Essuubi Eritaggwaawo
29 — Ensibukoy’obubi
Abantu bangi beewuunya n’okusoberwa kungi ensibuko y’obubi era n’ensonga Iwaki weekiri. Balaba okukola kw’obubi n’ebivaamu omuli amaziga n’okukuba ebiwoobe, ne beebuuza nti bino byonna biyinza bitya okubaawo mu maaso g’oyo Omuyinza w’ebintu byonna, alina okumanya okutakoma, obuyinza obungi, n&pos;okwagala okungi. Kino kye kyama kye batayinza kunnyonnyola. Era olw’okubanga bajjudde obutebekakasa n’okubuusabuusa, bazibiddwa amaaso gaabwe obutalaba mazima agategerekeka obulungi era ag’enkizo ku bulokozi agali mu kigambo kya Katonda. Waliyo n’abo abanoonya okumanya ensonga lwaki ekibi weekiri, kyokka ne banoonyeza mu ebyo Katonda byataatubikkulira; bwe batyo ne batafuna kyakuddamu ku bibakaluubirira; era olwokubanga mu bo balimu okubuusabuusa n’okukuba empaka benywereza ku nsonga eno batere bagaane ebigambo ebiri mu Kitabo Ekitukuvu. So abalala balemwa okutuukira ddala ku kumanya obubi bw’ekibi olw’ensonga nti obuwangwa n’ennyinnyonnyola eziwabya byabuzaabuza enjigiriza ya Bayibuli ekwata ku mpisa ya Katonda, obufuzi bwe ne bwakwatamu ekibi. EE 317.1
Kizibu nnyo okunnyonnyola ensibuko y’ekibi ng’oyagala kuwa nsonga Iwaki weekiri. Kyokka bingi bye tuyinza okumanya ebikwata ku nsibuko y’ekibi era n’engeri gye kiriggibwawo emirembe gyonna obwenkanya bwa Katonda n’okusaasira kwe biryoke byoleke engeri gy’azze akwatamu ekibi. Ebyawandiikibwa kye bisinga okuyigiriza obulungi ku Katonda kye kino nti ye siyavunaanyizibwa ku ntandikwa y’ekibi; era nga teyakigendererako n’omulundi n’ogumu okujjawo ekisa kye, nti oba gavumenti ya Katonda yalimu obunafu olwo ne wabaawo omwagaanya omwasitukira okwegugunga. Ekibi ky’ajja kyokka, era tewali nsonga yonna eyinza kuweebwa olw’okubeerawo kwakyo. Ekyo kyama, kyewuunyo; ekyo bw’okiyisaako amaaso obeera okiwagira. Era singa waaliwo ensonga ekiyisaako amaaso, oba okulagibwa lwaki weekiri, twandikomye okukiyita ekibi. Ennyinnyonnyola yokka gye tulina ekwata ku kibi y’eyo eri mu kigambo kya Katonda; egamba nti: “ekibi kwe kumenya amateeka;” kwe kuwakanya enkola y’amateeka amakulu ag’okwagala agafuga gavumenti ya Katonda. EE 317.2
Ekibi nga tekinajja, ensi zonna zaali mu mirembe na kusanyuka. Zonna nga zitabagana bulungi n’Omutonzi by’ayagala. Okwagala Katonda ye yali entikko ya byonna, buli muntu ng’ayagala munne kyenkanyi. Kristo oyo Kigambo, Omwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda, yali wamu ne Kitaaffe, - ali mu buzaaliranwa bwa Katonda, alina empisa ng’ezize era n’ebigendererwa, - Oyo yekka ye yava mu nsi zonna ne yeetaba mu kuteesa kwa Katonda n’okutuukiriza ebigendererwa bye. Okuyita mu Kristo, Kitaflfe yatonda obutonde bwonna n’ebitonde eby’omu ggulu. “Kubanga mu oyo ebintu byonna mwe byatonderwa, mu ggulu ne ku nsi ebirabika n’ebitalabika oba nga ntebe za bwakabaka oba bwami oba kufuga oba masaza” (Abakkolosaayi 1:16); era ng’eggulu lyonna liraga obuwulize bwalyo eri Kristo ne Kitaflfe mu kyenkanyi. EE 317.3
Olwokubanga amateeka ag’okwagala gwe musingi okufugirwa gavumenti ya Katonda, essanyu ly’ebitonde byonna kwe lyesigamizibwanga olw’obuwulize obwali mu biragiro ebikulu eby’obutuukirivu. Katonda ky’ayagala eri ebitonde bye byonna kwe kuweerereza mu kwagala - obuwulize obusibuka mu kumusiima. Tekimusanyusa okuwaliriza ekitonde kyonna kimusinze, era byonna abiwa eddembe ly’okwesalirawo, olwonno biryoke bimuweereze mu kweyagalira. EE 318.1
