Omusaale Waffe

1/14

Omusaale Waffe

Ebyanjula

Amatu mangi gawulira ebigambo eby’ekisa ebiyita nti, “Mujje gyendi,“—okuyita okwo okw’Omulokozi omusasizi era ow’omutima ogwagala bonna ababula okuva ku Katonda; mu mitima gy’abangi, abeetaagira ddala obuyambi obusangibwa mu Yesu, mubaamu okwanukula okwangu okudda mu nnyumba ya Kitaabwe. Era ekibuuzo kya Tomasi kiddibwamu emirundi mingi nti, “Tuyinza tutya okutegeera ekkubo?” Ennyumba ya Kitaffe erabika nga eri wala nnyo, era ekkubo lirabika nga zibu era libusibwabusibwa. Madaala ki agakulembera okuddayo eka? OW 6.1

Erinnya ly’ekitabo kino litegeeza obubaka bwakyo. Kiraga ku Yesu nga ye yekka ayinza okusisinkana okw’etaaga kw’omuntu, kikulembera ebigere by’oyo abuusabuusa era ayimiridde “ku kkubo ery’emirembe.” Kikulembera anoonya obutukirivu n’empisa ezituukiridde, mu madaala, mu kkubo ery’obulamu Obukristayo, okutuuka ku mukisa ogutuukiridde ogufunibwa mu kujemulukukira ddala okw’omuntu okwesiga ekisa okutakyukakyuka n’okwesiga amaanyi agakuuma aga Mukwano gw’aboonoonyi. Okuyigiriza okusangibwa mu kitabo kino kugumizza bangi n’okubawa essuubi abeeralikiridde, era kuyinzisissa bangi abagoberera Mukama waffe okutambulira mu bigere by’Omukulembeze waabwe. Era kisuubirwa nga kijja kutwala obubaka bwe bumu eri abangi abalala abeetaga obuyambi bwe bumu. OW 6.2

“Kkiriza ekkubo lirabike eyo
Amadaala agatuuka mu ggulu.”
OW 6.3

Yakobo yali bw’atyo, bwe yali ng’alumwa olw’okutya nti ekibi kye kimwawudde okuva ku Katonda, yagalamira wansi awummule, “n’aloota ekirooto, era laba amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n’entikko yaago ng’etuuse mu ggulu.” Okugattibwa kw’ensi n’eggulu kwamubikkulirwa mu ngeri eyo, oyo eyali ku ntikko y’amadaala n’amutegeeza ebigambo eby’okugumya n’essuubi. Ka okwolesebwa okw’omu ggulu kuddirwemu bangi nga basoma ebigambo bino eby’ekkubo ery’obulamu. OW 6.4

PUBLISHERS. OW 6.5