Essuubi Eritaggwaawo
18 — Omuzza W’ekkanisa Obuggya Omumerika
Katonda yalonda omusajja omulimi, omwesimbu era omwesigwa mu mutima, eyali ayingiziddwamu omutima ogw’okubuusabuusa obuyinza bwa Katonda ku Byawandiikibwa, so ng’ate yegombanga nnyo okumanya amazima, oyo ye aba akulemberemu mu kulangirira okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri. Era okufaananako n’abazza b’ekkanisa abamusooka, ne William Miller yakalubirizibwanga nnyo olw’embeera y’obwavu mu bulamu bwe obwasooka, era bwatyo n’ayiga okwekolera n’okwerumya. Amaka mwe yasibuka, baali bantu abeeyimirizaawo, abaagala emirembe, olw’okukola ennyo awatali kukoowa, n’okwagala ennyo ensi yaabwe - era engeri ezo zaalabikira nnyo ne mu bulamu bwe. Kitaawe yali ku ddaala lya bukulembeze mu maggye agaaleeta enkyukakyuka mu Amerika, era n’okwerumya kwe yatuukako inu lutalo era n’okubonaabona mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo nga byangu okulabikira mu bulamu bwa Miller obwakalubirizibwanga ennyo bwe yali ng&pos;akyali muto. EE 203.2
Yali musajja muggumivu, era ne bwe yali ng’akyali muto yalabikanga nga mutegeevu okukira ku baana abaabulijjo. Era yeeyongera okugenda ng&pos;ategeerekeka mu butegeevu buli Iwe yeyongerangako. Nga mujagujagu era akola ebimugyamu kyokka ng’ayagala nnyo okumanya. Newakubadde teyafuna mukisa ogw’okweyongerayo mu kusoma okwa waggulu, olw’okwagala okusoma ennyo ebitabo nga kwotadde okufumiitiriza n’okusengejjanga ensonga, byamufuula omuntu mulamu era alina ebirowoozo enjolo. Nga kizibu okumuzuulako ensonga era alina empisa eyegombebwa buli omu, olw’okubeera omwesimbu, omwegendereza era ow’ekisa. Olw’okubanga yakozesanga nnyo amaanyi ge, yayinza okwebeezaawo ng’akyali mu myaka egyawansi, kyokka ekyo tekyamulobera kusoma. Yakolako mu bifo by’olukale bingi ng’omukozi w’eggwanga era yakolerako ne mu maggye gye yasiimibwanga entakera, bwatyo n’afuna obugagga n’ebitiibwa. EE 203.3
Nnyina yali mukyala ng’atya nnyo Katonda, era oyo naamuyingizangamu empisa ez’eddiini bwe yali ng’akyali muto. Ekyennaku, bwe yali ng’akyali mu myaka gye egy’obuto, yeegatta ku kabiina k’abakkiriza Katonda naye nga okukkiriza kwabwe bakwesigamya ku kulowooza kwabwe, abaamubuzaabuza olw’ensonga nti abasinga obungi ku bo baali bantu ba buvunaanyizibwa era abafaayo eri abalala. Olw’okubanga abo babeeranga mu matendekero g’Abakristaayo, empisa zaabwe ne zifaanaanyirizibwa n’ez’abo ababalinaanye. Era ebyo ebyabegombesanga n’okussibwangamu ekitiibwa nga bijjibwa mu Bayibuli; naye ate ebirabo ebirungi bityo ne babinyoola bakyayise abantu ekigambo kya Katonda. Miller bwe yeegatta nabo bwatyo naye n’ayingirwamu endowooza zaabwe. Olwo ennyinnyonnyola empya ey’Ebyawandiikibwa n’eyongera okumukaluubirira ebitagambika; so ng’ate enjigiriza ye eno empya newakubadde nga yamwerabiza Bayibuli, nga temuyamba kuzzaawo kye yali amanyi, bwatyo n’asigala nga si mumativu. Wabula yeeyongera okugenda mu maaso ng’agoberera ebirowoozo bye bino okumala emyaka kkumi n’ebiri. Bwe yaweza emyaka asatu mu ena egy’obukulu, Omwoyo Omutukuvu n&pos;amulumiriza nnyo mu mutima gwe, afumiitirize ku bulamu bwe ng’omwonoonyi. Yeesanga nga mu kukkiriza kwe okwo okwasooka tafunyeemu ssanyu eriyinza okumusussa entaana. Ng’alaba ebiseera bye eby’omu maaso bijjudde ekizikiza n’okuwuubaala. Era bwe yali ayogera ku nsonga eno oluvannyuma yagamba bwati: “Ebirowoozo byange byonna nga bindaga kuzikirira kwokka, era nga bwe nnekebera nga ndaba nsanaawo. Eggulu nga liringa oluggi Iw’ekikomo ku mutwe gwange, era n’ensi ng’eringa ekyuma wansi w’ebigere byange. Okubeerawo emirembe gyonna - kitegeeza ki? Ate okufa - ye lwaki weekuli? Gye nnakomanga okwebuuza, gye nnakomanga okutabuka. Era gye nnakomanga okulowooza, ebirowoozo byange gye byakomanga okusaasaana. Nnagezangako ndekeraawo okulowooza, naye nga siyinza kwefuga. Nnafuuka ekisekererwa, naye nga siyinza kumanya nsonga Iwaki. Nnatandika okutokooterera n’okwemulugunya, naye nga simanyi gwe nnemulugunyiza. Nnakitegeera nga waliwo obuzibu, naye nga simanyi ngeri ki wadde oba wa gye nnyinza okubutereereza. Nnatandika okukungubagira mu mutima, kyokka nga siraba ssuubi.” EE 204.1
Yeeyongera okubeera mu mbeera eno okumala emyezi egiwerako. Agamba, “Okutuusa lwe nnalaba ekifaananyi ky’Omulokozi mu birowoozo byange. Nga kirabika nti waliyo omuntu omulungi era ajjudde okusaasira oyo atangirira okwonoona kwafife, era naatulokola okuva mu musango gw’ekibi. Amangu ddala ebirowoozo byange ne bindaga omuntu oyo okuba nga ajjudde okwagala, nange ne mpulira nga nnyinza okwesuula mu mikono gye, era mwesige olw’ekisa kye. Naye ne nfuna ekibuuzo: Nkakasa ntya nti omuntu oyo gyali? Nga ndaba sirina walala wonna we nnyinza kukakasiza nti waliwo Omulokozi, oba newakubadde ekibaawo oluvannyuma lw’okufang’ogyeko Bayibuli.... EE 204.2
“Nnalaba nga Bayibuli yokka y’endaga Omulokozi gwe nnetaaga; era ne nnewuunya okukizuula nga ekitabo “ekitaaluggamizibwa” kirimu emisingi egituukana n’obwetaavu bw’ensi eyagwa. Nnawalirizibwa okukkiriza nti Ebyawandiikibwa bye bibikkula Katonda. Nnabyagala nnyo; era ne nzuula owomukwano Yesu. Omulokozi nnamulaba nga yansingira mu bantu enkumi; EE 204.3
era n’Ebyawandiikibwa, ebyali tebitegerekeka era ebikontana, kaakano nga ye ttabaaza eri ebigere byange era omusana eri ekkubo lyange. Ebirowoozo byange ne biwummula era nga bimativu. Ne nzuula nga Mukama Katonda Iwe Iwazi oluli wakati mu nnyanja ey’obulamu. Bayibuli nga kye kitabo ekisooka mu bye nsoma, era nnyinza n’okugamba nti, nnagiyiga n’essanyu lingi. Nnakizuula nga ekitundu ku yo si kitegezebwangako ko. Ne nnewuunya Iwaki nnali sirabanga bulungi bwayo awamu n&pos;ekitiibwa, ne ntuuka n’okugigaana. Nnagizuulamu byonna omutima gwange bye gwali gwetaaga nga bibikuddwa, era n’eddagala lya buli ndwadde ey’omwoyo. Nnaggwaamu omwoyo ogusoma ebintu ebirala byonna, ne mpaayo omutima gwange gwonna nfune okumanya okuva eri Katonda.” S - Bliss, Memoirs of Wm. Miller, page 65-67. EE 205.1
Miller yayatula mu lwatu okukkiriza kwe mu ddiini gye yali yanyooma. Kyokka mikwano gye abakaafiiri nga tebayinza kukigumiikiriza obutamuwakanya nga bakozesa ebigambo ye kennyini bye yakozesanga mu kuvumirira obuyinza bwa Katonda mu kuwandiisa Ebyawandiikibwa. Naye teyayinza kubaanukula mu kaseera ako; kyokka yabagamba nti Bayibuli bw’eba nga y’etegeeza Katonda, eteekwa okuba nga tekoontana; era nga yaweebwa omuntu olw’okumuyigirizanga, era naye agiyingize mu kutegeera kwe. Yamalirira okweyongera okuyiga Ebyawandiikibwa, era azuule mu yo buli nsonga yonna erabika nga ekontana oba nga teyinza kuluŋŋamizibwa. EE 205.2
