Essuubi Eritaggwaawo
26 — Omulimu Gw’okuza Obuggya Ekkanisa
Omulimu gw’okuzza obuggya ekkanisa mu kukuuma Ssabbiiti ogulikolebwa mu nnaku ez’oluvannyuma, gwalangirirwa nnabbi Isaaya nti: “Bwati bw’ayogera Mukama nti Mukwatenga ebyensonga, mukolenga eby’obutuukirivu: kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n’obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa. Alina omukisa omuntu akola ekyo, n’omwana w’omuntu akinyweza; akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n’akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna. Era ne bannaggwanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n’okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n’anyweza endagaano yange; abo ndibatuuza ku lusozi Iwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey’okusabirangamu.” Isaaya 56: 1,2,6,7. EE 290.2
Ebigambo ebyo nga bwe biwandiikiddwa bituukanira ddala n’omulembe gw’Obukristaayo nti: “Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti oliboolyawo ne mukuŋŋaanyizibwa n’abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.” Olunyi. 8. Wano ayogera ku bamawanga abalikuŋŋaanyizibwa enjiri. Era alangirira n’omukisa ku bano abassaamu ekitiibwa Ssabbiiti obutagyonoona. Bwekityo, etteeka eryookuna lissukka omusaalaba, okuzuukira n’okulinnya kwa Yesu mu ggulu, okutuuka ku kiseera abaddu be lwe balibuulira eri amawanga gonna obubaka obw’amawulire amalungi. EE 290.3
Mukama alagira ng’ayita mu nnabbi y’omu nti: “Sibira ddala okutegeeza, osse akabonero ku mateeka mu bayigirizwa bange.” Isaaya 8: 16. Envumbo esiba amateeka ga Katonda esangibwa mu tteeka eryookuna. Etteeka lino lyokka, mu mateeka ekkumi, lye liraga erinnya lya Katonda n&pos;ekitiibwa kye ng’omuteesi w’amateeka. Limwogerako nga ye Mutonzi eyatonda eggulu n’ensi, era bwerityo ne liraga nga ye, yeyekka agwanira okuweebwa ekitiibwa n’okusinzibwa awatali amwenkana. Ng’oggyeko ekiragiro ekyo, tewali tteeka ddala lyonna mu mateeka ekkumi eriraga obuyinza bw&pos;omuteesi w’amateeka. Envumbo yaggibwa ku mateeka, Ssabbiiti bwe yakyusibwa olw’obuyinza bwa papa. Abayigirizwa ba Yesu bayitibwa mu kugizzaawo nga basitulira waggulu Ssabbiiti ey&pos;eteeka eryookuna liddewo mu kifo kyalyo ekituufu nga ekijjukizo ky’Omutonzi era akabonero ak’obuyinza bwe. EE 290.4
“Tudde eri amateeka n’obujulirwa.” Newakubadde nga waliwo enjigiriza n’endowooza nnyingi nnyo ennaku zino, amateeka ga Katonda ge gokka agatawaba EE 290.5
era agaluŋgamya endowooza, enjigiriza n’enzikiriza. Nnabbi agamba: “Oba nga teboogera ng&pos;ekigambo bwe kiri, mazima nga mu bo temuli musana.” Oluny. 20. EE 291.1