Kyokka waaliwo omu ku bitonde eyasalawo okwonoona eddembe lino. Oyo, eyali okumpi ne Kristo, Katonda gwe yayagalanga ennyo, eyali omukulu mu buyinza era ne mu kitiibwa mu bitonde byonna ebyali mu ggulu, ye yasibukamu ekibi. Bwe yali nga tannagwa, Lusifa yali kerubi abikka ku kitiibwa kya Katonda, ng’atuukiridde, ataliimu bukuusa. “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Ossa akabonero ku muwendo, ng’ojyudde amagezi, ng’otuukiridde obulungi. Wali mu Adeni olusuku Iwa Katonda; buli jjinja ery’omuwendo omungi ly’abanga lyakukubikkako.... Wali kerubi eyafukibwako amafuta abikkako: era nze nakusimba n’okubeera n’obeera ku lusozi lwa Katonda olutukuvu; watambula eruuyi n’eruuyi wakati mu mayinja ag’omuliro. Wali ng’otuukiridde mu makubo go okuva ku lunaku Iwe watonderwa okutuusa obutali butuukirivu Iwe bwalabika mu ggwe.” Ezeekyeri 28:12-15. EE 318.2
Lusifa yandisigadde nga akyali mwagalwa mu maaso ga Katonda, ng’ayagalwa era nga assibwamu ekitiibwa bamalayika bonna nga bw’abakulembera mu buyinza obwamuweebwa n’okugulumiza Omutonzi we. Kyokka, nnabbi agamba nti: “Omutima gwo gwagulumizibwa olw’obulungi bwo, wakyamya amagezi go olw’okumasamasa kwo.” Olunny. 17. Mpola mpola, Lusifa yatuuka okwegulumiza. “Kubanga osimbye omutima gwo ng’omutima gwa Katonda.” “N’oyogera mu mutima gwo nti... ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw’ekibiina... ndirinnya okusinga ebire we bikoma; ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.” Olunny. 6; Isaaya 14: 13,14. Mukifo kya Lusifa okwagala okusukkulumya Katonda olw’ebitonde bye ebyamususuutanga n’okumuwa ekitiibwa, yafubanga kubikyusa ye ne gwe biba bisinza. Era bwe yeegomba ekitiibwa Kitaffe kye yawa Omwana, olwo yeegwanyisa obuyinza obwali obwa Kristo yekka. EE 318.3
Eggulu lyonna lyasanyukiranga okwolesa ekitiibwa ky’Omutonzi n&pos;okumutendereza. Era buli Katonda Iwe yaweebwanga ekitiibwa, ng’emirembe n’essanyu bibuna wonna. Kyokka zizinga yayingirawo n’atabulatabula emirembe n’okutabagana kw’eggulu. Omwoyo gw’okwagala okwegulumiza n’okwesinza, ogutaali mu nteekateeka y’Omutonzi, gwazuukusa ebirowoozo by’obubi mu bitonde ebyasukkulumyanga ekitiibwa kya Katonda. Eggulu ne lyegayirira Lusifa. Omwana wa Katonda n’amulaga obukulu, obulungi era n’obwenkanya bw’Omutonzi, awamu n’amateeka ge amatukuvu agatakyukakyuka. Katonda mwene ye yassaawo emirembe n’obuluŋŋamu; olwo nga Lusifa bw’ayawukana ku ebyo aba avumisizza Katonda. Wabula buli Iwe yalabulibwanga wakati mu kwagala n’okusaasira, gye yakomanga okufuna omwoyo gw’obujeemu. Lusifa yakwatibwa obuggya olwa Kristo, bwatyo ne yeyongera okumalirira. EE 318.4
Obulungi bwe bwamuleetera amalala n’ayagala okwesukkulumya. Ebitiibwa Lusifa bye yalina teyabisanyukira ng’ebirabo ebyamuweebwa Katonda, olw’ekyo teyayinza kwebaza Mutonzi we. Yeegulumiza olw’okumasamasa kwe n’olw’ebitiibwa byeyalina, era nga ayagala okwenkanankana ne Katonda. Yali malayika ayagalwa EE 318.5