Yafuba nnyo okweggyamu endowooza zonna, era n’afuna n’ebitabo ebinnyonnyola agerageranye ekyawandiikibwa ku kyawandiikibwa ng’akozesa obunnyonnyola n’enkuluze. Yasomanga mu ngeri eyabulijjo naye nga nteeketeeke; ng’atandikira ku kitabo kya Olubereberye, naasoma lunyiriri ku lunyiriri, era yasomangako kitono bwatyo amakulu ne gagenda nga geebikkula mpola mpola okutuusa Iwe yawulira nga takyakwatibwa nsonyi. Kyamufuukira empisa okugerageranyanga ensonga yonna gye yazuulanga nga tetegerekeka ku lunyiriri olulala olwogera ku nsonga eyo. Nga buli kigambo kirekerwa amakulu gaakyo ku nsonga eyo eyigibwa, era nga byayize bwe bikwatagana n’ebyawandiikibwa ebisoose, olwo ng’obuzibu bugonjoddwa. Bwatyo buli Iwe yasisinkananga ekyawandiikibwa ekizibu okutegeera, ng’afuna okunnyonnyoka okuva mu kitundu ky’ekyawandiikibwa ekirala. Gyeyakoma okugiyiga ko n’okusaba ennyo afune okutangaazibwa, gyeyakoma okweyongera okutangaala mu ebyo ebyali tebitegerekeka bulungi. Ebigambo by’omuwandiisi wa Zabbuli ne bimutuukirirako nti: “Ebigambo byo nga bigguliddwawo bireeta omusana, era biwa okutegeera abatalina magezi.” Zabbuli 119: 130. EE 205.3
Yasinga okusoma ebitabo omuli ekya Danieri ne Okubikkulirwa, era ng’akozesa enkola yeemu mu kunnyonnyola, naazuula ekyasinga okumusanyusa - bwe bubonero obw’obunnabbi okuba nga butegerekeka bulungi. Yalaba, nga obunnabbi nga bwe buzze butuukirizibwa, buzze butuukiririra ddala nga bwe bwalanganga; era nga ebifaananyi byonna ebyenjawulo, obubonero, engero, n&pos;ebyefanaanyiriza byonna, nga binnyonnyolebwa mu nnyiriri eziddako oba ebigambo ebikozesebwa ne bitaggululwa mu byawandiikibwa ebirala, era nga bwosoma biba bitegerekeka bulungi. “Bwentyo ne nkakasa, nga Bayibuli erimu amazima agagenda geebikkula, mu ngeri ennyangu era etegerekeka, agayamba omutambuze, newakubadde n’oyo aba talina magezi, aleme okubula.” - Bliss, page 70. Yafuna empeera olw’amazima ge EE 205.4
yayiganga buli Iwe gaagendanga geegatta, era mpola mpola n’avumbula obunnabbi obukulu mu Bayibuli. Bamalayika okuva mu ggulu ne baluŋŋamyanga ebirowoozo bye n’okumubikkuliranga Ebyawandiikibwa asobole okubitegeera. EE 206.1
Bwe yalaba obunnabbi nga bwe buzze butuukiriramu eyo emabega n’asinziira okwo okulaba obulala obukyatuukirira mu maaso, naamatira nga endowooza eyaliwo etegeeza nti obufuzi bwa Kristo obwomwoyo okufugira emyaka olukumi ensi eno enkomerero nga tennatuuka - teyali mu kigambo kya Katonda. Enjigiriza eno esonga ku myaka olukumi egy’obutuukirivu n’emirembe Kristo nga tannakomawo mu buntu, ng’eyongezaayo wala entiisa ey’olunaku Iwa Katonda. Naye, newakubadde ng’esanyusa okuwulira, ekoonagana n&pos;enjigiriza ya Kristo era n’ey’abayigirizwa be abaategeeza nti bireke bikulire wamu, eŋŋaano ennungi n’ey’omunsiko okutuusa olunaku olw&pos;amakungula, ye nkomerero y’ensi; nga “abantu ababi n’abeetulinkirira balyeyongera okuyitiriranga mu bubi;” era nga “mu nnaku ez’oluvannyuma ebiro eby’okulaba ennaku birijja;” era nga obwakabaka bw’ekizikiza bwakweyongera okutuusa Mukama wafTe lw&pos;alikomawo omulundi ogwookubiri abusaanyewo n’omukka ogw’omu kamwa ke, era gwalizikiriza n’okulabisibwa kw’okujya kwe. Matayo 13: 30,38^41; 2Timoseewo 3: 13, 1; 2Abssessalonika2: 8. EE 206.2
Ekkanisa y’abatume teyayigirizaako ku njigiriza eno ey’ensi okukyusibwa yonna ne Kristo okutugira mu mwoyo. Era n’Abakristaayo abasooka tebagimanya okutuusa wano ku ntandikwa y’ekyasa eky’ekkumi n’omunaana. Okufaananako n’ensobi endala nnyingi, nayo ebyagivaamu byali bibi byereere. Ng’eyigiriza abantu okulaba okukomawo kwa Mukama nga kuli wala nnyo eyo mu maaso era ng’ebaziyiza okussaayo omwoyo eri obubonero obulangirira okulabika kwe. Ng’ebayingizaamu endowoozo ey’okwegumya n’okulowooza nti bali bulungi: endowooza etalinaako musingi era bangi ne bagayaaririra okweteekateeka okusaanidde balyoke basisinkane Mukama waabwe. EE 206.3
Miller yazuula nga Ebyawandiikibwa biyigiriza mu ngeri ennyangu era etegerekeka nti Kristo waakukomawo mu buntu. Pawulo agamba: “Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’okwogerera waggulu n&pos;eddoboozi lya malayika omukulu n’ekkondeere lya Katonda.” 1 Abasessalonika 4:16. Era n’Omulokozi agamba: “Baliraba Omwana w’omuntu ng’ajja ku bire eby’eggulu n’amaanyi n’ekitiibwa ekinene.” “Ng’okumyansa bwe kuva ebuvanjuba, ne kulabikira ebugwanjuba; bwe kutyo bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu ” Matayo 24: 30, 27. Waakuwerekerwako eggye lya bamalayika ab’omu ggulu. “Kubanga Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye.” Matayo 25: 31. “Era alituma bamalayika n’eddoboozi ddene ery’ekkondeere, nabo balikuŋgaanya abalonde be.” Matayo 24: 31. EE 206.4
Abafu balizuukizibwa mu kujja kwe, n’abatuukirivu abalamu balifuusibwa. “Tetulyebaka fenna,” Pawulo bw’agamba, “naye fenna tulifuusibwa, mangu ago nga kutemya kikowe, akagombe ak’enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n’abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa. Kubanga oguvunda guno kigugwanira okwambala obutavunda, n’ogufa guno okwambala obutafa.” l Abakkolinso 15: 51-53. Era mu bbaluwa ye eri Abasessalonika, bwe yamala okubannyonnyola engeri Mukama waffe bw’alikomawo, agamba: “N’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka EE 206.5
tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama wafte mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama watt&pos;e ennaku zonna.” 1 Abasessalonika 4: 16, 17. EE 207.1
Okutuusa Kristo ye kkennyini ng’akomyewo nate, abantu be Iwe baliyingira obwakabaka bwe. Omulokozi yagamba nti: “Omwana w’omuntu bw’alijjira mu kitiibwa kye ne bamalayika bonna nga bali naye, bw’alituula ku ntebe ey’ekitiibwa kye: n’amawanga gonna galikuŋŋaanyizibwa mu maaso ge; naye alibayawulamu ng’omusumba bw’ayawulamu endiga n’embuzi: endiga aliziteeka ku mukono gwe ogwa ddyo, naye embuzi ku mukono gwe ogwa kkono. Awo Kabaka aligamba abali ku mukono gwe ogwa ddyo nti Mujje, mmwe Kitange be yawa omukisa musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku kutonda ensi.” Matayo 25: 31-34. Twesomeddeko nafte ne tulaba Ebyawandiikibwa nga bwe byogera nti Omwana w’omuntu bw’alijja, abafu balizuukizibwa obutavunda, n’abalamu balifuusibwa. Bwe balimala okukyusibwa, olwo Iwe balisaanyizibwa okusikira obwakabaka bwabwe; kubanga Pawulo agamba: “Omubiri n’omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda; era okuvunda tekusikira butavunda.” 1 Abakkolinso 15: 50. Omuntu ng’akyali mu mubiri guno afa, avunda; naye obwakabaka bwa Katonda tebuvunda, bubeerera emirembe gyonna. N’olwekyo omuntu tayinza kuyingira bwakabaka bwa Katonda n’omubiri gwe guno. Naye Yesu bw’alikomawo, y’aligemulira abantu be obutafa; era abayite basikire obwakabaka bwe babadde balindirira okuba abasika okutuusa ne leero. EE 207.2
Ebyawandiikibwa bino awamu n’ebirala ne byongera okukakasa Miller ku ebyo eby’okubaawo nga bwe byali bisuubirwa nti byakubaawo Kristo nga tannakomawo, omuli obufuzi bw’obwakabaka obwemirembe n’okuteekawo obwakabaka bwa Katonda ku nsi eno nti, byakubaawo oluvannyuma lw’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. Ekirala, obubonero bwonna obw’ebiseera awamu n’embeera ensi mw’eri nga bikwataganira ddala n’obunnabbi obwogera ku nnaku ez’oluvannyuma. Yawalirizibwa okufundiikira, olw’ebyo bye yayiga okuva mu byawandiikibwa, nga ekiseera ekyaweebwayo ensi eno okweyongera okubeerawo nga bw’eri nti, kinaatera okutuuka ku nkomerero y’akyo. EE 207.3