Era ayongera okulagira nti: “Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.” Katonda tayogera ku babi, naye abo Mukama baayita nti “abantu bange” be balina okunenyezebwa olw’okusobya kwabwe. Ayongera okugamba: “Naye bannoonya bulijjo, era basanyuka okumanya amakubo gange: ng’egwanga eryakolanga eby’obutuukirivu ne bataleka kiragiro kya Katonda waabwe, bansaba ebiragiro eby’obutuukirivu, basanyuka okusemberera Katonda.” lsaaya 58: 1,2. Wano tulaba ekibiina eky’abantu abeerowooza okuba nti batuukirwu era nga balabika balina okwagala kungi mu kuweereza Katonda; kyokka Katonda akebera emitima yabanenya anti nga bamenya n’okusambirira ebiragiro bye. EE 291.2
Bwatyo nnabbi kwe kukusonga ku kiragiro ekibadde kyerabiddwa: “Olizza emisingi egy&pos;emirembe emingi: era oliyitibwa Muzimbi wa kituli, Muzza wa makubo ga kutuulamu. Bw’onokyusanga ekigere kyo okuva ku Ssabbiiti obutakolanga by’oyagala ggwe ku lunaku Iwange olutukuvu; Ssabbiiti n’ogiyita essanyu, olunaku lwa Mukama olutukuvu olw’ekitiibwa; n’ogissangamu ekitiibwa, nga tokwata makubo go ggwe, so nga tonoonya by’oyagala ggwe, era nga toyogera bigambo byo ggwe; kale n’olyoka osanyukira Mukama.” Ennyir. 12-14. Obunnabbi buno era butuukana ne mu kiseera kyafte. Anti amateeka ga Katonda gaamenyebwa Luumi bwe bwakyusa Ssabbiiti. Naye ekiseera kituuse okuzaawo Ssabbiiti ya Katonda. Ekituli kirina okuzibibwa, n’emisingi egy’emirembe emingi gizzibwe buggya. EE 291.3
Ssabbiiti yatukuzibwa olw’Omutonzi okugiwummulirako era n’agiwa n’omukisa, ne Adamu nga tanayonoona yagikuuma mu lusuku olutukuvu Adeni; era n’oluvannyuma Adamu bwe yagwa naye ne yeenenya, era ne bwe yagobebwa mu lusuku lwe olulungi. Yakuumibwa bajjajjaffe, okuva ku Aberi okutuuka ku Nuuwa omutuukirivu, Ibulayimu ne Yakobo. Abaana ba Isiraeri bwe baali mu busibe e Misiri, wakati mu bantu abasinza ebifaananyi, ne batuuka n’okwerabira amateeka ga Katonda; kyokka Katonda bwe yanunula Isiraeri, yalangirira amateeka ge wakati mu kitiibwa ekingi eri eggye lyonna eryali likuŋŋaanye, basobole okumanya amateeka ge, batye era bamugondere emirembe gyonna. EE 291.4
Okuva ku lunaku olwo n’okutuusa leero, amateeka ga Katonda gazze gabeerawo mu nsi, era ne Ssabbiiti ey’etteeka eryookuna ebadde ekuumibwa. Wadde nga “omuntu w’okwonoona” yawangula bwe yasambirira wansi w’ebigere bye olunaku lwa Katonda olutukuvu, kyokka ne mu biro we yafugira, waaliwo abaliwo abantu abeesigwa abaagissangamu ekitiibwa eyo mu bifo ebyekusifu. Okuviira ddala lwe waaliwo okuzza obuggya ekkanisa, wabaddewo abamu ku buli mulembe ababadde bagikuuma. Newakubadde nga babadde baavumibwa n’okuyigganyibwa, wabaddengawo obujulizi obukakasa nga amateeka ga Katonda gaalubeerera ne Ssabbiiti entukuvu ey’obutonzi. EE 291.5
Amazima gano “ag’enjiri ey’emirembe n’emirembe” nga bwe galagibwa mu Kubikkulirwa 14, ge galitegeeza ekkanisa ya Katonda ku lunaku Iw’alirabikirako. Kubanga, abo be baliva mu kulangirira okw’obubaka bwa bamalayika abasatu nti: bano be “bakwata ebiragiro bya Katonda n’okukkiriza kwa Yesu.” Era obubaka buno bwe bulisembayo okutegeezebwa eri ensi Mukama wafife nga tannakomawo. EE 291.6
