda bwe yasiimanga okugubabikkulira. “Baanoonyanga nnyo ne bakenneenyanga,” “nga banoonya ebiro oba bwe bifaanana Omwoyo wa Kristo eyali mu bo bye yalaga ng’asooka okutegeeza.” Nga kyakuyiga kikulu nnyo eri abantu ba Katonda mu mulembe guno ogw’Obukristaayo, ku lwabwe abaabikkulirwa obunnabbi eri abaddu be! “Nabo baabikkulirwa nga si ku lwabwe bokka wabula ku Iwammwe ” Tunuulira olabe abaddu ba Katonda bano abatukuvu bwe “baanoonyanga ennyo ne bakenneenyanga” okubikkulirwa kwe baaweebwanga kulwe mirembe egitannazaalibwa. Gerageranya olabe omuliro n’obunafu obuli mu balonde ab’omu mirembe egy’oluvannyuma bwe bazanyisa ekirabo ky’Eggulu. Nga bagwanira okunenya bano abaagala ebiwedde, abaagala ensi omutali kantu ne bamatira nga boogera nti obunnabbi tebutegerekeka! EE 221.3
Newakubadde nga ebirowoozo by’abantu bifunda nnyo okusobola okutegeera okuteesa kw’Oyo atasingika, oba okutegeera mu bu[juvu ebigendererv\a bye byonna, naye ate oluusi eba nsobi yaabwe oba bulagajjavu ne batayinza kumanya bubaka obuva mu Ggulu. Emirundi si mitono abantu ba Katonda so era n’abaddu be, Iwe bazibwa amaaso n’ebirowoozo by’obuntu, obuwangwa n’enjigiriza z’abantu, ne balabako kitundu ku bintu ekikulu by&pos;abikkudde okuyita mu kigambo kye. Era bwe kityo bwe kyali ne ku bayigirizwa ba Kristo, newakubadde nga Kristo yali akyali nabo mu mubiri. Ebirowoozo byabwe nga bimaliddwawo n’endowooza eyali mu bantu nti Masiya ye mulangira w’ensi eno eggwaawo, eyali ow’okusitula Israeri etuule ku nnamulondo y’obwakabaka bw’ensi yonna, ne balemwa okutegeera amakulu g’ebigambo bye ebyogera ku kubonaabona n&pos;okufa kwe. EE 221.4
Kristo yennyini yali yabaweereza obubaka nti: “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde, mwenenye, mukkirize enjiri.” Makko 1:15. Obubaka obwo bwali bwesigamiziddwa ku kitabo kya Danieri essuula 9. Malayika yagamba nti e sabbiiti enkaaga mu bbiri zituuka ku “Masiya Omulangira,” olwo abayigirizwa ne basuubira mu ssanyu eringi okulaba obwakabaka bwa Masiya nga buteekebwawo e Yerusaalemi bufuge ensi yonna. EE 221.5
Baabuuliranga obubaka Kristo bwe yabalagira okutegeeza, newakubadde nga bo bennyini tebaategeera makulu gaabwo. Newakubadde nga ekirango kyali kyafulumira mu Danieri 9: 25, tebaayinza kulaba mu lunyiriri oluddako mu ssuula y’emu, nga Masiya alizikirizibwa. Emitima gyabwe nga ginyweredde ku kitiibwa eky’obwakabaka bw’ensi okuva lwe baazaalibwa, era kino ne kibaziba okutegeera kwabwe bonna wamu ku bigambo by’obunnabbi n&pos;ebya Kristo. Baatuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu kutegeeza eggwanga ly’Abayudaaya beetwalire EE 221.6
ekisa ekibaweereddwa, era mu kiseera we baasuubiririra nti Mukama waabwe agenda okulinnya ku ntebe ya Dawudi, baamulaba akwatibwa ng’omuzzi w’emisango, n’akubwa emiggo, okusekererwa n’okusingisibwa omusango, era n’awanikibwa ku musaalaba e Ggologoosa. Nga abayigirizwa baalumwa mu mitima n’okuggwaamu essuubi mu kiseera ekyo Mukama waabwe bwe yali mu ntaana nga yeebase! EE 222.1