“Ensonga endala eyakwata ennyo ku birowoozo byange,” agamba, “ye y’Ebyawandiikibwa ne bye byogerako nga bwe bigenda byeddiriŋŋana.... Nnakizuula nga byonna ebyalangibwanga, era ne bituukirira, byabeerangawo mu biseera ebigere. Emyaka ekikumi mu abiri okutuuka ku mataba (Olubereberye 6: 3); ennaku omusanvu ezaakulembera amataba, awamu ne nnaku amakumi ana ezaalangibwa enkuba okutonnya (Olubereberye 7: 4); emyaka ebikumi ebina egy’abazzukulu ba Ibulayimu okuba abagenyi mu nsi y’e Misiri (Olubereberye 15: 13); ennaku essatu ez’ebirooto by’omusenero n’omufumbiro wa kabaka w’e Misiri (Olubereberye 40: 12-20); emyaka omusanvu egya Falaawo (Olubereberye 41: 28- 54); emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu (Okubala 14: 34); emyaka esatu n’ekitundu egy’ekyeya n’enjala (1 Bassekabaka 17: 1) [laba ne Lukka 4: 25;]... emyaka ensavu nga bali mu bunyage (Yeremiya 25: 11); ebiseera omusanvu ebya Nebukadduneeza (Danieri 4: 13-16); ne ssabbiiti omusanvu, ssabbiiti enkaaga mu ebbiri, ne ssabbiiti emu, zonna awamu ze ssabbiiti ensanvu ezaalagirwa eri Abayudaaya (Danieri 9:24- 27), - bino byonna ebyalangibwa okubeerawo mu biseera ebyo bwali bunnabbi, era ne butuukirira nga bwe bwalangibwa.” - Bliss, pp 74, 75. EE 207.4
N’olwekyo, bwe yeeyongera okuyiga Bayibuli era n’azuula n’obunnabbi obulala obulaga ebiseera, okusinziira nga ye bwe yabutegeera, nti butuukira ddala ku kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, n’atayinza kubuyisaako maaso wabula nti “bye biseera ebyalagibwa,” Katonda by’abikkulidde abaddu be. “Eby’ekyama,” Musa agamba, “biba bya Mukama Katonda wafife: naye ebibikkuliddwa biba byaffe era bya baana baffe emirembe gyonna.” Era Mukama agamba okuyita mu nnabbi Amosi nti, “taliiko ky’alikola wabula ng’abikkulidde abaddu be bannabbi ekyama kye.” Ekyamateeka 29: 29; Amosi 3: 7. Awo nno abayizi ab’ekigambo kya Katonda ne basuubira nga bagumu ddala nti banazuula ekyafaayo ekikulu ddala eky’okubaawo mu byafaayo by’omuntu nga kiragiddwa bulungi okuyita mu Byawandiikibwa ebyamazima. EE 208.1
“Olw’okubanga nnali mukakafu ddala,” Miller agamba, “nti buli Ekyawandiikibwa kyonna ekirina okuluŋŋamya kwa Katonda kigasa” (2Timoseewo 3: 16); nga tekyaleetebwa lwa kwagala kwa bantu, naye abantu baawandiikanga nga bakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu (2Peetero 1: 21), era nga byawandiikibwa “olw’okutuyigirizanga ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira okw’okugumiikiriza n’olw’okusanyusibwa kw’Ebyawandiikibwa, ne siyisa maaso ku biseera nga bwe byalangibwa mu Bayibuli kubanga kye kitundu ku kigambo kya Katonda, era tuvunaanyizibwa okubirowoozaako ennyo, ng’era n’ebyawandiikibwa ebirala byonna. N’olwekyo ne nkirowooza nga bwe nfuba okumanya Katonda by’asiimye okutumanyisa olw’ekisa kye, kiba kinkakatako obutayisa maaso ku bunnabbi bw’ebiseera.” Bliss-page 75. EE 208.2
Obunnabbi obwalabika ng’obusinga okubikkula ekiseera ky’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri bwe bwo obuli mu Danieri 8: 14: “Birituusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu; awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Bwe yakozesa etteeka lye ery’Ebyawandiikibwa okwennyonnyola byokka, Miller naakimanya nga olunaku mu bunnabbi Iwenkanankana mwaka (Okubala 14: 34; Ezekieri 4: 6); naakiraba nga ekiseera eky’ennaku 2300 ez’obunnabbi, oba emyaka 2300, nga kya kweyongerayo okusukka enkomerero y’ekiseera ekyaweebwa Abayudaaya, bwekityo nga tekyogera ku kifo ekitukuvu eky’Abayudaaya. Era yakimanya, kubanga bwe batyo bwe baakimanyanga nti mu mulembe guno ogw’Obukristaayo, ensi kye kifo ekitukuvu, kwe kukitegeera nti awatukuvu okulongoosebwa nga bwe kyogerwa mu Danieri 8: 14 ayogera ku kulongoosa nsi n’omuliro ku olwo Kristo ng’akomawo omulundi ogwookubiri. Olwo, singa ekiseera ekituufu kizuulwa eky’ennaku 2300 we zaatandikira, n’afundukira ng’agamba nti ekiseera Kristo okukomawo omulundi ogwookubiri kyangu okukakasibwa. OIwo ekiseera ekiribikkula entikko ya byonna, ekiseera ebintu byonna bye tulaba kati, “omuli amalala n’okwemanya naye omutali makulu, obubi n’okunyigiriza, lwe birituuka ku nkomerero yaabyo;” ku olwo ekikolimo lwe kiriggibwa ku nsi, okufa ne kuzikirizibwa, empeera n’eweebwa abaddu ba Katonda, bannabbi n’abatukuvu n’abo bonna abatya erinnya lye, n’okuzikiriza abo aboonoona ensi.” - Bliss, page 76. EE 208.3
Miller ne yeyongera okwetegereza ennyo obunnabbi, omuli okusula ng’atunula n’ennaku eziwera ng’ali mu kuyiga ekintu ekikulu ennyo ekyamukwata omugamba. Teyayinza kuzuula ntandikwa ya kiseera kya nnaku 2300 mu ssuula ey’omunaana eya Danieri; ne malayika Gabulyeri, newakubadde nga naye yalagirwa okumanyisa EE 208.4
Danieri okwolesebwa, yamutegeezaako kitundu. Danieri bwe yabikkulirwa ekiseera ky’okuyigganya ekyali eky’okutuuka ku kkanisa mu kwolesebwa, n’aggwamu amaanyi. Nga tayinza kugumiikiriza, ne malayika naamuleka okumala akaseera. Danieri agamba, “ne nzirika, ne ndwala okumala ennaku si nnyingi.” “Ne nneewuunya ebyanjolesebwa,” bwagamba, “naye mpaawo eyabintegeeza.” EE 209.1
Kyokka Katonda yategeeza omubaka we nti: “Tegeeza omusajja oyo ebimwolesebwa.” Ekiragiro nga kirina okutuukirizibwa. Malayika olw’obuwulize bwe, naakomawo oluvannyuma okutegeeza Danieri nti: “Kaakano nfulumye okukugeziwaza mu kutegeera;” “kale lowooza ekigambo ekyo, otegeere bye wayolesebwa.” Danieri 8: 27, 16; 9: 22, 23, 25- 27. Mu ssuula ey’omunaana mwalimu ensonga enkulu emu yokka eyali tennyonnyoddwa mu kusooka, y’eyo ekwata ku biseera - ennaku 2300; n’olwekyo malayika yatandikira ku nsonga eno ey’ebiseera: EE 209.2
“Sabbiiti ensanvu ziragiddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu.... Kale manya otegeerere ddala nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, Omulangira, walibaawo sabbiiti musanvu, era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri, ne kizimbibwa nate, n’oluguudo n’olusalosalo, newakubadde mu biro eby’okutegana. Era sabbiiti nkaaga mu bbiri bwe ziriggwa, oyo atukibwako amafuta n’alyoka azikirizibwa, so taliba na kintu.... Era aliragaana endagaano enywevu n’abangi okumala sabbiiti emu: ne mu kitundu kya sabbiiti alikomya saddaaka n’ekitone.” EE 209.3
Malayika yali atumiddwa eri Danieri okukola ensonga emu yokka eyamangu, kwe kumunnyonnyola okwolesebwa okwali mu ssuula ey’omunaana - olunyiriri olwogera ku biseera - “okutuusa amakya n’amawungeera enkumi bbiri mu bisatu; awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Bwe yamala okutegeeza Danieri “ategeere ekigambo ekyo era alowooze ebimwolesebwa,” ebigambo bya malayika ebisookerwako bigamba nti: “Sabbiiti ensanvu ziragiddwa abantu bo n&pos;ekibuga kyo ekitukuvu.” Ekigambo ekiwuunuddwa nti “ziragiddwa” mu makulu amangu oyinza okugamba nti “zisaliddwako.” Sabbiiti ensanvu, ezeenkanankana n’emyaka 490, malayika agamba nti zisaliddwako, naddala ku Iw’Abayudaaya. Naye zisalibwa ku ki? Olw’okubanga ennaku 2300 kye kiseera kyokka ekyogerwako mu ssuula ey’omunaana, kiteekwa okuba nga kye kiseera ekisalibwako e sabbiiti ensanvu; n’olwekyo e sabbiiti ensanvu ze zimu ku nnaku 2300, era nga ebiseera byombi bitandikira wamu. E sabbiiti ensanvu malayika agamba zitandikira ku kiseera kasookanga ekiragiro kifuluma okuzaawo n’okuzimba Yerusaalemi. Olunaku luno olw’ekiragiro bwe luzuulibwa, olwo entandikwa y’ekiseera ekiwanvu eky’ennaku 2300 kikakasibwa. EE 209.4