ennyo era nga assibwamu ekitiibwa mu ggulu. Bamalayika baasanyukiranga okumuweereza era ng’ajjudde amagezi n’ekitiibwa okukira bonna. Kyokka Omwana wa Katonda ye yali asinga okusibwamu ekitiibwa ng’Omuyinza wa byonna mu ggulu, afugira awamu ne Kitaawe mu maanyi ne mu buyinza. Kristo yeetabanga mu kuteesa kwa Katonda, so nga Lusifa teyakkirizibwanga kwetaba mu bigendererwa bya Katonda. “Lwaki Kristo yaasukkulumizibwa? Lwaki aweebwa ekitiibwa okukira Lusifa?” bwatyo malayika ono bwe yeebuzanga. EE 319.1
Lusifa yava mu maaso ga Katonda we yabeeranga n’agenda okuyingiza omwoyo gwe ogw’obutamatira mu bamalayika abalala. Nga yenna akusise ebigendererwa bye mu ngeri ey’ekyama nti ayagala Katonda yekka y’aba aweebwa ekitiibwa, yayinza okubassaamu obutamatira naddala ku mateeka agaluŋŋamyanga ebitonde eby’omu ggulu nga bwategeeza nti gaali gakugira ekiteetagisa. Olw’okubanga baatondebwa batukuvu, n’ategeeza nti bamalayika bandyeyisizza nga bwe bawulira. Yayagala muli okufuna okusaasirwa nga bw’alaga nti Katonda teyali mwenkanya gyali okuteeka ebitiibwa ebisinga ku Kristo. Yagambanga nti ye okwagala okuweebwa ekitiibwa n’obuyinza ebisinga, yali tayagala kwegulumiza, wabula yali ayagala kufunira ddembe abatuuze bonna ab’omu ggulu, nga mu ngeri eyo baakutuuka mu mbeera eyawaggulu. EE 319.2
Katonda mu kisa kye ekingi yaguumikiriza Lusifa. Teyasooka kumaamulwako bitiibwa bye ng’amaze okuyingirwamu omwoyo gw’obutamatira, newakubadde ne bwe yasasaanyanga obulimba bwe mu bamalayika abawulize. Yasigala nga akuumirwa mu ggulu okumala ekiseera kiwanvu. Era n’aweebwanga omukisa gw’okusonyiyibwa buli kiseera singa yeenenya n’aba muwulize. Engeri ez’enjawulo eziyinza okuteekebwawo Katonda ow’okwagala n’amagezi ne zikolebwanga asobole okwenenya ensobi ze. Omwoyo w’obujeemu nga talabwangako mu ggulu. Ne Lusifa teyayinza kusooka kulaba wa gye yali abutaabutanira; teyayinza kumanya ekyo kyennyini ekyali mu birowoozo bye. Kyokka yalagibwa nti tewali nsonga emuleetera butamatira, era Lusifa n’akitegeera nti yali mu nsobi, nga amateeka ga Katonda gabwenkanya, era nga kimugwanira okugawulira nga bwe kyali mu kusooka eri eggulu lyonna. Singa ekyo yakikola, yandyewonyezza era n’awonya ne bamalayika bangi. Mu kiseera kino Lusifa yali tanajeemera ddala Katonda. Newakubadde nga yali takyali kerubi abikkako, kyokka singa yakkiriza okudda eri Katonda, n’akkiriza amagezi g’Omutonzi, era n’amatira n’ekifo ekyamuweebwa mu nteekateeka ya Katonda, y’andiziddwayo mu bukulu bwe. Wabula amalala gaamulemesa okugonda. Yaguggubira ku kusalawo kwe, nga akiraga nti ye tekimwetaagisa kwenenya, n’amalirira okuyingirira olutalo olunene n’Omutonzi we. EE 319.3
Yakyamya obuyinza obw’amagezi ge asobole okulimba bamalayika b’abadde akulembera olwonno batere bamuwagire. Newakubadde nga Kristo yamulabula n’okumubuulirira, yasalawo okukozesa okulabula okwo atuukirize enkwe ze. Setaani yabuzaabuza bamalayika abaamuli okumpi ennyo era abaali bamukkiririzaamu nti yavunaanibwa awatali nsonga, era nga teyaweebwa kitiibwa kimugwanira, era nga n’eddembe lye lyali lyakumugibwako. Yalimbisanga ebigambo bya Kristo olw’okwagala okubuzaabuza n’okulimba, nga bw’avunaana Omwana wa Katonda nti ayagala okumuswaza mu batuula mu ggulu. Era yayagala okulaga nti waliwo n’obuzibu wakati we ne bamalayika abawulize naye nga bwa bulimba. EE 319.4