N’ekiddirira okulangirira obubaka obwo, nnabbi alaba Omwana w’omuntu ng’ajjira mu kitiibwa okujja okukungula ebikungulwa eby’ensi. EE 292.1
Abo bonna abaafuna omusana ogw’ekifo ekitukuvu era ne bategeera n’amateeka ga Katonda agatakyukakyuka bajjula essanyu n’okwewuunya bwe baalaba obulungi n’obuluŋŋamu ebiri mu nteekateeka eyamazima nga bwe baagitegeera. Baawulira nga kyansonga okutegeeza ku Bakristaayo bannaabwe omusana omulungi ogw’omuwendo gwe bafunye, nga tebayinza wabula okukakasa nti nabo banaagukkiriza wakati mu ssanyu. Wabula amazima agaali gabaawula okuva ku nsi bangi ku baali beeyita abagoberezi ba Kristo tebaagaayaniriza. Anti ng’okuba omuwulize eri etteeka eryookuna kikwetaagisa okwefiiriza, era bangi ne badda emabega. EE 292.2
Bwe baategeezanga abantu obukulu bwa Ssabbiiti, bangi ne beewolerezanga nga bakozesa endowooza y’ensi. Baagambanga: “Tubadde tukuuma Sande ebbanga lyonna, bakitatfe baagikuuma, so n&pos;abalala bangi ku bantu abalungi era bannaddiini bafudde naye nga basanyufu kyokka nga bagikuuma. Bwe baba nga baali batuufu bwekityo natfe. Bwe tunaakuuma Ssabbiiti eno endala ejja kutuleetera obutakwatagana na nsi, so nga tetuyinza kubakyusa. Olwo akabiina kano akatono kati ak&pos;abakuuma olunaku olwoomusanvu kasuubira kukolawo ki eri ensi yonna ekuuma olunaku Iwa Sande?” Eyo y’engeri yeemu Abayudaaya kwe baava okugaana Kristo. Bakitaabwe bakkirizibwanga Katonda olwa ssaddaaka ze baawangayo, olwo lwaki abaana tebayinza kulokolebwa bwe batambulira mu bigere byabwe? Era bwekityo bwe kyali ne mu biro bya Luther, abakiririza mu papa nga bagamba nti, Abakristaayo abamazima batudde nga bakatuliki, n’olwekyo eddiini yaabwe ebamala olw’okufuna obulokozi. Endowooza ng’eyo erabika ng’efuuse omuziziko munene mu kubunyisa enjiri. EE 292.3
Bangi baagambanga nti Sande emaze ebbanga ddene ng’eyingiziddwa mu njigiriza z’ekkanisa era nga ekuumibwa wonna. Kyokka endowooza eyo ng’eyinza okuwakanyizibwa nti Ssabbiiti nkadde nnyo awamu n’ababadde bagikuuma era ng’ekuumibwa wonna, nkadde okusinga n’ensi yennyini, so nga ekkirizibwa Katonda awamu ne bamalayika. Emisingi gy’ensi bwe gyali gisibibwa, emmunyeenye ez’enkya bwe zaayimbira awamu, n’abaana ba Katonda bonna ne boogerera waggulu olw’essanyu, olwo lwe baateekawo emisingi gya Ssabbiiti. Yobu 38: 6,7; Olubereberye 2: 1-3. Bwetyo Ssabbiiti tuvunaanyizibwa okugissaamu ekitiibwa; teyateekebwawo muntu yenna era teri muntu agikaayanira; yateekebwawo Omukadde eyakamala ennaku ennyingi era yalagirwa okuyita mu kigambo kye ekitaggwaawo. EE 292.4