Mu ssuula ey’omusanvu mu kitabo kya Ezera mwe tusanga ekiragiro. Ennyiriri 12-26. Kikomekkerezebwa kiweebwa Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi, mu 457 B.C. Naye mu Ezera 6:14 kigambibwa nti ennyumba ya Mukama e Yerusaalemi yali etandise okuzimbibwa “ng’ekiragiro bwe kyali ekya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w’e Buperusi.” Bakabaka bano abasatu, abasibuka awamu, abaddamu okunyweza n’okutuukiriza ekiragiro, be balagira ddala entandikwa y’emyaka 2300 egyogerwako mu bunnabbi. Bwe tutwala omwaka 457 B.C., nga kye kiseera ekiragiro Iwe kyatuukirizibwa, okubeera olunaku ekiragiro Iwe kyafuluma, EE 209.5
buli nnyiingo zonna eziri mu bunnabbi bw’ebiseera ebya sabbiiti ensanvu, yaziraba nga zituukirira bulungi. EE 210.1
“Kale manya era otegeere nga kasooka ekiragiro kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku oyo afukibwako amafuta, Omulangira, walibaawo sabbiiti musanvu, era walibaawo sabbiiti nkaaga mu bbiri” - kwe kugamba emyaka 483. Ekiragiro kya Alutagizerugizi kyatandika okukola mu mwaka 457 B.C. Era okuva mu mwaka ogwo, emyaka 483 giba gikoma mu A.D. 27. Obunnabbi obwo bwatuukirira ku nkomerero y’ekiseera ekyo. Ekigambo “Masiya” kitegeeza “eyafukibwako amafuta.” Mu A.D. 27 Kristo yabatizibwa Yokaana, Omwoyo naamufukako amafuta. N’omutume Peetero ayongera okukakasa ensonga eno bwe yagamba nti: “Katonda bwe yamufiikaako amafuta n’Omwoyo Omutukuvu n’amaanyi.” Ebikolwa by’Abatume 10: 38. Era n’Omulokozi ye kennyini yagamba, “Omwoyo gwa Mukama guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu ebigambo ebirungi.” Lukka 4: 18. Bwe yamala okubatizibwa n’ajja e Galiraaya, “ng’abuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda, n’agamba nti ekiseera kituuse.” Makko 1:14, 15. EE 210.2
“Era aliragaana endagaano enywevu n’abangi okumala sabbiiti emu ” E “sabbiiti” emu eyogerwako wano y’esembayo mu sabbiiti ensanvu; kye kiseera eky’emyaka omusanvu ekyaweebwa Abayudaaya. Mu kiseera kino ekitandikira mu A.D. 27 ne kituuka mu A.D. 34, mu kusooka Kristo yennyini, n’oluvannyuma okuyita mu bayigirizwa be baategeeza amawulire amalungi eri naddala Abayudaaya. Omulokozi yalagira abatume be mu kubuulira amawulire amalungi ag&pos;obwakabaka bwa Katonda nti, “Temugendanga mu makubo g’ab’amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by’Abasamaliya; naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez’omu nnyumba ya Isiraeri.” Matayo 10: 5,6. EE 210.3
“Ne mu kitundu kya sabbiiti alikomya saddaaka n’ekitone ” Mu A.D. 31, nga waakayita emyaka esatu n’ekitundu oluvannyuma lw’okubatizibwa, ne bakomerera Mukama waffe ku musaalaba. Yakomya empisa ezaalagirwa ez’okuwangayo saddaaka nga zisonga ku mwana gw’endiga ogwa Katonda ezaakolebwanga okumala emyaka enkumi nnya, bwe yawaayo saddaaka enkulu ku lusozi e Gologosa. Ebyali ebifaananyi kaakano nga bituukiridde, olwo nga kitegeeza nti saddaaka n’ebitone ebyakolebwanga mu kusinza bikomye. EE 210.4
E sabbiiti ensanvu, oba emyaka 490, egyaweebwayo ku lw’Abayudaaya, gyakoma nga bwe tulabye mu A.D. 34. Mu kiseera ekyo, olukiiko lw’Abayudaaya olukulu oluyitibwa Sanhedrin olw’ekikolwa kye Iwakola bwe batta Suteefano n’okuyigganya abayigirizwa ba Kristo, baakakasa nga bwe batayagala njiri. Olwo obubaka obw’obulokozi, olw’okubanga tebukyali bwa ggwanga ddonde lyokka, ne butwalibwa eri ensi yonna. Abayigirizwa olw’okuwalirizibwa okudduka okuva mu Yerusaalemi, “ne bagenda nga babuulira ekigambo.” “Firipo n’aserengeta mu kibuga eky’e Samalira, n’ababuulira Kristo.” Peetero n’akulemberwa ekisa kya Katonda, bwe yaggulirawo oluggi lw’enjiri eri omwami w’ekitongole okuva e Kayisaaliya ayitibwa Koluneeriyo atya Katonda; ne Pawulo omusajja ow’omuliro Kristo gwe yeerondera, n’alagirwa okutwala amawulire amalungi “wala mu b’amawanga.” Ebikolwa 8: 4, 5; 22: 21. ” EE 210.5
Bwebutyo obunnabbi ne butuukiriranga buli nnyiingo yaabwo mu ngeri eyeewunyisa, era n’entandikwa y’e sabbiiti ensanvu n’ekakasibwa okuba nga 457 EE 210.6
B.C. era nga ziggwaako mu A.D. 34. Bw’osonziira ku ebyo, oba tokalubirirwa kuzuula kiseera ennaku 2300 we zikoma. E sabbiiti ensanvu, oba emyaka 490 - olw’okubanga zisalibwa kuva ku nnaku oba emyaka 2300, oba osigaza ennaku oba emyaka 1810 nazo ezirina okutuukirira. Okuva mu A.D. 34, emyaka 1810 gikoma mu 1844. Bwekityo ennaku 2300 eza Danieri 8: 14 ziggwaako mu 1844. Ku nkomerero y’ekiseera ky&pos;obunnabbi buno obukulu, malayika wa Mukama agamba, “awatukuvu ne walyoka walongoosebwa.” Ekyo kye kiseera eky’okulongoosezaamu awatukuvu - ekyali kisuubirwa mu nsi yonna nti kyakubaawo mu kukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri - bwekityo ne kiragibwa. EE 211.1
Miller ng’ali wamu ne banne mu kusooka baalowooza nti ennaku 2300 zaakukoma wakati w’omwezi ogw’omwenda n’ogw’ekkumi n’ebiri, so ng’obunnabbi bwogera wakati wa ogw’okusatu n’ogw’okutaano omwaka ogwo. Endowooza enkyamu eyo yabaleetera okusaalirwa n’okusoberwa olw’okuteekawo ennaku ezo ezaasooka okuba nti ze nnaku Kristo mwasuubirwa okukomerawo omulundi ogwookubiri. Naye kino tekyajjawo nsonga nkulu ey’ennaku 2300 okukoma mu mwaka 1844, era nga n’ensonga ey’ogerwako ey’awatukuvu okulongoosebwa yakubaawo. EE 211.2
Miller bwe yaddamu okuyiga Ebyawandiikibwa nga bwe yakolanga akakase oba nga ddala Katonda ye yamubikkulidde kino, teyalowoozaako n’omulundi n’ogumu okuva ku lubereberye nti alituuka ku kino. Era nga kizibu okwewaana olw’okunoonyereza kw’atuuseko. Kyokka nga obujulirwa bw’ebyawandiikibwa tebuyinzika kugumiikirizika. EE 211.3
Bayibuli yali agisomedde emyaka ebiri miramba, era mu mwaka 1818, n’akakasa amazima amakulu nga mu bbanga Iya myaka abiri mu etaano, Kristo waakulabika okujja okununula abantu be. “Siyinza na kwogera,” Miller agamba, “ku ssanyu eryajjula omutima gwange buli Iwe nnalowoozanga ku ebyo eby’okubaawo amangu wadde omuliro ogwali mu mmeeme yange nze okwetaba mu ssanyu ly’abanunule. Bayibuli nga ngiraba ng’ekitabo ekiggya buli lunaku. Mazima nga kintabuli kya ssanyu; byonna bye nnali sitegeera bulungi, eby’ekyama oba ebitategerekeka mu bye biyigiriza, nga biweddewo olw’omusana ogweyongeranga okwaka nga guva mu mpapula ez’omuwendo; hmm, ng’amazima gaali ga muwendo mungi nnyo gye ndi! Byonna ebikontana bye nnalabanga mu kigambo nga bigenze; era newakubadde nga waaliwo ebitundutundu bingi bye nnali sinamatirira ddala ne nnyongera okubitegeera mu bujjuwu olw’omusana ogwasibukanga mu byo ne gumulisa ebirowoozo byange ebyali bikutte ekizikiza, ne mpulira essanyu olw’okusomanga Ebyawandiikibwa mwe nnali sirowooza nti mulimu bye nnyinza okuyiga.” - Bliss, page 76, 77. EE 211.4