Bonna baatasobola kuwangula oba okukyusa badde ku ludda lwe, n’abanenya olw’obuteeflrayo ku nsonga ezikwata ku bitonde eby’omu ggulu. Yatandika okuvunaana abo bonna abaasigala nga bawulize eri Katonda olw’okukola ekyo kyennyini ye kye yali akola. Era mukwagala okunyweza ensonga ye eya Katonda obutaba mwenkanya gyali, n’asalawo okulimbisanga ebigambo bya Katonda awamu n’ebikolwa bye. Yakigendereranga okubuzabuza bamalayika mu bigendererwa bya Katonda olw’obukalabakalaba bwe. Ebyalinga bitegerekeka obulungi ng’abifuula ebizibu, era mu bukujjukujju bwe n’akyamyanga ebigambo bya Yakuwa ebyalinga bitegerekeka obulungi. Olw’okubanga yali mukulu era nga asemberedde entebe ya Katonda, kyamuwa amaanyi eri abo abaali wansi we, yasendasenda bangi ne bamwegattako mu kulwanyisa obuyinza bw’eggulu. EE 320.1
Katonda mu magezi ge yakkiriza Setaani agende mu maaso n’emirimu gye okutuusa omwoyo gw’obukyayi Iwe gweyolekera ddala mu bikolwa bye. Kyali kyetaagisa ebigendererwa bye bitegerekeke bulungi, bonna balyoke balabe bye yeegwanyiza. Lusifa yali aweebwa ekitiibwa kya waggulu olw’okubanga yafukibwako amafuta; yali ayagalwa nnyo ebitonde byonna eby’omu ggulu, era ng’alina obuyinza bungi ku byo. Gavumenti ya Katonda tekoma ku abo bokka abatuula mu ggulu, wabula enzingiramu n’ensi zonna Katonda ze yatonda; era Setaani yalowooza nti bw’anaatwala abamu ku bamalayika ab’omu ggulu mu lutalo luno, waakutwala n’ensi ezo endala. Bwatyo bwe yabalimbanga mu bukujjukujuu bwe asobole okutuuka ku bigendererwa bye. Yali mulimba wakitalo, era mu bulimba obwo yafuniramu omukisa. Wadde ne bamalayika abaali abawulize tebaayinza kwetegerereza ddala mpisa ze oba okulaba wa gye yali abatwala. EE 320.2
Setaani yali assiibwamu nnyo ekitiibwa, era nga ne mu bikolwa bye mujjudde ebyama, ekyaleetera bamalayika obutasobola kulabira ddala bigendererwa bye ebituufu olw’ebyo bye yakolanga. Era ekibi nga bwe kyali tekyasooka kulabikamu bubi okutuusa nga kimazze okukulira ddala. Okutuusa ku olwo kyali tekirabwangako mu ggulu lyonna era ne bamalayika abatukuvu nga tebayinza na kufumiitiriza ku bwekifaanana awamu n’obubi bwakyo. Tebaayinza kulaba buzibu buyinza kuva mu kujeemera mateeka ga Katonda. Anti Setaani yasooka n’akweka obulimba bwe mu kifaananyi eky’obuwulize eri Katonda. Yagambanga nti anoonya kugulumiza kitiibwa kya Katonda, okunyweza obufuzi bwe, n’obulungi bwa buli omu ali mu ggulu. Naye bwe yayingiza endowooza ye y’obutamatira mu birowoozo bya bamalayika abaali wansi we, yabategeeza nga nti ayagala kumalawo butamatira mu bo. Era bwe yagamba nti wabeerewo enkyukakyuka ezikolebwa mu mateeka ga gavumenti ya Katonda, yakyogereranga mu kifaananyi eky’okunyweza emirembe mu ggulu. EE 320.3
Katonda mu kulwanyisa ekibi akozesa butuukirivu na mazima. So nga Setaani akoseza Katonda by’atayinza kukozesa - kwe kuwanawana n’okulimba. Yayagala okulimbisa ekigambo kya Katonda awamu ne gavumenti ye mu maaso ga bamalayika, nga bw’agamba nti Katonda teyali mwenkanya mu kuteekawo amateeka n’ebiragiro eri abatuula mu ggulu; era nga mukwagala ebitonde byonna bimusinze, olwo aba anoonya kwegulumiza. N’olwekyo kigwanira abatuula mu ggulu lyonna awamu n’ensi zonna bategeere nti gavumenti ya Katonda yabwenkanya, n’amateeka ge matuukirivu. Setaani ng’ayagala kweraga nti anoonya kuteekawo bulungi obw’ensi zonna. Wano nga kigwanira empisa ze zennyini n’ebigendererwa bye bitegeerwe bonna. Nga kimugwanira okuweebwa ekiseera obubi bwe bweyoleke. EE 320.4