Kristo yali yajja mu kiseera ne mu ngeri entuufu nga bwe yamulangibwako mu bunnabbi. Era obujulirwa bw’obuweereza bwe mu Byawandiikibwa bwonna nga butuukiriziddwa. Yabuulira obubaka obukwata ku bulokozi, era “ekigambo kye nga kirina obuyinza.” Emitima gy’abawuliriza ne bakakasa nga kivudde mu ggulu. Ekigambo n’Omwoyo wa Katonda ne bikakasa obuweereza bwa Katonda mu Mwana we. EE 222.2
Abayigirizwa nga bagugubidde ku kye baayagaliza edda Mukama waabwe omwagalwa. So nga ebirowoozo byabwe bibuutikiddwa obuteekakasa n’okubuusabuusa. Mu bunaku bwabwe nga tebayinza kujjukira bigambo Kristo bye yayogera ebikwata ku kubonaabona kwe n’okufa. Ddala Yesu ow’e Nazaaleesi bw’aba nga ye Masiya omutuufu, bandibadde nga bennyise mu kunyolwa n’okuggwaamu essuubi? Bino bye bibuuzo ebyanyigirizanga emmeeme zaabwe Omulokozi bwe yali mu ntaana ye mu kiseera nga baweddemu essuubi ku sabbiiti eyo eyali wakati w’okufa kwe n’okuzuukira kwe. EE 222.3
Newakebadde nga ekiro eky’okunakuwala kyeyongera okukwata enzikiza eri abagoberezi ba Yesu, naye teyabeerabira. Nnabbi agamba: “Bwe ntuula mu kizikiza, Mukama anaaba musana gye ndi.... Alindeeta eri omusana, era ndiraba ku butuukirivu bwe.” “Newakubadde enzikiza teyeekisa eri ggwe, naye ekiro kyaka ng’omusana: kubanga enzikiza n’omusana bifaanana w’oli.” Mukama agambye nti: “Eri omutuukirivu omusana gujja awali enzikiza.” “Era ndireeta abazibe b’amaaso mu kkubo lye batamanyi; mu mpitiro ze batamanyi mwe ndibayisa: ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe, n’ebifo ebikyamu ndibigolola. Ebyo ndibikola so siribaleka.” Mikka 7: 8,9;Zabbuli 139: 12; 112:4; Isaaya42: 16. EE 222.4
Ebigambo abayigirizwa bye baayogeranga mu linnya lya Mukama waabwe byali bituufu ddala, era bye byategeezanga ne mu kiseera ekyo nga bituukirira. “Ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde,” bwe bwalinga obubaka bwabwe. Mu “ntuuko y’ekiseera” eky’esabbiiti enkaaga mu omwenda ekya Danieri 9, ekyali eky’okutuuka ku Masiya “afukibwako amafuta” - Kristo yafukibwako Omwoyo bwe yamala okubatizibwa Yokaana mu mugga Yoludaani. Era “n’obwakabaka bwa Katonda” bwe baalangiriranga nti busembedde, bwateekebwawo olw’okufa kwa Kristo. Obwakabaka buno tebwali bwa ku nsi kuno nga bwe baayigirizibwanga. Era tebwali obwo “obwakabaka n’okufuga, obwakabaka obuli wansi w’eggulu lyonna, abantu b’abatukuvu b’Oyo Ali waggulu ennyo bwe baliweebwa: obwakabaka obwo obutaliggwaawo amawanga gonna lwe galimuweereza ne gamuwulira.” Danieri 7: 27. Era nga bwe kikozesebwa mu Bayibuli, ekigambo “obwakabaka bwa Katonda,” kikozesebwa okulaga obwakabaka obw’ekisa era n’obwakabaka obw’ekitiibwa. Pawulo yaayogera ku bwakabaka obw’ekisa mu bbaluwa ye gye yawandiikira Abaebbulaniya. Bwe yamala okwogera ku Kristo, omutabaganya ow’ekisa oyo “alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe,” omutume agamba: “Kale tusemberenga n’obuvumu eri entebe ey’ekisa, tulyoke tuweebwe okusaasirwa era tufune ekisa.” EE 222.5
Abaebbulaniya 4: 5, 6. Entebe ey’ekisa eyimiriddewo ku Iw’obwakabaka obw’ekisa; kubanga okubeerawo kw’entebe kitegeeza kubeerawo kwa bwakabaka. Mu ngero ennyingi Kristo ze yayogera akozesa ekigambo “obwakabaka obw’omu ggulu” okutegeeza okuweereza kwa Katonda okw’ekisa eri emitima gy’abantu. EE 223.1