“Bwe nnamanya nga ebintu ebikulu bwe bityo eby’okubaawo amangu nti byalangibwa mu Byawandiikibwa era nga byakutuukirira mu bbanga si ddene, ne nfuna ekibuuzo ekikulu ddala ekyajja mu maanyi amayitirivu - bwe buvunaanyizibwa bwange eri ensi, nga ndowooza ku ebyo ebituuse ku bulamu bwange.” - Ibid., page 81. Nga tayinza wabula okuwulira nti buvunaanyizibwa bwe okutegeeza ku balala ku musana ye mwene gwe yafuna. Era yasuubira nga walibaawo abatatya Katonda abalimuwakanya, kyokka nga mugumu olw’Abakristaayo bonna abanaasanyukira amawulire g’okusuubira okusisinkana Omulokozi gwe baayagala edda. Kye yasinga okutya kwe kuba nti mu ssanyu eringi ery’okusuubira okulokolebwa mu kitiibwa, era nga kwakubaawo mangu nnyo, nga bangi bayinza okukkiriza naye EE 211.5
ne bateetegereza Byawandiikibwa mu ngeri ennungi olw’amazima ge byogerako. Bwatyo ne yeesisiggiriza okwogera, si kulwa nga ye ye mukyamu n’anenyezebwa olw’okukyamya abalala. Bwatyo nnaddiŋŋananga okwetegereza obukakafu bw’ebyo bye yali atuuseeko n’okugonjoola buli kakunizo konna akeeyolekanga mu birowoozo bye. Yakizuula nga omusana gw’ekigambo kya Katonda gumalawo okuwakanyizibwa kwonna, ng’olufu bwe luggwaawo enjuba ng’evuddeyo. Ekyo yakikolera emyaka etaano naakakasiza ddala obutuufu bw’ensonga ye. EE 212.1
Ne kaakano obuvunaanyizibwa bw’okumanyisa ku balala amazima ye gakkiriza nti Ebyawandiikibwa bigayigiriza bulungi ne kweyongeramu amaanyi. “Bwe nnali nga ndi mu kulowooza ku mulimu gwange,” Miller agamba, “ne mpulira eddoboozi nga liddiŋŋana mu matu gange nti, ‘Genda otegeeze ensi akabi akajoolekedde.’ Era olunyiriri luno nga nduwulira buli kaseera: lBwe ŋŋambanga omubi nti Ai omubi, tolirema kufa, n’otoyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye; omuntu oyo omubi alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. Era naye bw’olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n&pos;atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naye ggwe ng’owonyezza emmeeme yo.’ Ezeekyeri 33: 8, 9. Nga muli mpulira nti singa omubi alabulibwa, bangi bandyenenyezza; era nga singa tebalabulibwa, mba nvunaanyizibwa omusaayi gwabwe.” - Bliss, page 92. EE 212.2
Yatandika okutegeeza ku balala ye nga bw’alaba ensonga buli Iwe yafunanga omukisa naye mu kyama, nga muli bw’asabira abasumba abamu bategeere amaanyi gaabwe naye abeegatteko mu kusasaanya amawulire ago. Naye nga tayinza kujjawo birowoozo bimulumiriza nti avunaanyizibwa okulabula ku balala. Ebigambo nga buli kiseera bimulumiriza: “Genda otegeeze ensi; ndikuvunaana olw&pos;omusaayi gwabwe.” Ne wayita emyaka mwenda, naye ng’awulira omugugu ku mmeeme ye, okutuusa mu 1831 Iwe yayatula omulundi gwe ogusooka ensonga ekwata ku kukkiriza kwe. EE 212.3
Nga Erisa bwe yayitibwa n’aleka emigogo gy’ente ezirima n’asuulibwako omunagiro ogw’obuweereza nga nnabbi, ne William Miller bwe yayitibwa n&pos;alekawo ebyuma ebirima n’atandika okubikkulira abantu ebyama by’obwakabaka bwa Katonda. Yagutandika yenna ng’ajugumira, n’ayigirizanga abamuwuliriza, mutendera ku mutendera, nga bw’abayisa mu biseera obunnabbi nga bwe bubyogerako okutuusa ku kulabika kwa Kristo omulundi ogwookubiri. Ne yeyongeranga okufuba olw’okuzzibwangamu amaanyi buli lwe yalabanga abantu bangi nga basanyukira ebigambo bye. EE 212.4
Abooluganda mu kkanisa mu be yali ayitiddwa Katonda okwogerera ne baamusabanga akkirize okwogerera mu lwatu, ne Miller nakkiriza. Kaakano yali aweza emyaka ataano egy’obukulu, nga tamanyiridde kwogerera mu bantu, era ng’awulira tasaanidde kukola mulimu guno. Naye mu kusooka yafuna nnyo omukisa mu ngeri eyeewunyisa emyoyo gy’abantu bangi bwe baafuna obulokozi. Mu kubuulira kwe okwasooka abantu bangi baazukusibwa era amaka agawera kkumi n’asatu ng’ojjeeko abantu babiri bokka, ne bakyusibwa. Yawalirizibwa agende ayogereko mu bifo ebirala, era kumpi mu buli kifo gye yayogereranga ne wabaawo okudda obuggya okw’omulimu gwa Katonda. Aboonoonyi bangi ne bakyusibwa, Abakristaayo ne beerongoosa, abakafiiri n’abasinza Katonda ow’amagezi gaabwe ne bakkiriza amazima ga Bayibuli n’Obukristaayo. Abamu ku baawa obujulizi EE 212.5
olw’okuweereza kwe baagamba: “Okubuulira kwe kukwata ku birowoozo..- Ibid., 138. Okubuulira kwe kwasinga nnyo okusitula ebirowoozo by’abantu babizze ku nsonga enkulu ez’eddiini n’abantu okwekebera engeri gye baali bayingiddwamu omwoyo gw’okwagala ensi n’amasanyu g’omulembe guno. EE 213.1
Kumpi mu buli kibuga ng’abakyufu bali eyo mu makuni, n’awalala mu bikumi, abaakyuka olw’okubuulira kwe. Ne mu bifo ebirala, amakanisa g’Abapulotestanti okuva kumpi mu buli nzikiriza ne bamuggulirawo enzigi, era nga n’abamuyitanga okugenda okubuulira be basumba okuva mu makanisa ag’enjawulo. Yali yasalawo obutagenda kuweereza wantu wonna okutuusa ng’ayitiddwa mu butongole, kyokka era nga tayinza kutuukiriza newakubadde ekitundu ku kuyitibwanga kwe yafunanga buli kakedde. Abo abatakkirizanga ndowooza ye ku kiseera ekituufu eky’okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, waakiri bakkirizanga nti Kristo anaatera okudda era nga kibagwanira okweteekateeka. Mu bibuga ebimu ebinene ne wabaawo ekyukakyuka nnene. Abatunzi b’omwenge ne baabulira obusuubuzi bwabwe era n’ebinywero ne bifuulibwa amakuŋijaaniro; ne bamenya ebifo omukubirwa zzaala; abakaafiri, abasinza Katonda ow’amagezi gaabwe, ab’enjigiriza ya Jjangu nga bw’oli, n’abakyakaze bonna ne bazzibwa buggya, nga n’abamu tebayingirangako mu masinzizo okumala emyaka egiwera. Ne bazzaawo okusabanga wakati mu biseera eby’enjawulo mu makanisa ag’enjawulo ne mu bifo eby’enjawulo kumpi buli ssaawa eyitawo, abasuubuzi nga bakuŋŋaana mu ssaawa ez’ettuntu olw’okusaba n’okutendereza. Nga toyinza kulaba bantu beejalabya, wabula okulaba abeewombeeka. Okufaananako n’Abazza b’ekkanisa abaamusooka, omulimu gwe naye nga gugenderera kukakasa abo abategeera n’okubazuukusa ebirowoozo okusinga okubacamuukiriza. EE 213.2
Mu 1833 Miller naaweebwa olukusa ekkanisa y’Ababaputisti mwe yalina obwa memba okubuulira mu butongole. N’abasumba abalala bangi okuva mu nzikiriza ye ne basemba okuweereza kwe, era ne bamutongoza agende mu maaso n’okuweereza. Yatambula ng’abuulira obutakoowanga, newakubadde nga yali takkirizibwa kusukka naddala amasaza omuli erya New England ne Middle States. Yeeyimirizangawo yekka mu ŋgendo ez’enjawulo ze yatambulanga okugenda okuweereza okumala emyaka mingi, so era newakubadde oluvannyuma teyaweebwanga bimumala okugendanga eyo gye yayitibwanga. Ng’ogyeko okuba nti yakozesanga esente okugenda okubuulira, naye era yakosebwanga nnyo olw’okubanga teyalina zimumala, bwatyo n’obugagga bwe ne bugenda nga bukendeera mu kiseera kino. Yalina abaana abangi kyokka nga bakekkereza nnyo era abakozi ekimala, bwe batyo ne bayimirizibwangawo ennimiro ye. EE 213.3