Abantu bwe bajjukizibwanga baddeyo okutukuza Ssabbiiti, abasumba abamanyifu ne banyoolanga ekigambo kya Katonda bayinze okukakkanya ebirowoozo by&pos;abantu. Era abo bonna abataayinza kwenoonyeza okuva mu Byawandiikibwa, ne bawulira nga bamatidde kubanga ekyo kye baayagalanga. Wakati mu kukubanga empaka, okubuzaabuza, n’okukozesa obulombolombo bwa bakitaabwe awamu n’obuyinza bw’ekkanisa, abantu bangi ne babasuzanga amazima. Abakkiririza mu Ssabbiiti ne bakkira Bayibuli bayinze okuyimirizaawo obutuufu bw’etteeka eryookuna. Bonna nga oakakkamu, kyokka nga babagalidde ekigambo eky’amazima, ne baziyizanga okulumba kw’abayivu, be baazuula nga tebaalina maanyi mu bigambo byabwe olw’okwogera okw’amagezi n’okujulizanga Ebyawandiikibwa okusinga obukujukuju bw’abayivu. EE 292.5
Bwe baabulwanga eky’okubaddamu okuva mu Bayibuli, bangi ne bagugubira nga bagamba - mpozi nga beerabidde nti ebigambo bye bimu bye baagambanga ne Kristo awamu n’abatume nti: “Lwaki abantu bafle abamaanyi tebategeera Ssabbiiti? Wabula batono ddala abakkiriza nga mmwe. Tekiyinzika kuba nti mwe mmwe muli abatuufu ng’abantu bonna abayivu be bali mu nsobi.” EE 293.1
Okujjawo endowooza ezo anti nga kyetaagisa kunokolayo njigiriza ya Byawandiikibwa awamu n’engeri Mukama gy’azze akwatamu abantu be ku buli mulembe. Katonda akolera mu bantu abawulira era ne bagondera eddoboozi lye, abo abakkiriza oba nga kiyinzika, okwogera amazima agakaawa, abo abatatya kuvumirira bibi bikolebwa. Ensonga Iwaki abadde talonda bantu bayivu era abamanyifu mu kukulembera enteekateeka z’okudda obuggya, eri nti, bo bakkiririza mu njigiriza zaabwe, mu ndowooza zaabwe, n’enjigiriza z’eddiini, nga tebawulira bwetaavu bwa kuyigirizibwa Katonda. Okujyako abo bokka abalina enkolagana ey’obuntu awamu n’Ensibuko y’amagezi be bayinza okumanya oba okunnyonnyola Ebyawandiikibwa. Abantu abayizeeko ekitono ku magezi ag’ensi emirundi mingi bayitibwa okutegeeza amazima, so si Iwakubanga sibayivu, naye lwakubanga tebawulira nga beemalirira obutayigirizibwa Katonda. Bayigirizibwa mu ssomero lya Kristo, era obuwulize bwabwe awamu n’okuba abawombeefu ne bibafuula bamaanyi. Mu kutegeera amazima, Katonda aba abawadde kitiibwa ekisaanikira ebitiibwa byonna eby’ensi n’ettuttumu ly’abantu. EE 293.2
Abadiventi abasinga obungi baagaana okukkiriza amazima agakwata ku kifo ekitukuvu awamu n’amateeka ga Katonda, era bangi ne basuulawo okukkiriza kwabwe, ne batwala endowooza ezikoonagana ez’obunnabbi obukwata ku kifo ekyo. Abalala ne bagendanga nga baddamu okukola ensobi ey’okuteekangawo ekiseera Kristo w’anaakomerawo. Omusana ogwamulisibwanga ku kyokuyiga eky’ekifo ekitukuvu gwandibamaze okubalaga nti obunnabbi tebulinaayo kiseera kirala kissuka ku ekyo eky’okukomawo omulundi ogwookubiri; nga ekiseera kyennyini eky’okukomawo tekyategeezebwa. Naye, bwe baakuba omugongo omusana, ne bagendanga nga bateekawo ebiseera Kristo w’anaakomerawo, bwebatyo ne beeyongeranga okufuna okusaalirwa. EE 293.3