Bwe kityo entebe ey’ekitiibwa etegeeza bwakabaka obw’ekitiibwa; era obwakabaka buno Omulokozi abwogerako bwati: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye, ne bamalayika bonna nga bali naye, awo bw’alituula ku ntebe ye ey’ekitiibwa kye: n’amawanga gonna galikuŋŋanyizibwa mu maaso ge.” Matayo 25: 31, 32. Obwakabaka buno tebunnatuuka. Si bwakuteekebwawo okutuusa Kristo ng’akomyewo omulundi ogwookubiri. EE 223.2
Obwakabaka obw’ekisa bwateekebwawo amangu ddala ng’omuntu yaakagwa, enteekateeka bwe yakolebwa ey’okununula olulyo olwayonoona. Olwo Iwe bwateekebwawo okutuukiriza ebigendererwa bya Katonda awamu n’ebisuubizo bye; abantu babeere abaweereza mu bwakabaka buno okuyita mu kukkiriza. Kyokka tebwatandikira ddala okutuusa ku kufa kwa Kristo. Era ne bwe yamala okutandika omulimu gwe ku nsi, Omulokozi yandyekyusizza obutawaayo ssaddaaka e Ggologoosa olw’okubonaabonanga n’obukakanyavu bw’emitima gy’abantu nga kw’otadde obutasiima. Emikono gye nga gikankana olw’ekikompe ky’obuyinike kye yali akute mu lusuku Gesusemaani. Yandyesanguddeko entuuyo z’omusaayi ezaali mu kyenyi kye, aleke olulyo olwayonoona luzikiririre mu bubi bwabwe. Naye aba kukola ekyo, tewandibaddewo kulokolebwa eri omuntu eyagwa. Wabula Omulokozi yawaayo obulamu bwe, era bwe yali assa omukka gwe ogusembayo n’agamba nti “Kiwedde,” olwo okutuukirira kw’enteekateeka y’obulokozi ne kukakasibwa. Ebisuubizo ebyategeezebwa Adamu ne Kaawa abaayonoona mu lusuku Adeni ne biteekebwako omukono. Obwakabaka obw’ekisa, obwasooka okubeerawo olw’ebisuubizo bya Katonda, ne bunywezebwa. EE 223.3
Bwekutyo okufa kwa Kristo - abayigirizwa kwe baatunuulira nga essuubi lyabwe erizikiridde emirembe gyonna - ate kwe kwalikakasa emirembe gyonna. Newakubadde nga baafuna okusaalirwa okunene mu ngeri ey’obukambwe, eyo ye yali entikko ekakasa nga okukkiriza kwabwe kubadde kwa mazima. Okunyolwa n’okuggwaamu essuubi bye baafuna olw’okufa kwe, ate olw’okwo essuubi lyaggulirwawo eri buli mwana wa Adamu yenna, era mu kwo mwe mwali essuubi ery’obulamu obuggya n’essanyu ery’emirembe gyonna eri abeesigwa ba Katonda mu mirembe gyonna. EE 223.4
Ebigendererwa eby’ekisa kya Katonda ekitakoma kaakano nga bituukirira, wakati mu bayigirizwa okufuna okusaalirwa. Newakubadde nga emitima gyabwe gyawangulibwa olw’ekisa kya Katonda, n’olw’obuyinza obwali mu kuyigiriza kwe, kubanga “tewali muntu eyali ayogedde bwatyo,” kyokka baagatta zaabu ennungi ey’okwagala kwe baalina eri Kristo n’amasangere g’okwagala amalala g’ensi n’okwekkusa. Wadde ne mu kisenge gye baakwatira okuyitako, mu ssaawa eyo enkulu ennyo bwetyo, Mukama waabwe olwo ng’ayingirira ekiseera ekizibu mu lusuku Gesusemaani, era nga mu bo mukyalimu “empaka nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.” Lukka 22: 24. Ebirowoozo byabwe nga bitunuulidde nnamulondo, ngule na bitiibwa, so ng’ate balindiriddwa nsonyi na bulumi wakati mu lusuku, kisenge omusalirwa emisango awamu n’omusaalaba e Ggologoosa. EE 223.5