Mu 1833 nga waakayita emyaka ebiri gyokka kasookanga atandika okubuulira mu Iwatu eby’okukomawo kwa Kristo okuli okumpi, ne walabika akabonero akalala akasembayo mu obwo Omulokozi bwe yalanga obuliraga okukomawo kwe nate. Yesu yagamba, “Emmunyeenye zirigwa okuva mu ggulu.” Matayo 24: 29. Ne Yokaana mu kitabo kya Kubikkulirwa n’agamba, bwe yatunula ng’ali mu kirooto n’alaba obubonero obuliranga olunaku Iwa Katonda nti: “M’emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi, ng’omutiini bwe gusuula amagu gaagwo nga gunyeenyezebwa empewo ennyingi” Okubikkulirwa 6: 13. Obunnabbi buno bwatuukirira mu ngeri eyeewunyisa emmunyyenye bwe zaagwa ng’enkuba mu mwezi gwa Novemba EE 213.4
nga 13, 1833. Luno lwe lunaku olukyamanyiddwa mu buwandiike emmunyeenye lwe zaalabika nga zigwa mu bungi mu ngeri eyeewunyisa; “obwengula bwonna okwetoloola Amerika abantu beetala okumala essaawa nnya! Waali tewalabikangawo kyewuunyo ng’ekyo mu ggwanga lino bukyanga libaawo, abantu bonna nga basamaalirira eno ng’ekibiina ekimu bwe kitunula enkaliriza ate abalala bwe bajjudde entiisa n’okwogera waggulu.” “Ekitiibwa n’obulungi ebyalabika ku olwo bikyali mu birowoozo by’abasinga obungi.... Enkuba tetonnyangako mu bungi okwenkana emmunyeenye nga bwe zaagwa ku olwo; ng’ebuvanjuba, ebugwanjuba, ebukiika kkono n’ebukiika ddyo, wonna nga kye kimu. Oyinza okugamba nti eggulu lyonna nga liri mu kutambula.... Ekyalabika ku olwo kyabuna Amerika y’Obukiikakkono yenna nga bwe kinnyonnyolwa Professor Silliman mu katabo ke.... Okuviira ddala essaawa munaana ez’ekiro okukeesa obudde obwengula nga bwetadde bulungi era nga tekuli bire naye ng’eggulu libikkiddwa okumasamasa kw’ebyaka mu bwengula bwonna.” - R. M. Devens, American Progress; oba, The Great Events of the Greatest Century, ch. 28, par. 1-5. EE 214.1
“Tewali lulimi luyinza kunnyonnyola kitiibwa ekyalabika ku lunaku olwo;... era tewali n’omu ayinza okutegeerera ddala ekitiibwa ekyaliwo bw’aba nga teyakirabako. Nga kiringa eggulu lyonna eryakuŋrjaanira mu kifo ekimu waggulu mu bwengula bw’omuntu omu, olwo emmunnyeenye ne zitanula okugwa ng’okumyansa nga zigwa ku buli luuyi lwa bwengula naye nga teziggwaayo - ne ziwandagala nga zigenda zeegoberera okufaanana eziri ku mukolo.” - F. Reed, Christian Advocate and Joumal, Dec. 13, 1833. “Nga toyinza kwenkanyankanya kifaananyi kituufu eky’omuti omutiini nga gusuula amagu gaagwo kubanga gukubiddwa omuyaga ogw’amaanyi.” The Old Countryman, in Portland Evening Advertiser, Nov. 26, 1833. EE 214.2
Mu lupapula lwa New York olumannyiddwa nga Joumal of Commerce olwa nga Novemba 14, 1833, mwalimu ekiwandiiko ekyayogera ku kyewunyo kino, era nga kigamba bwekiti: “Ndowooza nga tewali kagezimunnyo wadde omuyivu eyali awandiise ku kino ekyabaddewo olunaku lw’eggulo nga busasaana. Naye nnabbi yakyogerako nga kyakubaawo ng’ebula emyaka lukumi lu lunaana, nga singa tukaluubirirwa okutegeera emmunyeenye okugwa nti kitegeeza kugwa kwa mmunyeenye,... mu makulu g’ennyini nti mazima kisobokera ddala.” EE 214.3
Bwekatyo akabonero akasembayo akalanga okujja kwe bwe kaalabika Yesu ke yayogerako ng’agamba abayigirizwa be nti: “Bwe mulaba ebigambo ebyo byonna, mutegeere nti ali kumpi, ku luggi.” Matayo 24: 33. 01uvannyuma lw’obubonero buno, Yokaana yalaba nga waliwo ekiddako amangu ddala, anti ng’eggulu lizingibwako ng’omuzingo gw’ekitabo bwe guzingibwako, ensi ne neeyuyizibwa musisi, ensozi n’ebizinga ne biggibwa mu bifo byabyo, n’ababi ne bajjula entiisa era ne badduka okwekweka okuva mu maaso g’Omwana w’omuntu. Okubikkulirwa 6: 12-17. EE 214.4
Bonna abaalaba okugwa kw’emmunyeenye, baakulaba ng’akabonero akalanga olunaku Iw’omusango olujja, “olunaku olw’entiisa, akabonero kennyini, akabonero ak’okusaasira akalanga olunaku olw’ekizikiza.” - “The Old Countryman,” in Portland Evening Advertiser, Nov. 26, 1833. EE 214.5
Mu ngeri eyo abantu ebirowoozo byabwe bwe byateekebwa ku kutuukirira kw’obunnabbi, era bangi ne bakkiriza obubaka obw’okulabula kw’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. EE 214.6
Mu mwaka 1840 ate ne wabaawo okutuukirira kw’obunnabbi obulala obwasitula ennyo ebirowoozo by’abantu. Ng’ebula emyaka ebiri, Josiah Litch, omu ku basumba abaakulembera okubuulira okukomawo kwa Kristo omulundi ogwookubiri, yawandiika ensonga ezinnyonnyola essuula 9 ey’ekitabo kya Kubikkulirwa, ng’alanga okugwa kw’obwakabaka bwa Ottomani. Okusinziira ye nga bwe yabala, ng’agamba nti bwakuwangulwa “mu 1840, awo nga mu mwezi gw’omunaana;” era ng’ebula ennaku ntono ekyo kituukirire n’awandiika nti: “Bw’olowooza ku kiseera ekyasooka, emyaka 150, nga gy’atuukiririra ddala nga Deacozes tannalinnya ntebe ya bwakabaka oluvannyuma Iw’okukkirizibwa Abatuluuki, era n’emyaka 391, n’ennaku kkumi nattaano, nga gy’atandikira ku nkomerero y’ekiseera ekyasooka, gyakuggwaako nga 11 Agusito, 1840, olwo obwakabaka bwa Ottomani e Konsitantinopo bulyoke bumenyebwemenyebwe. Era nzikiriza ng’ekyo bwe kiriba.” - Josiah Litch, Signs of the Times, and Expositor of Prophesy, Aug. 1, 1840. EE 215.1
Mu kiseera ekyo kyennyini nga bwe yakyogera, Butuluuki ng’eyita mu babaka baayo, yakkiriza eweebwe obukuumi ensi za Bulaaya ezegattidde awamu, bwetyo n’ekkiriza okufugibwa ensi z’Obukristaayo. Kino kyatuukiririra ddala nga bwe kyalangibwa. Era bwe kyategeerwa, abantu bangi ne bakkiriza obutuufu bw&pos;enkola Miller awamu ne banne gye baagoberera mu kunnyonnyola obunnabbi, bwegutyo omugendo gw’abalindirizi ne gweyongeramu amaanyi. Abayivu n’abakulembeze ne beegattira wamu ne Miller, mu kubuulira awamu n’okusasaanya ebiwandiiko bye, era okuva mu 1840 okutuuka mu 1844 omulimu ne gugaziwa. EE 215.2
William Miller yali mugezi ddala, ng’atwala obudde okulowooza n’okuyiga; era okwo n&pos;agattako amagezi g’eggulu bwe yeeyunga ku Nsibuko y’amagezi. Yali muntu eyegombebwa era aweebwa ekitiibwa buli yenna omwesimbu era alina empisa ezisaana. Olw’okubanga yalina omutima ogujjudde ekisa eky’amazima n’obwetoowaze bw’omuntu Omukristaayo ddala awamu n’okwefuga, ng’awuliriza era atuukirikika, ng’awuliriza ebirowoozo by’abalala n&pos;okubisengejja. Ng’agerageranya enjigiriza n’endowooza zonna ku kigambo kya Katonda awatali kucamuukirira kwonna, era olw’okubanga yannyonnyolanga bulungi ensonga era n’okumanyanga ennyo Ebyawandiikibwa, kyamuyambanga okuwakanya ensobi n’okwanikanga obulimba. EE 215.3
Kyokka ekyo tekyamulobera kuwakanyizibwa ng’akola emirimu gye. Era nga n’Abazza b’ekkanisa abaamusooka, amazima ge yabuuliranga tegasanyusanga wadde okwanirizibwa abayigiriza b’eddiini abamanyifu. Bano anti nga tebayinza kunnyonnyola kye bakkiriza nga bakozesa Ebyawandiikibwa, wabula okudda mu ngero n’enjigiriza z’abantu, era n’obulombolombo bwa Bakitaabwe. Naye ababuulizi bano ababuulira amazima g’okukomawo, ng’ekigambo kya Katonda kye bakulembezaamu ng’obujulizi obw’amazima. “Bayibuli era Bayibuli yokka,” nga ye gŋombo yaabwe. Abalabe baabwe okubanga tebamanyanga kukozesa Byawandiikibwa mu mpaka ezaabangawo, baddanga mu kuvuma na kubaŋŋoola. Ne badda mu kuboonoonera obudde, nga babakolokota mu ngeri embi ennyo ng’ogubavunaanwa kwe kulindirira Mukama waabwe mu ssanyu ng’akomawo, n’okufiiba okubeerawo mu bulamu obutukuvu n’okwagazisa abalala beetekereteekere okulabika kwe. EE 215.4