Setaani eyatandikawo obutali butebenkevu mu ggulu, ng’olwo abuvunaana ku gavumenti ya Katonda awamu n’amateeka ge. Obubi bwonna ng’abuteeka ku bufiizi bwa Katonda nti kwebusibuka. Yategezanga nti ekigendererwa kye kwe kulongoosa mu mateeka ga Yakuwa. N’olwekyo nga kyetaagisa okulaga ebimukaayanya era nga ne bw’ayagala okukyusaamu mu mateeka ga Katonda. Ebikolwa bye, bye birina okumusaliza omusango. Setaani yagambanga okuva mu kusooka nti yali talwanyisa Katonda. Kaakano ensi zonna kizigwanira okulaba omulimba ono ng’aggiddwa mu byeyekweseemu. EE 321.1
Wadde ne Iwe kyasalibwawo nti takyasaanira kusigala mu ggulu, Katonda mu magezi ge teyazikiriza Setaani. Olw’okubanga Katonda ky’ayagala kwe kumuwerereza mu kwagala, obuwulize bw’ebitonde bye nabwo kibugwanira kwesigamizibwa ku butuukirivu bwa Katonda n’okwagala. Era olw’okubanga abatuula mu ggulu era ne mu nsi endala baali tebanamanya bubi obuli mu kibi, tebandiyinzizza kulaba bwenkanya bwa Katonda n’okusaasira kwe singa Katonda yazikiririzaawo Setaani. Era singa yasangulwawo obutaddamu kubeerawo nate, bandiweereza Katonda wakati mu kutya so si mu kwagala. Obubi bw’omulimba tebwandizikiriridde ddala wadde okumalirawo ddala omwoyo gw’obujeemu. Ekibi kirina okweyabya. Setaani kimugwanira okwanika empisa ze zonna ku Iw’obulungi bw’ensi zonna n’okutuukira ddala mu mirembe egitaggwaawo, olwo emisango gy’avunaana gavumenti ya Katonda girabibwe bulungi ebitonde byonna, obutuukirivu bwa Katonda n’okusaasira kwe awamu n’amateeka ge agatakyukakyuka bibe nga tebiriiko musango emirembe gyonna. EE 321.2
Obujeemu bwa Setaani kyali kyakuyiga eri ensi zonna okuyita mu mirembe gyonna egirijja olw’obujulirwa obw’olubeerera ku nkula y’ekibi ko n’ebyo ebikivaamu. Setaani by’azze akola, kye bituusizza ku bantu awamu ne bamalayika, byonna byali byakulaga ebibala ebiva mu kujeemera obuyinza bwa Katonda. Byali byakukakasa nti gavumenti ya Katonda awamu n’amateeka ge byateekebwawo ku Iwabulungi bwa bitonde byeyatonda. Bwekityo ebitonde ebitukuvu Iwe byandikuumiddwa olubeerera olw’okuyigira ku bubi obuli mu bujeemu, byewale okulimbibwa olw’ebyo ebiva mu kumenya amateeka, bawone obutayonoona n’okulega ku mpeera y’ekibi. EE 321.3
Setaani yeeyongera okwewolereza nga bwataliiko musango ne bweyali nga ali wakati mu lutalo eyo mu ggulu. Era bwe kyalangirirwa nti ye ne bamalayika be bagobeddwa mu kifo ekyokwesiima, olwo omujeemi n’alayira okulwanyisa amateeka g’Omutonzi. N’akiddiŋŋananga nti bamalayika baleme kukugirwa wabula balekerwe eddembe lyabwe, nti lye ly’okubaluŋŋamyanga mu bulungi. Yakolokota amateeka ga Katonda nti gabamalako eddembe era nga bw’agamba nti kyagenderera ye kwe kukakasa nti amateeka gawereddwa; nti kaakano ba ddembe, era nga basobola okweyisa me mbeera eyawaggulu era ey’ekitiibwa ekisingako. EE 321.4