Amalala ge baalina mu mutima, n’okuyayaanira ebitiibwa by’ensi, bye byabaleetera okwenywereza n’okuguggubira ku njigiriza enkyamu ezaaliwo mu kiseera ekyo, ne batawuliriza bigambo bya Mulokozi ebyali bisonga ku nkula y’obwakabaka bwe, obulumi bw’agenda okuyitamu awamu n’okufa kwe. Era ensobi zino zaabaviiramu okulega ku bulumi - obulumi ddala naye nga kyali kyetaagisa - olwo bayinze okutereezebwa. Newakubadde ng’abayigirizwa baawubwa mu kutegeera amakulu g’obubaka bwabwe, era ne balemererwa n’okutuuka ku bye baali basuubira, kyokka baategeeza okulabula okwabaweebwa Katonda, olwekyo Mukama yali waakubawa empeera n’okusiima obuwulize bwabwe. Baakwasibwa omulimu gw’okulangirira amawulire amalungi era ag’ekitiibwa aga Mukama waabwe eyazuukira eri ensi. Olwo baali bateekebwateekebwa okukola omulimu guno, ye nsonga Iwaki Katonda yakkiriza balege ku bulumi obwo. EE 224.1
OIuvannyuma Iw’okuzuukira, Yesu yalabikira abayigirizwa be bwe baali bagenda mu mbuga erinnya lyayo Emawo, “n’asookera ku Musa ne ku bannabbi bonna, n’abategeeza mu Byawandiikibwa ebyo byonna ebyamuwandiikirwa ye.” Lukka 24: 27. Emitima gyabwe ne gicamuka. Okukkiriza ne kukoleera. Ne “bazaalibwa nate mu ssuubi eddamu” newakubadde nga Yesu yali tannabebikkulira. Yakigenderera abikkule ku kutegeera kwabwe era anywereze okukkiriza kwabwe ku “kigambo kya bannabbi ekinywevu.” Yayagala amazima gasimbe emirandira mu birowoozo byabwe, so si lwakubanga byakakasibwa olw’ebyo ebyamutuukako kyokka, naye era n’olw’okubakafu obulagibwa mu bubonero n’ebifaananyi by’amateeka, awamu n’obunnabbi bw’Endagaano Enkadde. Kyali kyetaagisa abayigirizwa ba Kristo babeere n’okukkiriza nga kulowooza, so si ku lwabwe bokka, naye era bategeeze n&pos;ensi okumanya kwe balina eri Kristo. Era olw’okubanga kye baalina okusookerako kwe kutegeeza ku balala okumanya kuno, Yesu kwe kuzzaayo abayigirizwa ku “Musa ne ku bannabbi.” Bwatyo Omulokozi eyazuukira bwe yanyweza omugaso n’obukulu bw’Ebyawandiikibwa eby’Endagaano Enkadde. EE 224.2
Mazima emitima gy’abayigirizwa gyazzibwa buggya bwe baalaba nate ku maaso ag’ekisa ekya Mukama waabwe. Lukka 24: 32. “Baazuula,” mu ngeri etuukiridde ekitabangawo, oyo “Musa mu kitabo ky’amateeka ne bannabbi gwe baawandiikako.” Okubuusabuusa, obulumi, n’okunyolwa, byonna ne biggwaawo, olwo ne bafuna obukakafu n’okukkiriza okutasiikiriziddwa. Nga kyewunyisa, anti oluvannyuma Iwa Yesu okulinnya mu ggulu, “ne babeeranga mu yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.” Olw&pos;okubanga abantu baamanya kufa kwa Mulokozi kwokka mu ngeri eswaza, ne basuubira okulaba abayigirizwa nga bali mu nnaku, kusoberwa oba oli awo n’okuwangulwa; wabula baabalaba bali mu ssannyu na kutendereza. Nga baateekebwateekebwa bulungi olw’omulimu gwe baalina okukola! Baayita mu kukemebwa kwe bayinza, era nga kaakano balaba, byonna bye baalabanga mu buntu nga biweddewo, ng’ekigambo kya Katonda kituukiriridde mu buwanguzi. Era okuva olwo, ate nga kiki ekiyinza okubatiisa n’okukeŋŋentereza emmeeme zaabwe? Baafuna “ekigumya ekinywevu” wakati mu nnaku gye baayitamu, nga lye “essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu.” Abaebbulaniya 6: 18, 19. Baalaba n’amaaso gaabwe ku magezi ga Katonda n’obuyinza bwe era ne “bategeerera ddala nga newakubadde okufa, newakubadde obulamu, newakubadde bamalayika, newakubadde abafuga, newakubadde ebiriwo, newakubadde ebigenda okubaawo, EE 224.3