Ekkanisa y’Abasessaloniika bwe yayingirwamu endowooza ez’obulimba ezikwata ku kukomawo kwa Kristo, omutume Pawulo yababuulirira ng’abagamba nti beegendereze nga bakozesa ekigambo kya Katonda olw’essuubi n’okwesunga kwe balina. Yabalaga obunnabbi obulaga eby’okubaawo Kristo nga tannakomawo era n’abalaga nga bwe batagwanidde kumulindirira mu biro ebyo. “Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna” (2Abasessaloniika 2: 3), kwe kulabula kwe yabawa. Singa beesavuwaza n’essuubi eritalinako Byawandiikibwa, olwo banaaba boolekedde okukola ensobi; nga singa bafuna okusaalirwa, baakusekererwa abatakkiriza era baggweemu amaanyi, batuuke n’okubuusabuusa amazima amakulu ag’obulokozi bwabwe. Okubuulirira kw’omutume kulimu eby’okuyiga ebikulu ddala eri abo abaliwo mu nnaku ez’oluvannyuma. Bangi ku Badiventi balowooza nti, tebabeera na maanyi wadde okukola ennyo mu kweteekateeka okujjako nga bataddewo ekiseera ekituufu Mukama waffe w’anaakomerawo. Gyebakoma EE 293.4
okucaamukiirira, n’essuubi lyabwe okuzikirira, olw’okukkiriza kwabwe okunafuwa nga balaba kizibu nnyo nabo okusanyusibwa amazima gano amakulu ag’obunnabbi. EE 294.1
Okubuulira obubaka obukwata ku kiseera eky’okusala omusango mu bubaka bwa malayika owoolubereberye, kwalagirwa Katonda. N’okubalirira ennaku ez’obunnabbi okwesigamizibwa obubaka obwo, nga bulaga nti ennaku 2300 ziggwaako mu 1844, tekulinaamu nsobi. Kyokka okuddiŋŋananga buli kiseera nga banoonyayo ennaku endala eziraga entandikwa y’ekiseera ne wekiggweerako, n’okukubanga empaka olw’ensonga zaabwe ezo, tebikoma mu kujja bantu ku mazima ag’ekiseera kino kyokka, naye era abantu banyooma n’ennyinnyonnyola y’obunnabbi. Ate gyebakoma okuteekawo ekiseera eky’okukomawo omulundi ogwookubiri, era ne bakisomesa okwetoloola wonna, gyebakoma okutuukiriza ebigendererwa bya Setaani. Ng’ekiseera kimaze okuyitawo, Setaani akozesa abantu be okubajerega n’okubanyooma, olwo Abadiventi abaali mu kisinde eky’okulindirira Kristo mu 1843 ne 1844 ne banenyezebwa. Ate abo abalemera mu nsobi eno, bayinza okuteekawo olunaku olw’eyo mu maaso nti Kristo lw’alikomerawo. Olwonno ne balyoka bawummulira mu bukuumi obutaliimu, era bangi ne batava mu bulimba bwabwe okutuusa ng’obudde buyise nnyo. EE 294.2
Ebyafaayo bya Isiraeri kyakulabirako kikulu nnyo eri Abadiventi aba leero n’ebyo ebizze bibatuukako. Katonda yakulembera abantu be okubayisa mu kisinde eky’okulindirira, era nga bwe yakulembera abaana ba Isiraeri okubajja e Misiri. Okukkiriza kwabwe kwayita mu kugezesebwa olw’okusaalirwa kwe baafuna, nga n’Abaebbulaniya bwe baali ku Nnyanja Emyufu. Singa baanywerera ku mukono ogwabakulemberanga mu ebyo eby’ababatuukako, bandirabye obulokozi bwa Katonda. Singa abo bonna abaakola mu kuweereza okwa 1844 nga bwe baali obumu, baafuna obubaka bwa malayika owookusatu era ne babubuulira mu maanyi ag&pos;Omwoyo Omutukuvu, Mukama yandikoze ebikulu okuyita mu kufuba kwabwe. Ensi yandifunye okutangalijja okutayogerekeka. Ensi yandibande erabuliddwa omwaka mulamba oguyise, omulimu nga gutuuse ku nkomerero yaagwo, ne Kristo yandibadde azze okununula abantu be. EE 294.3