Setaani n’eggye lye, bonna n’omwoyo gumu ne balumiriza nti Kristo yaviriddeko bo okujeema, ne bagamba nti singa tebabanenya, tebandijeemye. Bwebatyo bwe baakakanyaza emitima gyabwe wakati mu bujeemu nga kye banoonya kwe kusuula gavumenti ya Katonda, so nga bali mu kuwoola nga bwe bataliiko musango era nti banyigirizibwa: sabayeekera n’eggye lye ne bagoberwa ddala mu ggulu. EE 321.5
Omwoyo gwe gumu ogw’obujeemu ogwatandikira mu ggulu era gutaddewo obujeemu ne ku nsi. Setaani yeegatidde wamu n’abantu okuleeta enkola yeemu gye yakozesa ku bamalayika. Omwoyo ogwo kaakano guli mu bantu abajeemu. Okufaanana nga ye, nabo baagala okumenya amateeka ga Katonda nga bwe basuubiza abantu eddembe okuyita mu kumenya ebiragiro ebiri mu mateeka. Okunenya ku kibi kusitula omwoyo gw’obukyayi n’obujeemu. Abantu bwe babuulirwa obubaka bwa Katonda obulabula, Setaani abaleetera okwewolereza n’okunoonya okusaasirwa okuva mu bonoonyi bannaabwe. Mukifo ky’okutereeza ensobi zaabwe, banyiigira bunyiigizi oyo abanenyezaako, ng’alinga ye yekka y’avaako obuzibu. Ogwo gwe mwoyo ogubadde gulagibwa eri abantu ababadde bagezaako okunenya n’okuvumirira ekibi okuviira ddala mu biro bya Abiri n’okutuuka mu biseera byatle. EE 322.1
Setaani yaleetera abantu okwonoona mu ngeri yeemu ey’okulimbisa Katonda era nga bweyakola mu ggulu, n’alowoozesa Katonda okuba omukambwe era atasaasira. Era bweyamala okutuuka ku buwanguzi obwo, kwe kugamba nti ebiragiro bya Katonda ebitali bya bwenkanya bye biviiriddeko abantu okwonoona nga naye bwe byamuviirako okujeema. EE 322.2
Naye Oyo abeerawo emirembe gyonna yeeyogerako nga: “Mukama Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi; ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n’enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n’okwonoona n’ekibi.” Okuva 34:6,7. EE 322.3
Katonda bwe yagoba Setaani mu ggulu, yayolesa obutuukirivu bwe era n’anyweza ekitiibwa ky’entebe. Kyokka era omuntu bwe yayonoona olw’okugondera obulimba obw’ekitonde kino ekyagwa, Katonda yalaga obukakafu obw’okwagala kwe bwe yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka ajje afe ku Iw’olulyo olwagwa. Era mu mutango ogwaweebwayo mwe tulabira okwagala kwa Katonda. Omusaalaba gw’ayolesa eri ensi zonna nti Setaani okusalawo okwonoona kyali tekikyusisa gavumenti ya Katonda. EE 322.4
Kristo, yayambula obulimba bwa Setaani bwe baasisinkana mu lutalo luno mu kiseera we yabeerera ku nsi kuno ng’Omulokozi. Tewali kyandiyinzizza kusigukulula Setaani okumumalirawo ddala n’ajjibwa ku bamalayika ab’omu ggulu awamu n’abatuula nsi zonna abaali bamususuuta nga bwe kyali Iwe yalumba Omulokozi w’ensi okujja okumulwanyisa. Bwe yawoola ng’ayagala nti Kristo amusinze, bwe yamuyisaamu amaaso amale amutwale ku lusozi oluwanvu ennyo ne ku kitikkiro kya yeekaalu, okwagala okumukolera ettima amale amugambe okubuuka okuva mu bwengula obwo, ettima eryamukolwako ng’ayiggibwa wano ne wali, mu kuweerera bakabona n’abantu okugaana okwagala kwe, era ku nkomerero ne boogerera wamu nti, Akomererwe! akomererwe! - bino byonna byaleetawo okusamalirira n’okukwatibwa obusungu eri ensi zonna. EE 322.5