newakubadde amaanyi, newakubadde obugulumivu, newakubadde okugenda wansi, newakubadde ekitonde kyonna, tebiyinzenga kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.” Ne bagamba nti: “Naye mu ebyo byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala.” Abaluumi 8: 38, 39, 37. “Ekigambo kya Mukama kibeerera emirembe n’emirembe.” l Peetero 1: 25. Era “ani alibasalira omusango? Kristo Yesu eyafa, oba okusinga eyazuukira ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, era atuwolereza.” Abaluumi 8: 34. EE 225.1
Mukama agamba: “Abantu bange tebalikwatibwa nsonyi.” Yoweeri 2: 26. “Amaziga wozzi gayinza okubeerawo ekiro, naye essanyu lijja obudde nga bukedde.” Zabbuli 30: 5. Abayigirizwa bwe baasisinkana Yesu ku lunaku lw’okuzuukira, emitima gyabwe ne gibatyemuka bwe baali bawuliriza ebigambo bye; bwe baalaba ku mutwe gwe era n’emikono gye era n’ebigere bye ebyafumitibwa ku lwabwe; era bwe yali tannalinnya mu ggulu, Yesu bwe yabakulembera ne bagenda e Bessaniya, naasitula emikono gye abawe omukisa, yabagamba nti: “Mugende mu nsi zonna, mubuulire enjiri,” era n’agattako nti: “laba, ndi wamu nammwe ennaku zonna” (Makko 16: 15; Matayo 28: 20); ku lunaku lwa Pentekoote Omubeezi eyasuubizibwa bwe yakka ne baweebwa amaanyi okuva waggulu ne bawulira okubeerawo kwa Mukama waabwe eyalinnya mu ggulu mu bulamu bwabwe - olwo, okufaanana nga ye, ekkubo lyabwe nga litambulira mu kwewaayo na kufiirwa bulamu, bandiyinzizza okuwanyisa obuweereza bw’enjiri ey’ekisa kye, awamu “n’engule ey’obutuukirivu” eribaweebwa mu kujja kwe, n’ekitiibwa ky’obwakabaka bw’ensi, bwe baalinamu essuubi bwe baasooka okubeera abayigirizwa? “Kale oyo ayinza okukola ennyo okusingira ddala byonna bye tusaba oba bye tulowooza,” yali abawadde okubonaabonera wamu naye, n’okusseekimu mu ssanyu lye-“essanyu ery’okuleeta abangi eri ekitiibwa,” essanyu eritayogerekeka, “ery’ekitiibwa ekizitowa eky’emirembe n’emirembe,” Pawulo kyayogerako nti: “kubanga okubonaabona kwaffe okw’omu biro bya kaakati,” “tekutuuka kwenkanyankanya.” EE 225.2
Ebyo ebyatuuka ku bayigirizwa abaabuulira “enjiri y’obwakabaka” mu kujja kwa Kristo okwasooka, byefaanaanyiriza n’ebyo ebyatuuka ku baabuulira obubaka bw’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. Ng’abayigirizwa bwe baagenda ne babuulira nti “ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde,” ne Miller awamu ne banne bwe baabuulira nti ekiseera ekisinga obuwanvu mu bunnabbi era ekisembayo mu Bayibuli kinaatera okugwako, nti ekiseera eky’omusango kisembedde, n’obwakabaka obw’emirembe n’emirembe bunaatera okutuuka. Okubuulira kw’abayigirizwa kwali kwesigamiziddwa ku kiseera ekya sabbiiti ensanvu eza Danieri 9. Obubaka bwa Miller ng’ali wamu ne banne bwo nga bulangirira okuggwaako kw’ennaku 2300 eza Danieri 8: 14, ezizingiramu e sabbiiti ensanvu. Mu kubuulira okw’emirundi gyombi, nga bonna boogera ku kutuukirira kw’ebiseera eby’enjawulo eby’ekiseera kye kimu ekisinga obuwanvu mu bunnabbi. EE 225.3