Katonda teyasiima baana ba Isiraeri kubonaabonera mu ddungu okumala emyaka ana; yayagala nnyo abakulembere bagende butereevu mu nsi ye Kanani, bakole eyo eggwanga ettukuvu era ery’essanyu. Kyokka “tebaayinza kuyingira olw’obutakkiriza.” Abebbulaniya 3:19. Baazikiririra mu ddungu olw’okudda ennyuma n’okuva ku Katonda, n’abalala ne bawanirirwa okutuuka mu nsi ensuubize. Mu ngeri yeemu, Katonda teyasiima Kristo alwewo kudda abantu be nga bali mu nsi eno ey’ekibi era ejjudde ennaku n’obuyinike. Naye obutakkiriza bwe bubaawudde ne Katonda. Bwe bagaana okukola obuvunaanyizibwa bw’abawadde, abalala nga bo basitulibwa okutegeeza obubaka. Olw’olukwatirwa ekisa abatuula ku nsi, Yesu n’agumiikiriza okudda, abonoonyi bafune omukisa okuwulira okulabula era bafune n’obuddukiro mu ye ekiruyi kya Katonda nga tekinafukibwa. EE 294.4
Okufaananako ne mu mirembe egyayita, ne leero okutegeeza amazima aganenya ku bibi n’ensobi z’abantu b’omu kiseera kino, kujja kusitulawo okuwakanyizibwa kungi. “Buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri musana ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.” Yokaana 3:20. Abantu bwe balaba nga tebayinza kuyimirizaawo ndowooza zaabwe nga bakozesa Ebyawandiikibwa, bangi EE 294.5
bamalirira basigale n’endowooza zaabwe si nsonga oba kitegeeza ki, era wakati mu bukambwe, boonoone abantu abo ko n&pos;ebigendererwa byabwe olw’okuvumiriranga ebibi byabwe. Eyo y’enkola yeemu ebadde ebeerawo okuyita mu mirembe gyonna. Eriya yayogerwako nga ateganya Isiraeri, Yeremiya n’ayitibwa owenkwe, ate ye Pawulo ye ayonoona yeekaalu. Okuva olwo n&pos;okutuusa olwaleero, abo bonna ababadde abeesigwa eri amazima babadde baboolebwa nga ba kyewaggula, abaagwa okuva mu mazima, abaawulayawula mu bantu. Enkumi n’enkumi z’abatalina kye bamanyi ku kigambo kya bunnabbi ekinywevu, ne bakitwala nti kyamazima bye banenya abantu abo bituufu mpozi olw’okunenyanga ku bibi byabwe. Omwoyo guno gwakweyongerayongera. Era Bayibuli eyogera lwatu nti ekiseera kijja amateeka g’ensi lwe galyolekagana n’amateeka ga Katonda, era nga buli yenna alibeera omuwulize eri ebiragiro bya Katonda alina okugumira okuvumibwa n’okubonerezebwa ng’omukozi w’obubi. EE 295.1
Bw’olowooza ku ebyo, olwo omubaka ow’amazima avunaanyizibwa kukola ki? Afuundikire ng’agamba nti amazima tegalina kubuulirwa, anti kyegakola kwe kusiikuula emitima gy’abantu ne bageebalama oba okugawakanya? Nedda; tewali nsonga yonna emugaana kutegeeza bujulirwa obw’ekigambo kya Katonda nti kubanga kireetawo empaka, okusingako ne mu bazza b’ekkanisa abasooka. Abatukuvu awamu n’abajulizi abo, ebyabatuukako olw’okukkiriza n’okwatula okukkiriza kwabwe, byawandiikibwa olw’okuyamba ab’emirembe egiriddawo. Ebyokulabirako ebyo eby’obutukuvu n’okuyimirirawo nga beesigwa byawandiikibwa olw’okunyweza obuvumu mu abo abayitibwa leero okuyimirirawo ng’abajulizi ku lwa Katonda. Baaweebwa ekisa kya Katonda n’amazima, si ku Iwabwe kyokka, naye nga, okuyita mu bo, ensi emulisibwe okumanya kwa Katonda. Waliwo omusana gwonna Katonda gwamulisirizza ensi olwaleero? Kale nno, bagwasenga eri ensi. EE 295.2