Setaani ye yayingiza endowooza y’obukyayi mu bantu eri Kristo. Omulangira w’obubi yakozesa amaanyi ge gonna n’obukujukuju bwe azikirize Yesu; kubanga yakimanya nti olw’okwagala kw’Omulokozi era n’okusaasira kwe, okulumwa kwe eri abalala n’ekisa kye ekingi, yali ayolesa empisa za Katonda eri ensi. Setaani yalwanyisa engeri zonna Omwana wa Katonda ze yakozesanga era abantu n’abatuula ababaka be baleetere Omulokozi okubonabona n’okulumwa ennaku. Oukujjukujju n’obulimba bweyasooka okukozesa alemese Yesu, obukyayi obwalabikira mu baana EE 322.6
abajeemu, okuwaayiriza Yesu mu ngeri ey’obukambwe so ng’obulamu bwe bujjudde obulungi obutasangika, byonna ebyo byasibuka ku bukyayi n’enge. EfTubitizi, obuggya, ettima, obukyayi n’okwesasuza, byonna ebyo byayabikira ku Mwana wa Katonda ku musaalaba e ggologoosa, eggulu lyonna nga lisamaaliridde wakati mu kasirise akajjudde entiisa. EE 323.1
Ssaddaaka enkulu bwe yamala okutuukirizibwa, Kristo yalinnya mu ggulu, n’atakkiriza kusinzibwa bamalayika okutuusa nga amaze okuwaayo ekyamusabibwa: “Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeera nange.” Yokaana 17:24. Mu kwagala okutayogerekeka n’amaanyi Kitaawe n’amuddamu ng’ayima mu ntebe ye nti: “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.” Abaebbulaniya 1:6. Yesu teyasigalako bbala lyonna. Obuswavu bwe bwatuuka ku nkomerero yaabwo, ssaddaaka ye yatuukirizibwa, era n’aweebwa erinnya erisinga amannya gonna. EE 323.2
Kaakano Setaani nga talina kyakwewolereza. Yali abikkuliddwa bonna ne bamulaba nga ddala yali mulimba era omussi. Kyalabibwa nga omwoyo gwegumu gwe yafugiramu abaana b’abantu abaali wansi w’obufuge bwe, gwe yandikozesezza singa yakkirizibwa okufuga n’abo abatuula mu ggulu. Yagambanga nti okumenya amateeka ga Katonda kyakuteekawo eddembe n’ekitiibwa; kyokka kyalabika nga muvaamu buddu na kufeebezebwa. EE 323.3
Obulimba bwa Setaani awamu n’okuwaayirizanga Katonda ko ne gavumenti ye byalabikira ddala mu kifaananyi kyabyo ekituufu. Yali avunaana Katonda nti ye ky’ayagala kwe kwesukkulumya n&pos;okwagala okusinzibwanga, n’ekirala nti ebitonde bye bimuwulirenga, era yagamba nti, wadde Katonda ayagala abalala beefirize ku Iwabalala, ye tayagala kwefiriza wadde okuwaayo ssaddaaka. Kaakano nga kimaze okutegerekeka nti ku Iw’okulokolebwa kw’olulyo olwagwa era olwayonoona, Omufuzi w’ensi zonna yali awaddeyo ssaddaaka enkulu eyayinza okuweebwayo olw’okwagala; kubanga “Katonda yali mu Kristo ng’atabaganya ensi wamu naye yennyini.” 2Abakkolinso 5:19. Era ensi zaalaba nga Lusifa ye yaggulawo oluggi Iw’ekibi olw’okwagala ekitiibwa n’okwesukkulumya, ate nga Kristo, olw’okwagala okuzikiriza ekibi, yeetowaza n’abeera muwulize okutuusa okufa. EE 323.4
Katonda yayolesa engeri gy’akyawamu ekibi. Eggulu lyonna lyayinza okulaba obutuukirivu bwa Katonda nga bubikkuliddwa, bwe yasingisa Setaani omusango ne bwe yanunulamu omuntu. Lusifa yali alangiridde nti amateeka ga Katonda bwegaba tegakyuka nga n’omusango teguyinza kuggibwawo, olwo buli mwonoonyi aba ajjiddwako ekisa kya Katonda emirembe gyonna. Yagambanga nti olulyo olwayonoona terukyayinza kununulibwa n’olwekyo abo bantu be. Naye okufa kwa Kristo kwayimirirawo ku Iw’omuntu era nga kizibu okukijjawo ekyo. Omusango gw’ekibi ye yagwetikka oyo eyali yenkanankana ne Katonda, olwo omuntu n’aba waddembe okwetwalira obutuukirivu bwa Kristo era nga bweyeenenya n’okwetoowaza, waakuwangula ng’Omwana wa Katonda bwe yawangula amaanyi ga Setaani. Bwatyo Katonda n’asigala nga mutuukirivu era nga yawa obutuukirivu bonna abakkiriza Yesu. EE 323.5