Baafuba nnyo okuwugula ebirowoozo by’abantu babijje ku mulamwa gw&pos;okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. Nga bakitwala ng’ekibi, era ekiswaza, singa oyiga obunnabbi obukwata ku kukomawo kwa Kristo, n’enkomerero y’ensi. Bwetyo enjigiriza eno n&pos;ejungulula okukkiriza mu kigambo kya Katonda. Nga bayigiriza abantu okuba abakaafiri, era bangi ne basalawo okutambula nga bagoberera okwegomba kw’emibiri gyabwe. Olwo abatandisi b’obubi ekibi kyabwe nga bakitadde ku Badiventisti, Abalindirizi. EE 216.1
Miller bwe yafuna abagoberezi abangi omuli abantu abagezi era abawuliriza obulungi, erinnya lye nga lyogerwako kitono ddala mu mpapula z’amawulire ez’Abakristaayo ng’ojjeeko okumuŋŋoola n’okumuvumirira. Ababi bano bwe baagumizibwa abayigiriza b’eddiini, ne batandika okujerega n&pos;okwogera ebigambo ebiwoola, ng’ekigendererwa kwe kumukyayisa abantu ye n&pos;omulimu gwe. Waaliwo omusajja omukulu ow’envi eyasalawo ave mu maka ge agateredde atambule ng&pos;abunyisa kibuga ku kibuga, ne mu buli kabuga ng’akola obutaweera okutegeeza ensi ng’agirabula ku lunaku olw&pos;omusango oluli okumpi kyokka nga yesasulira, n’aŋŋoolebwa era nga bwe bamuyita ow&pos;akajanja, omulimba, omuddu w’okusasaanya eŋŋambo. EE 216.2
Mu kuyitibwanga ow&pos;akajanja era omulimba awamu n&pos;okuvumibwanga, kyamuviiramu okuwakanyizibwa ennyo mu bukambwe, newakubadde ne mu bannamawulire abeebweru w’ekkanisa. “Bw’oyisa bw’otyo omuntu wa Katonda oyo Omuyinza w’ebintu byonna era oyo ayinza okuwoolera eggwanga,” ng&pos;omuwewula n&pos;okumuwemula, abantu b’ensi kye baagamba nti “tekikoma mu kukozesebwa bukozesebwa bakubi ba pokopoko, naye kuba kuzannyira mu kiseera kiri eky’omusango, kuba kwemoolera ku Katonda yennyini, n’okuyisaamu amaaso emmeeza ye esalirwako emusango.” - Bliss, page 183. EE 216.3
Omutandisi w’obubi buno bwonna yayagala si kujungulula bubaka bwa kukomawo kwa Kristo kyokka, wabula n’okuzikiriza omubaka yennyini. Miller yatuukanya amazima g&pos;Ebyawandiikibwa n&pos;emitima gy’abawuliriza be, ng’abanenya olw’ebibi byabwe n&pos;okubagyamu endowooza y’okwematira, wabula ebigambo bye ebyangu era ebisala ne bisombera abalabe. Abekkanisa ye bwe baawakanya ennyo obubaka bwe ne kyongera amaanyi mu bantu abatalina mpisa okwongera okumwonoona; era abalabe be ne basala enkwe okumutta mu kiseera ng’ava mu lukuŋŋaana. Naye bamalayika ba Katonda abaali mu kibiina ky&pos;abantu, omu ku bo ng’ali mu kifaananyi ky’omuntu n’akwata omukono gw’omuddu wa Mukama n’amujjawo mirembe okuva mu batemu. Omulimu gwe nga tegunnaba kuggwa, kyokka Setaani n’ababaka be ne basaalirwa olw’obutatuukiriza kigendererwa kyabwe. EE 216.4
Newakubadde nga waaliwo okuwakanyizibwa kungi, gwo omugendo gw’okulindirira gwali gweyongera okugejja. Abaali mu makumi ne mu bikumi nga kaakano bali mu nkumi. Abantu ne beekwata ebifo mu makanisa ag’enjawailo, naye era oluvannyuma Iw’ekiseera n’abakyufu bano ne bagenda nga bawakanyizibwa okutuusa amakanisa Iwe gaateekawo enkola eziteekesa empisa mu boonoona ebirowoozo bya Miller. Era kino naye yakyanukula bwe yawandiikira Abakristaayo bonna okuva mu makanisa ag’enjawulo, ng’agamba nti enjigiriza ye bw’eba nga erimu ensobi, yandimulagiddwa okuva mu byawandiikibwa. EE 216.5
“Nsonga ki ze tukkiriza,” bwe yabuuza, “ezitaatulagirwa kigambo kya Katonda tuzigoberere, mmwe bennyini kye mukkiriza nti kye kiruŋŋamya okukkiriza kwalTe ne nneyisa yaff&pos;e kyokka? Kiki kye tukoledde ddala kiryoke kitukyayise n&pos;okuvumirirwa mu lujjudde Iw’ekkanisa era ne mu mpapula z’amawulire, mmwe okufuna ensonga ezibatweyawuzaako [ffe Abadventi] mu kkanisa ne mu nkuŋŋaana?” uBwe tuba nga ffe tuli mu nsobi, tusaba mutulage awali ensobi. Mutulage okuyita mu kigambo kya Katonda we tusobezza; tusekereddwa ekimala; okutatuyambye kutegeera nti tuli mu nsobi; ekigambo kya Katonda kyokka kye kiyinza okukyusa ebirowoozo byaffe. Bye twawandiika twamala kubyetegereza awamu n’okusaba oluvannyuma Iw’okufuna obukakafu mu Byawandiikibwa.” - Ibid., page, 250,252. EE 217.1
Okuyita mu mirembe egy&pos;enjawulo Katonda azze ng’alabula ensi okuyita mu baddu be naye ng’okulabula kuno kutwalibwa ng’okutali kutuufu era okutakkirizika. Obubi bw’abantu abaaliwo mu biseera by’amataba bwe bwajjuzza Omwoyo gwa Katonda alyoke aleete amataba ku nsi, yasooka naabategeeza kyalowooza okukola bayinze okufuna omukisa okukyuka okuva mu makubo gaabwe amabi. Ne balabulibwanga okumala emyaka kikumi mu abiri beenenye, baleme okuzikirizibwa n’ekiruyi kya Katonda. Naye obubaka nga babutwala ng’enfumo, era ne batabukkiriza. Emitima gyabwe bwe gyakakanyazibwa olw’obubi bwabwe, ne baŋŋoola omubaka wa Kalonda, nga bayisaamu amaaso okwegayirira kwe, era ne bamuvunaana n&pos;ogw’okulebula. Kiyinzika kitya omuntu omu okuyimirira ng’awakanya abantu bonna ab’amaanyi mu nsi? Obubaka bwa Nuuwa bwe buba nga ddala butuufu, Iwaki ensi yonna si bwe bulaba n’okubukkiriza? Omuntu omu okulumiriza ng’awakanya abaamagezi enkumi! Tebaayinza kwetwalira kulabula okwo wadde okuyingira mu lyato. EE 217.2
Abasekerezi ng’amaaso bagatadde ku butonde, - ku mbeera y’obudde etekyuka, nga batunuulira eggulu eritatonnyesanga ku nkuba, n’emiddo egya kiragala egizzibwa obuggya n’olufu olwagifukirirwanga buli kiro, - nga bwe boogera nti: “Oyo tali mu nfumo?” Ne boogera ku mubuulizi w’obutuukirivu nti agoba mpewo olw&pos;okumunyooma; bo ne basigala nga bwe banoonya amasanyu agagya mu makubo gaabwe amabi okusingako nga ne bwe kyali mu kusooka. Kyokka obutakkiriza bwabwe tebwaziyiza mataba kubaawo nga bwe kyalangibwa. Katonda yagumiikiriza obwonoonefu bwabwe, naabawa ekiseera ekimala basobole okwenenya; wabula mu ntuuko y’ekiseera, yasalira omusango abaajeemera okusaasira kwe. EE 217.3
Kristo yagamba nti era walibaawo obutakkiriza obufaananako nga ne buno mu kiseera ky’okukomawo kwe omulundi ogwookubiri. Nga abantu abaaliwo mu biro bya Nuuwa bwe “bataamanya okutuusa amataba Iwe gajja, ne gabatwala bonna; bwe kutyo,” mu bigambo by’Omulokozi agamba, “bwe kuliba okujja kw’Omwana w’omuntu.” Matayo 24: 39. Abaana ba Katonda bwe baliba beegatta n’ensi, beeyise nga bwe baagala, nga bwe beeyunga mu masanyu ag’omuzizo; amasanyu ag’ensi Iwe galitwalibwa ng’amasanyu g’ekkanisa; ebide nga bikubirwa abaagalana, era nga balaba embeera ey’essanyu n’obuwanguzi okumala emyaka mingi mu nsi - awo, amangu ago, ng’eggulu bwe limyansa, bwe bityo ebirooto n’essuubi lyabwe ery&pos;obulimba bwe biriba. EE 217.4
Nga Katonda bwe yaweereza omuddu we alabule ensi olw’amataba agaali gajja, bwatyo bwe yaweereza ababaka be abalonde bategeeze ensi olw’ekiseera EE 217.5