Edda Mukama yayogera eri omuntu omu eyayogerera mu linnya lye nti: “Naye ennyumba ya Isiraeri tebalikuwulira; kubanga tebalimpulira nze.” So era n’ayogera nti: “Era olibagamba ebigambo byange, oba nga banaawulira, oba nga banaalekayo: kubanga bajeemu nnyo nnyini.” Ezekyeri 3:7; 2: 7. Katonda alagira ebigambo bye bimu eri omuddu we mu kiseera kino nti: “Yogerera waggulu, tota, yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.” EE 295.3
Ng’ekisa kya Katonda kikyaliwo, buli oyo yenna afunye omusana ogw’amazima, avunaanyizibwa mu ngeri yeemu nga nnabbi wa Isiraeri, eyajjirwa ekigambo kya Katonda nga kyogera nti: “Naawe omwana w’omuntu,nkutaddewo okuba omukuumi eri ennyumba ya Isiraeri; kale, owuliranga ekigambo eri akamwa kange, obawenga okulabula okuva gye ndi. Bwe ŋŋambanga omubi nti, ai omubi, tolirema kufa, n’otoyogera okulabula omubi okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naawe omusaayi gwe ndiguvunaana mu mukono gwo. Era naye bw’olabulanga omubi ekkubo lye okukyuka okulivaamu, n’atakyuka okuva mu kkubo lye; alifiira mu butali butuukirivu bwe, naawe ggwe ng’owonyezza emmeeme yo.” Ezeekyeri 3:7-9. EE 295.4
Omuziziko ogusinga obunene mu kukkiriza n’okutegeeza amazima, gwe guno nti, mu kwo, mulimu okunenya ku bibi n’okunyiiza ababikola. Kino kye kikyalemye okutegeera abawakanya amazima. Wabula kino tekikyusa bagoberezi ba Kristo EE 295.5
ab’amazima. Anti tebayinza kulinda mazima gamale kutegeerwa bantu bangi. Olw’okubanga bategedde obuvunaanyizibwa bwabwe, bakkiririza wamu omusaalaba n’omutume Pawulo ne bakibala nga: “okubonaabona kwaffe okutazitowa, okw’ekiseera ekya kaakano, kwongerayongera nnyo okutukolera ekitiibwa ekizitowa eky’emirembe n’emirembe,” era wamu n’abedda, “abaalowoza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by’e Misiri.” 2Abakkolinso 4: 17; Abaebbulaniya EE 296.1
Si nsonga bantu ba ngeri ki, okujjako abo abaweereza ensi okusinziira mu mitima gyabwe nga bakolera ku nkola z’ensi okusinga okukolera ku nkola ya Katonda. Kitugwanira okulondawo ekituufu kubanga kye kituufu, ebiddirira tubirekere Katonda. Ensi erina ebbanja ery’okukyusibwa okuva eri abantu abamaliridde, abalina okukkiriza era abavumu. Omulimu gw’okukyusa ensi mu kiseera kino gwakukolebwa abantu ng’abo. EE 296.2
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti: “Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mutima gwammwe, temutyanga kuvuma kwa bantu, so temukeŋŋentererwanga lwa kuyomba kwabwe. Kubanga ennyenje eribaliira ddala ng’ekyambalo, n’enkuyege eribaliira ddala ng’ebyoya by’endiga: naye obutuukirivu bwange bunaabeeranga ennaku zonna, n’obulokozi bwange okutuusa emirembe gyonna.” Isaaya 51: 7,8. EE 296.3