Kyokka ekyaleeta Kristo ku nsi tekyali ekyo kyokka nti yajja abonebone oluvannyuma afe ng’atuukiriza obununuzi bw’omuntu. Yajua “okukuza amateeka n’okugassaamu ekitiibwa.” Si lwa bantu ababeera mu nsi eno bokka nti be balina okumanya obukulu bw’amateeka; naye ensi zonna zirabire okwo nti amateeka ga EE 323.6
Katonda tegakyukakyuka. Singa ebiragiro ebiri mu go byali bisoboka okuteekebwa wabbali, tekyandyetaagisizza Mwana wa Katonda kuwaayo bulamu bwe okutangirira abamenyi baago. Okufa kwa Kristo kukakasa nti gaalubeerera. Era ssaddaaka eyaweebwayo Katonda alina okwagala okutaggwaawo awamu n’Omwana, abonoonyi basobole okulokolebwa, eyolesa eri ensi zonna - nga tewali kisinga kino ekyandikoleddwa okutuukiriza enteekateeka y’obulokozi - nga obutuukirivu bwa Katonda n’okusaasira gwe musingi gw’amateeka ne gavumenti ya Katonda. EE 324.1
Ku nkomerero y’okusala omusango kirizuulibwa nga tewaali nsonga Iwaki ekibi kyabeerawo. Omulamuzi ow’ensi zonna bw’alibuuza Setaani, “Lwaki wanjeemera n’onzigyako abantu b’obwakabaka bwange?” omutandisi w’obubi talibeera na kyakwewolereza. Buli kamwa kaakusirika, era n’eggye lyonna ery’abajeemu teririyinza kwogera. EE 324.2
Omusaalaba gwa Kristo newakubadde nga gwoleka nti amateeka gaaluberera, era gutegeeza eri ensi zonna nti empeera y’ekibi kwe kufa. Ekidde kya Setaani ekimulangirirako okufa kyakubibwa Omulokozi mu ddoboozi lye eryasembayo bweyagamba nti “kiwedde.” Olutalo olunene olubaddewo okumala ebbanga eddene ne lukakasibwa, n’okusangulirawo ddala ekibi ne kunywezebwa. Omwana wa Katonda yayita mu miryango gy’emagombe, nga “olw’okufa kwe alyoke azikirize oyo eyalina amaanyi ag’okufa, ye Setaani.” Abaebbulaniya 2:14. Lusifa olw’okwagala okwegulumiza yagamba nti: “Ndigulumiza entebe yange okusinga entebe ya Katonda.... ndifaanana oyo ali waggulu ennyo.” Kyokka Katonda yamugamba nti: “Nziya omuliro wakati mu ggwe, gukwokezza, era nkufudde ewu ku ttaka mu maaso g’abo bonna abakulaba...so toobengawo nate ennaku zonna.” Isaaya 14: 13,14; Ezeekyeri 28: 18,19. “Kubanga laba, olunaku lujja, lwokya ng’ekikoomi; n’ab’amalala bonna, n’abo bonna abakola obubi baliba bisasiro: awo olunaku oluya lulibookera ddala, bw’ayogera Mukama w’eggye, obutabalekerawo kikolo newakubadde ettabi.” Malaki 4:1. EE 324.3
Ensi zonna zaakwerabira n’amaaso gaabwe ekibi nga bwe kifaanana era n’ebikivaamu. Era bwe kiriba kiggyirwawo ddala, so nga mu kusooka kyandireseewo okutya mu bamalayika n’okuvumisa Katonda, ensi ziriraba obwenkanya obw’okwagala kwe era n’ekitiibwa kye kirinywezebwa mu nsi zonna omuli ebitonde ebisanyukira okukola Katonda by’ayagala, era abalina amateeka ge mu mitima gyabwe. Ekibi tekiriddamu kulabibwako n’akatono. Katonda agamba mu kigambo kye nti: “Obunaku tebuliyimuka omulundi ogwookubiri.” Nakkumu 1:9. Amateeka ga Katonda Setaani geyaleetako ekivume nti kye kikoligo ky’obuddu, galissibwamu ekitiibwa ng’amateeka ag’eddembe. Obutonde bwonna obuliba buyise mu kugezesebwa era ne bukakasibwa, tebuliyinza kuggya buwulize bw’abwo nate ku oyo ayolesezza empisa ez’okwagala okutagerwa n’amagezi agatalowoozeka. EE 324.4