eky’omusango ekisembedde. Era nga n’abo abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa bwe baaseka nga banyooma okulabula kw’omubuulizi w&pos;obutuukirivu, era bwekityo bwe kyali ne mu biro bya Miller, bangi era ne ku baana ba Katonda nabo bwe baanyooma ebigambo ebirabula. EE 218.1
Naye lwaki obubaka bw’okukomawo kwa Kristo omulundi ogw’okubi tebwayanirizibwa mu makanisa mangi? Eri ababi, Mukama waakujja ababi bakube ebiwoobe n’okusinda; eri abatuukirivu, okujja kwe kujjuddemu ssanyu n’okusuubira. Gano ge mazima agazze gagumya abeesigwa ba Katonda okuyita mu mirembe gyonna; naye Iwaki gafuuse ejjinja “ery’okwesittalwako era olwazi olugwisa” ng’eyagatandika eri abaana be? Mukama waffe yennyini ye yasuubiza abayigirizwa be nti: “Era obanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi.” Yokkana 14:3. Yali oyo Omulokozo ow’ekisa, bwe yasuubira abagoberezi be nti baliwulira ekiwuubaalo n’okunakuwala, naalagira bamalayika be bajje bababudebude nga babakakasa nti alikomawo nate nga bwe bamulabye ng’alinnya mu ggulu. Abayigirizwa bwe bayimirira nga batunula basamaaliridde balaba omwagalwa waabwe eriiso erisembayo bwe yali ng’aggwerayo mu ggulu, ebirowoozo byabwe byakyusibwa n’ebigambo bino: “Abantu be Ggaliraaya kiki ekibayimirizza nga mutunuulira mu ggulu? Oyo Yesu abagiddwako okutwalibwa mu ggulu alijja bwatyo nga bwe mumulabye ng’agenda mu ggulu.” Ebikolwa by’Abatume 1:11. Obubaka bwa bamalayika bw’abazzaamu essuubi nate. Abayigirizwa ne “bakomawo e Yerusaalemi n’essanyu lingi: ne babeeranga mu yeekaalu bulijjo, nga beebaza Katonda.” Lukka 24: 52, 53. Tebaasanyuka kubanga Yesu abagiddwako era nga basigadde bokka okulwana n’ebigezo awamu n’ebikemo by’ensi, naye olw’ebigambo bya bamalayika ebizaamu essuubi nti alikomawo nate. EE 218.2
Amawulire g’okukomawo kwa Kristo kaakano gandibadde, era nga bwe gaategeezebwa bamalayika eri abasumba abaali ku ttale e Beserekemu, nga bigambo birungi eby’essanyu eringi. Abo abaagala Omulokozi tebayinza wabula okwaniriza n’essanyu amawulire agali mu kigambo kya Katonda oyo omuli essuubi lyabwe ery’obulamu obutaggwaawo nti akomawo nate, si lwa kumuvuma, okumunyooma wadde okugaanibwa, nga bwe kyali mu kujja kwe okwasooka, naye ng’ajja mu kitiibwa n’amaanyi okununula abantu be. Wabula abataagala Mulokozi be bandimwagalizza asigale eyo, era eyo teriiyo bukakafu bulala businga kutegeeza nti ekkanisa zaava dda ku Katonda bw’olaba nga bwe baanyiigira n’okukyawa obubaka obuva mu ggulu. EE 218.3
Kyokka abo abakkiriza obubaka bw’okukomawo kwa Kristo, baazuukusibwa ne beenenya era ne beewombeeka mu maaso ga Katonda. Bangi abaali batta aga n’aga nga balowooza wabiri Kristo n’ensi; kaakano ne bakiraba nga kye kiseera okusalawo. “Ebintu by’obulamu obutaggwaawo kaakano nga babiraba bya njawulo ddala. Eggulu nga libasembezebwa, era nga bawulira omusango gwabasinga.” Bliss, page 146. Abakristaayo ne bafuna obulamu obw’omwoyo obuggya. Nga balaba ekiseera kiyise nnyo era nga kye balina okukola mu kuyamba bantu bannaabwe balina kukikola mu bwangu. Ensi neebula, olwo nga balaba bya bulamu butaggwaawo, olwo emmeeme bye yalabanga ng’ebitaggwaawo omuli amasanyu oba obuyinike, nga bisiikirizibwa. Olwo nga bamaamiddwako Omwoyo wa Katonda eyabawanga amaanyi olw’okusabiranga baganda baabwe, awamu n’aboonoonyi, beetekereteekere EE 218.4
olunaku lwa Katonda. Obujulirwa obw’obulamu bwabwe obwa buli lunaku ne bufuukanga ekyokunenya eri abekkanisa abatewoonze era abalina ekifaananyi obufaananyi. Nga bano tebaagala kutaataganyizibwa okuva mu kunoonya amasanyu gaabwe, okunoonyanga ensimbi, n’okuwaalirira okufuna ebitiibwa by’ensi. Kyebaava bakyayibwa n’okuwakanyizibwa ennyo eri buli yenna eyayogeranga ku kukomawo kwa Kristo. EE 219.1
Bwe baalemwa okuwakanya ebiseera nga bwe byogerwa mu bunnabbi, abawakanyi ne basalawo bamalemu abantu amaanyi mu kunoonyereza ku nsonga eno; bwe baayigiriza nti obunnabbi bwateekebwako envumbo. Bwe batyo Abapulotestanti bwe baatambulira mu bigere by’Abaluumi. Anti obwapapa bwajjako abantu Bayibuli, ate zo ekkanisa z’Abapulotestanti nga zoogera ku kitundu ekikulu ku Kitabo Ekitukuvu - era ekitundu ekibikkula amazima g’ekissera kyaffe nti tekitegerekeka. EE 219.2
Abasumba n’abantu bonna nga boogera nti obunnabbi bwa Danieri ne Kubikkulirwa mujjudde ebyama ebizibu okutegeera. Naye Kristo yalagira abayigirizwa be basome ebigambo bya nnabbi Danieri ku biribaawo mu biseera byabwe, bwe yagamba nti: “Asomamu ategeere.” Matayo 24: 15. Ate bw’olumiriza nti obunnabbi bwa Kubikkulirwa bwa kyama, nti tebutegerekeka, kuba kukontana n’erinnya ly’ekitabo kyennyini: “Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu.... Alina omukisa oyo asoma, n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, era n’abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo: kubanga ekiseera kiri kumpi.” Okubikkulirwa 1: 1-3. EE 219.3
Nnabbi agamba: “Alina omukisa oyo asoma” kwekugamba nti waliwo abatajja kusoma; n’olwekyo omukisa si gwabwe. “N’abo abawulira” waliwo n’abo abagaana okuwulira ensonga yonna ekwata ku bunnabbi; nabo omukisa si gwabwe; “Era n’abakwata ebiwandiikiddwa mu bwo” - bangi bagaana okussaayo omwoyo eri okulabula n’okuyigirizibwa okuli mu kitabo kya Kubikkulirwa; ku bonna tewali ayinza kukayanira mikisa egisuubiziddwa mu kyo. Bonna abanyooma obunnabbi n’okusekerera obubonero obuweereddwa, bonna abajeema okukyusa ku nneyisa yaabwe beetekereteekere okujja kw’Omwana w’omuntu, baligibwako emikisa. EE 219.4
Bwe weetegereza obujulirwa obwaluŋŋamizibwa, olwo abantu basinziira wa okuyigiriza nti okubikkulirwa kitabo ekijjuddemu ebyama ebisukka okutegeera kw’omuntu? Kye kyama ekyabikkulwa, era ekitabo ekibikkule. Bw’osoma ekitabo kya Kubikkulirwa kikuzaayo mu bunnabbi bwa Danieri, era byombi biyigiriza ensonga enkulu ennyo, eyaweebwa Katonda eri omuntu, ku ebyo eby’okubaawo ku nkomerero y’ebyafaayo by’ensi. EE 219.5
Yokaana yabikkulirwa n’alaba ebintu ebyewunyisa eby’okutuuka ku kkanisa. Yalaba embeera abantu ba Katonda mwe balibeera, obulabe obulibatuukako, entalo, n’okununulibwa kwabwe emirembe gyonna. Yabawandiikira obubaka obulifundikira nga bulaga nti amakungula g’ensi gatuuse, oba nga bakukungulwa ng’eŋŋaano ennungi etwalibwe mu ggulu, oba ng’ebisunsunku eby’okuzikirizibwa n’omuliro. Yabikkulirwa ensonga enkulu ennyo nnyini, naddala ku lwe kkanisa ey’oluvannyuma, ng’abo abalikyuka okuva mu bukyamu okudda eri amazima bayigirizibwe bategeere akabi n’entalo ebiboolekedde. Waleme okubaawo n’omu ali mu kizikiza ku nsonga y’ebyo eby’okutuuka ku nsi. EE 219.6
Olwo, Iwaki ate abantu basasaanya obutamanya ku kitundu ekikulu kityo eky’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu? Lwaki waliwo okugayaalirira kungi mu kunoonyereza okuyigirizibwa kwabyo? Okwo kwe kukola kwa Setaani omulangira w’ekizikiza akweke obulimba bwe abantu baleme okubutegeera. Olw’ensonga eyo, Kristo Omubukkuzi, bwe yalaba olutalo olw’okubaawo mu kulwanyisa okusoma ekitabo kya Kubikkulirwa, naalangirira omukisa eri buli yenna asoma, awulira n’oyo akwata ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’obunnabbi. EE 220.1