Okufaanana n’abayigirizwa abaasooka, ne William Miller awamu ne banne tebaategeerera ddala bubaka bwe baaweebwa okutwala eri abalala. Anti ensobi ezaayingizibwa mu kkanisa okumala ekiseera ekiwanvu zaabaziyiza okutuuka ku nnyinnyonnyola entuufu ey’ensonga enkulu mu bunnabbi. N’olwekyo, newakubadde nga baabuuliranga obubaka Katonda bwe yabakwasa okutwala eri ensi, naye olw’obutategeera bulungi makulu gaabwo, baalumwa nnyo olw’okusaalirwa kwe baatuukako. EE 225.4
Mu ku nnyonnyola Danieri 8: 14, nti “Birituusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu: awatukuvu ne walyoka walongoosebwa,” Miller, era nga bwe kyogeddwa, yajjukira nsi nti kye kifo ekitukuvu kubanga bwe batyo bwe baalowoozanga, nakkiriza nti okulongoosebwa kw’awatukuvu kitegeeza kulongoosa nsi n’omuliro Kristo ng’akomawo omulundi ogwookubiri. N’olwekyo, bwe yazuula nga kyamazima ennaku 2300 zaalangibwa, naafundikira ng’agamba nti zaali zitegeeza kiseera kya kukomawo mulundi gwakubiri. Ensobi ye yava mu kukkiriza ndowooza ya bantu ku kye bayita awatukuvu. EE 226.1
Mu nsiinza eyedda, eyali ey’ekisiikirize kya saddaaka n’obwakabona bwa Kristo, omukolo ogwasembangayo gwe gw&pos;okulongoosa awatukuvu era nga gukolebwa ssabakabona omulundi gumu mu mwaka ogw’okuweereza kwe. Kwe kwafundikiranga mu mulimu gw’okutangirira: okuggyawo oba okusangulawo ekibi ku Israeri. Kwasoŋŋanga ku buweereza obufundikira mu kuweereza kwa Kabona waffe asinga obukulu mu ggulu, mu kuggyawo oba okusangulawo ebibi by’abantu be ebyawandiikibwa mu bitabo by’omu ggulu. Okuweereza kuno nga kulimu okunoonyereza n’okusala omusango; era nga kuddirirwa okukomaw&pos;o kwa Kristo ku bire eby’eggulu mu maanyi ne mu kitiibwa; kubanga bw&pos;alijja, alijja buli musango gumaze okusalibwa. Yesu agamba: “Empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli.” Okubikkulirwa 22: 12. Obubaka buno obw’okusala omusango, obuddirirwa okukomawo kwa Kristo amangu ddala, bwe bulangirirwa malayika ow’olubereberye mu Kubikkulirwa 14: 7 nti: “Mutye Katonda, mumuwe ekitiibwa; kubanga ekiseera eky’omusango gwe kituuse.” EE 226.2
Abo abaabuulira okulabula kuno baakwogerera mu kiseera ekituufu. Naye ng’abayigirizwa abaasooka bwe baalangirira nti “ekiseera kituuse, obwakabaka bwa Katonda busembedde,” nga beesigama ku bunnabbi bwa Danieri 9, ne balemererwa okutegeera nti n&pos;okufa kwa Masiya kwalangirirwa mu byawandiikibwa bye bimu, ne Miller ng’ali wamu ne banne bwe baabuulira obubaka nga babwesigamizza ku Danieri 8: 14 ne Kubikkulirwa 14: 7 bwe balemererwa okulaba nti waliwo n’obubaka obulala obuli mu Kubikkulirwa 14, obulina okutegeezebwa nga Mukama tannakomawo. Ng’abayigirizwa bwe baabuzaabuzibwa mu kutegeera obwakabaka obw’okuteekebwawo ku nkomerero y’e sabbiiti ensanvu, n’Abadventi bwe baabuzaabuzibwa mu kutegeera ensonga ey’okubaawo ku nkomerero y’ennaku 2300. Bombi bakkiriza oba kaŋŋambe nti baawuliriza ensobi ezaalinga mu bantu abasinga obungi ezabaziba ebirowoozo byabwe okutegeera amazima. Ebibiina byombi byatuukiriza ekigendererwa kya Katonda mu kutegeeza obubaka bwe yasiima butegeezebwe, era byombi ne bisaalirwa nnyo nnyini olw’okuwubwa mu bubaka bwabwe. EE 226.3
Kyokka Katonda yatuuka ku kye yali yetaaga bwe yakkiriza obubaka obw’okulabula ku kiseera eky&pos;omusango butegeezebwe nga bwe kyakolebwa. Olunaku olukulu lwali lusembedde era mu kisa kye abantu ne batuusibwa mu kiseera eky’okugezesebwa okusobola okubikkula ebyali mu mitima gyabwe. Obubaka bwateekebwateekebwa olw’okugezesa n’okulongoosa ekkanisa. Nga balina okwezuula balabe oba nga bye beegomba byesigamiziddwa ku nsi oba ku Kristo n’eggulu. Abo abagamba nti baagala Omulokozi; kaakano nga balina EE 226.4
okukakasa okwagala kwabwe. Ddala baali beeteefuteefu okwegaana ensi ne bye baalowoolerezangamu nti mwe muli essuubi? Obubaka bwatekebwatebwa bubasobozese okuzuula embeera ey’omwoyo ey’amazima gye balimu; bwawerezebwa olw’okusaasira kwe bubazuukuse banoonye Mukama mu buwombeefli n’okwenenya. EE 227.1
Okusaalirwa nga nakwo, newakubadde nga ebyavaamu byava mu ndowooza enkyamu ey’obubaka bwe baayogeranga, kwajja Iwa bulungi. Kwakema emitima gy’abo abaagambanga nti bawulidde okulabula. Okusaalirwa nga kuzze, bayinza okwejjusa amangu ago ne basuula obugumu bwabwe mu kigambo kya Katonda? oba bandiyinzizza okunoonya balabe we bawubiddwa bamanye amakulu g’obunnabbi wakati mu kusaba n’okwewombeeka? Bameka abadduse olw’okutya, oba olw’okubuguumirira? Bameka ab’emitima egy’ekibogwe era n’abatakkiriza? Anti nga nkumu abagamba nti balindiridde n’essanyu okulabika kwa Mukama. Okusekererwa n’okunyoomebwa nga bizze, bayinza okubigumiikiriza ne bategaana kukkiriza kwabwe nga kwotadde ekikemo ky’okulwawo n’okusaalirwa? Bandisudde eri amazima aganywezebwa obujulirwa obw’ekigambo kya Katonda ekitegerekeka obulungi olw’okubanga tebaategereddewo Katonda ky’abeetaagamu? EE 227.2
Ekigezo kino kyali kya kubikkula okukkiriza okutuufu okw’amaanyi g’abo abaali bagondedde ekyo kye bakkiriza okuba nga ye njigiriza y’ekigambo n’Omwoyo wa Katonda. Kyali kya kubayigiriza era nga bwe banditegedde, akabi akali mu njigiriza n’enzivuunula y’abantu, mu kifo ky’okuleka Bayibuli yeyogerere. Abaana b’okukkiriza banditerezezza ensobi yaabwe eyavaamu okusoberwa n’okunyolwa. Bandyeyongedde okwetegereza ekigambo ky&pos;obunnabbi. Bandiyigiriziddwa okwetegereza n’obwegendereza omusingi gw’okukkiriza kwabwe, n’okugaana ensonga yonna newakubadde ng’ekkirizibwa Abakristaayo abasinga obungi mu nsi, naye nga terina musingi mu Byawandiikibwa eby’amazima. EE 227.3
Ebyandibakaluubiridde okutegeera mu ssaawa eyo ey’okugezesebwa, abakkiriza bano okufaanana n’abayigirizwa abaasooka, bandibitegedde bulungi oluvannyuma. Bwe bandirabye “enkomerero ya Mukama waabwe” bandikitegedde nga, si nsonga olw’okugezesebwa kuno kwe bayitamu olw’ensobi yaabwe, kasita ebigendererwa bya Katonda eby’okwagala bituukirira. Bandiyize mu ngeri y’omukisa nti “waakisa era alina okusaasira okungi;” nti era amakubo ge “kye kisa n’amazima eri abo abeekuuma endagaano ye n’okutegeeza kwe.” EE 227.4